Skip to content
Home » 52. At – Tul (Olusozi)

52. At – Tul (Olusozi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

52. ESSUULA: ATTUUR, ‘OLUSOZI’.

Yakkira Makka. Erina Aya 46.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayidde olusozi.

2. Ndayidde ekitabo ekiwandiike.

3. Kuddiba erigonvu eryanjuluze.

4. Ndayidde ennyumba erambulwa.

5. Ndayidde akasolya akatumbize.

6. Ndayidde ennyanja ebooze enkoleeze.

7. Mazima ekibonerezo kya Mukama Katonda Omulezi wo ddala kya kubaawo.

8. Tekirinaayo kikitangira.

9. Olunaku lwe lijugumira eggulu olujugumira.

10. Era ne ziseeyeeya ensozi oluseeyeya.

11.Kale okuzikirira olunaku olwo kwa kutuusibwa kw’abo abalimbisa.

12 Beebo abeemalidde mu bwonoonyi bazannya.

13. Olunaku lwe bakkatirwa okudda mu ggeyeena olukkatira.

14. Gweguno omuliro gwe mubadde mulimbisa.

15. Abaffe era eryo ddogo nandiki mmwe mu takyalaba?

16. Mu gwesogge era mugume oba temuguma, ekyo kyekimu gyemuli. Mazima ebyo bye musasulwa byebyo bye mubadde mukola.

17. Mazima abatya Katonda baakubeera mu jjana ey’ebyengera.

18. Nga bajaganya olw’ebyo by’abawadde Mukama Katonda Omulezi wabwe. Era yabawonya Mukama Katonda Omulezi wabwe ekibonerezo kya ggeyeena.

19. Mulye era munywe nga mwekulisa ebyo bye mubadde mukola.

20. Nga bakkalidde ku buliri obwale mu nnyiriri. Era twabafumbiza abakyala ab’amaaso ameeru nga gandege.

21. Ate abo abakkiriza era nga baabagoberera bazzukulu babwe mu bukkiriza, tubayunga ku bazzukulu babwe era tewali kye twabakendeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna. Buli muntu kye yatawaanira kye yasingirwa (kye kyafuulibwa omusingo gwe).

22. Era twabongerezaako ebibala n’ennyama y’ebyo bye beetaaga.

23. Nga bagabuligana muyo ensumbi z’eby’okunywa; nga teriimu (ejjana) kubalaata wadde okwonoona.

24. Nga bayitaayita mubo abaweereza babwe abafaanana lulu enkusike (mu kirema kyayo).

25. Olwo abamu ne bakyukira bannaabwe okukubaganya ebirowoozo.

26. Ne bagamba nti: ‘Mazima ffe tubadde nazzikuno mu bantu baffe nga tutiribira.

27. Bwatyo Katonda yatubunduggulako omukisa era yatuwonya ekibonerezo kya Ssemwokya.

28. Mazima ffe tubadde olubereberye tumuwanjagira. Mazima ye wuuyo Muyisa bulungi ow’okusaasira okw’enjawulo’.

29. Ggwe buulirira era tobalibwa ku kyengera kya Mukama Katonda Omulezi wo nga omuloge wadde omulalu.

30. Wew’awo bakonjera nti oyo muyimbi gwe tulindiriza okutuusa lwannyuka ensi.

31. Baddemu nti: ‘Mulindirire nange mazima mbeyunzeko okuba mu balindirira.

32. Wew’awo zibapikiriza endowooza zabwe kw’ekyo. Mazima beebo abantu ba kiwagi.

33. Wew’awo bakonjera nti: ‘Yagyegunjizaawo’ (Qur’an), Ddala beebo abatakkiriza.

34. Kale baleeteyo ebigambo ebigifaanana ssinga babadde bakakasa.

35. Abaffe abo baatondebwa nga tewali nsonga ya muzinzi, nandiki bbo be batonzi?

36. Abaffe beebo abatonda eggulu n’ensi? Wew’awo beebo abatakakasa.

37. Abaffe balinayo amawanika ga mukama Katonda Omulezi wo? Nandiki beebo abali mu bufuzi.

38. Abaffe balinayo enkandaggo zomubwengula gye basinzira okuwuliriza? Kale baleete empulirizo zabwe nga beyambisa obusobozi obweyolefu.

39. Abaffe Ye alina bawala nga mmwe mulina balenzi?

40. Abaffe waliwo engeri gy’obasabamu empeera olwo nebaba nga ebbanja (eryo) balikaluubirirwa?

41. Abaffe balinayo ebikusike olwo nebaba nga bye bawandiika?

42. Abaffe baluubirira kukola nkwe? Kale abo abaajeema beebo abalina okusasulwa enkwe zabwe.

43. Abaffe balinayo asinzibwa (omulala) atali Allah Katonda asinzibwa? Atukuzibwe Allah nga ayawulibwa kwebyo bye bamugattako.

44. Kale bwe beerolera ekibajjo ekiwanuka mu ggulu nga kigwa, bagamba nti: ‘Ebyo bire ebyeberese ku binnaabyo’

45. Kale baveeko okutuusa lwe banaasisinkana olunaku lwabwe olwo mwe bamizibwa omusu.

46. Olunaku lwe zitabagasa enkwe zabwe ku kintu kyonna era nga beebo abatayambibwa.

47. Ate mazima bateekwa abo abaalyazamanya okufuna ekibonerezo (ekirala) ekisooka kiri, naye abasinga obungi kubo tebamanyi.

48. Kale nywerera ku bulamuzi bwa Mukama Katonda Omulezi wo, era mazima ggwe olondolwa amaaso gaffe. Ate tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wo ekiseera woositukira (okuva mu kifo).

49. Era ebiseera ebimu eby’ekiro mutendereze ne mukiseera kye zibuliramu emmunyenye.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *