Skip to content
Home » 43. Az – Sukhruf (Amatiribona)

43. Az – Sukhruf (Amatiribona)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

43.ESSUULA: AZZUKHURUF, AMATIRIBONA

Yakkira Makkah, Erina Aya 89.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha mim.

2. Ndayira ekitabo ekyanjulukufu.

3. Mazima twagifuula okuba Qur’an (Ssemusomwa) eri mu Luwalabu kibasobozese okutegeera.

4. Era mazima yeyo esangibwa mu nkuluze y’ebitabo bye tulina nga ddala ya waggulu ejjudde eby’amagezi.

5. Abaffe tusalewo okubakwakkulako enzijukizi nga tetubafudde nako olw’okuba musukkirizza okuba abantu abajeemu?

6. Kale kameka nga tutumye enkuyanja ya ba nnabbi mu (mirembe gyabo) abaasooka?

7. Era mpawo atuuka gye bali nga nnabbi okujjako nga embera yabwe gyali ya kuŋoola.

8. Kale twasaanyawo abasinga abo embavu olwo ne kissibwa (mu Qur’an) eky’okulabirako ky’abo abaasooka.

9. Era ssinga obabuuzizza nti: ‘Ani yatonda eggulu n’ensi? Baddiramu ddala nti. ‘Yabitonda oyo Luwangula Omumanyi’.

10. Oyo eyabafuulira ensi okuba amwaliiro era yagibassizaamu amakubo, mube nga muluŋŋama.

11. Era y’oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero ne tuginnyimusa nago emitala enkalajje. Bwemutyo bwe muzuukizibwa.

12. Era y’oyo eyatonda emigogo (gy’ebitonde) gyonna era yabassizaawo agamu ku maato n’ensolo ezifugibwa (ebyo) bye mwebagala.

13. Mube nga mukkalira ku migongo gyabyo bwe mumala mube nga mujjukira ekyengera kya Mukama Katonda Omulezi wammwe nga mumaze okubitereerako, olwo mube nga mutendereza nti: ‘Atukuzibwe oyo eyatugondeza bino, era ssi ffe abaali babisobola.

14. Era mazima ffenna ewa Mukama Katonda Omulezi waffe ddala gyetudda’.

15. Kyokka baamugattikako nga bayawula ebimu ku bibumbe bye omutemwa. Mazima omuntu ye kajeemera omweyolefu.

16. Nandiki, butya bwe yeeteerawo, nga ajja mwebyo byatonda ebikyala, ate mmwe n’aba nga yabaawulira bisajja?

17. Ate nga ssinga atuusiddwako amawulire omu kubo ag’okufuna eky’okulabirako (nga ye mwana ow’obuwala omuzaaliddwa) ekyo kye yayawulira Katonda Omusaasizi ennyo, nga ekyenyi kye kikwata kazigizigi nga ajjula ennyiike.

18. Nandiki butya (bwe ba mugattikako) oyo akuzibwa mu majjolobera (g’ebifaananyi ebiwunde) sso nga yewuyo bwaba ali mu kukaayana taba mwanjulukufu?

19. Kale belimba mbu ba Malaika, abo abamanyiddwa okuba abaddu ba Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, bakazi. Abaffe ddi lwe baali bajulidde entondebwa yabwe? Kale bujja kuwandikibwa obujulizi bwabwe era balina okubuuzibwa.

20. Era baayogera nti: ‘Ssinga yayagala kusalawo Mukama Katonda Omusaasizi ennyo tetwalisobodde ku basinza’. Tebakirinaako ekyo kumanya kwonna, mazima tewali kirala kyebaliko, okujjako okufumintiriza.

21. Abaffe twabaweereza ddi ekitabo ekyasooka ekyo (eyo Qur’an), ne baba nga kye banywereddeko?

22. Wew’awo baagamba nti: ‘Mazima ffe twasanga ba kitaffe bekwata kitole (kunzikiriza zabwe) era mazima ffe obuwufu bwabwe tubulinya kagere ku kagere nga tubagoberera’.

23. N’olwensonga eyo mpawo gwe twatuma olubereberye lwo mu kyalo kyonna nga mulabuzi okujjako nga boogera ba binojjo bakyo nti: ‘Mazima ffe twasanga bakitaffe nga beekutte kitole (mu nzikiriza zabwe) era mazima ffe obuwufu bwabwe tubulinnya kagere ku kagere nga tubagoberera’.

24. Yababuuza nti: ‘Abaffe ne bwemba mbatuusizzaako ekyo ekisinga obuluŋŋamu ebyo bye mwasanga nga babiremeddeko ba kitammwe?’ Nebaddamu: ‘Mazima ffe ebyo bye mwatumwa nabyo tubiwakanya’.

25. Kale twabeesasuza. Naye ggwe werolere engeri gye yalimu enkomerero y’abawakanyi?

26. Era jjukira Ibrahim lwe yalangirira ewa kitaawe n’abantu be nti: ‘Mazima nze mpakanyiza ddala ebyo bye musinza.

27. Nga ojjeeko oyo eyantonda, era mazima yewuyo annuŋŋamya’.

28. Era yakifuula (ekyo) ekigambo eky’okusigalawo oluvannyuma lwe kibasobozese (abo abajeemu) okuddayo (bu buluŋŋamu).

29. Wew’awo nnasobozesa abo okweyagala ne bakitaabwe okutuusa lwe kyabatuukako ekituufu n’omubaka omweyolefu.

30. Era bwe kyabatuukako ekituufu, baagamba nti: ‘Eryo ddogo ly’ennyini era mazima ffe ebyo tubiwakanya’.

31. Era bebuuza nti: ‘Kiki ekyalemesa okuba nti eyo Qur’an essibwa ku musajja ava mu kimu ku bibuga ebibiri ow’ekitiibwa?’

32. Abaffe abo be basaanidde (okuba n’ebisanyizo) okugabanya obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi wo? Ffe nno twabagabanyiza ebibabezaawo mu buwangazi bw’ensi, era twasukkulumya abamu ku bannaabwe amadaala, kisobozese abamu okufuula bannaabwe (okuba) abaweereza. Naye obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi wo bwe bukira obulungi ebyo bye bakuŋŋaanya.

33. Naye ssinga tebaalemwa abantu kwegattira wamu (kunsikiriza zabwe), twalifudde abo abawakanya Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, ennyumba zabwe okuba ez’obusolya obwa Ffeeza ne (okubassizaawo) amadaala ge balinnya ne babeera waggulu.

34. Era twalissizza ku nnyumba zabwe emiryango n’ebiwu (endiri) kwe besigaamiriza.

35. N’amatiribona (amalala nfaafa). Naye nga mazima byonna ebyo bya kweyagala kwa buwangazi bwansi (bya butaliimu). Kyokka (obuwangazi bwa) enkomerero ewa Mukama Katonda Omulezi wo yayawulirwa abo abatya Katonda.

36. Era yoyo awangalira mu kwesulubabba Enzijukizi ya Mukama Katonda Omusaasizi ennyo tumusindikira Ssitaani olwo neba nga ye munywanyi we.

37. Era mazima zezo (Ssitaani) ezibawugulira ddala (nga zibaggya) ku kkubo, olwo ne basuubira nti mazima bbo baluŋŋamu.

38. Okutuusa lwajja gyetuli nga awanjaga nti: ‘Yii, mukadde ssinga wakati wange nawe (Ssitaani) weesudde ebbanga eryawanvuwa nga okuva ebuvanjuba okukoma ebugwanjuba!’ Yoyo ow’ekivve omunywanywi.

39. Ate mpawo kye kubagasa (okuwanjaga kwammwe) olwaleero olw’engeri gye mubadde abalyazamanyi, mazima mmwe mutekwa kuba mu kibonerezo kirindi.

40. Abaffe ddi lwe wali owulizza kiggala oba (lwewali) oluŋŋamizza muzibe n’oyo abadde mu bubuze obweyolefu?

41. Kale ne bwetusalawo ggwe okukujjirawo ddala, era mazima tulina abo okubesasuza.

42. Oba ssi ekyo (bwetuba tusazeewo) okukwoleka ebyo bye twabasuubiza, era mazima ffe eky’okubibatuusaako tuli basobozi.

43. Kale wenywereze kwobwo obubaka obwakubikkulirwa. Mazima ggwe ali ku kkubo eggolokofu.

44. Era mazima yeyo Enzijukizi eyakuwebwa era eyawebwa abantu bo. Era mujja kujibuuzibwa.

45. Kale buuza abo be twatuma olubereberye lwo abamu ku babaka baffe nti: ‘Abaffe twali tutaddewo ddi nga ojjeeko Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, ba lubaale (ebisinzibwa ebirala) nga be basinzibwa?’.

46. Kale mazima twatuma Musa n’ebyamagero byaffe okugenda eri Firawo n’abakungu be, bwatyo yabagamba nti: ‘Mazima nze ndi mubaka wa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde (byonna)’.

47. Kale bwe yabatuusaako eby’amagero byaffe olwo ne batanula okubisekerera.

48. Naye tewali kyamagero kye tubooleka okujjako nga ekyo kinene okukira kinnaakyo (ekisooseewo) era twabatuusaako ebibonerezo kibasobozese okweddako.

49. Bwebatyo baawanjaga nti: ‘Ssebo mulogo ggwe, twegayiririre Mukama Katonda Omulezi wo, okusinzira kwebyo bye yakulaganyisa. Mazima nno ffe ddala tuluŋŋamye’.

50. Naye bwe twabajjaako ebibonerezo, mangu ago nebaba nga bamenyawo bye baalagaanyisa.

51. Olwo n’aba nga Firawo alangirira mu bantu be nga agamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, abaffe ssi yenze nannyini bufuzi (bwakabaka) bwe Misiri nga ogasseeko na gino emigga egikulukutira wansi wange? Abaffe mulemeddwa okwerolera’.

52. ‘Ye ate ssi yenze ali obulungi okusinga oyo nga munyomoofu, era tasobola kwennyonnyolaka?

53. Kale lwaki tekyasoboka kuba nti aweerezebwa ebikomo bya zzaabu oba okuba nti basindikiddwa naye ba Malaika nga bamwegasseeko?’

54. Bwatyo bwe yawebuula abantu be era baamugondera. Mazima abo baali bantu bonoonefu.

55. Naye bwe baayitiriza okutunyiiza twabeesasuza, bwetutyo twabasanyawo bonna.

56. Era twabafuula eky’okulabirako (kye bagoberera ababafaanana), era eky’okuyigirako ekyabo ab’oluvannyuma.

57. Kyokka bwe yateekebwawo mutabani wa Mariam okuba eky’okulabirako, olwo ate abantu bo ne baba nga ba mwesulubabba.

58. Era baagamba nti: ‘Abaffe abasinzibwa baffe (ba lubaale) be basinga obulungi oba ye (Isa)’. Mpawo kirala kye bagenderera okumukussizaawo nga eky’okulabirako okujjako olw’okukaayana. Wew’awo abo be bantu abasukkirivu okukaayana.

59. Tewali ngeri ndala ye (Isa) gyatwalibwamu okujjako okuba omuddu gwe twawa omukisa era twamufuula okuba eky’okulabirako (ekyokuluŋŋamizaako) eri abaana ba Isirail’.

60. ‘Ssinga twagala kusalawo twalifudde abamu kummwe okuba ba Malaika munsi nga babaddira mu bigere.

61. Ate mazima ye wuyo (Isa bwaba akomyewo) ow’okuba akabonero ak’okumanyisa essaawa envannyuma (w’etuukira) kale ekyo te mukibuusabuusa era mugoberere nze (Nabbi Muhamad), eryo ly’ekkubo eggolokofu.

62. Era mazima tegezaako Ssitaani okubatangira (okudda eri Katonda) mazima yyo ye mulabe wammwe omweyolefu’.

63. Naye Isa bwe yajja n’ensonga entufu yagamba nti: ‘Mazima mbaleetedde enjigiriza y’obwannabbi era ejja kunsobozesa okubannyonnyola ebimu kwebyo bye mutakkaanyako. Kale mutye Allah, Katonda asinzibwa era muŋŋondere.

64.Mazima Allah Katonda asinzibwa ye wuyo Mukama Katonda Omulezi wange era ye Mukama Katonda Omulezi wammwe, kale musinze Yye yekka. Eryo ly’ekkubo eggolokofu’.

65. Naye byafuna enjawukana ebibinja nga biri mubo bennyini. Kale okuzikirira kwategekerwa abo abaajeema okw’ekibonerezo ky’olunaku (olwo) ekiruma.

66. Abaffe, ate eriyo kye balindirira ekirala nga ojjeeko ekiseera ekivannyuma okubatuukako ekibwatukira nga tebamanyi?

67. Abaagalana ku lunaku olwo abamu eri bannaabwe nga balabe, okujjako (abaagalana) abatya Katonda.

68. ‘Abange mmwe abaddu bange’: (bwekityo nga kiyisibwa ekirango) ‘Mpawo kutya kwonna kwa kubatuukako olwaleero, era temujja kulaba nnaku’.

69. Bebo abakkiriza amateeka gaffe era bewaayo (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda.

70. ‘Muyingire ejjana mmwe ne bakyala bammwe nga mussibwamu ekitiibwa’.

71. Bibayisibwayisibwamu ebibakuli ebya Zaabu n’amagiraasi, nga bijjudde ebyo bye gyetaaga emyoyo (gyabwe), era ebisanyusa amaaso era mmwe muumwo ab’okugisiisiramu (Ejjana).

72. Kale yeyo Ejjana gye musikiziddwa olw’ebyo bye mubadde mukola.

73. Ka mugiwebwemu amatunda nkuyanja ge mulina okulyako.

74. Mazima abonoonyi ba kussibwa mu kibonerezo kya ggeyeena obutakivaamu.

75. Nga tebateewuluzibwako (ku bibonerezo), era bebo ab’okubibeeramu nga tebalina ssuubi (lyakuvaamu)

76. Kale tetwabalyazaamanya wabula bbo be baali abalyazamanyi.

77. Bwebatyo baakoowoola nti: ‘Owange ggwe Maaliki (Malaika Omukuumi w’omuliro), kisaanye Mukama Katonda Omulezi wo atusalirewo!’ N’abaddamu nti: ‘Mazima mmwe muli ba kugusiisiramu (omuliro)’

78. Wew’awo twabatuusaako ekituufu wabula nga abasinga obungi mummwe ekituufu bakitamwa.

79. Abaffe waliwo engeri gye baakozesa obukugu? Naye nno ffe tutebuka obukugu bwabwe.

80. Abaffe waliwo engeri gye balowooza nti mazima ffe tetuwulira byama byabwe n’enkukutu zabwe? Ekyo kafuuwe era ababaka baffe bali nabo bawandiika.

81. Bategeeze nti: ‘Ssinga Katonda Omusaasizi ennyo yalina omwana (gwe yazaala) kale (oba kiba kibe) nze kambe omusaale okumusinza (Mukama) nga ali Omu. (oyo atazaala)

82. Atukuzibwe Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi, Mukama Katonda nannyini Nnamulondo nga ayawulibwa kwebyo bye bamwogerako.

83. Ggwe baleke babe nga baggwera mu bujeemu era nga batiguka, okutuusa lwe banasisinkana olunaku lwabwe olwo lwe basuubizibwa.

84. Kale yewuyo ali muggulu asinzibwa era ali munsi nga asinzibwa era ye wuyo Omulamuzi Kalimagezi Omumanyi.

85. Era atukuzibwe oyo nannyini bwa Kabaka bw’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi, era kuli gyali okumanya wekituukira ekiseera ekivannyuma, era gyali gye muzzibwa.

86. Kale tebirina bwa nnannyini, ebyo bye basinza (bye bawanjagira) ne bamulekawo, bwa kuwolereza okujjako oyo eyajulira amazima, era ekyo (bbo) bakimanyi.

87. Ate bwobabuuza nti: ‘Ani yabatonda? Baba bakuddamu nti: ‘Ye Allah, Katonda asinzibwa!’ Ate lwaki bawugulwa.

88. (Era Katonda amanyi) N’ekigambo kye (Isa) kyeyayogera nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima abo be bantu abatakkiriza’.

89. Kale ggwe (Muhammad) besonyiwe era bategeeze nti: ‘Mbalekedde emirembe gyammwe!’. Naye bajja kumanya.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *