Skip to content
Home » 48. Al – fatih (Obuwanguzi)

48. Al – fatih (Obuwanguzi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

48. ESSUULA: AL-FATIH: OBUWANGUZI

Yakkira Madiina. Erina Aya 29.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Mazima twakuwanguzisa obuwanguzi obweyolefu.

2. Olw’okusobozesa Katonda okukusonyiwa ebyonoono byo bye wakulembeza n’ebyo eby’oluvannyuma era abe nga ajjuza omukisa gwe gyoli era akuluŋŋamye ku kkubo eggolokofu.

3. Era Katonda abe bga akutaasa olutaasa olwamaanyi.

4. Ye wuuyo mwene eyassa obutebenkevu mu mitima gy’abakkiriza kibasobozese okweyongera obukkiriza obwegatta ku bukkiriza bwabwe. Ate lya Katonda yekka eggye ly’omuggulu n’ensi. Kale Katonda naaba nga ye Mumanyi Omulamuzi.

5. Abe nga ayingiza abakkiriza abaami n’abakkiriza abakyala mujjana ekulukutira wansi waayo emigga nga basiisira omwo era abe nga abajjako ebibi byabwe. Ekyo nekiba ewa Katonda nga kwe kuganyulwa okuyitirivu.

6. Era abe nga abonereza abannanfuusi abasajja n’abannanfuusi abakazi n’abasamize abasajja n’abasamize abakazi abalowooleza Katonda endowooza enkyamu. Abo be bayambukirwako ekibi (kya endowooza yabwe) era Katonda ya basunguwalira era yabakolimira era yabategekera ggeyeena nga bwe buddo obubi.

7. Era lya Katonda yekka eggye ly’omuggulu n’ensi. Kale Katonda naaba nga Luwangula Omulamuzi.

8. Mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi era abunyisa amawulire amalungi era omulabuzi.

9. Ekyo kibayambe okukkiriza Katonda n’omubaka we era (omubaka) mu musseemu ekitiibwa mu mugulumize, era mutendereze (Mukama) ku makya n’akawungezi.

10. Mazima abo abawera mu maaso go (okukulwanirira) mazima baba bawera mu maaso ga Katonda. Omukono gwa Katonda gwe guli waggulu w’emikono gyabwe. Naye oyo aba amenyeewo (okuwera kwe) mazima (ekibi) eky’okumenyawo kwe kiddira ye. Ate oyo aba atuukirizza ebyo bye yalagaanyisa eri Katonda, aba wa ku musasula empeera ennene.

11. Bajja ku kutegeeza abo abaalekebwa emabega abamu ku bawalabu ba nnamalungu nti: ‘Byatuleebuukanya, emmaali yaffe n’abantu baffe! tukusaba otusabire okutusonyiwa. Ekyo bakyogeza nnimi zabwe, tekiri mu mitima gyabwe. Babuuze nti: ‘Kale ani oyo alinawo ky’abayamba okubawonya Katonda ku kintu kyonna, Ye bwaba abasaliddewo ekibi oba bwaba abasaliddewo ekirungi. Mazima kiri nti Katonda bye mukola ye kakensa wabyo.

12. Mazima mwalowooza nti: ‘Ddala omubaka ssi waakudda eri bantu be n’abakkiriza ssi baakuddayo eri abantu babwe ne bwekinaaba kiki. Olwo ekyo n’ekifuulibwa kyattendo mu mitima gyammwe bwemutyo ne mulowooza endowooza embi era ne muba nga mwe bantu abookusaanawo.

13. Ate oyo ayeeremye okukkiriza Katonda n’omubaka we: Mazima ffe twa tegekera abajeemu naddiro.

14. Era bwa Katonda yekka obwakabaka bw’eggulu n’ensi. Asonyiwa oyo gwayagala era abonereza oyo gwayagala. Bwatyo Katonda naaba nga Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

15. Bajja kubategeeza abo abaalekebwa emabega bwe munaaba mugenze okwefunira eminyago gye mulina okutwala nti: ‘mutuleke tubagoberere! Nga kye baluubirira babe nga bakyuusa ebigambo bya Katonda. Ggwe bategeeze nti: ‘Te mujja kutugoberera. Bwatyo – mmwe tubategeeza nti – Katonda bwe yasazeewo olubereberye! Olwo bajja kubalumiriza nti: ‘Mazima musazeewo kutukolera nsalwa!’, wew’awo babadde mpawo kye bategeera okujjako ekitono.

16. Tegeeza abaalekebwa emabega abamu ku bawalabu ba nnamalungu nti: ‘Mujja kukungibwa okugenda okwaŋŋanga abantu ba kirimaanyi amasukkirivu, mube nga mubatabaala oba ssi ekyo beeweeyo (mu mikono gyammwe mu mirembe). Ekyo bwe mukigondera, aba Katonda abasasula empeera ennungi naye bwe mugaana nga bwe mwagaana olubereberye, aba (Katonda) ababonereza ekibonerezo ekiruma.

17. Mpawo muzibe kinenyo kyafuna, era mpawo mulema kinenyo kyafuna era mpawo mulwadde kinenyo kyafuna (lwa kusigala mabega). Era oyo agondera Katonda n’omubaka we, aba (Katonda) amuyingiza ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga. Ate oyo agaana aba (Katonda) amubonereza ekibonerezo ekiruma.

18. Mazima Katonda yasiima abakkiriza awo nga bawera mumaaso go (okukulwanirira) nga oli wansi w’omuti. Bwatyo yamannya ekyo ekiri mu mitima gyabwe, bwatyo yababunyisa obutebenkevu era n’abasasulamu obuwanguzi obwokumpi.

19. N’eminyago nkuyanja gye baafuna. Bwatyo Katonda naaba Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

20. Era Katonda yabalagaanyisa eminyago nkuyanja gye mufuna n’abanguyizaako (okufuna) gino, era n’atangira emikono gy’abantu negitabatuukako, olwo ekyo kisobole okuba eky’amagero ekiyigiriza abakkiriza, era abe nga (Katonda) abaluŋŋamya ku kkubo eggolokofu.

21. Ate emirala (eminyago) temwagifuna, mazima Katonda yagyebungulula, bwatyo Katonda naaba nga buli kintu musobozi.

22. Naye ssinga baabatabaala abo abaajeema baalizze emabega oluvannyuma ne batafunayo abeeyimirira wadde omuyambi.

23. Enkola ya Katonda yeyo mazima eyatuuka ku baasaanawo olubereberye. Era toyinza kusanga nga enkola ya Katonda ekyuka.

24. Era ye wuuyo mwene eyatangira emikono gyabwe obutabatuusaako kibi n’emikono gyammwe obutabatuusaako (bbo) kibi, mu kiwonvu ky’Emakka nga amaze okubabawanguzisa. Bwatyo Katonda naaba nga byonna bye mukola Abiraba.

25. Beebo abaajeema era abaabatangira obutatuuka ku Muzigiti ogw’emizizo nga n’ebisolo ebiwebwayo bitangiddwa okutuuka webisalirwa. Naye ssinga tebaali basajja abakkiriza n’abakyala abakkiriza, be mutaamanya nti gye bali (e Makka) nga tubeewazisa okubalinnyirira ekibaviirako, olw’engeri gye mubakosezza, okuzitoowererwa olw’obutamanya. (Twalibakkirizza okubalwanyisa naye ekyo ssi kye kyasalibwawo). Olwo naaba nga Katonda ayingiza mu busaasizi bwe oyo gwayagala. Kyokka ssinga beeyawula (abakkiriza) twalibonerezza abo abaajeema mu bibinja byabwe ekibonerezo ekiruma.

26. Awo lwe beeteekamu abo abaajeema mu mitima gyabwe ekyoyooyo eky’enge, ekitali kya bugunjufu. Bwatyo Katonda nassa obutebenkevu bwe ku mubaka we ne ku bakkiriza n’abanywereza ku kigambo ky’okutya Katonda, era nga beebalina ebisanyizo ebya enkizo okukinywererako ne bannannyini kyo. Olwo Katonda naaba nga buli kintu ye Mumanyi.

27. Ddala Katonda yakakasa omubaka we endooto (gye yaloota) mu mazima, etegeeza nti: ‘Wew’awo mulina okuyingirira ddala Omuzigiti ogw’emizizo, Katonda nga ayagadde nga muli mirembe, nga (abamu) mu mwedde emitwe gyammwe era (abalala) mukendeezezza kunviiri nga tewali kyemutya? Kale yamanya ebyo bye mutaamanya bwatyo nassaawo ekyo nga tekinnabaawo, obuwanguzi obw’okumpi.

28. Yewuuyo mwene eyatuma omubaka we n’obuluŋŋamu n’eddiini eya mazima alyoke agyoleseze waggulu wa madiini gonna. Era kimala bumazi okuba nga Katonda ye Mujulizi kwekyo.

29. Muhammad ye mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe eri abajeemu, basaasizi mubo bennyini, obeerolera nga bakutamye bavunnamye banoonya ebirungi ebiva ewa Mukama Katonda n’okusiimibwa, obulambe bwabwe buli mu byenyi byabwe obuleetebwa okuvunnama. Eyo y’enfaana yabwe esangibwa mu Tawuleeti era y’enfaanana yabwe esangibwa mu Enjiri, balinga ekimera ekifubutuddeyo omutunsi gwakyo negukinyweza nekigejja ne kiguma nekyetengerera ku nduli yakyo nga kisanyusa abalimi, abe nga akyeyambisa okunyiiza abajeemu. Katonda yalaganyisa abo abakkiriza era abaakola ebirungi mu bibinja byabo, okusonyiyibwa nempeera ennene.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *