Wuliriza kuran mu Luganda ne Shk Nkata oba downloading okuva wano
Qur’an eweza essuula 114 nga buli emu yayawulwamu ennyiriri (Ayat). Essuula zonna tezifaanana mu bunene
oba obutono. Esingayo obunene eweza Ayat 286, ate esembayo obutono eweza Ayat 3. Essuula ezisinga obungi Nabbi tezaamukkaako bulambirira ebbanga lye yamala ery’ebisanja ebibiri nga akoowoola abantu okudda eri Katonda.
Ekisanja ky’Emkka (Palan) (610-622 C.E.), yakkirwako essuula 86, sso nga ekisanja ky’Emadiina (622-632 C.E.) yakkirwako essuula 28. Eno y’enteekateeka essuula zonna 114 gyezakkiramu ku Nabbi nga tusookera ku yasooka okukka tusembyeyo eyasembayo okukka, mubbanga ly’ebisanja byombi. Mpozzi mu kulambika enninanyisa y’essuula mu kukka kwazo tujja kweyambisa nnyukuta za walufu, okugeza (Aa,Ab,Ac).
🎧🎧🎧Wuliriza emisomo gya Shk Qasim
📖📝📚 Weyondere O wuliriza kuran mu Luganda – Laba okuvvunula kuran mubigambo
ebikwatagana ne websites bisange wano

109. ESSUULA: AL-KAFIRUNA, ABAJEEMU
Yakkira Makka. Erina Aya 06
Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’Okusaasira okw’enjawulo
1. Ggwe langirira nti: ‘Abange mmwe abajeemu.
2. Nze ssi sinza ebyo bye musinza.
3. Nammwe temusinza oyo gwensinza.
4. Era sijja kusinza ebyo bye mwasinza
5. Nammwe temusinza oyo gwensinza.
6. Mulina eddiini eyamwe nange nnina eddiini eyange’.
110. ESSUULA: ANNASRU, OBUYAMBI
Yakkira Madiina. Erina Aya 03
Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.
1. bwe buba butuuse obuyambi bwa Katonda n’obuwanguzi.
2. N’olaba abantu nga bayingira mu ddiini ya Katonda mu bibinja.
3. Olwo tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wo era omusabe okukusonyiwa. Mazima yewuyo Ayenenyezebwa.
111. ESSUULA: AL-MASAD, OBUGWOGWA
Yakkira Makka. Erina Aya 05.
Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.
1. Gizikiridde emikono gya Abu Lahab era azikiridde.
2. Terina kyemugasizza emmaali ye n’ebyo bye yakabassanira.
3. Ajja kwesogga omuliro Lubumbujja.
4. Ne mukyala we omwetissi w’ebisiki.
5. Nga ensingo ye mulimu omugwa gw’obugwogwa.
112.ESSUULA: IKHILAS, OBWANNAMUNIGINA
Yakkira Makka. Erina Aya 04
Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.
1. Ggwe bategeeze nti: ‘Katonda asinzibwa Allah ali omu.
2. Katonda asinzibwa Allah ye Mwesigamirwa.
3. Teyazaala era teyazaalibwa.
4. Era tebangayo kintu kimwenkana n’ekimu’.
113. ESSUULA: AL-FALAQ, MATULUTULU
Yakkira Makka. Erina Aya 05
Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.
1. Gamba nti: Nneekuumisa Mukama Katonda nnannyini matulutulu.
2. Okumponya ebibi by’ebyo bye yatonda.
3. N’okumponya ebibi by’ekiro nga kikunizza.
4. N’okumponya ebibi bya (abo) abafuuyirira mu bifundikwa (nga baloga).
5. N’okumponya ebibi by’omukozi w’ensalwa bwaba akoze ensalwa.
114. ESSUULA: ANNAAS, ABANTU
Yakkira Makka. Erina Aya 06
Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.
1.Gamba nti: ‘Nneekuumisa Mukama Katonda Omulezi wa bantu
2. Omufuzi wa bantu
3.Omusinzibwa wa bantu
4.Okumponya ebibi by’okubuzaabuza kwa Ssitaani.
5.Eyo ebuzaabuliza mu bifuba bya bantu.
6.Nga eri mu ttuluba ly’amaginni n’abantu.
5
4.5