Skip to content
Home » 79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)

79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

79. ESSUULA: AN-NAZI’AT, ABAKWAKKUZI

Yakkira Makka. Erina Aya 46.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayidde abakwakkuzi b’emyoyo abakandula emikandula.

2. ndayidde abasowola empola emyoyo olusowola.

3. ndayidde abaseyeeya oluseeyeeya.

4. N’abo abasindana olusindana.

5. N’abo abassa mu mitendera ensonga.

6. Olunaku lwe kibwatuka ekibwatuka.

7. Nekikuddirira (okufuuwa eŋŋombe) okiddako.

8. Emitima ku lunaku olwo gya kukankana

9. Amaaso gagyo nga mawoteevu.

10. Gyebuuza nti: ‘Abaffe, ddala tuli ba kuzzibwayo mu mbera eyasooka?

11. Nga twafuuka dda amagufa obuwulungwa?.

12. Nebakkaatiriza nti: ‘Okwo nno ddala kwe kuzzibwayo okw’okufaafaagana.

13. Sso nga (okuzzibwayo) ddala luba lufuuwa lumu.

14. Mangu ago nga bali kungulu.

15. Abaffe kyakutuukako ekyafaayo kya Musa?

16. Awo we yamuyitira Mukama Katonda Omulezi we mu kiwonvu ekitukuvu ekye Tuwa.

17. Nti: ‘Ggenda eri Firawo, mazima wuyo yewaggudde.

18. Era mubuuze nti: Abaffe olinayo ky’osigazzaayo ekirala, okujjako okwetukuza?

19. Mbe nga nkuluŋŋamya okudda eri Mukama Katonda Omulezi wo, obe nga omutya?’

20. Bwatyo yamulaga ekyamagero ekinene.

21. Kyokka (Firawo) yalimbisa era yajeema.

22. Bweyamala yakuba enkyukira nga abunza (obwonoonefu)

23. Olwo n’akunga (eggye lye) n’alangirira.

24. Nagamba nti: ‘Nze Mukama Omulezi wammwe ow’okuntikko!’

25. bwatyo yamutuusaako Katonda ekibonerezo eky’oluvannyuma n’ekisooka.

26. Mazima ekyo kirimu okubuulirira eri oyo atya Katonda.

27. Abaffe mmwe musinga obuzibu mu bitonde (ebyatondebwa) nandiki eggulu?. Yaliwanga.

28. Yatumbiiza akasolya kalyo n’alyenkanyankanya.

29. N’abunyisa enzikiza ekiro kyalyo era n’afubutulayo obutangavu bwalyo.

30. Era ensi, oluvannyuma lwebyo yagyanjuluza.

31. Yagifubutulamu amazzi gayo n’ebimera byayo.

32. N’ensozi yazigumya.

33. Olw’okubagasa n’ebisolo byammwe (ebirundibwa).

34. naye bwaba atuuse nnamuzisa omusukkirivu.

35. Olwo lwe lunaku omuntu lwajjukira bye yakola.

36. Era n’ayolesebwa ggeyeena eri abamwerolera.

37. Kyokka oyo eyewaggula.

38. Era eyawa enkizo obuwangazi bw’ensi.

39. Mazima ggeyeena bwe buba obubudamu (bwe)

40. Sso nga oyo eyatya okwaŋŋanga Mukama Katonda Omulezi we, era nga yatangira omwoyo gwe okwejabaata.

41. Mazima Ejjana bwe buba obubudamu (bwe).

42. Bakubuuza ebikwata ku kiseera ekivannyuma, ddi lwe kibeerawo?

43. Wa ggwe we bikukwatirako eby’okukyogerako?

44. Ewa Mukama Katonda Omulezi wo gye biggwera.

45. Mazima obuvunanyizibwa obubwo kwe kulabula oyo akitya.

46. Abo mazima bafaanana kulunaku lwe bakyerolera nga (bbo) abatabandaddeeyo (emagombe) okujjako ekiseera kya kawungezi oba kalasa mayanzi wakyo (ekiseera).

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *