Skip to content
Home » Obusiraamu Obukkiriza nokulongoosa – Hadis no.2

Obusiraamu Obukkiriza nokulongoosa – Hadis no.2

Hadith amakumi ana (40) ezakuŋŋanyizibwa Nawawi Hadith #2 Emitendera Je Ddiini

Bya Shk Kakande

(عن عُمَرُ بنُ الخَطَّابِ قالَ: بيْنَما نَحْنُ عِنْدَ رَسولِ اللهِ صَلَّى اللَّهُ عليه وسلَّمَ ذاتَ يَومٍ، إذْ طَلَعَ عليْنا رَجُلٌ شَدِيدُ بَياضِ الثِّيابِ، شَدِيدُ سَوادِ الشَّعَرِ، لا يُرَى عليه أثَرُ السَّفَرِ، ولا يَعْرِفُهُ مِنَّا أحَدٌ، حتَّى جَلَسَ إلى النبيِّ صَلَّى اللَّهُ عليه وسلَّمَ، فأسْنَدَ رُكْبَتَيْهِ إلى رُكْبَتَيْهِ، ووَضَعَ كَفَّيْهِ علَى فَخِذَيْهِ. وَقالَ: يا مُحَمَّدُ أخْبِرْنِي عَنِ الإسْلامِ، فقالَ رَسولُ اللهِ صَلَّى اللَّهُ عليه وسلَّمَ: الإسْلامُ أنْ تَشْهَدَ أنْ لا إلَهَ إلَّا اللَّهُ وأنَّ مُحَمَّدًا رَسولُ اللهِ صَلَّى اللَّهُ عليه وسلَّمَ، وتُقِيمَ الصَّلاةَ، وتُؤْتِيَ الزَّكاةَ، وتَصُومَ رَمَضانَ، وتَحُجَّ البَيْتَ إنِ اسْتَطَعْتَ إلَيْهِ سَبِيلًا، قالَ: صَدَقْتَ، قالَ: فَعَجِبْنا له يَسْأَلُهُ، ويُصَدِّقُهُ، قالَ: فأخْبِرْنِي عَنِ الإيمانِ، قالَ: أنْ تُؤْمِنَ باللَّهِ، ومَلائِكَتِهِ، وكُتُبِهِ، ورُسُلِهِ، والْيَومِ الآخِرِ، وتُؤْمِنَ بالقَدَرِ خَيْرِهِ وشَرِّهِ، قالَ: صَدَقْتَ، قالَ: فأخْبِرْنِي عَنِ الإحْسانِ، قالَ: أنْ تَعْبُدَ اللَّهَ كَأنَّكَ تَراهُ، فإنْ لَمْ تَكُنْ تَراهُ فإنَّه يَراكَ، قالَ: فأخْبِرْنِي عَنِ السَّاعَةِ، قالَ: ما المَسْؤُولُ عَنْها بأَعْلَمَ مِنَ السَّائِلِ قالَ: فأخْبِرْنِي عن أمارَتِها، قالَ: أنْ تَلِدَ الأمَةُ رَبَّتَها، وأَنْ تَرَى الحُفاةَ العُراةَ العالَةَ رِعاءَ الشَّاءِ يَتَطاوَلُونَ في البُنْيانِ، قالَ: ثُمَّ انْطَلَقَ فَلَبِثْتُ مَلِيًّا، ثُمَّ قالَ لِي: يا عُمَرُ أتَدْرِي مَنِ السَّائِلُ؟ قُلتُ: اللَّهُ ورَسولُهُ أعْلَمُ، قالَ: فإنَّه جِبْرِيلُ أتاكُمْ يُعَلِّمُكُمْ دِينَكُمْ.)

Hadith ng’eva ku Umaru Ben Khattwab yagamba nti:Lumu tuba tuli n’Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) omusajja kwekujja wetuli ng’ayambadde engoye enjeru tukutuku, ng’enviiri ze nzirugavu zigizigi nga taliiko kabonero ka lugendo konna, kyokka nga tewali n’omu amumanyi muffe, naatambula natuuka awali Nabbi (Emirembe gibe kuye) nafukamiza amaviivi ge ku ga Nabbi era nateeka emikono gye ku bisambi bya Nabbi, bweyamala namugamba nti:Owange Muhammadi mbuulira ku Busiraamu,Omubaka wa Allah n’agamba nti: »

Obusiraamu; Kwekukasa n’omwoyo n’oyatuza n’olulimi nti teri alina kusinzibwa mu butuufu okuggyako Allah era ne Muhammad mubaka wa Allah, n’oyimirizaawo esswala, n’otoola ne Zakah, n’osiiba omwezi gwa Ramadhan, n’olambula ennyumba ya Allah (Kaaba) eri oyo aba asobodde okutuukayo«.Awo omusajja naddamu nti: oyogedde mazima, Umar agamba nti: netwewuunya nti abuuza ate yakakasa!, Omusajja n’agamba nti : Mbulira ku Bukkiriza,Nabbi namuddamu nti: »

Obukkiriza kwe kukkiriza Allah, ne Bamalayika be n’ebitabo bye n’Ababaka be n’olunaku lw’enkomerero, n’okkiriza n’okugera kwa Katonda okulungi oba okubi«, omusajja n’agamba nti: Oyogedde mazima , yayongera n’abuuza nti mbulira ku Ihsan, Nabbi namuddamu nti:»

Ihsan kwekusinza Allah ng’olinga amulaba newankubadde ggwe oba tomulaba mazima yye akulaba«, omusajja yayongera namugamba nti mbulira ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, Nabbi namuddamu nti: »Abuuzibwa talina kyamanyi ku nsonga eyo kusinga abuuza«, omusajja n’amugamba nti kale mbuulira ku bubonero bwayo (enkomerero),

Nabbi namuddamu nti: Singa abazaana banazaala bakama baabwe((Amakulu nti: Okujeemera abazadde bwekunayitirira ng’abaana tebakyassa mu bakadde baabwe kitiibwa era ng’oyinza n’okulowooza nti abazadde bazaana b’abaana baabwe.)), era singa onaalaba abantu abaali batambuza ebigere ebyereere omutali ngatto, nga baali bayita bukunya abaavu abazibu abeemalira mu kulunda ensolo, nga batandise okugolomola amakalina«.Umaru agamba nti: Oluvannyuma omusajja yakwata eryamuleese. oluvannyuma lw’akabanga Nabbi yambuuza nti: “Umaru abadde abuuza omumanyi?”.Naddamu nti: Allah n’omubaka we beebamanyi, Nabbi kwekugamba nti: »Ebadde Malayika Jibril ng’ezze ebayigirize eddiini yammwe« ((Muslim)).

Okunnyonnyola n’okugaziya Hadith

Hadith eno singa omuntu agitegeera bulungi era nakolera ku bigirimu sirabayo ate kyaba aleseeyo ku Busiraamu anti emalayo byonna, nga etuyigiraza ebintu bino wammanga:
1.Eddiini yaffe eno esomwa busomwa anti olaba Malayika nnamba yeesitula okujja okuyigiriza ba Swahaba ba Nabbi.
2.Malayika za Katonda zettanira nnyo awali okusoma eddiini era weziba tewaggwa mikisa so nga ne sitaani teyagalira ddala wali bigambo bya Katonda.
3.Teri kitonde kimanyi ddi enkomerero lweribaawo ng’enkomerero mutwaliramu okufa kw’omuntu kuba ebyo byonna Katonda yabyesigalira.

Allah agamba ku nsonga eyo nti

(قُل لَّا يَعْلَمُ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ الْغَيْبَ إِلَّا اللَّهُ ۚ وَمَا يَشْعُرُونَ أَيَّانَ يُبْعَثُونَ )

{Bagambe (Owange ggwe Omubaka) nti tewali amanyi bitalabikako mw’abo abali mu ggulu ne ku nsi okuggyako Allah yekka era tebamanyi nakumanya ddi lwebalizuukira} ((An-Naml 27:65))

4.Omusiraamu wadde mumanyi talina kwetantala kuddamu kibuuzo kyatalinaako kumanya anti olabye Nabbi bwatakizzeemu ,olwo ggwe ani?
Allah agamba ku nsonga eyo nti:

(وَلَا تَقُولُوا لِمَا تَصِفُ أَلْسِنَتُكُمُ الْكَذِبَ هَٰذَا حَلَالٌ وَهَٰذَا حَرَامٌ لِّتَفْتَرُوا عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ ۚ إِنَّ الَّذِينَ يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ لَا يُفْلِحُونَ)

{Era temugambanga , ebyo bye zoogera ennimi zammwe ennimba, nti kino kikkirizibwa ate kino kizira; mulyoke mugunjeewo obulimba ku Allah mazima abo abagunja ku Allah obulimba ssi baakwesiima} ((Nahl 16:116)).
Bwetuddayo ku Hadith kwetuli eyogera ku bintu bisatu empagi z’obusiraamu, ez’obukkiriza wamu ne Ihsaan.

Ebikwata ku mpagi z’obusiraamu bisome ku Hadith eddako (ey’okusatu anti byebimu).


Obukkiriza:

Tukiraba okusinziira ku Hadith nti empazi z’Obukkiriza ziri 6.

Era ng’okusinziira ku Quran omuntu awakanya ekimu kw’ebyo aba mubuze, Allah agamba nti ku mpagi 5 ezisooka:

(وَمَن يَكْفُرْ بِاللَّهِ وَمَلَائِكَتِهِ وَكُتُبِهِ وَرُسُلِهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ فَقَدْ ضَلَّ ضَلَالًا بَعِيدًا (136)

{N’omuntu akaafuwalira (Awakanya) Allah ne Bamalayika be n’ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula olw’ewala} ((Nisaae 4:136)).
Ate kwo okugera Allah agamba nti:

(إِنَّا كُلَّ شَيْءٍ خَلَقْنَاهُ بِقَدَرٍ (49))

{Mazima ddala ffe buli kintu twakikola nga kiriko ekigero} ((Qamar 54: 49)).
Amakulu nti buli kintu kirina obudde bwakyo obutegeke obulungi ewa Allah era obudde obwo tebusobola kusukkibwa.


Ng’okukkiriza Allah kitegeeza okukasa nti ye Katonda yekka alina okusinzibwa mu butuufu era tagattibwako, tazaala era tazaalibwa, teyetaaga yemala. Ng’okukkiriza okwo kukakata na bikolwa n’ebigambo byoba oyogera singa oyogera ng’eno okola birala , kitegeeza ekiri mu mutima tonnatongoza Allah bulungi.

1.Olina okukkiriza nti ali omu tazaala era tazaalibwa:

(قُلْ هُوَ اللَّهُ أَحَدٌ (1) اللَّهُ الصَّمَدُ (2) لَمْ يَلِدْ وَلَمْ يُولَدْ (3) وَلَمْ يَكُنْ لَهُ كُفُوًا أَحَدٌ (4))

{Bagambe (Owange Nabbi) nti ye Allah ali omu yekka (teri amufaanana mu ngeri yonna), Allah yeyeetagibwa buli omu, tazaala era teyazaalibwa, era talina yenna amwenkana} ((Ikhlaas 112: 1-4)).


Okuzaala kwa Allah tekukoma ku bantu wabula teri kintu kyonna kiyitibwa mwana we kazibe zimalayika:

(أَفَأَصْفَاكُمْ رَبُّكُم بِالْبَنِينَ وَاتَّخَذَ مِنَ الْمَلَائِكَةِ إِنَاثًا ۚ إِنَّكُمْ لَتَقُولُونَ قَوْلًا عَظِيمًا (40))

{Abaffe ddala Katonda wammwe yabalonderawo abalenzi ate ye ne yeesimirawo abawala((Ensonga lwaki Allah ayogera bwati nga yewuunya, kwekuba nti Abawarabu baali nga tebaagalira ddala mwana wa buwala era nga bwazaalibwa bamuziika mulamu, wano Katonda kyava ababuuza nti abaffe nnabawa abalenzi bemwagala ate nze nennondawo okuba n’abawala abataliimu mukisa nga mwe bwemukirowooza? Wano aya yali egaana Allah okuba n’omwana negaana n’abawala okuba nti ba kikwa.)) okuva mu zimalayika?, mazima ekigambo kyemwogera kinene
(kibi) nnyo} ((Israh 17: 40.Laba ne Anbiya 21: 26, ne Swaffat 37: 149 – 154, ne Zukhuruf 43: 19, ne Najm 53: 21 -22)).

Allah obutaba na mwana tekikoma ku kuzaala kwokka, wabula teri kintu kyonna oba muntu yenna gweyalonda nti abeere mwana we

(مَا اتَّخَذَ اللَّهُ مِن وَلَدٍ وَمَا كَانَ مَعَهُ مِنْ إِلَٰهٍ ۚ إِذًا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهٍ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعْضُهُمْ عَلَىٰ بَعْضٍ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ (91))

{Allah teyeteerawo mwana yenna era teri katonda mulala yenna (nti bwebakola emirimu) singa kyali bwekityo buli katonda yandigenze n’ebyo byeyakola era abamu (bakatonda) bandyewanise ku balala, bwatyo yayawukana Allah okuva kw’ebyo ebimwogerwako} ((Mu-uminuun 23: 91. Laba ne An-Am 6: 333 ne Yunus 10: 68 ne Israa 17: 111, ne Furkan 25: 2 ne Zumar 39: 4 ne Zukhuruf 43:81.))
Mu Aya endala Allah ayongera okutulaga ensonga lwaki ali omu:

(لَوْ كَانَ فِيهِمَا آلِهَةٌ إِلَّا اللَّهُ لَفَسَدَتَا ۚ فَسُبْحَانَ اللَّهِ رَبِّ الْعَرْشِ عَمَّا يَصِفُونَ (22))

{Singa mwalimu mwombiriri ( mu ggulu ne mu nsi) bakatonda bangi nga si Allah yekka byalikyankalanye (eggulu n’ensi) kale yayawukana Allah Katonda wa Namulondo okuva kwebyo byeboogera} ((Anbiyaa 21: 22)).
Anti bakatonda abo bandirwanyenga nga bwolaba abakulembeze mu nsi.


Ekya Allah obutaba na mwana wadde omukyala na majiini gakimanyi:

(وأنه تعالى جد ربنا ما اتخذ صاحبة ولا ولدا )

{Era nti mazima ddala yagulimira era nayawukanira ddala Katonda waffe teyeteerawo mukyala wadde omwana ((Olw’okuba Allah yayawukanira ddala era yagulumira kyava teyeteerawo mwana wadde omukyala kuba talina kyeyetaaga.))} ((Jinni 72: 3)).

(ألا إنهم من إفكهم ليقولون ولد الله وإنهم لكاذبون)

{Manya nti mazima bbo bava ku bulimba bwabwe okugamba nti Allah yazaala, kyokka nga mazima balimbira ddala} ((Swaffat 37: 151 -152)).
Kale buli ayetantala okwogera ekigambo ekyo, Allah amulabula nti singa takikomye wakuzikirira:

(وَيُنْذِر الَّذِينَ قَالُوا اِتَّخَذَ اللَّه وَلَدًا)

{Era nerabula (Quran) abo abagamba nti Allah yeeterawo omwana} ((Kahif 18: 4)).
Olw’okuba okuzaaza Katonda kibi nnyo eggulu lyagala kwabika ng’oli akyogedde!!

قالوا اتخذ الرحمن ولدا ، لقد جئتم شيئا إدا ، تكاد السماوات يتفطرن منه وتنشق الأرض وتخر الجبال هدا ، أن دعوا للرحمن ولدا ، وما ينبغي للرحمن أن يتخذ ولدا ، إن كل من في السماوات والأرض إلا آتي الرحمن عبدا
( مريم : 88 – 93 )

{Ne bagamba (Abatakkiriza) nti Allah omusaasizi yeeterawo omwana, mazima mukoze ekintu kibi nnyo, eggulu libula okweyuzayuza olw’ebigambo ebyo n’ensi ebula okweyasayasa n’ensozi zibula okubumbulukuka nga bwezimenyekamenyeka olw’okukagamba nti Allah alina omwana, ate tekisaanira Allah kweterawo mwana, wabula byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi byakujja ewa Allah omusaasizi nga baddu buddu} ((Maryam 19: 88- 92)).


N’oyo gwebagamba mbu mwana wa Katonda Quran eraga ekifo kye ewa Katonda:

(ياأهل الكتاب لا تغلوا في دينكم ولا تقولوا على الله إلا الحق إنما المسيح عيسى ابن مريم رسول الله وكلمته ألقاها إلى مريم وروح منه فآمنوا بالله ورسله ولا تقولوا ثلاثة انتهوا خيرا لكم إنما الله إله واحد سبحانه أن يكون له ولد له ما في السماوات وما في الأرض وكفى بالله وكيلا)

{Abange mmwe bannanyini kitabo (Abayudaaya n’abakulisitaayo) temusukka wemwandikomye mu ddiini yammwe, era temwogera ku Katonda okuggyako amazima, mazima ddala Isa Masiya mutabani wa Maryam mubaka wa Katonda era kigambo kye kyeyaweereza eri Maryam era mwoyo ogwava gyali , kale mukkirize Allah n’Omubaka we era temugambanga nti basatu (bakatonda), mukikomye mangu kyekisinga obulungi gyemuli, mazima Allah omutonzi ali omu yayawukana kukubeera n’omwana ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bibye era Allah gwoba okwasa ensonga zo zonna} ((Nisaae 4: 171.Ne Maidah 5: 75)).


Amakulu nti Nabbi Isa mubaka bubaka owa Katonda nga banne, ate tekikoma ku kukuba Nabbi wabula muddu wa Allah ng’abantu bonna abasigadde era naye akyagala nnyo:

(لَّن يَسْتَنكِفَ الْمَسِيحُ أَن يَكُونَ عَبْدًا لِّلَّهِ وَلَا الْمَلَائِكَةُ الْمُقَرَّبُونَ ۚ وَمَن يَسْتَنكِفْ عَنْ عِبَادَتِهِ وَيَسْتَكْبِرْ فَسَيَحْشُرُهُمْ إِلَيْهِ جَمِيعًا (172))

{Talyeggyako Masiya (Isa) kubeera omuddu wa Allah wadde bamalayika abali okumpi (ne Katonda nabo tebeekuluntaza kuyitibwa baddu ba Allah) n’oyo yenna ayeggyako okusinza Allah neyekuluntaza bonna (abalinga oyo) ajja kubazuukuza gyali (abalamule)} ((Nisaa 4: 172)).
Eno Aya egasse Nabbi Isa ne zimalayika abantu bebawaayiriza mbu baana ba Katonda neeraga nti tebasobola kweggyako kyakuba baddu buddu aba Allah owa waggulu.
Kale nno buli agamba mbu Yesu oba omuntu omulala yenna mwana wa Katonda yakolimirwa:

(وَقَالَتِ الْيَهُودُ عُزَيْرٌ ابْنُ اللَّهِ وَقَالَتِ النَّصَارَى الْمَسِيحُ ابْنُ اللَّهِ ۖ ذَٰلِكَ قَوْلُهُم بِأَفْوَاهِهِمْ ۖ يُضَاهِئُونَ قَوْلَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَبْلُ ۚ قَاتَلَهُمُ اللَّهُ ۚ أَنَّىٰ يُؤْفَكُونَ (30))

{Abayudaaya ne bagamba mbu Uzairu mwana wa Katonda ate Abakrisitaayo ne bagamba mbu Masiya (Yesu) mwana wa Katonda ebyo nno bigambo byabwe babyogeza mimwa (tebirina bukakafu bwonna) bakoppa bukoppi abo abakafiiri ababasookawo, Allah yabakolimira butya bwebalimba!} ((Taubah 9: 30)).
Kale eby’okugamba mbu Yesu mwana wa Katonda bifu bweffuffululu, era bukafiiri bwennyini, n’okugamba nti Yesu Katonda nabwo bukafiiri obuwedde emirimu nga Aya eno bwetugamba:

(لَقَدْ كَفَرَ الَّذِينَ قَالُوا إِنَّ اللَّهَ هُوَ الْمَسِيحُ ابْنُ مَرْيَمَ ۖ وَقَالَ الْمَسِيحُ يَا بَنِي إِسْرَائِيلَ اعْبُدُوا اللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمْ ۖ إِنَّهُ مَن يُشْرِكْ بِاللَّهِ فَقَدْ حَرَّمَ اللَّهُ عَلَيْهِ الْجَنَّةَ وَمَأْوَاهُ النَّارُ ۖ وَمَا لِلظَّالِمِينَ مِنْ أَنصَارٍ (72))

{Mazima bakaafulidde ddala abo abagamba nti Katonda ye Masiya mutabani wa Maryam, ate nga ne Masiya yennyinni yagamba nti :Abange abaana ba Yisirayiri musinze Allah Katonda wange era Katonda wammwe, mazima ddala oyo agatta ku Allah ekintu ekirala, Allah yamuziyizaako ejjana n’obuddiro bwe muliro n’abalyazaamanya tebalina mutaasa yenna alibataasa} ((Maidah 5: 72. Laba ne Aya eye 17)).
Tukiraba nti Nabbi Isa yennyini yagamba abaana ba Yisirayiri nti agatta ku Katonda ng’agamba nti Yesu Katonda taliyingira Jjana.
Era Quran eraga nti Yesu ajja kwegaana ebyo ebimwogerwako ye ne nnyina:

(وَإِذْ قَالَ اللَّهُ يَا عِيسَى ابْنَ مَرْيَمَ أَأَنتَ قُلْتَ لِلنَّاسِ اتَّخِذُونِي وَأُمِّيَ إِلَٰهَيْنِ مِن دُونِ اللَّهِ ۖ قَالَ سُبْحَانَكَ مَا يَكُونُ لِي أَنْ أَقُولَ مَا لَيْسَ لِي بِحَقٍّ ۚ إِن كُنتُ قُلْتُهُ فَقَدْ عَلِمْتَهُ ۚ تَعْلَمُ مَا فِي نَفْسِي وَلَا أَعْلَمُ مَا فِي نَفْسِكَ ۚ إِنَّكَ أَنتَ عَلَّامُ الْغُيُوبِ (116)

{Era jjukira ekiseera awo Allah waaligambira nti : Owange Isa mutabani wa Maryam! ggwe wagamba abantu nti munfuule nze ne mmange bakatonda mu kifo kya Allah? [Nabbi Isa] Ajja kugamba nti: Wayawukana Allah ! nnali sisobola kwetantala kwogera byessirinaako buyinza, bwemba nga nakyogera era wakimanya anti omanyi ebiri mu mwoyo gwange ate nze simanyi biri mu ggwe, mazima ggwe omanyi ebyekwese} ((Maidah 5: 116)).
Eno Aya etulaga okwegaana kwa Nabbi Isa eri abo abamusinza.
Bwetumala okukakasa ebyo byonna tulina okukakasa nti teri kifaanana Allah kyonna

((لَيْسَ كَمِثْلِهِ شَيْءٌ ۖ وَهُوَ السَّمِيعُ الْبَصِيرُ (11)))

{ [Allah] Teri kintu kyonna kimwefaanaanyiriza era awulira nnyo alaba nnyo} ((Shurah 42: 11)).
Kale ye yekka gwetulina okusinza n’okusaba obuyambi.

(إِيَّاكَ نَعْبُدُ وَإِيَّاكَ نَسْتَعِين)

{Ggwe wekka gwetusinza era ggwe wekka gwetusaba obuyambi bwonna} ((Fatihah 1: 5)).
Era tetulina kusinza kintu kirala kyonna ekitali ye oba si ekyo tujja kugobwa mu bantu ba mungu:

(ذَٰلِكَ مِمَّا أَوْحَىٰ إِلَيْكَ رَبُّكَ مِنَ الْحِكْمَةِ ۗ وَلَا تَجْعَلْ مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ فَتُلْقَىٰ فِي جَهَنَّمَ مَلُومًا مَّدْحُورًا (39)

{Ebyo nno byebimu kwebyo abyassibwa gyoli okuva mu bigambo eby’amagezi era toteekangawo Katonda mulala yenna ne Allah, olyoke okasukibwe mu muliro jahannamu ng’onenyezebwa era ng’ogobeddwa } ((Israh 17: 39)).

(ذَٰلِكَ بِأَنَّ اللَّهَ هُوَ الْحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدْعُونَ مِن دُونِهِ هُوَ الْبَاطِلُ وَأَنَّ اللَّهَ هُوَ الْعَلِيُّ الْكَبِيرُ (62)

{Ebyo byonna biri bwebityo kubanga Allah ge Mazima era mazima ebyo byebasaba ebitali ye byebitali bituufu era mazima Allah ye wa waggulu omunene ddala} ((Hajj 22:62))

.

2-Okukkiriza Bamalayika:


Kwo okukkiriza Bamalayika kitegeeza okukasa nti gyebali anti waliyo abawakanya buli kyebatalabako, kubanga singa owakanya okubaayo kwabwe oba

owakanyizza obubaka bwa Nabbi Muhammad ne ba Nabbi abalala (Emirembe gibe ku bonna).
Wabula ng’okubakkiriza tekitegeeza nti obasabe oba obeesigamireko anti okusaba, n’essuubi lyaffe byonna birina kuba mu Allah yekka. Anti Allah yekka yalina okusinzibwa n’okusabibwa:

وَلَا يَأْمُرَكُمْ أَن تَتَّخِذُوا الْمَلَائِكَةَ وَالنَّبِيِّينَ أَرْبَابًا ۗ أَيَأْمُرُكُم بِالْكُفْرِ بَعْدَ إِذْ أَنتُم مُّسْلِمُونَ (80)

{Era tabalagira kufuula malayika ne Banabbi bakatonda, abaffe abalagira kuba abakafiiri oluvannyuma lw’okuba nti mubadde Basiraamu} ((Imraan 3: 80)).
Okumanya tetulina kusinza malayika yonna Quran etulaga nti Allah ajja kuzibuuza oba abakafiiri bazisiizanga:

وَيَوْمَ يَحْشُرُهُمْ جَمِيعًا ثُمَّ يَقُولُ لِلْمَلَائِكَةِ أَهَٰؤُلَاءِ إِيَّاكُمْ كَانُوا يَعْبُدُونَ (40)

قَالُوا سُبْحَانَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِم ۖ بَلْ كَانُوا يَعْبُدُونَ الْجِنَّ ۖ أَكْثَرُهُم بِهِم مُّؤْمِنُونَ (41)

{Era jjukira olunaku lwalibakuŋŋanya bonna oluvannyuma abuuze bamalayika nti, abo (abakafiiri) baali basinza mmwe?, bajja kugamba (Bamalayika) nti wayawukana (Allah) ggwe mukama waffe wekka sso

ssi bo, wabula baali basinza majiini abasinga gebaali bakkiririzaamu} ((Saba 34: 40-41)).
Amakulu nti Bamalayika tebalina kusinzibwa.
Wabula kyetulina okumanya ku Malayika nti zo tezijeemera Allah, kubanga Obukristaayo bugamba nti waliwo Malayika ezajeemera Katonda n’ezo ennongoofu, ekyo kifu kuba buli eyitibwa Malayika ngonvu eri Allah era tesobola kujeema:

وَلِلَّهِ يَسْجُدُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ مِن دَابَّةٍ وَالْمَلَائِكَةُ وَهُمْ لَا يَسْتَكْبِرُونَ (49) يَخَافُونَ رَبَّهُم مِّن فَوْقِهِمْ وَيَفْعَلُونَ مَا يُؤْمَرُونَ ۩ (50)

{ ebiri mu ggulu ne mu nsi na buli kirinnya ku ttaka byonna bivunnamira Allah ne Bamalayika nabo (bwebakola) era nabo tebekuluntaza, batya Katonda waabwe oyo abali waggulu (mu ddaala n’ekitiibwa) era bakola ebyo ebibalagirwa} ((Nahl 16: 49-50)).

يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا قُوا أَنفُسَكُمْ وَأَهْلِيكُمْ نَارًا وَقُودُهَا النَّاسُ وَالْحِجَارَةُ عَلَيْهَا مَلَائِكَةٌ غِلَاظٌ شِدَادٌ لَّا يَعْصُونَ اللَّهَ مَا أَمَرَهُمْ وَيَفْعَلُونَ مَا يُؤْمَرُونَ (6)

{Abange mmwe abakkiriza mwekingirize mmwe mwennyini n’abantu bammwe omuliro, enku zaagwo

bantu na mayinja, guliko zimalayika enkakanyavu enkambwe tezijeemera Allah kyaba aziragidde era zikola ekyo kyennyini ekiziragiddwa} ((Tahrim 66: 6)).
Abo abagamba mbu waliyo Malayika enjeemu bakiggya lwakuba nti Allah bweyalagira Bamalayika okuvunnama waliwo ekitonde ekitavvunama nga ye Sitaane Iblis, naye Quran etulaga bulungi nti oyo sitaane ava mu majiini tava mu Malayika:

وَإِذْ قُلْنَا لِلْمَلَائِكَةِ اسْجُدُوا لِآدَمَ فَسَجَدُوا إِلَّا إِبْلِيسَ كَانَ مِنَ الْجِنِّ فَفَسَقَ عَنْ أَمْرِ رَبِّهِ ۗ أَفَتَتَّخِذُونَهُ وَذُرِّيَّتَهُ أَوْلِيَاءَ مِن دُونِي وَهُمْ لَكُمْ عَدُوٌّ ۚ بِئْسَ لِلظَّالِمِينَ بَدَلًا (50)

{Era Jjukira ekiseera wetwagambira Bamalayika nti muvunnamire Adam ne bavvunama okuggyako Iblis yali ava mu majiini bwatyo n’ajeemera ekiragiro kya Katonda we, abaffe (oyo ate) gwemufuula ye n’abaana be abataasa (bammwe) mu kifo kyange, nga nabo balabe bammwe? okwo okuwanyisa kw’abalyazamaanya kubi nnyo} ((Kahif 18: 50)).
Amakulu nti Sitaane tabangako Malayika yali abeera nabo bubeezi naye nga ye jiini.

Manya
Malayika nazo okufaananako ng’ebitonde ebisigadde tezimanyi bintu ebyo Allah byeyatukweka (okugeza

omuntu lwanafa, enkomerero lwenabaawo) n’ebirala, okuggyako nga Allah azimanyisizza mu ngeri yye gy’amanyi, kale enjogera egamba nti: “Ompita Malayika emanyi ebyekwese” teyandibadde ntuufu, kubanga si buli ekyekwese ku maaso g’abantu nti malayika ekimanyi!
Allah agamba ku nsonga eyo nti:

قُل لَّا يَعْلَمُ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ الْغَيْبَ إِلَّا اللَّهُ ۚ وَمَا يَشْعُرُونَ أَيَّانَ يُبْعَثُونَ (65)

{Bagambe nti teri amanyi bitalabikako mw’abo abali mu ggulu ne ku nsi okuggyako Allah yekka, era tebamanyi nakumanya ddi lwebalizuukira}. ((An-Naml 27:65)).


3.Okukkiriza mu bitabo bya Katonda:


Kino kitegeeza okukkiririza mu bitabo bya Katonda ebina:

EnambaEkitaboNabbi gwekyakkako
1QuranMuhammad (S.A.W)
2InjilIssa (Alaihi salaam)
3ZabulDauda (Alaihi salaam)
4TauratMusa (Alaihi salaam)

Okukkiriza mu bitabo ebyo kulina kuba mu ngeri eno:

1.Qurane tulina okukkiriza nti yava wa Allah nga aya bwetugamba nti:

أَفَلَا يَتَدَبَّرُونَ الْقُرْآنَ ۚ وَلَوْ كَانَ مِنْ عِندِ غَيْرِ اللَّهِ لَوَجَدُوا فِيهِ اخْتِلَافًا كَثِيرًا (82)

{Abaffe tebeekenneenya Quran kuba singa yali eva walala etali wa Katonda baligisanzeemu okukubagana kungi} ((Nisae 4:82)).
Era aya eno etulaga nti Quran temuli nsobi yonna.
Era taba mukkiriza nakamu oyo atakkiririza mu Quran:

وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ وَآمَنُوا بِمَا نُزِّلَ عَلَىٰ مُحَمَّدٍ وَهُوَ الْحَقُّ مِن رَّبِّهِمْ ۙ كَفَّرَ عَنْهُمْ سَيِّئَاتِهِمْ وَأَصْلَحَ بَالَهُمْ (2)

{N’abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne bakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad nga nago ge mazima okuva ewa Katonda waabwe, Allah abasangulako ebibi byabwe n’alongoosa n’embeera zaabwe} ((Muhammad 47: 2)).
era nga tulina okukolera kwebyo byegamba awatali kuddamu nga yerina okuba ssemateeka wa buli musiraamu era nga ye mulamuzi we ow’enkomeredde.Anti oyo atagikolerako aba mukafiiri:

وَمَن لَّمْ يَحْكُم بِمَا أَنزَلَ اللَّهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْكَافِرُونَ (44)

{N’abo abatalamuza ebyo Allah byeyassa abo be bakafiiri} ((Maidah 5: 44)).
Ate okukkiririza mu bitabo ebisigadde Taurat, Zabul, ne Enjil , kulina kukoma ku kukakasa nti byava wa Katonda wabula ng’Omusiraamu takkirizibwa kukolera kw’ebyo ebiri mu bitabo bino kubanga Quran bweyajja yasimuulawo amateeka agamu agabirimu amalala n’egatereeza, amalala negasigala nga bwegaali, kale y’ensonga nti byo tulina kukkiriza nti bya Katonda netukoma awo.Olwo netukolera ku Quran.
Allah atutegeeza ku nsonga ya Quran okutuula ebitabo ebisigadde ku nfeete nti:

وَأَنزَلْنَا إِلَيْكَ الْكِتَابَ بِالْحَقِّ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ مِنَ الْكِتَابِ وَمُهَيْمِنًا عَلَيْهِ ۖ

{Era twassa gyoli ekitabo mu mazima nga kikakasa ebyo ebiri mu maaso gakyo (ebitabo ebyakisookawo) era nga kibituula ku nfeete} ((Maidat 5:48)).

N’ekirala lwaki tetubikolerako nti Ba Nabbi abassibwako ebitabo bino bwebamala okuvaawo, abamu ku bannanfuusi n’abakafiiri babizannyirako ne babikyusakyusa okukkakkana nga bataddemu Katonda byataagamba ne bakweka n’ebimu nga Quran bwetubuulira:

يَا أَهْلَ الْكِتَابِ قَدْ جَاءَكُمْ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمْ كَثِيرًا مِّمَّا كُنتُمْ تُخْفُونَ مِنَ الْكِتَابِ وَيَعْفُو عَن كَثِيرٍ ۚ قَدْ جَاءَكُم مِّنَ اللَّهِ نُورٌ وَكِتَابٌ مُّبِينٌ (15)

{Abange banannyini kitabo((Abayudaaya n’Abakrusitaayo.)) mazima yabajjira Omubaka waffe (Muhammad) ng’abannyonnyola bingi mu byemwali mukwese mu kitabo ate n’aleka bingi (natabiggyayo), mazima kyabajjira okuva ewa Katonda ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu (Quran) nga Allah aluŋŋamya nakyo abo abagoberera ebimusiimya nga ge makubo ag’emirembe (agabawonya ebibonerezo) era n’abaggya mu bizikiza okubatwala mu kitangaala n’obuyinza bwe era n’abaluŋŋamya eri ekkubo eggolokofu} ((Maida 5: 15 – 16)).
Amakulu nti abantu abaaweebwa ebitabo bino babizannyirako bya nsusso kale singa oli abiddako nti ate abikeberemu amateeka aba anoonya kubula,

kyetuva tulina okwekwata Quran n’ebigambo by’Omubaka byokka awatali kumangamanga.


Okukkiriza ababaka:


Ate kwo okukkiririza mu babaka ba Katonda kitegeeza okukkiriza nti Allah yabatuma eri emirembe gyabwe baluŋŋamye abantu baabwe, okwo kwossa okukkiriza nti bonna baatuukiriza ogwabatumwa era bonna Katonda yabasiima, singa omuntu atandika okukonjera abamu kubo aba akaafuwala anti aba awakanya Allah kyeyawaako obujulizi nti bonna batuukirivu.
Quran etulaga nti Allah yatuma ababaka ne Bannabi bangi wabula yatubuulirako batono mu Quran, aya etugamba ku Babaka nti:

وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا رُسُلًا مِّن قَبْلِكَ مِنْهُم مَّن قَصَصْنَا عَلَيْكَ وَمِنْهُم مَّن لَّمْ نَقْصُصْ عَلَيْكَ ۗ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأْتِيَ بِآيَةٍ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ فَإِذَا جَاءَ أَمْرُ اللَّهِ قُضِيَ بِالْحَقِّ وَخَسِرَ هُنَالِكَ الْمُبْطِلُونَ (78)

{Mazima ddala twatuma abatume olubereberye lwo mubo mulimu betwakubuulirako ate mubo mulimu betutaakubuulira ate kyali tekigwanira Mubaka yenna kuleeta kyamagero okuggyako lwa buyinza bwa Allah kale ekiragiro kya Allah bwekiriba kizze bajja kulamulwa na mazima era bavireemu awo abonoonyi} ((Gaafir 40: 78 Laba ne Nisaae 4: 163)).

Mu Babaka ne Banabbi Allah beyatuma abangi bwebatyo Quran etubuulirako 25 mu Aya zino wammanga:


1.Muhammad (Ebyengera gya Allah n’emirembe gye bimubeeko):

مُّحَمَّدٌ رَّسُولُ اللَّهِ ۚ وَالَّذِينَ مَعَهُ أَشِدَّاءُ عَلَى الْكُفَّارِ رُحَمَاءُ بَيْنَهُمْ ۖ تَرَاهُمْ رُكَّعًا سُجَّدًا يَبْتَغُونَ فَضْلًا مِّنَ اللَّهِ وَرِضْوَانًا

{Muhammad Mubaka wa Katonda n’abo abali naye bakambwe nnyo ku bakafiiri kyokka nga basaasizi nnyo wakati, waabwe ogenda n’obalaba nga bakutamye era nga bavunnamye nga banoonyamu obulungi okuva ewa Katonda n’okusiimibwa} ((Fatihi 48:29)).


2.Mu aya eno wammanga yayogera Ababaka ne Banabbi 18:

وَتِلْكَ حُجَّتُنَا آتَيْنَاهَا إِبْرَاهِيمَ عَلَىٰ قَوْمِهِ ۚ نَرْفَعُ دَرَجَاتٍ مَّن نَّشَاءُ ۗ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٌ (83) وَوَهَبْنَا لَهُ إِسْحَاقَ وَيَعْقُوبَ ۚ كُلًّا هَدَيْنَا ۚ وَنُوحًا هَدَيْنَا مِن قَبْلُ ۖ وَمِن ذُرِّيَّتِهِ دَاوُودَ وَسُلَيْمَانَ وَأَيُّوبَ وَيُوسُفَ وَمُوسَىٰ وَهَارُونَ ۚ وَكَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُحْسِنِينَ (84) وَزَكَرِيَّا وَيَحْيَىٰ وَعِيسَىٰ وَإِلْيَاسَ ۖ كُلٌّ مِّنَ الصَّالِحِينَ (85) وَإِسْمَاعِيلَ وَالْيَسَعَ وَيُونُسَ وَلُوطًا ۚ وَكُلًّا فَضَّلْنَا عَلَى الْعَالَمِينَ (86)

{Obwo (obujulizi Ibrahim bweyesembesa nabyo), bujulizi bwaffe twabuwa Ibrahim yesembese nabwo ku bantu be, tusitula amadaala g’oyo gwetuba twagadde, mazima Katonda wo mugezi nnyo era mumanyi ddala, [Ibrahim] netumugabira Ishaqa ne Yakub bonna nno twabaluŋŋamya, ate nga Nuuhu twamuluŋŋamya olubereberye, ne mu lulyo lwe(Ibrahim) mulimu Dauda ne Sulayiman ne Ayubu ne Yusuf ne Musa ne Haroon bwetutyo nno bwetusasula abakozi b’obulungi, ne Zakariya ne Yahaya ne Isa ne ILyas bonna ba mu balongoofu ne Ismail ne lLyasau(Yaasa) ne Yunusu ne Luutu era bonna twabasukkulumya ku bitonde} ((An-Am 6: 83 – 86)).

Ate Quran egamba ku Nabbi Adam nti:

إِنَّ اللَّهَ اصْطَفَى آدَمَ وَنُوحًا وَآلَ إِبْرَاهِيمَ وَآلَ عِمْرَانَ عَلَى الْعَالَمِينَ (33)

{Mazima Allah yalondawo Adam ne Nuuh n’abantu ba Ibrahim n’abantu ba Imran (yabalonda )mu bitonde byonna} ((Al-Imran 3: 33)).


Ate ku Nabbi Huud Quran etugamba nti:

وَإِلَىٰ عَادٍ أَخَاهُمْ هُودًا ۗ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ (65)

{Ate (netutuma) eri abantu ba A-ad muganda waabwe Huudu, n’agamba nti abange bantu bange musinze Allah temulina katonda mulala yenna atali ye abaffe tekyandibadde kirungi kutya Katonda} ((A-af 7: 65.Laba ne Huudu 11: 50)).


Ate ku Nabbi Swalih Quran egamba nti:

وَإِلَىٰ ثَمُودَ أَخَاهُمْ صَالِحًا ۗ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ قَدْ جَاءَتْكُم بَيِّنَةٌ مِّن رَّبِّكُمْ ۖ هَٰذِهِ نَاقَةُ اللَّهِ لَكُمْ آيَةً ۖ فَذَرُوهَا تَأْكُلْ فِي أَرْضِ اللَّهِ ۖ وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوءٍ فَيَأْخُذَكُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (73)

{Ate (netutuma) eri Abantu ba Thamudu muganda waabwe Swalih n’agamba nti abange bantu bange musinze Allah temulinaayo Katonda mulala yenna atali ye, mazima obubonero obweyolefu okuva ewa Katonda wammwe bubajjidde, eno eŋŋamira ya Allah kabonero gyemuli, kale mugireke erye mu nsi ya Allah era temugitusaako akabi ebibonerezo ebiruma biryoke bibatuukeko } ((A-araf 7: 73.Laba ne Huud 11: 61)).


Ate ku Nabbi Swaibu Quran egamba nti:

وَإِلَىٰ مَدْيَنَ أَخَاهُمْ شُعَيْبًا ۚ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ وَلَا تَنقُصُوا الْمِكْيَالَ وَالْمِيزَانَ ۚ إِنِّي أَرَاكُم بِخَيْرٍ وَإِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ مُّحِيطٍ (84) وَيَا قَوْمِ أَوْفُوا الْمِكْيَالَ وَالْمِيزَانَ بِالْقِسْطِ ۖ وَلَا تَبْخَسُوا النَّاسَ أَشْيَاءَهُمْ وَلَا تَعْثَوْا فِي الْأَرْضِ مُفْسِدِينَ (85) بَقِيَّتُ اللَّهِ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ

{Ate (netutuma) e Madiyana muganda waabwe Swaibu n’agamba nti abange bantu bange musinze Allah temulinaayo Katonda mulala yenna atali ye, mazima obubonero obweyolefu okuva ewa Katonda wammwe bubajjidde, kale mutuukirize emirengo n’ebipimo era temukendeeza bintu by’abantu era temwonoona mu nsi

oluvannyuma lw’okulongooka kwayo, ekyo nno kyekisinga obulungi gyemuli singa mubadde bakkiriza} ((A-araf 7: 85.Laba ne Huudu 11: 84)).


Ate Ku Nabbi Idris ne Nabbi Dhali-l-Kifri Quran egamba nti:

وَإِسْمَاعِيلَ وَإِدْرِيسَ وَذَا الْكِفْلِ ۖ كُلٌّ مِّنَ الصَّابِرِينَ (85)

{Ne Ismail ne Idris ne Dhali-l-Kifri bonna abo bali mu banguminkiriza} ((An-biyaa 21 : 85)).


Ku Idris era laba Maryam 19: 56 , Ate ku Dhali-l-Kifri era laba Swad 38:48.


Abo be Banabbi n’ababaka 25 abayogerwa mu Quran, wabula nga basiŋŋana mu bitiibwa, abakulembera ye mukama waffe Nabbi Muhammad (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) wabula waliwo abayitibwa:

أولوا العرم من الرسل.

Ababaka abasinga obuvumu mu bonna nga Quran bwetugamba:

فَاصْبِرْ كَمَا صَبَرَ أُولُو الْعَزْمِ مِنَ الرُّسُلِ وَلَا تَسْتَعْجِل لَّهُمْ ۚ كَأَنَّهُمْ يَوْمَ يَرَوْنَ مَا يُوعَدُونَ لَمْ يَلْبَثُوا إِلَّا سَاعَةً مِّن نَّهَارٍ ۚ بَلَاغٌ ۚ فَهَلْ يُهْلَكُ إِلَّا الْقَوْمُ الْفَاسِقُونَ (35)

{Kale guminkiriza nga bwebaaguminkiriza bannanyini buvumu mu Babaka, era toyanguyiriza (kwagala abatakkiriza batuusibweko akabi) , kuba akaseera lwebaliraba kyebalagaanyisibwa bajja kuba ng’abatabadde mu nsi okujjako essaawa emu yokka, Kuno kubuulirira okumala obumazi , ye abaffe waliwo abalizikirira okuggyako abonoonefu} ((Ahqaf 46:35)).
Ababaka abo aboogerwako bayogerwa mu Aya endala egamba nti:

وَإِذْ أَخَذْنَا مِنَ النَّبِيِّينَ مِيثَاقَهُمْ وَمِنكَ وَمِن نُّوحٍ وَإِبْرَاهِيمَ وَمُوسَىٰ وَعِيسَى ابْنِ مَرْيَمَ ۖ وَأَخَذْنَا مِنْهُم مِّيثَاقًا غَلِيظًا (7)

{Jjukira bwatwafuna obweyamo okuva ku Banabbi n’okuva ku ggwe (Nabbi Muhammad) ne Nuuhu ne Ibrahiim ne Musa ne Isa mutabani wa Maryam era netukola nabo endagaano ennywevu} ((Ahzaab 33: 7)).
Amakulu nti Ba Ulu-l-Azim be: Omubaka Muhammd, Nuuhu, Ibrahim, Musa ne Isa Allah bonna abasseeko emirembe. Ng’ekyabatuumya batyo kuba baakolera ddaawa mu bugubi obutagambika wamu n’ekyo ne bataddirira wabula ne bagenda mu maaso n’okukola omulimu gwa Allah.
Wabula kyetuteekeddwa okumanya nti ababaka abo bonna tulina okubakkiriza nga tetulina gwetulese bbali kuba eno y’enkola ya Baswahaba nga Quran bwetutegeeza:

آمَنَ الرَّسُولُ بِمَا أُنزِلَ إِلَيْهِ مِن رَّبِّهِ وَالْمُؤْمِنُونَ ۚ كُلٌّ آمَنَ بِاللَّهِ وَمَلَائِكَتِهِ وَكُتُبِهِ وَرُسُلِهِ لَا نُفَرِّقُ بَيْنَ أَحَدٍ مِّن رُّسُلِهِ ۚ وَقَالُوا سَمِعْنَا وَأَطَعْنَا ۖ غُفْرَانَكَ رَبَّنَا وَإِلَيْكَ الْمَصِيرُ (285)

{ Omubaka yakkiriza ebyo ebyamussibwako okuva ewa Katonda we, n’abakkiriza bonna bakkiriza Allah ne Bamalayika be n’ebitabo bye n’ababaka be (ne bagamba n’okugamba nti:) tetulina gwetwawulawo mu babaka be (nti ye tetumukkiriza) era ne bagamba nti tuwulidde era ne tugonda Tusonyiwe Katonda waffe gyoli yeri obuddiro} ((Baqara :285)).


Kale Quran eraga nti obukkiriza obutuufu butegeeza kukkiriza babaka bonna:

وَالَّذِينَ آمَنُوا بِاللَّهِ وَرُسُلِهِ وَلَمْ يُفَرِّقُوا بَيْنَ أَحَدٍ مِّنْهُمْ أُولَٰئِكَ سَوْفَ يُؤْتِيهِمْ أُجُورَهُمْ ۗ وَكَانَ اللَّهُ غَفُورًا رَّحِيمًا (152)

{N’abo abakkiriza Allah n’Ababaka be era ne batabaako n’omu yenna mu babaka gwebasosola (nti ye tebamukkiriza) abo nno Allah ajja kubawa empeera yaabwe era Allah musonyiyi omusaasizi ennyo} ((Nisaae 4: 152)).

Kale singa omuntu akkiriza ababaka ne Banabbi bonna nti baava wa Allah naye nawakanya omu ku bo oyo taba mukkiriza nakamu n’akeddagala anti wulira Quran bwegamba:

إِنَّ الَّذِينَ يَكْفُرُونَ بِاللَّهِ وَرُسُلِهِ وَيُرِيدُونَ أَن يُفَرِّقُوا بَيْنَ اللَّهِ وَرُسُلِهِ وَيَقُولُونَ نُؤْمِنُ بِبَعْضٍ وَنَكْفُرُ بِبَعْضٍ وَيُرِيدُونَ أَن يَتَّخِذُوا بَيْنَ ذَٰلِكَ سَبِيلًا (150)

{Mazima abo abakaafuwalira Allah n’ababaka be ne baagala n’okusosola mu babaka be era ne bagamba nti tukkirizako abamu ate netuwakanya abalala, era ne baagala okuteekawo wakati awo (wakati w’obukkiriza n’obukafiiri) ekkubo, abo nno be bakafiiri abanamaddala ate nga twateekerateekera abakafiiri ebibonerezo ebinyomoola} ((Nisaae 4: 150)).
Amakulu nti waliwo embeera bbiri, okukkiriza ababaka bonna nga buno bwebukkiriza oba okuwakanyako abamu nga buno bwebukafiiri awo wakati tewali mbeera ndala yonna.
Mu Bannabi n’Ababaka ba Allah bonna, Nabbi Muhammad (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) yekka gwetuteekwa okukolera ku njigiriza ze n’okugoberera ebikolwabye.

Bbo Ababaka abasigadde bonna tubakkiririzaamu nga bwetulabye waggulu era tetulina kukolera ku byebasomesa okuggyako nga Nabbi Muhammad yakiragira oba yakisomesako. Anti Nabbi atugamba nti:

عن جابر بن عبدالله مرفوعا لو أنَّ موسى كان حيًّا ما وَسِعَه إلا أن يَتَّبِعَني

(Singa mazima Musa (Emirembe gya Allah gimubeeko) abadde mulamu teyandibadde na kya kukola okuggyako okungoberera) ((Ahmada ,ly: Musnad Jaber ben Abdallah , mz: 3, mk: 387. Yakakasibwa Albaani nti ntuufu)).


Hadith eno tekoma ku Nabbi Musa yekka wabula atwaliramu ne Banabbi wamu n’Ababaka ba Allah bonna(Emirembe gibabeeko).
Wabula ebyafaayo byabwe tulina okubitunuulira tuggyemu eky’okuyiga era kyekyabitekesa mu Quran, ng’era bwetusobola okusoma edduwa zebaasomanga nga Quran bwezitunyumiza, ekitateekwa kugobererwa ge mateeka agaali gabakwatako kuba gaali ga mirembe gyabwe.د


K.N:


Okukkiriza Omubaka Muhammad (ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) kiteekwa okutwaliramu okukkiriza nti ye Nabbi era Omubaka ow’enkomeredde kubanga Aya egamba nti:

مَّا كَانَ مُحَمَّدٌ أَبَا أَحَدٍ مِّن رِّجَالِكُمْ وَلَٰكِن رَّسُولَ اللَّهِ وَخَاتَمَ النَّبِيِّينَ ۗ وَكَانَ اللَّهُ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمًا (40)

{Muhammad tabangako kitaawe w’omu ku mmwe, wabula Mubaka wa Allah era ow’enkomerero mu ba Nabbi, ne Allah bulijjo ku buli kintu mumanyi nnyo} ((Ahzaab 33: 40)).


Kale oyo yenna agamba nti waliyo Nabbi oba Omubaka omulala yenna ava ewa Katonda oluvannyuma lw’Omubaka Muhammad aba mulimba era aba mukafiiri awedde emirimu.
N’Omubaka yennyini akakasa nti yewenkomeredde mu Banabbi n’Ababaka:

أنَّ رَسولَ اللَّهِ صَلَّى اللهُ عليه وسلَّمَ خَرَجَ إلى تَبُوكَ، واسْتَخْلَفَ عَلِيًّا، فَقَالَ: أتُخَلِّفُنِي في الصِّبْيَانِ والنِّسَاءِ؟ قَالَ: ألَا تَرْضَى أنْ تَكُونَ مِنِّي بمَنْزِلَةِ هَارُونَ، مِن مُوسَى إلَّا أنَّه ليسَ نَبِيٌّ بَعْدِي،

Mazima Omubaka wa Allah bweyali agenda (mu lutabaalo ) lwe Tabuuk yalekera Ali obusigire (bw’okutambuza eggwanga) Ali n’agamba nti : Onsigira mu bwana n’abakazi?* Omubaka kwekumugamba nti: Abaffe tekikusanyusa ekifo kyo gyendi kibe ng’ekifo kya Haruuna ku Musa* okuggyako nti teri Nabbi oluvannyuma lwange) ((Bukhar, ly: Olutabaalo lwe Tabuuk, mz: 4 , mk: 1602. Ne Muslim, ly: Ebimu ku birungi bya Ali, mz: 7, mk: 119)).
Mu Hadith endala Omubaka atugamba nti:

عن أبي هريرة مرفوعا إنَّ مَثَلِي ومَثَلَ الأنْبِياءِ مِن قَبْلِي، كَمَثَلِ رَجُلٍ بَنَى بَيْتًا فأحْسَنَهُ وأَجْمَلَهُ، إلَّا مَوْضِعَ لَبِنَةٍ مِن زاوِيَةٍ، فَجَعَلَ النَّاسُ يَطُوفُونَ به، ويَعْجَبُونَ له، ويقولونَ هَلّا وُضِعَتْ هذِه اللَّبِنَةُ؟ قالَ: فأنا اللَّبِنَةُ وأنا خاتِمُ النبيِّينَ.

Hadith ng’eva ku Abi Hurairah nti mazima Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) yagamba nti: Mazima ekifaananyi kyange n’ekifaananyi kya Banabbi abansooka, kiringanga omusajja eyazimba ennyumba nagirongoosa era nagiyooyoota bulungi nnyo, okuggyako ekifo

ekigendamu bulooka emu mu nsonda emu (natagissaawo) abantu ne babeera nga bagyetoloola nga bagiwaana nga bwebagamba nti: Kale singa ettofaali erigenda wano baliteekawo (kyandisusse) yagamba (Omubaka) nti: Nze ttofaali eryo era nze ow’enkomerero mu ba Nabbi) ((Bukhar, ly: Ow’enkomerero mu Banabbi, mz:3 , mk:1300. Ne Muslim ,ly: Okuba nti Omubaka ye w’enkomerero mu Banabbi, mz:7, mk:64)).
Aya ne Hadith ezo waggulu ziraga lwatu nti Omubaka yaasembayo teri Nabbi mulala yenna ayajja oba alijja oluvannyuma lwa Nabbi Muhammad (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) era Abaqadiyaani (Abahamadiya) byebagamba bubuze bwennyini olw’ensonga nti aya etulaga bulungi nti Obubaka bwonna n’Obusiraamu bwajjuulirira tekyali kyetaagisa kutumya mubaka oba Nabbi yenna anti Quran egamba nti:

الْيَوْمَ أَكْمَلْتُ لَكُمْ دِينَكُمْ وَأَتْمَمْتُ عَلَيْكُمْ نِعْمَتِي وَرَضِيتُ لَكُمُ الْإِسْلَامَ دِينًا ۚ

{Olwaleero mbajjulirizza eddiini yammwe era ne mbabunduggulirako ekyengera kyange era ne mbasiimira Obusiraamu okuba eddiini (yammwe)} ((Maidat 4:3)).

Okukkiriza olunaku lw’enkomerero:


Kino kitegeeza okukkiriza wamu n’okukakasa nti olunaku luno gyeruli okwo kwossa okukkiriza nti waliyo okuzuukira, okubalibwa, wamu n’okusasulwa empeera ez’emirimu gyetukola mirungi oba mibi.
Era tulina okukimanya nti obukkiriza bw’omuntu tebuyinza kuba butuufu singa aba takkiriza lunaku lwa nkomerero , kino tukisanga mu Aya za Quran ne Hadith za Nabbi eziwerako:

وَإِذْ قَالَ إِبْرَاهِيمُ رَبِّ اجْعَلْ هَٰذَا بَلَدًا آمِنًا وَارْزُقْ أَهْلَهُ مِنَ الثَّمَرَاتِ مَنْ آمَنَ مِنْهُم بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ ۖ قَالَ وَمَن كَفَرَ فَأُمَتِّعُهُ قَلِيلًا ثُمَّ أَضْطَرُّهُ إِلَىٰ عَذَابِ النَّارِ ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (126)

{Era jjukira mu kiseera awo Ibrahiim weyagambira nti Katonda wange fuula ekibuga kino (Makka) eky’emirembe era ogabirire abantu baakyo ebibala nga y’oyo aba akkiriza Allah n’olunaku lw’enkomerero mu bo, yagamba (Allah) ate ye aba akaafuwadde nja kumweyagazaayo ekiseera kitono, oluvannyuma mmuwaleewale mutwale eri ebibonerezo by’omuliro ate obwo buddiro bubi nnyo} ((Baqara 2: 126)).
Amakulu nti oyo aba takkiriza lunaku lwa nkomerero aba mukafiiri awedde emirimu.

1 thought on “Obusiraamu Obukkiriza nokulongoosa – Hadis no.2”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *