Skip to content
Home » 33.Al–Ahzaab (Enkambi z’abatabaazi)

33.Al–Ahzaab (Enkambi z’abatabaazi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

33.ESSUULA:AL-AHZAAB,‘ENKAMBI Z’ABATABAAZI’.

Yakkira Madiina Erina Aya 73.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Owange ggwe Nabbi: Olina okutya Katonda era tewekkiriranya na bajeemu wadde abannanfusi. Mazima Katonda ye Mumanyi Omulamuzi Kalimagezi.

2. Era goberera ebyo ebikubikkulirwa nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Mazima Katonda ebyo bye mukola ye Kakensa.

3. Era wesigamire Katonda yekka, era kimala bumazi okuba nti Katonda ye mwesigamirwa.

4. Teriiyo Katonda lwe yassa mu musajja mitima ebiri mu mmeeme ye, era tafuulangako bakyala bammwe abo be mukuba emigongo okubeera ba maama bammwe. Era tafuulangako abo bemuyita batabani bammwe (enkuluze) okubeerera ddala abaana bammwe. Ebyo bye bigambo byammwe bye mwogeza emimwa gyammwe. Kyokka Katonda ayogera mazima era yewuyo alung’amya (okudda eri) ekkubo.

5. Mu bayite nga mu balukira ku bakitaabwe ekyo ky’ekisinga obwenkanya ewa Katonda. Ate bwe muba temumanyi ba kitaabwe, olwo baba baganda bammwe mu ddiini, era baba balabirirwa bammwe. Era tewali kidda gye muli nga kinenyo kwebyo bye mwasobya nga ojjeeko ebyo bye gyanywererako emitima gyammwe. Kale Katonda naba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. Nabbi ye webisanyizo eby’enkizo okuba nga avunanyizibwa ku bakkiriza, okusinga bbo bennyini (bwe bavunanyizibwa eri banaabwe) era bakyala be ba maama babwe. Era ab’eKKanda abamu balina enkizo ey’obuvunanyizibwa eri bannaabwe okusinzira ku byakakasibwa mu kitabo kya Katonda, okusinga abakkiriza n’abo abaasenguka, okujjako nga musazeewo okukolera abo bemulabirira ekirungi. Ekyo kyaliwo dda mu kitabo nga kiwandike.

7. Ate jjukira lwe twakola ne ba Nabbi endagaano zabwe, ne je twakola naawe ne Nuhu ne Ibrahim ne Musa ne Isa mutabani wa Mariam. Era twakola nabo endagaano enywevu.

8. Olwo alyoke (Katonda) abuuze abaakakasa amazima ga bali. (ba Nabbi abaatumibwa). Era yategekera abajeemu ekibonerezo ekiruma.

9. Abange mmwe abakkiriza mujjukire omukisa gwa Katonda gwe yabawa ekiseera we lyabatuukirako eggye, (lyabalabe) bwetutyo twabasindikira kibuyaga n’eggye lye mutaalaba. Katonda naaba nga buli kye mukola akiraba.

10. Jjukira lwe baabazindukiriza nga bafubutukira ekyengulu wammwe ne mumaserengeta gammwe era jjukira lwe gaatunula enkaliriza amaaso era negituuka emitima mu malookooli, olwo ne mulowooleza Katonda endowooza (enjawufu).

11. Awo lwe baagezesebwa abakkiriza, era baayuuguumizibwa oluyuuguuma olusuffu.

12. Era jjukira awo nga abannanfusi boogera, wamu naabo abalina mu mitima gyabwe ekirwadde nti: ‘Mpawo Katonda kye yatulagaanyisa n’omubaka we okujjako eddolera.

13. Era jjukira lwe kyalangirira ekibinja ekimu mubo nti: ‘Abange mmwe abantu be Yathirib (Madiina) temulinaayo businziriro bwammwe kale muddeeyo’. Bwebatyo ne batanula okusaba Nabbi abakkirize (baddeyo) nga bekwasa nti: mazima amayumba gaffe gali ttayo, sso nga tegali ttayo. Tewali kirala kye baali baagala okujjako okudduka.

14. Sso nga bwe baalizindukiriziddwa okufubutukira mu gamu ku masaza gayo (eyo ensi yammwe) oluvannyuma ne basabibwa okwaKKanga ekigezo baalikkirizza okukyaKKanga era olwo tebaalisiisiddeyo (e Madina) okujjako akaseera akatono.

15. Era mazima baali baasuubiza Katonda olubereberye nga bwe batayinza kudda mabega (nga batiiriridde olutabaalo) Ate nga ekisuubizo kya Katonda kyali kya kubanjibwa.

16. Bategeeze nti: ‘Tekuyinza kubayamba okuyotta bwe muba muyosse okuwona okufa oba okuttibwa. Olwo ate mpawo kweyagala kwemwalituuseeko okujjako okutono ennyo’.

17. Babuuze nti: ‘Y’aliwa oyo abawa obukuumi obubakugira okusalawo kwa Katonda bwaba Yye abaagalizza kucwano oba abaagalizza busaasizi?’ Era ssi ba kufunayo nga ojjeeko Katonda, Ddunda yenna wadde omutaasi.

18. Mazima Katonda amanyi abawubisa nga bava mu kibinja kyammwe n’abo abakowoola baganda babwe nti: ‘Mwanguweeko okujja gye tuli; era nga tebeetaba mu kizibu okujjako abatono. bweba etuuse ensisi obalaba nga bakutunuulira nga gawulunguta amaaso gabwe nga ag’oyo azirise olw’obulumi bw’okufa. Ate bweba eweddewo ensisi babasozzesa ennimi ez’obukambwe nga baluvubanira ebirungi. Bebo abatali bakkiriza era Katonda yatta ttogge emirimu gyabwe era kyali ekyo ku Katonda nga kyangu.

20. Basuubira nti enkambi z’abatabaazi tezinnagumbulukuka, ate bweziba zizze enkambi z’abatabaazi begomba nti ssinga mazima baali babeera munkoola mu bannamalungu, nga babuuza bubuuza mawulire gabakwatako ate ne bwebalyetabye mummwe era tebaalirwanye okujjako ekitono enyo.

21. Mazima mwafuna mu mubaka wa Katonda obuwangwa ekkula obwayawulirwa oyo aba alina essuubi mu Katonda n’olunaku lw’enkomerero era n’atendereza Katonda ennyo.

22. Naye bwe baamala abakkiriza okulaba enkambi z’abatabaazi, baagamba nti: ‘Ekyo kye yatulaganyisa Katonda n’omubaka we, era yayogera mazima Katonda n’omubala we. Era mpawo (nkambi za batabaazi) kye zabongera okujjako obukkiriza n’okwewaayo (mu Busiraamu) mu mateeka ga Katonda.

23. Abakkiriza abamu mulimu abasajja abaatuukirizza ebyo bye baasuubiza Katonda. Balinamu oyo eyakomekkereza oluwalo lwe era balinamu oyo akyalindirira. Era mpawo ku bonna yakyusaamu olukyusa.

24. Ekyo kisobozese Katonda okusasula (abo) abaamazima (empeera ennungi) olw’engeri gye baakakasa amazima gabwe era abe nga abonereza abannanfusi, bwaba ayagadde, oba okukkiriza okwenenya kwabwe. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

25. Era Katonda yagumbulula abo abaajeema n’essungu lyabwe nga tebafunyeyo kalungi. Bwatyo Katonda bwe yamalira abakkiriza olutabaalo. N’aba nga Katonda ye Kirimaanyi Luwangula.

26. Era yakukunulayo bali abaali babayambyeko abamu ku bannannyini kitabo nga abajja mu bisaakaati byabwe, bwatyo n’afubitika mu mitima gyabwe ensisi, (ne muba nga) ekibinja ekimu mukitta era ne muwamba ekibinja ekirala.

27. Era yabasikiza ensi yabwe n’amaka gabwe n’emmaali yabwe n’ensi (endala) gye mwali mutannatuuka. Bwatyo Katonda naaba nga buli kintu ye Musobozi.

28. Owange ggwe Nabbi, tegeeza bakyala bo nti: ‘Bwemuba mwettanira buwangazi bwansi n’eby’okwewunda byayo, kale mujje mbafunire eby’okweyagala (mweyagale) era mbalekulire olulekulira olulungi.

29. Ate bwemuba mwettanira Katonda n’omubaka we n’ennyumba ennungi ey’enkomerero, mazima Katonda abo abakyala abeeyisa obulungi mummwe yabateekerateekera empeera ennene.

30. Abange mmwe bakyala ba Nabbi, oyo yenna mummwe akola eby’obuwemu obweyolefu, kikubisibwamu ekibonerezo kyawebwa emirundi ebiri. Era nekiba ekyo ewa Katonda nga kyangu.

31. Era oyo yenna abeera omugonvu mummwe ku lwa Katonda n’omubaka we era n’akola ebirungi, tumuwa empeera ye nga nkubiseemu emirundi ebiri ate nga twamutegekera okugabirira okw’ekitiibwa

32. Abange mmwe bakyala ba Nabbi, mmwe temuli nga omuntu omulala yenna mu bakyala. Bwe muba mutidde Katonda temwegonza ddoboozi nga mwogera, nekiviirako okusikirizibwa kwoyo alina mu mutima gwe ekilwadde era mwogere bigambo birungi.

33. Era mukkalire mu maka gammwe sso mwewale okwelagaalaga enneeraga y’abatali bagunjufu abaasooka. Era muyimirizeewo esswala era muweeyo Zaka era mugondere Katonda n’omubaka we. Mazima ekyo kyokka Katonda kyayagala, kwe kubamalako ebibi (mmwe) abantu b’embuga, n’okuba nti abatukuza olutukuza.

34. Era mwogere ebyo ebisomerwa mu maka gammwe nga ge gamu ku mateeka ga Katonda n’okuyigiriza kw’obwannabbi. Mazima Katonda ye Mugondeza Kakensa.

35. Mazima abasiraamu (abeewaayo mu kkubo lya Katonda) abaami n’abakyala n’abakkiriza abaami n’abakyala n’abeemalidde mu kusinza Katonda abaami n’abakyala n’aboogera amazima abaami n’abakyala n’abagumiikiriza abaami n’abakyala n’abalaga obugonvu abaami n’abakyala n’abasaddaaka abaami n’abakyala n’abasiibi abaami n’abakyala n’abakuuma ensonyi zabwe abaami n’abakyala, n’abaami abatendereza ennyo Katonda n’abakyala abatendereza ennyo Katonda, Katonda yabategekera okusonyiyibwa n’empeera ennene.

36. Era tekigwana eri omukkiriza omwami n’ewankubadde omukkiriza omukyala bwe kiba nga Katonda n’omubaka we basazeewo ensonga, ate ne babanga bbo basiimayo ekirala eky’okukola mu nsonga zabwe. Era oyo ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.

37. Kale jjukira awo nga olagira oyo Katonda gwe yawa omukisa, nawe gwe wawa omukisa nti: ‘Wekuumire butilibiri mukyala wo!’. Nga okisa mu mmeeme yo ekyo Katonda kyateekwa okwolesa, era n’oba nga otya abantu ate nga Katonda yasinga okuba n’ebisanyizo ebikusobozesa okumutya. Kyokka Zaidi bwe yamala okumumalirizaako (mukazi we) ekyetaago twamukufumbiza kiviireko abakkiriza obutafuna nkenyera ku bakyala baabo be bayita batabani babwe enkulize, bwe baba babamalirizzaako ekyetaago (ne baawukama nabo) bwekityo ne kuba nga okusalawo kwa Katonda kutuukirizibwa.

38. Nabbi talinaawo nkenyera yonna mu kutuukiriza ekyo Katonda kye yamusalirawo. Eyo y’empisa ya Katonda eyatuukirizibwa ku bali abaasaanawo olubereberye, olwo ne kiba nga ekiragiro kya Katonda kisaliddwawo olusalibwa.

39. Bebo abatuusa obubaka bwa Katonda era nga bamutya, era teriiyo gwe batya mulala okujjako Katonda, olwo ne kimala bumazi okubanga Katonda ye Mubalirizi.

40. Tekibangawo Muhammad okuba taata w’omu ku basajja bammwe, wabula okubeera omubaka wa Katonda era nga y’Ekkula akomererayo mu ba Nabbi: Olwo Katonda n’aba nga buli kintu ye Mumanyi.

41. Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda okwogera kungi.

42. Era mu mutendereze enkya n’akawungezi.

43. Ye wuyo abawa emikisa era ne babasabira ba Malaika be, abe nga abajja mu bizikiza okubatwala mu kitangala. Olwo naaba nga eri abakkiriza ye w’okusaasira okwenjawulo.

44. Ennamusiganya yabwe (abakkiriza) ku lunaku lwe bamusisinkana eri nti: ‘Mirembe!’. Era yabategekera empeera ey’ekitiibwa.

45. Owange ggwe Nabbi, mazima twakutuma nga oli mujulizi era abunyisa amawulire amalungi era omulabuzi.

46. Era omukowoozi (wa bantu) okudda eri Katonda, nga kiva ku kukkiriza kwe (Katonda) era (oli) ettaala eyakaayakana.

47. Kale sanyusa n’amawulire amalungi abakkiriza, agabategeeza nti: ‘Mazima balina okufuna okuva ewa Katonda obulungi obuyitirivu!’.

48. Era togondera abajeemu n’abannanfusi era tofa ku kukiggyanya kwabwe era wesigamire Katonda yekka. Era kimala bumazi okuba nti Katonda ye mwesigamirwa.

49. Abange mmwe abakkiriza singa muwasizza abakyala abakkiriza oluvannyuma ne mubagoba nga temusoose ku bamanya mu kyama, muba temubalinaako kye mubabanja ekikwata ku bbanga lye batuula nga balindirira. Kale mubawe eby’okweyagala era mu yawukane nabo enjawukana ennungi.

50. Owange ggwe Nabbi, mazima ffe twakukkiriza (okuwasa) bakyala bo boba osasudde omutwalo ogubawasa n’abo begufuga omukono gwo ogwaddyo abali mu kibinja kyabo be yakusobozesa Katonda okwenyagira, (mu lutalo) ne bawala ba muganda wa kitaawo ne bawala ba ssenga wo ne bawala ba kojja wo ne bawala ba bagamba ba maama wo abo abaasenguka nawe n’omukyala omukkiriza bwaba yewadde Nabbi, bwaba Nabbi yegombye okumuwayira nga (ekyo) kyeyawulira ggwe wekka obutazingiramu bakkiriza (balala). Mazima tumanyi bulungi ebyo bye twabakakasaako ebikwata ku bakyala babwe n’abo (abazaana) be gifuga emikono gyabwe egyaddyo waleme kubaawo nkenyera yonna gyofuna. Olwo Katonda naba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

51. Oli wa bbeetu okukeereya ekisanja ky’oyo gw’oyagala mubo era olina ebbeetu okubudamira eri oyo gwoyagala era (olina ebbeetu) okukuba enkyukira eri oyo yenna gwoba oyagadde ali ku bali be wasuulirira, tewali nkenyera gyofuna (mungeri ezo zonna zetukulaze) ekyo kyekyokumwanjo ennyo ekibaleetera okusiima (okusanyusa amaaso gabwe) olw’ebyo byoba obawadde. Kale Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gyammwe era Katonda naba nga ye Mumanyi Ow’ekisa.

52. Teriiyo bakyala bakukkirizibwa luvannyuma (lwabo) newankubadde okuddira omukyala nomugoba, ekifo kye okizzeemu omulala ne bwe bunaakuwuniikiriza butya obulungi bwabwe, nga totwaliddeemu abo omukono ogwaddyo be gufuga. Katonda n’aba nga buli kintu ye Mulondozi.

53. Abange mmwe abakkiriza temuyingira mu maka ga Nabbi okujjako nga musoose kukkirizibwa okugenda okulya ekijjulo, awatali kukiguumiika okutuusa lwekijjulwa, naye bwe muba muyitiddwa (buyitibwa) kale muyingire, era bwe muba mumaze okulya kale mugumbulukuke, era temudda awo kwefuula abeenyumiikiriza embozi, mazima ekyo mmwe kibadde kiyisa bubi Nabbi kale n’abakwatirwa ensonyi. Kyokka Katonda takwatibwa nsonyi ku kituufu. Ate bwe muba nga mubasabye (bakyala ba Nnabbi) ebikozesebwa, mu bibasabire mabega wa bisaakaate. Ekyo mmwe ky’ekyenkizo mu kutukuza emitima gyammwe n’emitima gyabwe. Era kibadde tekibagwanira kuba nti muyisa bubi omubaka wa Katonda era (tekibagwanira) n’okuba nti muwayira bakyala be oluvannyuma lwe olubeerera. Mazima ekyo mmwe kiba kibalibwa ewa Katonda nga kinene.

54. Kamube nga mwolesa ekintu oba nga mukikweka kale mazima Katonda aba buli kintu ye Mumanyi wakyo.

55. Tewali nkenyera gye bafuna (abakyala) obuteebikkirira mu maaso ga bakitaabwe wadde batabani babwe wadde bannyina bwe wadde batabani ba baganda babwe wadde batabani ba nannyina bwe wadde bakyala bannaabwe. Wadde abo begifuga emikono gyabwe egya ddyo. Era mutye Katonda mazima Katonda aba buli kintu ye Mujulizi wakyo.

56. Mazima Katonda (Agemulira Nabbi emikisa n’emirembe) ne ba Malaika Be basabira Nabbi emikisa n’emirembe. Kale mmwe abakkiriza mu musabire emikisa era mu musabire emirembe olusabira.

57. Mazima abo abaleeta Katonda ennyiike n’omubaka we, Katonda ya bakolimira munsi ne kunkomerero era yabategekera ekibonerezo ekiweebuuzi.

58. Ate abo abayisa obubi abakkiriza abaami n’abakkiriza abakyala nga babalanga ebyo bye bataakola, mazima olwo baba beetisse ekibi ky’okujweteka era n’okukola omusango omweyolefu.

59. Owange ggwe Nabbi, lagira bakyala bo ne bawala bo ne bakyala b’abakkiriza babe nga bebikkirira busuuti ezibabuutikira (omubiri gwonna). Ekyo kye ky’enkizo mu by’okumwanjo ekiba nga kibamanyisa ne baba nga bawona okuyisibwa obubi. Kale Katonda n’aba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

60. Bwe banaaba tebeekomyeko abannanfusi (ku mayisa amabi) n’abo abalina mu mitima gyabwe ekirwadde neba nnakamwantette bo mu Madiina, mazima tujja kukusobozesa okubafufuggaza oluvannyuma baleme ku kuliraana mukyo (ekibuga Madiina) okujjako abatono.

61. Baakolimirwa, yonna gye bazindukirizibwa bakwatibwa, era batirimbulwa olutirimbulwa.

62. Eyo y’empisa Katonda gye yayisaamu abo abaasaanawo olubereberye. Era toyinza kusanga mpisa Katonda gyayisaamu kigikyusa.

63. Abantu bakubuuza ebikwata ku kiseera ekivannyuma (kituuka ddi?) Ggwe baddemu nti: ‘Mazima obumanye bwakyo buli wa Katonda’. Era ggwe kiki ekikumanyisa nti oba olyawo entuko y’ekiseera ekivannyuma eri kumpi?

64. Mazima Katonda yakolimira abajeemu era yabategekera Naddiro.

65. Baakusiisira omwo lubeerera. Tebalinaayo wa mukwano era tebalinaayo ataasa.

66. Olunaku lwe bikyusibwa ebyenyi byabwe mu muliro ne bawanjaga nti: ‘Yaye nga zitusanze, ssinga twagondera Katonda era (ssinga) twagondera omubaka’.

67. Era bawanjage nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wafe mazima ffe twagoberera bakama baffe n’abo abatukulira, era baatuwugula netuva ku kkubo.

68. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe batuuseeko ekikubisiddwamu emirundi ebiri nga kibonerezo, era bakolimire olukolimira olunene’.

79. Abange mmwe abakkiriza, kizira gyemuli okuba nga bali abaayisa obubi Musa, naye Katonda yamwejjeereza kwebyo bye bajweteka, era ewa Katonda yali wa kitiibwa.

70. Abange mmwe abakiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo bw’obwesimbu.

71. Abe nga abalongoseza emirimu gyammwe era abe nga abasonyiwa ebyonoono byammwe. Kale oyo agondera Katonda n’omubaka we mazima aba aganyuddwa oluganyulwa olunene.

72. Mazima ffe twayanjula obwesigwa mu maaso g’eggulu n’ensi n’ensozi, byonna byagaana okubwetikka, era (byonna) byabutya, naye yabwetikka omuntu. Mazima yewuyo eyesanga nga yeryazamanya (okuvunanyizibwa ekitasoboka kutuukirizibwa mangu) olw’obutamanya bwe.

73. Katonda alyoke abonereze abannanfusi abaami n’abannanfusi abakyala n’abasamize abaami n’abasamize abakyala era abe nga akkiriza okwenenya kw’abakkiriza abaami n’abakkiriza abakyala. Bwatyo Katonda n’aba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *