Skip to content
Home » 35. Fatir (Kagingo)

35. Fatir (Kagingo)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

35. ESSUULA: FATIR. ‘KAGINGO’

Yakkira Makka. Erina Aya 45.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Amatendo amalungi ga Katonda Kagingo w’eggulu n’ensi, yafuula ba Malaika okuba ababaka, balina ebiwawaatiro bibiri bibiri n’ebisatu bisatu n’ebina bina. Ayongeza mu butonde (ebyo) by’ayagala. Mazima Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

2. Obwo bwonna Katonda bw’asumulurira abantu nga busaasizi mpawo abutangira, era obwo bwonna bw’atangira mpawo abusumulula luvannyuma lwe. Era ye wuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

3. Abange mmwe abantu mujjukire omukisa gwa Katonda gwe mulina. Abaffe eriyo omutonzi omulala atali Katonda abagabirira okuva mu ggulu n’ensi? Mpawo asinzibwa okujjako yye! Naye kiki ekibawugula?

4. Era bwe baba bakulimbisa, kale mazima baalimbisibwa ababaka olubereberye lwo. Era eri Katonda gye zizzibwa ensonga zonna.

5. Abange mmwe abantu, mazima ekisuubizo kya Katonda ky’amazima. Kale buleme kubabuzaabuza obuwangazi bw’ensi. Era aleme kubabuzaabuza ebikwata ku Katonda kawuzinkanya yenna.

6. Mazima Ssitaani ye mulabe wammwe, kale mugitwale nga omulabe. Mazima omulimu gwokka gw’etuukiriza kwe kukowoola ab’ekinywi kyayo basobole okuba abantu b’omuliro.

7. Bebo abaawakanya, (Era) baakufuna ekibonerezo ekikakali. Ate abo abakkiriza era abaakola emirimu emirungi baakufuna okusonyiyibwa n’empeera ennene.

8. Abaffe, oyo eyawundirwa emirimu gye emibi n’agiraba nga mirungi (embera ye efanana etya n’eyoli atawundirwa?). Kale mazima Katonda abuza gw’ayagala era aluŋŋamya gw’ayagala. Kale lekeraawo okubaggwerezaako emmeeme yo nga obanakuwalira. Mazima Katonda ye mumanyi w’ebyo bye mukola.

9. Era Katonda y’oyo aba asindise empewo ne zikyusakyusa ebire ne tubisiyaggusa okubitwala munsi enfu, netubyeyambisa okulamusa ettaka oluvannyuma bw’obufu bwalyo. Bwekutyo bwe kubeera okuzuukira.

10. Oyo yenna abadde ayagala ekitiibwa, kiba kya Katonda yekka ekitiibwa kyonna. Gyali gye bidda nga birinnyuka ebigambo ebirungi era emirimu emirungi agisitula. Abo abakola enkwe z’okutuukiriza ebibi bafuna ekibonerezo ekiyitirivu. Era enkwe z’abo z’eziizo zinnamuzisa.

11. Kale Katonda yabatonda okuva muttaka oluvannyuma n’abajja mu mazzi g’ekisajja oluvannyuma n’abasobozesa okuba abafumbo. Era teriiyo lubuto kikazi lw’ekifuna newankubadde okuzaala, okujjako lwa kumanya kwe (Katonda), era tafuna buwangazi oyo yenna awangala newankubadde okukendezebwa kubuwangazi bwe okujjako nga by’akakasibwa mu kitabo. Mazima ekyo ku Katonda kyangu.

12. Era tezenkana ennyanja ebbiri. Yiiyo emu mpoomu ya ddekende, ate yiiyo endala munnyo ogutuŋŋununa. Ate buli emu mugiryamu ennyama eŋŋonvu era mujjayo ebirema bye mwambala. N’olaba emmeeli nga zigabuluzaamu (nga ziseyeeya) olw’okubasobozesa okunoonya ebimu ku birungi bye, era musobole okusiima.

13. Asonseka ekiro mu misana era asonseka emisana mu kiro era yafuula enjuba okuba eŋŋonvu n’omwezi, buli kimu kiseyeeya okutuukiriza entuko ezasalibwawo. Y’oyo Allah Mukama Katonda Omulezi wammwe bubwe yekka obufuzi (ku buli kintu). Naye abo (abalala) be muwanjagira nga mumuleseewo tewali kye bafuga newankubadde akasusu akabisse ku muwula gw’emmwanyi.

14. Ne bwemubawanjagira mutya tebawulira kuwanjaga kwammwe era nebwebaaliwulidde tebaalibaanukudde. Era kulunaku lw’amayimirira baakwegaana okuyimbagatanya kwammwe. Kale teriiyo abannyonnyola okwenkana Kakensa.

15. Abange mmwe abantu, mmwe baavu abetaavu ewa Katonda. Ate Katonda ye wuyo Omugagga Ssebintu Ayemalirira Atenderezebwa.

16. Bwe kuba kwagala kwe abajjawo n’aleetayo ebitonde ebipya.

17. Era ekyo ku Katonda ssi kyamaanyi.

18. Era teriiyo bibi bya mwoyo bivunanyizibwa mwoyo mulala. Era nebwawanjaga atya omukyala ow’olubuto olukuze okumusitulirako (kuttu lye yetisse mu lubuto) tewali kimusitulirwako nga kiva kuttu eryo kintu kyonna, nebweyalibadde wa Luganda (lwe), mazima obuvunanyizibwa obubwo kwe kulabula abo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe munkiso era abayimirizaawo esswala. Ate oyo aba yetukuzza mazima aba atukuza mwoyo gwe. Era ewa Katonda yokka bwe buddiro.

19. Era tebenkanankana omuzibe w’amaaso n’omulabi.

20. Newankubadde ebizikiza (tebyenkana) newankubadde ekitangala.

21. Newankubadde ekittuluze ekiweweevu, newankubadde ebbugumu.

22. Era tebenkana abalamu newankubadde abafu. Mazima Katonda awuliza gw’ayagala. Naye ggwe tosobola kuwuliza abo abali emagombe.

23. Teriiyo ggwe kyovunanyizibwa kirala okutuukiriza okujjako okubeera omulabuzi.

24. Mazima ffe twakutuma n’ekituufu nga otuusa amawulire amalungi era olabula. Era tewali mulembe okujjako nga gwafuna aguyitamu nga mulabuzi.

25. Kale ne bwebakulimbisa, mazima baalimbisa dda bali abaabasooka, baabatuukako ababaka babwe n’ebituufu n’emizingo gy’ebiwandiiko n’ekitabo ekitangavu.

26. Oluvannyuma nnagomba obwala mwabo abaajeema. Naye ngeri ki gye bwalimu obukyayi bwange?

27. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri mazima Katonda gye yassa amazzi okuva muggulu ne tugeyambisa okufubutulayo ebibala ebyawukanya amabala gabyo. Era ensozi ezimu zirimu enkoloboze enjeru n’emmyufu nga gawukana amabala gazo n’enkuubo enzirugavu.

28. Era abamu ku bantu n’ebiramu ebitambula n’ensolo ezirundibwa byawufu amabala gabyo nate, mazima abo bokka abatya Katonda mu baddu be bebo abamanyi. Mazima Katonda ye Luwangula Omusonyiyi.

29. Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda era abayimirizzaawo esswala era abawaddeyo ebimu kwebyo bye twabagabira mu kyama ne mu lwatu, balina essuubi ly’okufuna eky’obusuubuzi ekitatta magoba.

30. Alyoke abasasule musera empeera zabwe era abongeze ebimu ku birungi bye. Mazima ye wuyo Omusonyiyi Omuyitirivu w’okusiima.

31. Era obwo obubaka bwe twakubikkulira obujjibwa mu kitabo, gego amazima agakakasa ebyo ebiri waali. Mazima Katonda ku baddu be ye Kakensa Omulabi.

32. Oluvannyuma twasikiza ekitabo abo betwayawulamu, abamu ku baddu baffe. Kale abamu kubo balyazamanya emyoyo gyabwe, era abamu ku bo bali mu makkati, era abamu ku bo bankizo mu (kukola e) birungi olw’okusalawo kwa Katonda. Kale obwo bwe bulungi obusukkirivu.

33. Ejjana Aden (Obutuuze kiwa mirembe) gye balina okuyingira ba kunaanikibwa muyo ebimu ku bikomo ebya zzaabu ne luulu era ebyambalo byabwe nga bali eyo bya liiri.

34. Olwo ne batendereza nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda oyo atumazeeko ennaku. Mazima Mukama Katonda Omulezi waffe ddala ye Musonyiyi Omusukkirivu w’okusiima.

35. Oyo atussizza mu maka ag’obutaka nga kyekimu ku birungi bye nga tetulebuukanirayo, era nga tetukooyerayo. 36. Ate abo abaajeema ba kufuna omuliro gwa ggeyeena nga tekibasalirwawo babe nga bafa, era nga tewali kibakendezebwako ku bibonerezo byagwo. Eyo y’engeri gye tusasula buli kajeemera.

37. Nabo nga bali mu kukuba biwoobe mugwo nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tujjeemu (tuddeyo) tube nga tukola ebirungi ebitali biri byetwali tukola. (Olwo ne babuuzibwa nti): Abaffe tetubawangazizza obuwangazi obusobozesa okujjukiza oyo eyajjukira, era nga yabatuukako omulabuzi?’ ‘Kale mulege (ku bibonerezo)’ era tebalinaayo abalyazamanyi abataasa yenna.

38. Mazima Katonda ye Mumanyi w’ebikusike by’eggulu n’ensi. Mazima ye wuyo Omumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

39. Yewuyo eyabafuula abasigire munsi. Kale oyo aba awakanyizza buddira yye obuwakanyi bwe era tewali kyebubongera abawakanyi obuwakanyi bwabwe ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe okujjako okusunguwalirwa. Era tewali kyebubongera abawakanyi obuwakanyi bwabwe okujjako okufiirwa ttogge.

40. Babuuze nti ‘Abaffe mwetegerezza (embera ya) balubaale bammwe abo be muwanjagira nga muleseewo Katonda? Mundageeyo ebyo bye baatonda nga biva mu ttaka; Nandiki balinayo obwa nnannyini bwonna obwawamu (kwebyo ebiri) muggulu? Nandiki twali tubawaddeyo ekitabo nga basinzira okwo, okubeera ku bunnyonnyofu? Mazima mpawo kye basuubiza abalyazamanyi abamu eri bannaabwe okujjako obubuze.

41. Mazima Katonda y’awanirira eggulu n’ensi nebitavaawo. Era ne bwebiba bivuddewo tewaalibaddewo abiwaniridde muntu yenna oluvannyuma lwe. Mazima yewuyo Ow’ekisa Omusonyiyi.

42. Era baalayira Katonda ebirayiro ebinywevu nti: ‘Mazima bwaba abatuuseeko Omulabuzi babeerera ddala abenkizo mu kuba abaluŋŋamu akusinga ogumu ku mirembe (ogwayita). Naye bwe yabatuukako omulabuzi, ekyo tewali kye kyabongera okujjako okwesamba (nga bava ku kituufu).

43. Olw’okwekuluntaza munsi ne (okuyisa) enkwe enkyamu. Ate tewali gwe kyambukirako ekibi ky’okuyisa enkwe enkyamu okujjako bannannyinizo. Naye abaffe eriyo ekirala kye balindirira okujjako enkola ya (Katonda gye yayisaamu) abo abaasooka? Tojja kusanga nti enkola ya Katonda erimu okuwaanyisa era tojja kusanga nti enkola ya Katonda erimu okukyuka.

44. Abaffe, balemeddwa okutambula munsi okwerolera mbera ya nnabaki gye yalimu enkomerero y’abali abaaliwo olubereberye lwabwe, era abaali basukkuluma abo amaanyi? Era tekigwanira Katonda okubaako ekimulemesa ekintu kyonna muggulu newankubadde mu nsi. Mazima ye wuyo Omumanyi Omusobozi.

45. Era ssinga Katonda yesasulizaawo abantu olwa(ebibi) ebyo bye baakola teyaalirese ku mugongo gwayo (ensi) kitambula kya bulamu kyonna, wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera ekyasalibwawo. Era bwe kiba kituuse ekiseera kyabwe mazima Katonda aba abaddu be abalaba.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *