Skip to content
Home » 28. Al – Qasas (Ebyafaayo)

28. Al – Qasas (Ebyafaayo)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

28. ESSUULA: AL-QASAS, ‘EBYAFAAYO’

Yakkira Makka. Erina Aya 88.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. TA-SIN.MIM.

2. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo ekyanjulukufu.

3. Tukusomera ebimu ku byafaayo bya Musa ne Firawo mu mazima nga byabo bokka abantu abakkiriza.

4. Mazima Firawo yeewaggula munsi era yayawula mu bantu baayo emiteeko, nga alemesa ekibinja ekimu kubo okubaako kye kyesalirawo nga asanjaga abaana babwe ob’obulenzi nga alekawo abobuwala. Mazima oyo yali lukulwe mu bonoonyi.

5. Naye twagala okuwa omukisa abo abaalemesebwa okusalawo (ekintu kyonna) munsi, era tube nga tubafuula abakulembeze era tubafuule abasika.

6. N’okuba nga tubafuula abanywevu munsi, olwo tulage Firawo ne Hamaana n’eggye lyabwe (bombi) ebisinzira ku bali, kwebyo bye baali beewala (obutabituukako).

7. Kale twabikkulira maama wa Musa obubaka obumulagira nti: ‘Muyonse. Naye bwonooba omutiisizza okuttibwa muteeke mu nnyanja era tobaamu kutya wadde okunakuwala. Mazima ffe tuvunanyizibwa okumuzza gyoli n’okumufuula omu ku babaka.

8. Kale baamulonda abantu ba Firawo olw’okumusobozesa okuba omulabe wabwe era omunyiiza (wabwe), mazima Firawo ne Hamana n’eggye lyabwe (bombi) baali bonoonyi.

9. Kale mukyala wa Firawo yagamba nti: ‘Ono ssanyu lya kulabako lyange nawe. Tomutta kyaddaaki anatuyamba oba ssi ekyo nga tumufuula omwana (waffe), naye nga tebamanyi.

10. Bwegutyo gwakeesa omutima gwa maama wa Musa nga mwereere. Mazima yasemberera okwolesa ebimukwatako ssinga tetwanyweza mutima gwe olw’okumusobozesa okubeera omu ku bakkiriza.

11. Bwatyo yalagira mwannyina (wa Musa) nti: Ketta ebimukwatako’ Olwo naamulingiza nga asinzira aweekusifu nga nabo tebamanyi.

12. Era twamuziyiza ennyonsa zonna olubereberye, olwo (mwannyina) n’abuuza nti: ‘Abaffe mbalagirire abantu be babayambe okumubalerera era nga bebo ab’okumubuulirira?’.

13. Kale twamuddiza nnyina asobole okufuna essanyu era akomye okunakuwala era ategeere nti mazima ekisuubizo kya Katonda kirina okutuukirira wabula abasinga obungi mu bibinja byabwe tebamanyi.

14. Bwe yatuusa okukakata nga asajjakuse era atuukiridde mu bwenkamunkamu twamugemulira okutegeera okw’enjawulo okw’obwannabi n’obuyivu. Era engeri eyo gye tusasula abalongosa (emirimu).

15. Kale yayingira ekibuga mu kiseera we batakibeereramu (nnyo) abantu baamu n’akisangamu abasajja babiri abalwanagana. Ono wa kinywi kye, ate ono (omulala) mulabe we. Bwatyo yamuwanjagira oyo ow’ekinywi kye amutaase oli owoomubalabe be, olwo Musa n’amuggunda eŋŋuumi (mu kifuba) nemumiza omusu. Yejjusa nga agamba nti: ‘Eno y’emu kunkola ya Ssitaani! Mazima yeyo (emanyiddwa nga) omulabe omubuzi omweyolefu’. 16. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze nnelyazamanyizza omwoyo gwange (nzekka) kale nsonyiwa, bwatyo yamusonyiwa. Mazima yewuuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

17. Yenenya nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, kavuna ompadde omukisa (guno) sijja nate kutaasa bonoonyi’.

18. Bwatyo yakeesa, mu kibuga nga mweraliikirivu yekengera neyejjuukiriza nga oli eyamulaajanira okumutaasa eggulo limu nga yomu amukubira enduulu okumudduukirira. Musa n’amunenya nti: ‘Mazima ggwe mulumbaganyi ow’olwatu!’

19. Naye bweyayagala okugomba obwala mwoyo eyali omulabe wabwe (bombi) yamulabula nti: ‘Ggwe Musa, abaffe oyagala kunzita nga bwewasse omuntu eggulo? Nga teriiyo kyoyagala (kirala) okujjako okubeera kyewaggula munsi, era gwe kyotamwa (ekikuwunyira ziizi) kwe kubeera mu luse lw’abalongosa.

20. Olwo wajjawo omusajja eyava ku mbugiriro z’ekibuga nga atebatteba. (bweyatuuka awo) yagamba nti: ‘Ggwe Musa, mazima abakungu (bonna) ba kwekobaanira okukutta, tolonzalonza, malamu omusubi, mazima nze yesowoddeyo kululwo okuba omulabuzi’.

21. Bwatyo yamalamu omusubi nga akivaamu (ekibuga) mweraliikirivu yekengera. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mponya abantu abajeemu!’.

22. Era bweyayolekera erigenda e Madiyana yagamba nti: ‘Kyaddaaki Mukama Katonda Omulezi wange annuŋŋamya (okwolekera) ekkubo ettuufu.

23. Era bweyatuuka ku luzzi lwe Madiyana, yalusangako enkuyanja y’abantu abanywesa (amagana gabwe), era yasangawo emabbali wa bali (nga eriyo) abakyala babiri batangira (eggana lyabwe). Yababuuza nti: ‘Mubadde ki mwembi mmwe?’. Baamuddamu nti: ‘Tetusobola kunywesa okutuusa lwe bagumbulukuka (bonna) abalaalo, ate taata waffe muzeeyi akuze’.

24. Bwatyo yabanyweseza bombi (eggana lyabwe), bweyamala yadda mu kittuluze era yekubagiza nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, olw’ekyo kyontunsizzaako: obwali obugagga (bwennalimu) kati bwavu!’.

25. Bwatyo yajja waali (omukyala) omu ku bombi nga atambula alimu ensonyi. Yamutegeeza nti: ‘Mazima kitange akuyita olw’okukusasula empeera y’okutunyweseza!’ Bwatyo bwe yatuuka waali nga amunnyonnyodde ensonga, yamugumya nti: ‘Tobaamu kutya. Owonye abantu abajeemu!’

26. Yayongerako omu kubombi (abakyala) nti: ‘Ssebo taata (oyo) mufuule omupakasi. Mazima wattendo gwoba apakasizza ow’amaanyi omwesigwa!’.

27. Yamugamba nti: ‘Mazima nze njagala okukufumbiza omu ku bawala bange bombi bano, kavuna wewaayo okumpereza eddaaza munaana (nga kwe kunsasula). Naye bwoba ojjuzza ekkumi ekyo kiva gyoli. Ate ssaagala ku kukaluubiriza. Ojja kunsanga, Katonda bwaba ayagadde nga ndi mu luse lwabalongofu!’

28. Yaddamu nti: ‘Kyekyo ekiri wakati wange nawe, ekimu ku biseera ebibiri kyemba ntukirizza, kale tewabeewo mpalana enzigulwako. Era Katonda ebyo bye twogera ye Mwesigibwa!’.

29. Kale Musa bwe yamala okumalako ekiseera era nga agenze n’abantu be, yalengera emabbali w’olusozi omuliro n’agamba abantu be nti: ‘Mubeere wano, mazima nze nnengedde omuliro, oba olyawo kambaleetere okusinzira weguli amawulire oba akasiki akasowoddwa mu muliro kibasobozese okwota!’.

30. Kale bwe yagutuukako yakowolwa okusinzira ku lubalama lw’ekiwonvu eky’ebukiika ddyo mu kabutamu ak’omukisa mu kifo awali omuti, nti: ‘Owange ggwe Musa: Mazima yenze nzuuno Mukama Katonda asinzibwa Allah Omulezi w’ebitonde byonna!’.

31. ‘Kale suula wansi omuggo gwo’. Naye bwe yagulaba nga gwenyogootola gulinga omusota omweruyeru yadda ekyennyuma n’atagusemberera. ‘Ggwe Musa: gwaŋŋange era tobaako kyotya. Mazima ggwe oli muluse lwabo abali emirembe!’

32. ‘Sonseka omukono gwo mu kikondolo kyo, gulina okuvaayo nga gutangalijja sso nga teguliiko mutawaana, era gifunye nga ogyetaddeko emikono gyo, nga olinga atidde, ebyo bye bya magero ebibiri ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo ebiweerezeddwa Firawo n’abakungu be. Mazima bebo abaali abantu abonoonefu’.

33. Yawanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange; kale ntya okuba nga banzita.

34. Ate muganda wange Haruna yewuyo ankira mu bwanjulukufu bw’olulimi, kale mutumire wamu nange nga muyambi, abe nga akakasa byenjogera. Mazima nze kyentya (abo) kwekunnimbisa.

35. Yaddamu nti: ‘Tujja kunyweza obuvunanyizibwa bwo nga tuyisiza mu mugandawo, tube nga tubagemulira obuyinza, wabulwewo kye batuusa kummwe mwembi: olw’okwesigamira ku by’amagero byaffe. Mmwe mwembi n’abo ababagoberedde muli bawanguzi!’

36. Bwatyo Musa bwe yabatuusaako eby’amagero byaffe ebyeyolefu baagamba nti: ‘Mpawo ngeri ndala ebyo gyebitwalibwamu okujjako okubeera eddogo eggunje obugunji era tetubiwulirangako ebyo mu ba kitaffe abaasooka’.

37. Olwo Musa yaggumiza nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange yasinga okumanya oyo aba azze n’obuluŋŋamu okuva gyali wamu n’oyo afuna enkomerero ennungi. Ekituufu kiri nti, teriiyo baganyulwa nga bajeemu’.

38. Ate Firawo yagamba nti: ‘Bannange mmwe abakungu, teriiyo gwe mmanyi gwe mulina nga asinzibwa atali nze, kale ggwe Hamaan, njokera amataffaali amabumbe mu bbumba oganzimbiremu omulongoti, oba olyawo nga ntuka okwelorela Katonda wa Musa, naye mazima nze mukakasiza ddala okuba mwabo abalimba’.

39. Kale yatanula okwekuluntaza ye yennyini n’eggye lye munsi mu bitali bya mazima era baasuubira nti mazima gyetuli ssi gye bazzibwa.

40. Naye twamukwata n’eggye lye ne tubasuula mu nnyanja. Kale werolere engeri gye yalimu enkomerero y’abajeemu.

41. Era twabafuula abakulembeze abakoowoola (abantu) okukwata erigenda mu muliro. Era olunaku lw’amayimirira ssi ba kutaasibwa.

42. Bwetutyo twabagobereza kunsi eno ekikolimo. Era olunaku lw’amayimirira bebo ab’okusindikirizibwa nga banyomoofu.

43. Ate mazima twawa Musa ekitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyakulembera nga kye kitangala ekyaterwawo abantu era obuluŋŋamu n’obusaasizi kibasobozese okwebuulirira.

44. Kale tobeerangako ku luuyi (lw’olusozi) olw’ebugwanjuba we twasalirawo okukwasa Musa obuvunanyizibwa era tewali omu ku bajulizi.

45. Wabula ffe twasibula (nnasiisi wa) emirembe egyatwaliriza akaseera mu kuwangala. Era tobangako mutuuze mu bantu be Madiyana (avunanyizibwa okuba nga) abasomera amateeka gaffe, wabula ffe kyetwasalawo (kwe) ku kusindika nga (oli) mubaka (e Palan).

46. Era tobeerangako mabbali wa lusozi ekiseera we twakoowoolera, (Musa) wabula (obwo) bwe busaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omuleziwo kikusobozese okulabula abantu abatafunangayo abajjira yenna nga mulabuzi olubereberye lwo, basobole okwebuulirira.

47. Naye ssinga tewaaliwo kutangira kubatuusaako kacwano, nga balangibwa bye gyakulembeza (okukola) emikono, baalibadde bekwasa nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, kiki ekyakulobera okutusindikira omubaka ne tugoberera amateeka go era netubeera bumu n’abakkiriza?’.

48. Kyokka bwe gaabatuukako amazima agava gyetuli, baabuuza nti: ‘Lwaki teyaweebwa ebiringa ebyo ebyaweebwa Musa?’ ‘Abaffe ssi bebo abaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa olubereberye?’ Baagamba nti: ‘Ba kalibulogo ababiri (bano Musa ne Muhammad) bayambaganye ku ddogo. Era baagamba nti: ‘Mazima ffe byonna ebyo tubiwakanya.’

49. Ggwe basoomooze nti: ‘Kale muleete ekitabo ekiva ewa Katonda ekyo ekirina enkizo mu kuluŋŋamya okusinga bino byombi (Tawuleeti ya Musa ne Qur’an) mbe nga nkigoberera, bwe muba ba mazima’.

50. Naye bwe baba balemeddwa okukwanukula, nga omanya nti; mazima ebyo bye bagoberera by’eby’obwagazi bwabwe. Kale muntu nnaba ki eyazaawa okusinga oyo agoberedde eby’obwagazi bwe nga talina buluŋŋamu (bweyesigamyeko) buva wa Katonda! Mazima Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu’.

51. Ate mazima twabatusaako lunye ekigambo basobole okwejjukanya.

52. Abo be twawa ekitabo nga eno (Qur’an) tennabaawo bebo abakikkiriza.

53. Era buli lwe kibasomerwa nga bagamba nti: ‘Tukikkiriza, mazima gego amazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi waffe. Mazima ffe twali, nga nakyo tekinnajja, twewayo dda mu mateeka ga Katonda (Twasiramuka dda).

54. Bebo ab’okusasulwa empeera yabwe emirundi ebiri olw’engeri gye baagumiikiriza, n’okuba nti beyambisa ebirungi (emirimu emirungi) okujjawo ebibi, era nga baawuzaako (omutemwa) kw’ebyo bye twabagabira ne bawaayo.

55. Ate bwe baba bawulidde ebyobutaliimu, babyesamba ne bagamba nti: ‘Ffe tulina emirimu egitumala nammwe mulina emirimu egibamala mubeere mu mirembe gyammwe. Tetwetaaga batategeera.’

56. Mazima ggwe tosobola kuluŋŋamya oyo gwoyagala. Era yewuyo asinga okumanya abaluŋŋamu.

57. Kyokka bekwasa nti: ‘Mazima bwe tugoberera obuluŋŋamu nga twegasse naawe tugobebwa munsi yaffe.’ Abaffe tebalaba nti twabafuulira ekifo eky’emizizo okukibeeramu mu mirembe nga bisombebwa okutwalibwa gye kiri ebibala bya buli kiriibwa ebiva gyetuli? Wabula mazima abasinga obungi mubo tebamanyi.

58. Naye kameka nga tuzikiriza nnasiisi w’ebyalo ebyayitiriza okwejaajaamiza mu buwangazi bwabyo? Kale gaago amaka gabwe tegasulwangamu oluvannyuma lwa bali nga ojjeeko amatono (ennyo)! Kale netuba nga ffe twagasikira.

59. Era tekigwanira Mukama Katonda Omulezi wo okuzikiriza ebyalo okutuusa lwamala okutuma eri ekyo ekibisinga ekitiibwa omubaka abasomera amateeka gaffe. Era tekitugwanira kuzikiriza byalo okujjako nga abantu babyo bajeemu.

60. Era kye muba muweereddwa kyonna mu bintu kiba kya kweyagala kwansi na kwewunda kwayo, naye ebiri ewa Katonda by’ebisinga obulungi era by’eby’okusigalawo. Abaffe mulemeddwa okutegeera?

61. Abaffe, oyo gwe twasuubiza ekisuubizo ekirungi nga wa kukisisinkana, afaanana atya n’oli gwe twagemulira eby’okweyagala by’obuwangazi bw’okunsi? ebyo bwebiggwa n’aba nga ku lunaku lw’amayimirira wa kubeera mwabo abassibwa (mu muliro).

62. Ate (jjukira) olunaku lw’abakoowoolerako nga ababuuza nti: ‘Biruwa ebyangattibwako ebyo bye mubadde musuubiriramu?

63. Nebaddamu abo bekyakakatako ekigambo (ky’okubonerezebwa) nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, baabo betwabuza, twababuza nga naffe bwe twabula. Tuutuno tubaabulidde nga tweyanjula gyoli. Baali siffe be basinza’.

64. Olwo ne balagirwa nti: ‘Mukoowoole ba lubaale bammwe, bwebatyo ne babakoowoola naye ne batabaanukula. Olwo ne balaba ebibonerezo. (nebejjusa nti); ssinga mazima baali baluŋŋamu.

65. Ate (jjukira) olunaku lw’abakoowoolerako nga ababuuza nti: ‘Biki bye mwayanukula ababaka?’.

66. Bwegatyo ne gababulako amawulire ku lunaku olwo era nga tebasobola kubuuziganya.

67. Naye oyo eyenenya era eyakola ebirungi, kale oba olyawo wa kubeera mu (kibinja kya) abo abalokofu.

68. Era Mukama Katonda Omulezi wo atonda byonna byayagala era asalawo (buli kyayagala), Tekyabagwanira kubaako kye basalawo. Atukuzibwe Katonda n’okugulumizibwa nga ayawulibwa kwebyo bye bayimbagatanya.

69. Era Mukama Katonda Omulezi wo amanyi ebyo bye zikweka emmeeme zabwe n’ebyo bye zolesa.

70. Era yewuyo Allah, mpawo (mulala) asinzibwa (mubutuufu) okujjako Yye. Kukwe yekka okutenderezebwa n’amatendo amalungi mu lubereberye ne mu luvannyuma. Era bubwe yekka obulamuzi (bwonna), era gyali yokka gye muzzibwa.

71. Babuuze nti: ‘Abaffe mulaba mutya ssinga Katonda abafuulidde ekiro okuba eky’olubeerera (nga tekivaawo) okutuusa ku lunaku lw’amayimirira, wannaba ki asinzibwa atali Katonda (asobola okuba nti) abaleetera obutangavu? Abaffe mulemeddwa okuwulira?’

72. Babuuze nti: ‘Abaffe mulaba mutya ssinga Katonda abafuulira omusana okuba ogw’olubeerera (nga teguvaawo) okutuusa kulunaku lw’amayimirira, wannaba ki asinzibwa atali Katonda (asobola okuba nti) abaleetera ekiro kyemuwummuliramu? Abaffe mulemeddwa okwetegereza?’

73. Kale ekimu ku biraga obusaasizi bwe (y’engeri gye) yabassizaawo ekiro n’emisana mukiwummuliremu era mu kinoonyezemu ebimu ku birungi bye, bwemutyo musobole okusiima.

74. Ate (jjukira) olunaku lwabakowoolerako nga ababuuza nti: ‘Biruwa bye mwangattikako ebyo byemubadde musuubiriramu?’.

75. Bwetutyo nga tufubutudde okujja mu buli mulembe omujulizi, era nga tulagidde nti: ‘Mujjeeyo obujulizi bwammwe’. Olwo ne bamanya nti, mazima ekituufu kyekyo ekiri ewa Katonda, era nebiba nga bibabuzeeko bye baali bagunjawo.

76. Mazima Qaruna yali omu ku bantu ba (omulembe gwa) Musa, bwatyo yabeewaggulako era twamuwa nnasiisi wa mawanika (g’ebyobugagga) agaalina ebisumuluzo ebizitowerera agasajja ag’amaanyi. Jjukira lwe baamubuulirira abantu be nti: ‘Tosanye kweyagala. Mazima Katonda teyetaaga beyagala.

77. Era luubirira nga weyambisa ebyo Mukama Katonda bye yakuwa ennyumba ey’enkomerero. Sso tewerabira mugabo gwo munsi. Era yisa bulungi (abalala) nga nawe Katonda bwe yakuyisa obulungi. Era tewettanira kukolera ffujjo munsi, mazima Katonda tayagala ba ffujjo. 78. Yaddamu nti: ‘Mazima nze nagyetuusaako nga mpita mu magezi gange’. Abaffe yalemwa okumanya nti, mazima Katonda yazikiriza nazzikuno nga (ye) tannabaawo ebyalo nkuyanja ebyalimu abo abamusinza embavu era nga bamusinga okuba n’emmaali ennyingi gye baakuŋŋaanya? Era mpawo avunanyizibwa ebikwata ku bibonerezo byabwe nga bajeemu’.

79. Bwatyo yafuluma okweyoleka eri abantu be nga aggweredde mu matiribona ge. Baayogera mukusaalirwa abo abegomba obuwangazi bw’ensi nti ‘Mukadde ssinga naffe twawebwa ebiringa ebyo Qaruna byeyawebwa. Mazima y’oyo asukkulumye okuba n’omugabo omunene.

80. Kyokka abo abaawebwa obuyivu baagamba nti: ‘Zibazanze! Empeera ya Katonda y’ekira obulungi era teriiyo agifuna okujjako abagumiikiriza.

81. Bwetutyo twamubuutikiza ettaka yye n’amaka ge era teyafunayo kabinja konna kamutaasa nga ojjeeko Katonda, era teyali wa kutaasibwa.

82. Olwo nebakeesa, bali abegomba embera ye eggulo limu, nga bejjusa nti: ‘Woo! Nga Katonda akamaze okusooka okwanjuluza enfuna y’oyo gwayagala mu baddu be ate bwamaze n’agitugga. Singa ffe Katonda teyatuwa mukisa yanditubuutikizza (ettaka). Woo! Nga kikamaze okuba nti balemererwa okulokoka abajeemu’.

83. Gaago amaka ag’oluvannyuma ge tuteekerateekera abo abatayagala kwe kuluntaza munsi, newankubadde effujjo. Era enkomerero ennungi yabo abatya Katonda.

84. Oyo aba azze (mu bbaliro) nga alina ekirungi wa kufuna ekirungi ekikisinga, era oyo aba azze (mu bbaliro) nga alina ekibi, kale mpawo kye basasulwa abo abaakola ebibi okujjako (empeera ye) ebyo byebaali bakola.

85. Mazima oyo eyakussiza Qur’an (Ssemusomesa) mu miteeko emyawufu yewuyo avunanyizibwa okukuzzaayo ebuddo. Gwe bategeeze nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange y’asinga okumanya oyo aba aleese obuluŋŋamu n’oyo eyemalidde mu bubuze obweyolefu’.

86. Era (ggwe) tewalina ssuubi nti oli wa kussibwako kitabo, kyokka obwo bwali busaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omuleziwo. Kale wewalire ddala okubeera omuyambi w’abajeemu.

87. Era wekuumire ddala obutawuguka ku mateeka ga Katonda nga gamaze okussibwa gyoli. Ate kowoola (abantu) okukwata eridda eri Mukama Katonda Omulezi wo era wewalire ddala okwetaba awamu n’abo abayimbagatanya (ebirala ku Katonda).

88. Era wewale okusinza Katonda nga omuyimbagatanyako ekisinzibwa ekirala. Teriiyo asinzibwa okujjako Yye. Buli kintu kya kuzikirira okujjako obwennyini bwe. Bubwe yekka obulamuzi (bwonna) era gyali mwenna gyemuzzibwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *