Skip to content
Home » 57. Al – Hadid (Ekyuma)

57. Al – Hadid (Ekyuma)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

57. ESSUULA: AL-HADID, ‘EKYUMA’.

Yakkira Madiina. Erina Aya 29.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bitenderezza ku lwa Allah ebyo ebiri mu ggulu n’ensi. Era yewuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

2. Bubwe yekka obwa Kabaka bw’eggulu n’ensi. Alamusa era afiisa era yewuyo Omusobozi wa buli kintu.

3. Yoyo Eyasookawo era Asembayo era Omweyolefu era Omwekusifu. Era yewuyo nga buli kintu Mumanyi.

4. Y’oyo eyatonda eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, oluvannyuma yakkalira ku Namulondo. Amanyi ebiyingira munsi n’ebyo ebigifulumamu n’ebyo ebikka okuva mu ggulu n’ebyo ebirinnya mu ggulu. Era yewuyo ali nammwe yonna gye mubadde. Kale Katonda ebyo bye mukola ye Mutunuulizi.

5. Bubwe yekka obwa Kabaka bw’eggulu n’ensi. Era ewa Katonda gye zizzibwa ensonga zonna.

6. Ayingiza ekiro mu misana era ayingiza emisana mu kiro. Era yewuyo Omumanyi w’ebyekusise mu mmeeme.

7. Mukkirize Katonda n’omubaka we era muweeyo kw’ebyo bye yabasobozesa okuba abasigire mu byo. Kale abo abakkiriza mummwe era abaawaayo, ba kufuna empeera ennene.

8. Naye kiki ekibalobera okukkiriza Katonda nga omubaka abayita mube nga mukkiriza Mukama Katonda Omulezi wammwe, ate nga yabakozesa endagaano zamwe, oba muli bakkiriza?

9. Ye wuyo eyassa ku muddu we amateeka amannyonnyofu abe nga abajja mu bizikiza okubazza mu kitangala. Kale mazima Katonda gye muli ye Mulumirwa ow’Okusaasira okw’enjawulo.

10. Naye kiki ekibalobera okuwaayo mu kkubo lya Katonda sso nga bya Katonda yekka eby’obusika bw’eggulu n’ensi. Ekyo kafuuwe omu mumwe okwenkana oli eyawaayo olubereberye lw’okuwangula era n’alwana. Bebo ab’eddaala erya waggulu okusinga bali abaawaayo oluvannyuma era ne balwana. Kyokka bonna Katonda yabalaganyisa ebirungi, era Katonda ebyo bye mukola ye Kakensa.

11. Yaaliwa oyo awola Katonda oluwola olulungi, abe nga (Katonda) amussizaamu ennyongeza era nga afuna empeera ey’ekitiibwa?

12. Ku lunaku lwewerolera abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi nga kimulisa ekitangala kyabwe mu maaso gabwe era nga mu mikono gyabwe egya ddyo (mulimu ebitabo by’emirimu gyabwe n’obubaka obubategeeza nti:) ‘Essanyu lyammwe olwaleero (lye mulina okufuna) y’Ejjana ekulukutira wansi wayo emigga,’ ba kusiisira omwo. Okwo kwe kuganyulwa okunene.

13. Olunaku kwe bagambira abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakazi abo abakkiriza nti: ‘Mutulindeko tufune enjakirizo ku kitangala kyammwe!’ Ne baddibwamu nti: ‘Muddeeyo gye muva munonyeyo ekitangala!’ Olwo ne wassibwawo wakati wabwe olukomera (lw’ekisenge) oluliko omulyango nga munda wagwo (ku ludda oluliranye abakkiriza) eriyo eby’obusaasizi, ate ebweru wagwo (ku ludda aluliranye abajeemu) nga gubolekedde, eriyo ebibonerezo.

14. Ne babawanjagira nti: ‘Ssi ye ffe ababadde nammwe? Nebabaddamu nti: ‘Wew’awo! ‘Kyokka mmwe mwateeka mu kikemo emyoyo gyammwe era mwafuuka amalindirizi era nemubuusabuusa (eddiini) bwebityo byabatwaliriza ebikyamu okutuusa lwe kwatuuka okusalawo kwa Katonda nga bibawugudde ku Katonda ebyabawugula’.

15. ‘Kale olwaleero ssi ya kubajjibwako ennunuzi newankubadde (okugijja) kwabo abaajeema. Obubudamu bwammwe bwa muliro. Gwegwo ogubalinako obuvunanyizibwa. Era bwa kivve obuddo’.

16. Abaffe, tekituuse ekiseera eri abo abakkiriza okuba nga gifuna okutya emitima gyabwe olw’okutendereza Katonda n’ago amazima agatuuse? Olwo ne bewala okufaanana bali abaaweebwa ekitabo olubereberye, ebiseera ebiwanvu ne bibayitako era negiguma emitima gyabwe! Ate nga abasinga obungi kubo bonoonyi?.

17. Mukimanye nti mazima Katonda alamusa ensi oluvannyuma lw’okufa kwayo. Ddala tubannyonnyodde eby’okulabirako ebiyigiriza musobole okutegeera.

18. Mazima abawaayo saddaaka abasajja n’abakyala era nga baawola Katonda oluwola olulungi kukubisibwamu emirundi n’emirundi okusasulwa kwabwe, era bafuna empeera ey’ekitiibwa.

19. Era abo abakkiriza Katonda n’ababaka be, bebo abakakasa amazima era abajulizi ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, basasulwa empeera yabwe n’ekitangala kyabwe. Kyokka abo abaajeema era abaalimbisa amateeka gaffe, bebo ab’okubeera mu muliro.

20. Mumanye nti embera yokka obuwangazi bw’ensi gye butwalibwamu ya kugoma nakutiguka na kwewunda na kwewaana okuli mummwe na kwebala nti mulina enkuyanja y’emmaali n’abaana. Kifaanana nga enkuba ereetedde abalimi essanyu olw’obujinnyimufu bw’ebimera byayo oluvanyuma ne biwotoka n’obiraba nga byengedde oluvannyuma nebikala (nga essanja). Kyokka ku nkomerero eriyo ebibonerezo ebiyitirivu n’okusonyiwa kwa Mukama Katonda n’okusiima. Naye tewali ngeri ndala gye butwalibwamu obuwangazi bw’ensi okujjako okweyagala okujjudde okuwubisa.

21. Musindane nga mudda eri okusonyiwa kwa Mukama Katonda Omulezi wammwe n’Ejjana erina obugazi obwenkana obugazi bw’eggulu n’ensi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda n’ababaka be. Ebyo by’ebirungi bya Katonda byawa gw’ayagala. Kale Katonda ye nnyini birungi ebiyitirivu.

22. Mpawo kizibu kiba mummwe okujjako nga kyakakasibwa mu kitabo olubereberye nga tetunnakitonda. Mazima ekyo eri Katonda kyangu.

23. Kiryoke kibawonye okunakuwalira ebyo ebyabayitako era muleme kusanyukira ebyo bye mutuseeko. Kale Katonda teyetaaga buli ayewaana ayekuza.

24. Abo abakodowala era abalagira abantu okukola obukodo. Kale oyo eyeerema, mazima Katonda yewuyo eyeemalirira atenderezebwa.

25. Mazima twatuma ababaka baffe n’obwanjulukufu era twabaweererezaako ekitabo n’obw’enkanya kisobozese abantu okutuukiriza obwenkanya. Era twassa ekyuma nga kirimu amaanyi amasukkirivu n’ebigasa abantu. Olwo Katonda alyoke yekkaanye oyo amutaasa n’ababaka be mu kyama. Mazima Katonda ye Kirimaanyi Luwangula.

26. Mazima twatuma Nuhu ne Ibrahim, era twawa bazzukulu babwe bombi obwa nnabbi n’ekitabo. Kale abamu kubo baluŋŋamu ate bangi kubo bonoonyi.

27. Oluvannyuma twagobereza obuwufu bwabwe ababaka baffe (abalala) ne tusobozesa Isa mutabani wa Mariam okuba omugoberezi (wa bannabi abaasooka) era netumuwa Enjiri bwetutyo ne tussa mu mitima gyabo abaamugoberera okulumiriganwa n’obusaasizi n’obusossodooti, bbo bwe begunjizaawo, sso nga tetububakakasangako, okujjako (baabugendereramu) okusiima kwa Katonda ate ne batatuukiriza nkola yabwo ntufu. Olwo ne tusasula abo abakkiriza empeera yabwe naye nga abasinga mubo obungi bonoonyi.

28. Abange mmwe abakkiriza, mutye Katonda era mukkirize omubaka we alyoke abasasule emigabo ebiri egy’obusaasizi bwe era abe nga abassizaawo ekitangala ekibamulisa nga mutambula era abe nga abasonyiwa. Kale Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

29. Wabulwewo atamanyi ku bantu b’ekitabo nga bwe batalinaayo kye basobola kufuna ku birungi bya Katonda, n’okuba nti mazima obulungi bwonna buli mu mukono gwa Katonda abuwa gwayagala, Kale Katonda ye Nnannyini birungi ebisukkirivu.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *