[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]
ESSULA
1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)
[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]
25. ESSUULA: AL-FURQAN, ‘ENJAWUZI
Yakkira Makka. Erina Aya 77.
Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.
1. Yagulumizibwa oyo eyassa (Qur’an) Enjawuzi ku muddu we alyoke yeyoleke eri ensi nga mulabuzi.
2. Y’oyo ayawulirwa yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi era teyazaala mwana era tafunangayo kimwegattako mu bwakabaka (bwe) bwatyo yatonda buli kintu n’akigerageranya engerageranya esaanira.
3. Kale bessizaawo nga baleseewo Katonda ebisinzibwa ebirala, teriiyo kye bitonda, so nga bbyo bitondebwa butondebwa, era tebirina busobozi bwewonya kibi wadde okwetuusaako omugaso, era tebirina bwannannyini bwa kufiisa newankubadde okulamusa newankubadde okuzuukiza.
4. Era baayogera abo abajeemu nti: ‘Tewali ngeri ndala buno (obubaka) gyebutwalibwamu okujjako okubeera obulimba bwe yegunjirawo era bamuyambyeko okubukakasaawo abantu abalala’. Kale mazima (ebyo) byebassaawo bya bukuusa na kukonjera kwennyini.
5. Era baayogera nti: ‘Ezo nfumo z’abaasooka (Ye) yabalagira okuzimuwandiikira, era zezo ezimusomerwa enkya n’eggulo.
6. Baddemu nti: ‘Ye yakissa (Katonda) oyo amanyi ebyama by’omuggulu n’ensi (nga kitabo). Mazima yewuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.
7. Era baabuuza nti: ‘Mubaka nnabaki ono alya n’emmere era agenda ne mubutale. Lwaki tassibwako Malaika n’emweyungako (mu bubaka bwe) okuba omubaka?’.
8. Oba ssi ekyo okuba nti aweerezebwa eby’obugagga, oba ssi ekyo okuba nga alina olusuku lw’alyamu emmere’. Bwebatyo abajeemu baagamba nti: ‘Teriiyo kirala kye mugoberera okujjako omusajja omuloge.’
9. Ggwe werolere engeri gye bakuteereddewo eby’okulabirako (ebikukwatako) nebaba nga babuze era ne batasobola kufuna luwenda lwonna (lwe bayitamu kusobola bwa Nabbi bwo).
10. Yagulumizibwa oyo bwaba nga ayagadde akussizaawo ebirungi okusinga biri, (byebaayogera) nga lwelusuku olukulukutiramu wansi walwo emigga, era n’okukussizaawo embiri.
11. W’ewawo baalimbisa ekiseera ekivannyuma, sso nga twategekera oyo alimbisizza ekiseera ekivannyuma omuliro lubumbujja.
12. Bwe guba gubalengedde okusinziira mu kifo ekyewala (nga bagenda gyeguli) baba bawulira (amaloboozi agaguvaamu agalaga) obusungu bwagwo n’okutokota.
13. Ate bwe baba basonsekeddwa mugwo mukafo akafunda nga bakolige baaziiranira eyo nti: ‘Tufudde ffe’.
14. (Baakugambibwa nti:) ‘Temwaziirana olwaleero kufa kwa mulundi gumu, naye mwaziirane kufa kwa mirundi mingi’.
15. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe oyo (Lubumbujja) y’asinga obulungi nandiki ejjana ey’olubeerera eyo eyasuubizibwa abatya Katonda?’ Yeyo eyabategekerwa nga y’empeera ebasasulwa era nga bwe bubudamu.
16. Baakufuna muyo byebegomba, ba kubeera eyo olubeerera. Nekiba ku Mukama Katonda Omulezi wo ekyo nga ky’ekisuubizo kyalina okutuukiriza ekimusabibwa.
17. Naye olunaku lwa bakuŋŋaanyizaako awamu n’ebyo bye basinza nga baleseewo Katonda, n’abibuuza nti: ‘Abaffe yemmwe baabo abaabuza abaddu bange abo, nandiki bbo bokka be baava ku mugendo?’
18. Nebyanukula nti: ‘Obutukuvu bube gyoli Ai Mukama! Kyali tekitusaanira kwessizaawo nga tuleseewo ggwe ba ddunda balala, naye ggwe wabasobozesa okweyagala ne bakitaabwe okutuusa lwe beelabira okutendereza (erinnya lyo) olwo nebaba abantu ab’okuzikirira’.
19. Kale biibyo mazima bibeeganye bye mu bipaatiikako (bwatyo Katonda nga bwalumiriza) era temusobola kutaasibwa. Era oyo abeera omukuusa mummwe tuba tumukombya ku kibonerezo ekinene.
20. Era mpawo betwali tutumye olubereberye lwo nga babaka okujjako nga mazima baba balya emmere era nga batambula mu butale. Naye twaddira abamu mummwe ne tubafuulira bannaabwe okuba ekigezo (ekisalawo nti) abaffe muli bagumiikiriza. Bwatyo naaba Mukama Katonda Omulezi wo nga ye Mulabi.
21. Kale baabuuza abo abatalina ssuubi lya kutusisinkana nti: ‘Kiki ekitulobera okussibwako ba Malaika oba ssi ekyo okwerolera Mukama Katonda Omulezi waffe?’. Mazima baayitiriza okwekuluntaza mu mmeeme zabwe era beewaggula olwewaggula olunene.
22. Olunaku lwe berolera ba Malaika, ssi gaakuba mawulire malungi olunaku olwo agatuusibwa ku bonoonyi, era ba kuwanjaga nti: ‘Baabuwe wandibaddeyo enkugira gye tukugirwamu (ekibonerezo)’.
23. Olwo tuba twanonooza emirimu gyonna gye baakola era nga twagifuula olufufugge olusaasaanidde mu bbanga.
24. Abantu bomujjana ku lunaku olwo be banannyini butuuze obusinga obulungi era amakula g’ekiwummulo.
25. Jukira olunaku lwe libajjuka embajjo eggulu nga lizingiddemu ebire era netussa ba Malaika wansi olussa.
26. Obufuzi olunaku olwo ekituufu bwoyo yekka Mukama Katonda Omusaasizi ennyo era lwelwo olunaku nga abajeemu lubabeerera luzito.
27. Jjukira olunaku nga omukuusa aluma ku mikono gye gyombi (mukwejjusa okusukkirivu) nga bwawanjaga nti: ‘Yaye nga nnakamala bwe nnalemererwa okukwatira awamu n’omubaka ekkubo (ly’obuluŋŋamu).
28. Yaye, nfudde nze, ssinga nnamanya ne ssifuula mugoziita (okuba) ow’omukwano.
29.Amazima gennyini yampugula okunzija ku Sserulyowa bwe yamala okuntukako’. Olwo Ssitaani neba nga omuntu emuleka ttayo.
30. Ate omubaka aba yawa obujulizi obugamba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange, mazima abantu bange baafuula Qur’an (Ssemusomwa) eno okuba eyayabulirwa.
31. Kale eyo yengeri gye twateerawo buli Nabbi (omuntu) amuwalana nga ava mu bonoonyi, olwo nekiba nga kimala bumazi Mukama Katonda Omuleziwo okuba nga Muluŋŋamya era Omutaasi.
32. Ate abo abaajeema baabuuza nti: ‘Lwaki tassibwako Qur’an (Ssemusomwa) mulundi gumu?’. Kyasalibwawo bwekityo tube nga tunywezesa nayo emmeeme yo. Era twagisoma olusoma.
33. Ate tewali kye bakutuusaako nga kyakulabirako okujjako nga tukuleetera ekituufu era ekisinga obulungi mu kunnyonnyola.
34. Abo abawalulirwa ku byenyi byabwe (nga bevuunise) nga batwalibwa mu ggeyeena bebo abasingayo okuba mu kifo ekibi era be baawuguka okuva ku mugendo.
35. Kale mazima twawa Musa ekitabo era twamugattako mugandawe Haruna okubeera omuyambi.
36. Ne tubalagira nti: ‘Mugende mwembi eri abantu abo abaalimbisa amateeka gaffe.’ Era twabazikiriza oluzikiriza.
37.Nomulembe gwa Nuhu bwe gwalimbisa ababaka, twaguzikiriza era twagussizaawo abantu okuba ekyamagero ekiyigirwako era twateekerateekera abalyazamanyi ekibonerezo ekiruma.
38. Ne (omulembe gwa) Aad ne Thamud ne bannannyini luzzi n’emirembe egiri wakati awo (emirala) mingi.
39. Kale gyonna twagiraga eby’okulabirako. Era gyonna twagizikiriza oluzikiriza.
40. Ate mazima baatuuka ku kyalo ekyo ekyakubibwa enkuba embi. Abaffe babadde (ekyo) tebakiraba? Wew’awo baali (abo) tebasuubira kuzuukizibwa.
41. Ate bwe baba bakulabye tewali ngeri ndala gye bakutwalamu okujjako okukuŋoola nti: ‘Oyo naye Katonda asobola okumutuma okuba omubaka?’
42. Mazima nno yabulako katono okutuwugula nga atujja ku ba lubaale baffe ssinga tetwabagumirako’. Kale bajja kumanya mu kiseera nga berolera ekibonerezo, oyo eyasinga okuwuguka nga ava ku mugendo.
43. Abaffe, olabye oyo ataddewo obwagazi bwe n’abufuula omusinzibwa we?
44. Nandiki osuubira nti mazima abasinga obungi (mu kibinja kyabwe) bawulira oba bategeera? Mazima abo tewali mbera ndala gye bagerageranyizibwamu okujjako okufaanana ebisolo. Ekisinga kw’ebyo obutuufu, abo be baasinga okuwuguka nga bava ku mugendo.
45. Abaffe olemeddwa okwerolera Mukama Katonda Omulezi wo engeri gy’anaanuula ekisiikirize? Ssinga yayagala yaalikisobozesezza obutakyukakyuka. Naye twassawo enjuba okuba akabonero (ekisiikirize) kye kagoberera.
46. Oluvannyuma tukikendeza (ekisiikirize) nga tukizza gyetuli enkendeza ey’empola.
47. Kale yoyo eyabassizzaawo ekiro okuba nga kyambalo n’otulo okuba nga kiwummulo era yafuula obudde bw’emisana okuba eggyandalizo ly’emirimu.
48. Era yoyo atuma empewo n’amawulire amalungi agasinzira ku busaasizi bwe. Olwo netussa okuva waggulu amazzi amayonjo. 49. Kitusobozese okugeyambisa okulamusa ensi enfu era tuganywesa ebimu kwebyo bye twatonda, (okugeza) ensolo ezifugibwa n’abantu nkuyanja.
50. Ate mazima twabibateekululira (ebyo) mu mitendera emyawufu (mu Qur’an) basobole okwebuulirira, kyokka baagaana okubaako kyebagoberera abantu abasinga obungi okujjako obujeemu.
51. Ate singa twayagala, twalisindise mu buli kyalo omulabuzi.
52. Kale tewekkiriranya na bajeemu era balwanyise nga ogyeyambisa (enjigiriza ya Qur’an) olulwanyisa olunene.
53. Era yewuyo eyayenga awamu ennyanja ebbiri (ate neziteetabula), eno ewooma (amazzi gayo) ejjudde eddekende, ate eno munnyo mwereere ogukaawa okukamala, era yateeka wakati wa (ennyanja) zombi ejjiji n’entangirizi enkuume.
54. Era yoyo eyatonda ngajja mu mazzi omuntu, bwatyo yamufuula okuba ow’ekika era ow’obuko. Bwatyo naaba Mukama Katonda Omulezi wo nga ye Musobozi (w’ebintu byonna).
55. Kyokka balekawo Katonda asinzibwa Allah ne basinza ebyo ebitabagasa era ebitabatuusaako kabi, olwo omujeemu naba nga eri Mukama Katonda Omulezi we yesowoddeyo bulekwe okwewaggula.
56. Ate tewali nsonga ndala yatukutumisa okujjako okutuusa amawulire amalungi n’okulabula (Abantu).
57. Bategeeze nti: ‘Ssigibasabirako (eyo Qur’an olw’okugibayigiriza) kusasulwa kwonna okujjako (nga wabaddeyo) oyo ayagadde okweteerawo ekimutuusa ewa Mukama Katonda Omulezi we nga Luwenda.
58. Kale wesigamire oyo yekka Mukama Katonda Omulamu oyo atafa, era tendereza amatendo ge amalungi. Kale kimala bumazi okuba nti Yye emisango gy’abaddu be ye Kakensa.
59. Yoyo eyatonda eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga, oluvannyuma yakkalira ku Nnamulondo. Yoyo Mukama Katonda Omusaasizi ennyo. Kale buuza byonna nga gweweyambisa ye Kakensa.
60. Kale bwe baba balagiddwa nti: ‘Muvunnamire Mukama Katonda Omusaasizi ennyo! Babuuza nti: ‘Wannabaki oyo Omusaasizi ennyo? Abaffe naffe tudde awo okuvunnamira oyo gwotulagira?’ Kale ate (eky’okwekuluntaza) nekibongera kwesamba.
61. Yatukuzibwa oyo eyassa mu ggulu enfo enkukuutivu (ez’emmunyenye) era yalissaamu ettawaaza n’omwezi lumulisa.
62. Era yoyo eyasobozesa ekiro n’emisana okugoberegana olw’okuyamba oyo ayagadde okwebuulirira oba ayagadde okusiima.
63. Ate abaddu ba Mukama Katonda Omusaasizi ennyo abannamaddala bebo abatambula munsi nga betoowaza, era nga bwe baba babasosonkerezza abazirabwongo n’ebigambo, babaddamu nti: ‘Mutulekere emirembe’.
64. Era bebo abasulirira Mukama Katonda Omulezi wabwe nga bavunnama n’okuyimirira (nga basaala).
65. Era bebo abalaajana nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tuwuguleko ebibonyobonyo bya ggeyeena. Mazima ebibonyobonyo byagwo bya kutuukirira. 66. Mazima bwebwo obw’ekivve obusiisiro era obutuuze’.
67. Era bebo, bwe baba nti bawaddeyo (ebiwebwayo) tebadiibuuda era tebakena, nebaba nga ekiri wakati w’ebyo (byombi) kye batuukiriza.
68. Era bebo abatawambagatanya nga bawanjagira Katonda, kisinzibwa kirala era nga tebatta mwoyo ogwo Katonda gwe yaziza okujjako olw’ensonga entufu era nga tebayenda. Kale oyo akola ebyo aba yetuusizza (yekka) ku bwonoonyi.
69. Kya kukubisibwamu (emirundi n’emirundi) ekibonerezo ekimuweebwa ku lunaku lw’amayimirira era wa kusiisira mukyo nga munyomoofu.
70. Okujjako oyo aba yenenyezza era akoze ebirungi, kale bebo Katonda b’awanyisa ebibi byabwe n’abaddizaamu ebirungi. Olwo Katonda naaba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.
71. Era oyo eyenenyezza n’akola ebirungi mazima aba yeemenyedde Katonda olwemenya.
72. Era bebo abatajulira bijweteke, ate bwe baba bayise ku by’obutaliimu babiyitako nga tebabifaako.
73. Era bebo ababa bajjukiziddwa amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe ne batagefuulirako baggavu ba matu na bazibu ba maaso.
74. Era bebo abaloma nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tugemulire okuva mu bakyala baffe n’ezzadde lyaffe, amakula g’okulabako era otusobozese, eri abatya Katonda, okuba abakulembeze.
75. Abo be basasulwa ejjana esembayo okuba waggulu olw’engeri gye baagumiikiriza era basisinkana muyo (ejjana) nga balamusigana n’okwagalizigana emirembe.
76. Baakusiisira omwo. Geego amakula g’obutebenkero era obutuuze (kiwamirembe).
77. Ggwe bategeeze nti: ‘Teyaalibafuddeko Mukama Katonda Omulezi wange, singa tekubadde kulaajana kwammwe. Amazima mubadde mulimbisa, era (empeera y’okulimbisa) erina kuba nga etuukirira’.
[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]