Skip to content
Home » 34. Saba (Sheba)

34. Saba (Sheba)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

34. ESSUULA: SABA, ‘SHEBA’

Yakkira Makka, Erina Aya 54.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Amatendo amalungi ga Katonda oyo nannyini w’ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi era gage yekka amatendo amalungi ku nkomerero. Era yewuyo Omulamuzi Kakensa.

2. Amanyi ebyo ebikka munsi n’ebyo ebifubutukamu, n’ebyo ebikka nga biva muggulu n’ebyo ebirinnya nga bidda waggulu. Era ye wuyo Ow’okusaasira okw’enjawulo Omusonyiyi.

3. Kale baayogera abo abaajeema nti: ‘Ssi kya kututuukako ekiseera ekivannyuma!’ Ggwe baddemu nti: ‘Wew’awo, Aga Mukama Katonda Omulezi wange kirina okubatuukirako ddala. Oyo ye Mumanyi w’ebikusike. Tabulwako newankubadde (akasirikitu) akazitowa nga akanyikuuli nga kali muggulu wadde munsi newankubadde akasinga obutono kwekyo newankubadde akasinga obunene, okujjako nga kaakakasibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.

4. Alyoke abe nga asasula abo abakkiriza era abaakola ebirungi. Abo nno be bafuna okusonyiyibwa n’okugabirirwa okw’ekitiibwa.

5. Ate abo abatakabanira amateeka gaffe okugalemesa bebo abafuna ekibonerezo ekimu ku bibonerezo ebikakali.

6. Era bamatira abo abaagemulirwa obuyivu ebyo ebyassibwa gyoli nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wo nga gego amazima, era galuŋŋamya okukwata ekkubo ly’oyo Luwangula Atenderezebwa.

7. Era abo abaajeema baabuuza nti: ‘Abaffe tubalagirire omusajja abategeeza nti: bwemuba mukutuddwakutuddwa olukutulwa lwonna, mazima mmwe ate muzzibwawo mu butonde obupya?

8. Abaffe yasalawo kujweteka ku Katonda bya bulimba nandiki alimu kazoole? Wew’awo abo abatakkiriza nkomerero baggwera mu kibonerezo era (baggwera) mu bubuze zzaaya.

9. Abaffe balemeddwa okulaba ebyo ebiri mu maaso gabwe n’ebyo ebiri emabega wabwe, gamba nga eggulu n’ensi? Bwetuba twagadde, tubabuutikiza ettaka oba tubasuulako ekibajjo ekiva muggulu. Mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigiriza buli muddu yenna adda (ewa Katonda).

10. Ate mazima twawa Dawuda okuva gyetuli ebirungi: mwe ensozi mutendereze wamu naye n’ebinyonyi (twabilagira okutendereza wamu ne Dawuda) Era twamugondeza ekyuma

11. Kale weesa ebyambayo by’ekijaasi ebigazi obulungi era gerageranya bulungi ebipimo byabyo mu kubisona era kola ebirungi. Mazima nze byonna bye mukola mbiraba.

12. Era twagondeza Sulaiman empewo nga amakya gayo (esiyagguka olugendo lwa) mwezi mulamba n’olweggulo lwayo mwezi mulamba. Era twamukulukusiza ensulo y’ekikomo ekisaanuufu. Era nga ebimu ku bibinja bya maginni mulimu ago agatakabanira awo mu maaso ge olw’okukkiriza kwa Mukama Katonda Omulezi we. Era eryo lyonna eryewaggula mu go okuva ku kiragiro kyaffe tulikombya ku kibonerezo kya Naddiro.

13. Gamukolera by’ayagala, gamba nga amasinzizo amanene n’ebifananyi ebibumbe n’amatogero agaagejja nga ebidiba n’agatamu amanywevu ggulugulu. Mukole (ebirungi) mwe ab’enju ya Dawuda olw’okusiima (ebibaweebwa) Naye batono nnyo abamu ku baddu bange abasiima.

14. Naye bwe twamulamulira eky’okufa mpawo kyagabagulizaako (amaginni) ku bikwata ku kufa kwe okujjako olukuyege lw’omukiswa nga lulya omuggo gwe (Gwe yali yesigamye) Bwe yamala okwerindiggula ekigwo amaginni gaamatira nti ssinga gaali gamanyi ebyekusifu tegaalitutte kiseera kiwanvu nga gali mu kibonerezo ekiwebuuza.

15. Mazima waaliyo mu (bantu) ba Sheba mumaka gabwe ekyamagero ekiyigiriza. Zaali nsuku (eziri) ku luuyi lw’ebukiika ddyo n’ebukiika kkono. Mulye ebimu ku bigabirirwa bya Mukama Katonda Omulezi wammwe era mu musiime. Eyo y’ensi engimu era (eyagibawa) ye Mukama Katonda Omulezi Omusonyiyi. 16. Naye baasuulayo gwa nnaggamba, bwetutyo twabasindikira mukoka kasiguzi ne tubawanyisizaamu mu nsuku zabwe zombi ensuku (endala) bbiri ezibala eby’okulya ebikaawa n’ekimera kya asiri (Tamarisk plant) n’egimu ku miti gya kirobo emitonotono.

17. Ekyo kye twabasasula olw’engeri gye baajeema. Naye abaffe eriyo betubonereza (mungeri nga eyo) okujjako ba kalibujeemu.

18. Era twassa wakati wabwe n’ebyalo bye twawa emikisa, ebyalo ebirambike obulungi era twagerageranyizaamu eŋŋendo (ez’amabanga agenkanankana). Mubitambuliremu ekiro n’emisana nga muli mirembe.

19. Naye baasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe gafuule okuba agewala amabanga agali wakati w’eŋŋendo zaffe bwebatyo beryazamanya bokka era twabafuula eky’okwogerwako era twabayuzaayuza oluyuzaayuza lwonna. Mazima ekyo mulimu ebyamagero ebiyigiriza abo abasukkirivu mu bugumiikiriza abasukkirivu mu kusiima.

20. Kale mazima abo yabamatiza Ibuliisu (Ssitaani) endowooza ye era baagigoberera okujjako ekibinja ekyabo abakkiriza.

21. Era tewaaliwo ngeri yonna yye (Ibuliisu) gyeyabalinako buyinza okujjako okuba nga tumanya oyo akkiririza mu nkomerero nga ayawulibwa kwoyo eyagifunamu okugibuusabuusa. Era Mukama Katonda Omulezi wo buli kintu ye Mukuumi wakyo.

22. Ggwe bagambe nti: ‘Muwanjagire ebyo byemusuubiriramu nga ojjeeko Katonda. Tewali kye birinako bwa nnannyini ekizitowa nga akanyikuuli ssi muggulu wadde munsi era tebabirinaamu byombi (eggulu n’ensi) bwannannyini bwa wamu era talinaayo (Ye Katonda) nga aviisa mubyo kiyambi kyonna.

23. Era mpawo kuwolereza kugasa waali okujjako okw’oyo gwaba akkiriza. Okutuusiza ddala nga gimaze okuggwamu ensisi emitima gyabwe, (olwo) babuuze nti: ‘Kiki kyayogedde Mukama Katonda Omulezi wammwe?’ Baddemu nti: ‘Mazima mereere’. Era yewuyo Owawaggulu Omugulumivu.

24. Babuuze nti: ‘Ani abagabirira nga ajja muggulu n’ensi? Ggwe ddamu nti ‘Ye Katonda!’. Era mazima ffe oba ssi ekyo mmwe abali ku buluŋŋamu oba ssi ekyo abali mu bubuze obw’olwatu.

25. bategeeze nti: ‘Teriiyo kye mubuuzibwa ku bikwata ku nsobi zaffe era naffe teriiyo kye tubuuzibwa ku bikwata kwebyo bye mukola’.

26. Bategeeze nti: ‘Wa kutukuŋŋaanya Mukama Katonda Omulezi waffe oluvannyuma asalewo eggoye wakati waffe n’amazima era yewuyo Omusukkirivu w’okutawulula Omumanyi.

27. Basoomooze nti: ‘Mundage ebyo bye mwamuyungako okuba n’obwannannyini obwawamu’. Ekyo kaafuuwe. Ekituufu ye wuyo Katonda Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

28. Era te twakutuma (lwa nsonga ndala) okujjako okukusindika eri abantu bonna nga obunyisa amawulire ag’essanyu era nga olabula, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi.

29. Kale babuuza nti: ‘Kituuka ddi ekyo ekisuubizo bwe muba abaamazima?’

30. Baddemu nti: ‘Mwayawulirwa entuko z’olunaku lwe mutakeereyesebwa ssaawa yonna era lwemutayanguyizibwa.

31. Ate baayogera abo abaajeema nti: ‘Tetujja kukkiriza Qur’an eyo newankubadde ebyo byalina’. Naye ssinga werolera bwe baba abalyazamanyi basimbibwa mu maaso ga Mukama Katonda Omulezi wabwe nga bawanyisiganya abamu mubo ne bannaabwe ebigambo ebisongovu, nga bali abatende (abaalemesebwa okubaako kye basalawo) bagamba abo ba ssenkulu nti: ‘Ssinga temwali mmwe, ddala twalibadde bakkiriza!’.

32. Abo ba ssenkulu ne babuuza bali abatende nti: ‘Abaffe twali ffe tubawugudde ddi nga tubajja ku buluŋŋamu nga bumaze okubatuukako?’ Wew’awo mmwe mwali abonoonefu.

33. Ate abo abatende ne bategeeza bali ba ssenkulu nti: ‘Mazima (ezo) nkwe ez’(ekobaanibwanga) ekiro n’emisana, mu male mutulagire okujeemera Katonda, tube nga tumuyimbagatanyako ba lubaale’. Olwo bonna baakisa okw’ejjusa bwe baalaba ekibonerezo. Era twakoliga enjegere z’ebyuma mu nsingo zaabo abaajeema. Abaffe eriyo kye basasulwa ekirala okujjako ebyo bye baali bakola?

34. Era tetutumiranga kyalo mubaka yenna okujjako nga bassenkaggale bakyo bagamba nti: ‘Mazima ffe ebyo bye mutumiddwa nabyo tubiwakanya’.

35. Era ne bagamba nti: ‘Ffe tusinza enkuyannja y’emmaali n’abaana era tetuli ffe ba kubonerezebwa!’.

36. Baddemu nti: ‘Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ayanjuluza enfuna eri oyo gwayagala era agitugga, wabula abasinga obungi abantu tebamanyi’.

37. Era tekisoboka kuba nti emmaali yammwe wadde abaana bammwe byebyo ebibasembeza gyetuli kumwanjo, okujjako oyo aba yakkiriza era eyakola ebirungi. Kale bebo abasasulwa empeera enkubiseemu (emirundi n’emirundi) olw’ebyo bye baakola era bebo ab’okubeera mu bisenge (by’ejjana) nga bali mu mirembe.

38. Ate abo abakolerera amateeka gaffe okugalemesa bebo abokuba nti, mu kibonerezo gye banjulwa.

39. Bategeeze nti: ‘Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ayanjuluza enfuna y’oyo gwayagala mu baddu be era agimukendereza. Era ekintu kyonna kye muba muwaddeyo, ye wuyo akibawanyisizaamu (ekirala). Era yewuyo esinga obulungi mu bagabi.

40. Era (jjukira) olunaku lw’abakuŋŋanyizaako mwenna oluvannyuma n’abuuza ba Malaika nti: ‘Abaffe abo baali mmwe be basinza?

41. Nebamuddamu nti: ‘Okutukuzibwa kube Gyoli Ai Mukama, Ggwe Ddunda waffe okuleka bbo. Wew’awo baali basinza maginni’. Abasinga obungi mu kibinja kyabwe go gebakkiriza.

42. Kale olwaleero teriiyo kye basobola kutuusa abamu kummwe eri bannaabwe nga kya mugaso newankubadde ekya kabi, era tuliba tulagira abo abaalyazamanya nti: ‘Mulege ku kibonerezo ky’omuliro gwe mwali mulimbisa’.

43. Era bwe gabasomerwa amateeka gaffe amanjulukufu bagamba nti: ‘Tewali ngeri ndala oyo gyatwalibwamu okujjako okuba omusajja ayagala okubawugula nga abajja kwebyo bye baali basinza ba kitammwe’. Era ne bagamba nti: ‘Tewali ngeri ndala ebyo gyebitwalibwamu okujjako okuba obulimba obujweteke’. Era baayogerera abo abaajeema ebikwata ku mazima, bwe gaamala okubatuukako nti: ‘Tewali ngeri ndala ebyo gye bitwalibwamu okujjako okuba eddogo elyeyolefu’.

44. Era tetubaweerezangayo kitabo kye basoma era tetubatumirangayo nga ggwe tonnabaawo mulabuzi yenna.

45. Era bali abaabasooka baalimbisa, ate bano tebaatuuka wadde ekimu ekyekkumi eky’ebyo bye twawa bali, naye baalimbisa ababaka bange, kale ngeri ki gye bwalimu obukyayi bwange?

46. Bagambe nti: ‘Mazima ekyo kyembabuulirira kiri kimu kyokka! Kwe kuva ku by’okwesimbawo ku lwa Katonda nga muli babiri, n’omu, oluvannyuma ne mufumintiriza: ‘Lya nnaba ki eryo elyatuuka ku mukwano gwammwe mu bika by’eddalu?’ Mazima engeri yokka yye gyatwalibwamu kwe kuba omulabuzi gyemuli ow’ebyo ebiri obulindala okubatuukako nga bibonerezo ebikakali.

47. Bagambe nti: ‘Bwewabaawo kyemba mbasabye nga mpeera, kale eyo mugitwale, teriiyo wenfuna mpeera walala okujjako ewa Katonda. Era yewuyo aliwo ku buli kintu nga Mujulizi.

48. Bagambe nti: ‘Mazima Mukama Katonda Omulezi wange g’asindika ge mazima gokka, ye Mumanyi w’ebyama’.

49. Bagambe nti: ‘Kimaze okutuuka ekituufu, era tewali kye bitandikawo eby’obukyamu era tewali kye bizzaawo.

50. Bagambe nti: ‘Bwemba mbuze olwo mazima ekibi ky’okubula kiddira nze, era bwemba nnuŋŋamye, ekyo kisinzira kwebyo by’ambikkulira Mukama Katonda Omulezi wange. Mazima yewuyo Omuwulizi Ow’okulusegere’.

51. Naye ssinga werolera (embera yabwe) we bafunira ensisi, kale tewabaayo kusimattuka kwonna era ba kutwalibwa nga bajjibwa mu kifo eky’okumpi.

52. Olwo nebawanjaga nti: ‘Twamukkiriza dda!’ Naye basobola batya okuba nga baabufuna (obukkiriza) mu kiseera ekisembayo.

53. Nga mazima baamujeemera dda olubereberye, nga bamala gayogera ku byekusifu nga basinzira bunayira (mukulowooza).

54. Olwo ne wasimbibwawo omuziziko wakati wabwe n’ebyo bye begomba nga bwe kyakolebwa ku banywanyi babwe olubereberye. Mazima bebo abalimu obutakakasa babuusabuusa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *