Skip to content
Home » 64. Al – Taghabun (Obuggya)

64. Al – Taghabun (Obuggya)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

64. ESSUULA: ATTAGHABUN, OBUJJA

Yakkira Madiina. Era Aya 18.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okwenjawulo.

1. Bitendereza ku lwa Allah ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi. Ye nnannyini bufuzi era ye nnanyini kutenderezebwa. Bwekityo ye wuyo Omusobozi wa buli kintu.

2. Ye wuyo eyabatonda, nga abamu kummwe bajeemu era abamu kummwe bakkiriza. Kale Katonda byonna bye mukola Mulabi.

3. Yatonda eggulu n’ensi nga asinzira kunsonga entufu, era yatonda enfanana yammwe n’ayooyoota enfanana yammwe. Ate gyali bwe buddo.

4. Amanyi ebyo ebiri mu ggulu n’ensi era amanyi bye mukukusa n’ebyo bye mwolesa. Kale Katonda ye Mumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

5. Abaffe tegabatuukangako amawulire g’abo abaajeema olubereberye? Kale baaloza ku bukaawu olw’embera yabwe, era balina ekibonerezo ekiruma.

6. Kiri bwekityo kubanga mazima baali babatuusaako ababaka babwe ebituufu, olwo nebebuuza nti: ‘Abaffe omuntu obuntu naye asobola okuluŋŋamya?’ Bwebatyo baajeema era badda ekyennyuma. Ate nga Katonda yeemalirira. Era Katonda ye Mugagga atenderezebwa.

7. Baakitwala abo abaajeema nti tebajja kuzuukizibwa. Ggwe bategeeze nti: ‘Wew’awo ndayira Mukama Katonda Omulezi wange, ddala mulina okuzuukizibwa, ekyo bwekiggwa mube nga mutegeezebwa bye mwakola. Era ekyo ku Katonda kyangu’.

8. Kale mukkirize Katonda n’omubaka we n’ekitangala (amateeka ga Katonda) ekyo kye twassa. Kale Katonda byonna bye mukola ye kakensa.

9. Olunaku lwabakungira awamu okubazza ku lunaku olw’ekkuŋŋaaniro. Lwerwo olunaku olw’okukolegana obujja. Kale oyo yenna akkiriza Katonda era akola ebirungi, aba amukendezaako ebibi bye, era amuyingiza Ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga ba kusiisira omwo lubeerera. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

10. Naye abo abaajeema era abaalimbisa amateeka gaffe, bebo ba nnannyini muliro, ba kusiisira mugwo. Obwo bwa kivve obuddo.

11. Mpawo kibeerawo nga kibi okujjako lwa kukkiriza kwa Katonda, era oyo yenna akkiriza Katonda, aba aluŋŋamya mutima gwe. Kale Katonda buli kintu Mumanyi.

12. Bwekityo mugondere Katonda era mugondere omubaka. Naye ssinga mweremye, mazima obuvunanyizibwa bw’omubaka waffe, kwe kubunyisa (obubaka) okweyolefu.

13. Allah yoyo asinzibwa, mpawo kisinzibwa okujjako Yye, era Katonda yekka gwe bateekwa okwesigamira abakkiriza.

14. Abange mmwe abakkiriza, mazima abamu ku bakyala bammwe n’abaana bammwe balabe bammwe kale mubekuume. Naye ssinga temunonooza nsobi, era ne mwelekereza era ne musonyiwa, olwo ddala Katonda aba Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

15. Ddala engeri yokka gye birimu eby’enfuna byammwe n’abaana bammwe kwe kuba ebigezo, naye ewa Katonda y’eri empeera ennene.

16. Kale mutye Katonda ekyo kye muba musobodde, era muwulire era mube bagonvu era muweeyo ebirungi olw’emyoyo gyammwe. Kale oyo agangibwa obuluvu bw’omwoyo gwe nga bebo abalokofu.

17. Ssinga muwola Katonda oluwola olulungi, alubakubisizaamu emirundi n’emirundi, era abasonyiwa. Kale Katonda ye Musiimi Oweekisa.

18. Omumanyi w’ebikusike n’olwatu Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *