Skip to content
Home » 56. Al – Waqi-ah (Okwedomola)

56. Al – Waqi-ah (Okwedomola)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

56. ESSUULA “ AL-WAQI’A, : OKWEDOMOLA.

Yakkira Makka, Erina Aya 96.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bwekiba kyedomodde ekyedomola.

2. Tekubaako okwedomola kwakyo alimbisa

3. Kikkakkanya (abamu), kisitula (Abalala).

4. Bweba eyuuguumiziddwa ensi Oluyuuguuma.

5. Ate nezimulungulwa ensozi olumulungulwa.

6. Nga zifuuse olufufugge olusasaanye (mu bbanga)

7. Nga muli mu biti bisatu.

8. Ab’okubeera ku ddyo, ye bannaba ki abo ab’okubeera ku ddyo.

9. N’ab’okubeera ku kkono ye bannaba ki abo ab’okubeera ku kkono.

10. N’abasindana abasaale.

11. Bebo abasembezebwa ku mwanjo.

12. Mujjana ey’ebyengera.

13. Abangi baakuva mu baakulembera.

14. Ate abatono baakuva mu b’oluvannyuma.

15. Baakubeera ku biwu ebyasonebwa mu ngeri ey’enjawulo.

16. Nga babikkaliddeko boolekaganye.

17. Nga babayitaayitamu abaweereza abavubuka abatakaddiwa.

18. N’ebibakuli n’ensumbi n’ebikompe by’akagonja akakulukuta.

19. Akatabaleetera kanzungu wadde okugangayira.

20. N’amatunda g’ebyo bye bayoya.

21. N’ennyama y’ebinyonyi kwebyo bye begomba.

22. N’abakyala ab’amaaso agendege ameeru.

23. Agafaanana luulu atannasusunkulwa (mu birema).

24. Yeyo empeera y’ebyo bye babadde bakola.

25. Teri kugiwuliramu myeyogezoyogezo newankubadde ebya sswakaba.

26. Okuggyako okulamusigana nti: ‘Mirembe!’

27. N’ab’okubeera ku ddyo, ye ba nnaba ki abo ab’okubeera ku ddyo?

28. Ba kubeera mu miti gya kirobo emiwale.

29. N’ebitooke ebissizza enkota eziweese enkuyanja y’ebiwagu.

30. N’ebittuluze ebinaanuufu.

31. N’amazzi agatiiriisibwa.

32. N’ebibala nkuyanja.

33. Ebitagwawo era ebitakugirwa.

34. N’ebiwu ebiwanike (waggulu).

35. Mazima ffe twabasibula (abakyala bomujjana) olusibula (olw’enjawulo)

36. Ne tubafuula emberera.

37. Abamanyi omukwano nga benkanankana.

38. Baategekerwa ab’oludda olwaddyo.

39. Abangi baakujjibwa mu baasooka.

40. Era abangi baakujjibwa mu b’oluvannyuma.

41. N’ab’okubeera ku kkono ye bannaba ki abo ab’okubeera ku kkono?

42. Ba kubeera mu bbugumu n’olweje.

43. N’okubuutikirwa ekikka ekiddugavu.

44. Ekitali kiweweevu era ekitalina kalungi.

45. Mazima bebo ababadde nazzikuno nga bakyakaze.

46. Era babadde tebeewala gasango ganene.

47. Era babadde bebuuza nti: ‘Bwe tuba twafa dda era nga twafuuka ettaka n’amagumba, kale kisoboka kitya ffe okuzuukizibwa?

48. Oba bakitaffe abaasooka?’

49. Ggwe baddemu nti: ‘Mazima abaasooka n’ab’oluvannyuma.

50. Bonna baakukuŋŋanyizibwa okutwalibwa mu nsisinkano y’olunaku olumanyifu.

51. Oluvannyuma, mazima mmwe abaabula abaajeema.

52. Muteekwa okulya ekimu ku (bika bya e) kiddo kya kawumpuli.

53. Mukibwegeze embuto.

54. Nga mu kinywekerezaako olweje.

55. Nga mwekatankira ennekatankira y’eŋŋamiya ey’eŋŋanzi (erwadde ekirwadde ky’enkalamata)’.

56. Obwo bwe bugenyi bwabwe ku lunaku lw’amasasula.

57. Ffe twabatonda, lwaki temukakasa?

58. Abaffe mwetegerezza ago (amazzi g’ekisajja) ge mufuka?

59. Abaffe mmwe mwagatonda nandiki ffe batonzi bago?

60. Ffe twagerera mummwe okufa era tekisoboka ffe okulemesebwa.

61. Okuba nga tubawanyisaamu (ebitonde) ebiringa mmwe, olwo mmwe netubasibulira mwebyo (ebitonde ebirala) bye mutamanyi.

62. Kyokka mumanyidde ddala ensibuko (yammwe) eyasooka, naye lwaki temujjukira?

63. Abaffe mwetegerezza bye musiga?

64. Abaffe mwe mubimeza nandiki ffe tulina okubimeza?

65. Bwetwagala tubifuula essubi erikutusekutuse, olwo ne mutanula okuwuniikirira.

66. Nti mazima ffe tufiiriddwa.

67. Wew’awo ffe te tusobodde kubaako kye tufuna.

68. Abaffe mwetegerezza amazzi ago ge munywa?

69. Abaffe mmwe mwagassa okuva mu bire nandiki ffe tulina okugassa?

70. Bwe twagala tugafuula agatuŋŋununa. Naye lwaki temusiima?

71. Abaffe mwetegerezza omuliro ogwo gwe mukoleeza?

72. Abaffe mmwe mwasibula emiti gyeguvaamu nandiki ffe tulina okugisibula.

73. Ffe twagufuula ekijjukizo era eky’okweyagaza ky’abagagga ne ba lukyolo.

74. Kale tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omulezi wo Omugulumivu.

75. Ate ssiyinza butalayira bukkiro bwa mmunyenye.

76. Ate ddala kwekwo okulayira kwennyini, – ssinga mumanyi-okunene.

77 Mazima eyo ye Qur’an (Ssemusomwa) ey’ekitiibwa.

78. Eri mu biwandiko ebikuume.

79. Tewali agikwatako okujjako abaatukuzibwa.

80. Essibwa nga eva ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde (byonna).

81. Abaffe ebigambo bwebityo ate bye mukolera obunnanfusi?

82. Nemuba nga mufuula ebigabirirwa byammwe okuba nga ddala mu biwakanya.

83. Kiki ekirobera (okuba nga) bwe guba gutuuse (omwoyo) mu ddookooli.

84. Nga mmwe mwennyini ekiseera ekyo mutunula.

85. Ate nga ffe tuli ku mwanjo gyali okusinga mmwe, naye lwakuba tewali kyemulaba.

86. Kiki ekibarobera – bwemutandibadde ku bufuge – (bwe mulimu).

87. Okuba nga muguzzaayo (omwoyo) bwemuba mukakasa?

88. Naye ssinga abadde mwabo abasembezebwa ku mwanjo.

89. Abo be b’okufuna ekiwummulo ekirungi n’eddembe n’Ejjana ey’ebyengera.

90. Era ssinga abadde mwabo ab’okuludda olwaddyo.

91. (Olwo nga agambibwa nti:) ‘Beera mirembe wamu naabo ab’okuludda olwa ddyo’.

92. Ate ssinga abadde mwabo abalimbisa (obubaka) abaabula.

93. Aba agabulwa obugenyi bw’olweje.

94. N’okusuulibwa mu ggeyeena.

95. Ddala ebyo ge mazima amasengejje.

96. Kale tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omulezi wo Omugulumivu.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *