Skip to content
Home » 72. Al – Ginni (Amaginni)

72. Al – Ginni (Amaginni)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

72. ESSUULA: AL-GINNI, ‘AMAGINNI’

Yakkira Makka. Erina Aya 28

Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bategeeze nti: ‘Nabikkulirwa obubaka obutegeeza nti: ‘Mazima waliwo ekibinja kya Maginni ekyawuliriza (Qur’an), olwo nekigamba nti: mazima ffe tuwulidde Qur’an (Ssemusomwo) ey’ebyewuunyo.

2. Eruŋŋamya okudda ku buluŋŋamu era twagikkirizza. Kale tetukyaddayo kuyimbagatanya ku Mukama Katonda Omulezi waffe kintu kyonna.

3. Era yewuyo Omugulumivu, asembayo okuba ow’ekitiibwa Mukama Katonda Omulezi waffe atessizaawo mukyala wadde omwana.

4. Era mazima, babadde boogera abanafu b’okutegeera abamu kuffe ku Katonda ebijweteke.

5. Era mazima ffe twalowooza nti: Tasobola kwogera omuntu newankubadde amaginni ku Katonda bya bulimba.

6. Era mazima wabaddewo abasajja muluse lwabantu abegangisa abasajja mu luse lwa maginni (okuwona akabi) naye babongedde kwedibaga.

7. Era mazima abo (abantu) baalowooza, nga nammwe (oluse lwa maginni) bwe mwalowooza nti; tewali Katonda gw’anaazuukiza n’omu.

8. Era mazima ffe twafeffetta eggulu netulisanga nga lyabunyisibwa abakuumi abakambwe n’ebitawuliro by’omuliro.

9. Era mazima ffe tubadde tulina enfo zaffe wetutuula mu ggulu olw’okuwuliriza. Naye oyo yenna awuliriza kaakano asangawo ekyamutegekerwa nga kitawuliro kya muliro ki mutasubwa.

10. Era mazima ffe tetumanyi. Abaffe ekibi kye kyagendererwa okutuusibwa kwabo abali munsi nandiki yasalawo Mukama Katonda Omulezi wabwe okubaagaliza obuluŋŋamu?

11. Era mazima abamu kuffe balongofu era abamu kuffe ssi bwe bali bwebatyo. Twali bibinja bya njawulo.

12. Era mazima ffe twakirowooza nti: ddala tewali kye tujja kulemesa Katonda munsi ne wankubadde okumulemesa okutuggwikiriza nga tudduka.

13. Era mazima ffe bwe twawulira okuluŋŋamya twakukkiriza. Kale oyo akkiriza Mukama Katonda Omulezi we, aba takyatya kuseerebwa (mpeera ya mirimu gye emirungi) wadde okumettebwako (ebibi).

14. Era mazima abamu kuffe basiraamu (bewaayo mu mateeka ga Katonda) era abamu kuffe bewagguzi. Naye oyo aba (asiramuse) yewaddeyo mu mateeka ga Katonda nga bebo abagoberedde mu bugenderevu obuluŋŋamu.

15. Naye abewagguzi be bafuuka mu ggeyeena enjakirizo (enku).

16. Era ssinga baatereerera ku mugendo (gw’obuluŋŋamu) twalibanywesezza amazzi agawooma.

17. Tube nga tubagezesezaako. Naye oyo ayesulubabba okutendereza Mukama Katonda Omulezi we, amutuusa ku kibonerezo ekyokuntikko.

18. Era mazima Emizigiti gyonna gya Katonda. Kale temuyimbagatanya mu kusinza Katonda kintu kirala’.

19. Era mazima kiri nti: bwe yayimirira omuddu wa Katonda nga amusinza, gaasembera waali (amaginni) okumuzengerera negabulako katono okwetuulaganako.

20. Bategeeze nti: ‘Oyo gwensinza yekka ye Mukama Katonda Omulezi wange era ssimugattako kintu kyonna’.

21. Bategeeze nti: ‘Mazima nze tewali kyennyinza kubawonya nga kibi wadde okubatuusaako nga kirungi’.

22. Bategeeze nti: ‘Mazima tewali noomu anamponya (ebibonerezo bya) Katonda (bwemba mmujeemedde) wadde okufunayo obutali gyali obwewogomo.

23. Okujjako obulanzi obuva ewa Katonda n’obubaka bwe. Era oyo ajeemera Katonda n’omubaka we, olwo mazima aba assibwa mu muliro gwa ggeyeena okusiisira omwo olubeerera’.

24. Bwe batuusa okwerolera bye basuubizibwa olwo banaamanya wannaba ki alina engajaba z’abayambi n’abalwanirizi aboomunyoto.

25. Bategeeze nti: ‘Ssirina kyemmanyi, abaffe biri kumwanjo bye musuubizibwa nandiki abifuula Mukama Katonda Omulezi wange okuba eby’ewala’.

26. Ye Mumanyi w’ebikusike era teriiyo abikkula byama bye nomu.

27. Okujjako oyo gwaba asiimye omu ku babaka, kale mazima Yye amuweereza (ababaka ba Malaika) abali mu maaso ge n’abali emabega we nga bakuumi.

28. Abe nga amanya nti mazima ddala batuusizza obubaka bwa Mukama Katonda Omulezi wabwe era yebungulula embera (zonna) ze balimu era yakomekkereza okumanya ebintu byonna omuwendo gwabyo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *