Skip to content
Home » 23. Al – Mumimun (Abakkiriza)

23. Al – Mumimun (Abakkiriza)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(23) ESSUULA: AL-MUMINUN, ‘ABAKKIRIZA’

Yakkira Makka, Erina Aya 118

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

 

1. Mazima besiimye abakkiriza.

2. Abo ababa mu sswala zabwe nga batya Katonda.

3. Era bebo ababa nga eby’obutaliimu babyewala.

4. Era bebo ababa nga e Zaka bawaayo.

5. Era bebo ababa nga ensonyi zabwe bazikuuma butiribiri (obutatuukibwako muntu yenna).

6. Okujjako eri bakyala babwe oba abo begifuga emikono gyabwe egyaddyo, kubanga mazima abo tebaliiko kinenyo.

7. Kale oyo aba abuuse ensalo z’ebyo, nga bebo bakyewaggula.

8. Era (abesiimye) bebo ababa nga obwesige bwabwe n’endagaano zabwe babikuuma butiribiri.

9. Era bebo ababa nga esswala zabwe bazeekuuma.

10. Abo nno be bafuna obusika.

11. Abo abasikira Firidawusi (olusuku lu nnabibala) nga mwe babeera olubeerera.

12. Kale mazima twatonda omuntu okuva mu nkulungwa y’ebbumba eggonvu.

13. Oluvannyuma twamufuula amazzi g’ekisajja amawummuze mubutuulo obugumu.

14. Oluvannyuma ne tutonda mu mazzi g’ekisajja ekisaayisaayi, era netutonda mu kisaayisaayi ekinyama, era ne tutonda mu kinyama amagumba olwo ne twambaza amagumba ennyama oluvanyuma ne tumusibulira entonda endala. Atukuzibwe Katonda asinzibwa Allah (oyo) asingayo obulungi mu batonzi.

15. Oluvannyuma ebyo nga biwedde mubeerera ddala bafu.

16. Oluvannyuma ku lunaku lw’amayimirira muzuukizibwa.

17. Ate mazima twatondera waggulu wammwe emiko musanvu, bwetutyo netutabaako kitonde kyonna kye tulagajjalira.

18. Era twassa okuva muggulu amazzi nga ga kipimo ne tugafunira obutuuze munsi, era mazima ffe eky’okugajjawo ddala tusobola.

19. Kale twabasibulira nga tugeyambisa amalimiro g’emitende n’emizabibu, mubifunamu amatunda nkuyanja era by’ebyo (Amatunda n’amazzi) bye mulyako.

20. N’omuti (Omuzaituni) ogumera ku lusozi Sinai gufulumya omuzigo n’enva eri abo ababirya.

21. Ate mazima mulina munsolo eky’okuyigirako. Tubanywesa ebimu kwebyo ebiva mu mbuto zabyo era mu bifunamu emigaso nfafa ate ebimu kubyo byemulya.

22. Era ebyo, wamu n’amaato kwe mukongojjerwa.

23. Kale mazima twatuma Nuhu mu bantu be n’abagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange musinze Katonda asinzibwa Allah temulinaayo musinzibwa mulala atali Yye. Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?’

24. Bwebatyo abakungu abo abaajeema nga beebamu ku bantu be baagamba nti: ‘Tewali ngeri ndala oyo gyatwalibwamu okujjako okuba omuntu atalina njawulo nammwe, ayagala kubasukkuluma, era ssinga Katonda yayagala (kubaako gwatuma) yaalitumye ba Malaika, ekyo tetukiwulirangako mu bajjajjaffe abaasooka.

25. Tewali ngeri ndala oyo gyabalibwamu okujjako okuba omusajja omuzoole, mwe mumulembereze okutuusa ekiseera lwe kinaggwaako’. (eddalu lye ne lyeyerula)

26. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange ntasa olw’ebyo bye barimbisizza’.

27. Bwetutyo twamubikkulira obubaka obumulagira nti: ‘Bajja eryato nga oli mu bukuumi bwaffe n’okulagirira kwaffe, era bwe kuba kutuuse okusalawo kwaffe nga ettale lifukumuse amazzi, olwo nga oyingizaamu (mulyato) buli kisajja nakikazi emigogo ebiri, wamu n’abantu bo, nga ojjeeko oyo eyamala edda okusalirwawo ekigambo, (ky’okuzikirira) nga yomu ku bali. Era toyogeranya nange ebikwata ku bali abaajeema, mazima bonna ba kuzikirizibwa.

28, Kale bwoba okkalidde ggwe ne booli nabo kulyato, nga otendereza nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda oyo eyatuwonya okutujja mu bantu abajeemu’.

29. Era saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nsomosa kuttala ery’omukisa, era ye ggwe asingayo obulungi okusomosa’.

30. Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza, era mazima twakiteekawo nga kigezo.

31. Oluvannyuma twasibulayo nga bali baweddewo omulembe omulala.

32. Era twabatumamu omubaka nga ava mubo, okubategeeza nti: ‘Musinze Mukama Katonda Allah asinzibwa, temulinaayo nga ojjeeko Yye musinzibwa mulala. Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?

33. Bwebatyo abakungu abo abaajeema nga bebamu ku bantu be era abaalimbisa olusisinkana lw’enkomerero, era nga twabagaziyiriza eby’enfuna munsi, baagamba nti: ‘Tewali ngeri ndala oyo gyatwalibwamu okujjako okuba omuntu atalina njawulo nammwe, alya kwebyo nammwe bye mulyako era anywa kwebyo nammwe bye munywako.’

34. Era bwe musalawo okugondera omuntu atalina njawulo nammwe, mazima mmwe muba mufaafaaganiddwa.

35. Abaffe abasuubiza nti, mazima bwe muba mwafadda nga mwafuuka ettaka n’amagufa, olwo ate mbu mazima mujjibwayo (muntaana zammwe nga muli balamu?).

36. Kiri wala nnyo kiri wala nnyo ekyo kyemusuubizibwa.

37. Mpawo kiriwo nga ojjeeko obuwangazi bwaffe obw’okunsi, bwe tufiiramu (abamu) era bwetuwangaliramu, era mpawo kuffe wa kuzuukizibwa.

38. Tewali ngeri ndala oyo gyabalibwamu okujjako okubeera omusajja ajwetese ku Katonda obulimba era tetuyinza ffe kumukkiriza.

39. Yasaba nti, Ai Mukama Katonda Omulezi wange ntasa olw’ebyo bye bannimbisizza.

40. Yaddamu nti: ‘Oluvannyuma lw’akaseera katono mazima ba kukeesa nga bejjusizza.

41. Kale kwabatuukako okubwatuka mu mazima, era bonna twabafuula kasasiro wa mukoka. Kale kabulaŋŋana abantu abajeemu.

42. Oluvannyuma twasibulayo nga bali baweddewo omulembe omulala.

43. Teriiyo ku papiriza mulembe gwonna kutuuka ku ntuko zagwo era teriiyo kulindiriza.

44. Oluvannyuma twatuma ababaka baffe muddiŋŋanwa. Buli lwe yagatuukangamu (omulembe) omubaka wagwo gwamulimbisa. Bwetutyo twagobereza (emirembe) egimu ku ginnaagyo (emirala) era twagifuula egy’okwogerwako obwogerwa. Kale kabulaŋŋana abantu abatakkiriza.

45. Oluvannyuma twatuma Musa ne muganda we Haruna (nga tubakwasizza) n’ebyamagero byaffe n’obukulembeze ebyeyolefu.

46. Okugenda eri Firawo n’abakungu be. Kyokka bonna bekuza era baali bantu abetwalira waggulu.

47. Kale bebuuza nti: ‘Abaffe tusobola okukkiriza abantu ababiri abatalina njawulo naffe, awamu n’okuba nti abantu babwe be baddu baffe?’

48. Bwebatyo (abantu ba Firawo) baabalimbisa bombi (ababaka) era kyabaviirako okuba abamu kwabo abaazikirizibwa.

49. Kale mazima twawa Musa ekitabo kibasobozese okuluŋŋama.

50. Era twassaawo mutabani wa Mariam ne maama we okubeera ekyamagero ekiyigirwako era twabafunira obutuuze munsi ey’obutunnumba ejjudde emirembe n’amazzi agakulukuta.

51, Abange mwe ababaka, mulye ebimu ku birungi era mukole ebirungi, mazima byonna (ebyo) byemukola nze Mumanyi.

52. Era mazima guno omulembe gwammwe mulembe gumu era Nze Mukama Katonda Omulezi wammwe, kale mutye Nze nzekka.

53. Naye baawagula mu biwagu ensonga zabwe eziri wakati wabwe, buli kibinja kye kirina (ekiwagu) kyekisanyukira.

54. Kale ggwe baleke mu kuwunga kwabwe okutuusa ekiseera (kyabwe) wekiggwerako.

55. Abaffe basuubira nti mazima (enkuyanja ya) ebyo bye tubawa eby’emmaali n’abaana.

56. Tubanguyiza kubawa birungi? Wew’awo mpawo kye bategeera.

57. Mazima abo ababa nga ensonga y’okutya Mukama Katonda Omulezi wabwe bekuuma.

58. Era abo ababa nga amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe bakkiriza.

59. Era abo ababa nga Mukama Katonda Omulezi wabwe tebamugattikako.

60. Era abo abawaayo kw’ebyo bye baweebwa nga emitima gyabwe mitekemufu olw’okuba nga mazima bbo ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe gye badda.

61. Bebo abeeyuna (mu kukola) ebirungi era bebo ababivuganyamu.

62. Era tetuwaliriza mwoyo (kintu kyonna) okujjako ekiri mu busobozi bwagwo, era tulina ekitabo ekyatula amazima. Era bonna mpawo balyazamanyizibwa.

63. Mazima emitima gya bali (Abajeemu) giri mu buwugufu obwesamba kino (ekitabo) era balinayo emirimu (emirala) egitenkana egyo bbo gyebakola.

64. Okutuusa lwetuba tugombye obwala mu babinojjo babwe abeyagazi n’(okubatuusaako) ekibonerezo, ne besanga nga bakuba ebiwoobe.

65. Mukomye okukuba ebiwoobe olwaleero, mazima yemmwe abaabulwayo okuva gyetuli okutaasibwa.

66. Mazima gabadde amateeka gange gabasomerwa naye mubadde ebisinziro byammwe kwe mukyukira (nemudda emabega).

67. Nga mwekuza olw’okuba yyo (ennyumba ey’emizizo) nga mukuŋŋanye ekiro okusala entotto, nga mutyoboola (Qur’an)

68. Abaffe balemeddwa okwekkaanya ekigambo, (kya Qur’an) nandiki kibatuuseeko (okuva mu Qur’an) ekyo ekitatukanga ku bakitaabwe abaasooka?

69. Nandiki baalemererwa okutegeera omubaka wabwe bwebatyo nebasalawo okumwegaana?

70. Nandiki babijweteka nti, alimu akazoole?’ Wew’awo yabatuusaako amazima naye abasing obungi mubo amazima bagatamwa.

71. Ate ssinga amazima ge gagoberera obwagazi bwabwe, byalyonoonese eggulu n’ensi n’abo ababirimu. Kyokka twabatuusaako endyowi yabwe bwebatyo nebaba nga endyowi bagikubye amabega.

72. Nandiki (balowooza nti) olina kubasaba mpeera? Ate nga empeera ya Mukama Katonda Omulezi wo y’esinga obulungi. Era yewuyo asinga obulungi mu bagabi.

73. Era mazima ggwe kyolina okukola kwe kubakoowoola okudda ku kkubo eggolokofu.

74. Kyokka mazima bali abatakkiriza nkomerero, ekkubo baba baliwugukako buwugusi.

75. Naye ssinga twabasaasira era nga twajjawo akacwano kebaalimu balyeyongedde obubuze bwabwe kubuyengetaniramu.

76. Ate mazima twabakangavvusisa ekibonerezo ekikakali naye baalema okwetoowaliza Mukama Katonda Omulezi wabwe era nga tebaliimu kutya kwonna.

77. Naye bwe twatuusa okubaggulirawo omulyango ogujjudde ebibonerezo ebisukkirivu olwo nebaba nga babiwuliriramu (ebibonerezo) ennaku okuzaama.

78. Kale yoyo eyabasibulira okuwulira n’okulaba n’okutegeera, kyokka bitono nnyo bye musiima.

79. Era yoyo eyabasibula nga abajja munsi era gyali gyemukuŋŋanyizibwa.

80. Era yoyo alamusa era afiisa era y’avunanyizibwako enkyukakyuka y’ekiro n’emisana. Abaffe mubuzeemu akategeera?

81. Wew’awo baayogera (abo) ekifaanana kiri (bali) kye baayogera.

82. Beebuuza nti: ‘Abaffe bwe tuba tufudde era nga tufuuse ettaka n’amagufa, abaffe tufunayo nate okuzuukizibwa?’

83. Mazima twalaganyisibwa ffe ne bakitaffe ebyo olubereberye. Mazima teriiyo ngeri ndala ebyo gye bitwalibwamu okujjako okuba enfumo z’abaasooka.

84. Ggwe babuuze nti: ‘Nyiniyo yekka yaani ensi n’abo abagirimu bwemuba mumanyi?’

85. Bajja kuddamu nti: ‘Ya Katonda asinzibwa Allah’. Babuuze nti: ‘Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?’.

86. Babuuze nti: ‘Ani Mukama Katonda Omulezi w’eggulu omusanvu era Mukama Katonda Omulezi wa Nnamulondo obwaguuga?’

87. Bajja kuddamu nti: ‘Ye Katonda asinzibwa Allah.’ Babuuze nti: ‘Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?’

88. Babuuze nti: ‘Ani oyo nga mu mukono gwe mwemuli obufuzi bw’ebintu byonna, era yewuyo adduukirira abalala, sso nga Yye tadduukirirwa, (tatangirirwa era tatangirwa) bwe muba mumanyi?

89. Bajja kuddamu nti: ‘Ye Katonda asinzibwa Allah’. Babuuze nti: ‘Musinzira kuki okuwugulwa?.

90. Wew’awo tubatuusizzaako amazima naye mubutuufu bayinze obulimba.

91. Katonda tazaalanga mwana era teriiyo amwegattako nga asinzibwa. Olwo nno ate buli asinzibwa yaligenze n’ebyo bye yatonda era (abasinzibwa) abamu balyewaggulidde ku bannaabwe. Atukuzibwe Ai Katonda asinzibwa Allah okwawukana kwebyo bye basamwassamwa nabyo.

92. Ye Mumanyi w’ebikusike n’eby’olwatu, Era agulumizibwe nga ayawulibwa ku bye bagattika.

93. Ggwe saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, bwekiba nti wasalawo kya kunjoleka ebyo bye basuubizibwa.

94. Ai Mukama Katonda Omulezi wange tonteka mu bantu abalyazamanyi’.

95. (Yamwanukula nti:) ‘Kale mazima ffe eky’okuba nti tukwoleka ebyo bye tubasuubiza (bali) ddala tusobola’.

96. Ggisaawo nga weyambisa ekyo ekirungi ekibi. Ffe abategeera ebyo bye basamwassamwa nabyo.

97. Era saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange nkwekuumisa obutatuukibwako kulabankanya kwa Ssitaani.

98. Era nkwekuumisa Ai Mukama Katonda Omulezi wange obutagisobozesa kunsemberera’.

99. Ekiseera wekuba kutuukidde eri omu kubo okufa awanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange munzizeyo (kunsi).

100. Nsobole okukola ebirungi kwebyo bye ssaakola’. Ekyo kafuuwe. Mazima ekyo ky’ekigambo kyalina okwogera obwogezi. Naye nga emabega wabwe eriyo magombe okutuusa olunaku lwebazuukizibwa.

101. Bweba efuuyiddwa eŋŋombe olwo tewabaawo kwewaanira mu bika wakati wabwe ku lunaku olwo era nga tebabuuziganya.

102. Kale oyo gwebizitowera ebipimwa bye (birungi) nga bebo abalokofu.

103 Era oyo gwe biwewukira ebipimwa bye (ebirungi) nga bebo abeefaafaagamya bokka, mu ggeyeena ssi ba kuvaamu.

104. Nga gwokya ebyenyi byabwe omuliro era nga bali omwo baluma obujiji.

105. (Nga babuuzibwa nti:) ‘Abaffe, gaali nazzikuno amateeka gaffe tegabasomerwa, kyokka ne mubanga mwali mugalimbisa?’

106. Baddamu nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, byatuyitirirako (eby’obulungi n’okweyagala) ebyatuleetera akabasa era twali bantu abaabula.

107. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe gutujjeemu (omuliro) bwetunaaba tubiddidde (ebikyamu) olwo mazima nga tuli balyazamanyi’.

108. Yaddamu nti: ‘Mugwesonseke eyo mu buziba era temwogeranya nange’.

109. Mazima waaliwo ekibinja kyabamu ku baddu bange abasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, twakkiriza dda, kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe asingayo obulungi mu basaasizi’.

110. Kyokka mwabatwala nga ab’okujeejebwa okutuusa ekyo lwekyabeerabiza okutendereza, era mwali mubasekerera.

111. Mazima Nze mbasasudde olwaleero olw’ebyo bye baagumiikiriza okuba nga abo be bafunye okuganyulwa.

112. Yababuuza nti: ‘Kyenkana ki (ekiseera) kyemwakamala munsi mu miwendo gyemyaka?’

113. Baddamu nti: ‘Tumazeeyo lunaku oba kitundu kya lunaku, naye buuza ababazi’.

114. Yabaddamu nti: ‘Mpawo kye mu mazeeyo okujjako ekiseera mpa we kyaga. Ssinga mubadde mumanyi’.

115. Abaffe musuubidde nti mazima twabatondera bya butaliimu, era nga mazima, mmwe gyetuli ssi gyemuzzibwa?

116. Agulumizibwe Katonda asinzibwa Allah Omufuzi Owamazima. Mpawo asinzibwa okujjako Yye Mukama Katonda Omulezi wa Namulondo ey’ekitiibwa.

117. Era oyo yenna asinza, nga waliwo Allah (ekisinzibwa) ekirala ekitalinaayo nsonga ntufu esinzirwako kukisinza, olwo oyo okubalirirwa kwe kuli wa Mukama Katonda Omulezi we. Mazima ssi ba kwesiima abajeemu’.

118. Kale ggwe saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange sonyiwa era saasira, anti ggwe asingayo obulungi mu basaasizi’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *