Skip to content
Home » 59. Al – Hashir (Okuwanganguka)

59. Al – Hashir (Okuwanganguka)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

59.ESSUULA:AL-HASHRI, OKUWAŊŊANGUKA.

Yakkira Madiina. Erina Aya 24.

Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bitenderezza ku lwa Allah ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi, era yewuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

2. Ye wuyo eyafubutula abo abaajeema, abamu ku ba nnannyini kitabo nga bava mu maka gabwe ku luwaŋŋangusa olwasooka. Tewakirowooza nti bateekwa okugafuluma (amaka gabwe). Era baalowooza nti bibakuuma ebisaakaati byabwe (obutatuukibwako) okusalawo kwa Allah. Kyokka Katonda yabatuukako nga afubutukira we bataasuubira. Bwatyo yasindika mu mitima gyabwe ensisi, ne bamenya amayumba gabwe n’emikono gyabwe nga giyambibwako emikono gy’abakkiriza. Kale mwebuulirire mmwe abalina amaaso agalaba.

3. Naye ssinga Katonda te yabakakasaako kibonerezo (kya kugobwa mu maka gabwe) yaalibabonerezza munsi (mungeri endala). Era balina ku nkomerero ekibonerezo ky’omuliro.

4. Kiri bwekityo lwakuba mazima bebo abaazitoowereza Katonda n’omubaka we. Ate oyo yenna azitoowereza Katonda, mazima Katonda ye Musukkirivu w’ebibonerezo.

5. Egyo gye muba mutemye nga mitende oba okugireka nga gyesimbye ku nduli zagyo, byonna bibaawo lwa kukkiriza kwa Katonda, era lwakusobozesa kuweebuuka kw’abonoonyi.

6. Era ebyo Katonda byaba addizza omubaka we nga bijjibwa ku bali kw’ebyo bye mutaamaze kulumbisa mbalaasi, newankubadde eŋŋamiya, wabula Katonda asalawo okusindika ababaka be eri oyo gwayagala. Kale Katonda buli kintu ye Musobozi.

7. Ebyo Katonda byaba addizza omubaka we ebijjibwa ku batuuze b’omubyalo, biba bya Katonda n’omubaka n’abeŋŋanda (z’omubaka) ne ba mulekwa n’abanaku n’abatambuze olw’okwewazisa abagagga abamu mummwe okubyekomya (bokka). Kale omubaka by’abawadde bye muba mutwala era byaba abagaanye mubireke. Era mutye Katonda, mazima Katonda ye muyitirivu w’ebibonerezo.

8. Byabo abaavu abaasenguka abo abaagobwa mu maka gabwe ne balekawo emmaali yabwe nga banoonya ebirungi ebiva ewa Katonda n’okusiima (kwe) era nga bataasa Katonda n’omubaka we. Abo be bakakafu.

9. Era n’abo (biba byabwe) abaagundiira mu maka ne mu bukkiriza olubereberye lwabo, nga begomba oyo asenguse okudda gye bali, era nga tebalina mu mitima gyabwe bwetaavu, kw’ebyo bye baaweebwa, naye nga beerekereza mu mitima gyabwe (ne bawaayo) ne bwe baba (bye bawaayo) babirinako obwetaavu. Kale oyo aba agangiddwa obuluvu bw’omwoyo gwe, nga bebo abaafuna obulokofu.

10. N’abo (baafuna obulokofu) abajja oluvannyuma lwabali nga basaba nti. ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tusonyiwe ne baganda baffe abo abaatusooka mu bukkiriza, era toteeka mu mitima gyaffe bukukuuzi eri abo abakkiriza, Ai Mukama Katonda Omulezi waffe mazima ggwe Mutangirizi w’ebiri Ow’okusaasira okw’enjawulo.

11. Abaffe olemeddwa okwerolera abaakumpanya nga bagamba baganda babwe abo abaajeema abamu kwabo ba nnanyini kitabo nti: ‘Bwe muba mugobeddwa nga naffe tugendera ddala nammwe era teriiyo gwe twekkiriranya naye noomu (kutulemya kugenda nammwe) Era bwe mulwanyisibwa nga tubataasiza ddala’. Kyokka Katonda ajulira nga ddala bwe bali abalimbi.

12. Ssinga bagobeddwa teriiyo bagenda nabo era ssinga balwanyisibwa, teriiyo babataasa, ate ne bwe babataasa era batiirira olutabaalo (nga badda ekyennyuma) olwo ne batataasibwa.

13. Mazima mmwe babo be batya ennyo mu mmeeme yabwe okusinga (engeri gye batya) Katonda. Ekyo kiri bwekityo olw’okuba mazima bebo abantu abatategeera.

14. Tewari lwe babalwanyisa bonna okujjako nga basinzira mu byalo ebikuume oba okusinzira emabega w’enkomera ez’ebisenge. Ekibi kyabwe ekibalimu kiyitirivu. Obalowooza okuba obumu naye emitima gyabwe myawufu. Ekyo kiri bwekityo kubanga mazima bebo abantu abatategeera.

15. Bafaanana nga bali abaabakulembera. Baaloza ku bukaawu obwava mu bwonoonyi bwabwe era balina ekibonerezo ekiruma.

16. Bafaanana Ssitaani bwe yasendasenda omuntu nti: ‘Jeema!’ Bweyamala okujeema yyo n’emugamba nti: ‘Mazima nno nze nkwabulidde. Nze mazima ntya Katonda Mukama Omulezi w’ebitonde byonna’.

17. Bwekityo ne kiba nti enkomerero ya bwe bombi kwe kuba mu muliro okusiisira omwo. Era eyo y’empeera y’abalyazamanyi.

18. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era gulina okwetegereza omwoyo ebyo bye gwetegekedde enkya (mu bulamu obw’oluvannyuma). Era mutye Katonda mazima Katonda ye Kakensa webyo bye mukola.

19. Era mwewale okufaanana abo aberabira Katonda naye n’abeerabiza emyoyo gyabwe. Bebo abonoonyi.

20. Tebenkana abo abali mu muliro n’abo abali mu jjana. Abo abali mu jjana bebo abaganyulwa.

21. Ssinga twassa Qur’an (Ssemusomwa) eno ku lusozi waalirulabye nga lwetoowaza lwabulukuka enjatika olw’okutya Katonda. Kale ebyo by’eby’okulabirako ebiyigiriza bye tulaga abantu babe nga bafumintiriza.

22. Ye wuyo Allah Katonda asinzibwa. Teriiyo asinzibwa mulala okujjako Yye, ye Mumanyi w’ebikusike n’ebyolwatu, era ye wuyo Omusaasizi ennyo ow’Okusaasira okw’enjawulo.

23. Ye wuyo Allah Katonda asinzibwa. Teriiyo asinzibwa mulala okujjako Yye, Omufuzi, Omutukuzibwa, Mirembe, Ayeekakasa. Omwesigulirwa, Luwangula, Omuyunzi, Omugulumivu. Katonda atukuzibwe nga ayawukana kwebyo bye bayimbagatanya.

24. Ye wuyo Allah Omutonzi, Omutukuza, Omufaananyisa. Ye nnanyini mannya amalungi. Bimutendereza ebyo ebiri muggulu n’ensi era yewuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *