Skip to content
Home » 3. Al – Imran (Abantu ba Imran)

3. Al – Imran (Abantu ba Imran)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

3.ESSUULA:ALI–IMURAN,ABANTUBA IMURAN;

Yakkira Madiina, erina Aya 200.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

 

1.Alif, lam, mim

2. Allah ye Katonda asinzibwa teri kusinza kirala okujjako yye omulamu ayeemalirira

3. Yakussiza ekitabo mu mazima ekikakasa ebyo ebiri waali, era ye yassa Tawuret ne Enjiri.

4. Nazzikuno nga biruŋŋamya abantu. Era yeyassa n’enjawuzi. Mazima abo abawakanya amateeka ga Katonda bajja kufuna ekibonerezo ekiyitirivu. Kale Katonda ye Luwangula Omuyitirivu w’okwesasuza.

5. Mazima Katonda teri kintu kimwekweka mu nsi newankubadde mu ggulu.

6. Y’oyo atonda enfanana yammwe nga mukyali mu nnabaana, nga bwayagala. Tewali asinzibwa okujjako yye, Luwangula Kalimagezi.

7. Y’oyo eyakussiza ekitabo nga mulimu amateeka amannyonnyofu, go ge gannakazadde w’amateeka n’amalala ssi mangu ga kutegeera. Kyokka abo abalimu okwekubiira mu mitima gyabwe balondola agamu kwago agaba gazibuwadde okutegeera nga banoonya ffitina n’okuwaliriza okugannyonnyola, so nga tewali amanyi kugannyonnyola okujjako Katonda. Olwo abayivu abakugu nebagamba nti: ‘Gonna awamu ffe twagakkiriza dda, gonna gava wa Mukama Katonda omulezi waffe. Kale teriiyo afuna kwebuulirira mwekyo okujjako abageziwavu.

8. Ai Mukama Katonda omulezi waffe towugula mitima gyaffe ate nga wamala dda okutuluŋŋamya, era otugabire okusaasira okuva gyoli. Mazima yeggwe Lugaba owannamaddala.

9.Ai Mukama Katonda omulezi waffe, mazima ggwe Mukuŋŋanya w’abantu kulunaku olutabuusibwabuusibwa. Mazima Katonda tasazaamu ndagaano.

10. Mazima abo abaajeema, teriiyo kya kubagasa kebeere mmaali yabwe wadde abaana babwe, eri Katonda ssi ba kubifunamu kantu konna. Bebo, ab’okubeera enjakirizo z’omuliro.

11. Obutayawukanako nambera ya bantu ba Firawo n’abo abaaliwo olubereberye lwabwe. Baawakanya amateeka gaffe, Katonda n’abazikiriza nga abalanga ebyonoono byabwe. Kale Katonda yemuyitirivu w’ebibonerezo.

12. Tegeeza abo abaajeema nti: ‘Muli ba kuwangulwa n’okuzuukizibwa nga muzzibwa mu ggeyeena. Era kyekyo ekisinga obubi mu bifo ebiganzikibwamu.

13. Mazima mwafuna dda ekyamagero ekirimu eky’okuyiga, nga kyabibinja bibiri ebyasisinkanira muddwaniro. Ekibinja ekimu nga kirwanirira kkubo lya Katonda, ekirala nga kya bajeemu, kibalaba nga bakikubisaamu emirundi ebiri okusinziira ku ndaba y’eriiso. Kale Katonda awagizisa obuyambi bwe oyo gwayagala. Mazima ekyo kirimu eky’okuyigirako eri abalina amaaso agalaba.

14. Abantu baawundirwa okwegomba eby’obulungi, ng’abamu ku bakyala n’abaana ab’obulenzi n’endulundu ya zzaabu ne ffeeza ebituumiddwa awamu n’embalaasi ezirabika obulungi n’amagana g’ensolo ezirundibwa n’amalimiro. Ebyo by’eby’okweyagala kw’obuwangazi bw’ensi. Naye Katonda yaalina amakula g’obuddiro.

15. Babuuze nti: ‘Abaffe mbategeezeeyo ekirungi ekisinga eby’okweyagala byammwe ebyo? Abo abatya Katonda ba kufuna ewa Mukama Katonda omulezi wabwe, ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga, ssi ba kugivaamu obugenderevu mulimu n’abafumbo ntoko abatukuvu n’okusiima okuva ewa Katonda. Kale Katonda ye Mulabi wa baddu be.

16 Abo abasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi waffe; mazima ffe twakkiriza dda, tukusaba otusonyiwe ebyonoono byaffe era otuwonye ekibonerezo ky’omuliro’.

17. Bebo abagumiikiriza, n’abanywevu mu nzikiriza n’abagondera Katonda n’abawaayo ebiwebwayo n’abegayirira Katonda okubasonyiwa mu kiseera kya kinywambogo (matulutulu).

18. Katonda asinzibwa Allah yayoleka obujulizi obulaga nti, mazima teriiyo asinzibwa okujjako Yye, neba Malaika ekyo kye baajulira, n’abayivu abakugu baayimirizaawo dda obwenkanya obulaga nti: Teriiyo asinzibwa okujjako Yye Luwangula Kalimagezi.

19. Mazima eddiini yokka entufu ewa Katonda ya Busiraamu. Naye abo abaaweebwa ekitabo tebaafuna njawukana okujjako luvannyuma lwa kufuna kumanyisibwa, olw’obwewagguzi obuli mubo bennyini. Era oyo awakanya amateeka ga Katonda. Mazima Katonda ye mwanguyiriza w’okubalirira ensasula.

20. Kale bwe bakukaayanya, bategeeze nti: ‘Nze nneewaayo dda ewa Katonda nga ndiwamu n’abangoberera’. Era obuuze abo abaaweebwa ekitabo n’abo abatasoma biwandiiko, nti: ‘Abaffe mwewaddeyo mu Busiraamu? Bwebaba beewaddeyo mu Busiraamu mazima baba baluŋŋamye. Ate bwe baba baakuba enkyukira, mazima ggwe ky’olina okukola kwekutuukiriza obubaka. Era Katonda ye mulabi w’abaddu be.

21. Mazima abo abajeemera amateeka ga Katonda era abatta ba Nnabbi nga basinziira ku nsonga ezitali ntufu, era abatta abantu abamu kwabo abalagira obwenkanya, bawe amawulire g’okufuna ebibonerezo ebiruma.

22. Bebo abaayonoonekerwa emirimu gyabwe mu nsi ne kunkomerero era ssi ba kufuna abataasa.

23. Abaffe, olaba otya abo abaaweebwa omugabo mulamba mu kitabo, bayitibwa okudda ku kitabo kya Katonda kiramule ensonga eziri wakati wabwe, oluvannyuma abamu kubo bakuba enkyukira era nga tebakisemba.

24. Beeyisa batyo olwokuba baayogera nti: ‘ Tetuli ba kwokebwa muliro okujjako ennaku mbale bubazi’. Olwo ne bibawugula okubajja ku ddiini yabwe ebyo bye begunjizaawo.

25. Abaffe kiriba kitya lwe tulibakuŋŋanyiza mu lunaku olutaliimu kubuusabuusa era negusasulwa bulambirira buli mwoyo ebyo byegwakola nga gyonna tewali gulyazamanyizibwa.

26. Gamba nti: ‘Ayi Katonda asinzibwa Allah, ggwe mufuzi w’enfuga, owa obufuzi oyo gwoyagala era ojja obufuzi kwoyo gwoyagala, era otutumula gwoyagala era okkakkanya gwoyagala. Biri mu mukono gwo byonna ebirungi. Mazima buli kintu ggwe Musobozi wakyo.

27. Oyingiza obudde bw’ekiro mu misana, era oyingiza obudde bw’emisana mu kiro. Era ofubutula ekiramu mu kifu era ofubutula ekifu mu kiramu. Era ogabirira oyo gwoyagala awatali kubalirira.

28. Kyamuzizo abakkiriza okufuula abajeemu ab’emikwano, nebalekawo abakkiriza. Oyo akola ekyo ewa Katonda aba talinaayo mugabo gwonna; mpozzi nga waliwo engeri gyemubekengeddemu olwekengera. Kale Katonda abeewazisa embera ebafuula abakyawe gyali, era eri Katonda bwebuddiro.

29. Bagambe nti: ‘Nebwemukisa mutya ebiri mu mitima gyammwe oba okubyolesa, byonna Katonda abimanyi. Era amanyi n’ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri mu nsi. Kale Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

30. Ku lunaku buli mwoyo lwegusisinkana buli kye gwakola nga kimu ku birungi nga kisembezeddwa ku mwanjo, n’ebyo bye gwakola nga byebimu ku bikyamu, olwo gyegombe nti: ‘Ssinga mazima wakati w’obulamu bw’ensi n’enkomerero waaliwo ekiseera ekitaggwaako’. Kale Katonda abeewazisa embera ebafuula abakyawe gyali. Era Katonda ye mulumirirwa wa baddu be.

31. Bategeeze nti: ‘Bwemuba mwagala Katonda, mugoberere nze, Katonda alyoke abaagale, era abasonyiwe ebyonoono byammwe. Kale Katonda Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

32. Balagire nti: ‘Mugondere Katonda n’omubaka’ kale ssinga bakubye enkyukira, bamanye nti Katonda tayagala bajeemu.

33. Mazima Katonda yasukkulumya Adam ne Nuhu n’abantu ba Ibrahiim n’abantu ba Imuran okusinga abantu bomunsi yonna.

34. Nga ly’ezzadde abantu balyo abamu bava mu bannaabwe. Kale Katonda Muwulizi Mumanyi.

35. Jjukira omukyala wa Imran bwe yaloma nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange, mazima nze nneeyamye okuwaayo ku lulwo omwana ali mu lubuto lwange, okuba omuweereza w’essinzizo lyo. Ai Mukama, kkiriza obweyamo bwange. Mazima ggwe Muwulizi Omumanyi.

36. Bweyamuzaala nga mwana muwala, yagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange, mazima omwana gwenzadde wa buwala – era Katonda y’asinga okumanya ekyagendererwa mu mwana gweyazaala – Ate omwana ow’obulenzi talinga wa buwala! Kale mazima nze mutuumye erinnya ye Mariam era mazima nze, wuuno muteeka mu bukuumi bwo n’ezzadde lye okubawonya Ssitaani enkolimire.

37. Kale Mukama Katonda omulezi we yamukkiriza olukkiriza olulungi n’amukuza olukuza olulungi n’asobozesa Zakaria okumwola. Zakalia buli lweyayingiranga essinzizo nga agenze gyali, yasaŋŋangawo eby’okulya. Bweyamubuuza nti: ‘Ggwe Mariam, ate bino obijjawa?’ N’amuddamu nti: ‘Ebyo biva wa Katonda!’ Mazima Katonda agabira gw’ayagala awatali kubalirira.

38. Bwebyabeera bwebityo, Zakaria naaloma eri Mukama Katonda omulezi we. Yagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nkusaba okumpa ekirabo ekiva gyoli nga kya mwana omulongofu. Mazima ggwe awuliriza okusaba.

39. Olwo Malaika yamukowoola nga ayimiridde, asinza Katonda nga asaala nga ali mu ssinzizo: ‘Mazima Katonda akutuusaako amawulire ag’essanyu ag’okufuna omwana erinnya lye Yahaya, ow’okunyweza ekigambo ekiva ewa Katonda era ow’okubeera omukulembeze era ow’okwewala ebikolwa by’obugwenyufu era nga ye Nnabbi omu kwabo abalongofu.

40. Yabuuza nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange: Omwana mufuna ntya ate nga nzenna obukadde bwankutula dda, nemukyala wange mugumba. Yaddamu nti: ‘Ekyo bwekityo bwekiri!’ Katonda kyakola kyaba ayagala

41. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange nteraawo akabonero kwennaategeerera’. Yamuddamu nti: ‘Akabonero kwonotegeerera, ggwe bwe butasobola kwogera nabantu okumala ennaku ssatu, okujjako okulaza obulaza. Kyokka jjukira nnyo okutendereza Mukama Katonda omulezi wo, era tendereza akawungezi n’enkya.

42. Kale jjukira Malaika weyagambira Mariam nti: ‘Mazima Katonda akwawudde mu balala bonna era akutukuzza era akwawudde n’akusukkulumya ku bakyala b’ensi yonna.

43. Ggwe Mariam, gondera amateeka ku lwa Mukama Katonda omulezi wo, era vunnama era kutama nga oli wamu n’abakutami.

44. Ago ge gamu ku mawulire amakusike ge tukumanyisa mu kubikkulirwa. Era tobeerangako nabo ekiseera we baasuulira amakalaamu gabwe (munnyanja nga bakuba akalulu okufuna) ani mubo anaalabirira Mariam, era tobeerangako nabo ekiseera kyebaamala nga bakaayana.

45. Jjukira Malaika weyagambira nti:‘Ggwe Mariam; mazima Katonda akuwa amawulire ag’ekigambo ekiva gyali erinnya lyakyo ye Masiya Isa mutabani wa Mariam, nga wa kitiibwa mu nsi ne ku nkomerero era nga yomu ku bokumwanjo (ewa Katonda). 46. Era nga ayogera n’abantu nga ali mu kibaya (mwana muwere) naawo nga asajjakuse, era nga yomu ku balongofu’.

47. Yabuuza nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange: butya bwenfuna omwana nga teriiyo muntu yenna yali ankutteko!’ Yamuddamu nti: ‘Ekyo bwekityo bwekiri, Katonda asinzibwa Allah kyayagala kyatonda. Bwaba asazeewo okutonda ekitonde, akiragira bulagizi nti: BA! Nekiba nga bwasazeewo’. 48. Era nga amuyigiriza okuwandiika n’obulamuzi ne Tawuleeti n’Enjiri.

49. Era ye mubaka ow’okugenda mu baana ba Israil, okulangirira gyebali nti: ‘Mazima nze nzize gyemuli nga nkwasiddwa ekyamagero ekiva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe (kwe munakakasiza), mazima nze nja kuba nga mbabumbira mu bbumba ekibumbe ekyefananyiriza ekinyonyi, mbe nga nkifuuwamu omukka, kisobole okubuuka ku lw’obuyinza bwa Katonda. Era mponya ow’empoma n’ow’olukeke. Era nzukiza abafu kulw’obuyinza bwa Katonda. Era mbabuulira byemulya n’ebyo byemutereka mu mayumba gammwe. Mazima ebyo birimu ekyamagero ekibamatiza ssinga muba bakkiriza.

50. Era mba nnyweza bino ebiriwo ebisangibwa mu Tawuleet. Era nga nkwasiddwa ekyamagero okuva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe, kale mutye Katonda era muŋŋondere. Mazima Katonda asinzibwa Allah ye Mulezi wange era ye Mulezi wammwe, kale mumusinze, eryo ly’ekkubo ettuukirivu.

52. Isa bwe yamatira nti bagundiivu mu bujeemu, yakowoola nga agamba nti: ‘Baliwa abantaasa okukwata ekkubo eriraga ewa Katonda?’ Abayigirizwa nebaddamu nti: ‘Ffe baabo abataasa (ekkubo eriraga ewa) Katonda, twamukkiriza dda. Era ggwe tuweeko obujulizi. Mazima ffe (Basiraamu) abewaddeyo mu mateeka ga Katonda.

53. Ai mukama Katonda omulezi waffe, twakkiriza byonna bye wassa era twagoberera omubaka, tukwegayirira otuwandiike mu luse lwa bajulizi. 54. Kale baakola enkwe, Katonda n’atebuka enkwe ezo. Era Katonda alina enkizo mu kutebuka enkwe.

55. Jjukira Katonda we yagambira nti: ‘Ggwe Isa, mazima nze nja okukuvumbagira n’okukusitula okukuleeta gyendi, n’okukutukuza nga nkujja mwabo abaajeema. Era nze nnaasukkulumya abo abaakugoberera babe waggulu wa bali abaajeema okutuusa olunaku lw’enkomerero. Oluvannyuma gyendi mwenna bwe buddo bwammwe gyennina okubalamula wakati wammwe mwebyo bye mwali mwawukanamu.

56. Naye abo abaajeema, nnina okubabonereza ekibonerezo ekikakali munsi ne kunkomerero era tebalinaayo wa kubataasa.

57. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi, wa kubasasula bulambirira empeera zabwe. Katonda teyetaaga bajeemu.

58.Ebyo bye byafaayo bye tukunnyonnyola nga tubijja mu mateeka (g’ebitabo ebya kulembera), n’enzijukizi ejjudde ebyamagezi.

59. Mazima embera ya Isa mumaaso ga Katonda efananira ddala eya Adam. Yamutonda mu ttaka oluvannyuma n’amulagira nti: BA! Naaba nga bweyasalawo.

60. Ago ge mazima agava ewa Mukama Katonda omulezi wo, wewalire ddala okubeera omu ku babuusabuusa.

61. Oyo yenna akukaayanya ku bimukwatako oluvannyuma lwokwo okumanyisibwa okutuufu okukutuuseeko, ggwe nga olangirira nti: ‘Mujje mwenna (mukkirize:) ‘Ffe tuyite abaana baffe nammwe muyute abaana bammwe. Tuyite bakyala baffe, nammwe muyite bakyala bammwe. Ffe fennyini tukuŋŋaane, nammwe mukuŋŋaane, oluvannyuma tukolimigane nga tussa ekikolimo kya Katonda ku balimba.

62. Mazima ebyo bye byafaayo ebyamazima. Teriiyo ateekwa kusinzibwa okujjako Katonda asinzibwa Allah. Era mazima Katonda ye wuyo Luwangula Kalimagezi. 63. Bwebaba bakubye enkyukira; (bamanye nti) mazima Katonda ye Mumanyi w’aboonoonyi.

64. Langirira nti: ‘Abange mmwe bannannyini kitabo; mujje tugoberere ekigambo ekitaliimu kwekubiira wakati waffe nammwe: Obutabaako kyetusinza okujjako Katonda asinzibwa Allah era obutamugattako kirala kyonna, era okubulwayo oyo yenna muffe afuula munne okubeera mukamaawe nga Katonda amussizza ku bbali. Bwebaba bakubye enkyukira, nga mmwe mulangirira nti: Kaakano mubeere bajulizi kuffe, okuba nti ffe (basiraamu) abewaayo mu mateeka ga Katonda.

65. Abange mmwe bannannyini kitabo, lwaki mukaayana ku bikwata ku Ibrahiim, ssonga ku nsi yali yavaako dda, oluvannyuma Tawuleeti n’Enjiri nebiryoka bikka. Abaffe mubuliddwaamu akategeera?’

66. Mmwe muumwo abakaayanidde mwebyo byemulinako kyemumanyi, ate lwaki ne bye mutalina kyemubimanyiiko mubikaayaniramu? Kale Katonda y’asinga okumanya, era mmwe teriiyo kyemumanyi.

67. Ibrahiim tabangako muyudaaya oba munaswala, wabula yoyo eyali omukomole atalina nzikiriza ndala okujjako (ey’obusiraamu) okwewaayo mu mateeka ga Katonda. Era tabangako musamize.

68. Mazima abantu abalina enkizo mu kuba obumu ne Ibrahiim, bebo abaamugoberera, okwo gattako Nnabbi oyo, n’abo abakkiriza.

69. Ekibinja ekimu mwabo ba nannyini kitabo besunga okufuna oluwenda mwebasobolera okubabuza, sso nga ekituufu teriiyo gwebabuza okujjako emyoyo gyabwe, naye nga tebakimanyi.

70. Abange mmwe ba nannyini kitabo, lwaki muwakanya amateeka ga Katonda ate nga mugajulira nti matuufu?

71. Abange mmwe ba nannyini kitabo, lwaki mwambika amazima obulimba ne mukweka amazima ate nga mugamanyi?

72. Kale ekibinja ekimu mwabo ba nannyini kitabo baalangirira nti: ‘Mukkirize ebyo ebyassibwa kwabo abakkiriza, ebiseera by’emisana, ate muwakanye nga biweddeko, kibasobozese okutenguka bave ku nzikiriza yabwe.

73. Era tebaayo gwe mukkiriza okujjako oyo agoberedde ediini yammwe! Ggwe langirira nti: ‘Mazima obuluŋŋamu bwa Katonda. Naye mmwe ekibakwasa obujja kwe kuba nga waliwo omuntu omulala awebwa ekyo ekifaananira ddala ekyo ekyabaweebwa oba okuba nti (bali) babasinga okulambika ensonga entufu eza Mukama Katonda omulezi wammwe. Bategeeze nti: ‘Mazima ekirungi kyonna kiri mu mukono gwa Katonda, akiwa gwayagala. Era Katonda ye mugazi mukugaba ebirungi Omumanyi.

74. Ayawulira obusaasizi bwe kwoyo gwayagala. Era Katonda ye nannyini birungi ebiyitirivu.

75. Kale abamu ku ba nannyini kitabo mulimu oyo gwoba weesiga ku mmaali ennyingi (n’ogimukwasa) yonna naaba nga agikuddiza, ate mulimu oyo gwoba weesiga ku busimbi obutono (bwoba omukwasizza) nga tasobola kubukuddiza okujjako nga omaze kumutuulirira nnyo. Ekibakozesa ekyo y’engeri gyebaalangirira nti: ‘Teriiyo luwenda lutufunyisa musango mu ngeri yonna gyetuba tukolaganyemu ne bamutasoma!’ Kale batemerera Katonda eby’obulimba nga ekyo bakimanyidde ddala.

76.Wew’awo oyo yenna atuukiriza endagaano ye era natya Katonda, mazima Katonda ayagala nnyo abamutya.

77. Mazima abo abaguzisa endagaano ya Katonda n’ebirayiro byabwe, ebintu eby’omuwendo omutono, bebo abatalina mugabo gwebafuna kunkomerero, era Katonda tayogeranya nabo era tabattira ku liiso ku lunaku lw’amayimirira era tabatukuza era baakuweebwa ekibonerezo ekiruma.

78. Ate mazima waliwo ekibinja ekimu mubo ekyekubiiza ennimi zabwe nga bawaayira mu kitabo, olw’okwagala okukusuubizisa nti ebiwaayiddwa bya mukitabo sso nga ssi bya mukitabo, era babijweteka nti: ‘Bino biva wa Katonda!’ Sso nga tebiva wa Katonda. Era bajweteka ku Katonda eby’obulimba nga ekyo bakimanyi.

79. Tekigwanira muntu yenna, okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okutegeera okw’amagezi amazaale n’obwannabbi, oluvannyuma n’ategeeza abantu nti: ‘Mubeere baddu bange ab’okungoberera, Katonda temumufaako! ‘Wabula kyalina okubategeeza kiri nti: ‘Mubeere baweereza ba Mukama Katonda yekka! ‘Ekyo kisinziira ku ngeri gye muyigirizaamu amateeka, n’engeri gye mubadde mugayiga.

80. Kale tabalagira kuddira ba Malaika ne bannabbi kubafuula bakama bammwe! Ate butya bwabalagira okujeema nga mwamala dda (okubeera abasiraamu) okugondera amateeka ga Katonda.

81. Kale jjukira Katonda lwe yakola endagaano ekwata ku bannabbi, nga kisinziira ku byeyabawa ebimu kwebyo ebiva mu kitabo n’okutegeera okwamagezi amazaale, oluvannyuma omubaka najja gyemuli nga akakasa ebyo byemulina: ‘Muteekwa okumukkiriza era muteekwa okumulwanirira okumutaasa!’ Yababuuza nti: ‘Abaffe ekyo mukikakasizza era mukkirizza okukuuma endagaano yange? Baddamu nti: ‘Tukikakasizza!’ Yabagamba nti: ‘Mmwe mubeere bajulizi, nange nja kwetaba nammwe okubeera omu kubajulizi.

82. Kale oyo eyekyusa oluvannyuma lw’endagaano eyo, nga bebo abonoonyi.

83. Abaffe bayinza batya okwettanira eddiini eteri ya Katonda, sso nga ye wuyo ebitonde ebiri mu nsi ne muggulu gwe bigondera mu kweyagarira ne mu buwaze, era nga gyali byonna gyebizzibwa?

84. Langirira gyebali nti: ‘Ffe twakkiriza Katonda n’ebyo ebyatussibwako n’ebyo ebyassibwa ku Ibrahiim ne Ismail ne Isihaka ne Yakuubu n’ezzadde lye, n’ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa ne bannabbi abalala abava ewa Mukama Katonda omulezi wabwe. Tewali nomu kubo gwetusosola, era ffenna twewaayo dda (mu Busiraamu) okugondera amateeka ge.

85.Oyo yenna eyegwanyiza eddiini endala eteri ya(Busiraamu) kwewaayo kugondera mateeka ga Katonda, ssi yakumukkirizibwako, era oyo kunkomerero wa kubeera mu bafaafaaganirwa. 86. Katonda ayinza atya okuluŋŋamya abantu abaajeema oluvannyuma lw’okubeera abakkiriza, ne bawa n’obujulizi nti kituufu omubaka wa mazima, era nebafuna n’ebyokulabirako ebiraga amazima ge? Kale Katonda taluŋŋamya bantu bakuusa.

87. Abo empeera yabwe, mazima kwekwambukirwako ekikolimo kya Katonda neba Malaika n’abantu bonna.

88. Ba kukibeeramu lubeerera, nga tekibakendezebwako ekibonerezo era nga tebalindirizibwa.

89. Okujjako abo abeenenya oluvannyuma lw’ekyo (ekikolwa ky’obujeemu) nebalongosa emirimu, mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo. 90. Mazima abo abaajeema oluvannyuma lw’okubeera abakkiriza, kyokka nebeeyongera okunnyikira mu bujeemu, ssi kwakukkirizibwa okwenenya kwabwe era bebo abaabula.

91. Mazima abo abaajeema era nebafa nga balemedde mu bujeemu, ssi wa kukkirizibwa nga ajjibwa ku omu kubo zaabu ajjuza ensi yonna nebwamuwaayo okumwenunuzisa! Abo ba kufuna ekibonerezo ekiruma era ssi ba kufunayo abataasa yenna.

92. Temujja kufuna butuukirivu okutuusa lwe muwaayo ebimu kwebyo byemwagala. Era ekintu kyonna kye muwaayo, mazima Katonda aba akimanyi.

93.Eby’okulya byonna byali ssi byamuzizo eri abaana ba Isirail, okujjako ebyo Isirail bye yazira nazzikuno nga Tawureti tennassibwa. Ggwe basoomooze nti; ‘Kale muleete Tawuleeti era mugisome oba muli ba mazima.

94. Kale oyo ajweteka ku Katonda obulimba oluvannyuma lw’ebyo, olwo nga bebo abalyazamanyi.

95. Bategeeze nti: ‘Gano ge mazima Katonda g’ayogedde’ Kale mugoberere eddiini ya Ibrahiim oyo omukomole ataalina nzikiriza ndala okujjako (obusiraamu) okwewaayo mu mateeka ga Katonda era tabangako mu luse lwa basamize.

96. Mazima ennyumba embereberye eyateerwawo abantu nga ssinzizo y’eyo eye Bakka (ekiwonvu eky’amaziga) nga ya mikisa n’okuluŋŋama eri ensi yonna.

97. Mulimu ebyamagero eby’enkukunala, obuyimiriro bwa Ibrahiim! Oyo yenna agiyingidde aba mirembe! Abantu bateekwa okulamagira ennyumba eyo kulwa Katonda, buli aba asobodde entambula egendayo. Era oyo ajeemye, mazima Katonda ye Mugagga ayeemalirira, teyeetaaga biva mu nsi yonna.

98. Babuuze nti: ‘Abange mmwe bannannyini kitabo, lwaki muwakanya amateeka ga Katonda, ate nga Katonda ye mujulizi owokuntikko ow’ebyo bye mukola?

99. Babuuze nti: ‘Abange mmwe bannannyini kitabo, lwaki ababa bakkirizza mubatangira okukwata ekkubo lya Katonda ne mwagala okulikyamya, sso nga mmwe bajulizi abakakasa obutuufu bwalyo. Kale Katonda tagayaalirira byemukola.

100. Abange mmwe abakkiriza, ssinga mugondera ekibinja ekimu kwabo abaaweebwa ekitabo, nga babazzaayo oluvannyuma lw’obukkiriza bwammwe, okubeera abajeemu.

101. Naye butya bwe mujeema awamu n’okuba nti mmwe musomerwa amateeka ga Katonda nga ne Nnabbi we ali mummwe. Kale oyo eyekwata ku Katonda, aba mazima aluŋŋamye nga akutte ekkubo ettuukirivu.

102. Abange mmwe abakkirirza, mutye Katonda okutya okwannamaddala, era temugenda ekaganga okujjako nga mwenna mumaze (okusiramuka) okwewaayo mu mateeka ga Katonda.

103. Era mwenyweze ku mugwa gwa Katonda era temwawukana. Mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, ekiseera kye mwawalagganiramu, olwo n’atabaganya emitima gyammwe, ne mukeesa enkya, olw’ekyengera kye nga muli ba luganda. Sso nga mubadde mutuuse ku lubangabanga lw’ekinnya ky’omuliro n’abawonya okukigwamu. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola amateeka ge olw’okubasobozesa okuluŋŋama.

104. Wateekwa okubaawo abamu mummwe abeekolamu ekibinja ekikoowoola okudda ku bikolwa ebirungi era nga kiragira eby’obuntu bulamu era nga kiziyiza ebibi, kale bebo nno abaganyulwa.

105. Sso temubeera nga abo abaayawukana era abataategeeragana oluvannyuma lw’okutuukibwako amazima. Abo be bafuna ekibonererezo ekiyitirivu.

106. Ku lunaku lwe bitangalijja ebyenyi ebimu era nebikwata kazigizigi ebyenyi ebirala. Naye abo ab’ebyenyi byabwe ebyakwata kazigizigi: Lwaki mwajeema oluvannyuma lw’obukkiriza bwammwe? Kale mukombe ku kibonerezo olw’ebyo bye mubadde mujeemera.

107. Ate abo ab’ebyenyi byabwe ebyatangalijja, kale obusaasizi bwa Katonda baakububeeramu olubeerera.

108. Ago amateeka ga Katonda tugakusomera mu mazima. Era Katonda tayagala kulyazamanya bitonde byonna.

109. Era bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Era ewa Katonda gyezizzibwa ensonga zonna.

110. Mwe kibiina ekisingayo obulungi ekyajjirwayo abantu. Mulagira okukola ebirungi era muziyiza okukola ebibi era mukkiriza Katonda. Naye ssinga bannannyini kitabo baali bakkiriza kyekyalibasingidde okuba ekirungi. Abamu mubo bakkiriza era abasinga obungi mubo bajeemu.

111. Tewali mutawaana gwe babatuusaako okujjako okuboogerera ebigambo, era nebwebabatanulako olutalo babalaga migongo nga badduka, oluvannyuma nebatataasibwa.

112. Baamettebwa obunyomoofu eyo yonna gyebasangibwa, okujjako bwebaba benywezezza ku mugwa oguva ewa Katonda n’omugwa oguva mu bantu abakkiriza, olwo nebaddayo nga bafunye obusungu obuva ewa Katonda. Era baamettebwa obunkuseere. Ekyabatuusisa kwekyo kubanga mazima baali baajeemera amateeka ga Katonda era nga batta ba nnabbi awatali nsonga ntufu. Ekyabatuusisa kwekyo lwa kwefuula ba kiwagi era nebaba nga bewaggula.

113. Bonna tebafanagana. Abamu ku bannannyini kitabo mulimu ekibiina ekituukirivu abasoma amateeka ga Katonda ebiseera by’ekiro era nga bebo abavunnama.

114. Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, era balagira okukola ebirungi, era baziyiza okukola ebibi, era beeyunira nnyo okukola ebirungi. Kale abo be bamu ku balongosa.

115. Era ekyo kyonna kyebaba bakoze ku birungi, ssi ba kukimmibwa mpeera yakyo. Kale Katonda ye Mumanyi wabo abamutya.

116. Mazima abo abaajeema, tejja kubagasa emmaali yabwe wadde abaana babwe nga bibawonya ebiri ewa Katonda mu kintu kyonna! Era bebo ab’okubeera mu muliro gwe batalivaamu olubeerera.

117. Embeera y’ebyo bye bawaayo mu buno obulamu bw’ensi efaanana nga kibuyaga akuŋŋuntira mu luyiira olwaka ne lwokya ennimiro y’abantu abeeryazamanya bokka, yonna nelugizikiriza. Kale Katonda teyabalyazamanya wabula bbo emyoyo gyabwe gye balyazamanya.

118. Abange mmwe abakkiriza temuganza mikwano na balala batali ba kinywi kyammwe, abo abatalekaayo kubatuusa ku bizibu, bawulira essanyu ebbanga lye mumala nga mubonaabona. Mazima enge yeyoreka dda nga efubutuka mu mimwa gyabwe. Ate ekyo emmeeme zabwe kye zikweeka ky’ekisinga obunene, mazima ffe tubannyonnyodde ekituufu bwe muba mutegeera.

119. Mwennyini mmwe baabo mubaagala, ate bbo tebabaagala. Era mmwe mukkiriza ekitabo mu bulambirira bwakyo. Kale bwebaba babasisinkanye bagamba nti: ‘ffe twakkiriza dda!’ Naye bwe baba bazzeeyo mu bannaabwe, basaalirwa nnyo nebatuuka n’okuluma engalo zabwe olw’essungu lye babalinako. Bagambe nti; ‘Muffe essunguyira lyammwe!’ Mazima Katonda ye Mumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

120. Ssinga mufuna ekirungi bbo kibakola bubi, ate ssinga mutuukibwako omutawaana, bbo kibasanyusa. Naye bwe munaagumiikiriza era ne mutya Katonda, enkwe zabwe tezijja kubatuusaako kintu kyonna. Mazima Katonda byonna bye mukola y’abyebunguludde.

121. Jjukira lwe wakeera okuva mu bantu bo nga otegekera abakkiriza enfo omusinziirwa okulwanyisa omulabe. Kale Katonda ye Mujulizi Omumanyi

122 Jjukira ebibinja ebibiri mummwe we byasemberera okufootoka, nga byelabidde nti Katonda y’abyeyimiridde. Kale ku Katonda yekka gwe bateekwa abakkiriza okwesigamira.

123 Wew’awo Katonda ya bataasa nga muli e Badiri sso nga mwali bayabayaba. Kale mutye Katonda kibasobozese okumusiima.

124 Jjukira lwe wabuuza abakkiriza nti; ‘Abaffe tekiibamalire okuba nti Mukama Katonda omulezi wammwe ayongereza kuggye lyammwe, eggye lya ba Malaika nkumi ssatu erikka kaakano?

125. Wew’awo eggye eryo libamala! Wabula ssinga muba bagumiikiriza n’okutya Katonda eryo eggye ne libatuukako mbagirawo, Mukama Katonda omulezi wammwe abongerezaako eggye eddala lya ba Malaika nkumi ttaano abali obulindaala.

126. Ekyo Katonda talina kyeyakigendereramu okujjako okubafunyisa essanyu era emitima gyammwe gitebenkerereko, naye obuwanguzi teriiyo gye busobola kuva okujjako ewa Katonda Luwangula Kalimagezi.

127. Olwo alyoke abetente ekibinja ekimu eky’eggye ly’abaajeema oba okubannyika mu bunakuwavu bw’okuwangulwa ne baba nga baddayo baweebuuse.

128 Tolinaayo nsonga ekuvunanyizibwa ku kintu kyonna, kakibe kya kukkiriza kwenenya kwabwe oba kubabonereza, mazima bbo bakuusa.

129. Era bya Katonda yekka ebyo ebiri muggulu n’ebyo ebiri munsi. Asonyiwa oyo gwayagala era abonyabonya oyo gwayagala. Era Katonda ye Musonyiyi ow’Okusasira okw’enjawulo.

130. Abange mmwe abakkiriza, kyamuzizo gyemuli okulya ennyongeza enkubiseemu emirundi n’emirundi. Era mutye Katonda kibasobozese okuganyulwa.

131 Era mutye omuliro ogwo ogwategekerwa abajeemu.

132. Era mugondere Katonda n’omubaka, mube nga musaasirwa

133. Era mweyunire okusonyiwa okuva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe n’okufuna ejjana eyagaziwa okwenkana eggulu n’ensi eyategekerwa abo abatya Katonda.

134. Abo abawaayo ebiwebwayo mu biseera eby’emirembe n’ebyakazigizigi n’abo abakweka obusungu n’abo abasonyiwa bannaabwe nebatabeesasuza. Kale Katonda ayagala abalongosa.

135. Naabo ababa bakoze ebyambyone oba okukumpanya emyoyo gyabwe, ne bamanya ensobi zabwe ne bajjukira Katonda ne bamusaba okusonyiwa ebyonoono byabwe – Naye ani ayinza okusonyiwa ebyonoono okujjako Katonda? – Era ne batalemera kwebyo bye baakola nga bamanyidde ddala.

136. Abo empeera yabwe kwe kusonyiyibwa okuva ewa Mukama Katonda omulezi wabwe n’ejjana eyo ekulukutira wansi wayo emigga nga babeera omwo bugenderevu. Eyo y’empeera ey’omukisa esasulwa abakozi b’ebirungi.

137 Wew’awo biyise bingi nga mmwe temunnabaawo ebijjukizo, mutambule munsi mwerolere ngeri enkomerero yabwe gye yalimu abo abaalimbisa. 138 okwo kwe kwanjuluriza abantu ekituufu era bulung’amu era kubuulirira abo abatya Katonda.

139. Kale temwefootola era temunakuwala ate nga mmwe abaawaggulu bwe mubeera abakkiriza.

140 Bwebiba bibatuuseeko ebisago ebibalagala, mazima ebisago ebibalagala byatuuka dda ku bantu abalinga mmwe. Kale eyo y’engeri ennaku gye tuzikyusakyusa mu bantu,olwo Katonda alyoke ayawuleko abo abakkiriza abannamaddala era abamu mummwe abe nga abafuula abajulizi. Kale Katonda tayagala balyazamanyi

141 Era Katonda asobole okutukuza abo abakkiriza abannamaddala ate abe nga asaanyaawo abajeemu.

142 Abaffe mweyinudde nti muyingira ejjana nga Katonda tannaba kwekenneenya abamu mummwe abo abaalwanirira ekkubo lye, wadde okwekenneenya abagumiikiriza?

143 Mazima mubadde nazzikuno mwegomba okutuusibwako okufa nga temunnakusisinkana, kuukwo mazima mukweroledde nga mmwe mwennyini mukwetegereza.

144 Era teriiyo ngeri ndala Muhammad gyatwalibwamu okujjako okubeera omubaka mazima eyakulemberwa enkumuliitu y’ababaka. Abaffe ssinga aba afudde oba okuttibwa, musinziira kuki okwekyusiza ku bisinziiro byammwe okuddayo? Kale oyo yenna ayeekyusiza ku bisinziiro bye naddayo talina kyaba akosa Katonda mu kintu kyonna. Era Katonda ajja kusasula abamusiima.

145 Era teriiyo mwoyo guyinza kufa okujjako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga z’entuko ezaasalibwawo edda ekiseera kyazo. Era oyo aba ayagala empeera y’ensi tumuwaako ebimu nga tubijja muyo, era oyo aba ayagala empeera y’enkomerero tumuwaako ebimu nga tubijja muyo. Era tujja kusasula abasiimi.

146 Era kameka nga abamu ku bannabbi balwanira wamu naye, abo abewaayo mu mikono gya Katonda, nga bangi era newatabaawo afootoka okusinziira kwebyo ebyabatuukako, nga balwanirira ekkubo lya Katonda, era tebaanafuwa era tebaggwaamu maanyi? Kale Katonda ayagala abagumiikiriza.

147. Era bonna teriiyo kyebaayogera, okujjako okugamba nti, ‘Ai Mukama Katonda omulezi waffe, tukwegayirira okutusonyiwa ebyonoono byaffe n’agasobyo aganene getuba tukoze, era onyweze ggulugulu ebigere byaffe, era otutaase nga otuwanguzisa abantu abajeemu.

148 Olwo Katonda n’abawa empeera y’emirimu gyensi n’empeera ennungi ey’enkomerero. Kale Katonda ayagala abalongosa.

149 Abange mmwe abakkiriza, ssinga mugoberera abo abaajeema, babazzaayo nga mukyukidde ku bisinziiro byammwe nemukuba enkyukira nga mufaafaaganiddwa.

150 wew’awo Katonda ye mweyimirize wammwe era yewuyo asinga obulungi okutaasa.

151 Tujja kussa mu mitima gyabo abaajeema entiisa nga balangibwa ebyo bye baawambagatanya ku Katonda asinzibwa, ebyo byatalina bujulizi butuufu bwonna bwe yabissaako. Era obuddo bwabwe gwe muliro, era bubi nnyo obwo obutuuze bwa balyazamanyi.

152 Mazima Katonda yatuukiriza endagaano ye gye yabasuubiza. Jjukira lwe mwabasanjaga olw’okukkiriza kwe. Kyokka bwe mwefootola era ne mukaayanira mu nsonga era ne mujeema oluvannyuma lw’okubalaga bye mwagala. Waliwo abamu mu mmwe abaagala enkomerero. Oluvannyuma n’akyusa emitima gyammwe nemubakuba emigongo nga mudduka nga agenderera okubagezesa. Kyokka mazima yabasonyiwa. Kale Katonda y’awa ebirungi ebingi abakkiriza.

153 Jjukira lwe mwayanguyirira nga teriiyo muntu gwemubagulizaako ate nga omubaka abakoowoola okugendera awamu nabali abali emabega wammwe, olwo n’abasasula okusobola okubalumisa obujiji, sso nga mmwe mubadde muluma obujiji, kibasobozese obutanakuwalira ebyo ebyabasuba wadde ebyo ebyabatuukako. Kale Katonda ye kakensa w’ebyo byemukola.

154 oluvanyuma yassa gyemuli akalembereza, nga mumaze okuluma obujiji, nga kwekuwujjaalako okwabuna ekibinja ekimu mummwe, nga n’ekibinja ekirala kirowooza kunsonga zakyo, nga balowooleza Katonda ebitali bituufu, nga y’endowooza yabatali bagunjufu, nga bebuuza nti: “Abaffe tulinayo ekintu kyonna kyetufuna?” Gwe bategeeze nti, “Mazima ebyo byonna ebifunibwa bya Katonda”. Bakweka mu myoyo gyabwe ebyo byebatakwoleka, bagamba nti: Bwetwalibadde tulina eky’okufuna wano tetwalitirimbuliddwaawo”. Gwe bategeeze nti: Nebwemwalisigadde mu mayumba gammwe, era baalyeyolese abo abaawandiikibwako eky’okuttibwa nga baagaŋŋalamye dda mirambo. Eyo y’ensonga Katonda gyeyasinzirako okugezesa ebiri mu bifuba byammwe era n’okusengejja ebiri mu mitima gyamwe. Kale Katonda yemumanyi w’ebyo ebiri mu bifuba.

155. Mazima abamu mummwe abo abaakuba enkyukira olunaku lwe byasisinkana ebibinja ebibiri (mu lutalo) mazima Ssitaani yabaseereza, nga kiva kwebyo ebimu bye baakola, kyokka Katonda yabasonyiwa. Mazima Katonda ye Musonyiyi Oweekisa.

156 Abange mmwe abakkiriza, temweyisa nga bali abaajeema nebagamba baganda babwe bwe baba bafunye eŋŋendo ez’okutambula oba nga babadde mu lutabaalo nti: “Ssinga abo baali naffe, tebaalifudde era tebaalittiddwa”, olwo ekyo Katonda alyoke akifuule eky’okunnyika mu ddubi emitima gyabwe. Kale Katonda yaawa obulamu era yatta. Kale Katonda byonna bye mukola ye Mulabi wabyo.

157.­­Ate mazima bwe muba muttiddwa nga mulwanirira ekkubo lya Katonda, oba nga mufudde bufi, mazima ekisonyiwo ekiva ewa Katonda n’obusaasizi birungi okusinga ebyo bye bakuŋŋaanya.

158. Era nebwemufa obufi oba okuttibwa mazima eri Katonda mwenna gye muzuukizibwa.

159. Kale okusaasira okuva ewa Katonda kwe kusinzirwa okuba nti obanguyiza. Naye singa wali wakkabyo ow’ettima mu mmeeme, bonna baaligumbulukuse okuva wooli. Kale tononooza nsobi zabwe era basabire okusonyiyibwa (ebibi byabwe) era bafuule abebuuzibwako mu nsonga. Kale bwoba omaliridde okukola ekintu, wesigamire Katonda. Mazima Katonda ayagala abamwesigamira.

160. Bwaba Katonda abataasizza, kale tebaayo abawangula. Ate bwaba obafootodde, kale avaawa oyo abataasa oluvannyuma lw’okufootola kwe! Kale Katonda yekka gwe baba besigamira abakkiriza.

161. Tekigwana eri Nabbi okukumpanya eminyago. Oyo yenna okumpanya eminyago, waakujja n’eminyago gyonna gye yakumpanya ku lunaku lw’amayimirira. Oluvannyuma gusasulwe bulambirira buli mwoyo ebyo bye gwatakabanira era nga gyonna tegiryazamanyizibwa.

162. Abaffe, oyo agoberedde enkola esiimisa Katonda ayinza atya okugerageranyizibwa n’oyo avaawo nga afunye obusungu bwa Katonda era nga obuddo bwe ye ggeyeena? Obwo bwe busingayo obubi mu butuuze.

163. Bali baafuna emitendera gya njawulo ewa Katonda, era Katonda ye Mulabi webyo bye bakola.

164. Mazima Katonda yawa abakkiriza omukisa ogw’enjawulo kubanga yabatumira Nnabbi nga ava mubo, nga abasomera amateeka ge era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo n’amagezi g’obwannabi, sso nga baali olubereberye baggweredde mu bubuze obweyolefu.

165. Lwaki lwe muba mutuukiddwako omutawaana, sso nga mmwe mwabatuusaako omutawaana olubereberye ogwakubisa mu guno emirundi ebiri, mwebuuza nti: ‘Bino bivudde wa?’. Baddemu nti: ‘Ebyo mwe mubyetuusaako”. Mazima Katonda, buli kintu ye Musobozi wakyo.

166. Era ebyo ebyabatuukako olunaku lwe byasisinkana ebibinja ebibiri, kwali kusalawo kwa Katonda nakwekenneenyezaako bakkiriza.

167. Era na kusobozesa abo abannanfuusi okubamanya. Kale baagambibwa nti: ‘Mujje mulwanirire ekkubo lya Katonda oba ssi ekyo mmwe mwennyini okwerwanirira!’ Nebaddamu nti: ‘Ssinga twali okulwana tukumanyi twalibadde tubagoberedde!’ Abo nno baasemberea nnyo okulaga ebikolwa byabwe eby’obujeemu ku lunaku olwo okusinga okulaga ebikolwa eby’obukkiriza. Boogeza emimwa gyabwe ebyo ebitali mu mitima gyabwe. Ate nga Katonda y’asinga okumanya ebyo bye bakweka.

168. Bebo abagamba baganda babwe, nga bbo batudde (tebeetabye mu lutalo) nti: ‘singa baatugondera tebaalittiddwa!’. Basoomooze nti: ‘Kale muwonye emyoyo gyammwe obutatuukibwako kufa oba muli ba mazima!’.

169. Era tosuubirira ddala nti, abo abattirwa mukulwanirira ekkubo lya Katonda bafu. Ekituufu baba balamu, bali wa Mukama Katonda Omulezi wabwe bagabirirwa!’

170. basanyukira ebyo Katonda bya batuusaako, ebimu ku birungi bye, era nga babenyumirizaamu abo abatannabeyungako, abali emabega wabwe, n’ebigambo ebigamba nti: ‘Tewali bwelaliikirivu bubatuukako wadde okuba nga banakuwala.

171. Benyumiriza mu byengera byebafuna ebiva ewa Katonda n’obulungi, n’okuba nga mazima Katonda tasaanyaawo mpeera ya bakkiriza.

172. Abo abaayanukula omulanga ku lwa Katonda n’omubaka oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu ebibalagala. Abo abaalongosa emirimu gyabwe nga bava mu kibinja kyabwe era ne batya Katonda, balina empeera empitirivu obulungi.

173. Abo abantu be baagamba nti: ‘Mazima eriyo abantu abeekunze ne basiisira munfo entongole okubalumba. Mulina okubatya!’ Ekyo bali nekibongera kunywerera ku bukkiriza era ne bagamba nti, ‘Ffe atumalira yekka ya Katonda era yewoomukisa ayeesigamirwa’.

174. Ne baddayo nga bafunye ebyengera ebiva ewa Katonda n’obulungi, tebaatuusibwako kibi, era baagoberera (ekkubo eririmu) okusiima kwa Katonda. Kale Katonda yaalina ebirungi ebiyitirivu.

175. Mazima eyo ye Ssitaani yennyini, etiisa banywanywi bayo. Kale mmwe temugitya, mutye nze nzekka bwe muba muli bakkiriza.

176. Kale tebasaanye ku kunakuwaza abo abanguyiririza okudda mu bujeemu. Mazima tebalinaayo kintu kibi kyebajja kutuusa ku Katonda. Katonda kyayagala bwebutabafissizaawo mugabo (mulungi) ku nkomerero. Era baakufuna ekibonerezo ekiyitirivu.

177. Mazima abo abaagula obujeemu nga bawaddeyo obukkiriza tewali kibi kyebajja kutuusa ku Katonda. Era baakufuna ekibonerezo ekiyitirivu.

178. Era tebalowooleza ddala abo abaajeema nti: ebyo bye tubawa nebeeyagala birungi gyebali. Mazima ekitubibaweesa okweyagala basobole okugundiirira mu bwonoonefu. Era baakufuna ekibonerezo ekinyomooza.

179. Katonda tekimugwaanira kusigaza bakkiriza kwebyo mmwe byemuliko okutuusa lwamala okusengejja ababi nga abajja mu balungi. Era Katonda tekimugwanira ku babaguliza ku byekusifu, wabula Katonda alonda mu babaka be gwayagala (n’amubagulizaako). Kale mukkirize Katonda n’ababaka be. Era bwe mukkiriza n’okutya Katonda, mufuna empeera empitirivu.

180. Era tebalowooleza ddala abo abakodowalira ebyo Katonda bye yabawa nga biva ku bimu ku birungi bye nti: ekyo kiba kirungi gye bali. Mubutuufu kiba kibi gyebali. Bajja kubisibibwa mu bulago, nga biringa ekijogo ky’omuliro, ebyo byonna bye baakodowalira ku lunaku lwenkomerero. Era bya Katonda yekka ebisikirwa by’eggulu n’ensi. Era Katonda ebyo byemukola ye Kakensa wabyo.

181. Mazima Katonda awulidde ekigambo kyabo abaabijweteka nti: ‘Mazima Katonda lukyolo era ffe bagagga!’ Tujja ku kuuma obuwandiike kwebyo bye baayogera, era n’engeri gye baatirimbula ba nnabbi awatali nsonga ntufu, olwo tubalagire nti: ‘Mukombe ku kibonerezo kya ssemwokya.

182. Ekyo kisinziira kwebyo bye gyakulembeza okukola emikono gyammwe. N’okuba nti mazima Katonda ssi mulyazamanyi eri abaddu.

183. Bebo abaalangirira nti: ‘Mazima Katonda yakola naffe endagaano y’obutabaawo Nabbi gwe tukkiriza okujjako nga amaze kututeerawo ekiwebwayo, omuliro gwekyokya. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima baatuuka dda gyemuli ababaka bangi nga nze ssinnajja nga babaleetedde ebyamagero, n’ekyo kyemusabye, ate lwaki mwabatirimbura bwemuba muli ba mazima?

184. Bwe baba bakulimbisizza, mazima engeri eyo gye baalimbisibwamu ababaka bangi abaaliwo olubereberye lwo, abajja n’ebyamagero ne Zabbuli n’ekitabo ekyakaayakamu.

185. Buli mwoyo omulamu gwa kukomba ku kufa. Ate mazima muli ba kusasulibwa mu bujjuvu empeera yammwe olunaku lw’enkomerero. Kale oyo yenna asimattuddwa ku muliro era n’ayingizibwa ejjana, mazima aba aganyuddwa. Era obuwangazi bwensi tebulinaayo kye buli okujjako okweyagalako akatono okuggwawo amangu.

186. Mazima mujja kugezesebwa mu by’obugagga bwammwe nammwe mwennyini, era ojja kuwulira ddala ebiva mu bamu kwabo abaaweebwa ekitabo olubereberye lwo, n’ebiva mu bamu kwabo abaawambagatanya obusamize, nga bigambo bya kusojja bisuffu obungi. Naye bwe mugumiikiriza era nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu kw’ebyo bye muteekwa okwenywezaako.

187. Jjukira Katonda lwe yakola endagaano naabo abaaweebwa ekitabo nti: ‘Muteekwa kyonna okukinnyonnyola abantu, era kizira gyemuli okukikisa! Naye endagaano nebagisuula emabega w’emigongo gyabwe era nebagitunda nga batwalamu eby’omuwendo omutono. Kale bibi nnyo ebyo bye bagula.

188. Tokirowooleza ddala nti abo essanyu lye bafuna nga bawaddeyo ekintu ate nebaagala okuwaanibwa ku bintu bye batakoze, kale tobalowooleza ddala nti waliwo kyebawona ku bibonerezo ebyabategekerwa. Baakufuna ekibonerezo ekiruma.

189. Kale bwa Katonda obwakabaka bweggulu n’ensi. Era Katonda buli kintu ye musobozi wakyo.

190. Mazima okutonda eggulu n’ensi n’enkyukakyuka y’ekiro n’emisana, birimu eby’amagro eby’enkukunala eri abantu abageziwavu.

191. Abo abatendereza Katonda amayimirira n’amatuula n’amagalamira ku mbiriizi zabwe, era nebalowooza nnyo ku butonde bw’eggulu n’ensi nga bwe baloma nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, ebyo bye watonda tekwali kumala biseera! Otukuzibwa Ai Mukama era tukwegayirira otuwonye ekibonerezo ky’omuliro.

192. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima omuntu gwoba oyingizza omuliro, oba mazima omunyoomodde ate nga abajeemu tebalinaayo abataasa.

193. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima twawulira omukoowoozi nga ayita abantu okweyuna obukkiriza, nga agamba nti: ‘Mukkirize Mukama Katonda Omulezi wammwe!’. Naffe twakkiriza, era tukwegayirira Ai Mukama otusonyiwe ebyonoono byaffe era otuteewuluzeeko ebibi byaffe, era otutwale ekaganga nga tuli wamu n’abakozi b’ebirungi.

194. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tukwegayirira otuwe byewatulagaanyisa nga biyita mu babaka bo, era oleme kutufuula banyomoofu ku lunaku lw’enkomerero. Mazima ggwe atayawukana ku bisuubizo’.

195. Kale yayanukula okusaba kwabwe Mukama Katonda Omulezi wabwe nti: ‘Mazima nze, ssirinaayo kyenfula birerya ku mulimu gw’omukozi yenna mummwe, kaabe musajja oba mukyala. Abamu mummwe mutwalibwa kyenkanyi nga abalala. Naye abo abaasenguka nebagobwa mu maka gabwe nebakijjanyizibwa olw’okulwanirira ekkubo lyange, nebalwana nga bwebatta era nga bwebattibwa, mazima nja kukendereza ddala ebibi byabwe, era nja kubayingiriza ddala ejjana ekulukutira wansi wayo emigga, eyo nga y’empeera eva ewa Katonda. Era Katonda y’alina ekisingayo obulungi mu mpeera’.

196. Tekukwenyakwenyeza ddala entambula y’abo abaajeema nga batuuka mu buli kanyomero kansi.

197. Okwo kweyagalako kutono nnyo, oluvannyuma obutuuze bwabwe ye ggeyeena, era kwekwo okuteekerwateekerwa okubi.

198. Kyokka abo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe ba kufuna ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga ba kugisiisiramu lubeerera nga bwebwo obugenyi obuva ewa Katonda. Kale ebyo ebiri ewa Katonda by’ebisinga obulungi nga byategekerwa abakola ebirungi.

199. Ate mazima abamu ku bannannyini kitabo mulimu abo abakkiriza Katonda n’ebyo ebyassibwa gyemuli, n’ebyo ebyassibwa gye bali, nga bagonvu ku lwa Katonda tebaguzisa mateeka ga Katonda bintu bya muwendo mutono. Abo balina empeera yabwe esangibwa ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Mazima Katonda mwangu nnyo mu kubalirira.

200. Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize, era mugumire obuzibu era mugumbire omulabe, era mutye Katonda kibasobozese okuganyulwa.

 [/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *