Skip to content
Home » 58. Al – Mujadalah (Omuyombi)

58. Al – Mujadalah (Omuyombi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

58. ESSUULA: AL-MUJADALA OMUYOMBI

Yakkira Madiina. Erina Aya 22.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Mazima Katonda awulidde ebigambo by’oyo (omukyala) akuyombesa olw’ebyo ebikwata ku bbaawe era n’aloopera Katonda (okwemulugunya kwe) Era Katonda awulira engeri gye mwogeranya mwembi (mmwe). Mazima Katonda ye Muwulizi Omulabi.

2. Abo abaziza bakyala babwe mu nsonga z’obufumbo (nga babayita ba nnyabwe), bbo ssi be bannyabwe. Mazima bannyabwe bennyini bebo abaabazaala, kyokka mazima abo boogerera ddala ebigambo ebitamwa n’obulimba. Era mazima Katonda yoyo atanonooza nsobi Omusonyiyi.

3. Era abo abaziza bakyala babwe mu nsonga z’obufumbo kyokka ate ne baba nga baddayo ku bye baayogera (nga beekubye mu mutima) olwo balina kutanga (mutango gwa) kuta muddu (nalya butaala) nga bombi tebannaba kumanyagana mu kyama. Ekyo mmwe kye mubuulirirwa okukigoberera. Era Katonda bye mukole ye Kakensa.

4. Kale oyo aba alemeddwa (okuta omuddu) alina kusiiba myezi ebiri egiriraniganye nga tebannaba bombi kumanyagana mu kyama. Era oyo aba alemeddwa (ekyo) alina kuliisa abanaku nkaga. Ekiruubirirwa mwekyo musobole okukkiriza Katonda n’omubaka we. Kale ago ge mateeka ga Katonda. Naye abajeemu ba kufuna ekibonerezo ekiruma.

5. Mazima abo abasalawo okuba ekyennyume eri Katonda n’omubaka we baanyomoolwa nga bali bwe baanyomoolwa abaabakulembera. Kyokka mazima twassa ebyamagero ebiyigiriza ebinnyonnyofu. Naye abajeemu baakutuusibwako ekibonerezo ekiwebuuza.

6. Olunaku Katonda lwabazuukiza bonna olwo n’abannyonnyola ebyo bye baakola. Byonna Katonda yabikomekkereza, sso nga bbo baabyerabira. Kale Katonda buli kintu ye Mujulizi.

7. Abaffe olemeddwa okwekkaanya engeri mazima Katonda gy’amanyi ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi? Tekisoboka kutta kyama kya basatu okujjako nga Yye ye wokuna kubo era eky’abataano tekisoboka okujjako nga Yye ye womukaaga kubo, newankubadde omuwendo tegwenkana ogwo newankubadde gusinga kwogwo okujjako nga Yye ali nabo yonna gye babadde. Oluvannyuma abannyonnyola bye babadde bakola ku lunaku lw’amayimirira. Mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi.

8. Abaffe olemeddwa okwekkaanya abo abaagaanibwa okutta ekyama kyokka nebaba nga badda ku byabagaanibwa olwo nebatta ebyama ebijjudde obwonoonyi n’empalana n’okujeemera omubaka, ate nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n’ekyo ekyawukana ku ngeri Katonda gyakulamusa? olwo ne bogera mu mmeeme yabwe nti: ‘Kiki ekirobera Katonda okutubonereza olw’ebyo bye twogera?’ Abo ekibamala ye ggeyeena gwe bateekwa okwesogga. Era bwa kivve (obwo) obuddo.

9. Abange mmwe abakkiriza, bwe muba musse ekyama, mwewale okutta ekyama ekirimu obwonoonyi n’empalana n’okujeemera omubaka, naye mutte ekyama ekirimu okuyisa obulungi n’okutya Katonda. Kale mutye Katonda oyo gye muzzibwa gyali nga muzuukira.

10. Mazima okutta ekyama (ekibi) y’emu ku nkola ya Ssitaani olw’okuluubirira okunakuwaza abo abakkiriza sso nga tewali kibi kye babatuusaako ku nsonga yonna okujjako nga Katonda akkirizza. Kale Katonda yekka gwe balina okwesigamira abakkiriza.

11. Abange mmwe abakkiriza bwe muba musabiddwa nti: ‘Mwefunze!’ nga muli mu nkuŋŋaana, bwemutyo mwefunze, nammwe abe nga Katonda abalekerawo ebbanga (mu jjana). Era bwe muba mulagiddwa nti: ‘Mugumbulukuke!’ Kale mugumbulukule! Katonda asitula abo abakkiriza mummwe n’abo abaaweebwa obuyivu mu madaala. Era Katonda bye mukola ye Kakensa.

12. Abange mmwe abakkiriza bwe muba musse ekyama n’omubaka muweeyo saddaaka ku lw’ekyama kyammwe kye musse. Ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli era ky’ekisinga okulaga obuyonjo (bw’emitima gyammwe) Naye bwe muba mulemereddwa, mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

13. Abaffe mutidde okuweerayo ebyama byammwe saddaaka? Kale nga bwe mutakikoze era nga Katonda akkirizza okwenenya kwammwe, kati muyimirizeewo esswala era muweeyo Zaka, era mugondere Katonda n’omubaka we, Katonda ye Kakensa w’ebyo bye mukola.

14. Abaffe olemeddwa okwekkaanya abo abakwanye abantu Katonda be yasunguwalira?. Abo tebali bumu nammwe newankubadde okuba obumu ne bali, ate balayira okunyweza obulimba nga ekyo bakimanyi.

15. Abo Katonda yabategekera ekibonerezo ekikakali. Mazima abo bibi nnyo bye baali bakola.

16. Baafuula ebirayiro byabwe engabo (okwewogomamu) olwo nebatangira ekkubo lya Katonda. Bwebatyo ba kuwebwa ekibonerezo ekiwebuuza.

17. Tejja kubagasa emmaali yabwe ne wankubadde abaana babwe okubawonya Katonda ku nsonga yonna. Abo be b’okubeera mu muliro nga mugwo bbo gye basiisira olubeerera.

18. Olunaku kw’abazuukiza Katonda bonna, olwo ne bamulayirira nga bwe babalayirara, olwo ne basuubira nti ddala kye baliko y’ensonga. Wew’awo abo ddala be balimba.

19. Yabatuula ku nfete Ssitaani olwo n’ebeerabiza okutendereza Katonda. Lyeryo eggye lya Ssitaaani. Wew’awo eggye lya Ssitaani lyeriri mu kufaafaagana.

20. Mazima abo abali ekyennyume kya Katonda n’omubaka we bebo abasembayo okubeera abanyomoofu.

21. Katonda yakikakasa nti: ‘Wew’awo nnina okutuukira ddala ku buwanguzi nze n’ababaka bange!’ Mazima Katonda ye Kirimaanyi Luwangula.

22. Tewali gyosanga bantu abakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero nga bakwana abo abali ekyennyume kya Katonda n’omubaka, we ne bwekiba nti babadde ba kitaabwe oba abaana babwe oba baganda babwe oba endyo zabwe. Bebo be yawandika mu mitima gyabwe obukkiriza era yabanyweza ne Mwoyo ava gyali. Bwatyo abayingiza Ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga, ba kubeera omwo lubeerera. Bebo Katonda be yasiima nabo baamusiima. Eryo ly’eggye lya Katonda. Wew’awo ddala eggye lya Katonda lyelifuna okuganyulwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *