Skip to content
Home » Okumalirira – #1 Hadith esooka

Okumalirira – #1 Hadith esooka

Hadith amakumi ana (40) ezakuŋŋanyizibwa Nawawi Hadith #1 – OKUMALIRIRA

okumalirira

عن أمير المؤمنين أبي حفص عمر بن الخطاب رضي الله تعالى عنه قال: سمعت رسول الله صلى الله تعالى عليه وعلى آله وسلم يقول: إنما الأعمال بالنيات، وإنما لكل امرئ ما نوى، فمن كانت هجرته إلى الله ورسوله فهجرته إلى الله ورسوله، ومن كانت هجرته لدنيا يصيبها أو امرأة ينكحها فهجرته إلى ما هاجر إليه ))

Hadith ng’eva ku mukulembeze wa bakkiriza Umaru bin Khattwabu yagamba nti :Nnawulira Omubaka wa Allah ng’agamba nti:» Mazima emirimu gy’abantu gibalibwa kusinziira ku nniya (Kumalirira), era mazima buli muntu afuna empeera mwekyo kyaba amaliridde okuva ku mutima ggwe, kale nno oyo aba asenguse olw’okudda eri Allah n’omubaka we abalibwako nti yasenguka lwa Allah n’Omubaka we, ate oyo aba asenguse ng’amaliridde nti agenderera bya nsi ajja kubifuna oba nga yasenguka lwa mukazi ajja kumuwasa , kale nno empeera z’okusenguka kwe azifuna okusinziira ku kimusengusizza« ((Bukhari ne Muslim. Ebigambo by’eno bya Muslim)).

Okunnyonnyola n’okugaziya Hadith: – okumalirira


Hadith eno etulaga nti mu Busiraamu tekimala kukola bukozi mulimu nga tomaliridde mu mutima gwo nti ogenda kukola mulimu ogwo, ekyo nno kitegeeza nti omuntu gwebaba bakase obukasi okukola omulimu gwonna tagufunamu mpeera ewa Katonda ebbanga lyamala ng’agukoze era nagumaliriza nga tasiimye mu meeme ye.
Nga ne nniya kitegeeza okumalirira mu mutima gwo nti ogenda kukola kintu gundi nga ekyo kimala ne bwoba tuyatudde na lulim lwo .
Kale buli muntu ekyo kyakola akifunamu empeera oba omusango okusinziira ku kiri mu mwoyo gwe tulabire wamu Hadith eno wammanga:

عن أبي هريرةَ ف فقالَ: سمعتُ رسولَ اللَّهِ صلَّى اللَّهُ عليْهِ وسلَّمَ يقولُ: أوَّلُ النَّاسِ يقضى فيهِ يومَ القيامةِ ثلاثةٌ: رجلٌ استُشْهِدَ فأتيَ بِهِ فعرَّفَهُ اللَّهُ نعمةً فعرفَها فقالَ: ما علِمتَ فيها؟ قالَ: قاتلتُ في سبيلِكَ حتَّى استُشْهدتُ. فقالَ: كذبتَ إنَّما أردتَ أن يقالَ فلانٌ جريءٌ وقد قيلَ، فأمرَ بِهِ فسحبَ على وجْهِهِ حتَّى ألقيَ في النَّارِ. ورجلٌ تعلَّمَ العلمَ وعلَّمَهُ وقرأَ القرآنَ فأتيَ بِهِ فعرَّفَهُ نعمَهُ فعرفَها قالَ: فما عمِلتَ فيها؟ قالَ: تعلَّمتُ العلمَ وعلَّمتُهُ وقرأتُ فيكَ القرآنَ. قالَ: كذبتَ ولَكنَّكَ تعلَّمتَ العلمَ ليقالَ عالمٌ. وقرأتَ القرآنَ ليقالَ هوَ قارئٌ فقد قيلَ. فأمرَ بِهِ فسُحِبَ على وجْهِهِ إلى النَّار. ورجلٌ آتاهُ اللَّهُ من أنواعِ المالِ فأتيَ بِهِ فعرَّفَهُ نعمَهُ فعرفها فقال: ما عمِلتَ فيها؟ قال: ما ترَكتُ من شيءٍ يجبُ أن ينفقَ فيهِ إلَّا أنفقتُ فيهِ لَكَ. فقالَ: كذبتَ إنَّما أردتَ أن يقالَ فلانٌ جوَّادٌ فقد قيلَ فأمرَ بِهِ فسُحِبَ على وجْهِهِ حتَّى ألقي في النَّارِ.

Hadith ng’eva ku Abi Hurairah yagamba nti (Mazima abantu abalisooka okulamulwa ku lunaku lw’enkomerero ba mirundi esatu: Omusajja eyafa nga mujulizi, ajja kuleetebwa bamubuulire ebyengera Katonda byeyamuwa naye abimanye Allah ajja kumubuuza nti: Biki byewakozesa ebyengera ebyo, ajja kugamba nti: Nalwana ku lulwo okutuusa lwenattibwa. Allah ajja kugamba nti: Olimbye, wabula walwana bagambe (abalabi) nti totya biduduma, era ekyo kyayogerwa. Oluvannyuma Allah alagire awalulwe nga yevuunise okutuusa lwalisukibwa mu muliro. N’omusajja eyasoma amasomo g’eddiini ate nasomesa era nasoma ne Quran ajja kuleetebwa bamubuulire ebyengera bye era abimanye, Allah amubuuze nti ebyengera ebyo wabikolamu ki? Ajja kugamba (omusajja) nti nasoma amasomo g’eddiini ku lulwo era nengasomesa era nensoma Quran ku lulwo. Ajja kugamba (Allah) nti olimbye, wabula wasoma bagambe nti mumanyi era wasoma Quran bagambe nti musomi nnyo ebyo byonna byayogerwa, awo Allah alagire awalulwe nga yevuunise okutuusa lwanalisukibwa mu muliro. N’omusajja Allah gweyagaziyiza namuwa eby’obugagga eby’enjawulo ajja kuleetebwa bamubuulire ebyengera byeyalina era abimanye, Allah ajja kumugamba nti : Wabikolamu ki (ebyengera by’emmaali)? ajja kugamba nti: teri kintu kyennamanya nti oyagala okuwaayo mu kyo okuggyako nga nawaayo. Allah ajja kumugamba nti : Olimbye wabula ekyo wakikola bagambe nti oli mugabi era baakyogera, awo Allah alagire awalulwe nga yevuunise okutuusa lwalikasukibwa mu muliro) ((Ahmad, ly: Musnad Abi Hurairah, mz: 2, mk: 321.))

Okiraba nti bano bonna baakola emirimu Allah gyasinga okwagala naye olw’okuba baagikola lwa kabandabe ate bajja kufunamu kyennyume kya mpeera gyebaali basuubira.


Mu Hadith eno nayo tulaba obukulu bya nniya:

عن أبي أمامة الباهلي جاءَ قال: رجلٌ إلى النَّبيِّ صلَّى اللَّهُ علَيهِ وسلَّمَ، فقالَ: أرأيتَ رجلًا غزا يلتمسُ الأجرَ والذِّكرَ، ما لَهُ ؟ فقالَ رسولُ اللَّهِ صلَّى اللَّهُ علَيهِ وسلَّمَ: لا شيءَ لَهُ فأعادَها ثلاثَ مرَّاتٍ، يقولُ لَهُ رسولُ اللَّهِ: لا شيءَ لَهُ ثمَّ قالَ : إنَّ اللَّهَ لا يقبلُ منَ العملِ إلَّا ما كانَ لَهُ خالصًا ، وابتغيَ بِهِ وجهُهُ

Hadith ng’eva ku Abi Amaamah Al-Baahli yagamba nti omusajja yajja eri Nabbi (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) nagamba nti olaba otya omusajja eyatabaala (mu kkubo lya Allah) ng’anoonya empeera n’okwogerwako kiki kyafuna? Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe bimubeeko) nagamba nti (Talina kyafuna). Omusajja naddamu (ekibuuzo) emirundi esatu ng’Omubaka (Ebyengera bya Allah n’emirembe bimubeeko) amugamba nti: (Talina kyafuna) oluvannyuma [Omubaka] nagamba nti: Mazima Allah takkiriza mirimu okuggyako egiba gyawuliddwa ku lulwe (Allah) era nga gikolwa ku lulwe) ((Nasaae, ly: “omuntu atabaala olw’empeera n’okwogerwako”, mz: 6 ,mk: 25))

Mu Hadith endala Omubaka agamba nti: – okumalirira

عن أبي بن كعب مرفوعا بشِّرْ هذه الأمَّةَ بالنَّصرِ والسَّناءِ والتَّمكينِ، فمَن عمِل منهم عمَلَ الآخرةِ للدُّنيا لم يكُنْ له في الآخرةِ نصيبٌ

Hadith ng’eva ku Ubayyi ben Ka-ab yagamba nti: Omubaka wa Allah (Ebyengere bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) yagamba nti: (Sanyusa ekibiina kino (eky’obusiiramu) n’ekitiibwa n’okunywezebwa mu nsi n’obuwanguzi n’amanyi mu ddiini, n’oyo yenna akola mu mmwe omulimu gw’enkomerero ng’agendereramu bya nsi, ku nkomerero talinaayo mugabo} ((Ahmad, ly: Hadith ya Abi-l-Aliyah arrayah”, mz: 5, mk: 134. Albaan yagamba nti ntuufu.))

Okumanya niya kintu kikulu nnyo, omuntu bwakola omulimu gwonna ne niya ennungi Allah amuyamba neguggwa:

عن ميمونة بنت الحارث أم المؤمنين مرفوعا مَنِ استدانَ دَيْنًا، يعلَمُ اللهُ عزَّ وجلَّ منه أنَّه يُريدُ أداءَه، أدَّاه اللهُ عنه.

Hadith ng’eva ku Mayimuunah bent Harith yagamba nti: (Nawulira Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) ng’agamba nti: Omuntu ayewola ebbanja Allah ow’ekitiibwa ng’amanyi nti ayagala kulisasula Allah alimusasulira*) ((Ahamd,ly: Hadith ya Mayimuunah maama w’abakkiriza” ,mz: 58 ,mk:217))

Olw’okuba Allah alaba niya y’omuntu ono nti nnungi amuyamba okusasula ebbanja eryo.
Kale buli mulimu gwetukola tulina kukola ne niya ennungi egenderera okufunamu ewa Allah:

وَمَا أُمِرُوا إِلَّا لِيَعْبُدُوا اللَّهَ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ حُنَفَاءَ وَيُقِيمُوا الصَّلَاةَ وَيُؤْتُوا الزَّكَاةَ ۚ وَذَٰلِكَ دِينُ الْقَيِّمَةِ (5)

{Era tebaalagirwa okuggyako okusinza Allah nga bamutukulizza eddiini nga beemalidde ku eddiini eyo awatali kumangamanga era (baalagirwa) okuyimirizaawo eswala n’okuwaayo zakah, eyo nno ye ddiini entereevu} ((Bayyinah 98: 5.))

N’okuwaayo nakwo kulina kuba ku lwa Allah:

وَمَا تُنفِقُونَ إِلَّا ابْتِغَاءَ وَجْهِ اللَّهِ

{Ate temuwaayo mu kkubo lya Katonda okuggyako nga munoonyamu kudda ku ludda lwa Allah (kusiimibwa Katonda)} ((Bakara 2:272.))
Amakulu nti okuwaayo mu kkubo lya Katonda kwemunafunamu empeera kweko kwemuwaayo nga mumaliridde mu mitima nti muwaayo ku lwa Katonda.


Quran etulaga nti Baswahaba baakolanga ne niya y’okufunamu ewa Allah.

مُّحَمَّدٌ رَّسُولُ اللَّهِ ۚ وَالَّذِينَ مَعَهُ أَشِدَّاءُ عَلَى الْكُفَّارِ رُحَمَاءُ بَيْنَهُمْ ۖ تَرَاهُمْ رُكَّعًا سُجَّدًا يَبْتَغُونَ فَضْلًا مِّنَ اللَّهِ وَرِضْوَانً

{Muhammad Mubaka wa Katonda n’abo abali naye bakambwe nnyo ku bakafiiri, kyokka nga basaasiragana nnyo wakati waabwe, ogenda n’obalaba nga bakutama era nga bavunnama nga banoonyamu obulungi okuva ewa Katonda n’okusiima kwe} ((Fatih 48:29)).

Naffe buli kyetukola kirina kuba ku lwa Allah bwetuba twagala okufunamu empeera:

عن أبي هريرة مرفوعا مَن تعلَّم عِلمًا ممَّا يُبتَغى به وجهُ اللهِ لا يتعلَّمُه إلَّا لِيُصيبَ به عرَضًا مِن الدُّنيا لَمْ يجِدْ عَرْفَ الجنَّةِ يومَ القيامةِ

Hadithi ng’eva ku Abi Hurairah yagamba nti : Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) yagamba nti: (Omuntu ayeyigiriza okumanya kwonnya ng’okumanya okwo kulina

kunoonyezebwamu kusiima kwa Allah, ate ye nateyigiriza (kumanya okwo) okuggyako lwa kitiibwa kya nsi talikonga (taliwunyiriza) ku lusu lwa jjana ku lunaku lw’enkomerero) ((Abu Dauda, ly: okunoonya okumanya n’ekigendererwa ekitali kusiimwa Katonda” ,mz:3 , mk:361. Ne Ibn Maajah ,ly:Okuganyulwa mu kumanya n’okukukozesa”, mz:1 ,mk:92. Albaan yagikakasa nti ntuufu)).


Olw’obukulu bw’okumalirira ne niya omuntu bwakola ekisobyo nga yerabidde oba nga tagenderedde taba na musango ewa Allah:

(وَلَيْسَ عَلَيْكُمْ جُنَاحٌ فِيمَا أَخْطَأْتُم بِهِ وَلَٰكِن مَّا تَعَمَّدَتْ قُلُوبُكُمْ ۚ وَكَانَ اللَّهُ غَفُورًا رَّحِيمًا)

{Era temulina kisobyo (kibavunaanwa) mw’ebyo byemuba mukoze mu butanwa, wabula (muvunaanwa) ekyo kyegiba gigenderedde emitima gyammwe, ate bulijjo Allah musonyiyi omusaasizi} ((Ahazaab 33: 5.))


Ne Hadith eno kyegamba:

عن عائشة أم المؤمنين مرفوعا يَغْزُو جَيْشٌ الكَعْبَةَ، فإذا كانُوا ببَيْداءَ مِنَ الأرْضِ، يُخْسَفُ بأَوَّلِهِمْ وآخِرِهِمْ قالَتْ: قُلتُ: يا رَسولَ اللَّهِ، كيفَ يُخْسَفُ بأَوَّلِهِمْ وآخِرِهِمْ، وفيهم أسْواقُهُمْ، ومَن ليسَ منهمْ؟ قالَ: يُخْسَفُ بأَوَّلِهِمْ وآخِرِهِمْ، ثُمَّ يُبْعَثُونَ علَى نِيَّاتِهِمْ.

Hadith ng’eva ku Aisha (Allah amusiime) yagamba nti : (Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) yagamba nti: ejje lijja kutabaala Kaabah [abalumb aganyi] bwebaliba bali mu ddungu okuva kw’asooka okutuuka kw’asembayo bajja kumizibwa ensi, agamba (Aisha) nti nabuuza nti: Ssebo Omubaka wa Allah butya abakulembedde n’abasembyeyo bonna bwebalimiribwa ettaka nga mulimu abaliba mu butale n’abalala abatabiriiko? (Omubaka) yagamba nti: Okuva kw’asooka okutuuka kw’asembayo bajja kumiribwa ettaka oluvannyuma bazuukizibwe okusinziira ku niya(bigendererwa) byabwe) ((Bukhar, ly: Ebyayogerwa ku butale”, mz: 2, mk: 746. Ne Muslim , ly: Okumiribwa ettaka okw’ejjye eririba lirumba Kaabah”, mz: 8, mk: 167)).

Wadde bassalumanya ne bannalumanya bonna bajja kufa naye buli omu ajja kuzuukira okusinziira ku nniya ye, ayali alwana naye nga baakaka mukake taliba na musango ate aliba talwana nga yali ayagala , naye ajja kuvunaanibwa. ((Soma Hadith eya 39 kubikwata ku kukaka n’okwerabira.))

Ate ebikwata ku kusenguka omubaka atugamba mu hadith endala nti:

عن معاوية بن أبي سفيان مرفوعا لا تنقطعُ الهجرةُ حتى تنقطعَ التوبةُ و لا تنقطعُ التوبةُ حتى تطلعَ الشمسُ من مغربِها

Hadith ng’eva ku Mu-awiyah yagamba nti: (Nnawulira Omubaka wa Allah (Ebyengera bya Allah n’emirembe gye bimubeeko) ng’agamba nti: Okusenguka tekulikutukawo (tekulikoma) okutuusa okwenenya nga kukomye ate okwenenya tekulikoma okutuusa enjuba lweriva gyegwa) ((Abu Dauda, ly: Okusenguka abaffe kukoma?” ,mz: 7 ,mk: 340. Albaan yagikakasa nti ntuufu)).

Amakulu nti okusenguka tekulikoma okutuusa ensi eno lweriggwawo.
Wabula okusenguka okusinga kwonna era okwogerwako wano kwekusenguka ebyo Allah byeyagaana oba okuva mu kifo ekyo ekikolebwamu ebikyamu oba mu kifo awatali muzikiti n’ogenda weguli Hadith emu etugamba nti:

عن عبدالله بن عمرو مرفوعا المُسْلِمُ مَن سَلِمَ المُسْلِمُونَ مِن لِسَانِهِ ويَدِهِ، والمُهَاجِرُ مَن هَجَرَ ما نَهَى اللَّهُ عنْه

Hadith ng’eva ku Abdallah be Amr (Allah abasiime bombiriri) ng’agiggya ku Nabbi (Ebyengera bya Allah n’emirembe bimubeeko) yagamba nti: (Omusiraamu

y’oyo gwebawona Abasiraamu obubi bw’olulimi lwe n’obubi bw’omukono gwe, n’asenguka omutuufu y’oyo asenguka ebyo Allah byeyagaana) ((Bukhar,ly: “Omusiraamu y’oyo Abasiraamu gwebawona obubi bw’olulimi lwe n’omukono gwe”, mz: 1 ,mk: 23)).


Amakulu nti ekikulu kya byonna bulijjo muntu kunoonya wali Busiraamu butuufu, oba awakolebwa emirimu Allah gyayagala naddala ng’omuntu oyo tasobola kuziyiza kibi ekyo ekikolebwa, naye bwaba ng’asobola okukiziyiza ekibi ekyo nakiggya mu kitundu, tekimugwanira kusenguka aleke ng’obwonoonefu bweriisa nkuuli, alina okukoze amakubo Omubaka (Ebyengera bya Allah n’emirembe bimubeeko) geyatugamba mu Hadith (Soma Hadith eya 34 ey’ogera ku nsonga eno).


Kuran etulaga obukulu bw’okusengukira eri ebirungi:

((وَمَن يُهَاجِرْ فِي سَبِيلِ اللَّهِ يَجِدْ فِي الْأَرْضِ مُرَاغَمًا كَثِيرًا وَسَعَةً ۚ وَمَن يَخْرُجْ مِن بَيْتِهِ مُهَاجِرًا إِلَى اللَّهِ وَرَسُولِهِ ثُمَّ يُدْرِكْهُ الْمَوْتُ فَقَدْ وَقَعَ أَجْرُهُ عَلَى اللَّهِ ۗ وَكَانَ اللَّهُ غَفُورًا رَّحِيمًا))

N’oyo yenna esengulira mu kkubo lya Allah afuna mu nsi obuddukiro bungi n’obwangu,era n’oyo afuluma mu nnyumba ye ng’esenguse adda wa Allah n’Omubaka we okufa nekumusanga mu mbeera eyo, empeera ye eba emaze okukakata ewa Allah, ate ne Allah bulijjo musonyiyi omusaasizi ((Nisa 4:100)).

Hadith nga bweziri wanno zavvuunulwa Shaykh Kakande

Genda ku lukalala lwa hadith Amakumi ana (40)

for websites

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *