Skip to content
Home » 15. Al – Hijir

15. Al – Hijir

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(15) ESSUULA HIJIR (MR)

Yakkira Makka, Erina Aya 99.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Alif. Lam Ra. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo era Ssemusomwa (Qur’an) Ennyanzi.

2. Kyaddaaki ba kwegomba abo abaajeema okuba nti ssinga baali (Basiraamu) bewaayo lubereberye mu mateeka ga Katonda.

3. Baleke beemalire mukulya era beeyagale era libabuzeebuze essuubi, naye bajja kumanya.

4. Kale teriiyo kye twazikiriza mu byalo byonna, okujjako nga kirina entuuko zakyo ezimanyiddwa.

5. Teriiyo gupapirizibwa mu mirembe gyonna kumalako kiseera kyagwo era tegirindirizibwa.

6. Kale baamuvuma nti: ‘Owange ggwe eyassibwako enzijukizi, mazima oli muzoole!’.

7. Kiki ekyakulemesa okutuleetera ba Malaika ssinga obudde wa mazima?’

8. Teriiyo kitussisa ba Malaika okujjako ensonga entuufu. Olwo ate (abajeemu) tebaalirindirizibbwa.

9. Mazima ffe twassa enzijukizi era ffe tugivunanyibwako okugikuuma.

10. Kale mazima twatuma (Ababaka) nazzikuno nga tonnabaawo mu bibinja by’emirembe egyasooka.

11. Era teriiyo kyeyatuusa gyebali omubaka yenna okujjako nga baali bakiŋoola.

12.Eyo y’engeri gye tukisenseza (ekyokuŋoola) mu mitima gya bajeemu.

13. Tebakikkiriza (ekyo ekiba kituusiddwa ababaka gyebali) Era mazima yeyo eyayita edda enneeyisa y’abaakulembera.

14. Era mazima nebwe twalibagguliddewo omulyango oguyingira muggulu nebayitira omwo nga balinnyuka.

15. Baaligambye nti: ‘Mazima gatamiiziddwa amaaso gaffe, naye ekisinga obutuufu ffe bantu abalogeddwa.

16. Kale mazima twalifuula ekkula eri abatunuulizi.

17. Era twalikuuma obutatuukibwako Ssitaani eyasindikirizibwa.

18. Okujjako eyo ebbirira okuwuliriza era nekigigoberezebwa ekitawuliro kyomuliro ekyeyolefu.

19. Ate ensi twajanjuluza era twasimbamu lugumyansi era twamezaamu omuteeko gwa buli kintu nga mupime.

20. Era twabassizaamu ebibasobozesa okuwangaliramu wamu n’ebyo bye mutasobola kugabirira byakulya.

21. Era teriiyo kintu kyonna okujjako nga gali wetuli amawanika gakyo era teriiyo kyetussa okujjako nga kiri mu kipimo ekimanyiddwa

22. Era twasindika empewo nga mpasisi, netutonnyesa okuva mu ggulu enkuba netugibanywesaako so nga temusobola kugissizaawo mawanika mwemugikuumira.

23. Era mazima ffe baabo abalamusa, era tufiisa era ffe basika.

24. Era mazima twamanya (bonna abo) abaakulembera, era mazima tumanyi ab’okujja oluvannyuma.

25. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo abazuukiza n’abassa mu kkuŋŋaaniro. Mazima yewuyo Ssaabalamuzi Omumanyi.

26. Ate mazima twatonda omuntu mu kintabuli ky’ebbumba n’olufuufu ebigoye, mu bbumba eriddugavu erimize nerikala neridoodooma.

27. Ate amaginni twagatonda dda mu nnaddiro afuumuukira mu kikuŋŋunta.

28. Kale jjukira Mukama Katonda Omulezi wo we yagambira ba Malaika nti: ‘Wew’awo nja kutonda omuntu mu kintabuli ky’ebbumba n’olufuufu ebigoye, mu bbumba eriddugavu erimize n’erikala neridoodooma.

29. Era bwe nnaaba mwenkanyankanyizza nga nfuye muye ogumu ku myoyo gyange olwo mukke wansi ku lulwe mu muvunnamire (olw’okumuwa ekitiibwa). 30. Bwebatyo baavunnama ba Malaika bonna obutalekaayo nomu.

31. Nga ojjeeko Ibuliisu eyagaana okwetaba awamu n’abavunnami.

32. Yagibuuza nti: ‘Ggwe Ibuliisu obadde ki obuteetaba wamu na bavunnami?’.

33. Yaddamu nti: ‘Tekyaŋŋwanira kuvunnamira muntu gwe watonda mu kintabuli ky’ebbumba n’olufuufu ebigoye, mu bbumba eriddugavu erimize nerikala neridoodooma.

34. Yamuddamu nti: ‘Kale gifulumemu, (ejjana) era kaakano mazima oli musindikirizibwa.

35. Era mazima oyambukiddwaako ekikolimo okutuusa olunaku lwa masasula!’.

36. Yamusaba nti: ‘Ayi Mukama Katonda Omulezi wange, kale nnindirizaako okutuusa olunaku lwe bazuukizibwa.

37. Yamuddamu nti: ‘Wew’awo oli omu ku balindirizibwa!’.

38. Okutuusa olunaku lw’ekiseera ekimanyiddwa obulungi!’.

39. Yawera mu maaso ge nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, olw’engeri gy’onsaliddewo obubuze, ddala nja kubawundira (ebikolwa ebibi) munsi era nja kubabuliza ddala bonna!’.

40. Nga ojjeeko abaddu bo abamu abava mu kibinja kyabwe abakwemalirako nga bakusinza.

41. Yamutegeeza nti: ‘Liiryo ekkubo eridda gyendi lyambulukufu’.

42. Mazima abaddu bange, tolinaayo bolinako buyinza okujjako oyo okugoberedde ow’omukibinja kya babuze.

43. Era Ggeyeena bwe buddo bwabwe bonna.

44. Aliko emiryango musanvu, buli mulyango gwateekerwateekerwa okuyingirirwamu, okuva mubo omugabo omugereke.

45. Mazima abatya Katonda ba kubeera mu Jjana n’ensulo z’emigga.

46. (Balyanirizibwa nti:) ‘Mugiyingire mu mirembe nga tewali kye mweraliikirira?

47. Era twabajjamu byonna ebiri mu mmeeme zabwe eby’obukukuuzi nebaba ba luganda abeetiribooseza (mu Jjana nga bali) ku ndiri boolekaganye.

48. Tekulibatuukako nga bali omwo okukabassana, era ssi bebo ab’okujaabulira nga bafulumizibwamu.

49. Tegeeza abaddu bange nti: Mazima nze Mwene Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

50. So nga mazima ekibonerezo kyange kyekyo ekibonerezo ekiruma’.

51. Era banyumize ebifa ku bagenyi ba Ibrahim.

52. Jjukira lwe baayingira gyali nebamulamusa nti: ‘Mirembe, N’abaddamu nti: ‘Mazima ffe mutuleetedde enkyukwe’.

53. Baamuddamu nti: ‘Tokwatibwa nkyukwe, mazima ffe tukuwa amawulire amalungi ag’okufuna omwana ow’obulenzi omumanyi ennyo’.

54. Yabaddamu nti: ‘Abaffe musazeewo okuntusaako amawulire ag’essanyu nga naggwayo dda okufuna obukadde? Mawulire nnaba ki ago ge mulina?

55. Baamuddamu nti: ‘Tukutuusizzaako amawulire amalungi nga ga mazima, era tobeera omu kwabo abaggwaamu essuubi.

56. Yabaddamu nti: ‘Ate wa nnaba ki oyo aggwaamu essuubi ly’okufuna obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi we okujjako abo abaabula!’

57. Yababuuza nti: ‘Ate ggulire ki eddala lye mulina bassebo mmwe abatume?’

58. Baamuddamu nti: ‘Mazima ffe tusindikiddwa kugenda eri abantu abonoonefu.

59. Nga ojjeeko ab’ennyumba ya Luutu mazima ffe abo tulina okubawonya bonna.

60. Okujjako mukyala we, twakisalawo dda. Mazima oyo alina okubeera mwabo ab’okulekebwa mu b’okusaanawo!’.

61. Kale bwe baamala ababaka, okutuuka mu bantu ba Luutu,

62. Yababuuza nti: ‘Mazima nga ate mmwe bantu abatamanyiddwa kuno?

63. Baamuddamu nti: ‘Wew’awo tuzze gyoli olw’okutuukiriza (Abajeemu) bye baalimu nga babuusabuusa (nti tebirituukirira).

64. Era kye tukutuusizzaako ky’ekituufu, era ddala tuli ba mazima.

65. Ssengula abantu bo nga bukunidde era bagoberere nga obavaako emabega nga mugenda, kyokka tewabaawo muntu nomu akyuka okutunula emabega nga ali mu kibinja kyammwe, mutambule mukungujjo okulaga eyo gyemulagirwa (okulaga).

66. Bwetutyo twasalawo mu bubaka bwetwamubikkulira (Luutu) nti ddala emaze (ensonga) okusalibwawo nti: ‘Okusaanawo kwabo (abajeemu) kwa kutuukirizibwa mu matulutulu.

67. Bwebatyo baatuuka (ewa Luutu) abatuuze bomukibuga nga bajaganya.

68. Yabategeeza nti: ‘Mazima bano bagenyi bange era temwolesa bya bugwenyufu mu maaso gange.

69. Era mutye Katonda, sso temuntyoboola!’.

70. Baamuddamu nti: ‘Abaffe ssi yeggwe gwe twaziyisa okututangira okutuuka ku bantu bonna?’.

71. Yabaddamu nti: ‘Baabo Bawala bange (waakiri mu twaleemu abo) bwe muba mumaliridde okukituukiriza!’.

72. Aga obulamu bwo! Mazima bebo abali mu bugangayivu bwabwe bawunaawuna.

73. Kale kwabasaanyawo okubwatuka mu mavaayo g’enjuba.

74. netufuula kungulu kw’ensi yabwe nekudda mu lukuusi lwayo, era twatonnyesaako amayinja (Agaatonnya nga enkuba) agaayengerezebwa mu ssemwokya.

75. Mazima ekyo kirimu ebyamagero ebiyigirwako eri abafumintiriza.

76. Ate mazima (ensi yabwe) yeyo esangibwa ku mwasanjala omulambulukufu. (okuva e Makka okulaga e Syria, mukifo ennyanja y’omunnyo enfu wesangibwa).

77. mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigirwako eri abakkiriza.

78. Ate mazima ba nnannyini bisaka ebisaakaativu baali ddala balyazamanyi.

79. Era twabeesasuza, ate byombi ebyo (ebyalo bya bajeemu) biri ku kisinde ekyeyolefu.

80. Era mazima abatuuze bebyalo bya Hijir baalimbisa ababaka.

81. Era twabatuusaako ebyamagero byafe, kyokka baali byonna babiwakanya.

82. Kale baali bawumuggula munjazi amayumba olwokubeera emirembe.

83. Bwelutyo lwabasanyawo oluboggola mu matulutulu.

84. Era tebyabayamba bye baali bakola.

85. Era tewali kyatutondesa ggulu nansi n’ebyo ebiri wakati wa byombi wabula lwa nsonga entuufu. Era mazima ekiseera ekivannyuma ddala kyakutuuka! (abo ggwe tobafaako) kale baveeko munvako ennungi.

86. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo Omutonzi kayingo Omumanyi.

87. Ate mazima twakugemulira obubonero musanvu nga bunnabubirye wamu ne Qur’an (Ssemusomwa) egulumizibwa.

88. Tokaliriza maaso go olw’okwegomba ebyo byetwateekawo okweyagaliramu, nga biri mu migogo, eri ekibinja kyabwe ekimu, era tobasaalirwa, kale ggwe wetoowalize bakkiriza bokka.

89. Era bategeeze nti: ‘Ddala nze wuyo Omulabuzi ow’olwatu.

90. Mbewaza (obutatuuka ku kibabu) ekiringa kiri kye twatuusa ku bali abeegabanya (amakatala)

91. Abo abaawagulawagula Qur’an (Ssemusomwa) mu biwagu.

92. Kale aga Mukama Katonda Omulezi wo, mazima tujja abo ku babuuliza ddala bonna.

93. Byonna bye baali bakola.

94. Kale ggwe yanja mu lujjudde ebyo byolagirwa era oyabulire abasamize.

95. Mazima ffe twakumalira abaŋoola.

96. Abo abayimbagatanya ku Katonda ekisinzibwa ekirala. Kyaddaaki banaamanya.

97. Era mazima tumanyi engeri gy’okaluubirizibwa mu mmeeme yo olw’ebyo bye boogera.

98. naye ggwe tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wo era beera mu kibinja kyabo abavunnama.

99. Era sinza Mukama Katonda Omulezi wo okutuusa lwe kirikutuukako ekyamazima. (walumbe lwalikutuukako).

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *