Skip to content
Home » 14. Ibrahim

14. Ibrahim

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(14) ESSUULA : IBRAHIM (MK)

Yakkira Makka. Erina Aya 52.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Alif. Lam.Ra, Ekitabo kino twakissa gyoli okyeyambise okujja abantu mu bizikiza obazze mu kitangala olw’okusalawo kwa Mukama Katonda Omulezi wabwe, bakwate ekkubo eridda ew’oyo Luwangula atenderezebwa.

2. Katonda asinzibwa Allah oyo nannyini w’ebyo ebiri muggulu n’ebyo ebiri munsi. Kyokka okuzikirira kwa kutuusibwa eri abo abajeemu nga kyekimu ku kibonerezo ekisukkirivu.

3. Abo abateeka enkizo mu kwegomba obuwangazi bw’ensi okusinga enkomerero nebatangira ekkubo lya Katonda nebakolerera okuliwugula obuwunjubunju. Bebo abaggweredde mu bubuze zzaaya.

4. Kale teriiyo gwe twatuma nga mubaka okujjako nga ayogera lulimi lwa bantu be. Alyoke abannyonnyole. Olwo Katonda n’abuza gw’ayagala era n’aluŋŋamya gw’ayagala. Era yewuyo Luwangula Ssabalamuzi.

5. Kale mazima twatuma Musa n’ebyamagero byaffe. (netumuwa obubaka obumulagira nti): ‘Ggya abantu bo mu bizikiza obazze mu kitangala, era bajjukize ebyomumirembe gya Katonda (ebibi n’ebirungi) ebyayita’. Mazima ebyo bijjudde ebyamagero ebiyigiriza eri buli mugumiikiriza eyeebaza.

6. Ate jjukira Musa weyagambira abantu be nti: ‘Mujjukire omukisa gwa Katonda gwe mulina, bwe yabawonya abantu be Firawo abaabatuusangako agabonerezo agazito nebasanjaga abaana bammwe abalenzi nga balekawo abaana bammwe abawala. Kale ekyo mwakifunamu ekigezo okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe nga kisuffu.

7. Ate jjukira Mukama Katonda Omulezi wammwe lweyassaawo ebbeetu essuffu nga abagamba nti: ‘Bwe munaaba musiimye, nja kubongerera ddala, ate bwe munaaba mutomye, mazima ekibonerezo kyange kiyitirivu’.

8. Kale Musa yalangirira nti: ‘Bwe musalawo okujeema mwe mwenna gattako (n’abalala) abali munsi bonna, mazima Katonda ye Mugagga Ssebintu Omutenderezebwa’.

9.Abaffe temutuukibwangako kyafaayo kyabali abaabasooka; okugeza abantu ba Nuuhu, Aad, Thamud: n’abalala ab’oluvannyuma lwabwe? Teriiyo abamanyi okujjako Katonda. Baabatuukako ababaka baffe n’amazima , bwebatyo (bali) ne bassa emikono gyabwe mu bumwa bwabwe (olw’essunguyira lye bawulira) era nebayanukula mu bumalirivu nti: ‘Mazima ffe tuwakanyiza ddala ebyo ebyabatumwa nabyo ate mazima ffe turimu akakunkuna kwebyo byemutuyitira tubibuusabuusa.

10. Ababaka babwe baababuuza nti: ‘Abaffe, Katonda naye abuusibwabuusibwa, Ssemugunzi w’eggulu n’ensi? Abayita abasonyiwe ebimu ku byonoono byammwe era abalembereza okutuuka kuntuko (zammwe) ezaasalibwawo. Baabaddamu nti: ‘Teriiyo ngeri ndala gyemutwalibwamu okujjako okubeera abantu abatalina njawulo naffe, mwagala bwagazi kutuwugula kwebyo bajjajja ffe bye baali basinza, kale mutuleetere obujulizi obukakasa obweyolefu.

11. Ababaka babwe baabaddamu nti: ‘Mazima engeri gye tutwalibwamu kwekuba abantu abatalina njawulo nammwe, wabula Katonda asalawo okugemulira omukisa gwe eri oyo gwayagala nga amujja mu baddu be. Era ffe telwetumiikirizangako ku baleetera bya magero okujjako olw’okukkiriza kwa Katonda. Kale Katonda yekka gwe balina okwesigamira abakkiriza’.

12. Era mpawo kitulobera buteesigamira Katonda nga mazima Yye yatuluŋŋamya (netukwata) amakubo gaffe (amatuukirivu). Kale ffe twewaddeyo okugumira ebyo bye munaatukijjanyamu. Era Katonda yekka gwe balina okwesigamira abo abeesigama’.

13. Olwo bali abaajeema baategeeza ababaka babwe nti: ‘Mwe tujja kubagobera ddala munsi yaffe (nga tetuweneena) oba ssi ekyo mulina okukomawo mu ddiini yaffe (awatali kuwannaanya). Bwatyo yabikkula gyebali, Mukama Katonda Omulezi wabwe, obubaka obubategeeza nti: ‘Mazima tujja kuzikiriza abakuusa.

14. Era mazima tujja kubasenza munsi oluvannyuma lwabwe’. Ebyo byebitegekerwa oyo aba atidde embuga yange era naaba nga atidde enkangavvula yange.

15. Kale baasaba okudduukirirwa, olwo naafufuggazibwa buli mwekuluntazi kyewaggula. 16.Yagoberezebwa ggeyeena era wa kunywesebwa olweje lwa mazira amakwafu ag’olusaayisaayi.

17. Nga alwekatankira kyokka nga alemwa okulumira omuganda era nga bimutuukako ebimusaanyawo nga bifubutukira mu buli kanyomero sso nga ssi wa kusaanirawo ddala. Ate olwo agoberezebweko ogubonerezo ogukakali.

18. Embera ya bali abaajeemera Mukama Katonda Omulezi wabwe. Emirimu gyabwe giringa evvu erifuumuddwa empewo ku lunaku lwa kibuyaga. Tewali kyebasobola kuganyulwa mwebyo bye baateganira kunsonga yonna. Obwo bwe bubuze zzaaya.

19. Abaffe ggwe tolaba nti ddala Allah yoyo eyatonda eggulu n’ensi mu mazima? Ayinza okusalawo okubajjawo bwamala n’aleeta ebitonde ebipya.

20. Ate ekyo ku Katonda ssi kyamaanyi.

21. Balyeyanjula olw’obuyinza bwa Katonda mukyererezi obutasigalayo noomu, olwo abatende abanafu ne bategeeza ba Ssenkulu nti: ‘Mazima ffe twali ba woloole bammwe, naye abaffe waliwo kyemunatutaakirizaayo nga kitoolebwa ku kibonerezo kya Katonda kunsonga yonna? Nebabaddamu nti: ‘Ssinga Katonda yatuluŋŋamya naffe twalibaluŋŋamizza. Tetulina njawulo kaakano ffenna, katubeere nti twesaasaabaze olw’okutya okungi oba okulaga obugumiikiriza, tetulinaayo bwewogomo’.

22, Bwetyo Ssitaani n’erangirira nga ensonga emaze okusalibwawo nti: ‘Ddala Katonda yabasuubiza ekisuubizo kya mazima, nange nembako byembasuubiza era nze nnabalekulira dda. Ate nnali ssibalinaako buyinza nga ojjeeko engeri gyennabayita obuyisi bwemutyo ne mwanukula omulanga gwange, temugeza okunnenya, naye munenye myoyo gyammwe. Ssijja kubaako kye mbawanjagira nammwe teriiyo kyemujja kumpanjagira. Mazima nze nazzikuno nnesamba dda bye mwali munsibako.’ Mazima abalyazamanyi ba kuweebwa ekibonerezo ekiruma.

23. Olwo nga bayingiziddwa, abo abakkiriza era abaakola ebirungi, Ejjana ekulukutira wansi wayo emigga ba kubeeramu lubeerera olw’okukkiriza kwa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Okulamusigana kwabwe muyo (kuli nti), ‘Mirembe’.

24. Abaffe walaba otya engeri Katonda gyeyassaawo eky’okulabirako, nga kya kigambo ekirungi ekifanana omuti omulungi ogwasimba ekikolo kyagwo muttaka negwanjaza amatabi gagwo mu bwengula.

25. Nga gussaako ebiriibwa byagwo buli kiseera olw’okusalawo kwa Mukama Katonda Omulezi wagwo. Kale Katonda assizaawo abantu eby’okulabirako basobole okwebuulirira.

26. Ate embera y’ekigambo ekibi eringa omuti omubi ogusiguddwa ekikolo nekitunula waggulu amatabi ne gesimba ku ttaka, tegulinaawo we gusimba makanda.

27. Katonda anyweza abo abakkiriza n’ekigambo ekinywevu mu buwangazi bw’ensi era ne mu bwenkomerero. Era Katonda abuza abakuusa. Bwatyo Katonda akola ebyo byayagala.

28. Abaffe walaba otya embera ya bali abaawaanyisa ekyengera kya Katonda nebatwalamu obujeemu era nebassa abantu babwe munsi y’ettambiro?

29. Ggeyeena gwebesonseka. Kale bwakivve obwo obutuuze.

30. Kale baayimbagatanya ku Katonda emyenkanonkano gy’ebintu ebirala balyoke bawugulwe okuva ku kkubbo lye. Ggwe bategeeze nti: ‘Kale mukyakale! Ndaba mazima obubudamu bwamwe muzzibwa mu muliro’.

31. Lagira abaddu bange abo abakkiriza bayimirizeewo okusinza nga basaala era baweeyo ebimu kwebyo bye twabawa (nga ekyo bakikola) mukyama n’olwatu nga olunaku terunnatuuka olutalibeeramu kyattunzi wadde okuganza.

32. Katonda yoyo eyatonda eggulu n’ensi era n’atonnyesa okuva waggulu enkuba n’agyeyambisa okufubutula ebimu ku bibala, nga byakulya byammwe. Era yabagondeza amaato gasobole okuseeyeeya munnyanja ku lw’ekilagiro kye. Era yabagondeza emigga.

33. Era yabagondeza enjuba n’omwezi byombi ebikola obutaweera. Era yabagondeza ekiro n’emisana.

34. Era yabawa ebimu ku buli nnamuna y’ebyo bye mwamusaba. Kale ebyengera bya Katonda (byabawa) ne bwe mubibala temuyinza kubikomekkereza. Omuntu ye mukuusa kayingo ssabajeemu.

35. Kale jjukira Ibrahim lwe yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, fuula ekibuga kino Palani okuba eky’emirembe, era onneewazise wamu n’abaana bange okusinza ebifananyi.

36. Ai Mukama Katonda Omulezi wange, byo mazima bibuzizza nfafa mu bibinja bya bantu. Naye oyo aba angoberedde, olwo nga mazima ali bumu nange. Era oyo aba anjemedde, kale mazima ggwe Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

37. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima nze nkubye embuga y’obutuuze bw’erimu kuzzadde lyange mu lusenyi olutaliimu kirime kiddamu, mukifo awali ennyumba yo ey’emizizo. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, kibasobozese okuyimirizaawo okusinza nga basaala. Kale fuula emitima gyabantu abamu okubanga gyesunga okubeeyuna era obagabirire ebimu ku by’okulya eby’ebibala kibasobozese okusiima.

38. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima ggwe wuyo amanyi ebyo byetukisa n’ebyo bye twolese, Era tewali kyekweka buteeyoleka wa Katonda kintu kyonna ekiri munsi newankubadde ekiri mu ggulu.

39. Amatendo amalungi ga Katonda yekka oyo eyangemulira mu bukadde ezzadde lya Ismail ne Isihaka. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye Muwulizi w’okusaba (kw’ebitonde byonna).

40. Ai Mukama Katonda omulezi wange, nsobozesa okuyimirizaawo okusinza nga nsaala era n’erimu ku zzadde lyange (lisobozese okuyimirizaawo okusinza nga lisaala). Ai Mukama Katonda Omulezi waffe era kkiriza okusaba kwange.

41. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, nsonyiwa ebyonoono nebazadde bange n’abakkiriza, olunaku lwe kuliyimirirawo okubalirira’.

42. Era tobaako ngeri gyosuubira nti mazima Katonda byonna bye bakola abakuusa abigayaalirira. Mazima ekyo kyokka kye yasalawo kwe kubalembereza okutuusa olunaku mwe gatunula ebikalu amaaso.

43. Nga basaatuuka balalise emitwe gyabwe waggulu tebikyasobola kutemya ebikoowe byabwe. Era emitima gyabwe nga gifuluse.

44. Kale ggwe labula abantu, berinde olunaku lwe kinaabatuukako ekibonerezo, olwo bawanjage abo abaajeema nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tulindirize tutuuse ekiseera ekitali kyewala twanukule omulanga gwo era tugoberere ababaka. Olwo babuuzibwe nti: ‘Ssimmwe baabo abaalayira olubereberye nga bwemutalinaayo kya kubajja kunsi?’

45. Olwo nemusiisira mu maka ga bali abaalyazamanya emyoyo gyabwe, era ne kibeeyoleka bulungi engeri gye twabayisaamu era ne tubalaga n’eby’okulabirako?

46. Kyokka mazima baayisa enkwe zabwe, ate nga ewa Katonda y’esasulirwa enkwe zabwe, ne bweziba enkwe zabwe zaalisobodde okusiguukuluza ensozi (mu bifo byazo).

47. Era tobaako ngeri gyosuubira nti mazima Katonda ayabulira (n’atatuukiriza) ekisuubizo kye (ky’asuubiza ababaka) oba bbo (ababaka) obutatuukiriza ndagaano ya Katonda! Mazima Katonda ye Luwangula omukakali mu kwesasuza.

48. Olunaku lw’efuulibwa ensi nga etaaliko nsi wamu n’eggulu. Olwo nebeeyanjula bonna, olw’obuyinza bwa Katonda omu yekka Omukasi.

49. Era newerolera abonoonyi ku lunaku olwo nga bakaligiddwa mu njegere.

50. Ensumikwa zabwe nga za masanda ag’obuganga era nga gubuutikira ebyenyi byabwe omuliro.

51. (Bwatyo) Katonda abe nga asasula buli mwoyo kye gwakola. Mazima Katonda mwanguyiriza wa kubalirira.

52. Ekyo kye kirangiriro ekitongole eri abantu; era bakyeyambise okulabula (abalala bonna) era bakimanye nti mazima yewuyo yekka asinzibwa Omu. Era bebuulirire bannannyini bugeziwavu.

 

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *