Skip to content
Home » 11. Hud

11. Hud

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(11) ESSUULA HUUDU

Yakkira Makka. Erina Aya 123

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

 

1. Alif.lam.Ra. Kino ky’ekitabo ekitegeerekeka obulungi amateeka gakyo, oluvannyuma gaateekululwa mu mitendera gyago okuviira ddala ew’oyo Ssaabalamuzi Kakensa.

2. Temusinza kirala okujjako Mukama Katonda asinzibwa Allah. Mazima nze nzize gyemuli nga nva gyali nga ndi mulabuzi era abatuusaako amawulire amalungi.

3. Ate mwegayirire Mukama Katonda Omulezi wammwe okubasonyiwa bwemumala mu mwenenyeze, abe nga abawa ebibeyagaza okweyagala okulungi okutuusa okumalako ekiseera ekigere. Era awa buli eyakola obulungi empeera ye ennungi. Kyokka bwe banaaba beeremye, kale mazima nze kyemberaliikiriza ky’ekibonerezo ky’olunaku Ssewannaku.

4. Eri Katonga gye muzzibwa, era yewuyo nga buli kintu ye Musobozi wakyo.

5. Awatali kuwannaanya, mazima bebali abaweta ku bifuba byabwe nga kyebagenderera kya ku mwekweka. Mazima ekiseera webeebuutikirira engoye zabwe (nga bakwekweka) aba amanyi bye bakukusa ne bye boolesa. Mazima ye wuyo Omumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

6. Era teriiyo kiramu kitambula munsi okujjako nga Katonda yaakivunanyizibwako okukifunira eky’okulya kyakyo. Era amanyi obutuuze bwabyo n’amawanika gabyo. Byonna byakakasibwa mu kitabo lunnyonnyola.

7. Era yewuyo eyatonda eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga. Olwo nga Nnamulondo ye eri kumazzi alyoke abagezese nga ayawulawo ani mummwe alina enkizo mu kulongosa omulimu. Ate ne bwobategeeza nti: ‘Mazima mmwe muli ba kuzuukizibwa oluvannyuma lw’okufa’, mazima bakuddamu bali abaajeema nti: ‘Tewali ngeri ndala bino gye bitwalibwamu okujjako okubeera eddogo ely’olwatu’.

8. Sso nga ne bwetuba tubalwisizzaawo okubatuusaako ekibonerezo okuyisaawo ekiseera ekigerageranye mpawekyaga, olwo mazima bebuuza nti: ‘Kiki ekyo ekikiziyizza?’ Mazima olunaku lwe kibatuukako ssi kyakubaviirako ddala, era bya kubabuna ebyo bye baali baŋoola.

9. Kale bwe tuloza omuntu kwekyo ekiva gye tuli nga kya busaasizi, oluvannyuma ne tukimujjako, olwo nga ajjirayo ddala essuubi nga yeemalira mu bujeemu.

10. Ate bwe tumuloza ebyengera oluvannyuma lw’obuzibu obwamutuukako, olwo nga agambira ddala nti: ‘Binvuddeko nebigenda ebikwa!’. Mazima olwo nga yewuyo asussa okujaganya nga yeemalira mukwekuza.

11. Okujjako bali abaagumiikiriza era abaakola ebirungi. Abo nno bafuna okusonyiyibwa n’empeera ennene.

12. Ate walyesanga nga oleka obumu ku bubaka obukubikkulirwa (wekisiza obubaka obumu), era ozitoowererwa nnyo mu kifuba kyo, olw’engeri gye boogera nti: ‘Abaffe kiki ekyamulemesa okussibwako amawanika g’emmaali, oba okuba nti yajja gyetuli nga ali ne Malaika?’. Mazima engeri yokka gwe gyotwalibwamu kwe kubeera omulabuzi. Era Katonda, buli kintu ye Mwesigamirwa.

13. Wew’awo batyebeka nti: ‘Yagyegunjizaawo!’. Ggwe basoomooze nti: ‘Kale muleeteeyo essuula kkumi ezigifanana nga ŋŋunje bugunji, era muyite oyo gwe musobodde (abayambeko) nga ojjeeko Katonda bwe muba mwekakasa (kye mwogera).

14. Bwe baba balemeddwa okubaanukula, olwo mumanye nti mazima yeyo eyassibwa nga ejjudde okumanya kwa Katonda, era n’okuba nti teriiyo asinzibwa okujjako Yye. Abaffe, mmwe muli basiraamu (mwewaayo mu mateeka ga Katonda)?

15. oyo aba yettanira obuwangazi bw’ensi n’eby’okunekaaneka byayo tubasobozesa okutuukiriza emirimu gyabwe nga bakyagirimu, era nga bebo abatagirinaamu kuseerebwa.

16. Bebo abatalina kye bafuna kunkomerero okujjako omuliro. Era byafattogge byonna bye baagikoleramu, era bikyamu bye baali bakola.

17. Abaffe ono ali ku kituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi we, so nga ate bukiddirira obujulizi obuva gyali (Katonda) awamu n’okuba nti olubereberye lwakyo bwaddirirwa ekitabo kya Musa eky’obukulembeze n’obusaasizi (kisobola kitya okuba nga yenkana bali)? Bebo abamukkiriza era oyo amujeemera nga alina ebibinja byavaamu, oyo omuliro ly’essuubi lye. Kale gwe tobeeramu kagikunkunamu (Qur’an). Mazima yyo ky’ekituufu ekyereere, ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, kyokka abasinga obungi mu bibinja by’abantu tebakkiriza.

18. Kale aliwa kasobeza asinga oli eyajweteka ku Katonda obulimba? Abo be bokwanjulwa mu maaso ga Mukama Katonda Omulezi wabwe, era ne babalumiriza ababawaako obujulizi nga bagamba nti: ‘Bebo abaakonjera Mukama Katonda Omulezi wabwe!’ Wew’awo ekikolimo kya Katonda kyambukira ku balyazamanyi.

19. Abo abatangira ekkubo lya Katonda nga balyagaza kuwuguka, era nga bebo enkomerero abagiwakanya.

20. Abo be batalinaayo kye balemesa kutuukirizibwa munsi, era tebalinaayo nga ojjeeko Katonda bakuumi bonna. Bikubisibwamu emirundi n’emirundi ebibonerezo ebibaweebwa. Tewali kyebaali basobola kuwuliriza era baali tebalaba.

21. Bebo abaafiirwattogge emyoyo gyabwe era byababulako bye baali bajweteka.

22. Awatali kuwannaanya bebo kunkomerero abasinga okufaafaaganirwa.

23. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi era abeeyunira okudda eri Mukama Katonda Omulezi wabwe, bebo abantu b’Ejjana, abo baakugibeeramu lubeerera.

24. Embera y’ebibinja (ebyo) ebibiri efanana nga (ekibinja kya) muzibe nekiggala n’omulabi n’oyo awulira. Abaffe ebibinja byombi bigerageranyizibwa munfanana emu? Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?

25. Ate mazima twatuma Nuhu okugenda eri abantu be abategeeze nti: ‘Mazima nze ntumiddwa gyemuli nga ndi mulabuzi ow’olwatu!’.

26. ‘Mwewalire ddala okusinza ekirala okujjako Katonda asinzibwa Allah mazima nze mberaliikirirako ekibonerezo ky’olunaku (luli) ekiruma ennyo’.

27. Nebamuddamu abakungu bali abaajeema, abava mu kimu ku kibinja ky’abantu be nti: ‘Tewali ngeri ndala gye tukulabamu okujjako okuba omuntu atalina njawulo naffe, era tetukulaba nga bakugoberedde abantu abalala okujjako bali betulwala okuba abakopi baffe abanfu b’endowooza, era tetulaba nga waliwo kyemwafuna nga mukitusinza mu bintu ebirungi, mu butuufu tubasuubira okuba abalimba’.

28. Yabaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange, mulaba mutya bwembera ku kituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wange era nga yampa obusaasizi obuva gyali, kyokka mwe nebitaboolesebwa, abaffe tusobola tutya okubibakakaatikako olw’empaka nga nammwe mwabitamwa dda?’

29. ‘Era abange mmwe abantu bange, ebyo ssibibasabirako mmaali yonna. Teriiyo alina buvunanyizibwa kumpeera yange okujjako Katonda. Ate nze ssiyinza kugoba bali abakkiriza. Mazima bebo ab’okusisinkana Mukama Katonda Omulezi wabwe. Kyokka mazima nze mbalaba nga bwemuli abantu abajega’.

30. ‘Era abange mmwe abantu bange, ani ayinza okumponya ekibonerezo kya Katonda bwemba (nnetumiikirizza) nembagobaganya? Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?

31. Era ssibagambangako nti nnina amawanika ga Katonda, era ssimanyiyo kyama kyonna, era ssibagambangako nti mazima nze ndi Malaika, wadde okugamba bali beganyoma amaaso gammwe nti teriiyo Katonda kyagenda kubawa nga kirungi –Katonda yasinga okumanya ebiri mumyoyo gyabwe – mpozzi nga nsazeewo okubeera mwabo abalyazamanyi’.

32. Baamuddamu nti: ‘Owange gwe Nuhu, mazima otukaayanyizza ate noosussa we waalikomye okutukaayanya, kale lutuuseeko ebyo by’otusuubiza bwoba oli mwabo abakakasa!’.

33. Yabaddamu nti: ‘Mazima oyo yekka akibatuusaako ye Katonda, bwaba ayagadde, era mwe tewali kyemuyinza kulemesa (kutuukirizibwa).

34. Ate okubuulirira kwange tekukyabagasa nebwensalawo okwettanira okubabuulirira, bwaba Katonda ayagala ku babuza. Ye wuyo Mukama Katonda Omulezi wammwe era gyali gyemuzzibwa’.

35. Abaffe, bakyayogera nti yabigunjawo? Ggwe baddemu nti: ‘Bwemba nnabyegunyizaawo, nze mba nvunanibwa omusango gwenkoze, era nze ssirina wenvunanyizibwa kungeri gye mukolamu misango’.

36. Olwo Nuhu yabikkulirwa obubaka obumutegeeza nti: ‘Teriiyo balala bajja kukkiriza nga bava mu bantu bo okujjako, oyo eyamala edda okukkiriza, kale komya okuwulira ennaku olw’ebyo bye babadde bakola.

37. Era bajja eryato nga tukulabirira n’okukusobozesa okussa munkola okubikkulirwa kwaffe, era toyogera nange ku bikwata ku bali abaalyazamanya. Mazima bebo ab’okuzikirizibwa.

38. Olwo n’atanula okubajja eryato, era buli lwe baamuyitangako abakungu abava mu bantu be baamujeejanga. Yabaddamu nti: ‘bwemuba mutujeeja naffe tulina okubajeeja nga bwe mutujeeja’.

39. Kyaddaaki mujja kumanya aliwa gwe kituukako ekibonerezo ekimuweebuuza, era gwe kituukako ekibonerezo eky’ensibo!.

40. Okutuusa wekinaaba kituukidde ekisuubizo kyaffe era nerifukula amazzi ettale, tulina okuyisa ekiragiro nti: ‘Litikkemu omugogo gw’ekisajja n’ekikazi oguva ku buli kiramu nga bibiri bibiri wamu n’abantu bo, okujjako abo bekyakakatako ekigambo (ky’okuzikirira). Era (ssaamu) n’abakkiriza’. Kyokka teriiyo bakkiriza naye okujjako abatono ennyo.

41. Era yabalagira nti: ‘Mulyebagale muliggweremu nga mwegangisa erinnya lya Allah yonna gye linaaseeyeeyeza n’eyo gye linaasomokera. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo’.

42. Olwo lyo neliba nga libaseeyeeyeza mu mayengo agalinga ensozi, era Nuhu yakoowoola mutabani we nga yali yeekukumye mu kafo akeesudde nti: ‘Mwana wange webagale naffe era teweetaba n’abo abajeemu!’.

43. Yamuddamu nti: ‘Nja kudda kuntikko y’olusozi lunkuume obutatuukibwako mazzi. Yamuddamu nti: ‘Teriiyo olwaleero kiyinza kutangira kusalawo kwa Katonda okujjako oyo gwaba asaasidde’. Olwo neryekiika wakati wa bombi ejjengo, era yali mwabo abaazikirizibwa.

44. Era ekiragiro kyayisibwa nti: ‘Ggwe ensi mira amazzi go, nawe eggulu komya okutiiriisa’. Olwo negakendezebwa amazzi era nekituukirizibwa ekibonerezo, olwo (eryato) neritereera ku lusozi Jjudei. Era ekirangiriro nekiyisibwa nti: ‘Kabulaŋŋana abantu abajeemu!’.

45. Kale Nuhu yawanjagira Mukama Katonda Omulezi we, era yagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima mutabani wange y’omu ku bantu bange, ate awatali kuwannaanya ekisuubizo kyo kya mazima, era ggwe asingayo obulungi mu bulamuzi bwabalamuzi!’

46. Yamuddamu nti: ‘Owange ggwe Nuhu mazima oli ssi y’omu ku bantu bo. Mazima egyo gy’emirimu egitali mituukirivu. Kale wewalire ddala okusaba byotalina kyobimanyiko. Mazima nze nkubuulirira ebikuwonya okwetaba n’abajegewavu.

47. Yaddamu nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze nkwekuuma obutaddayo kukusaba ebyo bye ssirina kye mbimanyiko. Era ssinga tonsonyiwa n’okunsasira mberera ddala mwabo abaafaafaaganirwa.

48. Ekiragiro kyalangirirwa nti: ‘Owange ggwe Nuhu, lifulumemu okke wansi nga oyambukiddwako emirembe egiva gyetuli era n’emikisa egikwambukiddeko wamu n’emirembe gy’abantu abamu abali nawe. Naye (eriyo) emirembe emirala gyetujja okuwa eby’okweyagala oluvannyuma kibatuukeko nga kiva gyetuli ekibonerezo ekiruma.

49. Ebyo byebimu ku byafaayo ebikusike bye tukubikkulira obubaka bwabyo. Wali tobimanyangako ggwe, wadde abantu bo nga tetunnabikwanjulira; Kale gumiikiriza. Mazima enkomerero ennungi yaabo abatya Katonda.

50. Era twatumira abantu ba Aad muganda wabwe Huudu. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Mukama Katonda Allah asinzibwa. Temulinaayo asinzibwa mulala mutuufu atali Yye. Era tewali ngeri ndala gye muliko okujjako okubeera abajwetesi.

51. Abange mmwe abantu bange, ebyo ssibibasabirako mpeera yonna, teriiyo alina buvunanyizibwa ku mpeera yange okujjako (Katonda) oyo eyantonda. Abaffe mulemeddwa okutegeera?’

52. Ate abange mmwe abantu bange, mwegayirire Mukama Katonda Omulezi wammwe okubasonyiwa, oluvannyuma mu mwenenyeze abatonnyeseze enkuba ey’omuddiŋŋanwa era abe nga amaanyi gammwe agongerezaako amalala, naye temukuba enkyukira okulemera mu bujeemu.

53. Baamuddamu nti: ‘Owange ggwe Huudu, nga tolinaayo kyotutuusizzaako nga kyamazima, era ffe tekisoboka kulekulira ba lubaale baffe nga tusinzira ku bigambo byo, n’ekirala ffe tetusobola ku kukkiriza!’.

54. ‘Teriiyo kyetugamba kirala okujjako eky’okuba nti zikulinnye ku mutwe ezimu ku mpewo za ba lubaale baffe embi!’. Olwo yabaddamu nti: ‘Mazima nze nneesigama ku Katonda asinzibwa Allah nga ye mujulizi wange, era nammwe ekyo mu kiweeko obujulizi okukakasa nti nze ssirina wenkwatirwako ebyo bye muyimbagatanya nga musamira!’

55. Nga muleseewo Katonda. Kale munneekobaanire mwenna (okunkola kye mwagala) oluvannyuma muleme kunnindiriza kukintusaako. 56. Mazima nze gwenneesigamidde yekka ye Katonda asinzibwa Allah Mukama Omulezi wange era Mukama Omulezi wammwe. Teriiyo kiramu kitambula kunsi okujjako nga yoyo akirinako obufuzi obwokuntikko ku kawompo kakyo. Mazima Mukama Katonda wange ali ku kkubo ettuukirivu.

57. Kale bwe baba bakubye enkyukira, mazima nze kasita mbatuusizzaako ebyo ebyantumwa nabyo okubibatuusaako. Ate Mukama Katonda Omulezi wange abasikiza abantu abalala abatali mmwe, era tewali kyemuyinza kumuyisaamu bubi ku kintu kyonna. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange, buli kintu ye Mukuumi wakyo.

58. Kale bwe kyatuuka ekibonerezo kyaffe, twawonya Huudu nabali abakkiriza naye nga tweyambisa obusaasizi obuva gyetuli. Era twabawonya ekibonerezo Nnamutta.

59. Abo be bantu ba Aad. Baawakanya amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe, era baajeemera ababaka be, bwebatyo baagoberera ekiragiro kya buli mwekuluntazi kyewaggula.

60. Era baagoberezebwa munsi eno ekikolimo ne kulunaku lwa mayimirira. Awatali ku wannaanya, mazima abantu ba Aad baajeemera Mukama Katonda Omulezi wabwe. Awatali kuwannaanya, kabulaŋŋana aba Aad nga gwe mulembe gwa Huudu.

61. Era twatumira abantu ba Thamud muganda wabwe Swalihi. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Mukama Katonda asinzibwa Allah. Temulinaayo asinzibwa mulala mutuufu atali Yye. Yoyo eyabasibula nga abajja munsi era yabasobozesa okugiwangaliramu nga muli basenze, kale mu mwegayirire okubasonyiwa oluvannyuma mumwenenyeze. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange waakulusegere nnyo Mwanukuzi!’.

62. Baamuddamu nti: ‘Owange ggwe Swalihi, mazima ebbanga lyomaze muffe tubadde tukwenyumiririzaamu nga kino tekinnabaawo. Abaffe kati otutangira otya okusinza ebyo bye basinza bakitaffe, ate nga mazima ffe tulimu akakunkuna mwoyo gwotukoowoola okudda gyali tumubuusabuusa!’.

63. Yabaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange, mulaba mutya bwemba mbadde ku mazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi wange era nga antusizzaako nga buva gyali obusaasizi, kale aliwa antasa okuwona (ekibonerezo kya Katonda, bwemba mmujeemedde?) Kale teriiyo kirala kyemunnyongera ekitali kufaafaagana’.

64. ‘Ate abange mmwe abantu bange. Yiino eŋŋamiya ya Katonda ebaleeteddwa nga kyamagero, mugireke erye butaala mu ttale lya Katonda era temugituusaako kibi ekyo ekinaabatuusisaako ekibonerezo eky’okumwanjo.

65. Kyokka baagisogga effumu, olwo naabagamba nti: ‘Mweyagaleko mu maka gammwe ennaku ssatu zokka!. Ekyo kyekyabalagaanyisibwa ekitaliimu kulimbisa.

66. Era bwe kyatuuka ekibonerezo kyaffe, twawonya Swalihi nabali abakkiriza naye nga tweyambisa obusaasizi okuva gyetuli, era (twamuwonya) n’ekiweebuuko ky’olunaku olwo. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo Owamaanyi Luwangula.

67. Kale lwatuuka ku bali abaalyazamanya oluboggola, bwebatyo baakeesa mu mayumba gabwe nga mirambo egigaŋŋalamye ensuulire.

68. Nebaba nga abateegaggasizangamu lubereberye. Awatali kuwannaanya abantu ba Thamud baajeemera Mukama Katonda wabwe. Awatali kuwannaanya, kabulaŋŋana aba Thamud.

69. Era mazima baatuusa ababaka baffe ku Ibrahim amawulire ag’essanyu: Baamulamusa nti: ‘Mirembe N’abaddamu nti: ‘Mirembe!’. Era teyabandaza kubaleetera (kijjulo kya) ndinga ensava.

70. Kyokka bweyamala okulaba emikono gyabwe nga tegyegolola kukituukako (kwetoolera ku bifi okulya) yabalaga obutakisemba, era baamuleetera okutyemuka emmeeme. Baamugamba nti: ‘Totya! mazima ffe tutumiddwa okugenda eri abantu ba Luuti’.

71. Olwo mukyala we yali ayimiridde (emabbali) n’aseka. Era twamutuusaako amawulire ag’essanyu ag’okuzaala Isihaaka ate nga Isihaaka wa kuddirirwa Yakuubu.

72. Yaddamu nti: ‘Nga nze zandaba dda! Abaffe nange nsobola okuzaala ku bukadde bwentuseeko buno, nga ne baze wange ono yeggwayo dda obukadde, mazima ekyo ekintu nga kyewuunyisa!’.

73. Baamubuuza nti: ‘Abaffe oyinza okwewuunya okusalawo kwa Katonda? Obusaasizi bwa Katonda n’emikisa gye byabambukirako mmwe abantu b’embuga, mazima ye wuyo atenderezebwa Ssebintu atajula Omugulumivu.

74. Kale bwekwamala okwamuka ku Ibrahimu okutya era nga bwamutuuseeko dda obubaka obw’essanyu, n’atanula okutukaayanya ku bantu ba Luuti.

75. Mazima Ibrahim yayinga ekisa, n’eggonjebwa mu maaso ga Mukama n’obwangu mu kwenenya.

76. Owange ggwe Ibrahim, vva kwebyo! Mazima kikakase nti kituuse ekibonerezo kya Mukama Katonda Omulezi wo. Era mazima kijja kubatuukako ekibonerezo ekitajja kuzzibwayo.

77. Kale bwe baatuuka ababaka baffe eri Luuti, baamuviirako okufuna okwennyamira era yatendewalirwa ku lwabwe emmeeme ye, era yagamba nti: ‘Luno olunaku lususse obuzito!.

78. Kale baagenda gyali abantu be nga basaayirira baamutuukako, era nga olubereberye baali bakola ebyambyone. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange; waakiri mukweko bano bawala bange, baabo mberera, abasinga okuba abatukuvu gyemuli! Era mutye Katonda era temunswaza mu bagenyi bange! Abaffe wabuzeewo mummwe omusajja omulongofu?’

79. Baamuddamu nti: ‘Mazima gwe okimanyi bulungi nti tetulinaayo ngeri yonna bawalabo gyetubabanja bbanja lyonna, era mazima ggwe wennyini omanyidde ddala bye twagala.

80. Yaddamu nti: ‘Nnyabula ssinga mbadde nnina engeri gye mbaŋŋanga nga nkozesa amaanyi, oba okwesigamira empagi ennywevu n’ebankolerako!

81. Baamugumya (abagenyi be) nti: ‘Owange ggwe Luutu; mazima ffe tuli babaka ba Mukama Katonda Omulezi wo, tebajja kukutuukako. Kale ssengula abantu bo ekiro nga bukunidde ove kukyalo kino nga teriiyo akyuka kutunula mabega nga ali mu kibinja kyammwe muntu yenna, okujjako mukyala wo. Mazima kyo kya kumutuukako eky’okutuuka ku bali. Mazima baalagaanyisibbwa kukifuna mabiiri. Abaffe amaliiri tegali ku mwanjo?’

82. Kale bwe kyatuuka ekibonerezo kyaffe, twaddira kungulu (w’ekyalo kyabwe) newevuunika mu lukuusi ate olukuusi ne lulaba waggulu era twabakuba amayinja agayiika nga enkuba agaayengerezebwa mu ttanuulu negabakolako entuumu.

83. Gaalambibwa nga gava ewa Mukama Katonda Omulezi wo. So era ekyo (ekibonerezo) abalyazamanyi tekibeesudde wala.

84. Era twatumira abantu b’Emadiyana muganda wabwe Swaibu. Yabagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange, musinze Mukama Katonda Allah asinzibwa, temulinaayo asinzibwa mulala mutuufu atali Yye. Ate temukendeza bipimwa mu mirengo ne minzani. Mazima nze mbalaba nga muli bulungi munfuna, era mazima nze mberaliikirirako ekibonerezo ky’olunaku Nnamutaayiza.

85. Era abange mmwe abantu bange, mutuukirize ebipimwa by’emirengo ne minzani mu bwenkanya, era temukena bantu mmaali yabwe era temusaasaanira munsi nga muli boonoonefu.

86. Ebifisse byemulina ebya Katonda by’ebisinga obulungi gyemuli bwe muba abakkiriza. Era nze ssiriiwo gyemuli nga omukuumi wammwe.

87. Baddamu nti: ‘Owange ggwe Swaibu, abaffe engeri gy’osabamu eyo y’ekulagira okututegeeza nti tulina okwabulira ebyo bye basinza ba kitaffe, oba eky’okuba nti tetukkirizibwa kukola mu mmaali yaffe ebyo byetwagala? Mazima ate ggwe nga osusse ekisa n’obutuukirivu!’.

88. Yaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange, abaffe mulaba mutya bwemba mbadde ku mazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi wange era nga yangemulira okuva gyali ebigabiriwa ebirungi. Era nze ssaagala ku baawukanako nga nkyuka okukola ebyo byembaziyiza. Teriiyo kirala kyenjagala okujjako okulongosa ekyo kyemba nsobodde. Era okuluŋŋamizibwa kw’emirimu gyange teriiyo walala gye kusinzira okujjako ku Katonda. Ye yekka gwenneesigamidde era gyali gyenzira’.

89. ‘Era abange mmwe abantu bange, tebapikiriza okukola ebibi empalana gye munninako, nekibatuukako ekifanana ekyatuuka ku bantu ba Nuhu oba abantu ba Huudu oba abantu ba Swalih. Ate ebyatuuka ku bantu ba Luuti mmwe tebibali wala.

90. Era mwegayirire Mukama Katonda Omulezi wammwe okubasonyiwa, oluvannyuma mu mwenenyeze. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye W’okusaasira okwenjawulo, Owomukwano.

91. Baddamu nti: ‘Owange ggwe Swaibu, tetubitegeera ebisinga obunji ebyo by’otugamba. Ate mazima ffe tukulaba nga atusinga okuba engajaba. Kyokka ssinga tebabadde bantu ba kika kyo twalikukubye amayinja (noofa) n’ekirala ggwe tolina ngeri yonna gyotusinza kitiibwa.

92. Yabaddamu nti: ‘Abange mmwe abantu bange, abaffe abantu b’ekika kyange be mututte okuba ab’ekitiibwa gyemuli okusinga Katonda? Era musazeewo okumuteeka emabega w’emingo gyammwe? Mazima Mukama Katonda Omulezi wange byonna bye mukola abyebunguludde!’

93. Era, abange mmwe abantu bange, mulemere kwebyo bye mukola, mazima nange nkola byange. Mujja kumanya ani anaatuukibwako ekibonerezo ekimuwebuuza, era ani omulimba. Kati mmwe mubeere ku bunkenke mazima nange ndi wamu nammwe ku bunkenke.

94. Kyokka bwe kyatuuka ekibonerezo kyaffe, twawonya Swaibu nabali abakkiriza naye nga tweyambisa obusaasizi obuva gyetuli. Era lwatuuka ku bali abalyazamanya olubwatuka lumu, era baakeesa mu maka gabwe nga mirambo egigaŋŋalamye ensuulire.

95. Nebaba nga abateegaggasizangamu lubereberye. Awatali kuwannaanya kabulaŋŋana ab’Emadiyana nga bwe kabulaŋŋana aba Thamud.

96. Era mazima twatuma Musa n’amateeka gaffe n’ebyamagero eby’eyolefu.

97. Okugenda eri Firawo n’abakungu be, kale baagoberera biragiro bya Firawo so nga tebibangako ebiragiro bya Firawo bya buluŋŋamu.

98. Wa kukulembera abantu be abayingize omuliro. Era obwo bubi nnyo obuyingiro obuyingirwa.

99. Era baagoberezebwa kunsi ekikolimo nekulunaku lw’amayimirira. Kya kivve nnyo ekirabo ekyabaweebwa.

100. Ebyo by’ebimu ku byafaayo by’ebibuga bye tukuttottolera. Ebimu kubyo bikyesimbaggirizza nga bifulukwa (matongo) n’ebirala tebikyalina kibimanyisa.

101. Era tetwabalyazamanya wabula be baalyazamanya emyoyo gyabwe. Teriiyo kintu kye baabagasa balubaale babwe bali bebaawanjagira ne balekawo Katonda, bwe kyamala okubatuukako ekibonerezo kya Mukama Katonda Omulezi wo, era tewali kye baabongera kitali kya kusaanawo.

102. Kale eyo yengeri gy’akwatamu Mukama Katonda Omulezi wo bwaba akutte ku bibuga nga byewaggudde. Mazima okukwata kwe kulumisa obujiji obusukiridde.

103. Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza eri oyo aba atidde ekibonerezo ky’enkomerero. Lwerwo olunaku olw’okukuŋŋanirako abantu bonna, era lwerwo olunaku olwokujulirwamu (kalonda w’obujulizi).

104. Era teriiyo kilutukeereyesa okujjako okumalayo ekiseera kyalwo ekyabalirirwa obulungi.

105. Ekiseera kyelutuukiramu, teriiyo mwoyo gwogeranyizibwa nagwo okujjako olw’okukkiriza kwe Mukama. Kale ba kubeeramu (oyo) ow’okubonabona n’owokwesiima.

106. Kale bali ab’okubonabona baakubeera mu muliro ogujjudde okubeesooza okw’empolampola n’(okubeesooza) okw’omwanguka.

107. Ba kusiisira omwo ebbanga lye ririmala nga likyaliwo eggulu n’ensi okujjako ekyo ekirala kyaba asazeewo Mukama Katonda Omulezi wo, ye mmo mu kukola byayagala.

108. Ate bali ab’okufuna okwesiima ba kubeera mu Jjana nga basiisira omwo ebbanga lye ririmala nga likyaliwo eggulu n’ensi okujjako ekyo ekirala kyaba asazeewo Mukama Katonda Omulezi wo, nga ky’ekirabo ekibaweebwa nga ssi kya kukoma.

109. Era tobaamu kakunkuna mu bukyamu bw’ebyo (bali) bye basinza. Teriiyo ngeri ndala gye basinza okujjako efananira ddala eri bakitaabwe gye baali basinza olubereberye. Era mazima ffe baabo ab’okutuukiriza omugabo gwabwe nga ssi mukendeze.

110. Kale mazima twawa Musa ekitabo naye nekifunibwamu enkayana. Kyokka ssinga tekyali kigambo ekisalawo nga kyakulembera okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, baaliramuddwa wakati wabwe. Era mazima bebo (Abayudaaya) abagirimu (Qur’an) akakunkuna nga babuusabuusa.

111. Ate mazima bonna abo, Mukama Katonda Omulezi wo baalina okusasula mu bulambirira (empeera y’emirimu gyabwe). Mazima yewuyo nga byonna bye bakola ye Kakensa wabyo.

112. Kale ggwe lemera kubutuukirivu nga bwe walagirwa nga oli wamu naabo abeenenya nawe era temwewaggula. Mazima yewuyo nga byonna bye mukola ye Mulabi wabyo.

113. Era tewesigula nga wekubiira ku bali abaajeema olwo negubasiiyiika omuliro, ate nga temulinaayo nga ojjeeko Katonda bakuumi bonna, oluvannyuma netabaayo kye mutaasibwa.

114. Era yimirizaawo okusinza nga osaala ebiseera ebisembayo eby’emirundi ebiri eby’emisana naawo nga obudde tebunnaziba kutwala wala. Mazima (ebikolwa) ebirungi biggirawo ddala ebibi. Okwo kwe kubuulirira okweyawulidde abo abeebuulirira.

115. Era gumiikiriza, kubanga Katonda talekaayo kusasula mpeera y’abalongosa.

116. Naye lwaki tewaaliyo mu mirembe egyabakuembera (kibinja ky’abantu) abo abavunanyizibwa okusigalawo nga batangira obwonoonefu munsi? Nga totwaliddeemu abatono abamu kwabo betwawonya, abasangibwa mu kibinja kyabwe, era abaagoberera bali abaalyazamanya, mwebyo (ebibi) byebedibagamu. Era abaali aboonoonyi?

117. Era tekimugwanirangako Mukama Katonda Omulezi wo okuzikiriza ebibuga nga abiranze bwemage era nga abantu babyo balongofu.

118. Ate singa Mukama Katonda Omulezi wo yayagala kusalawo, abantu bonna yaalibagattidde ku kibiina (enzikiriza) ekiri kunkola emu. Naye bakyeyongera mu maaso okweyawulayawula.

119. Okujjako abo beyasaasira Mukama Katonda Omulezi wo. Era yabatonda lwansonga eyo. (ey’okusaasirwa olw’okwekwata kunzikiriza emu n’okwewala okwawukanayawukana, oba okubabonereza olw’obujeemu bwabwe obubaviirako enjawukana) Era kyatuukirira dda ekigambo ekisalawo ekya Mukama Katonda Omulezi wo ekigamba nti: ‘Mazima nja kujjuza ggeyeena ebibinja bya maginni n’abantu bonna!’

120. Era byonna ebyo tubikuttottolera nga byebimu ku byafaayo by’ababaka. Ebyo byetweyambisa okunyweza emmeeme yo. Era gakutuuseeko agasangibwa mweyo (Qur’an) amazima era nga kwekubuulirira era kwe kujjukiza okweyawulidde abo abakkiriza.

121. Era ggwe tegeeza bali abatakkiriza nti: ‘Mulemere kwebyo bye mukola naffe tulina byetukola!’.

122. Era mulindirire naffe tuli mu kulindirira!’.

123. Era bya Katonda yekka ebyama by’eggulu n’ensi, era zidda gyali ensonga zonna, kale musinze Yye yekka era mwesigamire Yye yekka. Era Mukama Katonda Omulezi wo tagayaalirira byemukola.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *