Skip to content
Home » 30. Ar – Room (Roma)

30. Ar – Room (Roma)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(30) ESSUULA: ARRUUM, ‘ROMA’

Yakkira makka: Erina Aya 60

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif.Lam. Mim.

2. Ewanguddwa Roma

3. Mu kiwonvu eky’okumwanjo ekisinga okuba eky’ebuziba kunsi, naye abo oluvannyuma lw’okuwangulwa kwabwe bajja kuwangula.

4. Mu myaka ssi mingi. Kwa Katonda okusalawo okwasooka n’okw’oluvannyuma. Era lwelunaku (olwo) kwe bajaganyiza abakkiriza.

5. Olw’okutaasa kwa Katonda. Ataasa gw’ayagala. Era yewuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. (Ekyo kye) kisuubizo kya Katonda. Mpawo Katonda lw’atatuukiriza kisuubizo kye wabula abantu abasinga obungi tebamanyi.

7. Bamanyi biri kungulu eby’obuwangazi bw’ensi naye nga bbo ebikwata ku nkomerero bebo abatafaayo.

8. Abaffe balemeddwa okufumintiriza mu mmeeme yabwe? Katonda teyanditonze ggulu nansi n’ebyo ebiri wakati wa byombi okujjako olw’ensonga entufu n’entuko ezasalibwawo edda. Kyokka abasinga obungi mu bibinja by’abantu, eky’okusisinkana Mukama Katonda Omulezi wabwe ddala bawakanyi.

9. Abaffe balemeddwa okutambula munsi okwerolera bukya bw’ebeera enkomerero y’abo abaabasookawo? Baali be basinga ebibinja by’abo amaanyi era baalima munsi era baagikulaakulanya okusinga engeri abo gye baagikurakulanya, era baabatuusaako ababaka babwe obunnyonnyofu. Kale Katonda tekyamugwanira kuba nti abalyazamanya wabula bbo baali myoyo gyabwe gye balyazamanya.

10. Oluvannyuma neeba enkomerero y’abo abeedibaga (kubatuusaako) kabi olw’engeri gye baalimbisa amateeka ga Katonda n’engeri gye baali nga bavvoola.

11. Katonda atandikawo (okutonda) obutonde oluvannyuma abuzzaawo oluvannyuma gyali gye muzzibwa.

12. Era olunaku lw’etuuka essaawa (envannyuma) ba kusoberwa abonoonyi.

13. Era tebalifunayo okuva mu balubaale babwe babawolereza, era ba kuba nti balubaale babwe babegaana.

14. Era olunaku lw’etuuka essaawa (envannyuma) ku lunaku olwo ba kubuna emiwabo.

15. Kyokka abo abakkiriza era abaakola ebirungi abo bebookuba mu bulimiro obuyoyoote nga basanyusibwa.

16. Ate abo abaawakanya era abaalimbisa amateeka gaffe n’olusisinkana olw’oluvannyuma, bebo abookuba mu bibonerezo obutavaamu (okulekebwa omwo okusiisira).

17. Kale atenderezebwa Katonda bwe mutuusa akawungezi ne lwe mutuusa enkya.

18. Era gage yekka amatendo amalungi agali mu ggulu n’ensi, n’ekiro (atenderezebwa) n’awo nga mutuusizza ettuntu.

19. Aviisa ekiramu mu kifu era aviisa ekifu mu kiramu era alamusa ensi oluvannyuma lw’obufu bwayo. Kale eyo y’engeri gye muzuukizibwa.

20. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) kwe kubatonda nga abajja mu ttaka oluvannyuma ne mubeera (nnasiisi wa) abantu abali buli wamu.

21. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) kwe kubatondera nga aviisa mu mmwe abakyala kibasobozese okuwummulira gye bali era yatondeka wakati mummwe omukwano n’obusaasizi. Mazima ekyo kirimu ebyamagero (ebiyigiriza) eri abantu abafumintiriza.

22. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) bwe butonde bw’eggulu n’ensi n’enjawulo y’ennimi zammwe (ezogerwa) n’amabala gammwe. Mazima ekyo kirimu ebyamagero (ebiyigiriza) eri abamanyi.

23. Era ebimu ku by’amagero bye (ebiyigiriza) y’engeri gye mwebaka ekiro n’emisana n’engeri gye munoonya ebimu ku birungi bye. Mazima ekyo kirimu ebyamagero (ebiyigiriza) eri abantu abawulira.

24. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) kwe kubooleka olumanya mu bweraliikirivu n’essuubi era assa nga aviisa muggulu amazzi n’ageyambisa okulamusa ensi oluvannyuma lw’obufu bwayo. Mazima ekyo kirimu ebyamagero (ebiyigiriza) eri abantu abategeevu.

25. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) kwe kuba nti biyimirirawo eggulu n’ensi olw’ekiragiro kye. Oluvannyuma bwaba abakoowodde olukoowoola lw’okuva mu ttaka, awo ate mmwe mujjibwayo.

26. Era babe yekka abo abali muggulu n’ensi. Bonna ye yekka gwe bagondera.

27. Era yoyo atandikawo (okutonda) obutonde oluvannyuma abuzzaawo. Era ekyo kyekisingayo okuba ekyangu gyali. Era y’alina eky’okulabirako ekisinga okuba ekya waggulu muggulu n’ensi. Era yewuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

28. Yabassizaawo eky’okulabirako ekiri mummwe. Abaffe mulinayo abamu ku baddu abo begifuga emikono gyammwe egya ddyo ababegattako (okuba n’obwannannyini) mwebyo bye twabagabira, nga mwenna (obwannannyini bwemulina ku bintu ebyo) mwenkanankana, nga mubatya mu ngeri eterina njawulo n’eyo gye mwetyamu mmwe mwennyini? Eyo y’engeri gye tuteekulula mu miteeko ebyamagero eri abantu, abategeevu.

29. Wew’awo abo abalyazamanyi baagoberera eby’obwagazi bwabwe nga tebasinzira ku buyivu, Kale yaaliwa aluŋŋamya oyo Katonda gwe yabuza. Era tebalinaayo babataasa.

30. Kale beera mwesimbu obwennyi bwo nga oyimirizaawo eddiini nga okomola n’okwewala enzikiriza endala ezitakkiririza mu (busiraamu) kwewaayo bulambirira mu mateeka ga Katonda. Obwo bwe bubumbwa Katonda abantu kwe yabatondera. Tewali kikyusa ntonda ya Katonda. Eyo y’eddiini ennesimbu wabula abasinga obungi mu bibinja by’abantu tebamanyi.

31. Mweyune okudda gyali era mu mutye era muyimirizeewo esswala era temubeera muluse lwa basamize.

32. Abali mu kibinja kyabo abaayawulayawula eddiini yabwe nebeekolamu obubinja. Buli kakuukuulu bye kalinawo bye kasanyukira.

33. Ate bwe kaba katuuse ku bantu akabi bawanjagira Mukama Katonda Omulezi wabwe nga beeyuna okudda gyali, oluvannyuma bw’aba alozezza okuva gyali obusaasizi olwo ate nga ekibinja ekiva mubo (nga) Mukama Katonda Omulezi wabwe bamuyimbagatanyako ebirala.

34. Olw’okugenderera okuvvoola ebyo bye yabawa. Kale mmwe mweyagale naye mujja kumanya.

35. Abaffe waliwo engeri gye twassa gyebali obujulizi (obutuufu) olwo ne buba nga bunnyonnyola byonna bye baali bayimbagatanya?

36. Ate bwe wabaawo engeri gye tuloza abantu ku busaasizi babusanyukira. Naye bwe gubatuukako omutawaana nga gusinzira kw’ebyo bye gyakulembeza emikono gyabwe olwo ate baggwamu essuubi.

37. Abaffe balemeddwa okulaba engeri mazima Katonda gy’ayanjuluza enfuna y’oyo gwayagala era (n’engeri) gy’amiima? Mazima ekyo kirimu eby’okulabirako ebyabantu abakkiriza.

38. Kale waayo eri ow’oluganda omugabo gwe (gwateekwa okufuna) n’omunaku n’omutambuze. Ekyo ky’ekisinga obulungi. Kyayawulirwa abo abettanira Katonda. Era abo be balokofu.

39. Era ebyo bye muwooza nga bya ndobolo bisobole okwala (nga biggyibwa) mu by’enfuna by’abantu tewali kye byeyongera ewa Katonda. Ate byonna bye muwaayo nga Zaka olw’okwettanira ekisinde kya Katonda abo nno be bongezebwa emirundi n’emirundi (mu byenfuna byabwe).

40. Katonda yoyo eyabatonda oluvannyuma abagabirira oluvannyuma abatta oluvannyuma abalamusa. Abaffe eriyo abamu kubalubaale bammwe oyo akola ekimu kwebyo ekintu kyonna? Atenderezebwe era agulumizibwe nga ayawulibwa kwebyo bye bayimbagatanya.

41. Bweyolese obwononyi ku lukalu ne munnyanja nga kisinzira kwebyo (ebibi) bye gikoze emikono gy’abantu, bwatyo alyoke (Katonda) abakombese ebimu ku (bibonerezo) by’ebyo bye baakola, kibasobozese okweddamu.

42. Bagambe nti: ‘Mutambule munsi mwerolere engeri gye yalimu enkomerero yabo abaaliwo mu kusooka. Baali abasinga obungi mubo basamize.

43. Kale beera mwesimbu nga oyimirizaawo eddiini entukirivu olubereberye nga terunnatuuka olunaku olutalinaayo ki luwugula, ekiva ewa Katonda. Olunaku olwo (bonna) ba kubuna emiwabo.

44. Oyo aba ajeemye kale buddira yye obujeemu bwe era oyo aba akoze ebirungi kale ebifo byabwe (ebirungi) bye baba beetegekera.

45. Alyoke asasule abo abakkiriza era abaakola ebirungi ebimu ku birungi bye. Mazima yewuyo atayagala bajeemu.

46. Era ebimu ku byamagero bye (ebiyigiriza) kwe kusindika empewo nga zijjudde amawulire ag’essanyu era kimusobozese okubaloza obumu ku busaasizi bwe era kisobozese amaato okuseeyeeyeza ku biragiro bye olwo mulyoke munoonye ebimu ku birungi bye era kibaviireko okusiima.

47. Kale mazima twatuma nga gwe tonnabaawo nnasiisi w’ababaka okugenda mu bantu babwe era baabatuusaako obunnyonnyofu bwetutyo netukangavvula abo abaalemera ku bwonoonefu era nga twali tuvunanyizibwa okutaasa abakkiriza.

48. Allah yoyo asindika empewo n’ekunga ebire n’ebisaasaanya mu bwengula nga bwayagala n’ebifuula ekire ekyekutte awamu olwo ne werolera amatondo g’enkuba agafubutuka (wakati) mubyo. Era bwaba agiweerezza abo baayagala abamu mu baddu be nebaba nga olwo basannyuka.

49. Ne bwekiba nga olubereberye nga tannagibassiza baasoose okuggwamu essuubi.

50. Kale werolere obuwufu bw’obusaasizi bwa Katonda engeri gyalamusa ensi oluvannyuma lw’obufu bwayo. Mazima oyo y’azuukiza abafu era yewuyo nga buli kintu Musobozi.

51. Ate bwe tuba tusindise kibuyaga nebabiraba (ebirime byabwe) nga byengeredde okuwotoka tebabandala oluvannyuma lwebyo kuddayo kuwakana.

52. Kale mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era tosobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola bwe baba bakyuse okudda emabega.

53. Era ssi ggwe avunanyizibwa okuluŋŋamya ba muzibe nga obajja mu bubuze bwabwe. Mazima teriiyo gw’owuliza mulala okujjako oyo akkiriza amateeka gaffe era nga bebo abewaayo edda (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda.

54. Allah yoyo eyabatonda nga abasookeza mu bunafu bweyamala n’aviisaamu oluvannyuma lw’obunafu amaanyi, bweyamala naviisaamu oluvannyuma lw’amaanyi obunafu n’obukadde. Atonda by’ayagala. Era yewuyo Omumanyi Omusobozi.

55. Ate olunaku lwe kituuka ekiseera (ekivannyuma) ba layira abajeemu; nga bwe batamazeeyo (emagombe) kiseera kisukka ssaawa. Eyo y’engeri gyebaali bawugulwa.

56. Ate babategeeze abo abaaweebwa obuyivu n’obukkiriza nti: Mazima mumazeeyo okusinzira ku biri mu kitabo kya Katonda ebbanga erituusa ku lunaku lw’amazuukira. Era lw’eruno olunaku lw’amazuukira, wabula ekyo mmwe kye mubadde mutamanyi.

57. Kale olunaku olwo ssi kwa kubayamba abo abaajeema okwetonda kwabwe era ssi bebo abatuusibwako okwesiima.

58. Era mazima tuteereddewo abantu mu Qur’an (Ssemusomwa) eno buli kya kulabirako. Era buli lwoba obaleetedde ekyamagero mazima nga abo abaajeema bagambira ddala nti: ‘Tewali mmwe ngeri ndala gye mu balibwamu okujjako okuba abonoonyi’.

59. Eyo y’engeri Katonda gye yassa envumbo ku mitima gyabo abatamanyi.

60. Ggwe nywerera ku bugumiikiriza, ddala ekisuubizo kya Katonda kya mazima. Era tebagezaako kukuyenjebula abo abatalina kye bakakasa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *