Skip to content
Home » EKISIIBO

EKISIIBO

EKISIIBO

EKISIIBO. Amatendo amajjuvu ga Allah eyalaalika okusiiba mu kitabokye ekyekitiibwa Quran,tusaba ebyengera n’emirembe bidde eri Nabbi waffe Muhammad swalla llaahu alaihi wasallama ne ba swahababe nabuli yenna eyakkiriza ebyo byeyajja nabyo okutuusiza ddala kulunaku olwenkomerero.Yagamba Allah ow’ekitiibwa ;

} ﻳَﺎ أَﻳُّﻬَﺎ اﻟَّﺬِﻳﻦَ آﻣَﻨُﻮا ﻛُﺘِﺐَ ﻋَﻠَﻴْﻜُﻢُ اﻟﺼِّﻴَﺎمُ ﻛَﻤَﺎ ﻛُﺘِﺐَ ﻋَﻠَﻰ اﻟَّﺬِﻳﻦَ ﻣِﻦْ ﻗَﺒْﻠِﻜُﻢْ ﻟَﻌَﻠَّﻜُﻢْ ﺗَﺘَّﻘُﻮنَ )اﻟﺒﻘﺮة (183

“ABANGE MMWE ABAKKIRIZA MULAALIKIDDWAKO OKUSIIBA NGA BWEKWALAALIKIBWA KWABO ABAABASOOKAWO MULYOKE MUTYE ALLAH” 2:183

EKISIIBO

Okusiiba kukakata kubuli musiraamu yenna alina amagezi n’obusobozi bwokusiiba (nga talina bulwadde bumulemesa kusiiba, nga tali munsonga z’akikyala “haidh” wadde omusaayi gwokuzaala “nifaas”, era kikakata kubuli musajja awezezza emyaka egyobukulu (emyaka kumineetaano “15years” oba nga atuuse okwerooterera), nabwekityo kikakata kubuli mukyala atuusizza okugenda munsonga za haidh (okwekoona akagere).

Kirungi okukubiriza omwana omuto okusiiba singa tukizuula nti asobola, kimusobozese okumanyiira ibaada y’okusiiba.

TUTEGEERERA KUKI NTI OMWEZI GWA RAMADHAN GUTUUSE

Tumanya okutuuka kwomwezi gwa Ramadhan n’emu kunsoonga zino ebbiri.

  1. Okulaba emboneekerera y’omwezi. naye gulina okuba nga gulabiddwa omusiraamu gwetwekakasaako amazima nga mukulu ssi nsonga musajja oba mukyala.
  2. Okujjuuliriza omwezi gwa Sha-abaan ennaku amakumi asatu(30 days).

Omusiraamu asiiba okutandika nga emmambya entuufu esaze (emmambya ey’okubiri) okutuusiza ddala enjuba lwegwa.

Omusiraamu alina okusula ne nniya y’okusiiba kukusiiba okwetteekwa “faradha” (naye sitteekwa okugireeta kukusiiba okwa kyeyagalire “Sunnah”)

EBYONOONA OKUSIIBA.

  1. Okwegatta mumbeera ez’obufumbo (ssi nsonga oli mufumbo oba muwuulu). Era omuntu bwakola ekikolwa ekyo akakatwako okuliwa olunaku olwo n’okuwa omutango era nga n’omutango ogwo: kwekuta omuddu, bwaba takisobodde asiiba emyezi ebiri egy’omuddiringanwa nga taliddeemu, nakyo bwaba takisobodde alina okuliisa ba miskiin nkaaga(60).
  2. Okuvaamu amazzi agazaala olwokunyweegera omukyala oba okumukwatirira oba okwemazisa (musturbation). Naye eyeerooteredde talina musango era taliwa.
  3. Okulya n’okunywa nga ogenderedde.Wabula ssinga oba weerabidde okusiibakwo kuba kutuufu.
  4. Okuvaamu omusaayi omungi mungeri y’okulumika oba okugaba omusaayi nakyo kitta okusiiba. okukujjako omusaayi omutono ogwokkukebera oba okuvaamu omusaayi nga teweeyagalidde nga okufuna ekiwundu ,tekitta kusiiba.
  5. Okwekaka okusesema (okwegoga).

WEETEGEREZE;

Ssinga oba ofuna wudhu amazzi negayingira mu mumiro mubutanwa tekitta kusiiba, era ssinga enfuufu ekuyingira mu ddokooli, oba noolowooza kumbeera z’okwegatta noovaamu amazzi, oba okwerooterera oba okuvaamu omusaayi omutono, oba okusesema mubutali bugenderevu okusiibakwo tekwonooneka.

Omuntu bwalya nga alowooza nti obudde obulya bukyaliko nekizuuka nti bwaweddeko dda, alina okuliwa olunaku olwo.

Ate era ssinga alya mukiro nga abuusabuusa oba emmambya esaze tekyonoona kusiiba kwe.

Singa omuntu alya obudde bwemisana nga abuusabuusa oba enjuba egudde nekizuuka nti alidde tennagwa,alina okuliwa olunaku olwo.

ABANTU ABAKKILIZIBWA OKULYA MU KISIIBO (ABATASIIBA) WEETEGEREZE;

Tekikkirizibwa (kiri haraamu) kumuntu atalina kisonyiyisa okugaana okusiiba omwezi gwa ramadhan. Naye kyatteekwa okusiibulukuka kubantu bano wammanga.

  1. Omukyala ali munsonga (Haidh)
  2. Omukyala akyavaamu omusaayi gwokuzaala (Nifaasi),

Bano bombi balina okuliwa ennaku zebataasiiba bwebaba batukudde.

Kyakyeyagalire (kiri Sunnah) okusiibulukuka kubantu bano wammanga.

  1. Omutambuze. Omutambuze akkirizibwa okusiibulukuka yooyo eyaweebwa olukusa okusala kusswala.
  2. Omulwadde. Omulwadde akkirizibwa okusiibulukuka yooyo atidde okufuna obuzibu kubulamubwe ssinga aba asiibye.

–     Kikkirizibwa kumutuuze ssinga afuna olugendo mu lunaku wakati okusiibulikuka.

Era nga bwekikkirizibwa kumukyala ow’olubuto nooyo ayonsa okusiibulukuka ssinga aba atidde okufuna obuzibu ku bulamu bwe oba obwomwanawe.

Abo bonna aboogeddwako waggulu ekibakakatako kuliwa naku zebaalya kyokka.naye omukyala ow’olubuto nooyo ayonsa bwaba aliwa ayongerako okuliisa omunaku (miskiin) omu buli lunaku ssinga ensonga yokka eba emugaanye okusiiba kutiiririra bulamu bwamwana we.

Oyo yenna aba alemereddwa okusiiba olwobukadde oba obulwadde obutasuubirwa kuwona, alina okuliisa buli lunaku miskiini omu naye tekimukakatako kuliwa.

Singa Ramadhan endala etuuka nga tonnaliwa nnaku zewalya mu Ramadhan eyayita olwekisonyiyisa nga obulwadde n’ebirala okakatibwako kuliwa buliyi naku zewalya kwokka.Wabula ssinga oba tewalina kisonyiyisa naye nga wakikola mumbeera yaakugayaala okakatibwako okuliwa ennaku zewalya nga okwo kwogasse n’okuliisa buli lunaku miskiini omu buli lunaku.

Omuntu ssinga afa nga yalemererwa okuliwa ennaku zaataasiiba olwekisonyiyisa nga obulwadde talina musango gwonna. naye ssinga afa nga taziriye ate nga talina nsonga emulemesa kuliwa naku ezo, abantu be bamuliisiza kubuli lunaku lweyaleka miskiini omu. Era kiri sunna kubengandaze okumusiibira buli lunaku lweyalagajjalira.

Omuntu ssinga aba tasiibye olwekisonyiyisa ate oluvanyuma nekivaawo nga obudde bwokusiibulukuka tebunnatuuka, kimukakatako okusiiba ekitundutundu kyolunaku ekisigaddeyo era kimukakatako okuliwa olunaku olwo. ekyonno kitwaliramu n’abantu bano wammanga;

-Omuntu asiramuse

-Omukyala avudde munsonga

-Omulwadde ssinga awona,

-Omutambuze ssinga olugendo luggwa.

-Omwana omuto ssinga alaba akabonero k’obukulu.

-omulalu ssinga awona.

NB:

Tekikkrizibwa kusiibirako muntu yenna mu Ramadhan .

OKUSIIBA OKWAKYEYAGALIRE (OKWA SUNNA).

Okusiiba okwakyeyagalire okusinga obulungi kwekwo okwa Nabbi Dauda; yasiibanga olunaku naalya olunaku paka mwaka kuggwako nga akola bwatyo. Oluvannyuma nekuddirirwa okusiiba olunaku olwebbalaza (Monday) n’olwokuna (Thursday) okwa buli week, oluvannyuma okusiiba ennaku essatu mu buli mwezi nga n’ezisinga obulungi okusiibwa zennaku enjeru (13,14,15 mu myezi gyobusiraamu).

Era yali nkola y’amubaka okusiiba ennaku zino wammanga.

  • Ekitundutundu ekisinga obunene mumwezi gwa Muharram ne Sha-abaan.
  • Olunaku lwa Ashuura (olwekkumi mu mwezi gwa Muharram)
  • Olunaku lwa Arafa (olwomwenda mumwezi gwa dhul hajj)
  • Ennaku mukaaga mu mwezi gwa shawwaal (sittati)

ENNAKU EZITAMWA OKUSIIBIBWA (MAKRUUH).

  • okutongoza omwezi gwa Rajab mukugusiiba.
  • Okutongoza olunaku olwejjuma n’olwomukaaga.
  • Okusiiba olunaku lwokubuusabuusa (olwamakumi asatu mu mwezi gwa Sha-abaan)

ENNAKU EZAAGAANIBWA OKUSIIBIBWA. (EZIRI HARAAM)

  • Okusiiba olunaku lwa Idi (el-fitir ne el adhuha)
  • Okusiiba ennaku z’okwanika ennyama (ayyaamu ttashriiq) okujjako kwoyo eyakoze hijja nga akakatwako okusiiba.

WEETEGEREZE ENSONGA ZINO WAMMANGA. – (mu EKISIIBO)

  1. Omuntu yenna akakatibwako okunaaba okugeza nga oyo eyelooteledde, oba eyegasse mu nsonga z’obufumbo, oba omukyala atukudde, akkirizibwa okulya daaku nga tannaba kunaaba era okusiiba kwe kuba kutuufu.
  • Kikkirizibwa kumukyala okukozesa eddagala erikeereya embeera zaabwe ez’ekikyala ssinga aba ayagala okusiibira awamu n’abasiraamu nga era akakasiddwa abasawo abakugu nti eddagala eryo teririna buzibu kubulamuubwe ebbanga lyonna.
  • Omuntu asiibye bwamira amalusu, tekitta kisiibo kye.
  • Yali nkola ya Nabbi okukeereya daaku n’okwanguyiriza okusiibulukuka. Nabbi swalla llaahu alaihi wasallama yagamba nti;

“Abantu b’ekibiina kyange tebajja kukoma kubeera nga bali bulungi ebbanga lyebanaamala nga banguyiriza okusiibulukuka n’okukeereya okulya daaku” Hadith yayogerwa Imam Ahmad.

  • Kirungi nnyo okusoma edduwa nga osiibulukuka. Yagamba Nabbi swalla llaahu alaihi wasallama

“Mazima omusiibi alina mukiseera kyokusiibulukuka edduwa etaddizibwayo” Hadith yayogerwa Ibn Maajah.

Nga neemu kudduwa ezisomebwa nga omuntu asiibulukuka yeeno “DHAHABA AL- DHAMA-U WABTALLAT AL-URUUQU WATHABATAL AJRU INSHA-ALLAH”

weyongereyo okutegeera ebye ekisiibo

  • Kiri Sunnah okusiibulukukira kuntende embissi, bwoba togifunye osiibulukukire kunkalu, nayo bwoba togifunye osiibulukukire kumazzi.
  • Kyandibadde kirungi omusiibi neyeewala okukozesa wanja neddagala eritonnyezebwa mu maaso oba mu matu okusobola okuva munjawukana z’abamanyi. Naye bwaba nga abyetaaga nga eddagala tekirina buzibu kubikozesa.
  • Kiri sunna kumusiibi okusenya naddala mubiseera byesswala. Naye asaana yeewale okusenyesa eddagala eriwoomerera eriyinza okumusiibulula.
  • Kyatteekwa kumusiibi okwewala okugeya,olugambo, okulimba n’ebirala ebigwa mukkowa eryo.Singa omusiibi aba anyiiziddwa oba ovumiddwa kirungi agambe nti; innii swaa-im “mazima nze nasiibye”. Nabwekityo kimukakatako okukuuma  ebitundu bye ebyomubiri ebirala obutagwa mu byonoono asobole okukuuma ekisiibo kye nga kirungi. Yagamba omubaka wa Allah swallah llaahu alaihi wasallama nti;

“oyo yenna ataleka bigambo byabulimba n’okubikolerako Allah talina kyamwetaagako mukuleka ebyokulyabye n’ebyokunywabye” Bukhari.

  1. Kiri sunna mu kiseera ekitali kya Ramadhan kwoyo aba ayitiddwa kukijjulo naye nga

yasiibye okusabira oyo abeera amuyise ate bwaba nga teyasiibye bwebaba bamugabudde alye.

  1. Kimanye nti ekiro kya Lailatul qadir, kyekiro ekisinga obulungi ebiro byonna mu mwaka era kibaawo mu naku ekkumi ezisembayo mu mwezi gwa Ramadhan, ekiro ekisinga okukisuubirwamu kyekyamakumi abiri mwomusanvu (27th) era omulimu omulungi ogukoleddwa mukiro ekyo gusinga emirimu egikoleddwa mumyezi lukumi (1000 months). kale nolwekyo omukkiriza akubirizibwa okulafuubana ennyo mu Ramadhan naddala munnaku ekkumi ezisembayo era afube nnyo obutayitwako kiro kyonna okujjako nga ayimiridde naasinza Allah. Kyandibadde kirungi omukkiriza bwaba asadde tarawiya ne Imam agimaleko naye kubanga bwakikola Allah amuwandiikako empeera z’akuyimirira kiro kiramba.
  2. Omuntu ssinga asiiba olunaku olwa kyeyagalire (sunna) kirungi alumaleko, naye ssinga aba asazeewo okusiibulukuka nga telunnaggwako takakatibwako kululiwa.

ITIKAAFU MU (EKISIIBO)

Ekiyitibwa itikaafu, kwekwekuumira kwomusiraamu mu muzikiti ebbanga eggere nga ekigendererwakye kusiinza Allah.

-Omusiraamu akola itikaafu alina okuba nga alina amagezi,nga mutukuvu (nga talina kizuusi kinene) era tafuluma mu muzikiti okujjako kunsonga nga yaabuwaze nga okulya, okumala ekyetaago n’okunaaba okwetteeka .

– Itikaafu efa ssinga omuntu yegatta mumbeera z’obufumbo oba naafuluma mu muzikiti awatali bwetaavu.

-Kiri Sunnah okutuula itikaafu ekiseera kyonna wooyagalidde naye ate eba Sunnah nkakafu (sunnatu mu’akkada) mu mwezi gwa Ramadhan naddala munnaku ekkumi ezisembayo.

-Ekiseera ekisembayo okubeera ekitono ennyo ekya itikaafu ebeera ssaawa emu naye kyandibadde kirungi nootakka wansi walunaku nakiro kyalwo.

-Omukyala takkirizibwa kutuula itikaafu okujjako nga akkiriziddwa omwami we.

-Kiri sunna kumuntu atuula itikaafu okuyitiriza okukola ibaada (ebikolwa nebigambo ebyokusinza) era yewale ebintu ebyolugayaalo.

Tusaba Allah atugase neebigambo bino nabuli yenna abisoma era akkirize emirimu jaffe,atusonyiwe ebitusobako nga abantu walhamdu lillaahi rabbil aalamiin.

EKITABO KINO KIVVUUNUDDWA

-SHEIKH HUSSEIN BBAALE 0703225491

-SHEIKH ALI MUSA MUKIIBI 0752801718

OKUVA MUKITABO EKIYITIBWA TAFSEER AL ASHIRI AL- AWAAKHIR NE AHKAAM TAHUMMU AL MUSLIMU KUMULYANGO GW’OKUSIIBA.

wuliriza kuran muluganda - ya kkira mu ekisiibo

ebikwatagana ne websites bisange wano

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *