Skip to content
Home » 2. Al – Baqarah (Ente)

2. Al – Baqarah (Ente)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

2) ESSUULA AL – BAQARAH ENTE.

Yakkira Madiina, erina Aya 286

 

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

 

1 Alif Lam Mim.

2 Ekitabo ekyo tekiriimu kubuusabuusa. Kiruŋŋamya (abo) abatya Katonda.

3 Abo abakkiriza ebitalabwako, nebayimirizaawo okusinza nga basaala era nga bawaayo mwebyo bye twabagabira.

4 Era bebo abakkiriza ebyakussibwako n’ebyo ebyassibwa nga tonnabaawo, era nga enkomerero bagikakasa.

5 Abo be bagoberera obuluŋŋamu obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, era bebo ab’okwesiima.

6 Mazima abo abawakanyi, tebalina njawulo k’obeere nga obalabudde oba tobalabudde, si ba kukkiriza.

7 Katonda yassa envumbo ku mitima gyabwe ne mu matu gabwe. Amaaso gabwe nago galiko ekifu era ba kufuna ekibonerezo ekinene.

8 Kale abantu abamu bagamba nti: Twakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero’, sso nga ssi bakkiriza.

9 Bakwenyakwenya Katonda n’abo abakkiriza, kyokka mu butuufu teriiyo gwebakwenyakwenya okujjako emyoyo gyabwe, naye (ekyo) tebakimanyi.

10 Balina ekirwadde (ky’obunnanfusi) mu mitima gyabwe. Era Katonda yabongerako ekirwadde. Kale ba kufuna ekibonerezo ekiruma olw’ebyo bye baali balimbisa.

11 Bwebaba bagambiddwa nti ‘Temwonoona munsi’ baddamu nti: ‘Ffe kyetuliko tulongosa bulongosa!’

12 Ekituufu abo bebonoonyi kyokka tebakitegeera.

13 Bwebaba bagambiddwa nti mulina okukkiriza nga abantu abalala bwebakkiriza,beebuuza nti: ‘Naffe tukkirize nga bali abanafu mu kutegeera bwebakkiriza?, ekituufu bbo be banafu mu kutegeera wabula tebakimanyi.

14 Bwebasisinkana abakkiriza, babagamba nti: ‘Naffe tukkiriza? Kyokka bwebaddayo eri Ssitaani zabwe bagamba nti: ‘Ffe tuli nammwe (munzikiriza) mpozzi (bali) betukwenyakwenya’.

15 Allah asasula okukwenyakwenya kwabwe era n’abaleka mu bujeemu bwabwe nga babulubuuta.

16 Abo be baagula obubuze nga bawaddeyo obuluŋŋamu. Kale obusuubuzi bwabwe tebwagobolola era tebaaluŋŋama.

17 Bafanana nga omuntu akoleezezza omuliro, bweguba gwakamulisa ebigwetoolodde ate Katonda n’aguzikiza n’abaleka mu bizikiza nga tebalaba.

18 Bakiggala, Bakasiru, Bamuzibe era ssi ba kweddako.

19 Oba (bafanana) enkuba eva waggulu nga etonnyera mu nzikiza, nga erimu okubwatuka n’okumyansa, nga (abagirimu) basonseka envamumba zabwe, mu matu gabwe, olw’okubwatuka okw’amaanyi; ssi kuba nga bafa, sso nga Katonda yebunguludde abajeemu.

20 Olumamya lubulako Katono okuziba okulaba kwabwe. Kyokka buli lwe lumyansa batambulirako mu kimyanso ate bwe luzikiza nga bayimirira. Naye ssinga Katonda yayagala yaalizibye amatu gabwe n’amaaso gabwe. Ddala Katonda ye Musobozi wa buli kintu.

21. Abange mmwe abantu, musinze Mukama Katonda omulezi wammwe, oyo eyabatonda (n’atonda) n’abo abaabakulembera, kibasobozese okumutya.

22. Y’oyo eyabatondera ensi nga mwaliiro, n’eggulu nga kasolya, n’assa amazzi okuva mu ggulu, n’ageyambisa okufulumya ebimu ku bibara eby’enjawulo, bibeere eky’okulya kyammwe. Kale Katonda temumuyimbagatanyako (bintu) birala, (nga mubiyita Katonda). Ate nga mumanyi.

23. Bwe muba mulina okubuusabuusa mweyo (Qur’an) gwetwassa ku muddu waffe, kale muleeteeyo essuula egifaanana, era muyite abajulizi bammwe nga Katonda taliiko, abanaabayambako bwe muba mukakasa.

24. Ekyo nga bwemutakikoze, era temusuubira ku kikola; kale mutye omuliro, ogwo ogulyakisibwa abantu n’amayinja (nga z’enku zagwo) ogwategekerwa abajeemu.

25. Kale sanyusa abakkiriza era abakola obulungi nti: ‘Mazima balina Ejjana ekulukutiramu emigga wansi wayo, buli lwebagabulirwamu ekibala kyonna ekijivaamu nga kyakulya, baakunyumya nti: ‘Byebino byetwagabulwanga olubereberye’. Kale byakubaweebwa nga bifanagana, era balinamu abafumbo abatukuvu, ate ba kubeeramu bugenderevu.

26. Mazima Allah tasonyiwala kussaawo kyakulabirako kyonna, kakibeere nsiri oba ekitagyenkana. Kale abakkiriza bamanya nti, ago ge mazima agaviira ddala ewa Mukama Katonda omulezi wabwe, ng’ate abajeemu bebuuza nti: ‘Katonda kiki kyagendaredde mu ky’okulabirako kino?, akyeyambisa okubulizaako abangi n’okuluŋŋamizaako abangi kyokka takibulizaako (bantu) okujjako abajeemu.

27. Abo abamenya endagaano ya Katonda nga bamaze okugikakasa, nebakutulawo (enkolagana wakati wabwe n’abalala) mwebyo Katonda byeyalagira okuyunga, era neboonoona munsi, abo nno ba kufaafaagana.

28. Butya bwemuwakanya Katonda nga mwali bafu, oluvannyuma naabawa obulamu, oluvannyuma naabatta, oluvannyuma naabawa obulamu, oluvannyuma nemuzzibwa gyali.

29. Y’oyo eyabatondera ebiri mu nsi byonna, oluvannyuma nadda ku (kutonda) eggulu, olwo naagereka eggulu gabeere musanvu, era ye Mumanyi wa buli kintu.

30. Jukira Mukama Katonda omuleziwo we yategeereza ba Malika nti: ‘Mazima nja kussa munsi omusigire’. Nebamubuuza nti: ‘Ossaamu otya oyo ow‘okujoonooneramu n’okuyiwa omusaayi, sso nga ffe tutendereza amatendo go amalungi era tukutukuza?’.Yabaddamu nti: ‘Mazima nze mmanyi (bingi) ebyo byemutamanyi.

31. Awo N’ayigiriza Adam (entuuma ya) amannya g’ebitonde byonna, oluvannyuma n’abyanja mu maaso ga ba Malaika, n’abagamba nti: ‘Mumbulire amannya ga bino (byonna) bwemuba ab’amazima’.

32. Baddamu nti: ‘Otukuzibwe Ai Katonda! Teri buyivu bwetulina okujjako kyoba otuyigirizza, mazima ggwe Mumanyi Omukenkufu’.

33. N’agamba nti: ‘Gwe Adamu, bategeeze amannya gabyo’. Bwamala okubategeeza amannya gabyo, (Katonda) n’agamba nti: ‘Ssaabagabye nti, mazima nze mmanyi ebyama by’eggulu n’ensi era manyi bye mwanja mu lujjudde n’ebyo bye muba mukwese?’.

34. Jukira wetwalagira ba Malaika nti muvunnamire Adam (olw’okumuwa ekitiibwa)’. Bonna ne bavunnama okuggyako Ibuliis yeyagaana neyekuluntaza n’abeera mu bajeemu.

35. Olwo n’alagira nti: ‘Ggwe Adam: beera mujjana (olusuku) ne mukyala wo, era mwembi mulye eby’okulya byamu nga mwegazaanya nga mubiggya wonna wemwagala, kyokka mwembi temusemberera omuti guno (okugulya) ne mubeera mwabo aberyazamanyizza’.

36. Bombi Ssitaani n’ebawubisa n’ebafulumya mu byengera byebaalimu, netuyisa ekiragiro nti: ‘Muveemu mukke nga buli omu mulabe wa munne. Ensi gyemunasiisira era gye munaafuna ebinaabayimirizaawo okumalako ekiseera’.

37. Adamu olwo yafuna ebigambo (ebyenenya) okuva ewa Mukama Katonda Omulezi we, naye n‘akkiriza okwenenya kwe. Mazima yewuyo eyenenyezebwa ow’okusaasira okw’enjawulo.

38. Ne tulagira nti: ‘Mugiveemu mwenna. Mazima bwe bunaabatuukako obuluŋŋamu obuva gyendi, abo abanaagoberera obuluŋŋamu bwange, ssi ba kufuna kutya era ssi ba kunakuwala.

39. Naye abo abanaawakanya ne balimbisa amateeka gaffe, bebo aboomumuliro, ba kugubeeramu bugenderevu.

40. Abange mmwe abaana ba Israil mujjukire ekyengera kyange kyennabawa, era mutuukirize endagaano yange, nange ntukirize endagaano yammwe, era mutye nze nzekka.

41. Era mukkirize ekyo kyennassa nga kinyweza ebyo byemulina,era temuwaanyisa amateeka gange n’ebyo eby’omuwendo omutono, era mutye nze nzekka.

42. Era temutabula mazima na bukyamu, nemukweka amazima, sso nga mukimanyi.

43. Muyimirizeewo okusinza nga musaala n’okuwaayo zaka era mukutamire wamu n’abakutami.

44. Lwaki mulagira abantu okukola obulungi ate nemwerabira emyoyo gyammwe, sso nga musoma ekitabo?. Abaffe temuliimu kategeera?

45. Kale mweyambise obugumiikiriza n’okusaala, ebyo nno bizitoowerere buli muntu okujjako abatya Katonda.

46. Abo abakakasa eky’okusisinkana Mukama Katonda omulezi wabwe, ate nga mazima gyaali gyebadda.

47. Abange mmwe abaana ba Israil, mujjukire ekyengera kyange kyennabawa, n’okuba nti nze nnabasukkulumya ku bantu bonna (ab’omulembe gwabwe).

48.Mutye olunaku, omuntu watagasiza muntu mulala kintu kyonna, era nga tewali kuworereza kwe kukkirizibwa, era nga tewali nnunuzi ye emujjibwako, ate nga bonna ssi ba kutaasibwa.

49. Mujjukire lwe twabawonya abantu ba Firawo,abaabatuusangako agabonerezo agabi, nga basala abaana bammwe ab’obulenzi ne balekawo ab’obuwala. Kale ekyo mmwe mwakifunamu ekikemo ekiva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe ekinene.

50. Mujjukire lwetwabeerulira (amakubo ag’okuyita mu) ennyanja netubawonya, ate netuzikiriza abantu ba Farawo nga mulaba.

51. Mujjukire lwetwalaganyisa Musa (okumusisinkana) ebiro amakumi ana, bwemwamala ne mweterawo ekifananyi ky’akayana k’ente (okukisinza) nga (Musa) amaze okugenda, nemuba abalyazamanyi.

52. Kale netutanonooza nsobi zammwe (kubabonereza) ekyo nga kiwedde,kibasobozese okwebaza.

53. Mujjukire lwetwawa Musa ekitabo n’ebyamagero ebyassaawo enjawulo (wakati w’amazima n’obulimba) kibasobozese okuluŋŋama.

54. Mujjukire Musa weyanenyeza abantu be nti: ‘Abange mmwe abantu bange, mazima mweryazamanyizza mwekka, bwe mweteereddewo ekifananyi ky’akayana k’ente (okukisinza). Kale mwenenyeze Omutonzi wammwe, era mwettiŋŋane mwekka mwekka, ekyo ky’ekisingako obulungi ew’Omutonzi wammwe. Nalyoka olwo akkiriza okwenenya kwammwe. Mazima yewuyo eyenenyezebwa ow’okusaasira okw’enjawulo

55 Mujjukire lwemwagamba nti ‘Gwe Musa tetujja ku kukkiriza okutuusa lwetunaalaba Katonda yennyini Allah mu lujjudde’. Olwo nemufuna okubwatukirwa okuva mu ggulu nekubatta nga mulaba.

56 Oluvannyuma netubazuukiza ssonga mubadde bafu, musobole okwebaza.

57 Netubasiikiriza ekire era netubassizza (emmere eyitibwa) Manna n’obugubi, kale mulye ebimu ku birungi bye tubawadde. Kale tebaatulyazamanya wabula myoyo gyabwe gye baalyazamanya.

58 Mujjukire lwe twalagira nti: ‘Muyingire ekibuga ekyo, mufunemu eby’okulya byammwe nga mubijja wonna wemwagala nga mwegazaanya, era muyingire wankaki nga mukutaamiridde, era mwegayirire nti: ‘Tusonyiwe Ai Mukama’. Olwo tunaabasonyiwa ebibi byammwe era tunaayongera abakola ebirungi obulungi.

59 Bali abajeemu nebawaanyisa ekigambo nga baleka kiri ekyabalagirwa. Olwo bali abaajeema netubassaako ekibonerezo ekiva mu ggulu olw’engeri gye baali abonoonyi.

60. Mujjukire Musa lweyasabira abantu be okunywesebwa amazzi, netumulagira nti: ‘Kubisa omuggo gwo ku jjinja’, nelyeyasaamu enjatika kkumi na bbiri ezifukumukamu ensulo. Mazima abantu bonna baamanya buli kibinja we kirina okunywera. Mulye era munywe ebimu ku bigabirirwa bya Katonda asinzibwa Allah, era mwewale ensi okugibunyisaamu obwonoonyi.

61. Jjukira we mwalangirira nti: ‘Ggwe Musa, tetujja kugumiikiriza butakyusa ku mmere! Tusabire Mukama Katonda omulezi wo atufubutulireyo ebimu kw’ebyo ettaka lye bimeza, okugeza enva endiirwa, cukamba, katunguluccumu, ddengu n’obutungulu bwalyo?. Yabuuza nti musaba ku wanyisibwamu eyo eyawansi mu eri esinga obulungi? Mukkirire e Misiri, eyo gyemunaafuna byemusabye!’. Olwo nebamettebwako ebunyomoofu n’obunaku, nebeewanuuliza obusungu bwa Katonda. Mazima kyali bwekityo kubanga baali bawakanya amateeka ga Katonda Allah asinzibwa, era nga battira ba Nnabbi obwemage. Kyali bwekityo olw’obujeemu bwabwe era nga baayitiriza okusukka ensalo.

62. Mazima abo abakkiriza (kungulu) n’abo Abayudaaya, n’Abanaswala ne ba mukyusaddiini; omuntu yenna (mubo) anaaba kati akkirizza Katonda asinzibwa Allah, n’olunaku lw’enkomerero (okukkiriza okwannamaddala), n’akola ebirungi ba kufuna empeera yabwe ennungi (esangibwa) ewa Mukama Katonda omulezi wabwe. Era ssi ba kufuna kutya wadde okunakuwala.

63. Mujjukire lwe twabakozesa endagaano yammwe, netulengezza waggulu wammwe olusozi nga bwe tubalagira nti: ‘Byonna byetubawadde mubikwase maanyi, era mutuukirize ebirimu, kibasobozese okutya Katonda’.

64. Kale oluvanyuma mwekyusa nga ebyo biwedde. Naye ssinga tekyali kisa kya Katonda asinzibwa Allah kyeyabakolera n’obusaasizi bwe, mwalibadde mwabo abaafaafaaganirwa.

65. Mazima mwamanya bulungi (abantu) abo abamu mummwe abaajeema olunaku lwa Ssabbiiti ne tubasalirawo nti: ‘Mufuuke enkobe ezinyoomoolwa’.

66. Ekyo twakifuula ekibonerezo (ekirabula) ekyaliwo mu kiseera kyabwe n’oluvannyuma lwabwe era nga kya kubuulirira abatya Katonda.

67. Mujjukire Musa weyagambira abantu be nti: ‘Mazima Katonda abalagira okusala ente!’. Baamubuuza nti: Otufudde ba kujeeja? Yabaddamu nti: “Nneekuumisa Katonda nga nneewala okubeera omu kwabo abatategeera!’.

68.Baamutegeeza nti tusabire Mukama Katonda omuleziwo, atunnyonnyole nte ki. Yabaddamu nti: ‘Ye kyagamba mazima kiri nti, ente eyo ssi nkadde ate ssi nnyana, ya wakati awo, ekibalagirwa kye muba mukola.

69. Baamutegeeza nti: ‘Tusabire Mukama Katonda omuleziwo atunnyonnyole ya bbala ki? Yabaddamu nti: ‘Ye kyagamba mazima kiri nti ente eyo ya lukunyu olumyufu ebbala lyayo linnyikivu esanyusa abagitunuulira’.

70.Baamutegeeza nti: ‘Tusabire Mukama Katonda omulezi wo atunnyonnyole, nte ki eyo?

71.Yabaddamu nti ‘Ye kyagamba mazima kiri nti, ente eyo ssi ya wansi nti evuuguula ttaka, era tefukirira nnimiro, erya butaala nga teriiko kamogo, teriimu kibala Bamuddamu nti: Kaakano otuuse ku mazima!’ nebagisala naye baabulako katono okulemererwa.

72.Mujjukire lwe mwatemula omuntu, ate nemwegaana (omusango ogwo) sso nga Katonda alina okwolesa bye mwali mukukusa.

73.Netulagira nti: ‘Mu mukubiseeko ekitundu kyayo (ente), bwatyo Katonda bw’alamusa ebifu n’okubalaga ebyamagero bye kibafuule abategeera.

74.Oluvannyuma emitima gyammwe negikakanyala, ebyo nga biwedde, negiba nga olwazi; oba okusingawo obugumu. Kubanga mazima eriyo enjazi ezimu ezifukumukamu emigga egikulukuta, ate eriyo endala ezibajjuka nezivaamu amazzi, ate eriyo (endala) ezigwa wansi olw’okutya Katonda. Kale Katonda tagayaalirira byemukola.

75.Mululunkanira mutya okuba nga babakkiriza, sso nga ekibinja ekimu mubo kibadde kiwuliriza ebigambo bya Katonda bwe bava awo nebabikyusakyusa nga bamaze okubyekkaanya, era nga mukimanyi.

76.Bwebaba basisinkanye abakkiriza bagamba nti: ‘Tuli bakkiriza kyokka abamu bwebaddayo mu bannaabwe, bababuuza nti: ‘Mubabuulira mutya ekyo Katonda kyeyabamanyisa, ate basinziire okwo bakyesembese okuba ensonga ebasingisa omusango ewa Mukama Katonda omulezi wammwe. Abaffe temuliimu tategeera?

77.Abaffe balemeddwa okukimanya nti Katonda amanyi bulungi bye bakisa ne byeboolesa?

78. Ate abamu kwabo tebaasoma. Tebalina kyebamanyi ku kitabo, okujjako ebigambo ebisuubize. Kale tewali kyebatuukako kitali kya kufumiitiriza.

79. Bakubonerezebwa abo abalina ebitabo bye bawandisa emikono gyabwe, bwebamala ne bagamba nti: ‘Bino bivudde wa Katonda’. Nga kyebagenderera kubiwanyisaamu eky’omuwendo omutono Kale ba kubonerezebwa olw’ebyo bye gyawandika emikino gyabwe, nate ba kubonerezebwa olw’ebyo byebafunamu.

80.Kale baagamba nti: ‘Omuliro ssi gwakutwokya okujjako ennaku mbale!’ Babuuze nti: ‘Abaffe ekyo mukirinako endagaano ewa Katonda, eyo Katonda gyatalina ku menyawo, nandiki mwogera ku Katonda bye mutamanyi?’

81.Wew’awo oyo yenna akoze ekibi, nekimwebungulula yenna ekibi kye, kale abo bebomumuliro gwebalibeeramu olubeerera.

82.Ate abo abakkiriza nebakola ebirungi, bebomujjana gye balibeeramu olubeerera.

83. Jjukira lwetwakozesa Abayisiraili endagaano gye twanyweza (egamba nti:) ‘Teli kyemuteekwa kusinza okujjako Katonda Allah, n‘abazadde bombi mu bayise bulungi, n’abeŋŋanda ne bamulekwa, n’abanaku, era abantu mu bagambe birungi, era muyimirizeewo okusinza nga musaala,era muweeyo zaka’. Oluvannyuma mwajawukanako, nga ojjeeko abatono ennyo mu mmwe, era nemuba nga (endagaano) mugiwakanya.

84. Jjukira lwe twabakozesa endagaano gyetwanyweeza, egamba nti: ‘Temuyiwa musaayi gwammwe era temwegobagana mu maka gammwe, olwo ebyo nemubikakasa nga muwa obujulizi.

85.Ebyo bwebyaggwa ate mmwe baabo abattiŋŋana mwekka, nemufubutula ekibinja ekimu mummwe mu mayumba gabwe, ne mubekobaanira okubakijjanya mububi n’empalana. Era bwebajja gyemuli nga bawambe mubanunula, sso nga kyamuziro gyemuli okubagoba. Abaffe ekitabo mukikkirizaamu bimu ebirala ne mubiwakanya? Teriiyo mpeera yoyo akola ekyo mummwe, okujjako okufeebezebwa mu buwangazi bw’ensi, sso nga olunaku lw’enkomerero ba kuzzibwa mu kibonerezo ekyasukkirira obubi. Kale Katonda tagayaalirira ebyo byemukola.

86. Bebaabo abaagula obulamu bw’ensi nga bawaayo enkomerero. Tebalikendezebwa ku kibonerezo era ssi ba kutaasibwa.

87. Mazima twawa Musa ekitabo, era netumugoberezaako ababaka oluvannyuma lwe, era netuwa Isa mutabani wa Mariam eby’amagero era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu. Lwaki buli lwabatuusaako omubaka, ebyo emitima gyammwe gyebitayagala mwekuluntaza? Olwo newabaawo ekibinja ekirimbisizza n’ekibinja ekirala ekitemula.

88.Kale baalangirira nti: ‘Emitima gyaffe misaanikire’. Ekituufu Katonda yabakolimira nga abalanga obutakkiriza bwabwe. Era batono nnyo abakkiriza.

89. Bwekyamala okubatuukako ekitabo ekiva ewa Katonda asinzibwa Allah nga kinyweza (kiri) kyebalina, sso nga nazzikuno baakyeyambisanga okusaba okuwangula abajeemu. Naye bwekyamala okubatuukako ekyo kyebaali bamanyi, baakijeemera. Ate nga ekikolimo kya Katonda kyambukira ku bajeemu.

90.Kibi nnyo kyebaagula nga bawaddeyo obulamu bwabwe, okuba nga bajeemera ekyo Katonda kyeyassa, olw’ensaalwa eyabakwata, kubanga Katonda assizza erimu ku kkula lye, eri oyo gwayagala nga yomu ku baddu be. Nebaddayo nga bafunye obusungu obweyongereza ku bunnaabwo. Kale abajeemu ba kufuna ekibonerezo ekiweebuuza.

91.Ssinga bagambibwa nti: ‘Mukkirize ekyo Katonda kyeyassa’. Baddamu nti: ‘Ffe tukkiriza ekyo ekyatussibwako’. Olwo nebawakanya ekyajja oluvannyuma lwakyo, sso nga ge mazima aganyweza kiri kyebalina.Babuuze nti: ‘Kiki ekyabatirimbuzanga ba Nnabbi ba Katonda olubereberye bwemuba muli bakkiriza?

92. Mazima Musa yabaleetera ebyamagero, kyokka nemweteerawo ekifananyi ky’akayana k’ente okukisinza nga agenze, ne mubeera abajeemu.

93. Jjukira lwetwabakozesa endagaano gyetwanyweza netulengezza olusozi waggulu wammwe (nga bwetulagira nti: ‘Mukwase byonna ebyo byetubaleetedde namaanyi, era mubeere bawulize’. Baddamu nti: ‘Tuwulidde naye tetukkirizza’. Kale emitima gyabwe gyannyikizibwa okwagala akayana k’ente nga kisinziira ku butakkiriza bwabwe. Bategeeze nti: Kibi nnyo ekyo enzikiriza yammwe ky‘ebalagira, bwemuba muli bakkiriza.

94.Bategeeze nti: ‘Bwemuba ab’okufuna obulamu obwomuggulu obw’emirembe ewa Katonda ku lunaku lw’enkomerero, nga bweyawulidde mmwe mwekka, obutazingiramu bantu (balala), kale mwegombe okufa, bwemuba muli bamazima.

95.Kale ssi ba kukwegomba nebwebuliba ddi,bwosinziira kw’ebyo bye gyakulembeza okukola emikono gyabwe. Kale Katonda ye mumanyi wa bajeemu.

96. Ate ojja kubasangira ddala nga bebantu abasingayo okwegomba okuba abalamu, era basinga n’abasamize. Yegomba omu kubo, ssinga awangazibwa emyaka lukumi, sso nga nagyo tegimuwonya, kusimattuka bibonerezo nga agiwangazibbwa. Katonda ye Mulabi w‘ebyo byebakola.

97. Langirira nti: ‘Oyo yenna alina obulabe ku Jibuliiru, mazima akakase nti, yagissiza ddala (Qur’an) ku mutima gwo olw’okusalawo kwa Katonda, nga enyweza ebyo ebiriwo, n’okuluŋŋamya, n’okutuusa amawulire ag’essanyu ku bakkiriza.

98.Oyo yenna alina obulabe ku Katonda ne ba Malaika be, n’ababaka be, ne Jibuliiru ne Mikaala, akimanye nti Katonda mazima ye mulabe w’abatakkiriza.

99.Kale ddala twassa gyoli eby’okulabirako eby’amateeka amannyonnyofu, naye teriiyo babiwakanya okujjako abonoonyi.

100.Buli lwe baba balagaanye endagaano, nga kigyawukanako ekibinja ekimu mubo. Naye ekituufu, ababasinga obungi ssi bakkiriza.

101. Bwe yamala okutuuka gyebali, omubaka ava ewa Katonda, nga anyweza ekyo kyebalina, kyawakanya ekibinja ekimu eky’abo abaaweebwa ekitabo, ekitabo kya Katonda nga bakissa emabega w‘emigongo gyabwe (nga bakikuba amabega) nebaba nga abatalina kyebamanyi..

102. Era baagoberera ebyo Ssitaani byezaaleka mu bwa Kabaka bwa Sulaiman. Kyokka Sulaiman teyali mujeemu, wabula Ssitaani ze zaajeema nga ziyigiriza abantu eddogo n’ebyo ebyassibwa ku ba Malaika ababiri (abali) e Babilooni, Haruta ne Maruta. Teriiyo muntu gwebaayigiriza gwe bataamala kutegeeza nti: ‘Ffe nno tuli kikemo bukemo, kyokka ggwe togezaako okujeema!’ Olwo abantu nebatandika kubayigako (ba Malaika) bombi eddogo lyebeyambisa okwawukanya omuntu kwoyo gwali naye mu bufumbo. Mubutuufu tewaaliwo muntu yenna gwebaakola bubi olw’eddogo eryo, mpozzi lwakukkiriza kwa Katonda. Kale baayiganga ebyabakola obubi nebitabagasa, sso nga baakimanyira ddala nti omuntu agula ebintu ebyo, talinaayo ku nkomerero mugabo gwonna. Kale bibi nnyo byebaagula nga bawaddeyo emyoyo gyabwe, ssinga baali bakimanyi.

103. Sso nga ate bwebaalikkirizza era nebatya Katonda, baalifunye empeera ennungi okuva ewa Katonda asinzibwa Allah, ssinga baali bakimanyi.

104. Abange mmwe abakkiriza, tewabaawo ayogera nti tulondoole wabula mugambe nti: ‘Twekalirize! Era mube bawulize, kyokka abajeemu ba kufuna ekibonerezo ekiruma.

105.Teriiyo yegomba kwabo abaajeema, nga bebo abaaweebwa ekitabo, newankubadde abasamize, kubaawo kintu kyonna kissibwa gyoli nga kimu kwebyo ebirungi ebiva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe. Sso nga Katonda ayawuliza okusaasira kwe eri oyo gwayagala. Era Katonda asinzibwa Allah ye Nnyini birungi eby’ensusso.

106.Tetusiimuula tteeka lyonna oba okulyelabiza, tuleeta lirisingako bulungi oba liryenkana. Gwe tokimanyi nti mazima Katonda, buli kintu ye Musobozi wakyo?

107.Gwe tokimanyi nti mazima Katonda yennannyini bwakabaka obw’eggulu n’ensi, era temulinaayo ng’ojjeeko Katonda mukuumi (wammwe) wadde omutaasi?

108.Nandiki kyemwagala kya kubuuza omubaka wammwe okufananako Musa bwe yabuuzibwa olubereberye? Oyo yenna awaanyisa obukkiriza natwalamu obujeemu, mazima aba abulidde mu lisingayo obubi mu makubo.

109.Begomba nnyo abo abasinga obungi ku baaweebwa ekitabo, ssinga babazzaayo oluvannyuma lw’okukkiriza kwammwe, okuba nate abajeemu, olw’ensaalwa ennyingi esibuka mu mitima gyabwe gye babalinako, sso nga amazima gaabeeyoleka dda. Kale mu besonyiwe, era temubesasuza, okutuusa Katonda lw’anaasalawo ensonga ye. Mazima Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

110.Muyimirizeewo okusinza nga musaala, era muweeyo zaka, era ekintu kyonna kyemuba muweereddeyo obulamu bwammwe nga kirungi, muli ba kukisanga ewa Katonda asinzibwa Allah. Mazima Katonda byonna byemukola ye Mulabi wabyo.

111.Kale baalangirira nti; ‘Teliiyo aliyingira Jjana (obulamu bwomuggulu obulungi) okujjako nga yali Muyudaaya oba Munaswara’. Okwo kwekusuubira kwabwe. Ggwe basoomooze nti: ‘Mujjeeyo obujulizi bwa mmwe obukakasa, bwemuba muli ba mazima.

112.Wew’awo, oyo yenna ayewaayo bulambirira ewa Katonda asinzibwa Allah, era nga alongosa enkola, afuna empeera ye ewa Mukama Katonda Omulezi we, era teriiyo kutya kwebafuna era ssi ba kunakuwala.

113.Kale Abayudaaya baalangirira nti: ‘Abanaswala tebalina kyebaliko’.N’abanaswala baalangirira nti: ‘Abayudaaya tebalina kyebaliko’. Awamu n‘okuba nti bonna basoma ekitabo. Ekyo tekirina enjawulo, n’abo abatalina kyebamanyi, balangiridde ebigambo ebifanana ebyabali. Katonda yew’okulamula wakati wabwe olunaku lw’enkomerero mwebyo bye baali balinamu okwawukana.

114.Mukuusa nnaba ki asinga oyo akugidde emizigiti gya Katonda asinzibwa Allah okutendererezaamu erinnya lye, era naakolerera okugifuula amatongo? Abo tekyabagwanira kugiyingira okujjako nga bajjudde okutya. Balina okufuna munsi obunyomoofu, era balina okufuna ku nkomerero ekibonerezo ekinene.

115.Kale Katonda ye Nnyini buvanjuba n’ebugwanjuba. Yonna gyoba oyolekedde ebeerayo Katonda yennyini. Mazima Katonda ye Mugazi ennyo Omumanyi.

116.Kale baajweeteka nti: ‘Katonda yessizaawo omwana’. Ekitiibwa kibe gyali! Ekituufu kiri nti: ye nnannyini w’ebyo ebiri muggulu n’ensi. Byonna ye yekka gwebigondera.

117.Ye mugunzi w’eggulu n’ensi. Bwewabaawo kyaba ayagadde (okutonda), Akigamba bugambi nti: Ba!, nekiba (nga bwasazeewo)

118.Kale abo abatalina kyebamanyi bebuuza nti ‘Kiki ekirobedde Katonda okwogeranya naffe nandiki ggwe okutuleetera eky’amagero! Ekyo tekirina njawulo, nabali abaabasooka, bebuuza ebigambo ebifanana ebyabo. Gyakula bumu emitima gyabwe. Amazima tumaze okunnyonnyola eby’okulabirako abantu abekkaanya.

119.Ffe twakutuma nga oli ku kituufu, owa amawulire ag’essanyu era olabula, era ssiggwe ovunaanyizibwa ku balibeera mu muliro.

120.Era ssi ba kukusiima Abayudaaya wadde abanaswala okujjako nga ogoberera Ddiini yabwe. Langirira nti: ‘Mazima obuluŋŋamu obwa Katonda bwe buluŋŋamu obwannamaddala!’ Ate ssinga wagoberera byebettanira, oluvannyuma lw’okumanyisibwa okumu, okwo okwakutuukako, olwo ewa Katonda (waalibadde) tolinaayo mukuumi yenna wadde okutaasibwa.

121.Abo betwawa ekitabo, bakisoma nga bwekiteekwa okusomebwa. Bebaabo abakikkiriza. Naye oyo akiwakanya, abonno be bataganyurwa.

122. Abange mmwe abaana ba Israil, mujjukire ekyengera kyange kyennabawa, n’okuba nti nze nnabasukkulumya ku bantu bonna (ab’omulembe gwabwe).

123.Era mutye olunaku, omuntu watagasiza muntu mulala ku kintu kyona, ate nga tewali kukkiriza nnunuzi yonna gy’awaayo, era nga teriiyo kuwolereza kwonna kumugasa, era nga bonna ssi ba kutaasibwa.

124.Jjukira lweyagezesa Ibrahim, Mukama Katonda omulezi we ebigezo naabituukiriza. N’amutegeeza nti: ‘Mazima nja kukufuula omukulembeze wabantu!’ Yamusaba nti:’ ‘Ne muzzadde lyange fuulamu!. Naamuddamu nti: ‘Ssi yakutuuka endagaano yange ku balyazamanyi’.

125.Jjukira wetwafuula ennyumba okuba obuddo bw’abantu, era (okuba) kiwamirembe: Kale mufuule obuyimiriro bwa Ibrahim (okuba) ekifo aw’okusaalira! Olwo netulagira Ibrahim ne Ismail bombi okutukuliza ennyumba yange ab’okujeetooloola n’okujivunnamiramu.

126. Jjukira Ibrahim lwe yaloma nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange: kino kifuule okuba ekibuga Palani eky’emirembe, ogabirire abantu bakyo ebimu ku by’okulya, abamu kwabo ababa bakkirizza Katonda asinzibwa Allah n’olunaku lw’enkomerero yaddamu nti: ‘Naye oyo aba ajeemye mba mmusanyusaako kitono, oluvannyuma muwalaawala okumuzza mu kibonerezo ky’omuliro. Bubi nnyo obwo obuddo.

127.Jjukira Ibrahim nga abanga omusingi gw’ennyumba okugizimba ne Ismail, (nga bwebasaba nti): ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, kkiriza omulimu gwaffe. Mazima ggwe wuyo Omuwulizi Omumanyi.

128.Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, ffembi tusobozese okujeemulukukira amateeka go, n’abamu ku bazzukulu baffe yawulamu ekibinja ekijeemulukukira amateeka go, era twoleke bulungi amateeka agafuga emikolo gyaffe, era kkiriza okwenenya kwaffe. Mazima ggwe wuyo Eyeenenyezebwa Ow’okusaasira okw’enjawulo.

129.Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, era bayimusizeemu (bazzukulu baffe) omubaka asibuka mubo, nga abasomera amateeka go, era abayigiriza ekitabo n’amateeka g’obwa Nnabbi, era nga abatukuza. Mazima ggwe wuyo Luwangula Kalimagezi.

130.Kale muntu nnaba ki oyo akyawa eddiini ya Ibrahim okujjako oyo anafuye okutegeera mu mutima gwe! Mazima twamufuula ow’enjawulo mu nsi, ate nga ddala yewuyo alibeera ku nkomerero wamu naabo abalongofu.

131. Jjukira Mukama Katonda omulezi we lwe yamulagira nti: ‘Weweeyo okuba omujeemulukufu (Beera musiraamu)’. Naddamu nti: ‘(Nsiramuse) Nneewaddeyo okujeemulukukira Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

132.Bwatyo Ibrahim yalaamira (eddiini eyo) abaana be, ne Yakuubu bwatyo: ‘Baana bange, mazima Katonda asinzibwa Allah, yabasiimira eddiini emu yokka eyo, kale okufa tekubatuukangako okujjako nga mwenna (musiramuse) mujeemulukukidde amateeka ga Katonda’.

133.Mwaliko ddi abajulizi nga Yakuubu asemberedde okufa, amale abuuze abaana be nti: ‘Kiki kyemunaasinza oluvannyuma lwange’. Baddamu nti: ‘Ffe tusinza Katonda omusinzibwa wo, era ye musinzibwa wa bakitaawo, Ibrahiim ne Ismail ne Isihaaka. Omusinzibwa omu yekka. Era yoyo ffenna (gwetusiramukira) gwetujeemulukukira amateeka ge.

134.Ogwo omulembe gwa ggwaawo. Bigubalibwako ebyo byegwakola, era bibalibwa kummwe ebyo byemukoze era tewali lwemuvunanyizibwa kwebyo byebaali bakola.

135.Babasaba nti mufuuke Bayudaaya oba Banaswala okuluŋŋama!’ Gwe langirira nti: ‘Amazima gali nti, eddiini entufu yeyo eya Ibrahim, omukomole ataalina nzikiriza ndala gyakkiririzaamu okujjako obusiraamu (okujeemulukukira amateeka ga Katonda) era teyali omu ku basamize.

136.Mwe mulangirire nti: ‘Ffe twakkiriza Katonda asinzibwa Allah n’enkyo ekyatussibwako, n’ekyo ekyassibwa ku Ibrahiim, ne Ismail ne Isihaaka ne Yakuubu n’abaana be; n’ekyo ekyaweebwa Musa ne Isa, n’ebyo ebyaweebwa ba Nnabi (bonna) nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Tewali nomu mubo gwetusosola, era ffenna ye yekka (gwetusiramukira) gwetujeemulukukira amateeka ge.

137. Bwe banakkiriza ebiringa ebyo bye mukkiriza mazima banaaba baluŋŋamye, era bwebaneebalama olwo banaaba babaawukanyeeko. Kale Katonda ajja kubakumalira, era yewuyo Omuwulizi Omumanyi.

138.Okwo kwe kunnyikiza enzikiriza entufu okwa Katonda. Ate muntu wa nnaba ki asinga Mukama Katonda asinzibwa okunnyikiza? Era ffenna yoyo yekka gwe tusinza.

139.Babuuze nti: ‘Lwaki mututanulako oluyombo ku bikwata ku Katonda? Sso nga ye Mukama Katonda Omulezi waffe, era ye Mukama Katonda Omulezi wammwe. Ffe tulina emirimu egyaffe, era nammwe mulina emirimu egyammwe. Era ffe ye wuyo yekka gwe twemalirako.

140.Wew’awo mwogera nti: ‘Mazima Ibrahim ne Ismail ne Isihaaka ne Yakuubu n’abaana be, baali Bayudaaya oba ba Naswala. Gwe babuuze nti: ‘Mmwe musinga okumanya ensonga eyo oba Katonda?’ Era mukuusa nnabaki asinga oyo akisa obujulizi bwalinawo nga bwava wa Katonda asinzibwa Allah. Era Katonda tagayaalirira byemukola.

141.Ogwo omulembe gwaggwaawo. Bigubalibwako ebyo bye gwakola era bibalibwa ku mmwe ebyo bye mukoze, era tewali lwe muvunanyizibwa kwebyo byebaali bakola.

142. Bajja kwebuuza abantu abamu abalina obunafu mu kutegeera nti: Nsonga ki ebajje ku bwolekero bwabwe obwo bwe baaliko?’ Baddemu nti: ‘Katonda yennannyini buvanjuba n’ebugwanjuba aluŋŋamya oyo gw’ayagala okukwata ekkubo ettuukirivu.

143. Eyo y’ensonga lwaki twabafuula omulembe ogwawakati, musobole okuwa obujulizi ku bantu, era omubaka abeere nga nammwe abawaako obujulizi. Era mpawo kyatussisaawo bwolekero buli bwe waliko, okujjako okutusobozesa okumanya (nga twawula) ani agoberera omubaka n’oyo anaakuba enkyukira. Ekyo kyali kiyitiridde obukalubo, okujjako kwabo Mukama Katonda asinzibwa Allah be yaluŋŋamya. Ate Katonda tekimugwanira kutta ttogge mirimu gyammwe (egirambika enzikiriza). Mazima Katonda, abantu bonna ye Mulumirirwa wabwe Ow’okusaasira okw’enjawulo.

144.Kituufu tulaba oddiŋŋanya obwenyi bwo (nga obutunuza) muggulu. Kale tujja kukwolekeza ddala obwolekero bw’osiima. Era yolekeza obwenyi bwo oludda oluliko Omuzigiti ogw’emizizo. N’eyo yonna gyemunabeera mwolekeze obwenyi bwammwe oludda lwagwo. Kyokka abo abaaweebwa ekitabo bamanyidde ddala nti ekyo ky‘ekituufu ekiva ewa Kukama Katonda Omulezi wabwe. Era Katonda tagayaalirira byebakola.

145.Era ssinga oleetedde abo abaaweebwa ekitabo buli kya magero (ekikakasa amazima go) tebaaligoberedde bwolekero bwo. Era nawe tosaanidde kubeera mugoberezi wa bwolekero bwabwe. Era abamu kubo ssi bagoberezi ba bwolekero bwa bannaabwe. Kyokka ssinga wagoberera byebaagala, oluvannyuma nga kumaze okukutuukako okumanyisibwa okumu, mazima ggwe waalibeeredde ddala mu bajeemu.

146. Abo betwawa ekitabo, ye (Muhammad) bamutegeerera ddala nga bwebategeera abaana babwe. Kyokka ekibinja ekimu kubo bakweka amazima mu bugenderevu nga bakimanyi.

147.Ekituufu ky’ekyo ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, era tobeerera ddala omu kwabo ababuusabuusa.

148.Buli mulembe guba gulina obwolekero Yye Mwene bwagwolekeza. Kale muvuganye mu birungi, ne bwemuba mwesuddesudde, Katonda asinzibwa Allah abajjayo naabakuŋŋaanya wamu. Mazima Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

149.Era yonna gyoba olaze, yolekeza obwenyi bwo oludda oluliko omuzigiti gw’emizizo. Era ekyo kye kituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omuleziwo. Kale Katonda tagayaalirira bye mukola.

150.Era yonna gyoba olaze, yolekeza obwenyi bwo oludda oluliko omuzigiti gw’emizizo. Era yonna gyemuba musangiddwa, mwolekeze obwenyi bwammwe oludda lwagwo, kilemese okufunisa abantu ekyekwaso gyemuli, mpozzi abamu kwabo abaajeema edda. Kale temubatya, era mutye nze nzekka. Yeyo ensonga enzijuzisa ekyengera kyange gyemuli era kibasobozese okuluŋŋama.

151.Mungeri yemu twatuma gyemuli omubaka ava mummwe abasomera amateeka gaffe ng’abaluŋŋamya nga abayigiriza ekitabo n’eby’obwannabi, era nga abayigiriza ebyo byemutaasooka kumanya.

152.Mujjukire okuntendereza ntanule okubasasula era musiime (mwebaze) byembawa, sso temunjemera.

153.Abange mmwe abakkiriza, mweyambise obugumiikiriza n’okusinza nga musaala. Mazima Katonda ali wamu n’abagumiikiriza. 154. Era temukibala nti abo abafiirira ekkubo lya Katonda babeera bafu. Ekituufu babeera balamu naye ekyo temukitegeera.

155. Kale tujja kubagezesa ddala n’ebintu ebiringa okutya, n’enjala n’okwekuba kw’ebyenfuna n’okufa kw’abantu n’okukendera kw’ebibala eby’okulya. Naye tuusa amawulire ag’essanyu ku bagumiikiriza.

156. Abo ababa batuukiddwaako omutawaana ne bagamba nti: ‘Ffenna tuliwo ku bwa Katonda era gyali gye tudda.

157.Abo be bafuna emirembe n’okusonyiyibwa ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe n’obusaasizi. Era bebo abaluŋŋamu.

158.Mazima Swaffa ne Maruwa bumu ku bubonero obulambika eddiini ya Katonda asinzibwa Allah. Kale omuntu anaaba alamaze (e Makka) okukola Hijja oba Umura, taafunenga musango okuba nga abwetooloola bwombi. Ate oyo aba n’enkizo mubirungi, mazima Katonda aba Musiimi Omumanyi.

159.Mazima abo abakisa amateeka agamu getwassa n’obuluŋŋamu bwetwamala okunnyonnyola abantu mu kitabo, abo Katonda abakolimira, era nebabakolimira abakolima bonna.

160. Okujjako abo abenenyezza ne balongosa emirimu nebannyonnyola ekituufu. Kale abo nzikiriza okwenenya kwabwe. Era nze Eyenenyezebwa ow’okusaasira okw’enjawulo.

161.Mazima abo abaajeema nebafiira ku bujeemu bebo abayambukirwako ekikolimo kya Katonda neba Malaika n’abantu bonna. 162. Ba kukibeeramu lubeerera. Ssi ba kukendezebwa ku kibonerezo era ssi ba kulindirizibwa.

163. Katonda omusinzibwa wammwe asinzibwa omu yekka. Tewali asinzibwa okujjako Yye Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

164. Mazima eky’okutonda eggulu n’ensi n’enkyukakyuka y’ekiro n’emisana n’amaato ago agaseeyeeyeza mu nnyanja nga geetisse ebigasa abantu, n’ebyo byonna Katonda byassa okuva muggulu nga amazzi agamu, n’ageyambisa okulamusa ensi oluvannyuma lw’okufa kwayo, n’asaasaanyizaamu buli kiramu n’enkyusakyusa y’empewo n’ebire ebyasimbibwa mu bbanga nga bigonvu biri wakati w’eggulu n’ensi, ebyo byonna byamagero ebiyigiriza abantu abageziwavu.

165. Era abantu abamu eriyo abo abeteerawo nga baleseewo Katonda asinzibwa Allah, nebeteerawo ebifananyi nga babyagala nga bwebaagala Katonda. Kyokka abo abakkiriza be balina enkizo mu kwagala Katonda. Naye ssinga belolera kati, abo abajeema, lwebalaba ekibonerezo, mazinga nga amaanyi gonna n’obuyinza bya Katonda, era nga ddala Katonda muyitirivu wa kubonereza, (tebaaliyimbagatanyizza bifananyi ku Katonda).

166.Ky’ekiseera abo abaagobererwa lwe begaana bali abaabagoberera, era ne balaba ekibonerezo era nezibatabukako ensonga zonna ez’okwekwasa.

167. Olwo abaagoberera nebagamba nti: ‘Ssinga tufuna akaddannyuma nebwekaalibadde katono, naffe netubegaana nga nabo bwe batwegaanye!’ Bwatyo bwabalaga Katonda emirimu gyabwe nga gyabafuukira birerya era nga ssi ba kufuluma mu muliro.

168.Abange mmwe abantu, mulye kwebyo ebisangibwa mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugoberera mikwesese gya ssitaani. Mazima ye mulabe wammwe omweyolefu.

169. By’ebalagira byokka: ge mayisa amabi, n’obugwenyufu, n’okwogera ku Katonda bye mutamanyi.

170. Bwebaba bagambiddwa nti: ‘Mugoberere ebyo Katonda bye yassa’. Baddamu nti: ‘Ffe mazima tugoberera ebyo bakitaffe kwetwabasanga. Abaffe newankubadde bakitaabwe baali tebategeera kintu kyonna era nga ssi baluŋŋamu?

171. Enfanana yabo abajeemu terina njawulo nayooyo ayita neddoboozi ery’omwanguka ekyo ekitasobola kuwulira okujjako eddoboozi obuloboozi n’okuyita. Bakiggala, bakasiru ba muzibe era tebategeera.

172. Abange mmwe abakkiriza, mulye ebimu ku birungi by’ebyo byetwabagabira, era musiime kulwa Katonda asinzibwa Allah, bwemuba nga ye yekka gwe musinza.

173. Mazima ebyo byokka bye yabaziyiza (okulya) ky’ekifudde kalannamye n’omusaayi n’ennyama y’embizzi n’ekyo ekiraamirizibwako (nga kisalibwa) ekitali linnya lya Katonda. Kyokka oyo aba awaliriziddwa nga tewali ngeri yonna gyeyewagguddemu oba kusukka kikomo (n’alyako) oyo tafuna musango. Mazima Katonda Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

174. Mazima abo abakweka ebyo Katonda bye yassa, ebiri mu kitabo, nebabiwanyisaamu ebirala eby’omuwendo omutono, abo nno mpawo kyebalya nga bassa mu mbuto zabwe okujjako omuliro era Katonda ssi wakwogeranya nabo olunaku lw’enkomerero, era tabatukuza, era baakufuna ekibonerezo ekiruma.

175. Abo baagula eby’obubuze nga bawaddeyo obuluŋŋamu, nebagula ebibonerezo nga bawaddeyo okusonyiyibwa. Naye nga bayitiridde okugumira omuliro!

176. Ekyo kiri bwekityo, lwakuba Katonda yassa ekitabo mu butuufu. Sso nga ddala abo abaafuna enkayana ezikwata ku kitabo bali mu kwawukana okwebunaayira.

177.Tebuba butuukirivu okuba nga mwolekeza obwenyi bwammwe eluuyi lw’ebuvanjuba, wabula obutuukirivu yoyo aba akkirizza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, nebamalaika n’ekitabo neba Nnabbi, n’awaayo emmaali awamu n’okuba nti agyetaaga, eri ab’oluganda ne bamulekwa n’abanaku n’abatambuze n’abasabirizi ne mukununula abaddu, era naayimirizaawo okusinza nga asaala n’awaayo zaka; n’abo abatuukiriza endagaano zabwe bwe baba balagaanye; n’abo abagumiikiriza nga bafunye obuzibu n’obunkuseere n’ekiseera ky’okutabaala. Abo nno be baamazima era bebo abatya Katonda.

178. Abange mmwe abakkiriza, mulaakikiddwa okuwoolera eggwanga ly’abantu bammwe ababa battiddwa: Omwana waboobo na mwana waboobo, omuddu na muddu, omukazi na mukazi. Kyokka oyo aba asonyiyiddwa mugandawe eyattirwa omuntu, n’akkiriza okutwala olufubanja, kyalina okukola kwe kutwala olufubanja mu ngeri eyaabulijjo, n’oli (eyasonyiyibwa okuttibwa) aluwaayo mungeri ennungi. Okwo kwe kukendeezaako (ku kibonerezo) okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe n’obusaasizi. Ate oyo eyewaggula oluvannyuma lw’ebyo, alina okufuna ekibonerezo ekiruma.

179.Okuwoolera eggwanga mu kufunamu obulamu, abange mmwe abageziwavu, ekyo kibasobozese okutya Katonda.

180.Mulaalikiddwa: bwekibanga omu kummwe asemberedde okufa, bwaba alina ekirungi ky’alese, okulaamira abazadde bombi n’abeŋŋanda, mungeri esaanidde. Ekyo kyekiteekwa okukolebwa abatya Katonda.

181.Oyo yenna aba akikyusizza (ekiraamo) oluvannyuma lw’okukiwulira, mazima omusango gw’ekyo guddira abo abakikyusa. Mazima Katonda Muwulizi Mumanyi.

182. Oyo yenna aba atidde nti eyalaama yalimu okwekubiira, oba yagenderera okukola ensobi, n’alongoseza abaalaamirwa (eddaame lyabwe) oyo tafuna musango. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

183.Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa abaaliwo olubereberye lwammwe, ekyo kibasobozese okutya Katonda.

184.Ennaku mbale. Oyo yenna abeera omulwadde mummwe oba nga ali mu lugendo (naamala alya olw’obuzibu bwe yaalisanze nga asiibye), ezo ennaku ateekwa kuziriwa nga ekisiibo kiweddeko. Ate abo abakukaluubirirwa (okusiiba) bateekwa okuwa omutango gwa kuliisa munaku. Oyo aba akoze enkizo mu kuwaayo ekirungi, ekyo kirungi gyali. Naye eky’okusiiba kye kisingira ddala obulungi gyemuli ssinga muba mukimanyi.

185.Omwezi gwa Ramadhan gwegwo omwassirwa Qur’an nga bwe buluŋŋamu n’okulaga enjawulo. Oyo yenna mummwe aba atuuse kumwezi ogwo ateekwa kugusiiba. Ate oyo abeera omulwadde oba nga ali mulugendo (namala alya olw’obuzibu bweyalisanze nga asiibye), ezo ennaku ateekwa kuziriwa nga ekisiibo kiweddeko. Katonda abaagaliza bwangu sso tabaagaliza buzito. Kale (musiibe) mujjuze ennaku ezigubeeramu, era mutendereze Katonda olw’engeri gye yabaluŋŋamya olwo kibasobozese okumusiima.

186. Bwebaba bakubuuzizza abaddu bange ebinkwatako, mazima nze ndi wa kumwanjo nnyo, nnyanukula okusaba kw’omusabi bwaba ansabye. Kale bansabe okubaanukula era banzikiririzeemu kibasobozese okuluŋŋama.

187.Mwakkirizibwa buli kiro ky’olunaku lw’okusiiba okusambagala eri bakyala bammwe (munsonyi). Bo byambalo byammwe era mmwe byambalo byabwe. Katonda yamanya nti mwali mwebbirira n’akkiriza okweneya kwammwe era n’abasonyiwa. Kati mubasanyuse era muluubirire okufuna ekyo Katonda kyeyabagemulira. Mulye, munywe, okutuusa olukoloboze olweru lwerweyerura okuva mu lukoloboze oluddugavu nga emmambya esaze. Oluvannyuma musiibe okutuusa okuzibya obudde (akawungezi). Temugezaako okubasanyusa nga mutuuliridde emizigiti. Ago ge mateeka Katonda g’abeewaza era temugasemberera. Bwatyo Katonda bwannyonnyola amateeka ge eri abantu, kibasobozese okumutya.

188. Era temuliisa emmaali yammwe obukuusa ku nsonga eziri wakati wammwe, ne mugiwaayo mu bafuzi kisobozese abamu mummwe okuliisa emmaali yabannaabwe obujeemu, sso nga ekyo mukimanyi.

189. Bakubuuza ekyagendererwa mu mboneekerera? Baddemu nti: ‘Zo ze zimanyisa abantu ebiseera ebitali bimu n’okulamaga’. Era ssi kya butuukirivu okuyingirira emmanju w’amayumba, wabula eky’obutuukirivu y’oyo aba atidde Katonda. Kale muyingire ennyumba (nga muyita) mu wankaki waazo. Era mutye Katonda asinzibwa Allah musobole okuganyulwa.

190.Era mulwanyise, nga muli mu kkubo lya Katonda, abo ababalwanyisa, naye temubalumbagana. Mazima Katonda tayagala balumbaganyi.

191. Mubattire yonna gye mubagwikiriza era mubagobe mu bifo byebaali babagobyemu, era ekikemo kibi nnyo okusinga okufa. Kyokka temubalwanyisiza awo awali omuzigiti ogw’emizizo, okutuusa bbo lwebasooka okubalwanyisizaayo. Ssinga babalwanyisirizzaayo nammwe mu balwanyise. Eyo y’empeera ya bajeemu.

192.Bwebeekomako, mazima Katonda Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

193.Kale mubalwanyise okutuusa ffitina lw’eneeremererwa okusimba amakanda, olwo eddiini entufu eyimirirewo kubwa Katonda. Naye bwebekomako olwo nga empalana ekoma, okujjako eyo ekolerwa ba kyewaggula.

194.Omwezi ogw’emizizo, gugenda na mwezi gwa mizizo ate eby’emizizo byonna byesasuzibwa. Kale oyo abalumbaganye nammwe mumulumbagane okwenkana nga yye bw’abalumbaganye. Era mutye Katonda n’okumanya nti mazima Katonda ali wamu n’abamutya.

195.Era muweeyo mu kkubo lya Katonda. Sso temwesuula mwekka mu kuzikirira. Mulongose emirimu, mazima Katonda ayagala balongosa.

196.Kale mutuukirize Hijja ne Umura nga mubikola kulwa Katonda. Naye ssinga muba mugaaniddwa, ekyo kyonna ekiba kibanguyidde munsolo kyemuba musala. Era temumwa mitwe gyammwe okutuusa nga ensolo etuuse mu kifo weesalirwa. Ate bwewabaawo omulwadde mummwe oba oyo alina ebimuyisa obubi mu mutwe gwe (naagumwa) ateekwa kuwa mutango gwa kusiiba oba kuliisa banaku oba kusala nsolo. Bwemuba muweddemu okutya, bwewabaawo oyo eyeeyagala: n’asookera ku Umura oluvannyuma akole Hijja, alina okusala ensolo eba emwanguyidde. Bwaba tagifunye, alina kusiiba ennaku ssatu nga akyali mu Hijja n’endala musanvu nga mumaze okudda ewammwe, zonna awamu neziwera kkumi. Yeyo enkola egobererwa ku muntu nga abantu be ssi batuuze baawo ku muzigiti gw’emizizo. Kale mutye Katonda era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa bibonerezo.

197.Hijja ekolerwa mu myezi egimanyiddwa. Oyo yenna asazeewo okukola Hijja mu myezi egyo, kiba kyamuzizo gyali okuba mu mukwano gwobufumbo n’okukola ebyambyone n’okukaayanira mu Hijja. Ate byonna byemukola nga birungi Katonda aba abimanyi. Kale mwesibirire entanda, kyokka entanda esinga obulungi y’ey’okutya Katonda. Kale mutye Nze Mwene abange mmwe abageziwavu.

198. Tewali kibi kye mufuna olw’okuba muluubirira okwefunira ebirungi ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe. Bwemuba mugumbulukuse okuva mu Arafa mutendereze Katonda asinzibwa Allah nga mutuuse e Mash-ari, mu kifo eky’emizizo. Era mumutendereze nnyo olw’engeri gye yabaluŋŋamya, sso nga olubereberye mwali mu bubuze

199 Oluvanyuma mweyiwe eyo mukifo abantu gye beyiwa, era mwegayirire Katonda asinzibwa Allah okubasonyiwa. Mazima Katonda musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

200.Bwemumaliriza emikolo gy’okulamaga kwammwe, mujjukire nnyo okutendereza Katonda nga bwemujjukira okwogera ku bataata bammwe oba okusukkawo mu kujjukira. Kale abantu abamu basaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tuwe munsi ebirungi naye nga talinaayo kunkomerero mugabo gwonna.

201.Ate abamu basaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tuwe munsi ebirungi ne ku nkomerero ebirungi era otuwonye ekibonerezo ky’omuliro.

202 Abo bafuna emigaso mu migabo egiva mwebyo bye baatakabanira. Kale Katonda ye mwangu w’okubalirira.

203.Mutendereze Katonda Asinzibwa Allah munnaku embale. Oyo yenna ayanguwa (okumaliriza okukuba ebiwagi) munnaku ebbiri tafuna musango n’oyo alindiriza (naaweza ennaku ssatu) tafuna musango. Okulindiriza kwabo abatya Katonda. Kale mutye Katonda asinzibwa Allah era mumanye nti mazima mmwe gyali gyemuzuukizibwa.

204. Kale abantu abamu eriyo oyo akwewuunyisa ebigambo bye mu bulamu bw’ensi, nga ajuliza Katonda kwebyo ebiri mu mutima gwe, ate nga yoyo atata ku kaayana.

205.Bwaba afuuse omufuzi atambula munsi nga agenderera okujonoona nga azikiriza ebirime n’abaana. Sso nga Katonda tayagala bwonoonyi.

206.Bwaba agambiddwa nti: ‘Olina okutya Katonda’ yetwala okuba ow’ekitiibwa ng’ayiinze obujeemu. Kale ekimumala oyo gwe muliro, era ekiwu ekyo kibi nnyo.

207.Kale abantu abamu eriyo oyo awaayo obulamu bwe nga aluubirira okufuna okusiimibwa kwa Katonda. Kale Katonda ye mulumirirwa wa baddu be.

208.Abange mmwe abakkiriza, muyingire mu busiraamu obw’emirembe muggweremu, era temugoberera mikwesese gya Ssitaani. Mazima yyo gyemuli mulabe walwatu.

209.Bwemuba museeredde (nemubula) nga bumaze okubatuukako obunnyonnyofu, olwo mukimanye nti mazima Katonda Luwangula Kalimagezi.

210.Abaffe eriyo ekilala kyebalindirira nga oggyeeko eky’okuba nti Katonda abaggwiikiriza mu bisiikirize by’ebire neba Malaika olwo nekusalibwawo okulamula? Kale ewa Katonda yokka yezzibwa ensonga zonna.

211.Webuuze ku baana ba Isirail, kameka nga tubatuusaako (enkuyanja y’amateeka agamu amanjulukufu). Naye oyo awaanyisa omukisa gwa Katonda nga gumaze okumutuukako (amanye nti) mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo.

212. Bwawundirwa abo abatakkiriza obuwangazi bw’ensi, olwo nebanyomoola abakkiriza. Sso nga abo abatya Katonda bali waggulu wabwe (abatakkiriza) olunaku lw’enkomerero. Era Katonda agabira oyo gwayagala awatali kubalirira.

213.Abantu bonna baali kibiina kimu, olwo Katonda n’abatumira ba Nnabbi ababatuusaako amawulire ag’essanyu n’okulabula, naabassiza ekitabo eky’amazima olw’okusobozesa okulamula wakati w’abantu ku nsonga zebaawukanamu. Ate teri bakyawukanako ng’ojjeeko abo abaakiweebwa nga bamaze okujjirwa ekituufu, obwo nga bwebwewagguzi obuli wakati mubo. Olwo Katonda n’aluŋŋamya abakkiriza ku nsonga entufu eziviirako bali okwawukana, olw’okusalawo kwe. Kale Katonda aluŋŋamya oyo gwayagala okumukwasa ekkubo eggolokofu.

214. Abaffe mweyinula mutya okuyingira ejjana (obulamu bw’omuggulu obulungi) nga tebinnabatuukako ebifanana ebyabali abaasaanawo olubereberye lwammwe? Baacoppa obwavu nebafuna endwadde nebayuuguumizibwa nekituusa okulaajanya omubaka n’abo abakkiriza, nga bebuuza nti: ‘Ye okutaasa kwa Katonda kutuuka ddi?’ Wew’awo okutaasa kwa Katonda kuli kumpi.

215.Bakubuuza kiki kyebalina okuwaayo? Baddemu nti: ‘Ekyo kyemuba muwaddeyo nga kirungi kiba kya bazadde bombi n’ab’eŋŋanda ne bamulekwa n’abanaku n’abatambuze. Era ekyo kye muba muwaddeyo nga kirungi, mazima Katonda aba akimanyi.

216.Mwalaalikibwa okulwana entalo, ekyo nga kibakakibwa bukakibwa. Naye mwandiyinza okutamwa ekintu sso nga kirungi gyemuli. Era mwandiyinza okwettanira ekintu sso nga kibi gyemuli. Kale Katonda y’amanyi naye mmwe temulina kyemumanyi. 217.Bakubuuza ebikwata ku mwezi ogw’emizizo okulwaniramu? Baddamu nti: ‘Okugulwaniramu kibi, kyokka ekisinga ekyo obubi ky’eky’okutangira ekkubo lya Katonda, n’okumujeemera, n’okulwanira mu muzigiti gw’emizizo n’okugobamu abantu bagwo. Era ffitina erina enkizo embi okusinga okutta. Era ssi baakulekayo kubalwanyisa okutuusa lwe banaabajja muddiini yammwe bwebaba ekyo bakisobodde. Naye oyo akyusa mummwe okuva muddiini ye naamala afa nga mujeemu, abo giba gyaboonoonekera emirimu gyabwe mu nsi ne kunkomerero. Era bebo abokubeera mu muliro gwebatalivaamu olubeerera.

218. Mazima abo abakkiriza n’abo abaasenguka nebalwanirira ekkubio lya Katonda bebo abalina essuubi ly’obusaasizi bwa Katonda. Kale Katonda Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

219. Kale Bakubuuza ebikwata ku mwenge n’ezzaala. Baddemu nti: ‘Byombi birimu ekibi kinene n’ebimu ku bigasa abantu, naye ekibi kyabyo kirina enkizo nnene esukkulumye emigaso gyabyo. Nate bakubuuza byebalina okuwaayo, baddemu nti: ‘Ekiba kifisse kubwetaavu’. Bwatyo Katonda bw’abannyonnyola amateeka ge okubasobozesa okufumiitiriza.

220.Ebiri mu nsi n’enkomerero. Neera bakubuuza ebikwata ku bamulekwa. Baddemu nti: ‘Okubalongoseza ebyabwe kyekisinga obulungi. Naye bwemuba mubigasse n’ebyammwe, olwo mulina kubayisa nga baganda bammwe. Ate Katonda amanyi bulungi oyo aba agenderera okwonoona n’oyo ayagala okulongosa. Ate ssinga Katonda yayagala yaalibatendewalizza. Mazima Katonda ye Luwangula Kalimagezi.

221. Kale kizira gyemuli okuwasa abakyala abasamize okutuusa lwebamala okukkiriza. Era omuzaana omukkiriza mulungi nnyo okusinga omwana waboobo omusamize ne bwemunamwagala mutya! Ate abasajja abasamize temubafumbiza (abakyala abasiraamu) okutuusa lwebamala okukkiriza. Omuddu omukkiriza mulungi nnyo okusinga omwana waboobo omusamize ne bwemunamwagala mutya. Bali bayita bantu kuyingira muliro ate Katonda abayita kuyingira jjana (obulamu bwomuggulu obulungi) nakusonyiyibwa, ekyo akikola kulwa kusiima kwe. Era ayanjululiza amateeka ge abantu okubasobozesa okubabuulirira.

222.Era bakubuuza ebikwata kumbera z’abakyala eza buli mwezi, baddemu nti: ‘Ziba za kwekanasa. Abakyala bwebabeera mumbera zabwe eza buli mwezi mubakube omugongo. Era temubasemberera okutuusa lwebamala okutukula. Bwebamala okunaaba olwo nga mulyoka mubatuuka mu kifo kyennyini Katonda kyeyabalagira. Mazima Katonda ayagala nnyo abeenenya era ayagala nnyo abeyonja

223. Bakyala bammwe z’ennimiro zammwe era mulambule ennimiro zammwe engeri yonna gyemwagadde. Era mukulembeze kweganga nakutegekera mbera yammwe. Kale mutye Katonda nga mumanyidde ddala nti muli ba kumusisinkana. Era tuusa amawulire ago ag’essanyu ku bakkiriza.

224.Era temufuula Katonda okuba entangirizo y’ebirayiro byammwe nga musinziira okwo obutayisa bulungi n’obutatya Katonda n’obutalongoseza bantu. Kale Katonda Muwulizi, Mumanyi.

225. Katonda tabavunnaana lwa kusaagasaaga nga mulayira, wabula ky’abavunaana kyekyo kyegiba gikakasizza emitima gyammwe. Kale Katonda Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

226. Bateekwa buteekwa abo abalayira okukuba bakyala babwe omugongo, okwekuuma (nga tebanyumya nabo mukwaano gwa bufumbo) emyezi ena. Naye ssinga ekyo bakimenyawo, kale mazima Katonda Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo 227 kyokka bwe bamalirira okugoba omukyala, kale mazima Katonda Muwulizi Omumanyi.

228. Kale abakyala abagobeddwa balina okwekuuma (obutagenda mu mukwano gwa bufumbo) okumala ebbanga lya nsulumba ssatu. Era kiba kya muzizo gyebali okukisa ekyo Katonda kyeyatondera mu nnabaana wabwe ssinga baba bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomeero. Era babbaabwe balina omukisa ogw’enkizo okubazzaayo (mu maka gabwe) kunsonga eyo, bwebaba bagigendereddemu kulongosa. Era abakyala balina ebintu byebateekwa okutuukiriza eri babbaabwe, okufananako nga abasajja bwebalina ebintu byebateekwa okutuukirirza eri bakyala babwe mungeri eyabulijjo. Ate abasajja balina eddaala ery’enkizo lyebasukkuluma ku bakyala. Kale Katonda ye Luwangula Kalimagezi.

229.Okugoba omukyala giba mirundi ebiri. Olwo (bakyala bammwe bemugobye) mulina okubakuumira mu maka gammwe nga bulijjo, oba okubaleka nebabaviira mungeri ennungi. Era tekikkirizibwa gyemuli okubajjako ekintu kyonna kw’ebyo byemwabawa, okujjako nga bombi batidde obutatuukiriza mateeka ga Katonda, olwo waba tewakyaliwo mutawaana nga omukyala alina kyawaddeyo okwenunula (asobole okwawukana ne bba). Ago ge mateeka ga Katonda gaayagala okukuuma, kale temugasukka era oyo asukka amateeka ga Katonda nga bebo abalyazamanyi.

230.Singa omusajja agobye omukyala (omulundi ogwokusatu), olwo tewasigalawo ngeri yonna mukyala oyo gyakkirizibwa kudda wa bbaawe oluvannyuma (lw’omulundi ogw’okusatu) okutuusa lwamala okufumbirwa omusajja omulala. Kale omusajja we owokubiri bwaba amugobye, olwo bombi (omusajja eyasooka n’owokubiri) tebafuna musango nga bafuba okuzza (omukyala), olwo yye neyeesalirawo, ani gwagenda naye, nga tewali mutawaana. Eyo y’enkola egobererwa abasajja bombi bwebaba bakakasizza okutuukiriza amateeka ga Katonda. Kale ago ge mateeka ga Katonda gannyonnyola abantu abasobozese okutegeera.

231.Kale bwemuba mugobye abakyala nebatuusa ekiseera kyabwe ekirindirirwa wekiggwerako, musaleewo eky’okubasigaza mungeri eyabulijjo, oba okubaleka babaviire mu ngeri eyabulijjo. Era kizira gyemuli okubasigaza nga mugenderera okubakijjanya nga mulinga ababeesasuza. Oyo yenna akola ekyo aba yelyazamanyizza yekka. Era temufuula amateeka ga Katonda okuba ag’olusaago. Mujjukire omukisa gwa Katonda gwemulina n’ebyo bye yassa gyemuli nga abijja mu kitabo n’enjigiriza y’obwa nnabbi. Ebyo by’ababuulirira. Kale mutye Katonda era mumanye nti mazima Katonda, buli kintu ye Mumanyi wakyo.

232.Bwemuba mugobye abakyala nebamalako ekiseera kyabwe ekirindirirwa (mwe abalina obuyinza okubafumbiza) temubagaana kufumbirwa basajja babwe, bwebaba bbo bennyini basiimaganye mungeri eya bulijjo. Ekyo kibuulirirwa oyo mummwe atya Katonda n’olunaku lw’enkomerero. Ekyo kyekisinga okubatukuza. Kale Katonda yaamanyi naye mmwe tewali kyemumanyi.

233. Kale bannakazadde balina okuyonsa abaana babwe emyaka ebiri egijjudde, ekyo kiri kwoyo ayagadde okujjuza ekiseera ky’okuyonsa. Ate omusajja eyazaalirwa omwana ateekwa okubaliisa n’okubambaza mu ngeri eya bulijjo. Tewabaawo kuwaliriza muntu wabula akola kyaba asobodde. Tewaberangawo okunyigiriza nnakazadde olw’omwana gwe yazaala, wadde okunyigiriza (omusajja oyo) eyazaalirwa olw’omwana gwe yazaalirwa. Era omusika enkola eyo gy’alina okugoberera. Ssinga bombi basazeewo okumujja ku mabeere nga ekyo kyebeesiimidde era nga bamaze kwebuuza, baba tebalina kibi kyebakoze. Ate bwemuba mwagadde, abakyala abalala be baba bayonsa abaana bammwe, muba temulina kibi kyemukoze, bwemuwaayo kyemwakkiriziganyako mungeri eyabulijjo. Kale mutye Katonda era mumanye nti mazima Katonda ebyo byemukola abiraba.

234.Bwewabaawo (abasajja) ababa bafudde mummwe nebaleka abakyala, balina okwekuuma nebateegatta mu mukwano gwa bufumbo mu kiseera eky’okukungubaga nga kyakumala emyezi ena n’ennaku kkumi. Bwebaba bamazeeko ekiseera kyabwe ekirindirirwa, temukitwala bubi mmwe (abalina obuyinza okubafumbiza) bwebaba bewundidde abasajja mungeri eyabulijjo. Kale Katonda, ebyo bye mukola ye Kakensa wabyo.

235.Era temulina kibi kyemufuna (mmwe abasajja abaluubirira okuwasa bannamwandu) nga mubasiinyizzaako okuboogereza (abo bannamwandu), oba okukyerekera mu mitima gyammwe. Katonda yakimanya nti temusobola butabasiinyaako, naye mwewale okubasuubiza ekyama ky’okubawasa, okujjako okwogera nabo ebigambo bya bulijjo. Era temusalangawo okubawasa mpozzi nga ekiseera kyabwe ekirindirirwa kimaze kuggwaako. Era mukimanye nti Katonda amanyi bulungi ebyo ebiri mu mitima gyammwe. Kale mubiveeko. Era mumanye nti mazima Katonda Musonyiyi Oweekisa.

236.Temulina kibi kye mufuna bwemuba mugobye abakyala bemubadde mutanneegatta nabo wadde okusalawo okubasasula omutwalo nga bwegwenkana. Mulina okubawa ebibasanyusa. Omugagga agerageranyizibwa bubwe, n’omwavu agerageranyizibwa bubwe, nga ensanyusa eyo y’eyabulijjo egobererwa abo abalongosa.

237.Bwemuba mubagobye nga temunnanyumya nabo mukwano gwa bufumbo, ate nga mumaze okubasasula omutwalo ogubawasa, bateekwa kutwalako kimu kya kubiri ku mutwalo gwemusasudde, okujjako nga abakyala beerekereza obutakitwala, oba ssi ekyo nga omwami akoze ekirayiro ky’obufumbo, yeerekerezza gwonna omutwalo n’agumulekera. Okwerekereza ky’ekisinga okulaga okutya kw’omuntu. Era temwerabira obuntubulamu bwe mulina wakati wammwe. Mazima Katonda ebyo byemukola ye Mulabi wabyo.

238.Mwekwate nnyo ku sswala zonna n’esswala eya wakati, era muyimirire okusaala kulwa Katonda asinzibwa Allah nga muli bakkakkamu.

239. Bwemuba mutidde musaale nga mutambula na bigere oba okwebagala. Bwemuggwaamu okutya musaale mungeri eya bulijjo nga mujjukira okutendereza Katonda olw’engeri gye yabayigiriza byonna ebyo bye mwali mutamanyi.

240. Bwewabaawo (abasajja) ababa bafudde mummwe nebaleka abakyala, enkola erina okutuukirirzibwa, eyalaamirwa ba bbaabwe, kwe kuleka abakyala abo nga beyagala ekiseera kya mwaka mulamba awatali kubatulugunya mu mayumba olw’okubagoba. Bwebaba bavuddemu (nga ekiseera ky’okukungubaga kiweddeko) temukitwala bubi (mwe abalina obuyinza okubafumbiza) ku ngeri yonna gyebaba bewundidde abasajja mu ngeri eya bulijjo. Kale Katonda ye Luwangula Kalimagezi.

241.Abakyala abagobeddwa balina okusanyusibwa n’okulekebwa mu mayumba mu ngeri eya bulijjo, eryo ly’etteeka eririna okugobererwa abatya Katonda.

242. Eyo y’engeri Katonda gy’abannyonnyola amateeka ge okubasobozesa okutegeera.

243.Walaba otya abo abaafubutuka mu mayumba gabwe okudduka nga bawera nkumi na nkumi, olw’okutya okufa naye eyo gyebaddukira Katonda n’abagambirayo nti: ‘Mufe!’ Katonda akolera abantu ebirungi naye abantu abasinga obungi tebasiima.

244. Mulwanirire ekkubo lya Katonda era mumanye nti mazima Katonda Muwulizi Mumanyi.

245.Aliwa oyo awola Katonda oluwola olulungi, olwo amusasule nga amuddizaamu ennyongeza bufukunya. Katonda y’afunza enfuna era y’agyanjuluza era gyali gyemuzzibwa.

246.Walaba otya ekibinja ky’abakungu abamu ku baana ba Israil, oluvannyuma lwa Musa, engeri gye baasaba Nnabbi gwe baali naye nti: ‘Tuyimusizeeyo Kabaka ow’okulwanira awamu naye mu kkubo lya Katonda.’ Yababuuza nti: ‘Abaffe, temwesange, nga kumaze okubalaalikibwako okulwana nga mulemereddwa okulwana? Baddamu nti: Ate kiki ekitulobera okulwanirira ekkubo lya Katonda mazima nga twagobwa mu mayumba gaffe n’abaana baffe. Naye bwebaamala okulaalikibwako eky’okulwana, kumpi bonna baakuba enkyukira okujjako abatono ennyo mubo. Kale Katonda y’asinga okumanya abajeemu.

247.Nnabbi wabwe (Samuel) gwebaalina n’abategeeza nti; ‘Katonda abaweerezza Kabaka erinnya lye Twaluuti (Sawulo). Nebamubuuza nti: ‘Asobola atya okutufunako obwa Kabaka, ate nga ffe tumusinga ebisanyizo by’okufuna obwa Kabaka, sso nga teyaweebwa kugaziyizibwa mu nfuna. (Samuel) yaddamu nti: ‘Oyo Katonda gwabalondedde?’. Olwo n’amwongera okwanjulukuka mu kutegeera n’omubiri kale Katonda obwakabaka bwe abuwa gw’ayagala. Era Katonda Mugazi, Mumanyi.

248.Nabbi wabwe (Samuel) gwebaalina n’abagamba nti: ‘Mazima akabonero akanaakakasa obwa Kabaka bwe: Waliwo essanduuko ey’okubaleeterwa nga eva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, nga ejjudde emirembe era nga erimu ebisigala ebyalekebwawo abantu ba Musa n’abantu ba Haruna, nga ba Malaika bagiwanirira mu bbanga bagireeta. Ekyo nno mazima ky’ekirimu akabonero akabaweereddwa bwe muba abakkiriza.

249.Twaluuti (Sawulo) bwafuluma n’eggye lye nga bagenda okulwana, yabagamba nti: ‘Mazima Katonda wa kubagezesa n’omugga. Oyo anaanywa amazzi gaamu, nga tali nange. Ate oyo ataaganywe, nga ali nange, mpozzi oyo anaasenyesaako olubatu lw’omukono gwe lumu lwokka’. Naye bonna baanywa amazzi gaamu okujjako abatono ennyo mubo. Bweyamala okugusomoka yye naabo abaamukkiriza, baamugamba nti: ‘ Tetulinaamu maanyi leero kwaŋŋanga Jaluuti (Goliath) n’eggye rye!’ Kyokka bali abakakasa nti baakusisinkana Katonda baagamba nti: ‘Emirundi nga mingi obubinja obutono mwebwawangulira agabinja aganene nga Katonda asazeewo!’ Mazima Katonda ali wamu n’abagumiikiriza.

250.Bwebatuuka okwaŋŋanga Jaluuti (Goliath) n’eggye lye. Baamala kusaba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi waffe, tuyiweeko obufukunya bw’obugumiikiriza, onyweze ebigere byaffe, otuyambe okuwangula abantu abajeemu.

251.Baabawangula olw’okusalawo kwa Katonda, Dawuda natta Jaluuti (Goliath), olwo Katonda naamuwa obwakabaka n’obwannabbi, n’amuyigiriza bingi kw’ebyo by’asiima. Ssinga Katonda abantu abamu teyabafuula abalwanirira bannaabwe, ensi yalyonoonese. Wabula Katonda yennannyini kukolera bantu ebirungi ebingi.

252. Geego amateeka agalambika ebyamagero bya Katonda getukusomera nga ga mazima. Era nawe kituufu oli omu ku babaka.

253.Bebo ababaka abamu betwawa enkizo ku bannaabwe, abamu kubo baayogera ne Katonda obutereevu, ate abalala yabasitula amadaala ntoko. Era Isa mutabani wa Mariam twamuwa ebyamagero ne tumufuula owamaanyi olwa mwoyo mutukuvu. Ssinga Katonda yayagala, tebaalirwanaganye abo abajja oluvannyuma lwabwe (bannabbi) nga obunnyonnyofu bumaze okubatuukako. Kyokka era baatabuka! Abamu kubo bakkiriza abalala kubo baajeema. Naye Katonda ssinga yayagala tebaalirwanaganye. Wabula Katonda byakola byayagala.

254.Abange mmwe abakkiriza, muweeyo ebimu kw’ebyo byetwabagabira nga olunaku terunnatuuka olutakkirizibwamu kyamaguzi, wadde ssaddaaka wadde okuwolerezebwa. Era abajeemu be balyazamanyi.

255. Allah ye Katonda asinzibwa, teriiyo kusinza kilala okujjako Yye Omulamu Ayeemalirira. Takwatibwa kusumagira wadde otulo. Bibye yekka ebiri muggulu n’ebiri mu nsi. Alivaawa oyo ayinza okweyimirira abalala ewa Katonda, okujjako nga amukkirizza. Amanyi bulungi ebitonde byebiriko kati ne byebibeerako oluvannyuma. Sso nga byo tebirina kumanya kwebimanyiimu ebyo Katonda byamanyi, okujjako byaba asazeewo (okubimanyisa). Obwaguuga bwa Nnamulondo ye bujaamu eggulu n’ensi, ate tatendewalirwa kubikuuma byombyi. Era yewuyo Owaawaggulu Omugulumivu.

256.Teriiyo kuwaliriza bikwata ku ddiini. Mazima bumaze okweyoleka obuluŋŋamu nga buva mu bubuze. Kale oyo ajeemera Ssitaani n’agondera Katonda, aba yekutte ku mugwa omugumu ogutakutuka. Kale Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

257. Allah ye Katonda asinzibwa omukuumi wa bakkiriza, abajja mu bizikiza n’abatwala mu kitangala, kyokka abo abajeemu, omukuumi wabwe ye Ssitaani, zibajja mu kitangala ne zibatwala mu bizikiza. Abo bebookubeera mu muliro gwebatalivaamu olubeerera.

258.Abaffe walaba otya oyo eyakaayanya Ibrahim ku nsonga ezikwata ku Mukama Katonda omulezi we, nga ekimuyinula kwekuba nga Katonda yamuwa obwakabaka. Ibrahim amale amuddemu nti: ‘Mukama Katonda omulezi wange y’alamusa (ebitonde) era y’abitta. N’oli n’agamba nti: ‘Nange nnamusa (ebitonde) era nembitta!’ Ibrahim namuddamu nti: ‘Kale Katonda enjuba agijjayo nga eva buvanjuba; kati ggwe gijjeeyo nga eva bugwanjuba!’ Omujeemu (nawuniikirira) nebimubulira ku matama. Kale Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu

259.Oba alinga oyo eyayita mu kyalo nga kyafuuka dda matongo, neyewuunya nga agamba nti: ‘Katonda asobola atya bano okubazzaamu obulamu nga baamala dda okufa!’ Naye Katonda naamutta okumala ebbanga lya myaka kikumi. Oluvannyuma n’amuzuukiza n’amubuuza nti: ‘Emagombe omazeeyo bbanga ki?’ Naamutegeeza nti: ‘Lunaku lumu oba kitundu kya lunaku’.Naamutegeeza nti: ‘Ekituufu omazeeyo myaka kikumi!’ Kale wetegereze emmere yo n’omubisi gwo.Biluddewo ebbanga eryo nga tebigaga, nate wetegereze endogoyi yo. Era nawe kennyini katukufuule eky’okulabirako eri abantu abalala! Wetegereze nate amagumba engeri gye tugayunga, ne tugazzaamu obulamu, bwetumala ne tugambika ennyama. Ebyo bwe byamumatiza yagamba nti: ‘Ntegedde nti mazima Katonda, buli kintu ye Musobozi wakyo’.

260. Jukira Ibrahim lweyasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi wange, ndaga engeri ebifudde gy’obizzaamu obulamu’. Naamubuuza nti: ‘Abaffe ekyo tokikkiriza?’ Naddamu nti: ‘Wew’awo ndi mukkiriza! Naye njagala omutima gwange gutebenkere!’. Naamugamba nti ‘Kwata ebika bina eby’ebinyonyi eby’enjawulo, obitemeeteme obulere, ennyama yabyo ogitabuletabule ogituume wamu. Oluvannyuma buli kifi kyabyo ogende nga okiteeka ku kasozi akeyawudde. Oluvannyuma obiyite: bijja kujja nga byanguwa! Era manya nti, mazima Katonda ye Luwangula Kalimagezi’.

261. Embera yabo abawaayo emmaali yabwe mu kkubo lya Katonda, efanana nga empeke eyamera neebala ebirimba musanvu nga buli kirimba kitaddeko empeke kikumi! Katonda ennyongeza agiwa oyo gwayagala. Era Katonda mugazi nnyo mukugaba, Omumanyi.

262. Abantu abawaayo emmaali yabwe mu kkubo lya Katonda nebatagigobereza bigambo bya kukomekkereza wadde okulyolyoma, abo bafuna empeera yabwe ewa Mukama Katonda omulezi wabwe, era tebafuna kutya era ssi ba kunakuwala.

263. Ekigambo ekyeggonjebwa n’okusonyiwa birungi nnyo okukira saddaaka eragirizibwa ebigambo ebibi. Kale Katonda ye Mugagga ow’ekisa.

264. Abange mmwe abakkiriza, temwonoona saddaaka zammwe olw’okuziwereekereza ebigambo, ebizikomekkereza n’okulyolyoma okufanana nga oyo awaayo emmaali ye ku lwa bandabe, so nga takkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Embera yoyo efanana nga olwazi oluliko ettaka, nelutonnyebwako namuttikwa w’enkuba n’erikuluggusa nerusigala nga lutukudde. Tewali mugaso gwebafuna mwebyo bye baakulembeza okukola kale Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu.

265. Ate embera y’abo abawaayo emmaali yabwe nga besunga okusiima kwa Katonda n’empeera ebasasulwa, eringa ennimiro esangibwa ku katunnumba akatereevu waggulu, n’efukirirwa namuttikwa w’enkuba, n’ebaza ebiriibwa byayo nga ekubisizzaamu emirundi ebiri. Nebweba teyafukirirwa namuttikwa wa nkuba era eba yatonnyamu oluwandaggirize. Kale Katonda, byonna byemukola ye Mulabi wabyo.

266. Abaffe, eriyo oyo mummwe eyegomba okufuna ennimiro ejjudde entende n’enkenene, nga gikulukutira wansi wayo emigga, nga yamubaliza kalonda w’ebibala; kyokka (nannyini yo) n’akaddiwa ate nga alina abazzukulu abateesobola, n’efuna embuyaga eyamaanyi nga erimu omuliro, ne gugyokya yonna neesirikka? Eyo yengeri Katonda gyabannyonnyola amateeka ge, mube nga mufumintiriza.

267. Abange mmwe abakkiriza, muweeyo ebimu ku birungi bye mupakasizza n’ebimu kw’ebyo byetubagemulira nga biva mu nsi. Era temuluubirira ebibi ebibeeramu okuba nti byemuwaayo nga nammwe temwandyegombye kubitwala okujjako nga mubittidde ku liiso. Kale mukimanye nti mazima Katonda ye mugagga Ssebintu Omutenderezebwa.

268. Ssitaani ebasuubiza bwavu era ebakuutira bujeemu, sso nga Katonda abasuubiza kufuna kisonyiwo ekiva gyali n’ebirungi. Kale Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

269. Awa amagezi amazaale gwaba ayagala. Ate oyo awebwa amagezi amazaale, amazina gennyini aba aweereddwa ebilungi bingi. Kyokka tewali yebuulirira okujjako abo abageziwavu.

270. Kale kyonna ekyo kyemuba muwaddeyo nga kimu kubiwebwayo, oba kyemuba mweyamye, nga bumu ku bweyamo, mazima Katonda byonna abimanyi bulungi. Era abajeemu tebalina abataasa yenna.

271. Bwemuba mwolesa saddaaka ekyo kiba kirungi, naye bwemuzikisa ne muziwa abanaku ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli, n’aba nga (Katonda) abakendezaako ebimu ku bibi byammwe. Kale Katonda byonna bye mukola ye Kakensa wabyo.

272. Siggwe ovunanyizibwa okuluŋŋama kwabwe wabula Katonda aluŋŋamya gwayagala. Ekyo kyonna kyemuba muwaddeyo nga kyekimu ku birungi, muba mukiwaddeyo lwa bulungi obudda gyemuli. Ate byonna byemuwaayo, biweebwayo lwa kwesunga mpeera ya Katonda. Era ebyo byonna ebirungi bye muwaayo bibawebwaamu empeera yabyo mu bujjuvu era nga mwenna temulyazamanyizibwa.

273. Biweebwa baavu abo abaamalirira obutalekulira kulwanirira kkubo lya Katonda abatakyasobola kusiyagguka mu nsi, omuntu atamanyi abayita bagagga olw’okuba tebasabiriza, obamanya bulungi olw’obubonero bwebalina, tebasobola kusaba bantu mu kubaperereza. Kale ekyo kyemuba muwaddeyo nga kimu ku birungi, mazima Katonda ye Mumanyi wakyo.

274. Abo abawaayo emmaali yabwe ekiro n’emisana, munkiso ne mulwatu, baweebwa empeera yabwe ewa Mukama Katonda omulezi wabwe. Era tebafuna kutya wadde okufuna okweraliikirira.

275. Abo abalya ennyongeza, ssi ba kuzuukizibwa okujjako nga bafanana oyo azuukira nga yeekuba ebigwo nga lubaale amulinnye ku mutwe. Ekyo kiri bwekityo kubanga mazima baayogera nti: ‘Ennyongeza terina njawulo na busuubuzi!’ Sso nga Katonda yakkiriza obusuubuzi n’aziyiza ennyongeza. Oyo yenna atuukiddwaako okulabula okuva ewa Mukama Katonda omulezi we neyeekomako, abalibwako ebyo bye yakola olubereberye era ensonga z’ebyo zizzibwa wa Katonda. Kyokka oyo anaakuba enkyukira, nga bebo abookuyingira omuliro. Baakubeera omwo lubeereera.

276. Katonda ennyongeza agijjuza bisiraani ate saddaaka n’agiteekamu ennyongeza kale Katonda tayagala buli muntu yenna ssaabajeemu, omuyitirivu mu bwonoonyi.

277. Mazima abo abakkiriza era abakola ebirungi, nebayimirizaawo okusinza nga basaala, nebawaayo zaka, balina empeera yabwe ewa Mukama Katonda omulezi wabwe, era tebafuna kutya era ssi ba kunakuwala.

278. Abange mmwe abakkiriza, mutye Katonda era muve kunnyongeza eyafikkira bwe muba muli bakkiriza ba mazima.

279. Bwemutaakole ekyo munaaba mumaliridde okwaŋŋanga olutalo Katonda n’omubaka we lwebabagguddeko. Naye bwemunaaba mwenenyezza, olwo mulina kutwala mmaali yamwe eyo yennyini gye mwawaayo, nga tewali gwe mulyazamanyizza, nga nammwe temulyazamanyizibwa.

280. Omuntu bwaba lucoolo alindirizibwe, okutuusa lwanaaba obulungi naye eky’okusonyiwa ba lucoolo ky’ekisinga obulungi gyemuli, singa ekyo muba mukimanyi.

281. Era mutye olunaku lwemuzzibwa ewa Katonda, oluvannyuma buli muntu n’asasulwa mubujjuvu ebyo byeyakola nga bonna tebalyazamanyizibwa.

282. Abange mmwe abakkiriza, bwemuwolagana ebbanja nemuliwa ekiseera ekigere (mwelisasulirwa), mulina okuliwandiika. Era ateekwa okuwandiika wakati wammwe omuwandiisi (w’ebbanja) nga mwenkanya, era omuwandiisi tagezaako okugaana okuwandiika nga Katonda bweyamuyigiriza. Ateekwa okuliwandiika, era oyo ayeewoze ebbanja y’ateekwa okusengeka ebigambo (by’ebbanja eriwandiikibwa). Ate alina okutya ennyo Mukama Katonda omulezi we, aleme kubaako kintu kyalikendezaako. Oyo ateekwa okusasula ebbanja, bwaba ategeera kitono oba munafu oba nga okusengeka kwennyini (ebigambo by’ebbanja) kwatasobola, kale oyo amulinako obuyinza y’aba asengeka ebigambo ebyo mubwenkanya. Era mulijulizeeko abajulizi babiri, nga be bamu ku basajja bammwe (be mumanyi obulungi), ssinga abasajja ababiri tebaliiwo, kale omusajja omu n’abakyala babiri, kwabo abalina okuwa obujulizi. Kubanga omu ku babiri ayinza okwerabira olwo omu ku babiri n’ajjukiza munne. Abajulizi tebateekwa kugaana kuwa bujulizi, bwebaba bayitiddwa okubuwa. Era temufunanga kukeeyererwa kwonna nemutariwandiika, kalibe ttono oba ddene, nga mulambika ekiseera kyalyo (mwelisasulirwa). Ekyo ky’ekisinga okuleetawo obwenkanya mu maaso ga Katonda, era kiyamba ku bujulizi, era ky’ekyokumwanjo ekisinzirwako obutabuusabuusa bbanja eryo. Okujjako nga kubadde kugulaana ogubuzi obwembagirawo (nga mukozesezza mpa nkuwe), bwe muwaanyisiganya wakati wammwe nga bwakiggweerawo, tekirina mutawaana gyemuli nebwemutawandiika ndagaano. Era muteekeewo abajulizi okujulira obuguzi bwammwe. Era omuwandiisi tateekwa kuyisibwa bubi, wadde omujulizi. Bwemutaabituukirize obwo bujja kuba bujeemu bwammwe. Kale mutye nnyo Katonda. Era Katonda yoyo abayigiriza. Era Katonda buli kintu ye Mumanyi wakyo.

283. Bwemuba muli mu lugendo nemutafuna muwandiisi, emisingo gyemuwaddeyo gyeginaatwalibwa nga endagaano. Bwewabaawo abamu mummwe abeesize bannaabwe, oyo eyeesigiddwa ateekwa okutuukiriza obwesigwa bwe, era alina okutya Mukama Katonda omulezi we, tewabangawo ngeri yonna gyemukwekamu bujulizi, era oyo abukweka, mazima omutima gwe gubeera mwonoonefu. Kale Katonda byonna bye mukola ye Mumanyi wabyo.

284. Bya Katonda yekka byonna ebiri muggulu n’ebiri mu nsi. Era bwemuba mwolesezza ekyo ekiri mu mitima gyammwe oba mukikukusizza, Katonda akibakakasaako. Olwo n’asonyiwa gwayagala era n’abonereza gwayagala. Era Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

285. Omubaka yakkiriza ekyo ekyamussibwako, nga kiva ewa Mukama Katonda omulezi we, n’abakkiriza bwebatyo. Bonna awamu bakkiriza Katonda neba Malaika be n’ebitabo bye n’ababaka be: tetulina mubakawe nomu gwetusosola. Era kyebaayogeranga bonna kiri nti: ‘ Tuwulidde era tugonze. Tulina essuubi mu kisonyiwo kyo Ai Mukama Katonda omulezi waffe, era gyoli yokka bwe buddo’.

286. Teriiyo Katonda mwoyo gwawaliriza, okujjako ebyo byegusobola. Gufuna empeera y’ebirungi byegukoze era ne gufuna omusango gwebyo byegukoze. Ai Mukama Katonda omulezi waffe, otusonyiwe obutatuvunaana nga twerabidde, oba tukoze ebitasaana mu butanwa. Ai Mukama Katonda omulezi waffe, totubinika byetutasobola kwetikka nga bwe wabinika abaatukulembera. Ai Mukama Katonda omulezi waffe, totuwaliriza kukola byetutasobola. Era tukusaba obutanonooza nsobi zaffe, era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) otusaasire. Gwe Mukuumi waffe atweyimiridde, tutaase okutuwonya abantu abajeemu.

 

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *