Skip to content
Home » 46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)

46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all” global_module=”622″][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

46.ESSUULA: AHQAF, EMBIBIRO Z’OMUSENYU.

Yakkira Makkah, Erina Aya 35.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha Mim

2. Kuno kwe kussa ekitabo ekiva ewa Katonda Luwangula Omulamuzi Kalimgezi.

3. Tewali kyatutondesa ggulu nansi n’ebyo ebiri wakati wabyo okujjako ensonga entufu n’okutuukiriza ekiseera ekigere. Naye abo abaajeemera ebyo ebyabalabulwa baawuguka.

4. Babuuze nti: ‘Abaffe mwetegerezza ebyo bye musinza nga ojjeeko Katonda? Mundageeyo ekintu ekyo kye byatonda munsi. Nnandiki birina obwannannyini bwonna okwawamu mu ggulu? Mundetereyo ekitabo ekyasooka kino oba ssi ekyo ensigalira y’obuyivu, bwe muba mukakasa.

5. Kale wa nnaba ki (oyo) eyabula okusinga oyo asinza ebitali Katonda (ebyo) ebitamwanukula okutuusa ku lunaku lw’amayimirira era nga okusinza kwabwe tebikufaako.

6. Ate bwe baba bakuŋŋanyiziddwa abantu, (ebyo ebisinzibwa) bibafuukira birabe byabwe era nga bibadde okusinza kwabwe bikuwakanya.

7. Era bwegaba gabasomeddwa amateeka gaffe amanjulukufu, olwo abo abaajeema ne boogerera amazima, nga gamaze okubatuukako nti: ‘Eryo ly’eddogo eryeyolefu!’.

8. Oba ssi ekyo babijweteka nti: ‘Yagigunja bugunji!’ Ggwe baddemu nti: ‘Bwemba nagigunja bugunji, tewali kyemuyinza kunneeyimirira ewa Katonda ku kintu kyonna. Yewuuyo asinga okumanya bye mwemaliramu. Yewuuyo eyeemalirira okuba omujulizi wakati wange nammwe. Era yewuuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

9. Bategeze nti: ‘Ssinze musaale mu babaka (bonna abaaliwo) era ssimanyi biyinza kuntusibwako newankubadde (okutuusibwa ku) mmwe. Mpawo kirala kyengoberera okujjako obubaka obumbikkulirwa, era ssirina ngeri ndala gyentwalibwamu okujjako okuba omulabuzi owolwatu’.

10. Babuuze nti: ‘Mulaba mutya bwe kiba nga (Qur’an – Ssemusobwa) eva wa Katonda ate nga mmwe mugiwakanyizza era n’aba nga agiwaddeko obujulizi omujulizi ava mu baana ba Isirail obugifaanana era nga yagikkiriza nga mmwe mwekuluntazza?’ Mazima Katonda taluŋŋamya bantu balyazamanyi.

11. Era abo abaajeema bagamba bano abakkiriza nti: ‘Ssinga byali birungi (ebyo bye yaleeta, okugeza Qur’an n’enjigiriza y’obwannabbi) tebanditusoose ku byeyuna. Naye kavuna baalemwa okubyeyambisa okuluŋŋama, olwo bajja kukonjera nti: ‘Obwo bwe bulimba bunnansangwa.

12. Sso nga olubereberye lw’ebyo eriyo ekitabo kya Musa nga bwebukulembeze n’okusaasira, era nakino ekitabo (Qur’an) kinyweza amazima (g’ekitabo ekyakulembera) nga kya lulimi luwalabu, olw’okulabula abo abaajeema n’okusanyusa abo abalongofu.

13. Mazima abo abaayogera nti: ‘Mukama Katonda Omulezi waffe ye Allah asinzibwa oluvannyuma nebewaayo mubutuukirivu, tewali bweraliikirivu bwa kubatuusibwako era ssi ba kunakuwala.

14. Beebo ab’okubeera mu jjana nga ssi baakugivaamu nga y’empeera ey’ebyo bye baali bakola.

15. Kale twalaamira omuntu okuyisa abazadde obulungi, maama we yamuwanirira mu buwaze era yamuzaala mubuwaze, ate nga okuwanirira kwe n’okujjibwa kwe ku mabeere ly’ebbanga ery’emyezi (amakumi) asatu. Bwatuuka okubeera omuntu omukulu nga awezezza emyaka (amakumi) ana, asaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange mbagulizaako ebinsobozesa okusiima ebyengera byo bye wangemulira n’ebyo bye wagemulira bazadde bange era mbe nga nkola ebirungi by’osiima, era onyweze kulwange embera y’obulongofu mu bazzukulu bange. Mazima nze nneenenyezza gyoli era mazima nze ndi mwabo (abasiraamu) abewaayo mu mateeka ga Katonda. 16. Beebo be tukkiriza ekisinga obulungi kwebyo bye baakola era tubasonyiwa ebibi byabwe, (beebo) abeeyunga ku b’okubeera mujjana. Nga kye kisuubizo ekyamazima ekyo kye babadde basuubizibwa.

17. Ate oyo eyakaayuukira bazadde be nti: ‘Kabulaŋŋana mmwe mwembi okuba abazadde (bange), kiki ekibasuubizisa nti ndi waakuzuukira so nga gyaggwawo dda emirembe nfafa egyansoka, kyokka nga (bazadde be) bombi bawanjagira Katonda (amusobozese okuluŋŋama, nga bwe bategeeza omwana nti): ‘Nga zikusanze, olina okukkiriza, mazima ekisuubizo kya Katonda kituufu!’ Kyokka ye (omwana) naddamu nti: ‘Tewali ngeri ndala gye bitwalibwamu ebyo okujjako okubeera enfumo z’abo abaasooka!’.

18. Beebo be kyakakatako ekigambo (ky’okubonerezebwa) ekyasalibwawo mu mirembe egyayita olubereberye lwabwe egya maginni n’abantu. Mazima beebo abaali mu kufaafaagana.

19. Era buli mulembe gulina amadaala (amaawufu) mwebyo bye gwakola era waakubasasulira ddala bulambirira (empeera ya) emirimu gyabwe nga bonna tewali alyazamanyizibwa.

20. Ate (jukira) olunaku mwe banjulirwa abo abaajeema awali omuliro (nebabuuzibwa nti:) ‘Abaffe mumazizzaawo ebirungi byammwe (bye mubadde nabyo) mu bulamu bwammwe obw’ensi era mumaze okubyeyagaliramu? Kale olwaleero mulina okusasulwa ekibonerezo ekiweebuuza nga mulangibwa engeri gye mubadde mwekuza munsi mu bitali bituufu n’olw’engeri gye mubadde mwonoona’.

21. Era jjukira (ekyafaayo kya) muganda wa Aad, awo lwe yalabula abantu be (mu kifo) awali embibiro z’omusenu, ate nga mazima kwaliwo dda okulabula kungi okwomukiseera kye n’okw’oluvannyuma lwe (okutegeeza) nti: ‘Mazima mwewale okusinza ekirala okujjako Allah Katonda asinzibwa. Mazima nze mberaliikirirako ekibonerezo ky’olunaku Ssewannaku.’

22. Baamubuuza nti: ‘Abaffe ekikuleese gyetuli oyagala ku tuwugula tuve ku bisinzibwa byaffe? Kale tutuuseeko ebyo by’otulaganyisa bwoba oli mwabo abakakasa byoyogera.’

23. Yabaddamu nti: ‘Mazima okumanya (ebiseera mwe bituukira) kuli wa Katonda ate nze kyembatuusaako ky’ekyo (kyokka) ekyantumibwa, wabula mazima nze mbalaba nga mmwe bantu abatategeera’.

24. Naye bwe baabiraba (ebire omuli ebibonerezo) nga biseeyeeya byolekedde ebiwonvu byabwe, baagamba nti: ‘Ebyo ebiseeyeeya bituleetera nkuba!’ Sso nga kyekyo (ekibonerezo) kye mubadde musabisa akapapirizo, nga ye kikuŋŋunta ajjudde ebibonerezo ebiruma.

25. Nga asaanyaawo buli kintu nga asinzira ku kiragiro kya Mukama Katonda Omulezi we. Bwebatyo baakeesa nga tewali kirabibwa (mu bya bugagga byabwe) okujjako amaka gabwe, eyo yengeri gye tusasula abantu aboonoonyi.

26. Era mazima twabanyweza mwebyo bye twabasobozesa okunywereramu, era twabassaako amatu n’amaaso n’emitima, naye tewali kye kwabagasa okuwulira kwabwe wadde okulaba kwabwe wadde emitima gyabwe ku kintu kyonna, okusinzira engeri gye baali bawakanya amateeka ga Katonda, bwebityo nebibatuukako ebyo (ebibonerezo) bye baali baŋoola.

27. Ate mazima twazikiriza ebyalo ebyabebungulula era twabalaga eby’okulabirako ebyanjulukufu basobole okweddako.

28. Kale balemererwa lwaki okubataasa abo (ba lubaale) be baayimbagatanya nga baleseewo Allah, nebabafuula abokumwanjo abasinzibwa? Wew’awo baababulako, era obwo bwe bulimba bwabwe n’ebyo (ebirala) bye baali bajweteka.

29. Ate Jjukira lwe twaleeta gyoli akabinja ka Maginni nga gawuliriza Qur’an (Semusomwa), gasembera w’esomerwa, gagamba nti: ‘Musiriikirire!’, bwe yamalirizibwa okusomwa, gaddayo eri gannaago n’obubaka obulabula.

30. Gaategeeza (gannaago) nti: ‘Abange mwe bannaffe, mazima ffe tuwulirizza ekitabo ekyassibwa oluvannyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo byalina, nga kiluŋŋamya okudda ku mazima n’okukwata ekkubo eggolokofu.

31. Abange mmwe bannaffe, mwanukule oyo akoowoola okudda eri Katonda era mu mukkirize, abe nga (Katonda) abasonyiwa ebimu ku byonoono byammwe n’okubawonya ebimu ku bibonerezo ebikakali.

32. Ate oyo alemwa okwanukula (oyo) akoowoola okudda eri Katonda tewali kyayinza kulemesa (Mukama) butakimutuusaako munsi era talinaayo nga ojjeeko Katonda bakuumi bonna’. Beebo abaggwera mu bubuze obweyolefu.

33. Abaffe (abo) balemeddwa okwerolera eky’okuba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu n’ensi era nga teyafuna bukoowu mu kubitonda, asobolera ddala okulamusa abafu? Wew’awo! y’Oyo Omusobozi wa buli kintu.

34. Naye olunaku lwe banjulwa abo abaajeema mu maaso g’omuliro: ‘Abaffe era ago ssi geemazima?’ Nebaddamu nti: ‘Wew’awo, Aga Mukama Katonda Omulezi waffe!’ N’abategeeza nti: ‘Kale mulege ku kibonerezo olw’ebyo bye mubadde muwakanya’.

35. Kale ggwe nywerera ku bugumiikiriza nga bwe baagumiikirizza (abo) abanywevu ggulugulu abamu ku babaka era topapirira kubasabira (bibonerezo). Embera yabwe (gye balibeeramu) ku lunaku lwe babiraba baakuba nga abatamazeeyo (emagombe) kiseera kiwanvu okujjako essaawa emu mu biseera eby’emisana! Okwo kwe kutuukiriza obubaka! Abaffe eriyo abazikirizibwa abalala okujjako abantu aboonoonyi?

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *