Skip to content
Home » 49. Hujurat (Ebisenge)

49. Hujurat (Ebisenge)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

49. ESSUULA: ALHUJURAT, EBISENGE

Yakkira Madiina. Erina Aya 18.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abange mmwe abakkiriza temweyitiriza mu maaso ga Katonda n’omubaka we (kussaawo nsonga yonna nga bbo tebannasalawo) Era mutye Katonda. Mazima Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

2. Abange mmwe abakkiriza temuwanika maloboozi gammwe kusukkuluma ddoboozi lya Nabbi era temumwatuukiriza (linnya) mu njogera (zamwe) okufaanana nga abamu mummwe bwe mwatuukiriza (amannya ga) bannammwe, gireme okwonooneka emirimu gyammwe ate nga mmwe temutegedde.

3. Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gabwe awali omubaka wa Katonda, beebo Katonda be yagezeseza emitima gyabwe ku kutya (Katonda), Bafuna abo okusonyiyibwa n’empeera ennene.

4. Mazima abo abakuyita nga basinziira emabega w’ebisenge, abasinga obungi kubo tebategeera.

5. Naye ssinga mazima abo bagumiikirizza okutuusa lw’ofuluma okugenda gyebali kye kyalibadde kisinga obulungi gyebali. Kale Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. Abange mmwe abakkiriza, bwaba azze gyemuli omunnanfuusi n’amawulire mugeetegereze, ssi kulwa nga mukosa abantu olw’obutamanya ne mukeesa nga bye mwakoze mubyejjuza.

7. Era mumanye nti mazima omubaka wa Katonda ali mummwe, ssinga yekkiriranya nammwe ku nsonga ezisinga obungi mwalyettattanye, kyokka Katonda yabaagazisa obukkiriza era yabufuula ekkula mu mitima gyammwe bwatyo n’abakyayisa obujeemu n’obwewagguzi n’obwonoonyi. Beebo nnyini abaluŋŋamu.

8. Ebyo by’ebirungi ebiva ewa Katonda n’emikisa. Era Katonda ye Mumanyi Omulamuzi Kalimagezi.

9. Ate bwe wabaawo ebibinja bibiri eby’abakkiriza ebirwanaganye, mutawulure wakati wabyo. Ate ssinga kyewaggulidde ekimu kubyo ku kirala olwo mulongoose wakati wabwe mu bwenkanya. Kale mulage obwenkanya, mazima Katonda ayagala benkanya.

10. Mazima abakkiriza bonna ba luganda, kale mulongoose wakati wa baganda bammwe era mutye Katonda mube nga musaasirwa.

11. Abange mmwe abakkiriza, tewabangayo abantu okuŋoola bantu bannabwe oba oli awo nga bali be balina enkizo kwabo, era kyamuzizo abakyala okuŋoola bakyala bannaabwe, oba oli awo nga bali be balina enkizo kwabo. Era temwekiinagana era temweyitaŋŋana amanya amabi amapaatiike. Liba bbi nnyo erinnya eriraga obwonoonyi oluvannyuma lw’obukkiriza. Era oyo ateenenyezza, nga beebo abalyazamanyi.

12. Abange mmwe abakkiriza mwewale okuyitiriza okufumintiriza, mazima okufumintiriza okumu buba bwonoonyi era temukola bukessi era tewabaayo abamu kummwe okugeya bannaabwe. Abaffe eriyo omu kummwe ayagala okulya ennyama ya muganda we nga mulambo? Ekyo nga mukitamiddwa! Kale mutye Katonda, mazima Katonda akkiriza okwenenya ye w’Okusaasira okwenjawulo.

13. Abange mwe abantu, mazima ffe twabatonda nga tubajja mu kisajja n’ekikazi era twabafuula amawanga n’ebika mube nga mumanyagana. Mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda y’oyo abasinga okutya Katonda. Mazima Katonda ye Mumanyi Kakensa.

14. Baalangirira abawalabu ba nnamalungu nti: ‘Tukkirizza”. Baddemu nti: ‘Temunnafuuka bakkiriza, wabula mwogere nti: ‘Twewaddeyo mu (busiraamu) mateeka ga Katonda naye obukkiriza tebunnayingira mu mitima gyammwe. Era ssinga mugondera Katonda n’omubaka we aba takendeeza ku mirimu gyammwe kintu kyonna. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

15. Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we oluvannyuma ne batabuusabuusa, era ne balwana nga beyambisa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe mu kkubo lya Katonda. Beebo bennyini abaamazima.

16. Babuuze nti ‘Abaffe, butya bwe mumanyisa Katonda eddiini yammwe ate nga Katonda y’Amanyi ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi, era Katonda buli kintu akimanyi.

17. Balaga nti wafuna omukisa olw’okuba beewaayo mu (busiraamu) mateeka ga Katonda. Ggwe bategeeze nti: temukitwala nti nnafuna omukisa olw’okuba mwewaayo mu (Busiraamu) mateeka ga Katonda, wabula Katonda ye yabawa omukisa bwe yabaluŋŋamya okubazza mu bukkiriza, bwe muba abaamazima.

18. Mazima Katonda amanyi ebyama by’eggulu n’ensi era Katonda ye Mutunuulizi w’ebyo bye mukola.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *