Skip to content
Home » 68. Al – Qalam (Ekkalaam)

68. Al – Qalam (Ekkalaam)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

68. ESSUULA: AL-QALAM, EKKALAAMU

Yakkira Makka. Erina Aya 52.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Nun. Ndayidde ekkalaamu n’ebyo bye bawandika.

2. Ssi yeggwe, olw’omukisa gworina, abalibwa okuba omuzoole.

3. Era mazima olina empeera (ekusasulwa) eteri ya kuggwawo.

4. Era mazima ggwe ogoberera obuwangwa bwattendo.

5. Kale ojja kwekkaanya, nabo bekkaanye.

6. Ani kummwe eyassibwa mu kikemo.

7. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye wuyo asinga okumanya oyo abuze okuva ku kkubo lye, era yewuyo asinga okumanya abaluŋŋamye.

8. Ate tewekkiriranya na bajeemu.

9. Begomba ssinga olegeza (amateeka) nabo ne balegeza.

10. Era tewekkiriranya noyo kalayirira omunyomoofu.

11. Ssebageyi omubunzi weŋŋambo.

12. Kalibukodo w’ebirungi, kyewaggula omusukkirivu mu bwonoonyi.

13. Ssebaluvu ow’ekkabyo, ate ebyo nga biwedde yazaalibwa mu bwenzi.

14. Ssi lwa kuba nti yafuna emmaali n’abaana.

15. Kyokka nga bwasomerwa amateeka gaffe, agamba nti: ‘Ezo nfumo z’abasooka.

16. Tujja ku mussaako obulambe ku nnyindo.

17. Mazima abo twabassa ku kigezo nga bwe twagezesa bannannyini nnimiro, awo lwe baalayira nti: ‘Ddala balina kugikungula ku maliiri’.

18. Era nga tewali kye bajjulula (nga tebeesigamiza Katonda nsonga ezo)

19. Bwekityo kyagirumba, ne kigibuna ekissi ekyava ewa Mukama Katonda Omulezi wo nga bakyebase. 20. Bwetyo yakeesa nga eringa etemeddwatemeddwa obulere.

21. Bwebatyo bayitiŋŋana ku makya.

22. Nti: Mukeere okugenda mu nnimiro yammwe bwe muba mwakisazeewo’.

23. Bwebatyo bagenda (gyeri) nga bonna bakikola mu nkukutu.

24. (Nga bawera nti:) Mpawo ajja kuyingira olwaleero okubasangirizaayo nga munkuseere.

25. Bwebatyo baakeera mu bumalirivu okutuukiriza kye baasibirako.

26 Naye bwe baagiraba, baagamba nti: ‘Amazima gennyini ffe tuli mu bubuze.

27. Wew’awo ddala ffe tummiddwa bummibwa’.

28. Nagamba eyali abasukkuluma obubangufu nti: ‘Abaffe ssaabalabuliddewo nti; lwaki temutendereza?’

29. Nebaddamu nti: ‘Atukuzibwe Mukama Katonda Omulezi waffe! Mazima ffe twabadde abalyazamanyi’.

30. Olwo abamu baakyukira bannaabwe nga banenyagana.

31. Beekubagiza nti: ‘Nga zitusanze, mazima ffe twali bakyewaggula.

32. Kyaddaaki Mukama Katonda Omulezi waffe anaatukyusizaamu endala esinga obulungi eyo. Mazima ffe ewa Mukama Katonda Omulezi waffe gye tulina essuubi’.

33. Bwebityo bwe biba ebibonerezo. Kyokka ebibonerezo eby’oluvannyuma by’ebisinga obunene ssinga baali bamanyi. 34. Mazima abatya Katonda bafuna ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe Ejjana ey’ebyengera.

35. Abaffe kisoboka kitya okuddira abasiraamu (abewaayo mu mateeka ga Katonda) okubafaananya abajeemu?

36. Mubadde ki? Ya nnaba ki eyo engeri gye mulamula?.

37. Nandiki mulinayo ekitabo (kyonna) ekirimu bye musoma?

38. Ate nga mazima kyayitiriza ekyo okubeeramu bye mwettanira!’

39. Nandiki mulinayo endagano ezaakakasibwa n’ebirayiro zetuteekwa okukuuma obutilibiri nga zituusa ku lunaku lw’amayimirira? Ate nga mazima muba olwo mwefunidde bye mwalamula okufuna.

40. Ggwe babuuse nti: ‘Ani mubo yesowolayo kwekyo okukivunanyizibwako?

41. Abaffe balinawo obwannannyini obwawamu, kale bayanjule obwannannyini bwabwe obwawamu bwe baba bakakasa (bye bogera).

42. Olunaku lwezifungizibwa (engoye) mu ntumbwe era ne bayitibwa okugenda okuvunnama naye nga te basobola.

43. Nga makkakkamu amaaso gabwe nga bubakkakkanya obunyomoofu. Sso nga mazima babadde bayitibwa okugenda eri okuvunnama nga bakyali balamu (nebeerema).

44. Ggwe ndekera oyo alimbisa bino ebigambo. Tujja kubatwaliriza mpola mu ngeri gye batamanyi.

45. Ate kambasse akasiiso, mazima entekateeka zange nnywevu.

46. Abaffe obasaba yo okusasulwa kwonna, ne kiba nga ebbanja libakaluubiriza? (okusasula).

47. Abaffe balinayo ebyekusifu ne baba nga byebawandiika?.

48. Ggwe gumiikiriza okulamula kwa Mukama Katonda Omulezi wo era tobeera nga oli owa lukwata, awo we yawanjagira nga mwennyamivu.

49. Ssinga tegwamudduukirila omukisa oguva ewa Mukama Katonda Omulezi we yaalirekeddwa ttayo ku ttale ery’eddungu nga muweebuufu.

50. Naye yamuddiramu Mukama Katonda Omulezi we, olwo n’amufuula omu ku balongofu.

51. Kale mazima basemberera nnyo abo abaajeema okukuwubisa nga beyambisa amaaso gabwe nga bawulidde Enzijukizi era ne bagamba nti: ‘Mazima oyo nno ddala mulalu.’

52. Sso nga mpawo ngeri ndala gye yeyambisibwa okujjako okujjukiza abantu bensi yonna.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *