Skip to content
Home » 31. Luquman

31. Luquman

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(31) ESSUULA: ‘LUKUMAN’

Yakkira Makka. Erina Aya 34

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif.Lam. Mim.

2. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo ekijjudde ebyamagezi.

3. Bwe buluŋŋamu era obusaasizi bwabo abalongofu.

4. Abo abayimirizaawo esswala era abawaayo Zaka era bebo nga enkomerero bagikakasa.

5. Bebo abanyweredde ku buluŋŋamu obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Era bebo abalokofu.

6. Kale abantu abamu eriyo oyo asasulira embozi y’obutaliimu kibe nga kimusobozesa okubuza (abalala) nga abawugula ku kkubo lya Katonda nga tasinzira ku buyivu era nga agezaako okulifuula eky’okuvvoola. Abo be baayawulirwa ekibonerezo Luwebuula.

7. Kale bwe gabasomerwa amateeka gaffe awugukira ku kwekuza neyeeyisa nga atagawulira ne kiba nga mu matu ge omuli envumbo. Kale mutuuseeko amawulire g’okufuna ekibonerezo ekiruma.

8. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi balina okufuna ejjana ey’ebyengera.

9. Ba kubeera omwo lubeerera. Ekyo ky’ekisuubizo kya Katonda eky’amazima. Era yewuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

10. Yatonda eggulu nga teririna mpagi gye mulaba. Era yasimba munsi lugumyansi ereme ku batengesa era yabunyisa muyo nnasiisi w’ebiramu ebitambula. Era twassa okuva waggulu amazzi netumeza munsi buli kika kya mugogo gw’ebimera eby’ekitiibwa.

11. Biibyo ebitonde bya Katonda. Kale mmwe mundageyo ebyo bye batonda abo abalala abatali Yye. Mazima abalyazamanyi balemedde mu bubuze obweyolefu.

12. Era mazima twagemulira Lukuman okutegeera okwenjawulo: ‘Kale siima (ebirungi by’ofuna) ku lwa Katonda. Era oyo asiima mazima aba asiimira mwoyo gwe era oyo agyemye mazima Katonda ye Mugagga Ssebintu ayeemalirira Atenderezebwa’

13. Kale jjukira Lukuman we yategeereza omwana we nga amubuulirira nti: ‘Owange ggwe mwana wange wewale okuyimbagatanya ebirala ku Katonda. Mazima okuyimbagatanya bwe bukuusa obunene.

14. Era twalaamira omuntu (ebikwata ku) bazadde be bombi. Yamuwanirira maama we mu bunafu obwali bweyongera ku bunafu n’okutuusa okumujja ku mabeere nga (ebyo) biggwera mu myaka ebiri, kale siima ku lwange ne ku lwa bazadde bo bombi, gyendi yokka bwe buddo.

15. Era bwe bakufubako bombi okuba nga ongattikako ebyo byotolinaako buyivu kale tobagondera bombi ate bombi kolagana nabo munsi bulungi era kwata ekisinde ky’oyo azze gyendi. Oluvannyuma gyendi yokka yeri obuddo bwammwe gye mbategeereza ebyo bye mwali mukola.

16. Owange ggwe mwana wange amazima ne bweguba (omusango) musirikitu okuzitowa nga empeke y’akalo nga gwekusise mu lwazi oba mu ggulu oba munsi, Katonda ogwanja mu lujjudde. Mazima Katonda ye Mugondeza Kakensa.

17. Owange gwe mwana wange, yimirizaawo esswala era lagira (okukola) ebikolwa ebirungi era ziyiza (okukola) ebikolwa ebibi era gumira ebizibu ebikutuuseeko. Mazima ebyo bye bimu ku biteekwa okutuukirizibwa.

18. Era tewetwalira waggulu mu maaso g’abantu, era totambulira munsi na myewuliro. Mazima Katonda tayagala buli mwemanyi eyetwalira waggulu.

19. Era gendera wakati mu ntambula yo era kakkanya ku ddoboozi lyo. Mazima erisingayo okukyayibwa mu maloboozi ly’eddoboozi ly’endogoyi’. (erireekaana obulekaanyi)

20. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri mazima Katonda gye yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi era yababunduggulako mu bujjuvu emikisa gye mu lwatu ne munkiso? Naye abantu abamu mulimu oyo awalaaza empaka ku butali buyivu newankubadde obuluŋŋamu newankubadde ekitabo ebitangavu.

21. Era bwe baba balagiddwa nti: ‘Mugoberere ebyo Katonda bye yassa’, baddamu nti: ‘Wew’awo ffe byeturina okugoberera by’ebyo byetwasanga banywereddeko bakadde baffe’. Abaffe newankubadde nga Ssitaani yali ebakoowoola kubazza ku kibonerezo kya naddiro?

22. Era oyo eyewaayo bulambirira okudda eri Katonda ate nga mulongofu mazima aba yenywezezza ku ndagano ennywevu. Era ewa Katonda yezzibwa ensonga zonna.

23. Ate oyo aba ajeemye, buleme kukunakuwaza obujeemu bwe, gyetuli bwe buddo bwabwe, bonna tube nga tubategeeza ebyo bye baakola. Mazima Katonda ye Mumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

24. Tubeeyagazaako katono oluvannyuma tubasindikiriza okubatwala mu kibonerezo ekiruma.

25. Ate bwoba obabuuzizza nti: ‘Ani yatonda eggulu n’ensi? Baddiramu ddala nti: ‘Ye Katonda’. Ggwe tendereza nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda!’ Wabula abasinga obungi mu bibinja byabwe tebamanyi.

26. Bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ensi mazima Katonda yewuyo Omugagga eyemalirira Atenderezebwa.

27. Naye ssinga mazima ebyo ebiri munsi ebiri mu ttuluba ly’emiti byali makalaamu, era ennyanja zonna nga azongerako obungi bwa nnyanja musanvu (nga ye buyino awandisibwa), biba tebiggwawo ebigambo bya Katonda. Mazima Katonda ye Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

28. Tewali ngeri ndala okutondebwa kwammwe wadde okuzuukizibwa kwammwe gye kugerageranyizibwa okujjako okufaanana omwoyo ogumu. Mazima Katonda Muwulizi Mulabi.

29. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri Katonda gyayingiza ekiro mu misana era nga ayingiza emisana mu kiro, era nga yafuula enjuba n’omwezi okuba ebigonvu, byonna nga biseyeeya okutuukiriza ekiseera kyabyo ekyagerebwa, n’okuba nti mazima Katonda byonna bye mumanyi ye Kakensa wabyo?

30. Ekyo kiri bwekityo lwakuba Katonda ye wuyo Owamazima era mazima ebyo (ebirala) bye bawanjagira nga baleseewo Yye bya butaliimu. Era mazima Katonda ye wuyo. Owa waggulu Omugulumivu.

31. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri amaato gye gaseyeeya mu nnyanja olw’omukisa gwa Katonda abe nga abalaga ebimu kubyamagero bye? Mazima ekyo kirimu ebyamagero ebiyigiriza eri buli oyo omusukkirivu w’obugumiikiriza omusukkirivu w’okusiima.

32. Ate bwe gaba gababuutikidde amayengo okufaanana ebisiikirize bawanjagira Katonda nga yekka gwe bamaliddeko eddiini yonna kyokka bwaba abawonyezza nga basomose ku ttale olwo ekibinja ekimu mubo nga banywerera ku byebaasuubiza (eby’okugondera Katonda) naye mpawo awakanya mateeka gaffe okujjako buli ayitiriza okwegulumiza ayitiriza obujeemu.

33. Abange mmwe abantu: mutye Mukama Katonda Omulezi wammwe era mwekuume olunaku mwalemererwa omuzadde okubaako ky’asasulira omwana we era n’omwana nga tewaliiwo kyasasulira muzadde we kintu kyonna. Wew’awo ekisuubizo kya Katonda kya mazima, kale bukomye okubatwaliriza obuwangazi bw’ensi era bikomye okubabuzaabuza nga bibawugula ku Katonda ebyo ebitwaliriza.

34. Mazima Katonda y’amanyi ekiseera (ekivannyuma) we kituukira, era assa enkuba, era amanyi ebiri mu nnabaana (w’ebikazi). Era tewali kyegumanyi omwoyo kwebyo bye gunaakola enkera, era tewali kye gumanyi omwoyo, kifo kya nnaba ki gye gulina okufiira. Mazima Katonda ye Mumanyi Kakensa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *