Skip to content
Home » 47. Muhammad

47. Muhammad

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

47. ESSUULA: MUHAMMAD

Yakkira Madina Erina Aya 38.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abo abaajeema era abatangira ekkubo lya Katonda, (Katonda) yatta ttogge emirimu gyabwe.

2. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi n’okukkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad, era nga ge mazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, (Katonda) yabakendezaako ebibi byabwe era n’alongosa embera yabwe.

3. Ekyaviirako ekyo kubanga mazima abo baawakanya era baagoberera ebikyamu ate nga bali abakkiriza baagoberera ebituufu ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Eyo y’engeri Katonda gy’alaga abantu eby’okulabirako byabwe.

4. Bwe muba musisinkanye abo abaajeema (nga muli mu lutabaalo) kinaaba nga kusanjaga nsingo (zabwe), bwe musemberera okubamalawo (okubatirimbula) olwo mutanule okukoliga empingu. Bwe mumala (olwo) kibeere kusonyiwa oluvannyuma (nebagenda), oba ssi ekyo kubeenunuzisa, okutuusa olutabaalo bwe lunaakomekkerezebwa. Bwekityo (ekyo) bwekirina okuba. Era ssinga Katonda asalawo yaalibadde y’abewangulidde, kyokka ekigendererwa kye kwe kugezesa abamu kummwe ku ba nnaabwe. Era abo abattibwa mu (kulwanirira) ekkubo lya Katonda, tajja kutta ttogge mirimu gyabwe.

5. Ajja kubaluŋŋamya era abe nga alongosa embera yabwe.

6. Era abe nga abayingiza Ejjana gye yamala edda okubamanyisa.

7. Abange mmwe abakkiriza, ssinga mutaasa (amateeka ga) Katonda, (naye) abataasa era anyweza ebigere byammwe.

8. Naye abo abaajeema okuzikirira kube gye bali era (Katonda) yatta ttogge emirimu gyabwe.

9. Ekyaviirako ekyo kubanga beebo mazima abaatamwa eyo (Qur’an) gye yassa Katonda naye n’afuula birerya emirimu gyabwe.

10. Abaffe, balemeddwa okutambula munsi okwerolera engeri gye yalimu enkomerero ya bali abaabasookawo? Katonda yabazikiriza! Era baakutuusibwako abajeemu ebifaanana nga biri.

11. Ekyaviirako ekyo kubanga mazima Katonda ye munywanyi waabo abakkiriza, so nga mazima abajeemu tebalina munywanyi wabwe.

12. Mazima Katonda wa kuyingiza abo abakkiriza era abaakola ebirungi mu jjana nga gikulukutira wansi wayo emigga. Ate abo abaajeema, bali mu kweyagala era balya nga endya y’ebisolo, naye omuliro bwe butaka bwabwe.

13. Ate kameka nga nnasiisi w’ebyalo ebyo ebyali ebyamaanyi okusinga ekyalo kyo kye baakugobamu, twabizikiriza byonna era tewaaliyo abataasa.

14. Abaffe oyo abadde ku bwanjulukufu obusibuka ewa Mukama Katonda Omulezi we ayinza atya obutaba na njawulo n’oli eyawundirwa ebibi by’emirimu gyakola, olwo nebagoberera obwagazi bwabwe.

15. Enfanana y’ejjana eyo eyasuubizibwa abatya Katonda: Mulimu emigga egya mazzi agatalina kye gakyukako, n’emigga egya mata agatakyusizza ddekende lyago n’emigga gy’akagonja akawoomera abanywi n’emigga gy’omubisi gw’enjuki omusengejje. Era baakugifuniramu (ejjana) kalonda w’ebibala byonna n’okusonyiyibwa ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, abaffe (abo) bafaanana batya oyo ow’okusiisira mu muliro, nga banywesebwa amazzi ag’olweje olukutulakutula ebyenda byabwe.

16. Kale balinamu oyo akuwuliriza (byosomesa), okutuusa bwe baba bavudde wooli, babuuza bali abaafuna obuyivu nti: ‘Biki bye yaakamala okusomesa kati?’ Beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe, bwebatyo baagoberera obwagazi bwabwe.

17. Ate abo abaaluŋŋama yabongerako obuluŋŋamu era yabagemulira okutya kwabwe.

18. Abaffe eriyo ekirala kye balinda okujjako asaawa (esembayo) okubatuukako ekibwatukira? Buubwo mazima butuuse obubonero bwayo. Naye olwo bakifuna kuva wa, bweba (essaawa) ebatuuseeko, (nga ky’ekyo) eky’okubuulirira kwabwe?

19. Oteekwa okumanya nti teriiyo asinzibwa (mu butuufu) okujjako Allah, era saba okukusonyiwa ebyonoono byo (osabire) n’abakkiriza abaami n’abakkiriza abakyala. Kale Katonda y’amanyi okutawuka kwammwe n’okuwummula bwammwe.

20. Ate beebuuza abo abakkiriza nti: ‘Eruddewo lwaki essuula okussibwa?’ Ate bwe wabaawo essuula essiddwa nga erimu amateeka agagobererwa, era nekugiragirwamu okutabaala, olwo werolera abo abalina mu mitima gyabwe ekirwadde (ky’obunnanfusi) nga bakwegese amaaso okufaanana entunula y’omuntu azirise, ali okumpi okufa. Kale abo ekyandisinze gyebali.

21. Kwe kulaga obugonvu ne (okwogera) ebigambo eby’eggonjebwa, nga bweteekwa okutuukirizibwa ensonga. Era ssinga banyweredde ku Katonda, kye kyalibadde kikira obulungi gyebali.

22. Abaffe musuubidde, ssinga mufunye obufuzi, okuba nga mwonoona munsi n’okwawulayawula muŋŋanda zammwe?

23. Beebo Katonda be yakolimira n’aggala amatu gabwe era n’aziba amaaso gabwe.

24. Abaffe balemeddwa okwekkaanya Qur’an (Ssemusomwa), nandiki gikoligiddwa emitima gyabwe amakufulu gagyo?

25. Mazima abo abeekyusiza ku bukongovule bwabwe oluvannyuma lw’okubeeyoleka obuluŋŋamu, beebo Ssitaani be yasendasenda era ne wabaawo by’ebasuubiza.

26. Ekyaviirako ekyo kubanga mazima beebo abagamba bali abaakyawa ebyo Katonda bye yassa nti: ‘Tujja kubagoberera munsonga ezimu. Sso nga Katonda amanyi eby’enkiso byabwe.

27. Kale embera yakubeera etya, nga bavumbagidde entunnunsi zabwe, ba Malaika abatimpula obwenyi bwabwe n’amabega gabwe?

28. Ekiviirako ekyo kubanga mazima beebo abaagoberera ebyo ebyanyiza Katonda era abaatamwa okusiima kwe, olwo nattattogge emirimu guabwe

29. Abaffe basuubidde abo abalina ekirwadde mu mitima gyabwe nti Katonda tajja kufubutulayo bukukuuzi bwabwe?

30. Ssinga kye twagala twalibakulaze, era waalibamanyidde ku bubonero bwabwe. Naye olina kubamanyira ddala mu ngeri gye beekooloobya mu bigambo. Kale Katonda amanyi bulungi emirimu gyabwe.

31. Era ddala tulina okubagezesa okutuusa lwe tunekkaanya abewaayo okulwanirira eddiini mummwe n’abagumiikiriza era tube nga tugezesa amawulire gammwe.

32. Mazima abo abaajeema era abaakaluubiriza omubaka nga bumaze okubeeyoleka obuluŋŋamu, mpawo ngeri gye bakosa Katonda ku kintu kyonna, era ajja kutta ttogge emirimu gyabwe.

33. Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda era mugondere omubaka sso temwonoona mirimu gyammwe.

34. Mazima abo abaajeema era abaatangira ekkubo lya Katonda oluvannyuma ne bafa nga balemedde mu bujeemu, abo Katonda ssi wa kubasonyiwa.

35 Kale temufootoka (butalwana) kutuuka kukozesebwa endagaano z’emirembe sso nga mmwe muli waggulu era Katonda ali nammwe, ate tajja kukendeza (mpeera ya) mirimu gyammwe.

36. Mazima engeri yokka gye butwalibwamu obuwangazi bw’ensi kwekuba omuzannyo n’okubuzaabuza, naye ssinga mukkiriza ne mutya Katonda, nga abasasula empeera zammwe, sso tabasaba mmaali yammwe.

37. Bwe yandigibasabye mu ku gibapeeka mwalikodowadde era yalyolesezza obukukuuzi bwammwe.

38. Mwe baabo mukubirwa omulanga mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, naye abamu mummwe waliwo akodowala, era oyo akodowala aba akodowalira mwoyo gwe. Anti Katonda ye Mugagga Ssebintu nga mmwe bankuseere, naye bwe muba mwelenye, nga abawanyisaamu abantu abalala abatali mmwe, oluvannyuma neebulayo (mwabo) abafaanana mmwe.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *