Skip to content
Home » 22. Al – Hajj (Okulamaga)

22. Al – Hajj (Okulamaga)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

22. ESSUULA AL-HAJJ ‘OKULAMAGA’

Yakkira Madiina. Erina Aya 78

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda Omulezi wammwe. Mazima akayuuguumo k’essaawa envannyuma kintu kinene.

2. Lwe lunaku lwe mugiraba (essaawa envannyuma) nga kyabulira buli kikazi ekiyonsa omwana gwakyo gwe kiyonsa, era nga kisowola buli kikazi ekiri eggwako, eggwako lyakyo, ne werolera abantu nga bagangayivu ssonga ekituufu ssi bagangayivu wabula ekibonerezo kya Katonda kye kiyitirivu .

3. Kale abantu abamu mulimu (oyo) awalaaza empaka ku nsonga ezikwata ku Katonda nga teyesigamye ku buyivu, bwatyo n’agoberera buli Ssitaani kyewaggula.

4. yakakasibwa dda mubiwandiko ebikwata kw’ebyo, ebirambike nti: ‘Oyo agifuula munywanyi wayo eba erina okumubuza era emukwasa ekisinde ekiraga mu ssemwokya.

5. Abange mmwe abantu, bwe muba mu kyalimu okubuusabuusa okuzuukizibwa, mazima twabatonda muttaka oluvannyuma ne tubatonda mu mazzi g’ekisajja oluvannyuma mu kisaayisaayi, oluvannyuma mu kinyama (ekyenkana ekifi ekiggwera mu ttama) ekyawuddwa entondebwa yakyo n’ekitannaba kwawulibwa ntondebwa yakyo tusobole okubannyonnyola. Bwetutyo tugundiiza mu nnabaana ebyo bye twagala okubituusa ku kiseera ekigerageranye. Bwetumala tubafulumya nga muli mabujje, oluvannyuma musobozesebwa okutuuka we mufuukira abakulu. Kale mummwe osangamu oyo avumbagirwa entunnunsi ze mu bwangu, era mummwe osangamu oyo azzibwayo mu buwangazi obusinga okuba obwawansi olwo afuuke atalina ky’amanyi sso nga yali amanyi bingi. Ensi n’ogiraba nga nkalajje naye bwetuba tugiyiyeeko amazzi, ejugumira n’ezimba n’emeza buli mugogo gw’ebimera ebijinnyimufu.

6. Ekyo kiraga nga Katonda bwali ow’amazima era n’okubanga yewuyo alamusa ebifu era yewuyo omusobozi wa buli kintu.

7. Era mazima essaawa envannyuma erina okutuuka, teriimu kubuusibwabuusibwa era mazima Katonda wa kuzuukiza abali mu ntaana.

8. Kale abantu abamu balimu oyo awalaaza empaka kunsonga ezikwata ku Katonda nga yeesigamye ku butali bayivu newankubadde obuluŋŋamu newankubadde ekitabo ekitangavu.

9. Ensonga eyokubiri emuwalaazisa empaka kwe kubuza (abantu) nga ava ku kkubo lya Katonda. Bumutuukako oyo munsi muno obunyomoofu era tulina okumutuusaako ku lunaku lw’amayimirira ekibonerezo ky’okusiriizibwa.

10. Ekyo kiri bwekityo olw’ebyo bye gyakulembeza (okukola) emikono gye n’okuba nti mazima Katonda ssi mulyazamanyi eri abaddu bonna.

11. Kale abantu abamu mulimu oyo asinza Katonda ekiwunjukira nga bw’atuukibwako ekirungi atebenkera nakyo (mummeeme ye) ate bw’atuukibwako ekigezo akyuka naddayo (mu bujeemu bwe yaliko) y’oyo eyafaafaagana kunsi n’enkomerero. Okwo kwekufaafaagana okweyolefu.

12. Awanjagira, nga aleseewo Katonda, ebyo ebitamutuusaako kibi era ebitamugasa. Okwo kwe kubula okw’okuzaawa.

13. Awanjagira ebyo ebirimu okuyisibwa kwe obubi, obuli kulusegere ennyo, okukira okugasibwa kwe. Kw’ekwo (okuwanjaga) okusingayo obubi mu buyambi era kwekwo okusingayo obubi mu kuganza.

14. Mazima Katonda ayingiza abo abakkiriza era abaakola ebirungi, ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga, mazima Katonda akola ebyo byayagala.

15. Oyo yenna eyali alowooza nti (omubaka) Katonda tajja ku mutaasa munsi ne kunkomerero kale afuneyo ensonga yonna alinnyuke nayo muggulu oluvannyuma asazeemu (okutaasa kwa Katonda) bwamala alindirire okulaba: Abaffe zirina ddala kye zijjawo enkwe ze kw’ebyo ebireeta ennyiike?

16. Kale bwetutyo bwe twagissa (Qur’an) nga ejjudde eby’okulabirako ebyanjulukufu n’okuba nti mazima Katonda aluŋŋamya oyo gwayagala.

17. Mazima abo abakkiriza n’abo Abayudaaya ne Bamukyusaddiini n’Abanaswala n’Abasinza omuliro n’abo Abasamize. Mazima Katonda asalawo eggoye wakati wabwe ku lunaku lw’amayimirira. Mazima Katonda buli kintu kyonna ye Mujulizi.

18. Abaffe olemeddwa okw’elolera engeri Katonda gye bamuvunnamira abo abali muggulu n’abo abali munsi n’enjuba n’omwezi n’emmunyenye n’ensozi n’ebimera n’ebiramu ebitambula n’abantu abasinga obungi? Ate eriyo enkuyanja y’abo abaakakatibwako ekibonerezo. Kale oyo yenna Katonda gw’aweebuula tafunayo amufuula wa kitiibwa. Mazima Katonda akola kyaba ayagala.

19. Biibyo ebibinja by’abakaayana bibiri, bafunye enkayana kunsonga ezikwata ku Mukama Katonda Omulezi wabwe. Abo abaajeema bamaze okupimibwako ebyambalo eby’omuliro (bye balina okwambala) nga bwe bafukirirwa okusinzira waggulu w’emitwe gyabwe olweje.

20. Oluviirako okusaanuusibwa kw’ebyo ebiri mu mbuto zabwe n’ensusu zonna

21. Era nga bakompolwa ebidoddolima by’ekyuma.

22. Buli lwe baba baagadde okugufuluma olw’ennaku ebayinze nga bazzibwayo mugwo (nga bakomekkerezebwa n’ebigambo ebigamba nti:) ‘Kale mulege ku kibonerezo ky’okusiriizibwa!’

23. Mazima Katonda ayingiza abakkiriza era abaakola ebirungi, Ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga, nga banaanikibwa (muyo) ebikomo ebya zzaabu n’ebirema (luulu) era ebyambalo byabwe muyo bya liiri.

24. Kale muluŋŋame nga mwogera ekigambo ekirungi era muluŋŋame nga mukwata ekisinde ky’oyo atenderezebwa.

25. Mazima abo abaajeema era abaatangira ekkubo lya Katonda n’omuzigiti gw’emizizo ogwo gwetwafuulira abantu, okuba nti batwalibwa kyenkanyi, k’abeere mutuuze waamu oba muzzi buzzi. Era oyo yenna asikirizibwa okugukoleramu ekikyamu mu bulyazamanyi (wadde nga tannakituukiriza) tumutuusaako ekimu ku kibonerezo ekikakali.

26. Kale jjukira lwe twayoleka Ibrahim ekifo ky’ennyumba. (ne tumubikkulira obubaka obumulabula nti:) Weewale okungattako (ekintu) ekirala, era yonjeza ennyumba yange abajeetooloola n’abayimirira (nga basaaliramu) n’abakutama nga bwe bavunnama.

27. Era langirira eri abantu okulamaga, babe nga bajja okutuuka woli nga batambuza bigere, era nga (abalala) beebagadde endogoyi enkovvu (olw’obuwanvu bw’olugendo lwe basiyagguse) nga bafubutukira mu buli kkubo eriva ebunaayira.

28. Kibasobozese okujulira (enkuyanja ya) ebyo ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw’ekyo by’abagemulidde, okugeza ezimu kunsolo ezisalibwa. Kale mulye ku nnyama yazo era mugabireeko abo ba lunkupe abaavu.

29. Bwebamala bejjeko ebikyafu ebibaliko era batuukirize obweyamo bwabwe era beetooloole ennyumba kasangwawo.

30. Bwekityo (bwekirina okuba). Era oyo agulumiza eby’emizizo bya Katonda ekyo kiba kirungi gyali (omuntu) ewa Mukama Katonda Omulezi we. Era mwakkirizibwa (okulya) ensolo ezirundibwa nga ojjeeko ezo ezibasomerwa. Kale mwewalire ddala entalondwa z’ebifananyi era mwewalire ddala ebigambo ebijweteke.

31. Mwenna nga mukomola n’okwewala enzikiriza etakkiririza mu Katonda, nga tewali kye mu mugattako. Era oyo yenna agatta (ekintu kyonna) ku Katonda asinzibwa Allah, afaanana nga omuntu awanuse mu bwengula n’agwa ne bimugajambula ebinyonyi oba ssi ekyo kibuyaga n’amukuŋŋunsa okumusuula mu kifo eky’ebunaayira.

32. Bwekityo (bwe kirina okuba) era oyo yenna agulumiza eby’emizizo bya Katonda olwo mazima ekyo kiba kimu kw’ebyo ebirambika okutya kw’emitima (gyabwe).

33. Muzirinamu (ensolo) emigaso nkuyanja okutuusiza ddala ku ntuuko ezaasalibwawo. Ebyo bwebiggwa ewebwayo (nga etuuse) mu bifo ebiriranye ennyumba kasangwawo.

34. Ate buli mulembe twaguteerawo ekifo awasalirwa ebiwebwayo kibasobozese okutendereza erinnya lya Katonda asinzibwa Allah olw’ebyo bye yabagabira okugeza ensolo ezirundibwa (ezisaddaakibwa). Kale Omusinzibwa wammwe Musinzibwa Omu yekka, kale ku lulwe yekka mwenna gwemulina okwewayo (gyali) okugondera amateeka ge (okuba abasiraamu), era tuusa amawulire amalungi (Ago) kwabo abeggonjebwa.

35. Abo ababa nti, singa ayogeddwako Katonda asinzibwa Allah, gitekemuka emitima gyabwe, n’abo abagumira obuzibu obubatuuseeko n’abo abayimirizaawo esswala era nga ebimu kw’ebyo bye twabagabira bawaayo.

36. Ate eŋŋamiya (kalibbango) twazibateerawo okuba akamu ku bubonero obulambika obuyinza bwa Katonda, muzifunamu ebirungi nfafa. Kale muziraamirizeeko erinnya lya Katonda (muzisale) nga ziyimiridde ku magulu asatu, (okwomumaaso okumu nga kuweteddwa) era bwezimala okugwira oludda lwazo olumu (ku ttaka) nga zifudde, olwo mulye emu kunnyama yazo era mugabireeko omwavu n’omuyise. Bwetutyo twazibafuulira eŋŋonvu musobole okusiima,

37. Tesobola kutuuka wa Katonda ennyama yazo newankubadde omusaayi gwazo, wabula ekituuka gyali kwe kutya okusibuka mummwe (mu mitima gyammwe). Bwatyo bwe yazibagondeza mulyoke mugulumize Katonda asinzibwa Allah olw’engeri gye yabaluŋŋamya, era tuusa amawulire amalungi ago kwabo abalongosa emirimu.

38. Mazima Katonda alwanirira abakkiriza. Mazima Katonda tayagala oyo okumpanya, ajeema.

39. Bafunye okukkirizibwa okwerwanako abo abatabaalibwa olw’okuba baalangibwa bwemage. Ate mazima Katonda ekyo eky’okubataasa ddala musobozi.

40. Bebo abaagobwa mu mayumba gabwe nga tewali kya mazima kye balangibwa okujjako engeri gye boogera nti: ‘Mukama Katonda Omulezi waffe ye Allah asinzibwa yekka. Ssinga tekwali kusobozesa kwa Katonda abantu abamu okulwanirira bannaabwe, gaalifuuliddwa matongo amasinzizo gonna, kagabeere Yekaalu oba Ekkanisa (za Banaswala) oba Ebiggwa (bya Bayudaaya) oba Emizigiti (gy’Abasiraamu) egitendererezebwamu erinnya lya Katonda ennyo. Kale Katonda ajja kutaasiza ddala oyo amutaasa. Mazima Katonda ye Kirimaanyi Luwangula.

41. Bebo bosanga nti bwetuba tubanywezezza munsi, bayimirizaawo esswala era bawaayo Zaka, era balagira empisa ennungi era baziyiza amayisa amabi. Kale ewa Katonda yokka gye zizzibwa ensonga zonna.

42. Bwebaba bakulimbisa (ekyo ssi kikulu) mazima gwalimbisa dda olubereberye lwabo omurembe gwa Nuhu ne Aad ne Thamud.

43. N’omulembe gwa Ibrahiim n’omulembe gwa Luutu.

44. N’abatuuze b’Emadiyan. Musa naye yalimbisibwa. Bwentyo nnalembereza abajeemu, oluvannyuma nnabagombamu obwala. Kale butya engeri gye bwalimu obukyayi bwange?

45. Kale kameka buli kyalo bwe twakizikiriza nga kigyemye, nekiba nga kifuulibwa amatongo n’ebisaakaate ebyalekwa amagalangajja n’embiri enjoyoote ezikoma mu bwengula?

46. Abaffe balemeddwa okutambula munsi bafune emitima gye beyambisa okutegeera, oba amatu ge beyambisa okuwulira. Wew’awo amaaso ssi gegaziba wabula ekiziba gy’emitima egyo egiri mu bifuba.

47. Kale balina akapapirizo mu kukusaba okubatuusaako ekibonerezo sso nga Katonda tajja kulema kutuukiriza ndagaano ye. Ate mazima olunaku olumu lwokka ewa Mukama Katonda Omulezi wo lwenkana emyaka lukumi kw’egyo gye mubala.

48. Kale kameka buli kyalo bwennakirembereza nga kijeemu oluvannyuma nenkigombamu obwala? Ate yokka gyendi bwe buddo.

49. Langirira nti: ‘Abange mmwe abantu, mazima ekyo kyokka ekinvunanyizibwa gyemuli kwe kubeera omulabuzi (wammwe) ow’olwatu!

50. Kale abo abakkiriza era abaakola ebirungi bafuna okusonyiyibwa n’okugabirirwa okw’ekitiibwa.

51. Ate abo abaafuba ennyo amateeka gaffe okugalemesa bebo ab’okufuna obutuuze mu ggeyeena.

52. Era nazzikuno tetutumangayo nga gwe tonnabaawo, mubaka yenna wadde Nabbi, okujjako nga bwaba asazeewo eky’okukola, Ssitaani ebaako ky’esonseka mwekyo ky’asazeewo (omubaka oba nabbi) okukola, naye Katonda asangulawo ebyo Ssitaani by’esonseka oluvannyuma Katonda n’alamuzisa amateeka ge. Kale Katonda ye Mumanyi ennyo Ssaabalamuzi.

53. Alyoke (Katonda) afuule ebyo Ssitaani by’esonseka ekigezo eri abo abalina mu mitima gyabwe ekirwadde n’abaguggubivu b’emitima. Era mazima abajeemu bali mu kweyabuluza okwewala.

54. Era balyoke bamanye abo abaawebwa obuyivu, ago nga bwegali amazima ddala, agava ewa Mukama Katonda Omulezi wo olwo bagakkirize era gassibwemu ekitiibwa n’okugobererwa emitima gyabwe. Kale mazima Katonda ye muluŋŋamya wabo abakkiriza okubazza mu kkubo eggolokofu.

55. Ate tebajja kulekayo abo abajeemu kugibuusabuusa (Qur’an) okutuusa nga ebatuuseeko essaawa envannyuma mu kibwatukira oba ssi ekyo nga kibatuuseeko ekibonerezo ky’olunaku mutaddirirwa (lulala).

56. Obufuzi ku lunaku olwo bwa Katonda yekka alamula wakati wabwe. Kale abo abakkiriza era abaakola ebirungi ba kuyingizibwa mu jjana ey’ebyengera.

57. Ate abo abaajeema era abaalimbisa amateeka gaffe, bebo ab’okufuna ekibonerezo luweebuula.

58. Ate abo abaasengukira mu kkubo lya Katonda oluvannyuma ne battibwa oba ne bafa bufi, awatali kuwannanya abo Katonda wa kubagabirira olugabirira olulungi. Era ddala Katonda ye wuyo asinga obulungi mu bagabirizi.

59. Mazima wa kubayingiriza ddala mu kifo kye basiima. Mazima Katonda ye Mumanyi Oweekisa.

60. Bwekityo (bwekirina okuba) era oyo eyeesasuza n’abonereza ekyenkana nga bweyabonerezebwa, kyokka oluvannyuma n’alumbaganibwa mu kukyokoozebwa nate, oyo Katonda amutaasiza ddala. Mazima Katonda tanonooza nsobi, Musonyiyi.

61. Bwekityo (bwekirina okuba) olwokuba Katonda asonseka (obudde bwa) ekiro mu misana era asonseka (ebiseera by’e) emisana mu kiro, era mazima Katonda Muwulizi Mulabi.

62. Bwekityo (bwekirina okuba) olw’okuba ddala Katonda yewuyo Owamazima era ddala, biri bye bawanjagira nga ojjeeko Yye by’ebyo eby’obutaliimu, era mazima Katonda ye wuyo Owaawaggulu Omugulumivu.

63. Abaffe olemeddwa okwelolera engeri Katonda gye yatonnyesa okuva muggulu amazzi olwo ensi n’ebukeesa nga ya kiragala? Mazima Katonda Mugondeza Kakensa.

64. Bibye yekka ebiri muggulu n’ebiri munsi. Era mazima Katonda ye wuyo Omugagga Atenderezebwa.

65. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri Katonda gye yabagondeza ebyo ebiri munsi n’amaato agaseeyeeya mu nnyanja nga gatuukiriza kiragiro kye era awanirira eggulu obutagwa ku ttaka okujjako olw’okukkiriza kwe. Mazima Katonda eri abantu ye mutangirizi w’ebibi Ow’ekisa ekingi.

66. Era yoyo eyabalamusa, bwamala abafiisa bwamala abalamusa. Mazima omuntu (naaba nga) ye Ssabawakanyi.

67. Buli mulembe twaguteerawo ebifo awasalirwa ebiwebwayo bbo bye balina okuwaayo kale baleme kufunirayo ddala kye bakukaayanya ku nsonga yonna. Era gwe yita abantu okudda eri Mukama Katonda Omulezi wo. Mazima ggwe wuyo ali ku buluŋŋamu obulambulukufu.

68. Naye bwe baba bakuwakanyizza ggwe bategeeze nti: ‘Katonda y’asinga okumanya bye mukola.

69. Katonda wa kulamula wakati wannwe ku lunaku lw’amayimirira mwebyo bye mwali mulinamu obutakkaanya’.

70. Abaffe olemeddwa okumanya nti mazima Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu n’ensi? Ddala ebyo byakakasibwa mu kitabo. Ddala ekyo ku Katonda kyangu.

71. Kale basinza, (ebirala) nga baleseewo Katonda, ebyo (Katonda) byatassaako nsonga yesembesebwa era nga tebalina kye babimanyiko. Kale tebalinaayo abajeemu oyo abataasa.

72 Ate bwe gaba gabasomeddwa amateeka gaffe amannyonnyofu, otegeera okusinzira ku (kwekaba kw’e) byenyi bya bali abajeemu obukyayi (bwe balina). Babulako katono okukwata n’eryanyi abo ababasomera amateeka gaffe. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe mbategezeeyo ekibi ennyo okusinga ebyo bye muliko? Gwemuliro Katonda gwe yalaganyisa abo abaajeema. Era obuddo obw’ekivve.

73. Abange mmwe abantu, kireeteddwa eky’okulabirako mukiwulirize; mazima ebyo bye muwanjagira nga muleseewo Katonda tebiyinza kutonda wadde ensowera, byonna nebwebigyegattako. Ate bweba ensowera erina ekintu kye bakwakkulako tebasobola kukiginunulako. Byonna byasukka obunafu: omuwanjazi n’ebiwanjagirwa.

74. Baalemererwa okugerageranya Katonda olugerageranya olutuufu. Mazima Katonda ye Wamaanyi Luwangula.

75. Katonda ayawulamu abamu ku ba Malaika n’abafuula ababaka n’abamu ku bantu (Ayawulamu). Mazima Katonda Muwulizi Omulabi.

76. Amanyi bye balimu kati n’ebyo ebiri emabega wabwe. Era ewa Katonda gye zizzibwa ensonga zonna.

77. Abange mmwe abakkiriza: mukutame era muvunname era musinze Mukama Katonda Omulezi wammwe era mukole ebirungi mulyoke mufune okuganyulwa.

78. Era mulwanirire Katonda obwennyini bw’okumulwanirira. Yoyo eyabafuula abaawufu (mu kugoberera amateeka ge) era mpawo kuzitoowereza kwonna kwe yabassiza mu Ddiini. Eyo y’enzikiriza ya jjajja mmwe Ibrahiim. Ye (Katonda) nazzikuno ye yabatuuma Abasiraamu (abewaayo mu mateeka ga Katonda). Naye ekyekusise mwekyo, kisobozese omubaka okubawaako obujulizi, nammwe kibasobozese okuwa obujulizi ku bantu. Kati muyimirizeewo esswala era muweeyo Zaka era mwemyweze ku Katonda oyo Ddunda wammwe, kale ye w’Omukisa Dunda era ye w’Omukisa Omutaasi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *