Skip to content
Home » 67. Al – Mulk (Obwakabaka)

67. Al – Mulk (Obwakabaka)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

67. ESSUULA: AL-MULKU, OBWAKABAKA

Yakkira Makka. Erina Aya 30.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo, Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Yagulumizibwa oyo eyassa mu mukona gwe obufuzi bwona era ye wuyo Omusobozi wa buli kintu.

2. Oyo eyatonda okufa n’obulamu olw’okubagezesa ani mumwe asinga okulongosa emirimu era ye wuyo Luwangula Omusonyiyi. 3. Oyo eyatonda eggulu musanvu mu miko (egiri waggulu wa ginnaagyo). Tewali ky’olaba mu kutonda kwa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo kisobu kyonna. Ate mala ozzeeyo eriiso (werolere), abaffe olabayo emyagaanya?

4. Bwomala zzaayo eriiso emirundi ebiri, olwo liba lidda eriiso gyoli nga liwooteevu era nga lyeryo eriremeddwa (okulaba ensobagane).

5. Kale mazima twawunda eggulu eririraanye ensi n’amataala ate nga twagafuula ebitawuliro by’omuliro ebikasukirwa Ssitaani, era twaziteekerateekera ekibonerezo kya lubumbujja.

6. Ate balina okufuna abo abajeemera Mukama Katonda Omulezi wabwe ekibonerezo kya ggeyeena era bubi nnyo obwo obuddo.

7. Bwe baba bagusuuliddwamu baguwuliramu okubumbujja olwo nga gwesera.

8. Gusemberera okweyuzaamu olw’obusungu. Buli lwe gusuulibwamu ekibinja (ky’abajeemu) nga bababuuza abakuumi bagwao nti: ‘Abaffe mpawo yabatuukako nga mulabuzi?’

9. Ne baddamu nti: ‘Wew’awo yatutuukako omulabuzi era twamulimbisa netugamba nti: ‘Mpawo Katonda kyassizza ku nsonga yonna. Mazima tewali kye mulimu mmwe okujjako obubuze obusukkiridde.’

10. Era baagamba nti: ‘Ssinga twali tuwuliriza oba tutegeera tetwalibadde bantu ba mu muliro’.

11. Bwebatyo baamanya ekyonoono kyabwe. Kale kabulaŋŋana abo ab’okubeera mu lubumbujja.

12. Mazima abo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe mu nkiso balina okusonyiyibwa n’empeera ennene.

13. Kakibe nti mu kukusizza ebigambo byammwe oba mubyolesezza. Mazima yewuyo Omumanyi w’ebiri mu bifuba.

14. Abaffe ayinza obutamanya ate nga ye yatonda (ebitonde byonna) era nga yewuyo Omugondeza Kakensa?

15. Yewuyo eyabassizaawo ensi nga ŋŋonvu, kale mutambulire mu mpuyi zayo era mulye ebimu ku bigabirirwa byayo, era buli wuwe yokka obuzuukiriro.

16. Abaffe mufunye obwesige okuwona oyo ali muggulu obutabavuunikako nsi, nemwejjuukiriza nga eyuuguuma?

17. Nnandiki mufunye obwesige okuwona oyo ali muggulu obutabasindikira mayinja? Kale mujja kumanya engeri gye kubeeramu okulabula kwange.

18. Ate mazima baajeema abo abaasooka, naye ngeri ki gyekwalimu okutamwa kwange?

19. Abaffe balemeddwa okwerolera ebinyonyi mu bwengula bwabwe engeri gye byanjuluza (ebiwawaatiro) era ne biwumba? Mpawo abiwanirira okujjako Mukama Katonda Omusaasizi ennyo. Mazima yewuyo Omulabi wa buli kintu.

20. Abaffe wa nnaba ki oyo ayeesowolayo okuba eggye lyammwe, nga taliiko Mukama Katonda Omusaasizi ennyo? Tewali kirala abajeemu kye balimu okujjako okuggwera mu bubuze.

21. Abaffe wa nnaba ki oyo ayeesowolayo okubagabirira, bwaba Yye aziyizza ebigabirirwa bye (gyemuli)? Wew’awo abo baagundiira mu bwewagguzi n’obubuze.

22. Abaffe oyo atambula agwirana ku bwenyi bwe y’asinga obuluŋŋamu, nnandiki oyo atambula obusimbalalaala nga atebenkedde ku kkubo eggolokofu?

23. Bategeeze nti; yewuyo eyabasibula era yabassaako okuwulira n’okulaba n’okutegeera. (Naye) bitono nnyo bye musiima.

24. Bategeeze nti; yewuyo eyabasibula mu ttaka era gyali gye muzuukizibwa.

25. Kyokka badda mu buuza nti: ‘Kyaddi ekyo ekisuubizo, bwemuba mukakasa bye mwogera?’

26. Baddemu nti: ‘Mazima ekyo okukimanya kuli wa Katonda era nze obuvunanyizibwa obwange kwe kuba omulabuzi omweyolefu’.

27. Naye bwe baabiraba (ebisuubizo) nga biri ku lusegere, byakwata kazigizigi eby’enyi byabo abaajeema era baategeezebwa nti: ‘Biibyo bye mubadde mwesabyasabya’.

28. Babuuze nti: ‘Mulaba mutya ssinga nga ansanyizzaawo Katonda n’abo abali nange, oba asazeewo okutusaasira, olwo wannaba ki oyo awonya abajeemu ebibonerezo ebiruma?

29. Baddemu nti: ‘Yewuyo Mukama Katonda Omusaasizi era gwe twesigamako yekka. Kyokka mujja kumanya ani oyo aggweredde mu bubuze obweyolefu’.

30. Babuuze nti: ‘Mulaba mutya ssinga bukedde enkya nga amazzi gammwe gaakalidde dda? Kale wannaba ki oyo abaleetera amazzi agalabwako?’

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *