Skip to content
Home » 36. Yasin

36. Yasin

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

36. ESSUULA : YASIN

Yakkira Makkah. Erina Aya 83.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Yasin.

2. Ndayira Qur’an ejjudde obulamuzi obwamagezi.

3. Mazima ggwe oli omu ku babaka.

4. Oli ku kkubo eggolokofu.

5. Y’eyo (Qur’an) eyassibwa Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. Olw’okulabula abantu, sso nga ba kitaabwe tebalabulwangako, nebaba nga bagayaavu.

7. Mazima kyakakata ekigambo ku basinga obungi mubo, era bebo abatakkiriza.

8. Mazima ffe twatugga mu nsingo zabwe enjegere z’ekyuma neziba nga zefundikiridde ku bulevu ne giba nga (emitwe gyabwe) gyelalise waggulu.

9. Era twassa mu maaso gabwe omuziziko n’emabega wabwe omuziziko olwo ne tubabikka (ekifu ku maaso) nebaba nga tebalaba.

10. Era tewali njawulo gye bali kakibe nti obalabudde oba tobalabudde, tebakkiriza.

11. Mazima oyo yekka gw’ovunanyizibwa okulabula yoyo agoberedde enzijukizi era (oyo) atidde Mukama Katonda Ow’ekisa ekingi mu nkiso. Kale oyo mutuseeko amawulire g’okusonyiyibwa ne (okusasulwa) empeera ey’ekitiibwa.

12. Mazima ffe tulamusa abafu era tuwandika bye baakulembeza (okukola) ne bye baasigazaawo era buli kintu twakikomekkereza (okukibalirira) mu nkuluze lunnyonnyola.

13. Kale baleetere ekifananyi (eky’okulabilako) eky’abatuuze bookukyalo lwe baakituukamu ababaka.

14. Lwe twabasindikira ababaka babiri ne babalimbisa era twabongera amaanyi ne (omubaka) ow’okusatu era baabeyanjulira nti: ‘Mazima ffe gyemuli tuli babaka (abatumiddwa).

15. Baabaddamu nti tewali mmwe ngeri ndala gye tubatwala okujjako okuba abantu abatalina njawulo naffe, era tewali kyassizza Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, mubutuufu mmwe tewali ngeri ndala gye mweyolekeramu okujjako okubeera abalimba.

16. Baabaddamu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi waffe akimanyi nti mazima ffe gyemuli tuli babaka.

17. Era tewali kirala kye tuvunanyizibwa okujjako okutuukiriza (okubunyisa) obubaka obwanjulukufu’.

18. Baabagamba nti: ‘Mazima ffe tweraguza dda ebibakwatako, mazima ssinga temwekomako olwo nga tubakubira ddala amayinja era nga kibatuukirako ddala okuva gye tuli ekibonerezo ekiruma.

19. Nebagamba nti: ‘Okwelaguza kwammwe kudddira mmwe. Abaffe (ebyo bibeerawo) olw’okuba nga mulabuddwa? Wew’awo ate mmwe muli bantu abayitirizza obujeemu’.

20. Bwatyo yajja okuva mu mbugirizo z’ekibuga omusajja nga adduka. Yabawa amagezi nti: ‘Bannange mugoberere ababaka.

21. Mugoberere abo abatabasaba (kusasula) mpeera era nga bebo abaluŋŋamu.’

22. Naye mba (nze) mbadde ki obutasinza oyo eyaŋŋunja era nga gyali gye muzzibwa?

23. Abaffe mpambagatanya ntya, nga ndeseewo yye, ekisinzibwa ekirala? Bwaba nga anjagalizza Mukama Katonda Omusaasizi ennyo okufuna ekibi, tewali kye kummalira okuwolereza kwabyo mu kintu kyonna era tewali kye bimponya.

24. Mazima nze olwo ate mba nneesudde nzekka mu bubuze obw’olwatu.

25. Mazima nze nakkiriza dda Mukama Katonda Omulezi wammwe era mumpulirize’.

26. Ne kiyisibwa ekirangiriro nti: ‘Yingira Ejjana!’. N’agamba (mu kusaalirwa okungi) nti: ‘Mukadde singa abantu bange bamanyi!’.

27. Ekyo kyavuddeko okunsonyiwa Mukama Katonda Omulezi wange era nanzisa mu luse lwa bakungu.

28. Era te kyatwetaagisa kussa ku bantu be oluvannyuma lwe ggye lyonna nga liva muggulu, era te twali ba kulissa.

29. Tewaaliwo (kiri awo kya maanyi) okujjako okubwatuka kumu kwokka, olwo nebaba bonna nga mitulumbi egigaŋŋalamye.

30. Woo! Nga zibasanze ba Ssempala! Tewali yali abatuuseeko omubaka yenna okujjako nga babadde ba muŋoola.

31. Abaffe balemeddwa okulaba kameka nga tuzikiriza nazzikuno nga tebannabaawo nnasiisi w’emirembe, n’engeri mazima gye giba nga gyebali tegisobola kuddayo?

32. Sso nga mazima bonna obutalekaayo n’omu mu maaso gaffe ba kwanjulwa (olw’okulamulwa).

23. Era eky’okulabirako ekiyigiriza kyebalina, y’ensi enfu gye tulamusizza ne tugifubutulamu empeke nga ezimu kuzo ze balya.

34. Era twagissaamu amalimiro g’emitende n’emizabibu era twagifukumulamu ezimu ku nsulo.

35. Balyoke balye ebimu ku bibala byazo ate nga tegibikolangako emikono gyabwe. Abaffe balemeddwa okusiima?

36. Atukuzibwe oyo eyatonda emigogo gyonna kwebyo by’emeza ensi ne mubo bennyini ne mwebyo bye batamanyi.

37. Era eky’okulabirako ekiyigiriza kye balina ky’ekiro engeri gye tuyubulamu emisana ate nebejjuukiriza nga bali mu kiro ekikunidde.

38. Era enjuba yekuyeeyeza mu butuulo bwayo. Eyo y’entegeka ya Luwangula Omumanyi.

39. N’omwezi twaguteekerateekera enfo okutuusa lwe guddayo okufaanana nga ekikindukindu ekikulu .

40. Enjuba ne kitagigwanira kuggwikiriza mwezi, newankubadde ekiro okuyisa emisana. Sso nga byonna biri mu bwengula biseyeeya.

41. Era eky’okulabirako ekiyigiriza kye balina y’engeri ffe mazima gye twasitulira bajjajja babwe mu lyato eryajjula n’eribooga.

42. Era twabatonderayo ebirifaanana ebyo bye bebagala. (nga bali kuttale)

43. Ate bwe tuba twagala tubazikiriza newatabaawo mudduukirize wabwe era nebaba nga tebawonyezebwa.

44. Okujjako (nga waliwo) obusaasizi obuva gyetuli n’okweyagalako okutuusa okumalako ekiseera kyabwe.

45. Era bwe baba balabuddwa nti: ‘Mwebalame (ebyonoono ebisibukako embera embi eya) ebyo ebiri mu maaso gamwe n’ebyo eby’oluvannyuma lwamwe (nga mufudde) musobole okusaasirwa!’.

46. Era tewali kibatuukako nga kyamagero ku byamagero bya Mukama Katonda Omulezi wabwe okujjako nga baba bakiwakanya.

47. Era bwe baba bagambiddwa nti: ‘Muweeyo ebimu kw’ebyo bye yabagabira Katonda, bategeeza abo abaajeema, bali abakkiriza nti: ‘Abaffe tudde awo okuliisa oyo nga waayagalira wonna Katonda (okumuliisa) amuliisa?’ Mazima temulina mmwe ngeri ndala gye mulimu okujjako okwemalira mu bubuze obweyolefu!’.

48. Era babuuza nti: ‘Kituuka ddi ekyo ekisuubizo bwe muba nga mukakasa (byemwogera)?

49. Tewali kye balindirira kirala okujjako okubwatuka (olubwatuka) kumu okubatuukako nga nabo batootoogana.

50. Olwo ne batasobola kulaama newankubadde okuba nga eri abantu babwe baddayo.

51. Olwo n’efuuyibwa eŋŋombe era mangu ago nga bonna bava mu ntaana zabwe okudda eri Mukama Katonda Omulezi wabwe nga banguwa.

52. Nebawanjaga nti: ‘Nga zitusanze, Ani oyo atuwawamudde mu kuwujjaala kwaffe?’. Ky’ekyo kye yasuubiza Mukama Katonda Omusaasizi ennyo era baakikakasa abatume.

53. Tewaaliwo (kiri awo kyamaanyi) okujjako okubwatuka kumu kwokka, olwo nebaba nga bonna gyetuli gyebanjulwa.

54. Kale olwaleero ssi gwa kulyazamanyizibwa omwoyo kintu kyonna, era tewali kye musasulwa okujjako bye mwali mukola.

55. Mazima abantu bomujjana olwalero bali mu keetalo bagabulwa ebibala. 56. Bbo ne bakyala babwe bali mu bittuluze ebiweweevu beesigamye ku biwu bakkalidde.

57. Baakugifuniramu (ejjana) kalonda w’amatunda era nga balina ebyo bye begomba.

58. ‘Mirembe!’: ky’ekiramuso ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

59. Era mwelondobemu olwaleero abange mmwe abonoonyi:

60. Abaffe: Ssaabalaamira, mmwe abaana ba Adamu nti: ‘Temugeza okusinza Ssitaani, mazima yeyo eriwo gyemuli nga omulabe ow’olwatu?’

61. ‘Era mazima musinze nze nzekka! Eryo ly’ekkubo eggolokofu’.

62. Kyokka mazima ewugudde (Ssitaani) nga ejja mummwe ebibinja (byabantu) binji. Abaffe mubadde temutegeera?

63. Wuuyo ggeyeena gwe mubadde musuubizibwa.

64. Mu mwesogge olwaleero nga mulangibwa bye mwali muwakanya.

65. Olwaleero tulina okussa envumbo ku mimwa gyabwe era gyogeranye naffe emikono gyabwe era biwe obujulizi ebigere byabwe kw’ebyo bye baali batakabanira.

66. Era ssinga twagala (kusalawo) twaliseetezza amaaso gabwe kale nebasindana nga basomoka olutindo! Naye bye biruwa bye balaba.

67. Era ssinga twagala (kusalawo) twalibafuusizza empangi z’omunnyo nga bali mu bifo byabwe. olwo ne batasobola kweyongera mu maaso newankubadde okudda emabega.

68. Kale oyo gwe tuwangaza ennyo, tumukyusa mu butonde! Abaffe babuzeemu akategeera?

69. Kale tetwamuyigiriza bitontome era ekyo tekimugwanira. Mazima tewali ngeri ndala gye kitwalibwamu (ekyo ekyamugemulirwa) okujjako okuba enzijukizi era Qur’an (Ssemusomwa) ennyanjulukufu.

70. Abe nga agyeyambisa okulabula oyo abadde omulamu era kikakate ekigambo (ky’okubonereza) kwabo abajeemu.

71. Abaffe balemeddwa okwerolera engeri mazima gye twabatondera ebimu kwebyo bye gyagunjawo emikono gyaffe, nga z’ensolo ezirundibwa, kale nga bbo zebalinako obufuzi.

72. Era twazibagondeza nga ekibinja ekimu muzo by’ebyebagalwa byabwe n’ekibinja ekirala muzo ze balya.

73. Era bazirinamu emigaso (nfafa) n’eby’okunywa. Abaffe babuzeemu akasiima?

74. Kale baayimbagatana, nga baleseewo Katonda, n’ebisinzibwa ebirala (ba lubaale) mbu babe nga bataasibwa.

75. tebisobola ku bataasa era ebyo ly’eggye eryanjuddwa gyebali (okubalwanirira).

76. Kale tebikukwasa nnaku ebigambo byabwe. Mazima ffe tumanyi ebyo bye bakisa n’ebyo bye boolesa.

77. Abaffe omuntu alemeddwa okulaba engeri mazima ffe gye twamutonda okuva mu mazzi g’ekisajja, olwo naye nadda awo okuwalaaza empaka mu bweyolefu.

78. Era n’atussizaawo eky’okulabirako nga yerabidde obutonde bwe! Neyebuuza nti: ‘Ani alamusa amagufa nga nago (gaafuuka dda) buwulungwa?’

79. Muddemu nti: ‘Agalamusa oyo eyagasibula omulundi ogwasooka era ye wuyo buli kitonde ye Mumanyi wakyo.

80. Oyo eyabassizaawo nga aviisa mu miti egya kiragala omuliro, olwo ne muba nga gye mwakisaako.

81. Abaffe alemererwa atya oyo eyatonda eggulu n’ensi okusobola nate okutonda enfanana yabwe? Awatali ku wannaanya ye wuyo omuyitirivu w’okutonda Omumanyi ennyo.

82. Mazima ekiragiro kye bwaba ayagadde ekintu kyonna (okubaawo) akigamba bugambi nti: ‘BA!’ Olwo nekiba (nga bwasazeewo).

83. Kale atukuzibwe oyo alina mu mukono gwe obufuzi obwokuntikko obwa buli kintu era gyali gye muzzibwa!’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *