Skip to content
Home » 61. Al – Saff (Ennyiriri)

61. Al – Saff (Ennyiriri)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

61. ESSUULA: ASSWAFF, ENNYIRIRI

Yakkira Madiina. Erina Aya 14.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bitenderezza ku lwa Katonda ebyo ebiri muggulu n’ebyo ebiri munsi era ye wuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

2. Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera bye mutatuukiriza.

3. Eyo yensonga esinga okuleeta Katonda obusungu, okuba nga mwogera bye mutatuukiriza.

4. Mazima Katonda ayagala nnyo abo abalwanirira ekkubo lye nga (balwana) bali mu nnyiriri nga bafaanana enkokoto.

5. Kale jjukira Musa lwe yabuuza abantu be nti: ‘Abange mmwe abantu bange, lwaki munkijjanya ate nga ddala mukimanyi nti ndi mubaka wa Katonda gyemuli?’ Kale bwe baasalawo okwewugula, Katonda yawugulira ddala emitima gyabwe. Era Katonda taluŋŋamya bantu bonoonyi.

6. Jjukira lwe yalangirira Isa mutabani wa Mariam nti: ‘Abange mmwe abaana ba Israil, mazima ndi mubaka wa Katonda gyemuli okukakasa ebyo ebiriwo, ebiri mu Tawuleeti era nga ndeta amawulire amalungi, ag’omubaka wa Katonda ajja oluvannyuma lwange, erinnya lye (ayitibwa) Ahmad!’ Naye bwe gaabatuukako amazima, bassa kimu nti: ‘Eryo ly’eddogo eryeyolefu!’.

7. Kale ani kasobeza asinga oyo ajwetese ku Katonda obulimba, awamu n’okuba nti ayitibwa okudda eri obusiraamu (okwewaayo mu mateeka ga Katonda)? Kale Katonda taluŋŋamya bantu balyazamanyi.

8. Kye baagala ddala kwe kuzikiza ekitangala kya Katonda n’emimwa gyabwe sso nga Katonda alina okujjuza ekitangala kye, ne bwe baba bakitamiddwa abajeemu.

9. Yewuyo eyatuma Omubaka we n’obuluŋŋamu n’eddiini eya mazima abe nga agyolesa okusukkuluma amadiini gonna (amalala) ne bwe baba bakitamiddwa abasamize.

10. Abange mmwe abakkiriza, Abaffe mbalagirire eky’obusuubuzi eky’okubawonya ekibonerezo ekiruma?

11. Mulina okukkiriza Katonda n’omubaka we era mube nga mulwanirira ekkubo lya Katonda nga mweyambisa emmaali yammwe n’obulamu bwammwe. Ekyo mmwe ky’ekisinga obulungi gye muli ssinga mubadde mumanyi.

12. Abasonyiwa ebibi byammwe n’okubayingiza Ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga n’okubawa amaka ekkula mu jjana (eyitibwa) Aden: (obutuuze kiwamirembe). Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

13. N’ekirala kye mwettanira kwe kutaasa okuva ewa Katonda n’obuwanguzi obusembedde. Kale tuusa amawulire amalungi (Ago) ku bakkiriza.

14. Abange mmwe abakkiriza, mweweyo okutaasa eddiini ku lwa Katonda okufaananako nga Isa mutabani wa Mariam bwe yabuuza nti: ‘Baliwa abantasa okukwata ekkubo eridda eri Katonda?’ Abayigirizwa ne baddamu nti: ‘Ffe twewaddeyo okutaasa (ekkubo eridda ewa) Katonda’. Bwekityo kyakkiriza ekibinja ekimu ku baana ba Israil era kyawakanya ekibinja (ekirala), olwo netwongera amaanyi abo abakkiriza okusinga abalabe babwe, ne bakeesa enkya nga bawangudde.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *