Skip to content
Home » 17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)

17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(17) ESSUULA:AL–ISIRA, OLUGENDO LW’EKIRO (MK)

Yakka Makkah, erina Aya 111

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Atukuzibwe Oyo eyatambuza omuddu we nga bukunidde mu kiro kimu, okuva ku muzigiti gw’emizizo okutuuka ku muzigiti gw’ebunaayira, ogwo gwe twawa emikisa okugwebungulula, nga tugenderera okumulaga ebimu ku by’amagero byaffe. Mazima yewuyo (Katonda) Omuwulizi Omulabi.

2. Ate twawa Musa ekitabo era twakiteekawo nga kiruŋŋamya baana ba Israil, nti nno kizira gyemuli okweteerawo nga muleseewo Nze ow’okwesigamira omulala.

3. Abo be bazzukulu baabo abaali awamu ne Nuhu. Mazima yoyo eyali omuddu eyasukka okusiima.

4. Kale twasalawo eby’okutuukirizibwa abaana ba Isirail mu kitabo, (nga bigamba nti) mazima mujja kwonoonera ddala munsi emirundi ebiri era mujja kwekuza olw’ekuza olususse amawaggali.

5. Naye bwekiba kituuse ekiseera ekibereberye ekiragaanyise kw’ebyo eby’emirundi ebiri, nga tubatumira abaddu baffe abazira nnamige nebaba nga babafeffetta okubatirimbula eyo mu mayumba gyemwekukumye, nekiba nga ekisuubizo kituukirizibwa.

6. Bwe tumala ne tubazzaamu okusinzira okw’obuvumu ne mubafuntula, era ne tubagaziyiriza emmaali n’abaana ab’obulenzi olwo ne tubafuula endulundu y’abatabaazi.

7. Bwe muba mulongosezza mulongoseza, myoyo gyammwe era bwe muba mwonoonye (myoyo gyammwe) gyegikosebwa. Naye bwekiba kituuse ekiseera ekiraganyise ekisembayo ekigendereddwamu okutunuza kazigizigi ebyenyi byammwe, era kisobozese bali okuyingira omuzigiti okufaananako nga bwe baaguyingira omulundi omubereberye, era balyoke babetente bonna abo abeekuza olubetenta olukakali.

8. Oba olyawo Mukama Katonda Omulezi wammwe nga abasaasira. Kyokka bwe mukiddira nga tuddamu. Era twafuula Ggeyeena okubeera eri abajeemu nga kkomera.

9. Mazima Qur’an eno eruŋŋamya nga ezza eri ekyo ekisinga okuba eky’obutuukirivu era etuusa amawulire amalungi ku bakkiriza abo abakola ebirungi; nti mazima ba kusasulwa empeera empititivu obunene.

10. Era mazima abo abatakkiriza nkomerero twabateekerateekera ekibonerezo ekiruma.

11. Kale omuntu asaba okwetuusaako ekibi mungeri yennyini eyo gy’asaba okufuna ekirungi. Bwatyo omuntu naaba wa kapapirizo.

12. Ate twafuula ekiro n’emisana okuba eby’amagero ebibiri. Olwo ne tusangulawo eky’amagero ky’obudde bw’ekiro netussaawo eky’amagero ky’obudde bw’emisana nga butangavu kibasobozese okunoonya ebirungi ebiva ewa Mukama Katonda Omulenzi wammwe era mumanye omuwendo gw’emyaka n’okubalirira. Ate buli kintu twakiteekateeka mu ntekateeka entongole.

13. Era buli muntu twasalawo okumwambika enkuluze y’emirimu gye nga erengejjera mu nsingo ye, era tugimuggirayo ku lunaku lw’enkomerero nga eri mu biwandiiko byasanga nga byanjuluze.

14. (N’alagirwa nti:) Wesomere ebiwandiiko byo olina okwemalirira ggwe wennyini olwaleero okuba nga webalirira.

15. Oyo aba aluŋŋamye mazima ekyo kyokka kyaba aluŋŋamya gwe mwoyo gwe, era oyo aba abuze mazima aba gwabuza gwokka. Era kyamuzizo omusango gw’oyo eyakola ekibi okuguvunaana omulala. Era tekyatugwanira kubonereza (muntu yenna) okutuusa lwe tumala okusindika Omubaka.

16. Era bwetuba twagadde okuzikiriza ekyalo tulagira bannaggagga bakyo nebatanula okukyonooneramu, olwo nekikikakatako ekigambo (ekisalawo) bwetutyo ne tukisaanyawo olusaanya.

17. Era kameka nga tuzikiriza nnasiisi w’ebyalo ebyaliwo oluvannyuma lwa Nuhu? Kale kimala bumazi okuba nga Mukama Katonda Omulezi wo, nga ebyonoono by’abaddu be abimanyi, abiraba.

18. Oyo aba ayagala eby’ekimpatiira tumwanguyizaako okumwawulizaako (omugabo gwe) kw’ebyo byetuba twagala netubiwa oyo gwe twagala (mu bali abaagala eby’ekimpatiira), oluvannyuma ne tumussizaawo Ggeyeena gweyesonseka nga munyomoofu mugobaganye.

19. Era oyo asiimye enkomerero era n’agikolerera ebigyeyawulidde nga mukkiriza owannamaddala. Kale abo kuba okukabassana kwabwe kusiimibwa.

20. Tugemulira buli kibinja ekyabano n’ekyabano ebimu ku biwebwayo ebiva ewa Mukama Katonda Omuleziwo, era nekitasoboka ebiwebwayo bya Mukama Katonda Omulezi wo kukugirwa.

21. Gwe werolere engeri gye twawa enkizo ekibinja ekimu mubo esukkuluma ku bannaabwe, ate nga enkomerero yokka ye yayawulirwa amadaala agasinga obunene n’ekisingayo obunene mwebyo eby’ekitiibwa.

22. Kya muzizo gyoli okuyimbagatanya ku Katonda ekisinzibwa ekirala nekikuviirako okubeera awo nga ovumirirwa n’okwabulirwa.

23. Era yasalawo dda (mu kulamula kwe) Mukama Katonda Omulezi wo nti kyamuziro, gyemuli okusinza ekirala okujjako Yye, era abazadde bombi mulina okubayisa obulungi. Kavuna atuuka mu bukadde, nga wooli, omu kubo oba bombi, tobaako kigambo bombi kyobagamba ekiraga okubekaanya era tobakaayuukira bombi, era yogera nabo bigambo birungi.

24. Era betoowalize bombi nga obakolera eby’obusaasizi, era obasabire nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, saasira abazadde (abo) bombi nga nabo bwe bandera nga nkyali bujje.

25. Mukama Katonda Omulezi wammwe y’asinga okumanya ebiri mu myoyo gyammwe. Ssinga muba balongofu olwo naye mazima abeemenye ababeerera Musonyiyi.

26. Era waayo eri ow’oluganda omugabo gwe gw’ateekwa okufuna n’omunaku n’omutambuze ate todiibuuda obudiibuuzi.

27. Mazima abadiibuuzi baba ba luganda ne Ssitaani, sso nga Ssitaani ewa Mukama Katonda Omulezi wayo yali ngyemu.

28. Ate bwoba abaviira olw’okunoonya obusaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo obwo bw’olinamu essuubi okubufuna, kale yogera nabo bigambo biweweevu.

29. Era wewale omukono gwo okugufuula ogwa ggaamu nga teguva mu nsingo yo sso toyitiriza kugwanjuluza ekinaakuviirako okusigala nga onenyezebwa, oweddemu.

30. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ayanjuluza enfuna eri oyo gw’ayagala era amiima. Mazima yoyo abeera nti abaddu be abamanyi bulungi abalaba.

31. Era mwewale okutta abaana bammwe olw’okutya obunkuseere. Ffe tuvunanyizibwa okubagabirira eby’okulya n’okugabirira mmwe. Mazima okubatta guba musango gwannaggomola.

32. Era mwewale okusemberera obwenzi. Mazima obwo buba bukaba, era lyakivve nnyo ekkubo.

33. Era temutta mwoyo ogwo Katonda gwe yafuula ogw’omuzizo okujjako nga waliwo ensonga entufu. Era oyo yenna atirimbulwa mubulyazamanyi, mazima twassizaawo (omuntu) oyo amulinako obulabirizi obuyinza bw’okuwoolera eggwanga. Kale oli yewale okusukka ensalo mu kutta, kubanga n’ono mazima aba alina okudduukirirwa.

34. Era temwesembereza mmaali ya mulekwa okujjako nga ogikola ekyo ekisinga obulungi, okutuusa (mulekwa) lwamala okukakata mubuvunanyizibwa bwe. Era mutuukirize endagaano. Mazima endagaano eba erina okubanjibwa.

35. Era mutuukirize empima y’emirengo gye muba mulenze, ate ne minzani mugipimise bwenkanya obutuukiridde. Ekyo ky’ekisinga obulungi era ky’ekyekkula mu bigendererwa.

36. Era wewale okwesimba kw’ekyo ky’otalinaako kyomanyi. Mazima amatu n’amaaso n’emmeeme, buli kinnakimu kw’ebyo kirina okubuuzibwa.

37. Era wewale okutambula munsi n’amalala, mazima tosobola kubajjula ttaka (n’omusinde gw’otambuza) wadde okutumbiira okwenkana ensozi (olw’engeri gyewetwalira waggulu).

38. Byonna ebyo, amayisa (gabyo) amabi agekusiseemu, ewa Mukama Katonda Omulenzi wo, gaba gakyayibwa.

39. Obwo bwe bumu ku bubaka bw’akubikkulidde Mukama Katonda Omulezi wo obujjudde obulamuzi obwamagezi. Kale wewale okuyimbagatanya ku Allah ekisinzibwa ekirala, nekikuviirako okusuulibwa mu ggeyeena nga oweebuddwa olekeddwa ttayo.

40. Kyali kisobose ddi Mukama Katonda Omulezi wammwe okubaawuliza abaana ab’obulenzi, ate yye neyeteerawo ba Malaika (bemuyita) abakazi. Mazima mmwe musazeewo kumokkolera ddala magambo agasukkiridde.

41. Wew’awo twamala dda okwanja buli kalonda mu Qur’an eno basobole okwejjukanya kyokka terina ky’ebongera (bwebatagigoberera) okujjako okuzaawa.

42. Ggwe bategeeze nti: ‘Ssinga Yye (Katonda) yali wamu n’abasinzibwa nkuyanja, nga bwe babikonjera, olwo (ebitonde byonna ate) byalikutte ekisinde ekidda ew’Oyo nnannyini Nnamulondo.

43. Atukuzibwe Ai Mukama era agulumizibwe – nga ajjibwa kw’ebyo bye bamokkola – olugulumiza olusukkirivu.

44. Limutendereza eggulu omusanvu n’ensi n’abo ababirimu. Era teriiyo kintu kitatendereza matendo ge amalungi, kyokka mmwe temutegeera ntendereza yabyo. Mazima yewuyo Oweekisa Omusonyiyi.

45. Kale bwoba osomye Qur’an (Ssemusomwa), tussa wakati wo nebali abatakkiriza nkomerero, omujiji omubuutikire.

46. Era twassa mu mitima gyabwe envumbo ebalemesa okugitegeera, era nga amatu gabwe galimu envumbo. Ate bwoba otenderezza Mukama Katonda Omulezi wo mu Qur’an (gyoba osomye yokka) bonna olwo badda eky’ennyuma nga bagyesamba.

47. Ffe tusinga okumanya bye bawuliriza ekiseera kye baba bakuwulirizaamu, n’awo we babeerera mu bukuukuulu, eyo abakuusa gye babikonjerera nti: ‘Tewali kirala kyemugoberera okujjako omusajja omuloge’. (awedde emirimu)

48. Werolere engeri gye bakugerageranya mu by’okulabirako, olwo nebabula era nebatasobola kudda ku mugendo.

49. Kale baabuuza nti: ‘Abaffe bwe tuliba twafuuka dda amagufa n’obuwulungwa, ate kirisoboka kitya okuzuukizibwa nga tuli bitonde bipya?.

50. Baddemu nti: ‘Ne bwemuba njazi oba kyuma.

51. Oba ekitonde kyonna kwebyo ebiyinga obunene mu mitima gyammwe.’ Olwo bakubuuze nti: ‘Ani atuzzaawo?’ Ggwe baddemu nti: ‘Oyo eyabagunjawo omulundi ogwasooka!’ Olwo bajja ku kunyenyeza emitwe gyabwe era babuuze nt: ‘Byaddi ebyo? Ggwe bademu nti: ‘Oba oly’awo byakubeerawo mangu?’

52. Olunaku lw’alibakoowoola nemwanukulira mu kutendereza amatendo ge amalungi, era nga mulowooza nti temubandaddeeyo (emagombe) okujjako (ekiseera) ekitono.

53. Era ggwe labula abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga obulungi. Mazima Ssitaani yeefubirira kwonoona mbera yammwe. Mazima Ssitaani ku muntu aliwo nga ye mulabe ow’olwatu.

54. Mukama Katonda Omulezi wammwe y’asinga okumanya embera yammwe. Bwayagala ababonereza. Ate tetwakutuma kubeera mubo nga oli mukuumi.

55. Era Mukama Katonda Omuleziwo y’asinga okumanya abo abali muggulu n’ensi ate mazima twasukkulumya ba Nnabbi abamu ku bannaabwe. Era twawa (Nnabbi) Dawuda Zabbuli.

56. Ggwe bagambe nti: ‘Muwanjagire abo (Uzairu ne Isa) be mulowoolezaamu ne mulekawo Yye (Katonda). Kale tebalina bisanyizo bibatangira kacwano butabatuukako, wadde okukawugula.

57. Abo (Uzairu ne Isa) be bawanjagira, bali mu kweyuna kutambula mu kisinde ekidda eri Mukama Katonda Omulezi wabwe nga basindana okulaba ani anaaba n’enkizo ey’okuba ku mwanjo, era basuubira okufuna obusaasizi bwe, era batya ekibonerezo kye. Mazima ekibonerezo kya Mukama Katonda Omulezi wo kirina okwewalibwa.

58. Ate teriiyo kyalo (kijeemu) okujjako nga tuteekwa okukizikiriza nga terunnatuuka olunaku lw’enkomerero oba okukibonereza ekibonerezo ekikakali. Byalimu dda byonna ebyo mu kitabo nga biwandiike.

59. Ate teriiyo nsonga ndala yatulobera kusindika bya magero nga ojjeeko okuba nti baabirimbisa abaaliwo olubereberye. Kale twaleetera aba Thamudu eŋŋamiya mulwatu kyokka nebeyongera bujeemu olw’eŋŋamiya eyo ate nga teriiyo kyetugenderera mu kusindika bya magero okujjako okutiisa.

60. Kale jjukira we twakutegeereza nti: ‘Mazima Mukama Katonda Omulezi wo yebunguludde abantu’. Ate teriiyo nsonga ndala gye twagenderera mu kirooto ekyo kye twakuloosa okujjako okukifuula ekigezo eri abantu, nga ogasseeko n’omuti ogwakolimirwa mu Qur’an (Ssemusomwa). Bwetutyo tubatiisa kyokka tewali kye kubongera okujjako obwewagguzi obusukkiridde.

61. Era jjukira lwe twalagira ba Malaika nti; ‘Muvunnamire Adam (olw’okumuwa ekitiibwa) Bwebatyo baavunnama (bonna) nga ojjeeko Ibuliisu. Ye yabuuza nti. ‘Nvunnamira ntya oyo gwotonze nga ttaka obutaka?

62. Yagamba nti: ‘Laba eno ggwe: Oyo gw’ofudde ow’ekitiibwa okunsinga, bwonooba onnindirizza okutuusa olunaku lw’amayimirira, nja kubeera bbereeje mukwola obujeemu mu bazzukulu be okujjako abatono ennyo?

63. Yamuddamu nti: Nnyamuka mbagirawo, era oyo anaaba akugoberedde ng’ava mu kibinja kyabwe, mazima ggeyeena y’empeera yammwe mwenna nga yempeera enzijuvu eyajanjaala.

64. Kale sumbuwa gw’osobodde ava mu kibinja kyabwe nga weyambisa eddoboozi lyo era baŋŋange nga weyambisa embalaasi zo n’ebyo byosobola okubambaga nabyo era weetabe mubo nga oyita mu by’enfuna n’abaana, era basuubize by’osobola. Kyokka teriiyo kirala Ssitaani kyebasuubiza okujjako eddolera.

65. Mazima abaddu bange teriiyo ngeri gyobalinako buyinza. Era amala bumazi Mukama Katonda Omulezi wo okuba nga yeyesigamirwa.

66. Mukama Katonda Omulezi wammwe y’oyo aseeyeeyesa kulwammwe amaato mu nnyanja, kibasobozese okunoonya ebimu ku birungi bye. mazima yewuyo abakolera eby’obusaasizi.

67. Kale bwegiba gibatuuseeko emiteeru (nga muli) mu nnyanja bababulako abo be muwanjagira nga ojjeeko Yye. Ate bwamala okubawonya ne musomoka kuttale, olwo nga mukuba enkyukira. Olwo omuntu naaba nga ye kajeemera.

68. Abaffe mulinayo engeri yonna ey’okuwona okubabuutikiza ettale eriri kuludda lw’ennyanja, oba ssi ekyo okubasindikira kibuyaga alimu amayinja, olwo mwesange nga temulinaayo yeesigamirwa mulala?’

69. Nandiki mulinayo engeri yonna ey’okuwona okubazzaayo mu nnyanja omulundi omulala, olwo n’abasindikira kibuyaga awuuma (olw’emisinde emisuffu) mwenna n’abazikiriza, nga mulangibwa obujeemu bwammwe? ebyo bwebiggwa nemutafunayo wa kutwaŋŋanga yenna olw’okubawondera.

70. Mazima abaana ba Adam twabafuula ab’ekitiibwa ne tubateerawo ebyebagalwa ebyokuttale n’ennyanja era netubagabirira ebimu ku birungi era netubawa enkizo nga tubasukkulumya enkuyanja y’ebitonde bye twatonda olusukkulumya.

71. Olunaku lwe tulikoowoola buli kibinja kya bantu okujja n’omukulembeze wakyo. Kale oyo aliweebwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo, abo baakusoma ekitabo kyabwe era tewali kyebalyazamanyizibwa ne bwekiba kyenkana akasusu akabisse ku muwula gw’emmwanyi.

72. Ate oyo abeera kunsi eno nga muzibe (taluŋŋamye) y’oyo kunkomerero ow’okubeerera ddala muzibe era nga ye yasinga okubula nga ava ku mugendo.

73. Era mazima baasemberera nnyo okukusikiriza olw’okukuwugula ove ku bubaka bwe twakubikkulira, olwo obeere nga otujwetekako ebyawukana ku bwo (obubaka), kale (bwewaalituukirizza ebyo) baalikufudde munywanyi wabwe.

74. Era ssinga tetwakunyweza ggulugulu, mazima waalibadde obeekubiirako olwekubiira olutonotono.

75. Olwo nno twalikulozezza ku kibonerezo ekikubiseemu emirundi n’emirundi nga kya mubulamu n’ekirala ekikubiseemu emirundi n’emirundi nga kyemagombe, olwo era tewaalifunyeyo gyetuli akutaasa.

76. Era mazima baasemberera nnyo okukukijjanya munsi olw’okukuwaliriza okugivaamu, olwo ate tebaalibandadde (munsi) oluvannyuma lwo okujjako (ekiseera) ekitono.

77. Eyo y’embera y’abo be twatuma nga tonnabaawo nga bebamu ku babaka baffe. Era tosobola kusangayo mbera yaffe kigikyusa.

78. Yimirizaawo esswala nga otandikira mu kukyuka kw’enjuba okutuusa mu ttumbi wamu n’okusoma Qur’an okw’enkya. Mazima okusoma Qur’an okw’enkya kuba kuwebwako okujulizi.

79. Era n’ebiseera ebimu eby’ekiro olina okugigolokokera (ogisome) eyo nga y’ennyongeza ekweyawulidde oba olyawo nga akuzuukiza Mukama Katonda Omulezi wo nga oli mu kifo ekitenderezebwa.

80. Era saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nnyingiza ekifo ekyamazima era onfulumye mu kifo ekyamazima, era onterewo okuva gyoli obusobozi obw’obufuzi nga bwa buyambi.

81. Era langirira nti: ‘Amazima geyerudde era obukyamu bukonzibye. Mazima obukyamu bulina kukonziba’.

82. Era tulina okussa mu Qur’an (Ssemusomwa) ebyo ebirimu okuwonya n’obusaasizi eby’eyawulidde abakkiriza, so nga terina kyeyongera balyazamanyi (abajeemu) okujjako okufiirizibwa.

83. Era bwe tuba tuwadde omuntu omukisa, ate yeerema era n’agwesamba. Kyokka bwe kiba kimutuuseeko ekibi aggweramu ddala essuubi (ly’okukivaamu).

84. Ggwe bategeeze nti: ‘Buli omu akolera ku mbera yiye, era Mukama Katonda Omulezi wammwe y’asinga okumanya oyo afunye enkizo mu kuluŋŋamira ku mugendo.’

85. Ate bakubuuza ebikwata ku mwoyo. Baddamu nti: ‘Omwoyo ebigukwatako byeyawulidde Mukama Katonda Omulezi wange, era teriiyo kye mwawebwa ku by’obuyivu ebimu okujjako akasirikitu.

86. Ate mazima ssinga twayagala twalikujjeeko ebyo byetwakubikkulira netugendera ddala nabyo, oluvannyuma tewaalisanzeyo abikutuusaako (eby’obubaka oba Qur’an) nga abijja gyetuli gwewesigamirako.

87. Okujjako obusaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Mazima ebirungi bye byeyakwawulizaako biba bisuffu.

88. Langirira nti: ‘Mazima ne bwebaba beekuŋŋaanyizza wamu abantu n’amaginni nebafuba okuleetayo ekyefaanaanyiriza Qur’an (Ssemusomwa) eno, tebasobola kuleeta kigifaanana kale nebwebaalibadde nga abamu betabye, wamu ne bannaabwe nga bayambagana.’

89. Kale mazima twateekerateekera abantu mu Qur’an (Ssemusomwa) eno emiteeko gya buli kyakulabirako, olwo ne bawakanya ebintu byonna abantu abasinga obungi okujjako eky’obujeemu.

90. Era baagamba nti: ‘Tetujja ku kukkiriza okutuusa lwonoosobola okutufukumulira okuva muttaka ensulo z’amazzi.

91. Oba ssi ekyo okuba nga ggwe ofunayo olusuku lw’emitende n’emizabibu, n’okufukumula emikutu gy’emyala egiziyitamu (ensuku) olufukumula.

92. Oba ssi ekyo okusuula eggulu nga otuukiriza byewatudyekadyeka, neritugwira mumbajjo. Oba ssi ekyo okuba nga oleeta (wano) Katonda neba Malaika obuluŋŋana.

93. Oba ssi ekyo okuba nga ggwe olinayo ennyumba eyakolebwa mu matiribona (Agazzaabu), oba ssi ekyo osobole okulinnyuka mu ggulu, ate tetuyinza kukkiriza kulinnyuka kwo okutuusa lwokka gyetuli nga otuleetedde ekitabo kyetuyinza okusoma’. Ggwe baddemu nti: ‘Ekitiibwa kibe eri Mukama Katonda Omulezi wange. Abaffe eriyo engeri endala gyentwalibwamu okujjako ey’okuba omuntu obuntu eyafuna obubaka?’.

94. Ate mpawo kyalobera bantu kuba bakkiriza, awo we bwabatuukirako obuluŋŋamu okujjako okubuuza nti: ‘Abaffe Katonda asobola atya okuddira omuntu naamutuma okuba omubaka?’.

95. Baddemu nti: ‘Ssinga ensi yalimu ba Malaika abatambula nga batuuze bakuukuutivu, twandibassizzaako okuva mu ggulu Malaika nga ye mubaka. 96. Bagambe nti: ‘Kimala bumazi okuba nga Katonda ye mujulizi wakati wange nammwe. Mazima yewuyo abeera nga abaddu be abamanyi (bulungi) abalaba (byebakola).

97. Kale oyo Katonda gwaluŋŋamya yewuyo aba afunye obuluŋŋamu era oyo gwabuza olwo oyo toyinza ku mufunirayo bayambi nga ojjeeko Yye. Era tulina okubazuukiza ku lunaku lw’amayimirira nga bawalulirwa ku byenyi byabwe (okutwalibwa mu bbaliro) nga bazibe b’amaaso bakasiru ba kiggala. Obutuuze bwabwe ye ggeyeena, buli lwaba avumbedde tumwongera okwokya.

98. Okwo kwekusasulwa kwabwe olw’okuba mazima bebo abaawakanya amateeka gaffe era nebabuuza nti: ‘Abaffe bwe tuliba twafuuka dda amagufa era obuwulungwa obwereere, kisoboka kitya okuzuukizibwa nga tuli bitonde bipya?’

99. Abaffe balemeddwa okulaba nti, mazima Katonda eyatonda eggulu n’ensi, asobolera ddala (okuddamu) okubatondera munfanana yabwe (eyasooka), era yabassizaawo entuuko ezitabuusibwabuusibwa, kyokka abakuusa beerema okubaako kyebagoberera okujjako obujeemu.

100. Ggwe bategeeze nti: ‘Ssinga mmwe mulina obwannannyini ku mawanika g’obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi wange, olwo nno mwalikambidde engalo nga mutya nnyo okuwaayo. Bwekityo omuntu naaba nga ye Ssebaluvu.

101. Ate mazima Musa twamuwa eby’amagero mwenda ebyeyolefu. Ggwe buuza abaana ba Israili bwe yabatuukako, olwo Firawo naamugamba nti: ‘Nzenno engeri yokka gyenkusuubiramu ggwe Musa, oli muloge’.

102. Yamuddamu nti: ‘Mazima wakimanyira ddala nti: ‘Teriiyo mulala assizza (byamagero) ebyo okujjako Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi nga tebiri mu nkukutu, kale nange engeri yokka gyenkusuubiramu ggwe Firawo oli mufaafaaganirwa!’. 103. Bwatyo yayagala okubatuntuza nga abagobaganya munsi, olwo netumuzikiriza n’abo beyali nabo.

104. Olwo ne tulagira abaana ba Isirail nga ye takyaliwo nti: ‘Musenge ensi, kale bwe kinaaba kituuse ekisuubizo ky’enkomerero, olwo tubajjeyo nga muli mu bika byammwe eby’enjawulo.

105. Amazima gokka getwasinzirako okugissa (Qur’an) era amazima gokka (yyo Qur’an) ge yassa. Era tetwakutuma lwa nsonga ndala okujjako okubunyisa amawulire ag’essanyu n’amawulire ag’okulabula.

106. Era Qur’an (Ssemusomwa) twagissiza mu bitundu kikusobozese okugisomera abantu nga oyisaawo akaseera, bwetutyo netugissa yonna olussa olujjuvu.

107. Bategeeze nti: kakibe nti musazeewo okugikkiriza oba obutagikkiriza, mazima bali abaaweebwa obuyivu nga tennabaawo, bweba ebasomerwa, bassa ebyenyi byabwe kuttaka nga bavunnama.

108. Era batendereza nti: ‘Agulumizibwe Mukama Katonda Omulezi waffe. Amazima ekisuubizo kya Mukama Katonda Omulezi waffe kirina okutuukirizibwa.

109. Bwebatyo bavunnamisa ebyenyi byabwe kuttaka nga bakaaba, era ebongera bwongezi bugonvu.

110. Ggwe balagire nti: ‘Muwanjagire Allah Katonda asinzibwa, oba ssi ekyo muwanjagire Allah Omusaasizi ennyo. Oyo yenna gwe musalawo okuwanjagira ye yekka nannyini mannya amalungi. Kale tositula nnyo ddoboozi (mu kusoma Qur’an) nga oli mu sswala ate tolifuula lya kaama akayitiridde naye wettanire ekiri mu makkati g’ebyo okifuule ekisinde.

111. Era otendereze nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda yekka oyo ataazaala mwana, era atalinaayo kimweyungako mu bufuzi, era atalinaayo mukuumi yenna olw’okwewala obunyomoofu. Bwekityo omugulumize olugulumiza olw’ekitiibwa

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *