Skip to content
Home » 89. Al – Fajir (Amariri)

89. Al – Fajir (Amariri)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

89. ESSUULA: AL-FAJIR, AMARIIRI

Yakkira Makka: Erina Aya 30.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayidde amaliiri.

2. Ndayidde ebiro ekkumi.

3. Ndayidde ebyenkanankana, ndayidde eby’ensusuuba.

4. Ndayidde ekiro nga kiggwayo.

5. Wew’awo ebyo birimu ensonga erayizisa eri oyo omubangufu.

6. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri gye yakola Mukama Katonda Omulezi wo aba Aad?

7. Ekika kya Irama ba Ssemuwanvu.

8. Abo abatalina mulala yatondebwa nga bbo munsi.

9. N’aba Thamud abo abaawummula enjazi mu kiwonvu.

10. Ne Firawo nannyini mmambo.

11. Bebo abewaggula munsi.

12. Era baayitiriza okugyonooneramu.

13. Bwatyo n’abakuba Mukama Katonda Omulezi wo akaswanyu k’ekibonerezo.

14. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo abalindiridde.

15. Kale omuntu bwaba amugezesezza Mukama Katonda Omulezi we, nga amufudde ow’ekitiibwa era nga amwanjulurizza emikisa, olwo yewaana nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange yanfula omukungu!’ 16. Ate bwaba amugezesezza Mukama Katonda Omulezi we nga amuwadde enfuna ey’ekigero, olwo nga awanjaga nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange yankopawaza’.

17. Awatali kuwannaanya, ddala mwerema okuwa ekitiibwa mulekwa.

18. Era mwerema okukubiriza (abalala) okuliisa omunkuseere.

19. Olwo nemuba nga mwepokera eby’obusika (bya ba mulekwa) olwepokera mawuuno. 20. Era ne muba nga mwegomba eby’enfuna olwegomba makunale.

21. Awatali kuwannaanya, bweba emulunguddwa ensi bwe mmulu mmulu.

22. Era najja Mukama Katonda Omulezi wo ne ba Malaika nga bali nnyiriri nnyiriri.

23. Era n’aleetebwa ku lunaku olwo ggeyeena. Ku lunaku olwo aba yebuulirira omuntu, naye baabu we akujja wa okwebuulirira?

24. Nga yekubagiza nti: ‘Yaaye zinsanze, ssinga nnakulembeza (okukolerera) obuwangazi bwange (obw’oluvannyuma)’.

25. Kale ku lunaku olwo mpawo abonereza (okufaanana) embonereza Ye noomu.

26. Wadde akoliga (okufaanana) enkoliga Ye noomu.

27. Owange ggwe omwoyo omutebenkevu.

28. Ddayo eri Mukama Katonda Omulezi wo nga osiimye nga wasiimwa.

29. Kale yingira mu baddu bange (abalongofu)

30. Era yingira Ejjana yange.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *