Skip to content
Home » 32. As – Sajidah (Okuvunnama)

32. As – Sajidah (Okuvunnama)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

32.ESSUULA:ASSAJIDAH ‘OKUVUNNAM’

Yakkira Maka. Erina Aya 30.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif.Lam. Mim.

2. Ekitabo ekyakka, tewali kubuusabuusa mukyo, kyava wa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

3. Abaffe babikonjera nti yakigunjawo? Ddala ago ge mazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi wo, olw’okusobozesa okulabula abantu abatafunangayo abatuukako yenna mulabuzi nga ggwe tonnabaawo, basobole okuluKKama.

4. Katonda yoyo eyatonda eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga, oluvannyuma yakkalira ku Nnamulondo. Era temulinaayo nga ojjeeko Yye ddunda yenna wadde Omuwolereza. Abaffe balemeddwa okwebuulirira?

5. Alamula embera y’ebintu byonna nga biva muggulu okukka wansi, oluvannyuma birinnyuka okudda gyali mu lunaku olugerageramyizibwa okwenkana emyaka lukumi kwejo gye mubala.

6. Oyo ye Mumanyi w’ebikusike n’ebiri mu lwatu Luwangula Owokusaasira okwenjawulo.

7. Oyo eyalongosa buli kintu kye yatonda era yasooka okutonda omuntu (nga omujja) mu ttaka.

8. Oluvannyuma yatonda ezzadde lye (ly’omuntu) nga alijja mu mazzi g’ekisajja amakenenule amanyomoofu.

9. Oluvannyuma yamwenkanyankanya era yamufuuwamu ogumu kumyoyo gye. Olwo n’abassaako okuwulira n’okulaba n’okutegeera. Bitono nnyo bye musiima.

10. Era baabuuza nti: ‘Abaffe bwe tuba tuzaayidde mu ttaka, Ate mazima kisoboka nate okuddamu okutondebwa obupya? Mazima abo eky’okusisinkana Mukama Katonda Omulezi wabwe bawakanyi.

11. Bategeeze nti: Y’abafiisa Malaika walumbe oyo eyakwasibwa obuvunanyizibwa okubalondola. Oluvannyuma eri Mukama Katonda Omulezi wammwe gye muzzibwa.

12. Naye ssinga werolera embera y’abajeemu ekiseera we bakotokera emitwe gyabwe (nga bejjusa) ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe (nga basaba nti): ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tuzibuse amaaso era tuwulidde kale tuzzeeyo tube nga tukola ebirungi, mazima ffe tumatidde.

13. Naye ssinga twayagala, buli mwoyo twaligugemulidde obuluKKamu bwagwo kyokka kyamala dda okukakasibwa ekigambo okuva gyendi nti: ‘Ddala nnina okujjuza ggeyeena ebimu ku bibinja bya maginni n’abantu bonna (abajeemu).

14. Kale muloze (ku bukaawu) nga mulangibwa engeri gye mwelabiramu okusisinkana olunaku lwammwe luno, naffe mazima twabeerabidde. Era muloze ku kibonerezo ky’olubeerera olw’ebyo bye mwali mukola.

15. Mazima abo bokka abakkiriza amateeka gaffe, bebo ababa bajjukiziddwa amateeka ago ne bakka wansi okuvunnana, nebatendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wabwe era ne baba nga ekyo kafuuwe bbo okwegulumiza.

16. Zisitunkana lunye embiriizi zabwe okuva we zigalamira nga bawanjagira Mukama Katonda Omulezi wabwe mu kutya n’okwesunga era nga ebimu kwebyo bye twabagabira bawaayo.

17. Kale mpawo kye gutegeera omwoyo ebimu kwebyo ebya guterekerwa munkiso ebimu kwebyo ebisanyusa okulaba nga ye mpeera y’ebyo bye baali bakola.

18. Abaffe kisobola kitya oyo abadde omukkiriza okumugerageranya n’oyo abadde omwononefu? Tebayinza kwenkana.

19. Kyokka abo abakkiriza era abaakola ebirungi, kale baakufuna ejjana ez’obubudamu nga bwe bugenyi obubategekeddwa olw’ebyo bye baali bakola.

20. Ate abo abaayonoona kale obubudamu bwabwe gwe muliro. Buli lwe baba baagadde okugufuluma nga baguzzibwamu era nebakomekkerezebwa n’ebigambo nti: ‘Muloze ekibonerezo ky’omuliro ogwo gwe mubadde mulimbisa’.

21. Era tuli ba kubakombeseza ddala ebimu ku bibonerezo ebisingayo okuba eby’okumwanjo, ebitenkana bibonerezo ebisingayo obukakali kibasoboseze okweddamu.

22. Kale avaawa kasobeza akira oyo aba ajjukiziddwa amateeka ga Mukama Katonda Omulezi we oluvannyuma n’agaawukanako? Mazima ffe tulina abonoonyi okubeesasuliza ddala.

23. Era mazima twawa Musa ekitabo (nga kimulabula nti): ‘Tobeereramu ddala kakunkuna nti tolimusisinkana’. Era twakissaawo okuluKKamya abaana ba Isirail.

24. Era twatongozaawo nga tujja mu bibinja byabwe abakulembeze abaluKKamya (abantu) nga bagoberera ebiragiro byaffe, era nga baali amateeka gaffe bagakakasa.

25. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo asalawo eggoye wakati wabwe ku lunaku lw’amayimirira mwebyo bye baali batakkaanyako.

26. Abaffe abo balemeddwa okuba ababangufu? kameka nga tuzikiriza olubereberye lwabwe nnasiisi w’ebyalo bye batambulira mu maka gabyo. Mazima ekyo kirimu ebyamagero ebiyigiriza. Abaffe balemeddwa okuwulira?

27. Abaffe balemeddwa okwerolera mazima ffe engeri gye tuweereza amazzi mu nkalajje y’ettaka ne tugeyambisa okufubutulayo ebimera bye biryako ebisolo byabwe nabo bennyini. Abaffe balemeddwa okwekkaanya?

28. Kale bali mu kya kubuuza nti: ‘Butuuka ddi obwo obuwanguzi (bw’okusalawo eggoye) bwe muba mukakasa (bye mwogera?)

29. Baddemu nti: ‘Olunaku lw’okusalawo eggoye, (nga lutuuse) buba tebukyagasa abo abaajeema obukkiriza bwabwe era nga tebalindirizibwa.

30. Kale ggwe baawukaneko era lindirira. Mazima nabo balindirizibwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *