Skip to content
Home » 66. At – Tahriim (Omuziro)

66. At – Tahriim (Omuziro)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

66. ESSUULA: ATTAHRIIM, OMUZIRO

Yakkira Madiina. Erina Aya 12.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Owange gwe Nabbi lwaki obifuula bya muzizo ebyo Katonda bye yakukkiriza olw’okunoonya okusiimisa bakyala bo? Kale Katonda Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

2. Mazima Katonda yabassizaawo enkola egobererwa okusattulula ebirayiro byammwe. Era Katonda ye Ddunda wammwe era yewuyo Omumanyi. Omulamuzi Kalimagezi.

3. Jukira awo Nabbi lwe yassa mu kyama embozi n’abamu ku bakyala be, bwe yamala (mukazi we) okugyogera (eri abalala) Ne Katonda n’agimwanjulira (Nabbi n’agimanya) yagimanyisa abamu n’agikisa abalala. Naye bwe yagitegeeza (mukyala we) yabuuza nti: ‘Ani yakutegeezezza ebyo’. Naddamu nti: ‘Yabintegeezezza oyo Omumanyi Kakensa.

4. Ssinga mwembi mwenenyeza Katonda olwo giba giraze emitima gyammwe obugonvu, naye ssinga mwembi muyambagana okumulemesa (Nabbi), olwo Katonda ddala abeera Ddunda we ne Jiburiilu n’abakkiriza abalongofu. Olwo ba Malaika ebyo nga biwedde ne babeera abayambi (be).

5. Oba olyawo, ssinga mmwe abagobye, nga Mukama Katonda Omulezi we amuwanyisizaamu abakyala abalungi okusinga mmwe. Abewaayo mu mateeka ga Allah (abasiraamu) abakkiriza abagonvu abenenya abasinza Katonda abasiibi abakyala abakulu (abaddamu nate okwewumba) n’abawala emberera.

6. Abange mmwe abakkiriza mwewazise emyoyo gyammwe n’abantu bamwe omuliro ogwakisibwa abantu n’amayinja, nga guliko ba Malaika abakambwe abatalina busaasizi, abatajeemera Allah ebyo by’abalagidde, era abakolerawo ebyo ebibalagirwa.

7. Abange mmwe abaajeema tekikkirizibwa kubanga mwewozaako olwaleero. Mazima ebyo bye musasulwa byebyo bye mubadde mukola.

8. Abange mmwe abakkiriza, mwenenyeze Katonda olwenenya olulimu okwebuulirira, oba olyawo nga Mukama Katonda Omulezi wamwe akendeza ku bibi byammwe era abayingiza Ejjana ekulukutira wansi wayo emigga, ku lunaku Katonda lwataweebuula Nabbi n’abo abakkiriza naye, nga ekitangala kyabwe kimulisa emberi wabwe (nga batambula) nga n’emikono gyabwe egyaddyo (gikutte ekitabo) nga basaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tujjulize (okwaka kwa) ekitangala kyaffe era tusonyiwe. Mazima yeggwe Omusobozi wa buli kintu.

9. Owange ggwe Nnabbi, tabaala abajeemu (bonna) n’abannanfusi era bakambuwalire. Anti obubudamu bwabwe ye ggeyeena, bwebwo obw’ekivve obuddo.

10. Katonda yassaawo eky’okulabirako ekyabo abaajeema nga ye mukyala wa Nuuhu ne mukyala wa Luuti, abaali bombi mu bufumbo n’abaddu babiri abamu ku baddu baffe abalongofu, bwe batyo bombi (abakyala) baakumpanya ba bbaabwe bombi, newatabaawo kibayamba (bombi) kubawonya (bibonerezo bya) Katonda ku kintu kyonna, era baaduumirwa nti: ‘Mwembi muyingire omuliro wamu n’abaguyingira (abalala)’.

11. Era Katonda yassaawo eky’okulabirako ekyabo abakkiriza ekya mukyala wa Firawo, awo we yasabira nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange nzimbira amaka mu jjana era mponya Firawo n’ebikolwa bye, era mponya abantu abalyazamanyi’.

12. Ne Mariam muwala wa Imrani oyo eyakuuma ensonyi ze, naffe netufuuwa muye ogumu ku myoyo gyaffe, n’akakasa ebigambo bya Mukama Katonda Omulezi we n’ebitabo bye era yali omu ku bagonvu.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *