Skip to content
Home » 54. Al – Qamar (Omwezi)

54. Al – Qamar (Omwezi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

54. ESSUULA: AL-QAMAR, ‘OMWEZI”

Yakkira Makka. Erina Aya 55.

Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Kituuse ekiseera ekivannyuma era gwebajjudde omwezi.

2. Naye bwe baba balabye ekyamagero, bakiwakanya nga bagamba nti: ‘Eryo ly’eddogo ery’olutentezi.

3. Kale baalimbisa era baagoberera bye baagala, sso buli nsonga erina okunywezebwa.

4. Ate mazima byabatuukako ebimu ku byafaayo ebyo ebirimu ebitangirwa.

5. Nga ky’ekyamagezi amasukkirivu, naye nga tekukyabagasa okulabula.

6. Kale baveeko. (Ba kutuuka ku) olunaku lw’abakowoola omukowoozi okudda eri ekintu ekitamwa.

7. Nga makkakkamu amaaso gabwe, bafubutuka mu ntaana nga balinga enzige ezisaasaanye.

8. Nga banguwa okudda eri omukowoozi. Abajeemu ne bagamba nti: ‘Luno olunaku lukalubo!’.

9. Gwalimbisa olubereberye lwabo omulembe gwa Nuhu. Kale gwalimbisa omuddu waffe ne bakonjera nti: ‘Oyo mulalu!’ Bwatyo n’akaayuukirwa.

10. Bwatyo (Nuuhu) yakowoola Mukama Katonda Omulezi we nti: ‘Mazima nze nemeseddwa, kale ntasa!’

11.Bwetutyo twasumulula emilyango gy’eggulu egy’amazzi agayiika obuyiisi.

12.Netufukumula muttaka ensulo z’amazzi ne gasisinkana amazzi kunsonga ddala eyategekebwa.

13.Olwo ne tumusitulira mu lyato eryabajjibwa mu mbawo n’emisumaali.

14.Nga liseeyeyeza we tulyetegerereza olw’okusasula oyo eyali yajeemerwa.

15.Era mazima twa kirekawo ekyo nga kyamagero! Abaffe eriyo oyo yenna ow’okwebuulirira?.

16. Naye ngeri ki gye byalimu ebibonerezo byange n’okulabula?

17. Era mazima, Qur’an (Ssemusomwa) twagifuula nnyangu olwokwebuulirira, abaffe eriyo oyo yenna ow’okwebuulirira? 18. Baajeema ba Aad naye ngeri ki gye byalimu ebibonerezo byange n’okulabula?

19.Mazima ffe twabasindikira kikuŋŋunta ow’obutiti ku lunaku lw’ekikwa eky’olutentezi

20. Nga asindula abantu gyoli nti masanso ga ntende (nemitende gyago agagudde) wansi negakutukakutuka.

21.Kale ngeri ki gye byalimu ebibonerezo byange n’okulabula?

22.Era mazima Qur’an (Ssemusomwa) twagifuula nnyangu olw’okwebuulirira?

23.Baajeemera aba Thamud abalabuzi.

24.Era bebuuza nti:’Omuntu alinga ffe omu yekka bwatyi gwetuba tugoberera?’ Olwo mazima ffe ate nga tuba twesudde mu bubuze ne muntata’.

25.’Abaffe era yye y’assibwako endyoyi nga alondeddwa muffe?’

26. Bajja kumanya nga bukedde, ani kalimbira omwekuza?

27. Mazima ffe katubaweereze eŋŋamiya nga kyamagero gyebali, era ggwe balondoole era obagumiikirize.

28. Era bategeeze nti: ‘Mazima amazzi gagabanyiziddwamu wakati wabwe, buli lunywa lwa kutuukirizibwa.

29. Kyokka baayita munnaabwe neyetuminkiriza era n’asogga (eŋŋamiya omuwunda).

30. Kale ngeri ki gye byalimu ebibonerezo byange n’okulabula?

31. Mazima ffe twabasindikira okubwatuka kumu olwo nebaba nga essubi erisibiddwa enjole.

32. Era mazima Qur’an (Ssemusomwa) twagifuula nyangu olw’okwebuulirira, abaffe eriyo oyo yenna ow’okwebuulirira?

33. Gwajeemera omulembe gwa Luutu abalabuzi.

34. Mazima ffe twabasindikira kibuyaga alimu amayinja nga tutalizza ab’enju ya Luutu betwawonya nga busaasaana.

35. Ogwo gwe mukisa oguva gyetuli. Eyo y’engeri gye tusasula (oyo) aba asiimye.

36. Ate mazima yabalabula engeri gye tugombamu obwala, naye nebatakakasa balabuzi.

37. Kale mazima baamwetayirira abakkirize (okusobya) ku mugenyi we, olwo ne tuziba amaaso gabwe! Kale muloze ku kibonerezo kyange n’okulabula (kwange).

38. Mazima kyabakeera nnawankya ekibonerezo ekikuukuutivu.

39. Kale muloze ku kibonerezo kyange n’okulabula (kwange).

40 Era mazima Qur’an (Ssemusomwa) twagifuula nyangu olw’okwebuulirira, abaffe eriyo oyo yenna ow’okwebuulirira?

41. Ate mazima baabatuukako abantu ba Firawo ababaka.

42. Baajeemera amateeka gaffe, era twabakwata olukwata olwamaanyi mutalemererwa.

43. Abaffe abajeemu be mulina (abo) balinawo enkizo ku bali, nnandiki mwe mwafunayo okwejjeerezebwa okusangibwa mu bitabo? (by’obwa nnabi)

44. Nnandiki bewaana nti: ‘Ffe kibiina ekitalemererwa!’

45. Kijja kuwangulwa ekyo ekibiina era balina okudda ekyennyuma.

46. Wew’awo ekiseera ekivannyuma ly’essuubi byabwe are ekiseera ekivannyuma kijjudde entiisa era ky’ekisinga obukaawu.

47. Mazima abonoonyi bemalidde mu bubuze ne mu ntata.

48. Olunaku lwe bakulurwa okuyingizibwa omuliro nga bevuunikidde obwenyi bwabwe (nga bwe bakomekkerezebwa nti): ‘Mulege ku kibabu kya naddiro’.

49. Mazima ffe buli kintu twakitondera mu kugerageranga.

50. Era tekulina ngeri yonna ndala, okusalawo kwaffe gye kulimu okujjako okuba okumu kwokka okulinga olutemya lw’eriiso.

51. Era mazima twazikiriza ababafaanana, abaffe eriyo oyo yenna ow’okwebuulirira?

52. Era buli kintu kye baakola kisangibwa mu bitabo.

53. Era buli kasirikitu n’ekinene biwandiike.

54. Mazima abatya Katonda ba kubeera mu jjana erimu emigga.

55. Mu butuuze obwannamaddala okuliraana Kabaka Mutalemererwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *