Skip to content
Home » 10. Yunus

10. Yunus

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(10) ESSUULA ‘YUNUS’

Yakkira Makkah, erina Aya 109.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Alif. Lam Ra. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo ekijjudde ebyamagezi

2. Abaffe waliwo engeri abantu gye bakyewuunya, olw’okuba nti twabikkulira obubaka eri omusajja omu asangibwa mu kibinja kyabwe, obumulagira nti: ‘Labula abantu, era tuusa amawulire ag’essanyu eri abo abakkiriza agabakakasa nga bwebalina okusiisira mu kifo kyokumwanjo ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Abajeemu baagamba nti: ‘Mazima oyo ye mulogo ow’olwatu’.

3. Mazima Mukama Katonda Omulezi wammwe ye Katonda asinzibwa Allah oyo eyatonda eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, bwe yamala n’abugaana ku Nnamulondo. Atetenkanya ensonga zonna. Teriiyo awolereza atamala kufuna kukkiriza kwe. Oyo ye Katonda Allah asinzibwa Mukama Omulezi wammwe. Mwenna mu musinze. Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?

4. Gyaali gyemuzzibwa mwenna. Endagaano ya Katonda ya mazima. Ddala yewuyo atandika obutonde oluvannyuma obuzzaawo alyoke asasuzise abo abakkiriza era abaakola ebirungi n’obwenkanya. Ate bali abaajeema baweebwa eky’okunywa ky’olweje n’ekibonerezo ekiruma olw’ebyo bye baali bawakanya.

5. Y’oyo eyasobozesa enjuba okwaka n’omwezi okuba ekitangala era yagugerageranyiza enfo enjawufu, mube nga mumanyirako omuwendo gw’emyaka n’okubalirira okulala. Tewali ebyo Katonda kyabimutondesa okujjako ensonga entufu. Ateekulula emitendera gy’obubonero bwonna eri abantu abamanyi.

6. Mazima mu kukyukakyuka kw’ekiro n’emisana n’ebyo Katonda bye yatonda muggulu n’ensi, birimu ebyamagero eri abantu abatya Katonda.

7. Mazima bali abatasuubira kutusisinkana, era abaasiima obuwangazi bw’ensi era abaafuna obutebenkevu, era nga bebo ababa nga amateeka gaffe bagalagajjalira.

8. Bebo ab’okuwebwa obubudamu bwabwe nga muliro olw’ebyo bye baali bateganira.

9. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi aba abaluŋŋamya Mukama Katonda Omulezi wabwe olw’obukkiriza bwabwe. Gikulukutira wansi wabwe emigga nga bali mu Jjana eyajjula ebyengera.

10. Okusaba kwabwe mu Jjana eyo kuli nti: ‘Otukuzibwe Ai Mukama Katonda asinzibwa!’ era okulamusigana kwabwe mu Jjana eyo kuli nti: ‘Mirembe’. Ate okufundikira okusaba kwabwe kuli nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda asinzibwa Allah Mukama Omulezi w’ebitonde byonna!

11. Naye ssinga Katonda ayanguyiza abantu okutuuka ku kibi mungeri efanana nga bbo gye beyanguyiriza (okwagala) okufuna ekirungi zaalibadde zabasalirwawo dda entuko zabwe. Netuba nga tuleka bali abatasuubira kutusisinkana, mu bubuze bwabwe nga bawunaawuna.

12. Kale bwe kiba kituuse ku muntu ekibi atukowoola nga agalamidde oba nga atudde oba nga ayimiridde. Kyokka bwe tuba tuggyewo ekibi ekyamutuukako, ayita kuli, naaba nga atatukowoolangako ku mudduukirira ku kibi ekyamutuukako. Eyo yengeri gyebyawundirwa bakyewaggula (ebibi) ebyo bye baali bakola.

13. Era mazima twazikiriza emirembe egyabasooka okubaawo bwe gyali gyewaggudde. Era baagituukamu ababaka babwe n’ensonga entufu naye era tebaasobola kukkiriza. Eyo yengeri gye tusasula abantu aboonoonyi.

14. Oluvannyuma twabafuula abasigire munsi nga bali bawaddewo, tube nga twekkaanya engeri gyemukolamu.

15. Ate bwe gaba gasomeddwa gyebali amateeka gaffe amannyonnyofu nga baddamu, bali abatasuubira kutusisinkana nti: ‘Leetayo Qur’an etali eyo oba ssi ekyo eyo gikyuseemu!’. Gwe baddemu nti: ‘Ebisanyizo tebiba gyendi okuba nga ngikyusa, nga obuyinza buvudde gyendi, teriiyo kirala kyengoberera okujjako ebyo ebimbikkulirwa. Nze ntya nnyo bwemba ngyemedde Mukama Katonda Omulezi wange, ekibonerezo ky’olunaku oluyitirivu.

16. Ggwe bategeeze nti: Ssinga Katonda yayagala ssaaligibasomedde, era ssaaligibamanyisizza. Mazima mbawangaliddemu ebbanga liwanvu nga nayo tennajja. Abaffe mulemeddwa okutegeera?

17. Kale aliwa kasobeza asinga oyo ajwetese ku Katonda obulimba, oba alimbisizza amateeka ge. Mazima tebayinza kuganyulwa abonoonyi.

18. Kale basinza nga baleseewo Katonda, ebyo ebitasobola kubatuusaako kibi era ebitabagasa, era bagamba nti: ‘Ebyo by’ebiwolereza byaffe ewa Katonda!’. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe musazeewo okutegeeza Katonda ebyo byatamanyi webiri mu ggulu wadde munsi?’ ‘Atukuzibwe Ai Mukama era yagulumizibwa nga ayawulibwa kwebyo byebayimbagatanya.

19. Ate teriiyo ngeri ndala abantu gyebaalimu, wabula baali mulembe gumu oluvannyuma nebasassika. Naye singa ekigambo (ky’okubasalirawo oluvannyuma) tekyakulembezebwa nga kiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, baalibadde baasalirwawo dda wakati wabwe kunsonga ezaabaviirako okusassika.

20. Era babuuza nti: ‘Lwaki teriiyo kyamagero ekissiddwa gyali nga kiva ewa Mukama Katonda Omulezi we?’. Kale baddemu nti: ‘Mazima ebyama byonna bya Katonda, era mulindirire, mazima nze nneegasse namwe okuba mu kibinja ky’abalindirira.

21. Ate bwetuba tulozezza abantu ku busaasizi oluvannyuma lw’akabi akaabatuukako, ekiseera mpa wekyaga nga baafunye dda enkwe ze batabiikiriza mu byamagero byaffe. Ggwe bategeeze nti: ‘Katonda wankizo mu kwanguwa okusasula enkwe. Mazima ababaka baffe bawandiika bye mukola munkwe.

22. Y’oyo abasobozesa okutambula ku lukalu n’amazzi okutuusa awo we mubeerera mu lyato nga libasaabazizza nga lyeyambisa empewo ennungi, era ne bakisanyukira, olwo n’erirumba (elyato) empewo eyakibuyaga negabafumbikiriza amayengo nga gafubutuka mu buli kifo era nebasuubira nti mazima bebulunguddwa okuzikirira ekiseera kyonna. Olwo bakoowoola Katonda asinzibwa Allah nga gwe bamaliddeko eddiini (enzikiriza) yonna, nga bawanjaga nti: ‘Bwonooba Ai Mukama otuwonyezza kyetulimu kino mazima tujja kubeerera ddala mwabo abasiima.

23. Kyokka bwe yabawonya waayita ekiseera mpa wekyaga nga bebo abeewaggula munsi awatali nsonga ntufu. Abange mmwe abantu, mazima okwewaggula kwammwe, ekibi kyakwo kiddira mmwe. Kuba kweyagala ko kwa buwangazi bwa nsi. Oluvannyuma gyetuli gyemuzzibwa, olwo netubategeeza bye mwali mukola.

24. Mazima engeri yokka ekifananyi ky’obuwangazi bw’ensi gye kirimu, bufanana amazzi ge twatonnyesa okuva mu ggulu, negasobozesa ebimera by’ensi okumera nga byetabuddetabudde n’ebyo bye balyako abantu n’ebisolo, okutuusa ensi lw’etuusa okubugaana amatiribona gayo n’enekaaneka, era nebasuubira abantu bayo nti mazima balina obusobozi okweggwera ebirungi byayo, kyokka (mukaseera ako) nnamuzisa waffe n’agituukako amatumbi budde oba emisana ttuku olwo netugifuula ekisassalala, n’ebanga etaabaddeko ky’egasa eggulo limu. Eyo y’engeri gyetuteekulula obubonero okumanyibwa abantu abafumintiriza.

25. Kale Katonda akoowoola bantu bakwate eridda mu maka kiwamirembe, era aluŋŋamya gw’ayagala okumukwasa ekkubo eggolokofu.

26. Abo bokka abaalongosa be basasulwa obulungi obwongezebwako ennyongeza, era tebifuumuukirwako ebyenyi byabwe nfufu wadde okutuusibwako ekiweebuuza. Abo be bawebwa ejjana, nga babeera omwo lubeerera.

27. Ate bali abaawanuuza ebibi, empeera y’ekibi, kyekyo ekikifaanana era kwakubatuukako okuweebuuka. Tebalinaayo nga ojjeeko Katonda, mutangirizi wabwe yenna. Biringa ebyenyi byabwe ebibuutikiddwako ebipempe by’enzikiza y’amatumbi budde ekutte kazigizigi. Abo be batuuze bomumuliro, ba kubeera omwo lubeerera.

28. Olunaku lumu tulina okubazuukiza bonna, oluvannyuma tulagire abo abaali abasamize nti: ‘Temuseguka mu bifo byammwe, mwe ne balubaale bammwe!’. Olwo ne tukuturirawo ddala enkolagana eri wakati wabwe. Era balubaale babwe ne bagamba, nga beegaana nti: ‘Mazima mwali ssi ffe bemusinza!’

29. Era kimala bumazi okuba nga Katonda ye Mujulizi ali wakati waffe nammwe, engeri mazima ffe gye twali nga okusinza kwammwe tetukufaako.

30. Awo nno (mukiseera n’ekifo kyennyini ekyo) buli mwoyo gwa kukemebwa n’ekibi ky’ebyo bye gwakulembeza, era bazzibwe eri Katonda Omweyimirize wabwe owaamazima. Era bibabuleko bye baali bajweteka.

31. Ggwe babuuze nti: ‘Ani abagabirira (ebintu) ebiva muggulu n’ensi. Nandiki ani afuga okuwulira n’okulaba, era ani aviisa ekiramu mu kifu era aviisa ekifu mu kiramu era ani atetenkanya ensonga zonna?’ Bajja kuddamu nti: ‘Ye Katonda’. Olwo obabuuze nti: ‘Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?’.

32. Kale yewuyo yennyini mmwe, Katonda asinzibwa Allah Mukama Omulezi wammwe Owamazima. Kale kiriwa ekisigalawo ekirala nga ojjeeko amazima okujjako obubuze? Kale wa eyo gye mugalanjukira nga muwugulwa?

33. Olwekyo, mazima kyasimba amakanda ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi wammwe, ekikakasa omusango kwabo abaayonoona okuba nti bebo abatakkiriza.

34. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe eriyo oyo yenna mu balubaale bammwe, atondawo ebitonde mu ntandikwa era nga bwamala abizzaawo?’. Baddemu nti: Katonda asinzibwa Allah y’atonda ebitonde mu ntandikwa era bwamala abizzaawo!’. Kale wa eyo gye muwugulirwa?

35. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe eriyo oyo yenna mu balubaale bammwe aluŋŋamya okudda eri amazima?’ Baddemu nti, ‘Katonda asinzibwa Allah y’aluŋŋamya okudda eri amazima’. ‘Abaffe oyo aluŋŋamya okudda eri amazima yewenkizo mu bisanyizo okuba nti agobererwa, nandiki biri ebyalemwa okweluŋŋamya okujjako nga biruŋŋamiziddwa?’. Kiki kyemuliko? eyo ennamula ya nnaba ki gye mulamula?’.

36. Ate teriiyo kirala abasinga obungi abali mu kibinja kyabwe kyebagoberera okujjako okufumintiriza. Mazima okufumintiriza tekwesigamirwako kutuuka kusangulawo mazima mukintu kyonna. Mazima Katonda ye Mumanyi w’ebyo bye bakola.

37. Kale tekisobokangako Qur’an (Ssemusomwa) eno kuba nti egunjibwawo nga teva wa Katonda, naye enyweza (ebitabo) biri byesanzewo era ennyonnyola ebisangibwa mu buli kitabo (ekyava ewa Katonda) terinaamu kubuusibwabuusibwa, eva wa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

38. Abaffe, bakyagamba nti yagyegunjizaawo? Baddemu nga obasoomooza nti: ‘Muleeteeyo essuula egifanana, era mukoowoole be mwagala nga Katonda taliiko (babayambeko) oba muli ba mazima’.

39. Wew’awo baalimbisa ekyo kye batebunguluza ku kimanya ate nga tennabatuukako ennyinyonnyola yakyo. Eyo yengeri nebali abaabasookawo gye baalimbisa. Kale werolere ngeri ya nnamba ki gye yalimu enkomerero ya balyazamanyi!.

40. Ate ekibinja kyabwe kisangibwamu oyo akikkiriza, era ekibinja kyabwe kisangibwamu oyo atakikkiriza. Kale Katonda yasinga okumanya aboonoonyi.

41. Nate bwe baba bakulimbisizza, nga ggwe obaddamu nti: ‘Nze nnina emirimu egyange nammwe mulina emirimu eggyammwe. Mwe teriiyo we muvunanyizibwa kwebyo byenkola nange ssirina wenvunanyizibwa kwebyo bye mukola’.

42. Ate ekibinja kyabwe kisangibwamu abo abadda awo okukuwuliriza. Abaffe osobola otya okuwuliza ba kiggala newankubadde nga tebategeera?

43. Ate ekibinja kyabwe kisangibwamu oyo akwegeka amaaso. Abaffe osobola otya okuluŋŋamya abazibu b’amaaso newankubadde nga tebalaba. 44. Mazima Katonda talyazamanya bantu kintu kyonna, wabula abantu be balyazamanyi.

45. Olunaku lumu alina okubazuukiza, nebeelaba nga abataluddeeyo mu bulamu bwemagombe okujjako akaseera mpa wekaaga mu budde bw’emisana nga bonna bakyamanyidde ddala ebiri wakati wabwe. Mazima bafaafaaganiddwa abo abaalimbisa eky’okusisinkana Katonda era tebaali baluŋŋamu.

46. Kale nebwetuba tusazeewo okukwoleka ebimu ku biri bye tubalagaanyisa, oba okusalawo okuvumbagira entunnunsi zo, (nga tetunnabikwoleka) mu buli ngeri yonna gyetuli gyebazzibwa, oluvannyuma Katonda ye Mujulizi kwebyo bye bakola.

47. Ate buli mulembe gulina omubaka. Kale bwaba atuuse omubaka wabwe nga obulamuzi busalibwawo wakati wabwe mubwenkanya nga bonna tewali alyazamanyizibwa.

48. Babuuza nti: ‘Etuuka ddi endagaano y’ebyo bwemuba muli ba mazima?’.

49. Ggwe baddemu nti: ‘Teriiyo buyinza bwennina kusobola kuwonya mwoyo gwange kibi oba okugutuusaako eky’omugaso okujjako ekyo kyaba ayagadde Katonda. Buli mulembe gulina ekiseera ekyagugererwa okukomako, ekiseera kyagyo bwekituuka tegikeereyesebwayo kiseera kyonna era tegirindirizibwa’.

50. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe mulaba mutya nga kibatuuseeko ekibonerezo kye amatumbi budde oba emisana ttuku, kiki kyebasabisa akapapirizo okubatuukako aboonoonyi?’

51. Abaffe, oluvannyuma bwekiba kibatuukiddeko ddala olwo lwe mukikkiriza? Abaffe ekiseera kituuse kati, sso nga mazima mubadde kyo kye musabisa akapapirizo?

52. Oluvannyuma baliduumirwa abo abaajeema nti: ‘Mukombesebwe ku kibonerezo nantaggwaawo!’ Abaffe eriyo ekirala kye musasulwa okujjako ebyo bye mwali mutawaanira?.

53. Era bakubuuza nti: ‘Naye kituufu kiribeerawo ddala? Ggwe baddamu nti: ‘Yee! Aga Mukama Katonda Omulezi wange, mazima ekyo ky’ekituufu. Ate teriiyo kyemusobola kulemesa’.

54. Ate mazima singa buli mwoyo ogwakola obulyazamanyi gulina obwannannyini kwebyo ebiri munsi, gwalibiwaddeyo okubyenunuzisa. Kyokka baakusika okwejjusa (mu mmeeme zabwe) bwe baamala okulaba ebibonerezo. Era obulamuzi nebusalibwawo wakati wabwe mu bwenkanya nga bonna tewali balyazamanyizibwa.

55. Wew’awo, awatali kuwannaanya, bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ensi. Wew’awo awatali kuwannaanya ekisuubizo kya Katonda kya mazima, naye abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebamanyi.

56. Ye wuyo alamusa era afiisa era gyali gyemuzzibwa.

57. Abange mmwe abantu, mazima kubatuuseeko okubuulirira okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, era kwe kuwonya kw(’ebirwadde)’ebyo ebiri mu mmeeme era bwe buluŋŋamu n’obusaasizi bwabo abakkiriza.

58. Ggwe bategeeze nti: ‘Kale olw’obulungi bwa Katonda n’obusaasizi bwe, basaanye, (olw’ensonga eyo) bajaganye nga kyekyo ekilungi gyebali okusinga ebyo byonna bye bakuŋŋaanya.

59. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe mwetegerezza ebyo Katonda byassa gyemuli nga byebimu kubigabirirwa bye, bwe muvudde awo nemufuula omugabo ogumu kubyo okubeera ogw’omuzizo n’ogwo ogwakkirizibwa?’ Babuuze nti: ‘Abaffe ebyo Katonda yabibakkiriza nandiki musazeewo Katonda ku mujwetekako bujwetesi?’.

60. Kale ya kubeera etya endowooza ya bali abaajweteka ku Katonda obulimba ku lunaku lw’amayimirira? Mazima Katonda akolera ebirungi abantu, wabula abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebasiima.

61. Era teriiyo lwobeera mu mbera yonna, era teriiyo tteeka erimu ku mateeka gonna lyosoma nga liva mu Qur’an (Ssemusomwa), era teriiyo kyemukola mu mirimu gyonna, okujjako nga tubaawo gyemuli nga tuli bajulizi, awo wonna wemubyaŋŋangira okubikola. Era tewali kibula ku Mukama Katonda Omulezi wo nebwe kaba akasirikitu akazitowa nga akanyikuuli akasangibwa munsi wadde akasangibwa mu ggulu, era teriiyo wadde akasukka ku kali obusirikitu wadde akasingako obunene okujjako nga kaakakasibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.

62. Wew’awo banywanyi ba Katonda tebafuna bwelaliikirivu era tebanakuwazibwa.

63.Bebo abakkiriza era abaali batya Katonda.

64. Bafuna essanyu mu buwangazi bw’ensi ne kunkomerero. Teriiyo kikyusa mu bigambo bya Katonda. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

65. Era tebisanye ku kunakuwaza ebigambo byabwe. Mazima ekitiibwa kyonna kya Katonda. Yewuyo Omuwulizi Omumanyi.

66. Wew’awo bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu n’ensi. Era teriiyo ngeri yonna ebyo bali byebagoberera ne balekawo Katonda, gyebyegatta ku Katonda. Teriiyo kirala kyebagoberera okujjako okufumintiriza, ate mazima bebo abatalinaayo kirala kye baliko okujjako okugerageranya.

67. Ye wuyo eyabafuulira ekiro nga kya kuwummuliramu n’emisana nga biseera bya kutunula nkaliriza. Mazima ekyo kirimu ekyamagero eri abantu abawulira.

68. Baatyebeka nti: ‘Katonda yazaala omwna!’ Obutukuvu bube gyali Ai Mukama! Ye wuyo Eyeemalirira Omugagga. Bibye byonna ebiri muggulu n’ebiri munsi. Teriiyo buyivu bwe mulina kunsonga eyo. Abaffe musazeewo okujweteka ku Katonda ebyo byemutamanyi?

69. Ggwe bagambe nti: Mazima abo abajweteka ku Katonda obulimba tebaganyulwa.

70. Myeyagalo gya kiggwerawo gye balimu kunsi, oluvannyuma gyetuli gye bazzibwa oluvannyuma tubaloza ku kibonerezo ekiyitirivu, olw’ebyo bye baali bawakanya.

71. Kale basomere ekyafaayo kya Nuhu, awo we yagambira abantu be nti: ‘Abange mmwe abantu bange, bwekiba kibasukkiridde ekifo kyange (obuvunanyizibwa bwange mu mmwe) n’engeri gyembajjukizaamu amateeka ga Katonda, kale nze Katonda yekka gwenneesigamyeko, era mwenna ensonga yammwe mugyegatteko ( mu kussa ekimu) nga muli wamu ne balubaale bammwe, bwe mumala ensonga yammwe ereme kuyisibwa mu mankwetu. Bwe mumala musaleewo okukintusaako nga teriiyo ngeri yonna gyennindirizibwa.

72. Ate bwemuba mweremye, kasita tewali ngeri yonna gye mbasabye kusasulwa.Teriiyo empeera yange agivunaanyizibwako okujjako Katonda. Era nze ekyandagirwa kwekubeera owo(mubasiraamu) mwabo abewaayo mu mateeka ga Katonda. 73. Kyokka baamulimbisa, era twamuwonya naabo beyali nabo mulyato, era twabafuula abasigire era twazikiriza bali abaalimbisa amateeka gaffe. Kale werolere engeri gye yalimu enkomerero yabo abaalabulwa.

74. Oluvannyuma twatuma, ebyo nga biwedde,ababaka bangi okugenda eri abantu babwe era baabatuusaako obunnyonnyofu. Kyokka nabo baalemwa okukkiriza nga kiva ku ngeri (bali) gye baalimbisaamu olubereberye. Eyo y’engeri gye tumetta envubo ku mitima gyabo abewagguzi.

75. Oluvannyuma twatuma Musa ne Haruna, ebya bali nga biwedde, okugenda eri Firawo n’abakungu be okubanjulira amateeka gaffe n’ebyamagero byaffe, kyokka beegulumiza era baali bantu boonoonefu.

76. Era bwe gaabatuukako amazima agava gyetuli baagamba nti: ‘Mazima eryo ly’eddogo ery’olwatu’.

77. Musa yababuuza nti: ‘Abaffe musazeewo okwogerera amazima bwe gamaze okubatuukako nti: ‘ddogo lyennyini eryo? Ate nga teriiyo baganyulwa nga balogo?’

78. Baamuddamu nti: ‘Abaffe ekikuleese gyetuli ky’ekyokutuwugula okutujja kwebyo bye twasangako bakitaffe, olwo mulyoke mwembi mufune ettutumu n’ekitiibwa munsi? Kale mwembi ffe tetubakkiriza’.

79.Era Firawo yalagira nti: ‘Mundetere wano bonna abalogo ba kakensa.

80. Era bwe baamala okutuuka abalogo, Musa yabalagira nti: ‘Musse wansi (mwanje) ebyo byemussaawo’.

81. Bwe baamala okubissaawo, Musa yabagamba nti: ‘Byonna byemuzze nabyo eby’eddogo; mazima Katonda ajja kubifulula. Mazima Katonda talamya mulimu gwa boonoonyi!’.

82. Era Katonda anyweza amazima olw’ebigambo bye nebwebaba bakitamiddwa aboonoonyi.

83. Kale teriiyo bakkiriza Musa okujjako abazzukulu abasibuka mu b’eŋŋanda ze, nga kikolebwa mu nkukutu olw’okutya Firawo n’abakungu babwe okumanya, kibe nga kibawonnya okubakijjanya. Era mazima Firawo yasukkiriza okwegulumiza munsi, era mazima yewuyo abalirwa mu bejaajaamyi.

84. Kale Musa yagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, nga bwemumaze okusalawo okukkiriza Katonda, kale ye yekka gwe muba mwesigamira bwe muba mwewaddeyo mu busiraamu (okugondera amateeka ga Katonda).

85. Nebaddamu nti: ‘Katonda yekka gwe twesigamidde! Ai Mukama Katonda Omulezi waffe totufuula ab’okukijjanyizibwa abantu abalyazamanyi!

86. Era tuwonye Ai Mukama olw’obusaasizi bwo abantu abajeemu!’

87. Olwo twabikkulira Musa ne muganda we obubaka obubalagira nti: ‘Mwembi mutegekere abantu bammwe mu Misiri ebizimbe era musobozese ebizimbe ebyo okwolekezebwa obwolekero. Bwe mumala muyimirizeewo okusinza nga musaala, era tuusa amawulire ag’essanyu ago kubakkiriza.

88. Kale Musa yaloma nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima ggwe wagemulira Firawo n’abakungu be eby’okwewunda n’emmaali mu buwangazi bw’ensi. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, ekyo kyebaasinzirako okubuza (abantu) nga bava ku kkubo lyo. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe; fuŋŋalaza emmaali yabwe, era okalubye emitima gyabwe, kale teriiyo basobola kukkiriza, okutuusa nga bamaze kulaba ku kibonerezo ekiruma’.

89. Yaddamu nti: ‘Mazima kuyanukuddwa okusaba kwammwe mwembi, kale munywerere ku kituufu, era mwembi temugoberera kkubo lya bali abatamanyi.

90. Olwo twasomosa abaana ba Isirail ennyanja, bwatyo Firawo yabagoberera n’eggye lye olw’okubasosonkereza n’okubawalana okutuusa lwe yafumbikirizibwa okuzikirira n’alaajana nti: ‘Kaakano nzikirizza nti mazima teriiyo asinzibwa okujjako oyo gwe bakkiririzaamu abaana ba Isirail, era nange nneewaddeyo mu busiraamu (mu kugoberera amateeka ga Katonda).

91. ‘Kati lwosalawo ekyo?’. Bwatyo bwe yabuuzibwa. ‘Sso nga mazima ebbanga lyonna obadde mujeemu era obadde mwabo aboonoonyi?’

92. Olwaleero katukunyugunye kuntumu y’omusennyu nga ofuuse njole, olyoke ababeerere abo abajja oluvannyuma lwo eky’okuyigirako. Era mazima abasinga obungi mu bibinja by’abantu ku mateeka gaffe baba balagajjavu.

93. Mazima twafunira abaana ba Isirail obutuuze obutuufu, era twabagabirira ebimu ku birungi, era tebaasobola kweyawulayawula okutuusa lwe kwamala okubatuukako okuyigirizibwa. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo yaalamula wakati wabwe ku lunaku lw’amayimirira mwebyo bye baali baawukanamu.

94. Ate bwoba olina okubuusabuusa ebimu kwebyo bye twassa gyoli, kale buuza bali abasoma ekitabo ekyaliwo olubereberye lwo. Wew’awo ddala gakutuuseeko amazima okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, kale wewale okubeerera ddala mwabo ababuusabuusa.

95. Era tobeerera ddala wamu nabali abaalimbisa amateeka ga Katonda, olyoke owone okubeera mwabo abaafaafaaganirwa.

96. Mazima bali abaakakatibwako ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi wo (eky’okubabonereza) tebasobola kukkiriza.

97. Nebwebibatuukako ebyamagero byonna, okutuusa lwe bamala kulaba ku kibonerezo ekiruma.

98. Kale lwaki tekyasoboka kubaayo kibuga ekyakkiriza nebukigasa obukkiriza bwakyo? Okujjako abantu ba Yunus bwe baamala okukkiriza twabaggyirawo ekibonerezo nnamuweebuuza mu buwangazi bw’ensi, era netubagemulira ebibeeyagaza okumalako ekiseera kyabwe ekigere.

99. Era ssinga Mukama Katonda Omulezi wo yayagala baalikkirizza abo abali munsi obutasigalayo nomu. Abaffe ggwe onoosobola okuwaliriza abantu okutuusa okubeera abakkiriza?

100. Era teriiyo mwoyo gusobola kukkiriza okujjako olw’okusalawo kwa Katonda. Era ametta ebivve ku bali abatategeera.

101. Ggwe bagambe nti: ‘Mwekenneenye biki ebyo ebiri mu ggulu n’ensi’, Kyokka teriiyo by’amagero wadde okulabula kye biyinza kuganyula bantu batakkiriza.

102. Abaffe, eriyo ekirala kye balindirira okujjako ekifanana ebyaliwo mu nnaku za bali abaasaanawo olubereberye lwabwe? Bagambe nti: ‘Kale mulindirire nange ndi wamu nammwe mwabo abalindirira’.

103. Bwetumala nga tuwonya ababaka baffe era naabo abakkiriza. Eyo yengeri gyetuvunanyizibwa okuwonya abakkiriza.

104. Ggwe bategeeze nti: ‘Abange mmwe abantu, bwe mubaamu akakunkuna ku butuufu bw’eddiini yange, ekyo kafuuwe nze okusinza ebyo bye musinza nga muleseewo Katonda, wabula nze gwensinza ye Mukama Katonda Allah asinzibwa, yoyo avumbagira entunnunsi zammwe, era nze ekyandagirwa kwekubeera mu kibinja kya bakkiriza’.

105. N’ekirala: ‘Beera mwesimbu mu kutuukiriza Eddiini (enzikiriza) entufu ey’okukomola n’obutakkiririza mu kirala okujjako Katonda. Era wewalire ddala okubeera mu kibinja ky’abasamize.

106. Era towanjagira ebirala n’olekawo Katonda, ebyo ebitakugasa era ebitasobola kukussaako kizibu. Bwonooba okoze (eky’ekyennyuma) olwo nga obalibwa mu kibinja kyabalyazamanyi’.

107. Ate ssinga Katonda akutuusaako ekizibu teriiyo ayinza kukijjawo okujjako Yye. Ate ssinga akwagalizza ekirungi, teriiyo ayinza kuzzaayo kirungi kye. Akiwa oyo gwayagala mu baddu be. Era yewuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

108. Ggwe bagambe nti: ‘Abange mmwe abantu, mazima kibatuuseeko ekituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe. Kale oyo oba aluŋŋamye, mazima aba oluŋŋamya mwoyo gwe. Era oyo aba abuze mazima aba yeyeebuzizza yekka nga ava ku mugendo. Era ssinze ndiwo gyemuli nga omukuumi.

109. Kale ggwe goberera obubaka obukubikkulirwa, era beera mugumiikiriza okutuusa Katonda lwalamula. Era ye wuyo asingayo obulungi mu balamuzi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *