Skip to content
Home » 69. Al – Haaqqah (Olukakafu)

69. Al – Haaqqah (Olukakafu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

69.ESSUULA: AL-HAQA, OLUNAKU OLUKAKAFU.

Yakkira Makka. Erina Aya 52

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira Okw’enjawulo.

1. Olunaku olukakafu.

2. Nga luyitiridde olunaku olukakafu.

3. Ye kiki ekikumanyisa olunaku olukakafu kye kitegeeza?.

4. Aba Thamud n’aba Aad baalimbisa ekyeggunda.

5. Kale Aba Thamud baazikirizibwa omusinde gw’okuboggola!

6. Ate aba Aad baazikirizibwa kibuyaga ow’obutiti atatembeka.

7. Yabamusindikira ebiro musanvu n’emisana munaana ebiddiŋŋana, olwo newerorera abantu abamulimu nga bagaŋŋalamye (mirambo gyajjo) nga bafaanana enduli z’emitende egyagwa wansi.

8. Abaffe waliwo gwolabako eyasigalira?.

9. Ate Firawo yajja, n’abo abaamusooka, n’abo abaavuunikibwa, nga balina ensobi.

10. Kale baajeemera omubaka wa Mukama Katonda Omulezi wabwe, n’abakwata olukwata olw’enkizo.

11. Mazima ffe, lwegaamala okujjula ne gabooga amazzi twabatikka mu (lyato) Luseyeeya.

12. Tube nga tubafuula ekijjukizo era kukiwulirize okutu okuwuliriza.

13. Ate bweba efuuyiddwa eŋŋombe olufuuwa lumu.

14. Ate n’esitulwa mu bbanga ensi n’ensozi olwo nebimegguzibwa wansi olumegguzibwa lumu (nebiseeteera).

15. Kwolwo olunaku lwe kiba kyedomodde ekyedomola.

16. Era ne lyabulukuka eggulu nga nalyo olunaku olwo galiwedde.

17. Nga ba Malaika bali emabbali walyo. Nga basitula Nnamulondo ya Mukama Katonda Omulezi wo waggulu wabwe ku lunaku olwo munaana.

18. Olunaku olwo lwe mwanjulirwako nga tekyekweka mummwe eky’enkiso.

19. Kale oyo aweereddwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo, nga alangirira nti: ‘Mukweko musome ekitabo kyange!,

20. Mazima nze nnakikakasa nti ddala nnina okutuuka ku kubalirirwa kwange’.

21. Olwo nga ali mu buwangazi obwesiimisa.

22. Mujjana eyawaggulu.

23. Ebibala byayo (ebinogebwa) nga biri kumpi.

24. ‘Mulye era munywe nga mwekulisa obuzibu bwe mwalimu mu nnaku ezaayita.

25. Ate oyo aweereddwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono, nga alangirira nti: ‘Yaaye nga nzikilidde! Ssinga ssiweereddwa kitabo kyange.

26. Era ne ssimanya bifudde ku kubalirirwa kwange.

27. Yaaye, ssinga kale kuli okwaliwo (okufa) kwamala.

28. Mpawo kyengasizza emmaali yange.

29. Gaafa ttogge amaanyi gange’.

30. ‘Mu mukwate mumukalige.

31. Bwe mumala mu musuule mu ggeyeena.

32. Bwe mumala, olujegere oluweza emikono nsanvu (obuwanvu) mu lumuyiseemu (nga mu mukoliga)

33. Mazima yewuyo abadde takkiriza Allah Omugulumivu.

34. Era nga takubiriza kuliisa bankuseere.

35. Kale talinaawo olwaleero wano munywanyi yenna.

36. Newankubadde emmere okujjako amasira amakwafu agalimu olusaayisaayi.

37. Teriiyo agirya okujjako abonoonyi’.

38. Kale ssiyinza butalayira ebyo bye mulaba.

39. N’ebyo bye mutalaba.

40. Mazima eyo (Qur’an) ddala bigambo bya mubaka ow’ekitiibwa.

41. Era yeyo etabangako bigambo bya muyimbi. Kyokka bitono nnyo bye mukkiriza.

42. Era tebangako bigambo bya mulaguzi. Kyokka bitono nnyo bye mujjukira.

43. Yeyo assibwa nga eva ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

44. Ate ssinga yatujwetekako ebimu ku bijweteko.

45. Twalimukwasizza omukono ogwaddyo.

46. Oluvannyuma twandimusowoddemu omusuwa gw’enkizi.

47. Era tewali ku mmwe oyo yenna yaalimutuziyizza.

48. Kale y’eyo (Qur’an) nga kye kijjukizo kyabo abatya Katonda.

49. Era ffe ddala tumanyi nti abamu mummwe bagirimbisa.

50. Kyokka nga yeyo (Qur’an) efaafaaganirwako abajeemu.

51. Ssonga yo (Qur’an) ge mazima amanjulukufu.

52. Kale tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omuleziwo Omugulumivu.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *