Skip to content
Home » 73. Al – Muzzammil (Lwezingira)

73. Al – Muzzammil (Lwezingira)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

73. ESSUULA: AL-MUZAMMIL, LWEZINGIRA

Yakkira Makka. Erina Aya 20

Kulw’erinnya lya Allah, Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Owange ggwe Lwezinga (mungoye)

2. Yimirira ekiro kyonna okujjako (ekiseera) ekitono.

3. Kimu kya kubiri kyakyo oba kikendezeeko katono.

4. Oba kyongereko, era soma mpola Qur’an olusoma.

5. Mazima ffe tujja ku kussaako ekigambo (kya Qur’an) ekizito.

6. Mazima okuzuukuka mu biseera by’ekiro (okusaala) ky’ekisingayo obuzito era lwe gusinga omulamwa okuba mu bwesimbu ogw’ebigambo (by’okutendereza Katonda).

7. Mazima wafuna mu biseera by’emisana ebbeetu eriwanvu.

8. Kale tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omulezi wo era weyawule okudda gyali olweyawula.

9. Ye Mukama Katonda nannyini buvanjuba n’ebugwanjuba, mpawo kisinzibwa okujjako Yye. Kale mufuule Ddunda (wo).

10. Era gumira bye boogera n’okubasenguka olusenguka olulungi.

11. Ate ndekera abalimbisa, (abo) abagagga ffugge era balindirizeeko (ekiseera) kitono

12. Mazima ffe tulina enkoligo ez’empuluttulizo ne ggeyeena.

13. N’ekyokulya eky’empagama n’ebibonerezo ebiruma.

14. Olunaku lw’eyuguuma ensi n’ensozi, olwo ensozi neziba nga entuumu z’omusenyu ogw’olusennyente.

15. Mazima ffe twa batumira omubaka abawaako obujulizi nga bwe twatumira Firawo omubaka.

16. Naye Firawo yajeemera omubaka bwetutyo twamukwatako olukwata olukakali.

17. Kale ngeri ki gye mutya – bwe mulemera ku bujeemu– olunaku olufuula amabujje abazeeyi.

18. Nga aggulu lirulyebulukukiddeko (olunaku) nekiba ekisuubizo kye nga kituukirizibwa.

19. Mazima okwo kwe kujjukiza, era oyo aba ayagadde ayerulawo eridda ewa Mukama Katonda Omulezi we ekkubo.

20. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo akimanyi nti mazima ggwe oyimirira (okusaala) ekiseera ekitenkana bibiri bya kusatu eby’ekiro n’ekimu eky’okubiri kyakyo n’ekimu eky’okusatu kyakyo, nga ekibinja kyabo abakkiriza kiri nawe (mu kusaala). Kale Katonda yoyo agerageranya (ebiseera bya) ekiro n’emisana. Yamanya nti temujja ku kituukiriza, olwo n’akkiriza okwenenya kwammwe, kale musome ekiba kyanguye mu Qur’an. Yamanya nti wajja kubeerawo mummwe abalwadde, ate nga abalala batambula munsi nga banoonya ebimu ku birungi bya Katonda, ate abalala balwana mu kkubo lya Katonda. Kale musome ekiba kyanguye muyo. Era muyimirizeewo esswala era muweeyo Zaka era muwole Katonda oluwola olulungi. Ate ekyo kye muba muweereddeyo emyoyo gyammwe nga kirungi mu kisisinkana ewa Katonda nga kyekyo ekirungi ennyo era ekirina empeera esinga obunene. Kale mwegayirire Katonda okubasonyiwa, mazima Katonda ye Musonyiyi. Ow’okusaasira okw’enjawulo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *