Skip to content
Home » 27. An – Naml (Ensanafu)

27. An – Naml (Ensanafu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

27. ESSUULA: AN-NAML, ENSANAFU

Yakkira Makka. Erina Aya 93.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. TA.SIN.MIM. Obwo bw’ebubonero bwa Qur’an (Ssemusomwa) era ekitabo ekinyonnyofu.

2. Bwe buluŋŋamu era okusanyusa eri abakkiriza.

3. Abo abayimirizaawo esswala era abawaayo Zaka era nga bebo ababa nga enkomerero bagikakasa.

4. Mazima abo abatakkiriza nkomerero, twabalungiyiza emirimu gyabwe, kale bali awo bawunaawuna.

5. Abo nno bebo ab’okufuna ekibonerezo kinnamutta, era bebo ku nkomerero abasingayo okufaafaaganirwa.

6. Kale mazima ggwe ofuna Qur’an (Ssemusomwa) eva ew’oyo Omulamuzi Omumanyi.

7. Jukira Musa we yagambira abantu be nti: ‘Mazima nze nnengedde omuliro, nja kubafunirayo okuva we guli amawulire oba okubafunira enjakirizo y’akasiki, kibasobozese okwota.

8. Bwe yatuuka weguli yayitibwa (mu kwanirizibwa) nti: ‘Agemuliddwa omukisa oyo ali mu bwakayakamu, n’abo ababwebunguludde, kale atenderezebwe Mukama Katonda asinzibwa Allah Omulezi w’ebitonde byonna’.

9. ‘Gwe Musa: Amazima gali nti, Nze Mwene (nzuuyo) Mukama Asinzibwa Katonda Allah Luwangula Omulamuzi.

10. Kale suula wansi omuggo gwo’. (Musa) Bweyagulaba nga gwenyogootola gulinga omusota omweruyeru yadda ekyennyuma, era yeewala okugusemberera. ‘Gwe Musa’. (Bwatyo Mukama bwe yamugumya nti:) ‘Totiribira, mazima nze tebatiribirira wendi ababaka’.

11. ‘Okujjako oyo aba akoze obukuusa, bwamala n’awanyisaamu obulungi oluvannyuma tw’obubi, olwo mazima nze mbera Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

12. Kale sonseka omukono gwo mu kikondolo kyo gusobole okuvaayo nga gutangalijja awatali kufuna mutawaana. Nga bye (bimu ku) byamagero omwenda eby’okusoomoozesa Firawo n’abantu be (by’ogenda nabyo). Mazima bebo abantu abaggwera mu bwonoonefu.

13. Kale bwe byabatuukako ebyamagero byaffe mu lujjudde, bagamba nti: ‘Eryo eddogo lya lwatu’.

14. Era baabiwakanya (ebyamagero) – ate nga gibikakasizza emyoyo gyabwe – olw’obukuusa n’okwekuluntaza. Kale werolere yannabaki bwe yali enkomerero y’abonoonyi.

15. Kale mazima twawa Dawuda ne Sulaiman obuyivu. Era bombi beyanza nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda yekka oyo eyatusukkulumya ku nkuyanja y’abaddu be abakkiriza?’

16. Bwatyo Sulaiman yasikira Dawuda. Era yalangirira nti: ‘Abange mmwe abantu: twamanyisibwa (amakulu ge) ebigambo by’ebinyonyi era twawebwa ebintu byonna. Mazima eyo y’enkizo eyolwatu?’

17. Kale lyakuŋŋanyizibwa ewa Sulaiman eggye lye ery’amaginni n’abantu n’ebinyonyi nga byonna byawuddwa mu bibinja.

18. Bwe lyatuuka mu kiwonvu ky’ensanafu. Ekisanafu (Kabaka w’ensanafu) kyalangirira nti: ‘Abange mmwe nsanafu zinnange, mwefubitike mu mayumba gammwe (mwenna) baleme kubabetenta, Sulaiman n’eggye lye nga tebamanyi?’

19. Kale yamwenyamu nga aseka olw’ekigambo kyakyo, (ekisanafu) bwatyo n’asaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nzijumbizisa okwebaza eby’engera byo bye wangemulira ne bazadde bange (bombi) n’okuba nti nkola ebirungi by’osiima era onnyingize olw’obusaasizi bwo mu luse lw’abaddu bo abalongofu’.

20. Bwatyo yakebera eggye lyebinyonyi ne yebuuza nti: ‘Mbadde ki obutalaba ffulungu, ssimanyi libadde teririiwo?’.

21. Ddala nja kulibonereza ekibonerezo ekikakali, oba ssi ekyo nja kulisanjagira ddala, mpozzi nga mazima lintusizzaako ensonga entufu (eyalibuzizzaawo)’.

22. Kale lyayisaawo akaseera ssi kawanvu (ne rituuka) era lyewozaako nti: ‘Nfuuse omukugu kw’ebyo byotafunangako bubangufu era nkuleetedde okuva e Sheba amawulire amatuufu.

23. Mazima nze nnasanze omukyala, nga ye mufuzi wabwe, nga yaweebwa buli kintu era alina Nnamulondo empitirivu.

24. Namusanga n’abantu be bavunnamira enjuba (gye basinza) ne balekawo Katonda asinzibwa Allah, bwetyo bwe yabawundira Ssitaani emirimu gyabwe (emibi) era yabawugula okuva ku mugendo kale nebaba nga ssi baluŋŋamu’.

25. ‘Balemwa batya okuvunnamira Katonda asinzibwa Allah oyo afubutulayo ebikusike ebiva mu ggulu n’ensi, era amanyi ebyo bye mukisa n’ebyo bye mwolesa?

26. Ye wuyo Katonda asinzibwa Allah, mpawo kisinzibwa okujjako Yye Mukama Katonda Omulabirizi wa Nnamulondo obwaguuga!’.

27. Yaddamu nti: ‘Tunaalaba bwoba nga oli mutuufu oba obadde wa mu balimba.

28. Genda n’ebbaluwa yange eno ogituuse gyebali bwomala odde ku bbali era wekkaanye biki bye baddamu’.

29. (Nnabakyala) yalangirira nti: ‘Bannange mmwe abakungu, mazima nze mperezeddwa ebbaluwa ey’ekitiibwa.

30. Mazima yiino eva wa Ssulaiman era mazima etegeeza nti: Ku lw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

31. Musaanidde obutannekuluntalizaako era mujje gyendi nga (muli basiraamu) mwewaddeyo mu mateeka ga Katonda!’.

32. (Nnabakyala) yabebuuzaako nti: ‘Bannange mmwe abakungu: mumpabule ku nsonga yange eno, mpawo kye nnaalisazeewo kukola kunsonga yonna okutuusa lwemwalimaze okugiwaako obujulizi.

33. Baddamu nti: ‘Fenna tuli bambavu era bannantameggwa abayitirivu (mu kulwana) ate ekiragiro kiri gyoli kale wekkaanye kw’ekyo ky’osalawo okulagira?.

34. Yaddamu nti: ‘Amazima gennyini abafuzi b’ebunaayira bwe baba bayingidde mu kibuga boonoona kyonoone era abantu baamu ab’ebitiibwa babafuula abawebuufu. Ekyo (nabali) kyebalina okukola.

35. Naye mazima nze (kyensazeewo) kambaweereze amakula nga bwe nnindirira biki bye banazza ababaka’.

36. Kale bwebaatuuka eri Sulaiman yabategeeza nti: Abaffe mwe muli mu byakumpereza mmaali? Sso nga ebyo nze bye yangemulira Katonda by’ebisinga obulungi kw’ebyo bye yabawa newankubadde nga wew’awo mmwe amakula gammwe gabasanyusa.

37. Muddeeyo gyebali, era mazima tujja ku basindikira eggye lye batasobola kwaŋŋanga era mazima tujja kugibagoberamu ddala (ensi yabwe) nga bakkakkanyiziddwa, bawebuufu’.

38. Yabuuza nti: ‘Abange mmwe abakungu, ani mummwe andetera Nnamulondo ye nga tebannantukako wano nga beewaddeyo mu mateeka ga Katonda (basiramuse).

39. Lyaddamu li Mutawena eryomuluse lwa maginni nti: ‘Nze ngikutuusaako nga tonnasituka kuva mu kifo kyo era mazima nze kwekyo ndi wa maanyi omwesigwa!’

40. Nagamba oyo eyalina obuyivu obuva mu kitabo nti: ‘Nze ngikuleetera nga tonnaba na kutemya kikoowe kyo!’. Kale bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti: ‘Bino byebimu ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wange (byampa) byagendereramu okungezesa: abaffe ndi mwabo abeebaza nandiki nnafuuka mawale? Naye oyo yenna ayeebaza mazima aba yeebaliza bulungi bwa mwoyo gwe. Era oyo yenna ajeemye, mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye Mugagga Ow’ekitiibwa.

41. Yalagira nti: ‘Mugimubuzeebulize Nnamulondo ye tulaba: bwaba asobola okugimanya oba abeera mwabo abatasobola kugimanya’.

42. Kale bweyatuuka yabuuzibwa nti: ‘Abaffe bwetyo Nnamulondo yo bwefaanana? Yaddamu nti: ‘Efaanana okuba eyo yennyini, wabula twafuna okumanyisibwa nga ebyo tebinnabaawo era twewaayo dda (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda.

43. Kale yamwewazisa bye yali asinza ebitali Katonda asinzibwa Allah. Mazima yye (Nabakyala) yali mu bantu abajeemu.

44. Yalagirwa nti: ‘Yingira olubiri’. Kale bwe yalaba olujja lwalwo yakilowooza nti kidiba kyamazzi, bwatyo yabikkula ku ntumbwe ze ne zirabika (olw’engeri gye yawanika ku ngoye ze waggulu). Yamuwabula nti: ‘Mazima luno olubiri lwayaliirirwa mu birawuli ebiseeteeze!’ Yaddamu (Nnabakyala) nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze nnali nneejeemesa nzekka naye (kati) nneewaddeyo wamu ne Sulaiman (okuba omusiraamu) okugondera amateeka ga Mukama Katonda asinzibwa Allah Omulezi w’ebitonde byonna!’.

45. Kale mazima twasindika eri aba Thamudu muganda wabwe Swalih (n’obubaka obubalagira) nti: ‘Musinze Mukama Katonda asinzibwa Allah, naye mangu ago beeyawulamu ebibinja bibiri ebikaayana.

46. Yababuuza nti: ‘Abange mmwe abantu bange lwaki mupapirira okwetuusaako ekibi olubereberye lw’ekirungi? Mulemererwa mutya okusaba okusonyiwa kwa Katonda kibasobozese okusaasirwa?

47. Baddamu nti: ‘Twelaguza dda ebikukwatako n’ebikwata kwabo booli nabo. Yabaddamu nti: ‘Okweraguza kwammwe, ebikuvaamu biri wa Katonda. Mu butuufu ye mmwe abantu abagezesebwa.

48. Era waaliyo mu kibuga abantu mwenda nga kabondo akasaasaanya obwonoonefu munsi nga mpawo kye balongosa.

49. Beekobaana nti: ‘Mulayire Katonda nti: ‘Awatali kuwannaanya tuteekwa okumuzindukiriza, wamu n’abantu be amatumbi budde tubatemule. Bwetumala nga tutegeereza ddala amulinako obulabirizi (obuvunanyizibwa) nti tetwaliwo nga abajulizi nga abantu be batirimbulwa, era ffe twogerera ddala mazima.

50. Kale baayisa enkwe naffe netutebuka enkwe (zabwe) nga tebamanyi.

51. Kyokka werolere engeri gyeyali enkomerero y’enkwe zabwe: mazima ffe twabazikiriza ng’ogasseeko abantu babwe bonna.

52. Era gaago amaka gabwe bifulukwa, olw’engeri gye baajeema. Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza ekyeyawulidde abantu abamanyi.

53. Era twawonya abakkiriza, kale baali batya Katonda.

54. Ne Luutu (twamutuma), jjukira lweyabuuza abantu be nti: ‘Abaffe musazeewo okwemalira mu byobukaba nga mmwe mwennyini mulaba?

55. Abaffe mazima yemmwe abaganziza ddala abasajja mubyomukwano nga muleseewo abakyala? Awatali kuwannaanya mmwe bantu abazirabwongo!’.

56. Kale mpawo kyali mu kwanukula kw’abantu be okujjako okussa ekimu nti: ‘Mugobe abantu ba Luutu mu kibuga kyammwe. Mazima bebo abantu abefuula abatukuvu!.

57. Era twamuwonya n’abantu be nga ojjeeko mukyala we gwe twasalirawo okusigala (mu kibonerezo).

58. Kale twabakubya (amatoffaali agaayiika nga) enkuba, bwetyo yali mbi nnyo enkuba yabo abaalabulwa (olubereberye).

59. Ggwe tendereza nti: ‘Amatendo amalungi ga Mukama Katonda Allah, era emirembe gibeere ku baddu be abo abaakola eby’obutuukirivu. Abaffe Katonda asinzibwa Allah ye wenkizo nandiki biri bye bayimbagatanya?

60. Oba oyo eyatonda eggulu n’ensi era eyabassiza okuva muggulu amazzi ge tweyambisa okumeza amalimiro amagimufu ge mwali mutayinza kumeza bimera byago. Abaffe ate eriyo ebirala ebiyimbagatanyizibwa ku Katonda asinzibwa Allah? Mu butuufu abo be bantu abawuguka.

61. Oba oyo eyafuula ensi okubeera obutuuze era eyassa mu biwonvu byayo emigga era eyagisimbamu lugumyansi era eyassa mu ntabiro y’ennyanja ebbiri omuziziko? Abaffe ate eriyo ebirala ebiyimbagatanyizibwa ku Katonda asinzibwa Allah? Mu butuufu abasinga obungi mu bibinja byabwe te bamanyi.

62. Oba oyo ayanukula ali mu kazigizigi bwaba amusabye naaba nga ajjawo akabaate, bwatyo n’abafuula abasigire b’ensi? Abaffe ate eriyo ebirala ebiyimbagatanyizibwa ku Katonda asinzibwa Allah? Nga bya munyoto bye mujjukira.

63. Oba oyo abaluŋŋamya mu bizikiza byokuttale n’ennyanja era oyo asindika empewo nga kwekusanyusa okusibuka ku busaasizi bwe? Abaffe eriyo ebirala ebiyimbagatanyizibwa ku Katonda asinzibwa Allah? Agulumizibwe Katonda nga ayawulibwa kwebyo byebagattika.

64. Oba oyo abangawo muntandikwa obutonde ate nga oluvannyuma obuzzaawo era yoyo abagabirira nga ajja muggulu n’ensi? Abaffe ate eriyo ebirala ebiyimbagatanyizibwa ku Katonda asinzibwa Allah? Ggwe basoomooze nti: ‘Musseewo eby’okulabirako byammwe ssinga mubadde ba mazima!’,

65. Bagambe nti: ‘Teriiyo abo abali muggulu n’ensi bamanyi kyama okujjako Katonda era tebamanyi kiseera we bazuukizibwa.

66. Mu butuufu tewali ngeri gye bategeeramu bya nkomerero. Mubutuufu bali mu kubuusabuusa ebigikwatako. Mu butuufu ku bigikwataka bazibu ba maaso.

67. Ate beebuuza bali abaajeema nti: ‘Abaffe bwe tuba twafuuka dda ettaka ne bakitaffe, ate mazima kisoboka nate okufubutulwayo (nga tuli balamu).

68. Wew’awo twabisuubizibwa ebyo ffe ne bakitaffe olubereberye, mpawo ngeri ebyo gye bitwalibwamu okujjako okubeera enfumo z’abo abaasooka.

69. Bagambe nti: ‘Mutambule munsi era mwerolere ngeri ya nnaba ki gye yalimu enkomerero y’abajeemu’.

70. Era ggwe tobanakuwalira era tobeera mu kuzitoowererwa (mu mmeeme yo) olw’engeri gye bayisaamu enkwe.

71. Kale bebuuza nti: ‘Byaddi ebyo ebyasuubizibwa singa mu badde ba mazima?’

72. Bategeeze nti: ‘Oba oly’awo bibali ku lusegere ebimu kwebyo bye musabisa akapapirizo’.

73. Era mazima Mukama Katonda Omulezi wo y’alina ebirungi by’akolera abantu, wabula abasinga obungi mu bibinja byabwe te basiima.

74. Era mazima Mukama Katonda Omulezi wo amanyidde ddala ebyo byezikisa emmeeme zabwe n’ebyo byezoolesa.

75. Era teriiyo kikusike kiri muggulu n’ensi okujjako nga kya kakasibwa mu kitabo ekyanjulukufu.

76. Mazima eyo Qur’an ennyonnyola abaana ba Israil ebisinga obungi kw’ebyo bye balimu obutakkaanya.

77. Era mazima yeyo obuluŋŋamu obwereere era obusaasizi bwabo abakkiriza.

78. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo asalawo wakati wabwe n’obulamuzi bwe. Era yoyo Luwangula Omumanyi ennyo.

79. Kale ggwe wesigamire Katonda asinzibwa Allah. Mu butuufu gwe oli ku mazima amanjulukufu.

80. Kituufu ggwe tosobola kuwuliza bafu, era tosobola kuwuliza baggavu ba matu mulanga bwe baba bakyuse okudda ekyennyuma.

81. Era ssi ggwe avunanyizibwa okuluŋŋamya abazibe, okubajja mu bubuze bwabwe. Teriiyo gwovunanyizibwa kuwuliza okujjako oyo akkiriza amateeka gaffe, nebaba nga bewaayo (mu busiramu) okugondera amateeka ga Katonda.

82. Ate bwekiba kimaze ekigambo okubakakatako tubafubutulirayo ekitonde okuva mu ttaka nekitambula nga kibategeeza nti: ‘Mazima abantu baali amateeka gaffe tebagakakasa.

83. Ate olunaku mwetukuŋŋaanyiza, nga tujja mu buli mulembe, akakuukuulu akamu kwabo abalimbisa amateeka gaffe, nebuba nga bwonna (obukuukuulu) buyawulibwa mu miteeko.

84. Bwe batuusa okuba nga (bonna) bazze (mubbaliro) ababuuza nti: ‘Abaffe yemmwe abaalimbisa amateeka gange ate nga teriiyo kyemwakomekkereza ku bigakwatako ku kimanya, nandiki biki ebyo bye mwali mukola?’

85. Bwekityo ne kibakakatako ekigambo (ky’okubonerezebwa) olw’engeri gye baajeema ne baba nga bebo abatalina kye bagamba.

86. Abaffe balemeddwa okulaba engeri ffe mazima gye twassaawo obudde bw’ekiro olw’okubasobozesa okuwummuliramu n’ebiseera eby’emisana nga bya kutunula nkaliriza? Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza ekyabo abakkiriza.

87. Ate olunaku lw’efuuyibwa eŋŋombe ne bajjula okutya bonna abo abali mu ggulu n’abo abali munsi okujjako oyo gwaba ayagadde Katonda. Era bonna baakugenda gyali nga banyomoofu.

88. Kale ne werolera ensozi z’osuubira obutenyenya, sso nga zezo eziseyeeya nga okuseyeeya kw’ebire. Eyo y’enkola ya Katonda asinzibwa Allah oyo eyattaanya (entonda ya) buli kintu. Mazima ye wuyo Kakensa w’ebyo bye mukola.

89. Oyo aba azze (okweyanjula mubbaliro) n’ekirungi asasulwa ekisinga obulungi kwekyo (kyazze nakyo) era bebo (abookuba) nga ekyekango ky’olunaku olwo bakiwona.

90. Era oyo azze (okweyanjula mu bbaliro) n’ekibi, bya kuba nga bivumbikiddwa ebyenyi byabwe mu muliro. Abaffe waliwo ekirala kye musasulwa okujjako ekyo kye mwali mukola?

91. Mazima ekyo kyokka, (nze) kye nnalagirwa kwe kusinza Mukama Katonda Omukuumi wa kino ekibuza (Palani) ekyo kye yafuula eky’emizizo era bivunanyizibwa Yye yekka ebintu byonna, era nnalagirwa okubeera omu kwabo (abasiraamu) abewaayo okugondera amateeka ga Katonda.

92. N’okuba nti nsoma Qur’an, (Ssemusomwa) Kale oyo aluŋŋamye, aba aluŋŋamya mwoyo gwe gwokka. Era oyo abuze ggwe mutegeeze nti: ‘Mazima ekyo kyokka, nze kyenvunanyizibwa okutuukiriza kwekuba omu ku balabuzi.

93. Era gamba nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda yekka Allah, era ajja kubooleka ebyamagero bye mu bitegeere, era mpawo Mukama Katonda Omulezi wo kyagayaalirira kwebyo bye mukola.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *