Skip to content
Home » 7. Al – A’raat (Obutunnumba)

7. Al – A’raat (Obutunnumba)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

7.ESSUULA, AL-A’ARAAFU; OBUTUNNUMBA

Yakkira Makka, Erina Aya 206.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif lam Min Swad

2. Kino ky’ekitabo ekissiddwa gyoli, kale emmeeme yo tefunamu okukikeŋŋeenterwa, olyoke okyeyambise okulabula, era kyakwejjukanya eri abakkiriza.

3. Mugoberere ebyo ebissibwa gye muli nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, era temugobererayo, nga muleseewo Yye, abakuumi abalaba. Ebintu bitono nnyo bye mwebuulirira nabyo.

4. Kale ebyalo nga bingi bye tuzikirizza, olwo nekibituukako ekibonerezo kyaffe awo mu mattansejjere (nga beebase) oba awo olweggulo nga bagandadde.

5. Era okuwanjaga kwabwe tekwali ku kintu kirala, lwe kyabatuukako ekibonerezo kyaffe, okujjako okwogera nga bennyamira nti: ‘Mazima ffe twali abalyazamanyi!’.

6. Kale tulina okubuuliza ddala abo abaatumilwa obubaka era tulina okubuuliza ddala abatume.

7. Era tujja kubategeereza ddala ensonga zabwe nga tusinzira ku kumanya. Ate tewali lwetwali tubuzeewo.

8. Era ebipimwa ku lunaku olwo bya (kupimibwa mu) mazima. Kale oyo gwebizitowedde ebipimwa bye (ebirungi) olwo nga bebo ab’okuganyulwa.

9. Era oyo gwe biwewukidde ebipimwa bye (ebirungi) olwo nga bebo abaafiiriza emyoyo gyabwe olw’engeri gye baali nga amateeka gaffe bagawakanya.

10. Kale mazima tubafudde abatuuze abakuukuutivu munsi, era netubateerawo ebyo ebibasobozesa okugiwangaliramu. Ebintu bitono nnyo bye mwebaza.

11. Ate mazima twabatonda oluvannyuma netubasalirawo enfanana yammwe, oluvannyuma netulagira ba Malaika nti: ‘Muvunnamire Adamu nga mumussaamu ekitiibwa!’. Bonna ne bamuvunnamira okujjako Ibuliisu, ye teyeetaba naabo abaavunnama.

12. Yamubuuza nti: ‘Kiki ggwe ekikulobedde okuvunnama nga nkulagidde?’ Yamuddamu nti: ‘Nze ndi mulungi okusinga oyo. Nze wantonda mu muliro ate yye wamutonda mu ttaka!’.

13. Yamulagira nti: ‘Giveemu okke wansi. Toteekwa kwekuluntaza nga gyolimu! Ffuluma mbagirawo! Mazima kati ofuuse munyomoofu’. 14. Yamusaba nti: ‘Waakiri nindirizaako okutuusa ku lunaku lwe bazuukizibwa!’,

15. Yamuddamu nti: ‘Kale ojja kulindirizibwa!’

16. Ya mugamba nti: ‘Kavuna onsaliddewo okubula, kati nja kubateegera ddala mu kkubo lyo eggolokofu.

17. Oluvannyuma nja kugenda gyebali nga nfubutuka mu maaso gabwe, n’emabega wabwe, ne ku ddyo wabwe ne ku kkono wabwe era ojja kulemererwa okusanga abasinga obungi mu kibinja kyabwe nga basiima’.

18. Yamulagira nti: ‘Gifulume okke wansi nga onyomebwa n’okusindiikirizibwa. Ate oyo yenna gwe katanda n’akugoberera nga ava mu kibinja kyabwe, olwo nga Ggeyeena mujjuliza ddala ekibinja kyammwe mwenna’.

19. ‘Wamma Adam, wetuulire ggwe ne mukyalawo mu Jjana, era mwefunire eby’okulya nga mubijja wonna we mwagadde, naye temwesembereza omuti ogwo mwembi, ne mufuuka abajeemu’.

20. Bombi Ssitaani yababuzaabuza nga egenderera okubooleka ensonyi zabwe ezaali zibakisiddwa, era yabategeeza nti: ‘Teriiyo nsonga ndala Mukama Katonda Omulezi wammwe gye yasinziddeko kubagaana muti ogwo okujjako olw’obutabaagaliza mmwe mwembi kufuuka ba Kabaka oba ssi ekyo mwe mwembi okubeera omwo obutagivaamu!’.

21. Bombi yabalayirira nga ebakakasa nti: ‘Mazima ekyo nze kyenkoze ku lwammwe kwe kubabuulirira kwennyini!’

22. Bombi yabasendasenda nga egenderedde okubabuza. Era bwe baaloza ku muti ensonyi zabwe ne zeyerula olwo nebatandika okunoga ebikoola byomujjana nga bazibikkako. Olwo n’abakoowoola Mukama Katonda Omulezi wabwe nga abajjukiza nti: ‘Abaffe Ssaabagaana omuti ogwo era nembategeerezaawo nti Ssitaani mazima ye mulabe wammwe ow’olwatu?’.

23. Bombi baawanjaga nga bagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima twesudde fekka munsobi era bwotootusonyiwe n’okutusaasira nga tubeerera ddala mu luse lw’abo abafaafaaganiddwa’.

24. Yabalagira nti: ‘Mukke mangu mugiveemu. Buli omu kummwe afuuse mulabe eri munne. Era munsi y’eri obubudamu bwammwe n’eby’okubayimirizaawo okumalako ekiseera ekigere.

25. Yabategeeza nti: ‘Eyo munsi gyemulina okuwangalira era gyemulina okufiira era gyemuva okuzuukira!’

26. Abange mmwe abaana ba Adam, mazima tussizza gyemuli ekyambalo nga kibikka ensonyi zammwe n’amajjolobera g’okunekaaneka, kyokka ekyambalo ky’okutya Katonda ky’ekisinga obulungi. Ago ge gamu ku mateeka ga Katonda agabasobozesa okwejjukanya.

27. Abange mmwe abaana ba Adam mwewale okugwa mu kikemo kya Ssitaani okufaananako nga bweyagobesa bazadde bammwe bombi mujjana nga ebajjako ekyambalo kyabwe, olw’okubooleka ensonyi zabwe. Awatali kuwannaanya ebalaba yo yennyini nga eri wamu ne banywanywi bayo awo mmwe we mutasobolera ku balala. Mazima twafuula Ssitaani okuba mikwano gyabo abatakkiriza. 28. Era bwe baba bakoze ebyambyone, bagamba nti: ‘Bino kwe twasanga ba kitaffe, era Katonda ye yabitulagira!’ Ggwe baddemu nti: ‘Mazima Katonda talagira byambyone. Ye lwaki mujweteka ku Katonda ebyo bye mutamanyi.

29. Bagambe nti: ‘Yandagira Mukama Katonda Omulezi wange obwenkanya. Era mwolekeze obwanga bwammwe obwolekero buli awasangibwa omuzigiti, era mu musabe nga yekka gwe mumaliddeko eddiini yonna, nga bwe yabatandikawo bwemutyo bwe muzzibwawo.

30. Ekibinja ekimu kyaluŋŋama ate ekibinja ekirala kyakakasibwako okubula. Mazima bebo abaafuula Ssitaani okuba mikwano gyabwe ne balekawo Katonda, era nebasuubira nti mazima kyekyo ekibafuula abaluŋŋamu.

31. Abange mmwe abaana ba Adam, mubeere n’ebyokwewunda byammwe buli awasangibwa omuzigiti era mulye era munywe naye temudiibuuda. Mazima Yye tayagala badiibuuzi.

32. Babuuze nti: ‘Muntu nnaba ki oyo eyaziyiza eby’okwewunda bya Katonda ebyo byeyajjirayo abaddu be wamu n’ebirungi nga bya kulya?’ Bategeeze nti: ‘Ebyo byabo abakkiriza abawangalira munsi, ate babyeyawulidde ku lunaku lw’amayimirira. Bwetutyo amateeka bwetugateekerateekera mu miteeko gyago abantu abamanyi.

33. Bagambe nti: ‘Ebyo Mukama Katonda Omulezi wange bye yaziyiza: byeby’obugwenyufu ebikolebwa mu lwatu n’ebikolebwa mu nkiso, n’okuzza emisango n’okwewaggula okutasinziira ku kituufu, n’okugattika ku Katonda ebyo byatabassizangawo buyivu bwonna era n’okwogera ku Katonda bye mutamanyi.

34. Era buli mulembe gutuusa ekiseera ne gukoma ate bwe kiba kituuse ekiseera kyagyo kyegikomerako tegikeerewayo kiseera kyonna wadde okwanguyirizibwa.

35. Abange mmwe abaana ba Adam, ssinga bajja gyemuli ababaka abava mu mmwe nga babannyonnyola amateeka gange, kale oyo anaaba atidde Katonda era n’alongosa olwo eba teri kutya kwe bafuna era nga bbo ssi baakufuna nnaku.

36. Ate abo abaalimbisa amateeka gaffe era nebagekuluntalizaako, abo be bannanyini muliro. Bbo baakugubeeramu lubeerera.

37. Kale kasobeza nnaba ki asinga oyo ajweteka ku Katonda obulimba oba oyo alimbisizza amateeka ge? Abo be bafuna omugabo gwabwe ogusangibwa mu kitabo, okutuusiza ddala lwe babatuukako ababaka baffe abavumbagira entunnunsi zabwe ne bababuuza nti: ‘Biraze wa bye mubadde musaba nga muleseewo Katonda?’. Nebaddamu nti: ‘Byonna bitubuzeeko’, era nebewaako obujulizi obukakasa nti mazima bbo baali bajeemu.

38. Naabalagira nti: ‘Muyingire mu mirembe egyasaanawo nazzikuno nga temunnabaawo, nga gya maginni n’abantu agyomumuliro. Nga buli mulembe lweguyingira gukolimira gunnaagwo gwegusanzeyo okutuusa lwebalimala okuguggweramu bonna, olwo abaasembayo okuguyingira nebawanjagira abaali abasaale okuguyingira nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe abo be baatubuza. Era boba oweera ddala ekibonerezo ekikubisiddwamu emirundi n’emirundi nga kya mu muliro’. Naabaddamu nti: ‘Buli kibinja kyakubisibwamu emirundi n’emirundi, naye wabula ekyo temukimamyi.

39. Era abaasembayo okuguyingira ne bawanjagira abaali abasaale okuguyingira nti: ‘Olw’engeri gyemwafuna enkizo kuffe mu bulungi kati nammwe mulege ku bukaawu bw’ekibonerezo olw’ebyo bye mwali mukola’.

40. Mazima abo abaalimbisa amateeka gaffe wamu n’okugekuluntalizaako, ssi ba kuggulirwa miryago gya ggulu, era ssi ba kuyingira Jjana okutuusa eŋŋamiya lw’eriyingira mu nnyindo y’empiso. Era eyo y’engeri gye tusasula aboonoonyi.

41. Baakufunirayo mu ggeyeena ebyaliiro by’omuliro, ate kungulu wabwe babikkibweko ebyebikkwa by’omuliro. Era eyo y’engeri gye tusasula abalyazamanyi.

42. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi teriiyo mwoyo gwetuwaliriza, okujjako ekyo kye gusobola, abo nno be bannannyini Jjana. Bebo ab’okugibeeramu olubeerera.

43. Era ebifuba byabo twabijjamu obukukuuzi. Gikulukutira wansi wabwe emigga. Era baligamba nti: ‘Amatendo amalungi ga Allah asinzibwa, oyo eyatuluŋŋamya okutuuka ku kino, era twali tetusobola kuluŋŋama ssinga Katonda teyatuluŋŋamya. Wew’awo abatume ba Mukama Katonda Omulezi waffe bajja n’amazima. Olwo nebakoowoolwa neddoboozi erigamba nti; ‘Mukweko Ejjana yiiyo gye musikiziddwa olw’ebyo bye mwali mukola’.

44. Olwo abantu bomujjana nebakoowoola abantu bo mu muliro nga bagamba nti: ‘Mazima ebyo Mukama Katonda Omulezi waffe bye yatulaganyisa tubisanze bituufu. Abaffe eyo nammwe Mukama Katonda Omulezi wammwe bye yabalaganyisa mu bisanze bituufu?’. Nebaddamu nti: ‘Wew’awo!’. Olwo n’alangirira omulangirizi wakati mubo nga agamba nti: ‘Awatali kuwannaanya ekikolimo kya Katonda kiri kwabo abalyazamanyi!’.

45. Bebo abakugira ekkubo lya Katonda era nebalyagaliza obuwunjuwunju ate bebo nga enkomerero bagiwakanya.

46. Era wakati w’ebibinja ebibiri wa kubeerawo olukomera, ate nga eriyo obutunnumba obutumbivu obuliko abasajja abategeerera buli kibinja ku bubonero bwakyo. Olwo ne balamusa abantu bomujjana n’ebigambo ebigamba nti: ‘Emirembe gibe gyemuli!’. Bbo baali tebagiyingidde sso nga ddala bagyesunga.

47. Naye nga bwebakyusibwa amaaso gabwe okwolekezebwa abantu bomumuliro, bawanjaga nga bagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tukwegayirira obutatugatta wamu na bantu balyazamanyi!’.

48. Olwo abantu abali ku butunnumba obutumbivu ne bakoowoola abasajja be baamanyira ku bubonero bwabwe, n’ebigambo ebigamba nti: ‘Bye biki bye mwagasibwa mu bukuukuulu bwammwe gattako engeri gyemwali mwekuzaamu?’.

49. ‘Abaffe bebo nnyini be mwali mulayirirako nga bwekitasoboka Katonda ku bagemulira bya busaasizi?’. ‘Wamma mwe muyingire Ejjana teriiyo kutya kwe munaafuna era temujja kunakuwala’.

50. Olwo abantu bomumuliro ne bakowoola abantu bomujjana nga bagamba nti; ‘Bambi mutuweerezeeyo ku mazzi oba ebimu kwebyo Katonda bya bagabiridde!’. Nebabaddamu nti; ‘Mazima Katonda ebyo yabifuula bya muzizo eri abajeemu’.

51. Abo abaafuula eddiini yabwe okuba ey’okugoma n’okuzannyisa era nebubabuzaabuza obuwangazi bwensi. Olwaleero tulina okubeerabira nga nabo bwe belabira eby’okusisinkana olunaku lwabwe luno, era n’engeri amateeka gaffe gye baali bagawakanya.

52. Kale mazima twabaleetera ekitabo kye twateekateeka mu miteeko egy’enjawulo, nga tusinziira ku kumanya, nga kiruŋŋamya era nga bwe busaasizi bwa bantu abakkiriza.

53. Abaffe ekyaliyo ekirala kye balinda nga ajjeeko ebyo ebikivaamu? Olunaku lwebituuka ebikivaamu, abo abaalwerabira olubereberye balina okugamba nti: ‘Wew’awo abatume ba Mukama Katonda Omulezi waffe baaleeta amazima. Abaffe tunaafunayo abawolereza bonna abayinza okutuwolereza, nandiki eriyo akakisa k’okutuzzaayo tusobole okukola ebyawukana nabiri bye twali tukola?’ Mazima baafiiriza emyoyo gyabwe era nebibazaawako bye baali bajweteka.

54. Mazima Mukama Katonda Omulezi wammwe ye Allah asinzibwa oyo eyatonda eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga oluvannyuma n’atereera ku Nnamulondo. Abuutikiza ekiro omusana nga kiguwenja n’okugufefetta mu bwangu, era enjuba n’omwezi n’emmunnyennye byafuulibwa ebigonvu olw’okusalawo kwe. Mazima bubwe yekka obutonzi n’ebiragiro. Atukuzibwe Allah asinzibwa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

55. Musabe Mukama Katonda Omulezi wammwe mu bwetowaze, mazima yewuyo atayagala bewagguzi.

56. Era temwonoona munsi oluvannyuma lw’okugirongosa, nate mu musabe nga mu mutya n’okwesunga ebirungi bye. Mazima obusaasizi bwa Katonda buli ku lusegere lw’abo abalongosa.

57. Era y’oyo asindika empewo ezisaasaanya awawulira ag’essanyu nga zikulembedde obusaasizi bwe okutuusa lwe zikongojja ebire ebizito bye tufukumulamu enkuba ne tuginywesa ensi enkalajje era netugyeyambisa okussa amazzi wansi era netugeyambisa okufubutula mu ttaka buli kika kya bibala. Eyo y’engeri gye tuzuukizaamu ebifudde musobole okwebuulirira.

58. Era ensi engimu bifuluma ebimera byayo lwa kukkiriza kwa Katonda wayo. Ate eyo ey’olunnyo terinaayo by’efulumya okujjako ebikonzibye. Eyo y’engeri amateeka gye tugassiza mu miteeko gyago abantu abasiima.

59. Mazima twatuma Nuhu eri abantu be, n’abagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange musinze Allah, Mukama Katonda asinzibwa, temulinaayo asinzibwa yenna mutuufu atali Yye, nze kyembatiisa kwekufuna ekibonerezo ky’olunaku ekiyitirivu.

60. Abakungu mu bantu be ne bamugamba nti: ‘Mazima ffe tukwetegerezza nga oli mu bubuze obw’olwatu.

61. N’abaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange, ssirina ngeri gyembuzeemu, wabula nze ndi mubaka atumiddwa okuva ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

62. Ntusa gyemuli obubaka bwa Mukama Katonda Omulezi wange era mbabuulirira, era waliwo byemmanyi okuva ewa Katonda mmwe bye mutamanyi.

63. Abaffe ekyo nakyo kibewuunyisa okubeera nga kubatuuseeko okubuulirira okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe nga akuleese omusajja ava mummwe, asobole okubalabula, era nammwe kibasobozese okutya Katonda olwo mulyoke musaasirwe?’ 64. Kale baamulimbisa naffe netumuwonya n’abo beyali nabo mu lyato, era netuzikiriza bali abaalimbisa amateeka gaffe. Mazima abo be baali abantu ba muzibe.

65. Era abeekika kya Aad, twabatumira muganda wabwe Huudu. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Allah Mukama Katonda asinzibwa, temulinaayo asinzibwa yenna omutuufu atali Yye. Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?’

66. Abakungu mu bantu be abo abaajeema ne bamugamba nti: ‘Mazima ffe tukwetegerezza nga oli mu bya butaliimu, era mazima ffe tukitwalira ddala nti oli mulimba!’.

67. Yabaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange kyendiko nkitegeerera ddala bulungi, era ndi mubaka atumiddwa okuva ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

68. Ntusa gyemuli obubaka bwa Mukama Katonda Omulezi wange, era nze ndiwo gyemuli nga omubuulirizi omwesigwa!’.

69. ‘Abaffe ekyo nakyo kibewuunyisa okubeera nga kubatuuseeko okubuulirira okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wamwe nga akuleese omusajja ava mummwe, asobole okubalabula? Mujjukire engeri gye yabafuula abasigire oluvannyuma lw’abantu ba Nuhu, olwo nassa enkizo mu botonde bwammwe ey’obuwagguufu. Era mujjukire ebyengera bya Katonda mulyoke muganyulwe!’.

70. Baamubuuza nti: ‘Abaffe ekikuleese gyetuli kutugamba kusinza Katonda omu yekka bwatyi, olwo tuleke biri bakadde baffe bye baali basinza? Kale tutuuseeko byotulagaanyisa bwoba oli wa mazima!’.

71. Yabaddamu nti: ‘Mazima kimaze okubakkako okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, ekibonerezo n’okusunguwalirwa. Abaffe munkayanya mutya (kwebyo ebikwata) kumannya obunnya gemwetuumira mmwe mwennyini ne bakadde bammwe nga Katonda tagassizangawo nsonga yonna yesembesebwa? Kale mulindirire nange ndiwamu nammwe kyendiko kya kulindirira’.

72. Naffe ne tumuwonya ne beyali nabo olw’obusaasizi obuva gyetuli, era netusanyawo abo abaalimbisa amateeka gaffe era tebaali bakkiriza.

73. Era abeekika kya Thamud twabatumira muganda wabwe Swalih. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Allah Mukama Katonda asinzibwa, temulinaayo asinzibwa yenna mutuufu atali Yye. Mazima kibatuuseeko ekituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe. Yiino eŋŋamiya ya Katonda ereeteddwa gyemuli nga kya magero, mugireke erye butaala mu ttale lya Katonda. Era temugituusaako kikyamu olwo nekibaviirako okufuna ekibonerezo ekiruma!’.

74. ‘Era mujjukire engeri gye yabafuula abasigire oluvannyuma lw’omulembe gwa Aad, olwo n’abafuula abatuuze munsi nga mweyambisa ettaka lyayo erigonvu okuzimba embiri, era nga muwumuggula enjazi okuzifuula amayumba. Kale mujjukire ebyengera bya Katonda sso temubunyisa munsi eno bwonoonefu.

75. Abakungu mu bantu be abo abeekuluntaza nebabuuza bali abaalemesebwa okubaako kye basalawo, nga bebamu ku kibinja kyabali abakkiriza nti: ‘Abaffe nammwe mukimanyi nti Swalih mazima yatumibwa nga ava ewa Mukama Katonda Omulezi we?’ Nebabaddamu nti: ‘Mazima ekyo kye yatumwa nakyo tukikkiriza’.

76. Bali abekuluntaza nebagamba nti: ‘Mazima ebyo bye mukkiriza ffe tubiwakanya!’.

77. Olwo nebafumita eŋŋamiya era nebefuula ba kiwagi obutagoberera biragiro, era nebasoomooza nga bagamba nti: ‘Owange gwe Swalih, kale tutuuseeko byotulaganyisa bwoba oli mwabo abaatumwa!’.

78. Mangu ago nebatuukibwako okuyuuguuma kwa musisi, nebakeesa enkya nga mu mayumba gabwe gye bagaŋŋalamye nga mirambo.

79. Bwatyo yabaviira era n’abakomekkereza nga abagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange; mazima nabatuusaako obubaka bwa Mukama Katonda Omulezi wange, era nababuuliriranga, kyokka nga temwagala babuulirizi’.

80.Ne Luutu (twamutuma okugenda eri abantu be). Jjukira we yabuuliza abantu be nti: ‘Abaffe mwonoonese nekibaviirako n’okukola eby’obuwemu ebyo ebitalinaayo muntu nomu yali abakulembedde ya bikola mu bantu b’ensi yonna?

81. Mazima muweera ddala abasajja obwagazi (bwa mmwe) ne mulekawo abakyala. Mazima mmwe bantu abasussizza obwonoonyi!’.

82. Tewaaliwo ngeri ndala abantu be gye baayanukula okujjako okugamba nti: ‘Abo mu bagobe bave mu kyalo kyammwe! Mazima bebo abantu abetukuza obwetukuza!’

83. Kale twamuwonya n’abantu be nga ojjeeko mukyala we eyasigala mwabo abaabonerezebwa.

84. Era twabatonnyeseza enkuba. Kale werolere engeri gyeyali efanana enkomerero y’abajeemu.

85. Era ab’ekyalo kya Madiyana twabatumira muganda wabwe Swaibu. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Allah, Mukama Katonda asinzibwa. Temulinaayo asinzibwa mutuufu atali Yye. Mazima bubatuuseeko obutuukirivu obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe kale mutuukirize ebipimwa mu mirengo ne minzani era mukomye okukena (okuseera) abantu ebintu byabwe ebipimwa era kizira gyemuli okwonoona munsi oluvannyuma lw’okugirongosa. Ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli bwe muba muli bakkiriza.

86. Era mukomye okubeera ku makubo, nga mulagaanyisa abantu okufuna akabi, era nga mukugira ekkubo lya Katonda abo ababa bamukkirizza nga mugenderera okulikyamya. Ate mujjukire lwe mwali abatono n’abaaza. Era mwerolere engeri gye yali efanana enkomerero y’aboonoonyi’.

87. Kale bwe wabaawo ekibinja ekimu ekibeekutuddeko, ekyabo abakkiriza ebyo bye watumwa nabyo, era nga ekibinja ekirala tekyabikkiriza, olwo nga mugumiikiriza okutuusa Katonda lwanaalamula wakati waffe. Era yewuyo asinga obulungi obulamuzi.

88. Abakungu mu bantu be abo abeekuluntaza ne bagamba nti: ‘Mazima tujja ku kukugobera ddala ggwe Swaibu, nga oli wamu naabo abakkiriza nawe, okuva mu kyalo kyaffe, oba ssi ekyo oteekwa okudda ku nzikiriza zaffe!’. N’ababuuza nti: ‘Nebwetunaaba tukakiddwa bu kakibwa?’.

89. ‘Amazima gennyini, olwo tuba tujwetese ku Katonda obulimba bwe katutanda ne tudda mu nzikiriza zammwe oluvanyuma lwa Katonda okutuwonya ne tuzivaamu. Era tekitusaanira kudda mwebyo okujjako nga Allah, Mukama Katonda Omulezi waffe y’akyagala. Mukama Katonda Omulezi waffe yebunguluza buli kintu okukimanya. Katonda yekka ffe gwe twesigamidde. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tagguluza wakati mu bantu baffe n’amazima era ggwe asingayo obulungi mu batagguluzi!’.

90. Olwo abakungu mu bantu be abo abaajeema ne bagamba nti: ‘Bwemugezaako okugoberera Swaibu, olwo muba mufaafaaganiddwa!’.

91.Mangu ago kwabatuukako okuyuuguuma kwa musisi ne bakeesa enkya mu mayumba gabwe nga bagaŋŋalamye mirambo.

92. Bonna abaajeemera Swaibu ne baba nga abataageeyagaliramu ko (amakka gabwe). Bonna abaajeemere Swaibu be baatuusibwako okufaafaaganirwa.

93. Bwatyo ya baviira era na bakomekkereza nga agamba nti: ‘Abange mwe abantu bange: Mazima nabatuusaako obubaka bwa Mukama Katonda Omulezi wange era nababuulirira. Ate nnyinza ntya okunakuwala ku lwa bantu abajeemu?’.

94. Era teriiyo kyalo kye twatumira Nnabbi okujjako nga tukangavvula abantu bakyo n’obunkuseere n’endwadde ekyo kibasobozese okwetoowaza.

95. Oluvannyuma netuwaanyisa ekifo ky’ekibi netussaamu ekirungi okutuusa lwe bagaggawala era nebanyumya nti: ‘Mazima bwatuuka ku bakadde baffe obunkuseere era baafuna n’essanyu.’ Olwo bonna ne tubabonereza kibwatukira nga babadde tebakimanyi.

96. Naye singa abantu b’ebibuga ebyo bakkiriza era ne batya Katonda, twalibeerulidde emikisa egifubutuka muggulu n’ensi. Kyokka baalimbisa olwo ne tubabonereza nga tubalanga bye baali bakola.

97. Abaffe bafunyeyo obwesige okufuna emirembe abantu b’ebibuga obutatuukibwako kibonerezo kyaffe matumbi budde nga beebase?.

98. Nandiki bafunyeyo obwesige okufuna emirembe abantu b’ebibuga obutatuukibwako kibonerezo kyaffe awo mu kalasamayanzi nga batiguka?.

99. Abaffe bafunyeyo obwesige okufuna emirembe obutatuukibwako kakodyo ka Katonda? Teriiyo alina bwesige okufuna emirembe obutatuukibwako kakodyo ka Katonda okujjako abantu abaafaafaagana.

100. Abaffe balemerwa kuki okwetegereza embera yabo abasikira ensi oluvannyuma lwa ba nnyiniyo, okubanga ssinga twagala tuba tubatuusaako ekibonerezo olw’ebyonoono byabwe. Era netussa envumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira!

101. Ebyo by’ebibuga bye tukuttottolera ebimu ku byafaayo byabyo. Era mazima tebyalitanudde kukkiriza bwosinziira kungeri gye byalimbisa olubereberye. Bwatyo Katonda bwametta envumbo ku mitima gy’abajeemu.

102. Era tewali betwali tusanze abasinga obungi ku kibinja kyabwe nga batuukiriza endagaano. Era mazima twasanga abasinga obungi ku kibinja kyabwe nga ddala boonoonefu.

103. Oluvannyuma twatuma Musa, nga bali baweddewo, n’ebyamagero byaffe agende ewa Firawo n’abakungu be, kyokka ne babijeemera. Kale werolere engeri gyeyalimu enkomerero y’abajeemu.

104. Era Musa yagamba nti: ‘Owange gwe Firawo: mazima nze mubaka avudde ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

105. Ntekeddwa okubakakasa nti tewali kyenjogera ku Katonda okujjako amazima. Awatali kuwannaanya mbaleetedde ebyamazima ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, kale kkiriza bagende nange abaana ba Isirail.

106. Yamuddamu nti: ‘Bwewaba waliwo ekyamagero kyozze nakyo, kijjeeyo okirage, bwoba obadde omu ku baamazima!’

107. Olwo yasuula ddamula ye wansi, bwetyo n’efuuka ssessota eyeeyerudde.

108. Era yasowolayo omukono gwe, olwo neguba nga gutangalijja mweru eri abagwerolera.

109. Abamu ku bantu ba Firawo abakungu baagamba nti: ‘Amazima gennyini ono ye mulogo nnakinku!’

110. Ky’ayagala kwe kubafulumya munsi yammwe. Kati kiki kye musalawo okulagira? (bwatyo Firawo bweyabuuza).

111. Baddamu nti: ‘Sooka omuzzeeyo ne mugandawe, bwomala osindike mu kibuga ekitongole ekifeffessi.

112. Kikuleetere abalogo bonna ba kakensa.

113. Era abalogo bwe baatuuka eri Firawo baabuuza nti: ‘Abaffe waliwo empeera yonna gye tunaafuna bwetunaaba nga mazima ffe bawanguzi?’

114. Yaddamu nti: ‘Wew’awo era mazima muba olwo mufuuse ba kumwanjo’.

115. Nebagamba nti: ‘Gwe Musa, oyinza okusooka okwanja ebibyo oba ssi ekyo okuba nga ffe tusooka okwanja ebyeffe’.

116.Yabaddamu nti: ‘Mwanje ebyammwe!’ Era byonna bwe babyanja baaloga amaaso ga bantu era ne babatiisa era baaleeta kalonda w’eddogo omuyitirivu.

117. Olwo netubikkulira Musa obubaka obumulagira nti: ‘Suula wansi ddamula yo’. Olwo (ddamula) n’atandika okumiringusa bye begunjizaawo. 118. Kale amazima gaasimba amakanda era ne bisaanawo ebyo bye baali bakola.

119. Kale awo baawangulirwawo bubi nnyo, era baddayo nga bawebuuse.

120. Ate abalogo beesanga nga baavunnamye dda ku ttaka (olw’okugulumiza kye balabye).

121. Baagamba nti: ‘Ffenna tukkirizza Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

122. Mukama Katonda Omulezi wa Musa ne Haruna!’.

123. Firawo n’ababuuza nti: ‘Oyo mu mukkiriza mutya nga ssisoose kubawa lukusa?, Mazima olwo lwe lukwe lwe mwekobaanye okukola mu kibuga kino olw’okubasobozesa okukigobamu abatuuze bakyo! Kale mujja tukimanya!’.

124. Nja kubatemerako ddala emikono gyammwe n’amagulu gammwe mu mpulikanya oluvannyuma mbabambire ddala ku mmambo!’

125. Baddamu nti: ‘Ffenna mazima eri Mukama Katonda Omulezi waffe gyetugenda okudda.

126. Ate teriiyo nsonga ndala gyotulanga okujjako okuba nti tukkirizza ebyamagero bya Mukama Katonda Omulezi waffe, bwebimaze okututuukako. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tubundugguleko obugumiikiriza obw’enjawulo era otulwale ekaganga nga (tuli basiraamu) twewaddeyo mu mateeka go.

127. Olwo abakungu mu bantu ba Firawo abamu ne babuuza nti: ‘Osazeewo otya okuleka Musa n’abantu be okusaasaanya obwonoonefu munsi era batuuke okukwabulira ne balubaale bo bonna?’. Yabaddamu nti: ‘Tujja kutirimbulira ddala abaana babwe ab’obulenzi tulekewo ab’obuwala era mazima ffe tujja kubeera waggulu wabwe nga tu bibakaka okubikola.

128. Musa yalagira abantu be nti: ‘Muwanjagire Katonda okubayamba era mube bagumiikiriza. Mazima ensi ya Katonda agisikiza oyo gwayagala mu baddu be. Ate enkomerero ennungi yaabo abatya Katonda!’.

129. Baayanja okwemulugunya (eri Musa) nti: ‘Tukijjanyiziddwa bwewali tonnajja gyetuli ate n’oluvannyuma lw’okujjakwo gyetuli!’. Yaddamu nti: ‘Oba olyawo Mukama Katonda Omulezi wammwe ajja kuzikiriza omulabe wammwe olwo abe nga abasikiza ensi era atunuulire binaaba bitya byemukola!’.

130 Kale mazima twatuusa ku bantu ba Firawo obunkuseere n’okukendera kw’ebibala eby’okulya kibasobozese okwebuulirira.

131. Kale buli ekirungi lwekiba kibatuuseeko bagamba nti: ‘Kino ffe kyekyaffe!’. Ate buli lwekiba kibatuuseeko ekibi, nga ekikwa bakizza ku Musa n’abo abali naye. Awatali kuwannaanya, ebyo eby’ekikwa bye balimu bisalirwawo wa Katonda wabula abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebamanyi.

132. Era baagamba nti: ‘Nebwebinenkana bitya ebyo byotuleetera nga byamagero olw’okubyeyambisa okutuloga, era ffe kikafuuwe okukukkiriza!’.

133. Olwo twabasindikira amataba n’enzige n’ensekere n’ebikere n’omusaayi nga byamagero ebyali mu miteeko egyenjawulo ebimatiza obutalekaayo kakunkuna. Era bekuluntaza olwo nebaba nga be bantu aboonoonefu.

134. Kyokka bwe kyabatuukako ekibonerezo makunale, baawanjaga nti: ‘Owange ggwe Musa, tusabire Mukama Katonda Omulezi wo okusinziira ku ndagaano gye yakola nawe gyolina. Bwonooba otujjiddewo kino ekibonerezo makunale olwo nga tukukkiriza awatali kuwannaanya era nga tukulekera ddala okugenda n’abaana ba Isirail!’.

135. Naye bwe twabajjirawo ekibonerezo makunale okumala ekiseera kyebaalina okuyitamu okwejjuukiriza nga baddamu dda obutatuukiriza.

136. Olwo twabesasuza netubazikiriza mu nnyanja nga tubalanga engeri gye baalimbisa ebyamagero byaffe era nga baali byonna tebabifaako.

137. Ne tusikiza abantu abaali baalemesebwa okubaako kyebasalawo, ebuvanjuba w’ensi n’ebugwanjuba wayo, nga yeyo gye twassaamu emikisa. Olwo nekituukirira ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi wo ekirungi kye yalagaanyisa abaana ba Israil olw’engeri gye baagumiikiriza. Era twabetenta ebyo byonna Firawo bye yali akola n’abantu be n’amalimiro ge baali batindira.

138. Olwo netusomosa abaana ba Isirail ennyanja. Naye bwe baatuuka ku bantu abatasegulira bifananyi byabwe bye basinza, baasaba nti: ‘Owange ggwe Musa; tuteerewo naffe omusinzibwa nga nabali bwe balina abasinzibwa!’ Yabaddamu nti: ‘Mazima mmwe bantu abatategeera!’.

139. Mazima bali kuzikirira kwennyini kwe balimu era bifu bweffuffululu bye baali bakola!’.

140. Yababuuza nti: ‘Nnyinza ntya okulekawo Katonda nembasiimirayo ekisinzibwa ekirala, awamu n’okuba nti ye wuyo eyabawa enkizo esukkuluma abalala munsi yonna?’.

141. Era mujjukire lwe twabawonya abantu ba Firawo nga babatuusaako agabonerezo agazito. Batirimbula abaana bammwe ab’obulenzi era nga balekawo ab’obuwala. Kale ekyo mmwe mwakifunamu ekigezo nga kiva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe nga kinene.

142. Era twalaganyisa Musa ebiro asatu netubijjuuliriza n’ebirala kkumi. Nelijjula ebbanga eriraganyise lye yamala ne Mukama Katonda Omulezi we ebiro makumi ana. Olwo Musa n’alagira muganda we Haruna nti: ‘Beera omusigire wange mu bantu bange era longosa, kyokka wewale okugoberera oluwenda lw’abonoonyi!’.

143. Era Musa bweyajja okutusisinkana, Katonda amale ayogeranye naye, yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, njoleka ekirabo ky’okukwerolera!’ Yamuddamu nti: ‘Tekisoboka ggwe okundaba, mpozzi tunuulira olusozi. Bwelutaave mu kifo kyalwo olwo ojja kundaba!’. Kyokka Mukama Katonda Omulezi we bwe yeyoleka eri olusozi yaluleetera okuseeteera neluggwaawo! Musa naagwa eri nga yazirise dda. Bweyadda engulu yenenya nga agamba nti: ‘Obutukuvu bube gyoli. Ai Mukama gunsinze mu maaso go, nneenenyezza gyoli era nze nja okuba omusaale mu bakkiriza.

144. Yamutegeeza nti: ‘Owange ggwe Musa, mazima nkulonze okukusindika eri abantu n’obubaka bwange wamu n’ebigambo byange. Kale nywerera kwebyo byenkugemulidde era beera mwabo abasiima.

145. Olwo ne tumuwandiikira ku mbajjo z’amayinja ebintu byonna nga kubuulirira n’okussa buli nsonga mu mitendera gyazo: ‘Kale bikwase buvumu era lagira abantu bo babigoberere olw’engeri gyebirina enkizo mu kuba ebirungi. Nja kubooleka ensi y’abajeemu.

146. Nja kwebalamya amateeka gange, nga ngajja kwabo abekuluntaza munsi mu bitali bituufu. Era bwe balabawo etteeka lyonna tebalikkiriza. Ate bwe balaba ekkubo ly’obuluŋŋamu tebalifuula kkubo lya kugoberera, era bwebalaba ekkubo ly’okubula balifuula ekkubo ly’okugoberera. Ekyo kiri bwekityo kubanga mazima baalimbisa amateeka gaffe era nga baali tebagafaako’.

147. Ate abo abaalimbisa amateeka gaffe n’olusisinkana lw’enkomerero, gyafattogge emirimu gyabwe. Abaffe, eriyo ekirala kye basasulwa okujjako ebyo bye baali bakola?.

148. Kale abantu ba Musa nga amaze okubavaamu beekolera mu by’okunekaaneka byabwe ekifananyi ky’akayana k’ente nga kibiribiri ekivaamu okuwuuma. Abaffe balemwa batya okwelolera nti mazima tekisobola kwogeranya nabo wadde okubaluŋŋamya ekkubo ettuufu. Ekyo kye beteerawo okukisinza, era baali bakuusa.

149. Naye bwekyamala okubasuuzibwa nga kiva mu mikono gyabwe era nebalaba nga mazima baabulira ddala, baagamba nti: ‘Bwanaaba tatusaasidde Mukama Katonda Omulezi waffe era naatusonyiwa mazima tujja kubeerera ddala mwabo abaafaafaaganirwa’.

150. Kale Musa bweyaddayo eri abantu be nga musunguwavu ajjudde ennyiike yabanenya nti: ‘Byakivve ebyo bye mwakola nga nvuddewo. Abaffe mwasalawo okupapira ensonga ya Mukama Katonda Omulezi wammwe?’ Olwo n’asuula wansi embajjo z’amayinja. Era yakwata omutwe gwa mugandawe nga amusikambula. Yamutegeeza nti: ‘Mwana wa nnyabo, mazima abantu bano bannemesa okusalawo ekintu kyonna era baabulako katono okunzita, kale tonfula kisekwa wa balabe era tombalira wamu n’abantu abajeemu!’.

151. Naasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, Nsonyiwa ne muganda wange era otuyingize mu busaasizi bwo. Kale ggwe wuyo Lusaasira asinga abasaasizi!’.

152. Mazima abo abeeteerawo akayana kente okukasinza bujja kubatuukako obusungu obuva ewa Mukama Katonda Omulenzi wabwe n’obunyomoofu mu buwangazi bwensi. Era eyo yengeri gye tusasula abajwetesi.

153. Ate abo abazza emisango bwe bamala nebeenenya oluvannyuma lw’ebyo era nebakkiriza, mazima Mukama Katonda Omulezi wo oluvannyuma lw’ebyo abeera Musomyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

154. Kale bwe bwamala okwamuka ku Musa obusungu, yakwata embajjo z’amayinja nga ziwandiikiddwako eby’obuluŋŋamu n’obusaasizi ebyayawulirwa abo abeewaayo ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe okuba nga bamutya.

155. Olwo Musa n’alonda mu bantu be abasajja nsanvu okujja okutusisinkana mu kiseera kye twabalagaanyisa. Naye bwe kwabatuukako okuyuuguumizibwa okwamaanyi, yagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, ssinga wakyagala waalibadde wabazikiriza dda lubereberye wamu nange. Abaffe osazeewo okutuzikiriza ffenna olw’ebyo bye bakoze abanafu mu kutegeera abali muffe? Ate mazima ekyo ky’ekigezo kyo kyennyini, okibulizaako boba oyagala era n’oluŋŋamya boba oyagala. Yeggwe Mwene omweyimirize waffe, tukwegayirira otusonyiwe era otusaasire. Anti ggwe asingayo obulungi mu basonyiyi’.

156. ‘Era tuwandiikeko mu nsi eno birungi bisa ne kunkomerero, fenna twenenyezza netudda mu buluŋŋamu gyoli!’. Yaddamu nti: ‘Ekibonerezo kyange nkituusa kwoyo gwemba njagala. Era Obusaasizi bwange bwabuna ebintu byonna. Kale nja kubuwandiika kwabo abatya Katonda era abawaayo Zaka era naabo ababa nti amateeka gaffe bagakkiriza.

157. Bebo abagoberera omubaka Nabbi ataasoma biwandiiko oyo bali gwe basanga nga yakakasibwa dda mu biwandiiko bye balina ebisangibwa mu Tawuleeti n’Enjiri, nga abalagira empisa ennungi era abaziyiza amayisa amabi, era nga abakkiriza ebintu ebirungi era nga abaziyiza ebintu ebibi era nga abajjirawo obuzito bwebasanga n’amateeka amakakali ge baali balina okutuukiriza. Kyokka abo abaamukkiriza era abaamussaamu ekitiibwa era abaamutaasa era abaagoberera obutangavu obwo obwassibwa gyali wamu n’obwa Nnabbi bwe, bebo abaganyulwa.

158. Gwe bagambe nti: ‘Abange mmwe abantu; mazima nze mubaka wa Katonda eyatumwa gyemuli mwenna. Nga yoyo Nnannyini bufuzi obw’eggulu n’ensi. Teriiyo asinzibwa okujjako Yye. Alamusa era Afiisa, kale mukkirize Katonda n’Omubaka we Nnabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambo bye. Era mu mugoberere kibasobozese okuba abaluŋŋamu.

159. Kale abamu ku bantu ba Musa mulimu ekibiina ekiruŋŋamya nga kyeyambisa amazima, era gego ge beyambisa okukola obwenkanya.

160. Kale twabaawulamu amasiga kkumi n’abiri nga bika biramba. Olwo netubikkulira Musa obubaka, bwe baamusaba okunywesebwa amazzi abantube, obumulagira nti: ‘Kubisa ddamula yo ku jjinja!’ Olwo nerifukumukamu ensulo kkumi nabbiri. Mazima baamanya abantu bonna obunywero bwabwe obwamazzi. Era twa basiikiriza ekire era twabassiza manna n’obutiitiri: (netubalagira nti) mulye ebimu ku birungi bye tubagabidde! Kale teriiyo ngeri gyebaatuyisaamu bubi, wabula myoyo gyabwe gye baali bayisa obubi.

161. Era mujjukire lwe baagambibwa nti: ‘Mubeere batuuze ku kyalo kino era mufuneemu eby’okulya nga mubijja yonna gyemwagala era mwetonde nga mugamba nti ‘Gunsinze’, era muyingire wankaki nga mukutaamiridde tube nga tubasonyiwa ensobi zammwe. Tujja kubawa ennyongeza abalongosa.

162. Kale kyasalawo ekibinja ekimu ekyabo abaalyazamanya okukyusa ekigambo neboogera ekitali kiri ekyabalagirwa, olwo netubasindikira ekibonerezo makunale nga kiva muggulu olw’ebyo bye baali bakola mu bujeemu.

163. Kale babuuze ebikwata ku kyalo ekyali ku lubalama lw’ennyanja, mukiseera webaali bavubira ku lunaku lwa Ssabbiiti awo we byabajjiranga ebyennyanja byabwe ku lunaku lwa Ssabbiiti yabwe nga bidda kungulu, ate nga olunaku olutali lwa Ssabbiiti tebyabajjiranga. Yeyo engeri gye tubagezesa nga tubalaga bye baali boonoona mu bugenderevu.

164. Era mujjukire ekibinja kiramba ekyava mubo ekyagamba nti: ‘Lwaki mubuulirira abantu, Katonda baalina okusaanyawo, oba okubabonereza ekibonerezo ekiyitirivu?’ Nebaddamu nti: ‘Wabulwewo okwekwasa kwonna ewa Mukama Katonda Omulezi wamwe, era n’okuba nti bandisobola okutya Katonda’.

165. Kale bwebaamala okwelabira ebyababuulirirwa. Twawonya bali abeewala ebyonoono era netutuusa kwabo abaalyazamanya ekibonerezo ekikakali olw’ebyo bye baali boonoona.

166. Era bwe befuulira ddala ba kiwagi obutalekaayo ebyabagaanibwa, twabalagira nti mufuuke enkobe ezeewalibwa.

167. Jjukira lwe yayisa ekirangiriro Mukama Katonda Omulezi wo, ekirambika nti, ajja kusindikira ddala gyebali, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero abo ababatuusaako ekibonerezo kinnamutta. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo mwanguyiriza wa kubonereza, era yewuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okweyawulo.

168. Kale twabaawulayawula munsi ebibinja, mulimu abalongosa enkola era mulimu abatatuuka kwekyo, ate twabagezesa n’okufuna ebirungi n’ebibi basobole okweddamu.

169. Era baabaddira mu bigere abasigire abaasikizibwa ekitabo, abettanira okufuna ebibuzaabuza by’ensi eby’okuggwawo, era abagamba nti: ‘Ffe tuli ba kusonyiyibwa, ate bwebibatuukako ebibuzaabuza by’ensi ebirala ebifanana biri, babikkiriza okubitwala. Abaffe betwala nga abatakolebwangako nabo ndagaano eyakakasibwa mu kitabo, nga erambika nti: ‘Kyamuzizo gyebali okwogera ku Katonda okujjako amazima’, era nga baasoma n’obwegendereza ebigirimu? Kale obuwangazi obwesiimisa obw’enkomerero bwebusinga obulungi, bwategekerwa abo abatya Katonda. Abaffe mulemeddwa okutegeera?

170. Era abo abanwerera ku kitabo era abayimirizaawo okusinza nga basaala, mazima ffe tetusuula muguluka mpeera y’abalongosa mirimu.

171. Mujjukire lwe twalengezza olusozi waggulu, olwafanana ekire ekibasiikirizza, era baalowooleza ddala nti lwakubagwako. (Olwo netubalagira nti): ‘Munywerere kwebyo bye twabawa namaanyi era mujjukire byonna ebibirimu kibasobozese okutya Katonda’.

172. Era jjukira Mukama Katonda Omulezi wo lwe yajja kubaana ba Adam, ku migongo gyabwe, enkololo (ensibuko) z’obuzaale bwa bazzukulu babwe, era naabasobozesa okwewaako obujulizi bweyababuuza nti: ‘Ssinze Mukama Katonda Omulezi wammwe?’ Baddamu nti: ‘Wew’awo kituufu’. Ekyo kye tuwaddeko obujulizi, mubulweyo abewozaako ku lunaku lw’amayimirira nti mazima ffe twali ebyo tetubifaako.

173. Oba okwewozaako nti: ‘Mazima abo abaasamira be bajjajja ffe abaaliwo olubereberye, era ffe bazzukulu abajja oluvannyuma lwa bali. Abaffe osazeewo okutuzikiriza olwabiri bye baakola abajeemu?’

174. Kale eyo yengeri gyetuteekulula amateeka olwo kibasobozese okweddako.

175. Kale basomere eggulire ly’oli gwe twawa amateeka gaffe okugagoberela kyokka n’ageeyubulamu, olwo Ssitaani neemugwa mu buwufu. Era yali mwabo abaabula.

176. Kale singa twayagala twalimusitudde mu madaala nga getweyambisizza (amateeka ge twamuwa) wabula yeebala nga ow’okusigala olubeerera kunsi n’agoberera okwagala kwe. Kale enfanana yoyo terina njawulo na ya mbwa, singa ogikaluubiriza ewejjawejja, ate nebwogireka ewejjawejja. Eyo y’enfanana y’abantu abo abaalimbisa amateeka gaffe. Kale ggwe nnyonnyola ebyafaayo byonna kibasobozesa okwefumintiriza.

177. Mbi nnyo enfanana y’abantu abo abaalimbisa amateeka gaffe, era emyoyo gyabwe baali bagiryazamaanya.

178. Oyo yenna Katonda gwaluŋŋamya, afuna obuluŋŋamu era oyo yenna gwabuza nga bebo abafaafaaganirwa.

179. Ate mazima twasibulira ggeyeena enkuyanja mu bibinja bya maginni n’abantu ab’okuguyingira. Balina emitima gyebateyambisa kulaba, era balina amatu gebateyambisa kuwulira. Bebo abafanana ensolo ezirundidwa. Mubutuufu ate bbo be basinga okubula. Bebo abalagajjavu.

180. Kale ga Katonda yekka amannya amalungi era mumusabe nga mugeyambisa. Ate muve kwabo obawuguka nga bava ku mannya ge. Bajja kusasulwa bye baali bakola.

181. Ate ekibinja kyabo be twatonda mweyawulamu ekibiina ekiruŋŋamya nga kyeyambisa amazima, era gego gebeyambisa okutuukiriza obwenkannya.

182. Kyokka bali abaalimbisa amateeka gaffe tujja kubatwaliriza mpola (nga boolekedde okuzikirira era bakutuukeko) mukiseera kyebatamanyi.

183. Era mbalindirizaako bulindiriza. Mazima obukodyo bwange bunywevu

184. Abaffe baasalawo okulemwa okufumintiriza? Tewali ky’alina, mukwano gwabwe, mu kika kya kazoole. Mazima oyo tewali ngeri ndala gyatwalibwamu okujjako okubeera omulabuzi wabantu ow’olwatu.

185. Abaffe baasalawo okulemwa okwerolera ebiri mu bwa Kabaka bw’eggulu n’ensi n’ekintu kyonna ekirala ekyo Katonda kyeyatonda, n’ekyokuba nti mazima oba olyawo esembedde gyebali entuko yabwe? Olwo ate bigambo bya nnaba ki ebirala nga ojjeeko ebyo byebakkiriza?

186. Oyo yenna Katonda gwabuza, teriiyo amuluŋŋamya. Era abaleka mu bubuze bwabwe nga bawunaawuna.

187. Bakubuuza ebifa ku ssaawa envannyuma ddi lwekakata? Ggwe baddemu nti: ‘Eky’okumanya ekiseera kyayo kiri ku Mukama Katonda Omulezi wange. Mpawo ayinza kussa mu lwatu biseera byayo okujjako Yye. Kyazibuwala eky’okugimanya muggulu n’ensi. Ssi ya kubatuukako okujjako ekibwatukira. Bagikubuuza noba nga ggwe kakensa wayo. Ggwe baddemu nti: ‘Mazima okugimanya kwonna kuli wa Katonda yekka, naye wabula abantu abasinga obungi tewali kyebamanyi.

188. Ggwe bategeeze nti teriiyo kyenninako buyinza kutuusa ku mwoyo gwange nga kya mugaso newankubadde eky’omutawaana okujjako ekyo Katonda kyayagadde. Era ssinga nnali mmanyi ebyama nnaaliyitirizza okwetuusaako ebirungi era ssaalituukiddwako kibi. Mazima ssirinaayo ngeri ndala gyenneemanyiiko okujjako okubeera omulabuzi era omusanyusa w’abantu abakkiriza.

189. Yewuyo eyabatonda nga abajja mu mwoyo gumu era n’agujjamu mukyala wagwo asobole okubeera naye. Naye bwe yamumanya mukyama, wawanirira ettu nga likyali kasirikitu, neriyisaawo akaseera nga alirina. Naye bwe lyafuuka ezzito, bombi baalaajanira Mukama Katonda Omulezi wabwe nti: ‘Ssinga Ai Mukama omutuwadde (omwana) nga mulongofu mazima tujja kubeera mwabo abasiima. 190. Naye bwe yabamuwa bombi nga mulongofu. Bombi baddira oyo eyabawa nebamugattako mwekyo kye yabawa ebintu ebirala. Kale agulumizibwe Katonda asinzibwa Allah nga ayawulibwa kwebyo bye bagattika.

191. Lwaki bayimbagatanya ebyo ebitalinaayo kyebitonda, sso nga bbyo bye bitondebwa?

192. Era tebisobola kubaako kyebibataasa, era baalemwa emyoyo gyabwe okugitaasa.

193. Kale ssinga obakoowoola okudda eri obuluŋŋamu tebayinza kubugoberera. Tewali njawulo gye mufuna kakibe nti mubakoowodde oba musazeewo kwesirikira.

194. Mazima ebyo byemukoowoola nga muleseewo Katonda, byonna biri mu luse lw’obuddu eri Katonda okufananako nga mmwe bwemuli abaddu be. Kale mubikoowoole mulinde oba bibaanukula bwe muba muli ba mazima.

195. Abaffe birinayo amagulu gebisobola okutambuza? Nandiki birinayo emikono gyebisobola okukwasa? Nandiki birinayo amaaso gebisobola okulabisa? Nandiki birinayo amatu gebisobola okuwuliza? Gwe basoomooze nti: ‘Mukoowoole ba lubaale bammwe bwemumala mwekobaane okunkolera enkwe era nga teriiyo kye munnindiriza!’.

196. Mazima Ddunda wange ye Katonda asinzibwa Allah oyo eyassa ekitabo era yoyo akuuma abakkiriza.

197. Kyokka ebyo bye mukoowoola nga mumuleseewo tebisobola kubataasa era byalemwa byo byennyini okwetaasa

198. Era bwobikoowoola okudda eri obuluŋŋamu tewali kye biwulira. Sso nga obiraba bitunula gyoli, ate nga tewali kyebiraba.

199. Ggwe nywerera ku kusonyiwa era lagira empisa ennungi ate webalame abatategeera.

200. Kyokka ssinga obuzaabuzibwa mu birowoozo nga luva wa Ssitaani olubuzaabuza olwo, nga owanjagira obukuumi bwa Katonda asinzibwa Allah (akukuume), mazima ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

201. Mazima abo abatya Katonda bwe baba batuukiddwako endowooza nga ebasonsekeddwamu okuva ewa Ssitaani, bajjukira Katonda olwo neweesanga nga balaba ekituufu.

202. Kyokka baganda bazo (zi Ssitaani) zibawalaawala mpola okubannyika mu bubuze oluvanyuma nebatasobola kuddirira.

203. Ate bwoba tobaleeteddeeyo kyamagero, bebuuza nti: ‘Lwaki waakiri takigunjizzaawo?’. Ggwe baddemu nti:’Mazima ebyo byokka byengoberera byebyo ebimbikkulirwa nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wange. Eyo y’endabiso eva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe era obuluŋŋamu era obusaasizi bwabo abantu abakkiriza.

204. Kale bweba nga Qur’an (Ssemusomwa) asomeddwa mugiwulirize era musiriikirire kibasobozese okusaasirwa.

205. Era jjukira Mukama Katonda Omulezi wo mu mwoyo gwo mu bwetoowaze n’okumutya era n’obutasitula ddoboozi nga oyogera ebigambo ebimutendereza awo ku nkya n’akawungezi era tobeera wamu n’abalagajjavu.

206. Mazima abo abali ewa Mukama Katonda Omulezi wo tebekuluntaliza ku kya kumusinza era bamutendereza nnyo, ate nga ye yekka gwe bavunnamira.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *