Skip to content
Home » 13. Ar – Ra’ad (Eraddu)

13. Ar – Ra’ad (Eraddu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(13) ESSUULA: ARRA’AD, ERADDU (MD)

Yakkira Madiina, Erina Aya 43

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif.Lam.Mim.Ra. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo. Era ago agassibwa gyoli okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo ge mazima, wabula abasinga obungi be bantu abatakkiriza.

2. Allah ye Katonda eyawanirira eggulu mu bbanga awatali mpagi gye mulaba, bwe yamala n’atereera ku Nnamulondo. Olwo n’afuula enjuba n’omwezi okuba ebigonvu. Buli kimu kisiyagguka (mu bwengula) okutuukiriza ekiseera ekyo ekyagerekebwa. Atetenkanya ensonga, ateekulula eby’okulabirako (mu miteeko gyabyo) kibasobozese okubanga okusisinkana Mukama Katonda Omulezi wammwe mu kukakasa.

3. Era y’oyo eyayanjuluza ensi, n’agisimbamu lugumyansi n’emigga. Ate buli kika mu bibala yassaamu emigogo ebiri. Abuutikiza ekiro emisana. Mazima ebyo bisibukamu ebyamagero ebiyigiriza eri abantu abafumintiriza.

4. Era munsi yayawulamu ebitundu ebifanaganya ekika ky’ettaka n’amalimiro g’emizabibu n’ebimera ebyawufu n’entende ezirina ensibukira ku bikolo byazo n’ezitalina nsibukira. (byonna) binywesebwa amazzi gegamu, naye tuwa enkizo ebimu okusinga binnaabyo mu kubaamu ebiriisa. Mazima ebyo bisibukamu ebyamagero ebiyigiriza eri abantu abategeera.

5. Ate bwoba okyewuunya (eky’obutakukkiriza, ekyo ssi kyamaanyi) naye ekyewuunyisa ennyo y’engeri gye bebuuza (nga bawakanya) nti: ‘Abaffe, bwetuba twafuuka dda ettaka kisoboka kitya okubanga tutondebwa nate olutondebwa olupya?’. Abo nno be baajeemera Mukama Katonda Omulezi wabwe. Era abo bebokwambikibwa agakoligo g’ekyuma munsingo zabwe. Era bebo ab’okubeera mu muliro gwe batalivaamu olubeerera.

6. Kale bakusaba mukupapirira okubatuusaako ekibi nga tebannafuna kirungi, ate nga mazima gaabayitamu abaaliwo olubereberye lwabwe agabonerezo gaddekabuvune. Kyokka mazima Mukama Katonda Omuleziwo musukkirivu wa kusonyiwa eri abantu olw’engeri gye beedibaga munsobi. Era mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye musukkirivu w’ebibonerezo.

7. Kale beebuuza abo abaajeema nti: ‘Lwaki tassibwako kyamagero ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi we. Kale ggwe obuvunanyizibwa bwo kwekuba omulabuzi. Era buli mulembe gulimu omuluŋŋamya.

8. Katonda amanyi ebyo byekiwaniridde buli kikazi, n’amawako nnabaana g’akendezaako n’ago g’ayongerako ebiseera. Era buli kintu, eyo gyali kirina engerageranya yakyo entongole.

9. Ye Mumanyi kayingo ow’ebikusike n’ebiri mu lwatu Omunene Owawaggulu

10. Temulina njawulo gyali kakibe nti waliwo ayogedde mu kyama ebigambo n’oyo abyatuzza n’oyo eyeekookooka amatumbi budde, n’eyerambise ekyere emisanattuku.

11. Yaterwawo (buli omu kwabo) abasigiragana abamuli emberi n’abamuli emabega, ba mukuuma olw’okutuukiriza ekiragiro kya Katonda. Mazima Katonda takyusa mbera y’abantu okutuusa lwebamala okutabulatabula embera yabwe. Era bwaba Katonda ayagalizza abantu ekibi teriiyo akitangira. Era tebalinaayo nga ojjeeko Yye, mubudamyi wabwe yenna.

12. Yewuyo abooleka olumanya nga lwelaliikirirwa n’okwesungibwa era asibula ebire ebizito.

13. Nga eraddu bwetendereza amatendo Ge amalungi, nga neba Malaika (bamutendereza) bamutya, era asindika okubwatuka zzibamatu okulimu naddiro n’amwokesa oyo gwayagala ekiseera awo we baba bakaayana ku bikwata ku Katonda, sso nga yewuyo omusukkirivu w’obunyigoli!

14. Kuzzibwa gyali okulomerwa okwannamaddala. Naye ebyo bye balomera ne bamulekawo, teri kyebibaanukula ku nsonga yonna nga ojjeeko okufanana oyo ayanjuluzza ebibatu bye n’abyolekeza amazzi nga agayita gatuuke mu kamwa ke aganywe, ate nga ssi ga kumutuukako. Kale teriiyo ngeri ndala okuloma kwa bajjeemu gye kutwalibwamu okujjako okubalirwa mu by’obubuze.

15. Kale ku lwa Katonda yekka, bavunnama abo abali mu ggulu n’ensi mu kweyagalira n’obuwaze wamu n’ebisiikirize byabwe mu biseera by’enkya n’olweggulo.

16. Babuuze nti: ‘Ani Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi?’ Ddamu nti: ‘Ye Allah, Katonda asinzibwa’. Babuuze nti: ‘Abaffe mweteereddewo abilala nga muleseewo Yye, okubeera abikuumi, abitalina kye bisobola kutuusa ku myoyo gyabwe kya mugaso kyonna wadde okwewonya ekibi?’ ‘Babuuze nti: ‘Abaffe waliwo okwenkanankana ku muzibe n’omulabi, nandiki, bapaatiika ku Katonda asinzibwa ba lubaale nga nabo baatonda ebifaanana ebitonde bye (Allah), ekyabaviirako ebitonde (ebyo) okubabuzaabuza?’ Bategeeze nti: ‘Katonda asinzibwa Allah ye Mutonzi w’ebintu byonna, era ye wuyo omu yekka Omukasi.

17. Y’atonnyesa okuva muggulu enkuba, bwetyo n’ekulukutira mu biwonvu okusinzira nga bwebyenkana, Olwo mukoka nabimba omwovu ogutengejja. Ate n’ebyo byemufukutirako omuliro olw’okuluubirira okujjamu oby’okwewunda, oba ebyeyambisibwa, bivaako omwovu ogufanana guli (ogwa mukoka) Eyo y’engeri Katonda gy’ayanja ekituufu n’ekikyamu. Kale omwovu (ogwamukoka) gufuumuuka nga kasasiro, ssonga ebyo ebigasa abantu bisiisira mu ttaka. Bwatyo Katonda bw’ayanja eby’okulabirako!

18, Buyawulirwa abo bokka abaayanukula omulanga gwa Mukama Katonda Omulezi wabwe, obulungi. Kyokka abo abataayanukula mulanga gwe, nebwekiba nti babirinako obwannannyini ebyo ebiri munsi, nga ogasseeko n’ebirala ebibyenkana baalyegombye okubiwaayo nga ennunuzi yabwe. Abo be bokubalirirwa mu mbalirira embi era baakubudamizibwa mu ggeyeena. Kale obwo bwebusingayo obubi nga butuuze.

19. Abaffe, oyo yenna amanyi nti ddala ago agassibwa gyoli okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo ge mazima, ayinza atya okufanana n’oyo eyaziba (amaaso) bwezzibi? Mazima abebuulirira be bokka abaayawulirwa obugeziwavu.

20. Bebo abatuukiriza endagaano za Katonda era nga tebalina ngeri yonna gye mamenya ndagaano.

21. Era bebo abayunga ebyo Katonda bye yalagira okuyunga, era nga batya Mukama Katonda Omulezi wabwe, era nga batya nnyo okubalirirwa okubi.

22. Era bebo abaagumiikiriza nga baluubirira okwemalira ku Mukama Katonda omulezi wabwe nebayimirizaawo esswala era nebawaayo kw’ebyo bye twabagabira mu kyama ne mulwatu era nga beyambisa ebirungi okubiggyisaawo ebibi, bebo ab’okufuna enkomerero ennungi.

23. Yeyo e Jjana (eyitibwa) Aden (obutuuze obwemirembe) ba kugiyingira wamu n’oyo eyalongosa nga ajjibwa mu luse lwa ba kitaabwe abamu naabo bebaali nabo mu bufumbo obutukuvu ne bazzukulu babwe. Olwo nga ba Malaika bayingira gyebali nga bayitira mu buli mulyango.

24. (Okubaaniriza nti:) ‘Mu bukale mu mirembe olw’engeri gyemwagumiikiriza’. Ya byengera byereere n’omukisa enkomerero eyo ennungi!

25. Ate abo abamenya endagaano ya Katonda oluvannyuma lw’okugikakasa era nebasattulula ebyo Katonda bye yalagira okuyunga era nebasaasaanya obwonoonyi munsi, bebo abambukirwako ekikolimo era bebafuna ey’ekivve kyokka enkomerero yabwe.

26. Katonda ayanjuluza enfuna y’oyo gwayagala era agimiima. Kale baajaganyiza obuwangazi bw’ensi sso nga teriiyo ngeri buwangazi bw’ensi gyebugerageranyizibwa nankomerero okujjako okubeera obw’okweyagalako obweyagazi okw’ekimpatiira.

27. Era bebuuza abo abaawakanya nti: ‘Lwaki teyassibwako bya magero okuva ewa Mukama Katonda Omulezi we?. Baddemu nti: ‘Mazima Katonda abuza gwayagala, era oluŋŋamya nga azza gyali oyo aba amweyunidde’.

28. Abo abakkiriza era nga gifuna obutebenkevu emitima gyabwe olw’okutendereza Katonda. Mazima okutendereza Katonda kutebenkeza emitima.

29. Bebo abakkiriza era abaakola ebirungi, ba kweyagalira mu bisulo kiwa mirembe n’obuddo amakula.

30. Mungeri nga eyo twakutuma mu mulembe ogulina emirembe egyaliwo olubereberye lwagwo egyasaanawo edda, obeere nga obasomera ebyo ebiri mu bubaka bwe tukubikkulira, kyokka bbo ate ne baba nga bajeemera Mukama Katonda Omusaasizi ennyo! Bategeeze nti: ‘Oyo ye Mukama Katonda Omulezi wange, teriiyo asinzibwa okujjako Yye, yewuyo gwenneesigamidde era gyali bwe bwenenyezo bwange.

31. Ate singa mazima Qur’an yaviirako okusiguukululwa kw’ensozi nezisiyaggusibwa, oba okubajjulwabajjulwa kw’ensi oba okwogezebwa kw’abafu (era tebaalisobodde kukkiriza!). Wew’awo kwa Katonda yekka okusalawo ku nsonga zonna. Kale baalemerwa kuki okuggwamu essuubi abo abakkiriza, ery’okuba nti ssinga Katonda ayagala yaaliruŋŋamizza abantu bonna? Kyokka bakyeyongera mu maaso, abo abaajeema nga bibatuukako okusinzira kwebyo bye baakola, ebikangabwa oba ssi ekyo (ekikangabwa) okutuuka ku lusebenju lw’amaka gabwe okutuusa lwe kirituuka ekisuubizo kya Katonda. Mazima Katonda tasazaamu kutuukiriza bisuubizo bye.

32. Ate mazima baajeejebwa ababaka nfafa nazzikuno nga tonnabaawo, bwentyo nennembereza abo abaajeema, oluvannyuma nnabakwatako, naye butya bwe kyali ekibonerezo kyange?

33. Abaffe agerageranyizibwako atya oyo aliwo nga Omuyima wa buli mwoyo kwebyo bye gwakola?. Kyokka bagattika ku Katonda ebirala. Basoomooze nti: ‘Mubiyite kyemwagala (tebirina kyebiri). Abaffe mwetwala nti mu mutegezaayo ebyo byatamanyi ebisangibwa munsi, nandiki mwasalawo kusamwassamwa nabigambo?’ Wew’awo baawundirwa abo abaajeema enkwe z’obuseegu bwabwe era baatangira ekkubo (lya Katonda). Kale oyo gwaba Katonda abuzizza talinaayo mulala amuluŋŋamya.

34. Baakufuna ekibonerezo mu buwangazi bw’ensi. Ate ekibonerezo eky’enkomerero (ekirala kye balifuna) kyekisinga obukwambwe. Ate ssi ba kufunayo eyo ewa Katonda muganzi yenna (abaganga emiteeru).

35. Embera y’Ejjana (ekiwummulo kiwa mirembe) eyo eyasuubizibwa (abantu) abatya Katonda; ekulukutiramu wansi wayo emigga. Kalonda w’eby’okulya byayo wa lubeerera, bwekityo, n’ekittuluze kyamu. Eyo y’enkomerero amakula eyaabo abeewala abikyamu. Ate enkomerero y’abajeemu ya muliro.

36. Kale abo betwatuusaako ekitabo basanyukira nnyo ebyo ebyassibwa gyoli. Ate ebibinja ebimu musangibwamu oyo awakanya ebimu kwebyo. Ggwe bategeeze nti: ‘Ekintu kyokka nze ekyandagirwa kwe kusinza Katonda n’obutaba nakirala kyemmuyimbagatanyako. Okudda ku kyokusinza ye yekka gwe mulanga gwange gwenkowoolerako abantu era ewuwe yekka bwe buddo bwange’,

37. Kale eyo yengeri gye twagissa (Qur’an) nga ye Ssemateeka muddiini (eyakkira) mu luwalabu. Ate singa watanula okwekkiriranya nabo kwebyo bye begomba oluvannyuma lw’okumanyisibwa okwakutuukako, tewaalifunyeyo ewali Katonda wa mukwano wadde omuganzi eyaalikuganze.

38. Kale mazima twatuma ababaka bangi nazzikuno nga tonnabaawo, era twabasobozesa okuba abafumbo n’okufuna ezzadde. Ate teriiyo mubaka lweyali afunye bisanyizo nga bya kumukozesa kya magero okujjako nga Katonda akkirizza. Buli ekigwawo mu kiseera kyakakasibwa dda mu kiwandiiko.

39. Katonda asangulawo byayagala wamu n’okunyweza (ebirala byayagala) Era gyali yeri enkuluze y’ebiwandiiko.

40. Ate mazima ne bwetuba tukwolese ebimu kwebyo (ebibonerezo) bye tubasuubiza oba okusalawo okuvumbagira entunnunsi zo (noofa nga tobirabye, ekyo ssi kikulu); obuvunanyizibwa gwe bwolina okutuukriza kwe kutuusa obubaka. Olwo naffe kye tulina okutuukiriza kwe kubalirira (emirimu gyonna).

41. Ye baalemwa batya okulaba engeri gye tutuuka munsi (ey’okutabaalibwa) netugikekejjulako agamu ku masaza gayo (nga tugeddiza)? Kale Katonda y’alamula, teriiyo akyusa kulamula kwe. Era yewuyo omwangu ennyo mu kubalirira!

42. Era mazima bekobaana mu kukola enkwe abaaliwo olubereberye lwabo, kyokka nga zisasulirwa wa Katonda yekka enkwe zonna. Amanyidde ddala byonna bye gukola buli mwoyo. Era bajja kumanya abajeemu ani oyo ow’okufuna enkomerero ey’amaka amalungi.

43. Kale babityebeka abo abaajeema nti: ‘Toli mubaka (wa Katonda)’. Gwe bategeeze nti: ‘Kimala bumazi okuba nga Katonda y’awa obujulizi wakati wange nammwe, gattako (obujulizi) obw’abo abaakuguka mu kumanya ekitabo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *