Skip to content
Home » 6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)

6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(6) ESSUULA AL-ANI’AM ‘ENSOLO EZIRUNDIBWA’

Yakkira Makka, erina Aya 165.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Amatendo amalungi ga Allah oyo eyatonda eggulu n’ensi era yassaawo ebizikiza n’ekitangala. Oluvannyuma abo abaajeemera Mukama Katonda Omulezi wabwe bawuguka.

2. Y’oyo eyabatonda nga abajja mu ttaka, bwe yamala n’alamula okubaawo kw’entuko za buli kiramu. Ate n’entuko ezaagerageranyizibwa ziri gyali. Bwemuva awo mmwe ate nemubuusabuusa.

3. Era ye wuyo Allah, Katonda asinzibwa mu ggulu ne munsi, amanya bye mukukusa ne bye muteeka mu lwatu, era amanya bye mukola.

4. Kale teriiyo kibatuukako kyonna, nga libadde tteeka eriva ku mateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe, okujjako nga bonna balyesamba.

5. Ate mazima baalimbisa ekituufu nga kimaze okubajjira, naye galina okubatuukako amawulire agafa kwebyo bye baali bakwenyakwenya.

6. Abaffe balemeddwa okwelorera, kameka nga tuzikiriza nazzikuno nga tebannabaawo, enkuyanja y’emirembe gye twali tusobozesezza okunywera munsi, engeri ate mmwe gye tutaabasobozesa, era netubafukumulira namuttikwa w’enkuba ey’olukeremete, era netusobozesa emigga okuwaguluza, negikuluggukira mu bikko byabwe, olwo netubazikiriza olw’ebyonoono byabwe, era ne tusibulayo nga abo baweddawo omulembe gw’abalala.

7. Naye ssinga twassa gyoli ekitabo ekiwandiike mu mpapula ne bazikwatako n’emikono gyabwe, mazima abo abaajeema baaligambye nti: ‘Tewali ngeri ndala bino gye bitwalibwamu okujjako okubeera eddogo eryeyolefu.

8. Era baabuuza nti: ‘Lwaki Malaika ssi y’essibwa gyali?’ Sso nga ssinga Malaika gyetwassa, mazima yaalisaliddwawo lumu ensonga y’okuzikirira kwabwe, oluvannyuma netabaayo balindirizibwa.

9. Ate ssinga Malaika gye twafuula omubaka, nayo twaligifudde musajja era netugyambaza ebyo bye bambala.

10. Era mazima baaŋoolebwa ababaka bangi nazzikuno nga tonnabaawo, era nekituuka ku kibinja ekimu ekyabo, abaaŋoola ekibonerezo ky’ebyo bye baali baŋoola.

11. Ggwe bagambe nti: ‘Mutambule munsi mwetegereze engeri gye yalimu enkomerero yabo abaalimbisa.

12. Ggwe babuuze nti: ‘Byani ebiri muggulu n’ensi?’ Baddemu nti: ‘Bya Katonda yekka!’ Yekakasaako obusaasizi. Kale ajja ku bakuŋŋaanyiza ddala okubatuusa ku lunaku lw’enkomerero olutaliimu kubuusabuusa. Abo abaafiiriza emyoyo gyabwe bebo abatasobola kukkiriza.

13. Era bibye yekka ebyo ebitudde entende mu biseera by’ekiro n’emisana, era ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

14. Babuuze nti: ‘Ekitali Katonda kisoboka kitya nange okukifuula omulabirizi wange nendekawo Omutonzi w’eggulu n’ensi, era nga yewuyo agabirira ebitonde, sso nga yye tewali kimugabirira?’ Bagambe nti: ‘Mazima nze nalagirwa okuba omusaale owaabo abeewaddeyo (okusiramuka) okugoberera amateeka ga Katonda’. Kale mwewale okubeera abasamize.

15 Bategeeze nti: ‘Mazima nze ntya nnyo bwemba njemedde Mukama Katonda omulezi wange, ebibonerezo by’olunaku olw’ekitiibwa’.

16. Oyo yenna asimattulwa obutatuukibwako bibonerezo bya lunaku olwo, mazima aba (Katonda) amusaasidde. Era okwo kwe kuganyulwa okweyolefu.

17. Kale singa Katonda akutuusaako akacwano teriiyo akajjawo okujjako Yye, ate singa akutuusizzaako ekirungi, era yewuyo nga buli kintu ye Musobozi wakyo.

18. Era ye Muwanguzi w’abaddu be. Era yewuyo Ssabalamuzi Kakensa

19. Babuuze nti: ‘Wannaba ki oyo ali kuntikko mu kuwa obujurizi?’ Baddemu nti: ‘Ye Allah asinzibwa! Yoyo awa obujulizi wakati wange nammwe. Era yabikkulirwa gyendi eno Qur’an (Ssemusomwa) kinsobozese okugyeyambisa okubalabula, gattako abo beeba etuuseeko (oluvanyuma). Abaffe, musazeewo mmwe okuwa obujulizi obulambika nti: Mazima Katonda ali wamu ne balubaale abasinzibwa abalala?’. Bategeeze nti: ‘Ekyo kafuuwe nze okukiwaako obujulizi!’ Bannyonnyole nti: ‘Mazima ye yekka Mwene asinzibwa ali omu, era mazima nze enesambira ddala ebyo bye muwanuuza okugattika’.

20. Abo be twawa ekitabo (Muhammadi) bamumanyi bulungi okufananira ddala nga bwe bamanyi abaana babwe. Abo abaafiiriza emyoyo gyabwe, kale bebo abatasobola kukkiriza.

21. Era kasobeza nnaba ki asinga oyo ajweteka ku Katonda obulimba oba alimbisa amateeka gaffe? Mazima ekituufu kiri nti mpawo baganyulwa nga balyazamanyi.

22. Era lwe lunaku lwetubazuukiza bonna oluvannyuma ne tubuuza abo abaawambagatanya nti: ‘Giruwa emiwambagatanyo gyammwe gyemubadde mulowoolezamu?’

23. Ebyo nga biwedde teriiyo kigezo kye bagezesebwa, okujjako ekyo kye baddamu nga begaana nti: ‘Aga Katonda Mukama Omulenzi waffe tetubadde basamize!’.

24. Werolere engeri gye berimba bbo bennyini era ne bibazaawako bye babadde bajweteka.

25. Era ekibinja kyabwe osangamu abo abakuwuliriza. Ssonga twametta ku mitima gyabwe envumbo ebalemesa okubitegeera era mu matu gabwe mulimu luziba. Era bwe baba balabye etteeka lyonna bagaana okulikkiriza, okutuusa nga bamaze kujja gyoli okukukaayanya, nga abo abaajeema bagamba nti; mazima bino tewali ngeri ndala gyebitwalibwamu okujjako okubeera enfumo zabo abaasooka.

26. Era bebo abatangira abalala, baleme kugakkiriza (amateeka ago) era nabo ne bagesamba, kale teriiyo kye bazikiriza okujjako emyoyo gyabwe naye tebakimanyi.

27. Naye ssinga werolera embera yabwe bwe baba bayimiriziddwa mu maaso g’omuliro, olwo bamale bawanjage nti: ‘Nga twazikirira dda! Mukadde ssinga tuzzibwayo netutaddayo kulimbisa mateeka ga Mukama Katonda Omulenzi waffe era netubeera muluse lw’abakkiriza’.

28. Wew’awo byonna byebaakisanga olubereberye byaboolesebwa. Ate ne bwe baalizziddwayo era bye baagaanibwa baalibizzeeko. Mubutuufu abo be balimba.

29. Kale baagamba nti: ‘Obwo bwokka bwe tulinawo bwe bulamu bwaffe obw’ensi, era teriiyo muffe muntu yenna wa kuzuukizibwa’.

30. Naye ssinga werolera embeera yabwe bwebaba bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama Katonda Omulezi wabwe, amale ababuuze nti: ‘Abaffe gano era tegakyali mazima?’. Baddemu nti: ‘Wew’awo ago ge mazima gennyini Aga Katonda waffe!’. Olwo abaddemu nti: ‘Mulege ku bukaawu bw’ekibonerezo olw’ebyo bye mwali mujeemera’.

31. Mazima bafaafaaganiddwa abo abaalimbisa okusisinkana Katonda, okutuusiza ddala nga emaze okubatuukako essaawa y’enkomerero ekibwatukira olwo bawanjage nga bejjusa nti; ‘Nga twafiirwa okubulwayo ekintu kyetufunayo mwebyo byetwejabaatirangamu, olwo nga beetikka ebyonoono byabwe ku migongo gyabwe. Awatali kuwannaanya bibi nnyo bye boonoona.

32. Era teriiyo ngeri ndala obuwangazi bw’ensi gye bubalibwamu okujjako okubeera omuzannyo n’okugoma. Era ennyumba ey’enkomerero yesinga obulungi eyayawulirwa abo abatya Katonda. Abaffe mulemeddwa okutegeera?

33. Mazima tukimanyi nti ddala bikunakuwaza ebyo bye boogera. Mazima ekibinja kyabwe kyonna ssi kyekikulimbisa, naye mpozzi abalyazamanyi amateeka ga Katonda be bagawakanya.

34. Era mazima baalimbisibwa ababaka bangi nazzikuno nga tonnabaawo, kyokka baagumiikiriza ebyo bye baalimbisibwa, era baabonyabonyezebwa okutuusa lwe kwabatuukako okutaasa kwaffe, era teriiyo kikyusa bigambo bya Katonda. Kale mazima biibyo bikutuuseeko ebimu ku byafaayo by’ababaka.

35. Ate bwoba owulidde okutendewalirwa ennyo okugumira obujeemu bwabwe, kale bwoba osobodde okwefunirayo emiwulukwa gyoyitamu muttaka, oba enkandaggo eneekulinnyisa muggulu okufunayo ekyamagero kyobaleeterayo (gezaako ekyo). Ate ssinga Katonda yayagala yaalibagasse ku buluŋŋamu bumu. Kale wewalire ddala okubeera mu luse lw’abatategeera.

36. Mazima abo abayanukula omulanga gwo bebo abawulira. Era abafu (abatayanukula mulanga gwo), Katonda abazuukiza, oluvannyuma gyali gye bazzibwa.

37. Kale baabuuza nti: ‘Kiki ekimulemesezza okussibwako ekyamagero ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi we?’. Baddemu nti: ‘Mazima Katonda ye musobozi w’okussa ekyamagero, kyokka abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebamanyi’.

38. Era teriiyo kiramu kitambula nga kiri munsi wadde ekinyonyi ekyeyambisa ebiwawaatiro byakyo ebibiri okubuuka mu bbanga okujjako nga (buli kika ku byo kitwalibwa nga) luse olwetongodde okufananako nga mmwe bwemuli. Tewali kintu kye tutaalambika mu kitabo nga kiri mu buwandiike. Oluvannyuma eri Mukama Katonda Omulezi wabwe gye bazuukizibwa.

39. Era abo abaalimbisa amateeka gaffe, bakiggala era bakasiru bali mu bizikiza. Oyo yenna Katonda gwayagala gwabuza, era oyo yenna gwayagala gwassa mu kkubo eggolokofu.

40. Babuuze nti: ‘Abaffe mulaba mutya ssinga kibatuukako ekibonerezo kya Katonda oba kibatuukako ekiseera ky’enkomerero, abaffe ekitali Katonda kye muwanjagira bwe muba abaamazima?’.

41. Ekituufu ye wuyo yekka gwe muwanjagira era ajjawo ebyo byemumuwanjagirako bwaba ayagadde, ne mwelabira bye mwali mugattika ku Katonda.

42. Era mazima twatuma ababaka eri emirembe nkuyanja nazzikuno nga tonnabaawo, olwo netugituusaako obunkuseere n’endwadde kigisobozese okukkakkana.

43. Naye kiki ekyabalemesa bwe bwabatuukako obunkuseere bwaffe okukkakkana? Naye gyaguma emitima gyabwe era Ssitaani nabawundira bye baali bakola.

44. Bwebaatuukira ddala okwelabira ebyo ebyababuulirirwa, olwo netubaggulirawo emiryango gya buli kintu, okutuusa lwe baafuna assanyu olw’ebyo ebibaweereddwa, olwo netubibajjako mbagirawo, bwebatyo nebaba nga baayinga ennaku okuzaama.

45. Neefa ttogge enkomerero y’abo abaajeema, negaba nga amatendo amalungi ga Katonda yekka Allah Mukama Omulenzi w’ebitonde byonna.

46. Babuuze nti: ‘Mulabye mutya, singa Katonda abatwalako okuwulira kwammwe n’okulaba kwamwe era n’ametta envumbo mu mitima gyammwe, musinzibwa wa nnaba ki atali Katonda ayinza okubibaddiza?’ Kale werolere engeri gye tuteekulula ebyamagero mu miteeko gyabyo, oluvanyuma bebo ate abeerema.

47. Babuuze nti: ‘Mulabye mutya singa kituuse gye muli ekibonerezo kya Katonda ekibwatukira oba mu lujjudde, abaffe eriyo abalala abazikirizibwa okujjako abantu abalyazamanyi?’

48. Ate tewali lwetwali tutumye Mubaka okujjako nga asaasaanya mawulire ga ssanyu era nga alabula, oyo aba akkirizza era n’alongosa, abo tewali bweraliikirivu bubatuukako era bebo abatanakuwala.

49. Naye abo abaalimbisa amateeka gaffe, kibatuukako ekibonerezo olw’engeri gye baali bayonoona.

50. Bategeeze nti; ‘Nze ssogerangako gyemuli nti gali wange amawanika ga Katonda, era ssimanyi byankiso, era ssogerangako gyemuli nti: nze ndi Malaika, teriiyo kirala kyengoberera okujjako ebyo ebimbikkulirwa’. Babuuze nti: ‘Abaffe, muzibe n’omulabi benkana? Abaffe mulemeddwa okufumintiriza?’

51. Kale labula nga gyeweyambisa (Qur’an) abo abatya okuzuukizibwa nga bazzibwa eri Mukama Katonda Omulezi wabwe. Tebalinaayo nga ojjeeko Katonda wa kubeeyimirira wadde abawolereza, kibasobozese okutya Katonda.

52. Era tosindiikiriza abo abasaba Mukama Katonda Omulezi wabwe mu matulutulu n’akawungezi nga gwebaluubirira yekka. Tolina ngeri gyovunanyizibwa ku bya kubabalirira mu kintu kyonna, era n’eky’okukubalirira tebakivunanyizibwako kintu kyonna, olyoke osinziire okwo okubasindiikiriza ate wesange nga oli muluse lwa balyazamanyi.

53. Kale eyo y’ensonga gyetwasinzirako okugezesebwa kwekibinja kyabwe ekimu ku bannaabwe, kibaviireko okwebuuza nti: ‘Abaffe bebo ba baabuwe Katonda be yawa omukisa n’akulekawo ffe?’ Abaffe Katonda alemererwa atya okumanyira ddala abamusiima?

54. Kale bwe baba bazze gyoli abo abakkiriza amateeka gaffe, balamuse nti: ‘Emirembe gibe gyemuli’. Mukama Katonda Omulezi wammwe yekakasaako obusaasizi. Mazima kyasalibwawo nti, oyo aba akoze mu kibinja kyammwe ekintu ekibi nga tategedde oluvannyuma neyenenya nga ebyo biwedde era n’alongosa emirimu, olwo mazima ye Mukama aba Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

55. Kale engeri eyo gye tunnyonnyola amateeka olwo lyeyelule bulungi ekkubo ly’abajeemu.

56. Bategeeze nti: ‘Mazima nze naziyizibwa okusinza ebyo bye musaba nga muleseewo Katonda. Gwe bategeeze nti: ‘Ekyo kikafuuwe nze okugoberera eby’obwagazi bwamwe. Mpozzi nga nsazeewo okubula, olwo nemba nga ssikyali mu luse lwa baluŋŋamu.

57. Bategeeze nti: ‘Mazima nze ssiviira ddala ku kituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wange, ate mmwe ebyo mwabirimbisa dda. Ssinze nnina ebyo bye musabisa akapapirizo. Teriiyo bulamuzi busalibwawo okujjako obwa Katonda yekka. Y’oyo asalawo amazima era yewuyo asingayo obulungi obutawuluzi.

58. Bagambe nti: ‘Ssinga mazima mbadde nnina bye musabisa akapapirizo, ensonga yaalibadde esalwawo wakati wange nammwe. Era Katonda y’asinga okumanya abalyazamanyi’.

59. Era alina ebisumuluzo by’ebyama, mpawo abimanyi okujjako Yye, era amanyi n’ebyo ebiri ku ttale ne mumazzi, era teriiyo kagwa wansi mu bika by’obukoola okujjako aba akamanyi, era teriiyo mpeke esangibwa mu bizikiza by’ensi wadde mu lutobazi wadde ku lukalu okujjako nga bya wandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.

60. Era y’oyo abavumbagira ekiro, era amanyi bye mukoze emisana, oluvannyuma abasisimula mu tulo olw’okusobozesa ebbanga eggere okutuukirizibwa. Oluvannyuma eri Yye bwe buddo bwammwe. Oluvannyuma wa kubannyonnyola ebyo bye mwali mukola.

61. Ate ye wuyo Omukasi wa baddu be. Era asindika gyemuli abakuumi, okutuusa lwe kituuka eri omu kummwe ekiseera ky’okufa, olwo ne bavumbagira omwoyo gwe ababaka baffe (naafa), era nga bebo abatalemererwa kukola kintu kyonna.

62. Oluvannyuma nebazzibwa eri Katonda omweyimirize wabwe owannamaddala. Mazima bubwe yekka obulamuzi bwonna, era yewuyo asinga obwangu mu kubalirira.

63. Babuuze nti: ‘Ani oyo abawonya ebizibu by’ebizikiza by’okuttale n’ennyanja, nga mu muwanjagira mu bwetoowaze n’obweraliikirivu, nga mugamba nti: ‘Bwanaatuwonya kino kye tuliko tujja kubeerera ddala bamu kwabo abeebaza’.

64. Bategeeze nti: ‘Katonda ekyo y’akibawonya, era n’ebizibu ebirala byonna, oluvannyuma mmwe muumwo ate abagattika.

65. Bagambe nti: ‘Ye wuyo asobola okusindika gyemuli ekibonerezo ekifubutukira waggulu wammwe oba wansi w’ebigere byammwe, oba okubabulizabuliza mu bubiina obutabusetabuse, abe nga abamu mummwe abasobozesa okutuusa kubannaabwe akabi. Werolere engeri eby’okulabirako ebiyigiriza gye tubissa mu masa gabyo basobole okubitegeera.

66. Kale abantubo baagirimbisa (Qur’an) awamu n’okuba nti yo ge mazima gennyini. Ggwe bagambe nti: ‘Ssinze nnina okubakuuma’.

67. Buli nsonga eyogerwako erina ekiseera kyayo mwetuukira. Naye mujja kukimanya.

68. Ate bwoba olabye abo abavvoola amateeka gaffe baveemu, okutuusa bwe banayogera embozi eyawukana kweri, era Ssitaani bweba ekwerabizza olwo wewale okutuula, bwoba ojjukidde, nga oliraanye abantu abalyazamanyi.

69. Era tebalinaawo, abo abatya Katonda ngeri yonna gye bavunanyizibwa ku kyakubabaririra mu kintu kyonna, wabula eky’obuvunanyizibwa ekirina okutuukirizibwa kwe kubajjukiza basobole okutya Katonda.

70. Kale yawukana kwabo abafuula eddiini yabwe okuba ey’omuzannyo n’okugoma era nga bubabuzaabuzizza obuwangazi bw’ensi. Kale gyeyambise (Qur’an) okubuulirira, kisobozese okuwonya omwoyo okwezikiriza gwokka olw’ebyo (ebibi) bye gwakola, nga tegulinaayo bwoba ojjeeko Katonda, mweyimirize yenna wadde omuwolereza, era nga nebwegwenunuzisa ennunuzi eyenkana ki tekkirizibwa kugigujjako kutwalibwa. Abo be baatuuka okwewaayo bokka mu kuzikirira olw’ebibi bye baakola. Baakuweebwa eky’okunywa ekiseneddwa ku lweje gattako ekibonerezo ekiruma ennyo olw’ebyo bye baali bajeemera.

71. Babuuze nti: ‘Abaffe tusobola tutya okuwanjagira ebitali Katonda ebyo ebitasobola kutugasa era ebitasobola kutukola bubi, olwo naffe tuzzibwe emabega nga tukyukira ku bisinziiro byaffe, sso nga Katonda yamala dda okutuluŋŋamya, tutuuke okufanana nga oyo Ssitaani gwebulizza mu ddungu ayengetanira eyo, ne bwaba n’abemikwano abamukoowoola okudda eri obuluŋŋamu nti: ‘Jangu gyetuli!’ Tasobola kugenda gye bali? Bategeeze nti: ‘Mazima obuluŋŋamu bwa Katonda bwe buluŋŋamu obwannamaddala. Era ffenna twalagirwa (okubeera abasiraamu) okugondera amateeka ga Mukama Katonda Omulenzi w’ebitonde byonna.

72. Era muyimirizeewo okusinza nga musaala era mutye Mukama. Kale ye wuyo Mwene nga eri Yye gye muzzibwa nga muzuukizibwa.

73. Era ye wuyo eyatonda eggulu n’ensi mu mazima. Era luliba olunaku lumu naalagira nti ‘BA!’ Nekiba nga bwasazeewo. Ekigambo kye mazima meereere. Era bubwe yekka obufuzi bwonna olunaku eŋŋombe lwefuuyibwa. Ye Mumanyi we byama n’ebyo ebiri mu lwatu. Era ye wuyo Ssaabalamuzi Kakensa.

74. Kale jjukira Ibrahiim lwe yabuuza taata we Azara (era erinnya lye eddala ye Teera) nti: ‘Abaffe naawe notuuka okweteerawo ebifananyi okubisinza? Mazima nze nkulabira ddala wamu n’abantu bo nga muli mu bubuze obw’enkukunala’.

75. Kale bwetutyo ne tulaga Ibrahim ebitonde ebiri mu bwakabaka bw’eggula n’ensi, olwo kimusobozese okufuna okumatira.

76. Bwatyo obudde bwe bwamuzibirira yalaba emmunyenye, n’agamba nti: ‘Oyo ye Mukama Katonda omulezi wange, ate bweyabulirayo n’agamba nti: ‘Nze ssaagala bibulirayo’.

77. Ate bwe yalaba omwezi nga gweludde, yagamba nti: ‘Oyo ye Mukama Katonda omulezi wange!’ Ate bwe gwabulirayo nagamba nti: ‘Ssinga Mukama Katonda Omulezi wange alema okunnuŋŋamya, mazima nja kubeerera ddala omu ku bantu abaabula,’

78. Ate bweyalaba enjuba nga eyerudde, yagamba nti: ‘Oyo ye Mukama Katonda Omulezi wange. Y’oyo asinga obunene’. Ate bwe yabulirayo, yagamba nti: ‘Bannange nze kati njabulidde byonna ebyo bye mugattika’.

79. ‘Mazima nze njolekezza obwenyi bwange eri oyo eyatonda eggulu n’ensi nga ntukiriza okukomola n’okwewala enzikiriza ezitakkiririza mu (Busiraamu) kwewaayo mu mateeka ga Katonda, era ssiri muluse lwa basamize’.

80. Olwo ne bamukaayanya abantu be, naababuuza nti: ‘Abaffe munkayanya ku nsonga ezikwata ku Katonda nga mazima yamala dda nze okunnuŋŋamya? Ate ssirina kyentya kwebyo bye mugattika, okujjako nga Mukama Katonda Omulezi wange ayagadde kintu kirala. Era Mukama Katonda Omulezi wange ebintu byonna yabyebunguluza okubimanya. Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?’.

81. ‘Kisoboka kitya nze okutya bye mugattiriza, kyokka nga mmwe tewali kye mutya ku musango gw’okugattiriza ku Katonda ebyo ebitalina ngeri yonna gye yabissizaawo gye muli kukkiriza kwonna kweyali abakkirizza? Olwo kibinja ki ku bibinja ebibiri ekiteekwa okuba mu mirembe, bwe muba mumanyi?’

82. Abo abakkiriza era abewala okutabiikiriza ensobi mu bukkiriza bwabwe, bebo abafuna emirembe era bebo abaluŋŋamu.

83. Kale ebyo bye by’okwesembesa byeturina, twabiwa Ibrahim abyeyambise eri abantu be. Ffe tusitula amadaala g’oyo gwe twagala. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye Ssabalamuzi Omumanyi.

84. Olwo ne tumugemulira ezzadde lya Isihaaka ne Yakuubu. Bonna abo twabaluŋŋamya. Era n’ekibinja ekimu mu bazzukulu be (Ibrahim); Dawuda, ne Sulaiman ne Ayyuubu ne Yusufu ne Musa ne Haruna. Era eyo y’engeri gyetusasula abalongosa emirimu.

85. Ne Zakaria (twamuluŋŋamya) ne Yahaya ne Iliyasa, bonna abo nga batuukirivu.

86.Ne Ismail (twamuluŋŋamya) ne Yasa’a ne Yunus ne Luutu. Era bonna abo twabasukkulumya ku bantu abasigadde munsi.

87. Era n’ekibinja ekimu mu bakitaabwe (twakiluŋŋamya) ne bazzukulu babwe ne baganda babwe. Era abo bonna twabaawula netubaluŋŋamya okukwata ekkubo eggolokofu.

88. Okwo kwekuluŋŋamya kwa Katonda, akweyambisa okuluŋŋamya gwayagala mu baddube. Era abo singa baali basamize byalibafudde ttogge ebyo bye baali bakola. 89. Bebo be twawa ekitabo n’okutegeera, n’obwa Nabbi. Kale abo ne bwebabijeemera, mazima ffe twamala dda okubisikiza abantu abalala abatayinza kubiwakanya.

90. Bebo Katonda be yaluŋŋamya. Kale weyambise okuluŋŋama kwabwe okugoberere. Ggwe bategeeze nti: ‘Tewali mpeera gyembasaba lwakugibayigiriza (Qur’an). Tewali kigigendererwamu kilala okujjako okuwabula ebitonde by’ensi yonna.

91. Ate baalemererwa okumanya Katonda nga bamatidde okumanya okutuufu, bwe baayogera nti: ‘Katonda talina kintu kyeyali assizza ku muntu!’. Ggwe babuuze nti: ‘Ani yassa ekitabo Musa kye yajja nakyo nga y’ettawaaza era obuluŋŋamu obwayawulirwa abantu, nga (kati kyemuliko) mukiwandiika mu mpapula zemwolesa, ate nga byemukweka bingi. Sso nga muyigiriziddwa bingi bye mwali mutamanyi mmwe newankubadde ba kitammwe. Ggwe bategeeze nti: ‘Oyo ye Katonda Allah asinzibwa!’. Bwomala nga obaleka mu bubuze bwabwe okutiguka.

92. Era kino kye kitabo (Qur’an) tukissizza nga kijjudde emikisa, kinyweza ekyo (Tawuleti oba Enjiri) ekiriwo, kale kyeyambise okulabula abantu be Ummul Kurah (entambiro y’ebibuga) naabo ababeetoolodde. Era abo abakkiriza enkomerero bakikkiririzaamu (ekitabo) era bebo ababa nti esswala zabwe bazeekuuma obutazirekaayo.

93. Kale aliwa kasobeza asinga oyo ajwetese ku Katonda obulimba oba oyo asamwassamwa n’ebigambo nti: ‘Nfunye okubikkulirwa okw’obwa nnabbi!’. Sso nga teriiyo kubikkulirwa kwafunye ku kintu kyonna, era n’oyo asamwassamwa n’ebigambo nti: ‘Nja kussa ekifananira ddala ekyo Katonda kyeyassa!’. Naye ssinga werolera embera bweba, abakuusa lwe babeera mu kazigizigi w’okufa era ba Malaika nga bateze emikono gyabwe (okuvumbagira emyoyo gyabwe) nga bwe balagira emyoyo gyabwe ebiragiro nti: ‘Mwe mwennyini mwekuulemu mwekka! olwaleero mulina okusasulwa ekibonerezo ekiweebuuza nga mulangibwa bye mwali mwogera ku Katonda ebitali bya mazima, era nga mwali amateeka ge mugekuluntalizaako!’.

94. ‘Era mazima mukomyewo gyetuli bwa nnamunigina okufananako nga bwe twabatonda omulundi ogwasooka. Era mwaleka bye twabawa emabega w’emigongo gyammwe. Ate tetulabayo muwolereza wammwe yenna gwe muli naye kwabo bwe mwalowoolezangamu nti mazima bbo ba kubeera bumu nammwe obutabaabulira. Mazima kivuddewo ekyali kibagatta wakati wammwe era ne bibabulako bye mubadde mulowoolezaamu’.

95. Mazima Katonda ye mwanjuluzi w’empeke n’ensigo. Ajja ekiramu mu kifudde era ye muviisa w’ekifu mu kiramu. Ye wuyo nno mmwe, Katonda asinzibwa Allah. Naye ate lwaki muwugulwa?

96. Ye mwanjuluzi w’amakya era yaddira ekiro nakifuula ekiwummulo, ate enjuba n’omwezi n’abifuula eby’okweyambisa mu kubalirira. Eyo y’engerageranya ya Luwangula Omumanyi.

97. Era y’oyo eyabassizaawo emmunyenye, muzeyambisa okuluŋŋama nga muyita mu bizikiza byokuttale n’ennyanja – mazima bwetutyo bwetuteekululidde eby’okulabirako ebinnyonnyola mu miteeko gyabyo eri abantu abamanyi.

98. Era y’oyo eyajja ensibuko yammwe mu mwoyo gumu, olwo naafunira abamu mummwe obutuuze era abalala mummwe n’abatereka mu mawanika. Mazima bwetutyo bwe tuteekululidde eby’okulabirako ebinnyonnyola mumiteeko gyabyo eri abantu abageziwavu.

99. Era y’oyo atonnyesa okusinziira mu ggulu enkuba netugimezesa ebimera by’ebintu byonna. Ekimera netukiggyamu kiragala gwetujjamu empeke eziri mu birimba. Era eŋŋo z’entende namwo tujjamu enkota ezirengejjera okumpi, N’amalimiro g’emizabbibu n’emizaituuni n’enkomamawanga nga bifaanana naye nga birina ekibyawula. Kale wetegereze ebibala byabyo nga bimulisizza ne webyengerera. Mazima ekyo mmwe kirimu ekyamagero eri abantu abakkiriza.

100. Era baayimbagatanya ku Katonda emigattiko mingi egya maginni, awamu n’okuba nti ye yagatonda. Era nebamujwetekako okuba n’abaana abalenzi n’abawala nga tebalina kye bakimanyiiko. Obutukuvu buli gyali n’okugulumizibwa nga ayawulibwa kwebyo bye bamunnyonnyolako. 101. Ye Mugunzi w’eggulu n’ensi kisoboka kitya okuba n’omwana ate nga tabangako na mukyala? Era ye yatonda buli kintu. Era yewuyo nga buli kintu ye Mumanyi wakyo.

102. Oyo mmwe ye Katonda asinzibwa Allah, Mukama Omulenzi wammwe. Teriiyo asinzibwa okujjako Yye. Ye Mutonzi w’ebintu byonna, era mu musinze. Era ye wuyo nga buli kintu ye Mwesigamirwa wakyo.

103. Tekumutuukako okulaba kw’amaaso sso nga Yye tewali kyatalaba. Era yewuyo omugondeza kakensa.

104. Mazima yiiyo ebatuuseeko ettawaaza y’omutima (Qur’an) nga eva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe. Kale oyo azibuse amaaso, omwoyo gwe, gwe guba gufunye ekitangala, era oyo azibye amaaso, omwoyo gwe gwegubeera munzikiza. Era nze ssiriiwo gye muli nga omukuumi.

105. Kale eyo yengeri gye tuteekulula eby’okulabirako mu miteeko gyabyo, olwo kibasobozese okwogera nti: ‘Osomye noosukka!’ Olwo tulyoke tubinnyonnyole abantu abamanyi.

106. Ggwe goberera ebyo ebikubikkulirwa nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Teriiyo asinzibwa okujjako Yye. Era wesambe abasamize.

107. Ate Katonda ssinga yayagala tebaalisamidde. Era ggwe gyebali tetwakussaawo kubeera mukuumi. Era ggwe gyebali toli mweyimirize wabwe.

108. Era wewale okuvuma ebyo bye basinza ebitali Katonda, olwo bali kibaviireko okulekayo okuvuma Katonda nga beesasuza olwokuba tebamanyi. Eyo yengeri gye twawundira buli mulembe emirimu gyagwo, oluvannyuma ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe gyebalina okuzzibwa era ababuulire bye baali bakola.

109. Kale baalayira Katonda ebirayiro ebinywevu nti, bwekinaabatuukako ekyamagero bateekwa okukikkiriza. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima ebyamagero byonna biri wa Katonda yekka. Naye mumanyira kuki nti mazima bwekiba kizze (ekyamagero) tebakikkiriza?.

110. Bwetutyo tuwugula emmeeme zabwe n’amaaso gabwe nebaba nga abataakikkiriza omulundi ogwasooka, netubaleka mu bubuze bwabwe nga bawunaawuna.

111. Era mazima ssinga ffe twasindika gyebali ba Malaika (okuva muggulu) era netusobozesa abafu okwogera nabo, era netwanja mu maaso gabwe buli kintu obuluŋŋana, tekyalibasobozesezza kukkiriza okujjako olw’okwagala kwa Katonda, naye enkuyanja y’abantu abo tebategeera.

112. Kale bwetutyo buli Nnabbi twamuteerawo omulabe, nga ze Ssitaani eziri mu kika ky’abantu n’amaginni, nga ekibinja ekimu kuzo kitumira kinnakyo obubaka bw’ebigambo by’okwegulika nga kubuzaabuza kwereere. Kale ssinga Mukama Katonda Omulezi wo yayagala tezaalibikoze. Kale ggwe baveeko n’ebyo bye bagunja.

113. Olwo giryoke gyettanire okubiwuliriza, emitima gyabali abatakkiriza nkomerero, era balyoke babisiime, olwo be malire mu kwedibaga mwebyo byebeedibagamu nga bazza emisango.

114. Abaffe, nange, ekyo ekitali Katonda nsobola ntya okukyegwanyiza okuba Ssaabalamuzi wange, sso nga Yye Mwene (Katonda) y’oyo eyassa gyemuli ekitabo lunnyonnyola. Era nabali betwawa ekitabo bamanyidde ddala nti kyekyo ekyassibwa okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo mu mazima. Kale ggwe wewalire ddala okuba mwabo ababuusabuusa.

115. Era kituukiridde ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi wo mu mazima n’obwenkanya. Mpawo kikyusa bigambo bye. Era ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

116. Ate bw’onekkiriranya n’enkuyanja y’abo abali munsi, nga bakubuza oleme kukwata kkubo lya Katonda. Teriiyo kirala kyebagoberera okujjako endowooza zabwe. Ate tewali kirala kye baliko okujjako okufumintiriza.

117. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo y’oyo asinga okumanya oyo yenna abula nga ava ku kkubo lye, era yewuyo asinga okumanya abaluŋŋamu.

118. Kale mulye kw’ebyo ebiraamiriziddwako erinnya lya Katonda (nga bisalibwa) bwe muba nga amateeka ge mugakkiriza.

119. Ate kivaawa ekibaviirako okubalobera okulya kwebyo ebiraamiriziddwako erinnya lya Katonda (nga bisalibwa), ate nga mazima abannyonnyodde bye yabaziyiza nga ojjeeko ebyo bye muwaliriziddwa okubyeyambisa. Naye mazima abasinga obungi babuza (bannaabwe) olw’okwettanira eby’egombebwa byabwe nga tebasinziira ku buyivu. Mazima Mukama Katonda Omuleziwo yewuyo asinga okumanya abeewagguzi.

120. Era mwewale ebiba bikoleddwa mu lwatu nga nsobi n’ebyo ebikoleddwa mu kyama. Mazima abo abakola ebyonoono ba kusasulwa bye baali bakola mu kwedibaga.

121. Kale mwewale okulya kwebyo ebitalaamiriziddwako linnya lya Katonda (nga bisalibwa) era mazima obwo bwe bujeemu bwennyini. Era mazima Ssitaani zifuba nnyo okutumira mikwano gyazo obubaka, basinziire okwo okubakaayanya. Kale bwemunekkiriranya nabo mazima nga mufuukidde ddala abasamize.

122. Abaffe kisoboka kitya eri oyo eyali omufu netumuzzaamu obulamu era ne tumussizaawo ekitangala ky’atambula nakyo mu bantu, okuba nti embera ye efanana n’eyoyo aggweredde mu bizikiza byatasobola kuvaamu? Eyo yengeri gye baawundirwamu abajeemu bye baali bakola.

123. Era mungeri eyo twassa mu buli kyalo ba lukulwe b’okukyonooneramu, balyoke bakolere nga mu nkwe. Ate teriiyo gwe bakolera nkwe okujjako emyoyo gyabwe naye ekyo tebakimanyi.

124. Ate bwewabaawo etteeka eribatuuseeko, bagamba nti: ‘Tewali kye tujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa ebifanana n’ebyo ebyaweebwa ababaka ba Katonda!’ Katonda yasinga okumanya kifo nnaba ki mwateeka obubaka bwe. Bajja kufuna abo abaayonoona obuwebuufu mu maaso ga Katonda n’ekibonerezo ekisukkiridde olw’ebyo bye baali bayisa munkwe.

125. Ate oyo yenna Katonda gwayagala okuluŋŋamya ayanjuluza ekifuba kye ne kyemalira ku (Busiraamu) kwewaayo mu mateeka ga Katonda. Era oyo yenna gwayagala okubuza ekifuba kye akifuula ekyetuzze ekiziiro nga kyefundikidde n’abeerera ddala nga alinnyuka waggulu mu bwengula. Bwatyo Katonda bwateekerateekera ebivve abo abatakkiriza.

126. Era lino (Qur’an oba enjigiriza y’obwannabbi) ly’ekkubo lya Mukama Katonda Omulezi wo ettereevu. Mazima tumaze okuteekululira eby’amagero abantu abebuulirira.

127. Balina ennyumba ey’emirembe ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Era ye wuyo Omweyimirize wabwe olw’ebyo bye baali bakola.

128. Kale olunaku lwabakuŋŋaanya awamu bonna, (nga eddoboozi likoowoola nti:) ‘Abange mmwe enkumi n’enkumi ya maginni, mazima nga mwasussa okweyagalira mu bantu’. Olwo mikwano gyago abasangibwa mu kibinja ky’abantu nga bawanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, ekibinja ky’abamu muffe kyeyagalira mu kyabalala era tuutuno twatuuka kuntuko yaffe eyo gye watugerera!’. N’abaddamu nti: ‘Omuliro gubeere obutuulo bwammwe!’. Ba kusiisira mugwo ebbanga nga ojjeeko ekyo Katonda kyayagadde. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye Ssaabalamuzi Omumanyi.

129. Era eyo y’engeri gye tusobozesa abamu ku balyazamanyi okubafuula abeeyimirize ba bannaabwe olw’ebyo byebaali bakola.

130. Abange mmwe enkumi n’enkumi y’amaginni n’abantu, abaffe baalemererwa ddi okutuuka gyemuli ababaka abava mummwe ababannyonnyola amateeka gange era ababalabula ensisinkano y’olunaku lwammwe luno!’. Nebiddamu nti: ‘Tumaze okuwaayo obujulizi obutukwatako!’. Kale bwababuzaabuza obuwangazi bw’ensi era ne bawaayo obujulizi obubakwatako, okukakasa nti mazima baali bajeemu.

131. Ekyo kili bwekityo kubanga mazima Mukama Katonda Omulezi wo tekimugwanira kuzikiriza byalo mu bukuusa nga abantu babyo tewali kye bamanyi.

132. Era buli kibinja (ekya maginni oba abantu) kirina amadaala agenjawulo ag’ebyo bye kyakola. Era Mukama Katonda Omulezi wo ssi ye mugayaavu kwebyo bye bakola.

133. Era Mukama Katonda Omulezi wo ye Mugagga Ssebintu Nnannyini busaasizi. Bwayagala abajjawo era n’asikisa oluvannyuma lw’okuggwawo kwa mmwe b’ayagala, nga nammwe ensibuko yammwe bwe yagiggya mu bazzukulu ba bantu abalala.

134. Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuuka era teriiyo kyemusobola kulemesa.

135. Bagambe nti: ‘Abange mwe abantu bange: munywerere kunkola gye muliko, mazima nange nneemalidde kubyenkola. Era mujja kumanya ani anaafuna enkomerero ennungi. Mazima ekituufu kiri nti tebasobola kuganyulwa abalyazamanyi.

136. Kale Katonda baamwawulizaako nga bajja kwebyo bye yatonda ebisibuka mu birime n’ensolo ezirundibwa omugabo mulamba, era baagamba nti: ‘Guno gweyawulidde Katonda; munfumiitiriza yabwe; era guno gweyawulidde ba lubaale baffe!’. Kale ebyo ebyawuliddwa ba lubaale babwe tebituuka wa Katonda, songa ebyo ebyawuliddwa Katonda bituuka eri balubaale babwe. Bya kivve ebyo bye balamula. 137. Kale mungeri eyo ba lubaale babwe baawundira abasamize ekikolwa ky’okutta abaana babwe olw’okubasaanyawo era n’okubabuzaabuliza eddiini yabwe. Kale singa Katonda yayagala tebaalikikoze. Naye ggwe baveeko n’ebyo bye bagunja.

138. Era baalangirira nti: ‘Zino ensolo ezirundibwa n’ebirime bya muzizo, tewali akkirizibwa kubirya okujjako oyo gwe twagala, munfumintiriza yabwe, era ensolo ezirundibwa ezimu gyafuulibwa gya muzizo emigongo gyazo (tegyebagalwa), era ensolo ezirundibwa ezimu tebalaamirizaako linnya lya Katonda (nga bazisala), nga kwekwo okumujwetekako obujwetesi. Ajja kubasasula byonna bye baali bamujwetekako.

139. Era baalangirira nti: ‘Eggwako eriri mu mbuto z’ensolo ezirundibwa zino lyeyawulidde basajja bokka muffe, era lyaziyizibwa bakyala baffe’. Kyokka bwe lisowolwa nga lyafa dda, olwo nga balyegattako bonna. Kale ajja kubasasula empisa zabwe ezo. Mazima yewuyo Ssaabalamuzi Omumanyi.

140. Mazima bafaafaaganiddwa abo abaatirimbula abaana babwe olw’entegeera yabwe ennafu n’obutamanya bwabwe era ne babifuula bya muzizo ebyo Katonda bye yabagemulira nga kwekwo okujweteka obujwetesi ku Katonda. Mazima baabula era tebaali baluŋŋamu.

141 Era y’Oyo eyasibula amalimiro ag’ebimera ebyetengerera nga byesimbye era n’agebimera bi nnamulanda (ebirandira obulandizi) era yasibula n’emitende n’emizabibu nga byawukana empooma yabyo. Yasibula n’emizayituuni n’enkomamawanga nga bifaanagana naye nga waliwo ekibyawula kale mulye ku bibala byabyo bwebiba bitaddeko ebibala, era muweeyo omuteeko (gwa Zaka) ogulina okujjibwamu ku lunaku lwa makungula. Kyokka temudiibuuda. Mazima Yye Mukama tayagala badiibuuzi.

142 Ate n’ensolo ezirundibwa ezimu yasibulamu enneetissi z’emigugu n’eziggibwako ebyaliiro. Mulye ebimu kw’ebyo Katonda bye yabagabira era temugoberera mikwesese gya Ssitaani. Mazima yyo Ssitaani mulabe wammwe omweyolefu.

143 Giri emiteeko munaana: endiga (ziri) bbiri n’embuzi bbiri. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe okuziza kwambukira ku mugogo gwa nnume oba gwa nduusi. Nandiki ku mawako gonna omugogo gw’enduusi gweziba zifunye? Munnyinyonnyole nga musinziira ku buyivu bwe muba muli ba mazima’.

144 Era n’engamiya (ziri) emiteeko abiri, n’ente emiteeko ebiri. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe okuziza kwambukira ku mugogo gwa nnume oba gwa nduusi. Nandiki ku mawako gonna omugogo gwenduusi gweziba zifunye? Ye abaffe mwaliko ddi abajulizi nga Katonda ebyo abibalaamira?’ Kale kasobeza nnaba ki asinga oyo ajweteka ku Katonda eby’obulimba olw’okwagala okubuza abantu nga asinziira ku butali buyivu. Mazima Katonda teluŋŋamya bantu balyazamanyi.

145 Ggwe bategeeze nti: ‘Tewali kyenfunye mwebyo ebimbikkulirwa nga kyafuulibwa kya muzizo eri omulyi yenna ayagala okukirya, okujjako nga ebadde nnyamanfu (gyalidde) oba musaayi ogutiiriika oba nnyama ya mbizzi. Mazima ebyo z’entalondwa oba ebivve, ebyalaamirizibwako ekyo ekitali Katonda (nga bisalibwa). Naye oyo awaliriziddwa nga tewali ngeri yonna gy’asikiriziddwa mu mmeeme ye kwewaggula oba kusukka kikomo (n’amala alya ku by’emizizo) Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

146 Ate bbo Abayudaaya twabaziyiza ebyo ebikwasa enjala. Era ente n’embuzi twabibaziyizaako amasavu gabyo nga oggyeko ago gegiwaniridde emigongo gyazo oba ebyenda oba ageetabuddetabudde n’amagumba. Yeyo engeri gye twabasasulamu nga tubalanga obwewagguzi bwabwe. Era ffe, awatali kuwannaanya tuli ba mazima.

147. Kale bwe baba bakulimbisizza, ggwe bategeeze nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wammwe ye w’obusaasizi obugazi, era teriiyo atangira kibonerezo kye butatuuka ku bantu bonoonefu. 148. Abo abasamize bajja kwekwasa n’ebigambo ebigamba nti: ‘Ssinga Katonda yayagala kusalawo, telwalibadde basamize wadde bakitaffe, era tewaalibaddewo kyetufuula kya muzizo mu bintu byonna’. Eyo y’engeri nabali abaabakulembera gye baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bw’ekibonerezo kyaffe. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe eriyo eky’obuyivu kyonna kyemulina kye musobola okutujjirayo?’ Teriiyo kirala kye mugoberera okujjako ebirowoozo, era mazima mmwe, teriiyo ngeri ndala gye mwesibako okujjako eyo ey’okufumintiriza.

149. Ggwe bategeeze nti: ‘Eri wa Katonda yekka ensonga esingayo obutuufu ey’okwesembesa. Era ssinga yayagala yaalibaluŋŋamizza mwenna.

150. Ggwe balagire nti: ‘Muleete abajulizi bammwe abo abawa obujulizi obulaga nti mazima Katonda ye yaziyiza ebyo’. Kale bwe baba obujulizi obwo babuwadde gwe teweetaba nabo mu kuwa bujulizi. Era wewale okugoberera bye baagala abo abalimbisizza amateeka gaffe era naabo abatakkiriza nkomerero, era nga bebo abaddira Mukama Katonda Omulezi wabwe ne bamwenkanyankanya n’ebintu ebirala.

151.Ggwe bayite nti: ‘Mujje mbasomere ebyo Mukama Katonda Omulezi wamwe bye yafuula eby’omuzizo gyemuli: Kizira okumugattikako ekintu kyonna. Era abazadde bombi okuyisibwa obulungi. Era mwewale okutta abaana bammwe olw’okutya obunkuseere. Ffe tuvunanyizibwa okugabirira mmwe eby’okulya n’ebibayimirizaawo wamu nabo. Era kizira gyemuli okwesembereza eby’obukaba ebiba bikoleddwa mulwatu n’ebyo ebiba bikoleddwa mu kyama. Era kizira gyemuli okutta omwoyo ogwo Katonda gwe yaziza okujjako olw’ensonga entufu. Byebyo mmwe byabalaamidde musobole okutegeera.

152. Era kizira gyemuli okwesembereza emmaali ya bamulekwa okujjako olw’ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwafuuka omuntu omukulu ow’obuvunanyizibwa. Era mutuukirize ennenga y’emirengo n’empima ya minzani mu bwenkanya. Tewali mwoyo gwe tuwaliriza kyegutasobola, okujjako ebyo bye gusobola byetugulagira okutuukiriza. Era bwemuba mwogedde mugoberere obwenkanya ne bwekiba kikwata ku wa luganda. Era endagaano ya Katonda mugituukirize. Byebyo mmwe byabalaamidde musobole okwebuulirira.

153. Era mazima eryo ly’ekkubo lyange lyenkutte nga ttereevu, kale muligoberere. Era temugoberera emikwesese egibawugula okubajja ku kkubo lye. Byebyo mmwe byabalaamidde musobole okutya Katonda.

154. Ebyo nga biwedde twawa Musa ekitabo ekituukiridde obulungi nga kya kugobererwa oyo alongosezza, era nga kinnyonnyola buli kintu mu mitendera gyakyo, era nga bwe baluŋŋamu era obusaasizi, babeere nga eky’okusisinkana Mukama Katonda Omulezi wabwe bakikkiriza.

155. Era nakino ekitabo (Qur’an) twakissa nga kijjudde emikisa. Kale mukigoberere era mutye Katonda mulyoke musaasirwe.

156. Waleme kubaawo kye mwekwasa nga mugamba nti: ‘Mazima ekitabo kyassibwa ku bibinja bya bantu babiri ebyatusooka okubaawo. Era mazima ffe twali okusoma ebyo tetukufaako.

157. Oba okwekwasa nga mugamba nti: ‘Mazima naffe ssinga twassibwako ekitabo, ate ffe twalifunye enkizo mu kuba abaluŋŋamu okusinga bali. Kale buubwo bubatuuseeko obunnyonnyofu nga buva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe era obuluŋŋamu era obusaasizi. Kale kasobeza nnaba ki asinga oyo alimbisa amateeka n’ebyamagero bya Katonda era n’abiwugukako? Tujja kusasula abo abawuguka nga bava ku mateeka n’ebyamagero byaffe, ekisingayo obubi mu bibonerezo, nga tubalanga bye baali bawugukako.

158. Abaffe, balindirirayo okirala kyonna okujjako ekya ba Malaika okubatuukako, oba Mukama Katonda Omulezi wo okubanga y’avaayo, oba okubanga bivaayo ebimu ku byamagero bya Mukama Katonda Omuleziwo. Olunaku lwe bivaayo ebimu ku byamagero bya Mukama Katonda Omulezi wo, ssi ya kugasa mwoyo enzikiriza yagwo mu kiseera ekyo, nga nazzikuno tegwali mukkiriza oba tegwaasakira bukkiriza bwagwo kalungi konna. Ggwe bategeeza nti: ‘Mulindirire, naffe kyetuliko kya kulindirira’.

159. Mazima abo abaawagulawagula eddiini yabwe mu biwagu era nebeekolamu obubiinabiina, ggwe tolina kwetaba nabo mu kintu kyonna. Mazima ensonga zaabo zizzibwa eri Katonda yekka, oluvannyuma y’ababuulira bye baali bakola.

160. Oyo aleetawo ekirungi kale asasulwa kkumi ddamba ery’ebyo ebikifaanana. Era oyo aleetawo ekibi teriiyo kirala ky’asasulwa okujjako ekyo ekikifaanana nga bonna tebalyazamanyizibwa.

161. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima nze naluŋŋamizibwa Mukama Katonda Omulezi wange nga nkwata ekkubo eggolokofu, eyo nga y’eddiini ey’obwesimbu, enzikiriza ya Ibrahim omukomole atalina kirara ky’akkiririzaamu okujjako okwewaayo mu (Busiraamu) mateeka ga Katonda. Era tabangako musamize!’.

162. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima okusinza kwange nga nsaala, n’ebisolo byange byempaayo nga ssaddaaka mu mikolo gy’okulamaga, n’ebyo by’enkola olw’okuyimirizaawo obulamu bwange obwokunsi n’ebyo eby’okungasa mu kufa kwange, byonna bya Katonda yekka Mukama Omulezi w’ebitonde byonna.

163. Teriiyo kyagattibwako. Kale nze ebyo byebyandagirwa, era nze musaale okwewaayo mu (kubeera Omusiraamu) mateeka ga Katonda.

164. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe ekitali Katonda nsobola ntya okukyegomba okubeera Mukama Omulezi, sso nga oli ye Mukama Katonda Omulezi webintu byonna?’. Ate teriiyo kye gusaka buli mwoyo okujjako ekigubalirwako. Era teriiyo kuvunaana muntu musango gwa kibi ekyakolebwa omulala. Oluvannyuma eri Mukama Katonda Omulezi wammwe gye muzzibwa, abe nga abannyonnyola bye mwalimu nga mwawukanye.

165. Era yewuyo eyabafuula abasigire b’ensi n’asitula ebibinja ebimu mummwe nga abissa waggulu w’ebirala mu madaala, olw’okubagezesa mwebyo bye yabawa. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo mwanguyiriza wa bibonerezo, era mazima yewuyo. Omusonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *