Skip to content
Home » 5. Al – Maida (Ekijjulo)

5. Al – Maida (Ekijjulo)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(5) ESUULA AL-MAIDA, ‘EKIJJULO’

Yakkira madiina, erina Aya 120.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abange mmwe abakkiriza, mutuukirize endagaano. Mwakkirizibwa okulya ensolo ezirundibwa nga ojjeeko ezo ezibasomerwa, ate temukkirizibwa kuyigga, bwe muba mu mizizo gy’okulamaga. Mazima Katonda ky’afuula etteekka kyayagala.

2. Abange mmwe abakkiriza, temutyoboola emizizo gy’obubonero obulambika eddiini ya Katonda, wadde okutyoboola omwezi gw’emizizo, n’ensolo eziwebwayo mu mukolo gy’okulamaga n’ebijogoli ebitimbibwa mu bulago bw’ensolo eziwebwayo, n’abo abaluubirira ennyumba y’emizizo, nga banoonya ebirungi ebiva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe n’okusiima kwe. Bwe mumaliriza emikolo gy’okulamaga olwo nga muyigga. Ate teribawaliriza okukola ensobi essungu lyemulina ku bantu, olw’okuba baabagaana olubereberye, ne mutagenda ku muzigiti gw’emizizo, olwo nemuba nga musukka ekkomo. Naye muyambagane mu by’obutuukirivu n’okutya Katonda naye temuyambagana mu bujeemu nakuwalaggana. Era mutye Katonda. Mazima Katonda ye muyitirivu w’ebibonerezo.

3 Kyafuulibwa kya muziro gyemuli; ekifudde kalannamye, omusaayi, ennyama y’embizzi, ekyo kyonna ekiraamiriziddwako erinnya eritali lya Katonda nga kisalibwa, n’ekitugumbuddwa, n’ekikubiddwa obukubwa, n’ekifudde ennume y’ekigwo, n’ekitomeddwa, n’ekyo ensolo entaguzi ze kiriddeko, nga ojjeeko ekyo kye musobodde okusala nga tekinnafa, n’ebyo byonna ebisaliddwa ku lw’ebifananyi, n’okunoonya okuwongera ebigali. Ebyo byonna bya bujeemu bwennyini. Olwaleero baweddemu essuubi abo abaajeema ku bikwata ku ddiini yammwe, kale temubatya, era mutye Nze. Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe nembajjuliza ekyengera kyange kye mulina nembasiimira Obusiraamu (okwewaayo mu mateeka ga Katonda) okuba nga y’Eddini yammwe. Kale oyo yenna awaliriziddwa munjala ebulako akatono okumutta, nga tewali ngeri yonna gyasendeddwasendeddwa mu mmeeme ye kukola bujeemu (n’alya kwebyo eby’omuzizo). Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

4 Bakubuuza biki ebyabakkirizibwa? baddemu nti; ‘Byakkirizibwa gyemuli ebirungi byonna, n’omuyiggo ogukwatiddwa ensolo entaguzi ezo ezatendekebwa okuyigga, ezo zemuyigiriza kwebyo Katonda bye yabayigiriza. Kale mulye omuyiggo gwe zibakwalidde era mutendereze erinnya lya Katonda nga muzisindika okuyigga. Era mutye Katonda. Mazima Katonda ye mwanguyiriza w’okubalirira.

5. Olwaleero ebirungi byonna bikkiriziddwa gyemuli. Era eby’okulya byabo abaaweebwa ekitabo ssi byamuzizo gyemuli, era eby’okulya byammwe ssi bya muzizo gye bali. Okwo ssaako abakyala abakkakkamu nga bakkiriza n’abakyala abakkakkamu kwabo abaaweebwa ekitabo olubereberye lwamwe, bwe muba mubasasudde omutwalo gwabwe ogubawasa, nga nammwe muli bakkakkamu sso ssi ba malaaya oba abaganza kinnoomu. Kale oyo yenna ajeeemera amateeka agalambika enzikiriza y’eddiini, mazima giba gifudde ttogge emirimu gye, era yoyo kunkomerero ow’okufaafaaganirwa.

6. Abange mmwe abakkiriza bwemuba mutuusizza okuyimirizaawo esswala, musooke kunaaba byenyi byammwe namikono gyammwe okutuusa kunkokola. Era musiige ku mitwe gyammwe, munaabe n’ebigere byammwe okutuusa ku bukongovule. Ate bwe muba muwunya ensonyi musooke kunaaba mubiri gwonna. Ate bwemuba abalwadde, oba abali mu lugendo oba nga omu kummwe avudde mu kweteewuluza, oba nga musisinkanye n’abakyala mu mukwano, kyokka nemubulwa amazzi, olwo mwetukuzise ettaka eriyonjo, musiige mu byenyi byammwe n’emikono gyammwe nga mujje kulyo. Katonda tayagala kubassaako kukaluubirirwa, wabula ayagala ku batukuza n’okuba nga ajjuza ekyengera kye kyemulina, kibasobozese okwebaza.

7. Era mujjukire omukisa gwa Katonda gwe mulina, n’endagaano ye eyo gye mwakola naye, ekiseera we mwagambira nti; ‘Tuwulidde era tugonze!’. Ate mutye Katonda mazima Katonda ye Mumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

8. Abange mmwe abakkiriza, mubeere besimbu ku lwa Katonda abawa obujulizi mu bwenkanya. Era teribawaliriza okukola ekibi essungu lye mulina ku bantu, okuba nga mwewala obwenkanya. Muteekwa okuba abenkanya, ekyo ky’ekyokumwanjo ekiraga okutya Katonda. Kale mutye Katonda. Mazima Katonda ye Kakensa w’ebyo bye mukola.

9. Kale Katonda alaganyisa abo abakkiriza era abaakola ebirungi okufuna okusonyiyibwa n’empeera ennene.

10. Ate abo abaajeema era abaalimbisa amateeka gaffe, bebo ab’okubeera mu ggeyeena.

11. Abange mmwe abakkiriza mujjukire omukisa gwa Katonda gwe mulina, ekiseera abantu we besungira okubatuusaako akabi n’emikono gyabwe, n’atangira emikono gyabwe obutabatuusaako kabi. Kale mutye Katonda. Era Katonda yekka gwe balina okwesigamira abakkiriza.

12. Mazima Katonda yakozesa abaana ba Isirail endagaano, era twatuma mubo abakungu kkumi na babiri. Olwo Katonda n’abategeeza nti; ‘Mazima nze ndi nammwe (ssijja kubaabulira) bwe munaaba muyimirizzaawo okusinza nga musaala era ne muwaayo zaka era nemuwola Katonda oluwola olulungi, olwo nga mbakenderezaako ddala ebibi byammwe era nga mbayingiriza ddala ejjana eyo ekulukutiramu wansi wayo emigga. Kale oyo anaaba ajeemye oluvanyuma lw’ekyo mazima aba abulidde mu kkubo ebbi.

13. Kale olw’engeri gye baayawukana ku ndagaano twabakolimira era netufuula emitima gyabwe okuba emikalubo, nebaba nga bakyusa ebigambo okubijja kumiramwa gyabyo, era nebeerabira emiramwa gy’ensonga ezaababuulirirwa. Era ojja kwesanga nga abamu mubo bakumpanya, okujjako abatono ennyo. Kale tononooza nsobi zabwe era basonyiwe. Mazima Katonda ayagala balongosa.

14. Era abamu kwabo abaagamba nti; ‘Mazima ffe tuli ba Naswala; (ffe tulina okutaasa Nabbi Isa akwate ekkubo eriraga ewa Katonda), twabakozesa endagaano kyokka nebeerabira emiramwa gy’ensonga ezo ezaababuulirirwa, olwo netulyoka tumetta wakati wabwe empalana n’ettima okutuusiza ddala ku lunaku lw’enkomerero. Era Katonda ajja kubategeeza ebyo bye baali bakola.

15. Abange mmwe ba nannyini kitabo, mazima wuyo abatuuseeko omubaka waffe nga abannyonnyola ebisinga obungi kwebyo ebiri mu kitabo, bye mwali mukweka, ate nga byatajja kukoonako bingi nnyo. Mazima kiikyo ekitangala kibatuuseeko okuva ewa Katonda, n’ekitabo ekinnyonnyofu.

16. Katonda akyeyambisa okuluŋŋamya oyo aba agoberedde ebyo by’asiima, okukwata amakubo agajjudde emirembe, era abajja mu bizikiza n’abazza mu kitangala olw’okukkiriza kwe, era abaluŋŋamya okukwata ekkubo eggolokofu.

17 Mazima basusse obujeemu abo abaagamba nti’ ‘Katonda ye Masiya Isa mutabani wa Mariam!’. Ggwe babuuze nti; ‘Avaawa oyo akugira Katonda ekintu kyonna, bwaba Yye ayagadde okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam nga ogasseeko ne maama we n’abo bonna abali munsi?’ Kale bwa Katonda yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi. Atonda ky’ayagala, era Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

18. Kale Abayudaaya n’Abanaswala baagamba nti; ‘ffe baana ba Katonda era tuli mikwano gye’. Ggwe babuuze nti; ‘Ate lwaki ababonereza nga mukoze ebyonoono?’. Ekituufu kiri nti, mmwe muli bantu abatalina njawulo nabali abalala beyatonda. Asonyiwa gwayagala era abonereza gwayagala. Era bwa Katonda yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi era gyali bwe buddo.

19. Abange mmwe bannannyini kitabo, mazima wuyo azze gyemuli omubaka waffe okubannyonnyola, nga wamaze kuyita kiseera nga ababaka tebakyajja, muleme kugamba nti; ‘Tewali yali azze gyetuli nga awa amawulire ag’essanyu oba okulabula’. Mazima wuyo azze gyemuli omubaka awa amawulire ag’essanyu era omulabuzi. Kale Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

20. Jukira Musa we yagambira abantu be nti; ‘Bannange mujjukire ekyengera kya Katonda kye mulina, bwe yasalawo okubayimusizaamu ba Nnabbi nfafa era n’abafuula ba Kabaka era n’abawa ebyo byatawangako muntu yenna munsi.

21. Bannange, muyingire ensi entukuvu, eyo Katonda gyeyabagemulira, era temukuba enkyukira nemudda ekyennyuma nemuddayo gye muva nga mufaafaaganiddwa?.

22. Baamuddamu nti; ‘Owange ggwe Musa mazima waliyo empalakitale za bakyewaggula. Era ffe tetujja kuyingirayo okutuusa nga bavuddemu. Kale bwe banaavaamu olwo nga tuyingira.

23. Abasajja babiri abamu kwabo abalimu okutya Katonda. Abo Katonda beyawa omukisa, ne babagamba nti; ‘Mubazindukirize ku wankaki, kavuna, munaabayingirira olwo nga mubawangula!’. Era Katonda yekka gwe mulina okwesigamira bwe muba abakkiriza.

24. Baamuddamu nti; ‘Owange ggwe Musa; mazima ffe kikafuuwe okuyingirayo nebwebuliba ddi, kavuna baba nga bakyaliyo. Ggwe wennyini wegendereyo ne Mukama Katonda omulenzi wo era mwembi mmwe muba mulwana. Mazima ffe twesigalidde wano nga tutudde’.

25. Yayogera nga awanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange; Mazima nze teriiyo kyenninako bufuzi okujjako omwoyo gwange gattako muganda wange. Ai Mukama nkwegayirira osalewo ekituufu wakati waffe n’abantu aboonoonyi!’.

26. Yamwanukula nga agamba nti; ‘Kale kikakase eky’okuba nti ensi eyo kati efuuse ya muzizo gye bali; emyaka ana: gyebalina okumala nga bayengetera mu ddungu. Era wewale okunakuwalira abantu aboonoonyi!.

27 Kale basomere mubwesimbu ekyafaayo ky’abaana ababiri aba Adam, bombi we baaweerayo saddaaka, n’ekkirizibwa ey’omu kubo era n’egaanibwa ey’omulala: Naamwewerera nti; ‘Ntekwa okukutta’. Oli n’amuddamu nti: ‘Mazima Katonda akkiriza (ebiwebwayo) byabo abamutya!’

28 Ggwe bwonongololera omukono gwo okunzita, nze ssiyinza kukugololera mukono gwange kukutta. Mazima nze ntya Katonda Mukama omulezi w’ebitonde byona.

29 Mazima nze kyenjagala, ggwe kwe kwambukirwako ekibi ky’ontusizzaako era osigaze omusango gwo era obeere owomumuliro. Kale eyo y’empeera y’abajeemu.

30 olwo n’emupikiriza emmeeme ye okutta muganda we, era naamutta, bwatyo ne bumukeerere nga y’omu ku baafaafaaganirwa.

31. olwo Katonda naatuma namuŋŋoona okusimulasimula muttaka olw’okumulaga engeri gy’anaaziika omulambo gwa muganda we. Yakuba ekiwoobe nga agamba nti: ‘Nga nzikiridde! Abaffe ntuse n’okulemererwa okufananako namuŋŋoona eno, obutasobola kuziika mulambo gwa muganda wange!’. Olwo nebukeera nga y’omu kwabo abejjusa

32. olw’ensonga eyo, twassa amateeka ku baana ba Israil agannyonnyola nti: oyo yenna atta omwoyo, nga ssi lwa kuwoolera ggwanga oba kutangira bwonoonefu munsi, abalibwa nga asse abantu bonna. Era oyo yenna awonya omwoyo okufa abalibwa nga awonyezza abantu bonna okufa. Era mazima ababaka baffe baabaleetera amateeka amannyonnyofu. Kyokka oluvannyuma wesanga nga abasinga kubo (abaana ba Isirail) ebyo, nga biwedde, nga munsi beemalidde mu kubeera ba kyewagguka

33. Mazima empeera yokka esasulwa abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we, era abasaasaanya munsi obwonoonefu, kwekuba nga batirimbulwa oba okubambibwa (nebafiira kummambo) oba okutemebwako emikono gyabwe n’amagulu gabwe mu mpulinkanya, oba okuwaŋŋangusibwa munsi z’ebunaayira. Bwekityo balina okufuna obunyomoofu musni era ba kuweebwa kunkomerero ekibonerezo ekiyitirivu

34. okujjako abo abeenenyezza olubereberye nga temunnabagwikiriza. Kale mukimanye nti mazima Katonda ye Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawullo.

35. Abange mwe abakkiriza mutye Katonda era mweyune okudda gyali nga mweyambisa oluwenda era mulwanirire ekkubo lye mube nga muganyulwa.

36 Mazima abo abaajeema, nebwebaba balina ebyo ebiri munsi byonna, era n’ebibifaanana nga obyongeddeko, nga bye bawaayo nga ennunuzi yabwe ebawonya ekibonerezo ky’olunaku lw’enkomerero, byonna byalibaziririddwa. Era baakufuna ekibonerezo ekiruma.

37. Begomba okuva mu muliro sso nga ssi ba kuguvaamu, era ba kuweebwa ekibonerezo eky’olutentezi.

38 Kale omubbi omusajja n’omubbi omukazi mu batemeko emikono gyabwe bombi nga y’empeera y’ekyo kyebakoze, nga kwe ku kangavvula okuva ewa Katonda. Kale Katonda ye Luwangula Kalimagezi.

39 Naye oyo aba yenenyezza oluvanyuma lw’okukola ekyonoono era n’alongosa emirimu, mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo

40. abaffe tokimanyi nti mazima Katonda bubwe yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi? Abonereza gwayagala, era Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

41 Owange gwe omubaka komya okunakuwalira abo abayanguyiriza okwennyika mu bujeemu, abamu kwabo abaayogeza emimwa gyabwe nti:’Twakkiriza dda!’ Sso nga tegikkirizangako emitima gyabwe. Era abamu ku Bayudaaya bakawuririza bikonjere, bakawuririza bantu bali abalala abatajjangako gyoli, abakyusa ebigambo nga babijja ku miramwa gyabyo, nga bagamba nti: ‘Bwemuba muweereddwa bino mubitwale, ate bwe muba ssi byemuwereddwa, mubyewale’. Kale oyo yenna Katonda gwayagala okussa ku kikemo, tewali kintu kyonna kyoyinza kumweyimirira butakimutuusaako nga kiva wa Katonda. Bebo Katonda b’ataayagala kutukuza mitima gyabwe. Ba kufuna munsi obunyomoofu era ba kuwebwa ku nkomerero ekibonerezo ekiyitirivu.

42 Ba kawuliriza bikonjere ba kaliira bya muzizo. Kale bwebaba bazze gyoli, lamula wakati wabwe oba baveeko. Kale bwoba tobafuddeeko tewali kibi kyebajja kukutuusaako mu kintu kyonna. Ate bwosalawo okubalamula lamuzisa wakati wabwe nabwenkanya. Mazima Katonda ayagala abenkanya.

43 Ate kiva kuki bbo okukufuula omulamuzi wabwe, sso nga balina Tawuleti esangibwamu obulamuzi bwa Katonda ate bwebava awo nebawakanya nga ebyo biwedde. Kale abo be batali bakkiriza.

44 Mazima twassa Tawuleti nga ejjudde okuluŋŋamya n’ekitangala, nga ba Nnabbi abewaayo mu mateeka ga Katonda bagyeyambisa okulamula abo Abayudaaya n’abayivu mu ddiini ne ba Kabona olw’engeri jebaalagirwa okukuuma obutiribiri ebisangibwa mu kitabo kya Katonda era nga kyekyo kyebaawangako obujulizi. Kale temutya bantu, mutye nze nzekka era temuguzisa mateeka gange n’ebyo eby’omuwendo omutono, era oyo yenna atalamuzisa ebyo Katonda bye yassa, nga bebo abajeemu.

45 Era twabassizaawo amateeka agakirimu (ekitabo kya Tawuleti) agalambika nti: omwoyo gusasulwa namwoyo, eriiso lisasulwa na riiso, ennyindo esasulwa na nnyindo, okutu kusasulwa na kutu, erinnyo lisasulwa na linnyo, era ebisago ebisigadde biwoolerwa eggwanga. Naye bwewabaawo asonyiwa okuwoolera eggwanga, oyo aba yefunidde entangiriro ey’obwebange. Ate oyo atalamuzisa ebyo Katonda bye yassa, nga bebo abalyazamanyi.

46 Olwo netugobereza obuwufu bwabwe Isa mutabani wa Mariam nga anyweza ebyo ebiriwo ebisiŋŋanibwa mu Tawuleti. Era netumuwa Enjiri nga ejjudde obuluŋŋamu n’ekitangala era nga enyweza ebyo ebiriwo ebisiŋŋanibwa mu Tawuleti era nga bwebuluŋŋamu bw’abatya Katonda.

47 Kale batekwa abo abakkiririza mu Enjiri okulamuzisa ebyo Katonda bye yagissaamu. Era oyo atalamuzisa ebyo Katonda bye yassa, nga bebo aboonoonyi

48. era twassa gyolli ekitabo (kya Qur’an) mu bwesimbu, nga kinyweza ebyo ebiriwo ebisiŋŋanibwa mu kitabo (ekya Tawueti n’Enjiri) era nga yo (Qur’an) ye mweyinulirwa ennywevu. Kale lamula wakati wabwe nga weyambisa ebyo Katonda bye yassa. Era togoberera bye begomba ebyandikuleetedde okuwuguka nga bikujja kwago amazima agakutuuseeko. Buli kibinja mummwe tukikwasa amateeka n’okukiraga ekkubo ery’okugoberera. Era ssinga Katonda yayagala mwenna yaalibafudde mulembe gumu, kyokka ekyagendererwa kwe kubagezesa mwebyo bye yabawa. Kale musindane mu kukola ebirungi. Eri Katonda yekka y’eri obuddo bwammwe mwenna, olwo abe nga ababuulira bye mwalimu nga muli baawukamu.

49. Era lamula wakati wabwe nga weyambisa ebyo Katonda bye yassa sso togoberera byebegomba, ate bewale baleme ku kussa mu kikemo ekyandikuviiriddeko okulemererwa okugoberera ebimu kwebyo Katonda bye yassa gyoli. Bwebaba bakubye enkyukira nga ggwe omanya nti, ekintu Katonda kyayagala kwe kubabonereza nga abalanga ebimu ku byonoono byabwe. Era mazima enkuyanja y’abantu boonoonyi.

50. Abaffe, obulamuzi obw’enkola etari ya kigunjufu bwe begomba? Kale avaawa asinga Katonda okulamula obulungi, eri abantu abamativu?

51 Abange mmwe abakkiriza, kizira gyemuli okuddira Abayudaya n’Abanaswala okubafuula ab’emikwano. Ekibinja ky’abamu gy’emikwano gy’abalala. Era oyo abafuula mikwano gye mummwe, olwo nga mazima oyo atwalibwa nga bbo. Mazima Katonda taluŋŋamya bantu balyazamanyi.

52 Kale werolera abo abalina mu mutima gyabwe ekirwadde (ky’obunnafunsi) engeri gye beeyunira okubaggweramu (mukubafuula mikwano gyabwe) nga bagamba nti: ‘Tutya okutuukibwako ekizibu. So nga oba olyawo Katonda aleeta obuwanguzi oba ekintu ekirala ekiva gyali olwo ne bakeesa nga ebyo bye baali bakukusa mu mitima gyabwe babyejjusa.

53 era abakkiriza nebebuuza nti: ‘Abaffe, bebo abaalayira Katonda nga banyweza ebirayiro byabwe nti mazima bali bumu nammwe? Jiijo gifuuse birerya emirimu gyabwe era nebakeesa nga bafaafaaganiddwa.

54 Abange mmwe abakkiriza oyo mummwe ava mu ddiini ye. Katonda ajja kuleetayo abantu abalala baayagala era abamwagala, abakkakkamu eri abakkiriza, ab’amaanyi ku bajeemu, abalwanirira ekkubo lya Katonda, era abatatya kunenya kwoyo anenya. Ebyo by’ebirungi bya Katonda byawa gwayagala, era Katonda ye Mugazi (mu kugaba ebirungi) Omumanyi.

55 Mazima mukwano gwammwe yekka owomunda ye Katonda n’omubaka we n’abo abakkiriza abo abayimirizaawo okusinza nga basaala era abawaayo zaka, era abatalekaayo kukutama.

56 Era oyo anyweza omukwano ku Katonda n’omubaka we n’abo abakkiriza nga mazima lyeryo eggye lya Katonda erifuna obuwanguzi.

57 Abange mmwe abakkiriza, kizira gyemuli okuddira abo abafuula eddiini yammwe okuba ey’okujeeja n’okuzannyisa, abamu kwabo abaaweebwa ekitabo olubereberye lwammwe n’abajeemu okubafuula ab’emikwano egyomunda. Era mutye Katonda bwemuba abakkirirza.

58. Kale bwe muba mukoowodde (abantu) okudda eri asswala, bali bagifuula ya kujeeja na kuzannyisa. Ekyo kisinziira ku kuba nti mazima abo be bantu abatategeera.

59. Ggwe babuuze nti: ‘Abange mmwe bannannyini kitabo; abaffe mulinayo ensonga endala etukijjanyisa, okujjako ey’okuba nti mazima ffe twakkiriza Katonda n’ebyo ebyassibwa gyetuli gattako ebyo ebyassibwa olubereberye, era nokuba nti mazima abasing obungi mummwe muli boonoonyi?’

60.Gwe bagambe nti: ‘Abaffe mbabuulireyo ekibi ennyo okusinga ekyo, ekikakasisaawo ekibonerezo ewa Katonda? Bebo Katonda beyakolimira era beyanyiigira era beyaddira ekibinja ekimu mubo n’akifuula enkobe n’embizzi, era bebo abaggwera mu kusinza Ssitaani. Abo be b’okubeera mu kifo ekisingayo obubi era be balina enkizo mu kubula nga bawuguka ku kkubo ettereevu’.

61. Era bwe baba bazze gyemuli bagamba nti: ‘Twakkiriza dda! Sso nga mazima bayingidde mummwe nga beemalidde mu bujeemu, era bebo mazima abatuusizza okufuluma mummwe nga babwemaliddemu. Kale Katonda y’asinga okumanya ebyo bye baba bakisa

62. Era werolera enkuyanja mubo nga beyunira okwemalira mu byonoono, gattako empalana, era n’engeri gye balyamu ebyomuzizo. Byakivve ebyo bye baba bakola.

63 kiki ekirobera abayivu mu ddiini ne ba Kabona okubakomako kubigambo byabwe eby’obwonoonefu, gattako engeri gye balyamu ebyomuzizo? Byakivve ebyo bye baba bakola.

64 Kale Abayudaaya baamokkola ogugambo nti: ‘Omukono gwa Katonda mufundikire!’ – Gyakafundikirwa nnyini emikono gyabwe, era baakakolimirwa nnyini olw’ebyo bye baamokkola – wew’awo emikono Gye gyombi myanjulukufu, agaba nga bwayagala. Naye enkuyanja yabwe, mazima ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama Katonda omulezi wo kijja kubongerera ddala obwewagguzi n’obujeemu. Era twayingiza wakati wabwe okuwalaggana n’obukyayi okutuusa ku lunaku lw’enkomerero. Buli lwebaba bakoleezezza omuliro gw’olutalo Katonda aguzikiza. Era bebo abasaasaanya munsi obwonoonefu. Ate Katonda tayagala boonoonyi.

65. Kale ssinga ba nannyini kitabo bakkiriza era nga baali batya Katonda twalibakendezezzaako ebibi byabwe era twalibayingizza Ejjana ey’ebyengera.

66 Era ssinga mazima baatuukiriza ebiri mu Tawuleti n’Enjiri n’ebyo ebyassibwa gyebali okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, baalifumye eby’okulya ebiva waggulu wabwe ne wansi w’ebigere byabwe. Waliwo ekibinja ky’abamu kubo nga kyenkanya, naye enkuyanja mubo bya kivve bye bakola.

67 owange ggwe omubaka, bunyisa byonna ebyo ebyassibwa gyoli okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, era bwotookikole, olwo onooba tobunyisizza bubaka bwe. Era Katonda akukuuma abantu ne batabaako kye bakukola. Mazima Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu.

68 Ggwe bategeeza nti: ‘Abange mmwe ba nannyini kitabo, temulina kye muliko okutuusa lwe munaatuukiriza ebiri mu Tawuleti n’Enjiri n’ebyo ebyassibwa gyemuli nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe. Naye mazima ebyo ebyassibwa gyoli okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo bijja kwongerera ddala abasinga obungi mukibinja kyabwe obwewagguzi n’obujeemu. Kale komya okunakuwalira abantu abajeemu.

69 Mazima abo abakkiriza kungulu n’abo Abayudaaya ne bamukyusaddiini n’Abanaaswala, oyo yenna kati aba akkirizza Katonda n’olunaku lw’enkomerero era n’akola ebirungi, ssi ba kufuna bweraliikirivu era ssi ba kufuna nnaku.

70 mazima twakola endagaano n’abaana ba Isirail era netutuma gyebali ababaka. Kyokka buli lwe yabatuusangako omubaka ebyo bye gitegomba emyoyo gyabwe, waabangawo ekibinja ekyalimbisa nga, ekibinja ekirala nga kikola ettemu.

71 Era nebakitwala nti tekiyinza kuleetawo kigezo (fitina) olwo nebaziba amaaso era nebaggalira amatu, oluvannyuma Katonda n’akkiriza okwenenya kwabwe, n’era nebaddamu okuziba amaaso era nebaggalira amatu enkuyanja mu kibinja kyabwe. Kale Katonda ye mulabi w’ebyo bye bakola.

72 Mazima baajeema ne bayitiriza abo abaabijweteka nti: ‘Katonda yennyini ye Masiya mutabani wa Mariam. Sso nga Masiya yabakoowoola nti: ‘Abange mmwe abaana ba Isirail musinze Katonda asinzibwa Allah, Mukama Katonda Omulezi wange era Omulezi wammwe. Mazima kyasalibwawo nti: oyo yenna agattika ku Katonda ebirala, oyo mazima aba Katonda yamuziyiza (okuyingira) ejjana era obuddo bwe gwe muliro. Era abalyazamanyi tebalinaayo wa kubataasa.

73. Mazima baajeema nebayitiriza abo abaajweteka nti: Katonda waakusatu ku basatu. Sso nga teriiyo asinzibwa okujjako Omusinzibwa Omu yekka. Naye bwe bateekomeko okuva kwebyo bye bajweteka, mazima nga kituukira ddala kwabo abaajeema mukibinja kyabwe, ekibonerezo ekiruma

74. Lwaki balemwa okwenenyeza Katonda n’okumwegayirira okubasonyiwa? Kale Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo 75. Tewali Masiya mutabani wa Mariam ngeri ndala gyatwalibwamu okujjako okubeera omubaka nga yayitibwako olubereberye lwe enkumuliitu y’ababaka, era maama we mukkakkamu eyakakasa amazima. Bombi baalyanga emmere. Kale werolere engeri gyetunnyonnyola abantu (abo) amateeka, oluvannyuma welolere engeri gye basinziira okwo nebava ku kituufu.

76. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe mulekawo Katonda nemusalawo okusinza oyo (Masiya) atalina kyayinza kubatuusaako kintu kyonna nga kibi newankubadde ekirungi?’ Kale Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

77. Balabule nti: ‘Abange mmwe bannannyini kitabo, temusukka njigiriza ntufu mu diini yammwe, ekyo ssi kituufu. Era temugoberera kwagala kwa bantu abo mazima abaabula olubereberye era nebazaawa nga bawuguse ku kkubo ettereevu.

78. Baakolimirwa abo abaajeema, abamu ku baana ba Isirail, ku lulimi lwa Dawuda ne Isa mutabani wa Mariam. Kiri bwekitio olw’engeri gye baajeema era nga baali beewaggula.

79. Baali tebeekugira butasemberera byonoono bye baakolanga. Byakivve bye baali bakola.

80. Werolera abasinga obungi mu kibinja kyabwe nga emikwano bagikola n’abo abaajeema. Byakivve ebyo bye gyabapikiriza okukola emyoyo gyabwe, eyo yeyali ensonga okuba nga Katonda yabasunguwalira, era ekibonerezo bebo ab’okukisiisiramu alubeerera.

81. Naye ssinga baali bakkiriza Katonda ne Nnabbi n’ebyo ebyassibwa gyali tebaalikoze nabo mukwano, kyokka abasinga obungi mu kibinja kyabwe boonoonyi.

82. Mazima ojja kusangira ddala nga abalina enkizo mu bantu bonna okukola obulabe kwabo abakkiriza nga be Bayudaaya naabo abasamize. Era ojja kusangira ddala nga ababasinga okuba ku mwanjo mu kukola omukwano naabo abakkiriza, bebo abaagamba nti:- ffe Banaswala (abeewaddeyo okutaasa Isa okukwata ekkubo lya Katonda). Ekyo kiri bwekityo kubanga, ekibinja kyabwe osangamu Bakabona n’Abalabirizi era nga bebo abatekuluntaza.

83. Era bwe baba bawulidde ebyo ebissiddwa eri omubaka nga olaba amaaso gabwe gakulukusa amaziga nga kisinziira kwebyo bye bamanyi ebya mazima. Olwo nebasaba nti: ‘Ai mukama Katonda omulezi waffe, tuutuno tukkiriza, era tukuwanjagira Ai Mukama otuwandiikire mwabo abawa obujurizi!’

84. ‘Ate kiki ekitugaana okukkiriza Katonda nagano amazima agatutuuseeko sso nga twesunga okuba nga Mukama Katonda Omulezi waffe atuyingiza ejjana wamu n’abantu abalongofu’.

85. Kale Katonda yabasasula – olw’ebyo bye baayogera – ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga ba kugibeeramu lubeerera. Era yeyo empeera y’abalongofu.

86 Ate abo abaajeema era abaalimbisa amateeka gaffe bebo ab’okubeera mu Ggeyeena.

87. Abange mmwe abakkiriza temuziza birungi ebyo Katonda bye yakkiriza gyemuli era temwewaggula. Mazima Katonda tayagala beewagguzi.

88. Kale mulye kwebyo Katonda bye yabagabirira nga byakkirizibwa birungi. Era mutye Katonda oyo mmwe gwe mukkiririzaamu.

89. Katonda tabavunaana bwe muba musaagasaaga mu kulayira kwammwe, wabula abavunaana olw’engeri gyemuba munywezezza ebirayiro. Kale omutango gwakyo, kuliisa banaku kkumi nga mutoola ku mmere eyabulijjo gye muliisaako abantu bammwe, oba okubambaza, oba okusumulula omuddu mu bufuge (n’alya butaala). Kale oyo alemereddwa ebyo olwo alina kusiiba nnaku ssatu. Ogwo gwe mutango gw’ebirayiro byammwe bye muba mutatuukirizza, bwe muba mumaze okulayira. Kale mukuume butiribiri ebirayiro byammwe. Bwatyo Katonda bw’abannyonnyola amateeka ge kibasobozese okumwebaza.

90. Abange mmwe abakkiriza. Mazima ekikakafu kyokka ekiri ku mwenge ne zzaala n’ebifananyi n’okwelaguzisa ebigali, kwekuba entalondwa, nga gyegimu ku mirimu gya Ssitaani era mubyewale, mulyoke muganyulwe.

91. Mazima ekintu kyokka Ssitaani ky’eyagala kwekuyingiza wakati wammwe empalana n’obukyayi nga eyita mu mwenge n’ezzaala, era n’okubawugula nga ebalemesa okutendereza Katonda, era n’okuva ku kusaala. Abaffe munaasobola okwekomako? 92. Kale mugondere Katonda era mugondere omubaka era mwewale ebigaaniddwa, naye bwe munaakuba enkyukira, olwo mumanye nti, ekintu omubaka waffe kyalina okutuukiriza kwe kubunyisa obubaka obunnyonnyofu.

93. Mpawo kinenyo kibeera kwabo abakkiriza era abaakola ebirungi, kwebyo byebaba balidde, singa baba batidde eby’omuzizo,era nebakkiriza Katonda era nabakola ebirungi, era bwebamala nebatya eby’omuzizo nebakkiriza Katonda era bwebamala nebatya eby’omuzizo nebalongosa emirimu. Kale Katonda ayagala abalongosa emirimu.

94. Abanage mmwe abakkiriza, Mazima Katonda waakubatuusiza ddala ku kigezo ekyekintu kyonna ekibeera omuyiggo gwe gikwata emikono gyammwe n’obusaale bwammwe, olwo Katonda ategeerere ddala oyo amutya mu kyama. Kale oyo aba yeewaggudde oluvannyuma lw’ebyo, nga afuna ekibonerezo ekiruma.

95. Abange mmwe abakkirirza kizira gyemuli okutta ebiyiggibwa nga muli mu mizizo gy’okulamaga. Era oyo akisse mummwe nga agenderedde, omutango gwatanga kwe kusaddaaka ekifanana ekyo kyeyasse, kitoolebwa mu nsolo ezirundibwa, nga balamula engerageranya yakyo abasajja abenkanya babiri abava mummwe, nga ye ssaddaaka ewebwayo nga etuuse ku Kaaba, oba ssi ekyo, kuba kuwaayo mutango gwa kuliisa banaku, oba okukola ekirala ekyenkana ekyo, olwo nga alina kusiiba, ekyo kimusobozese okukomba ku bukaawu bw’ekibi ky’omusango gwe. Kyokka ebyo ebyayita Katonda yabisonyiwa, naye oyo yenna addidde ebikolwa ebikyamu, oyo Katonda amwesasuza. Kale Katonda ye Luwangula Omuyitirivu w’okwesasuza.

96 Mwakkirizibwa okuvuba ebyomumazzi n’okubirya, bisobole okuba eby’omugaso gyemuli nokugasa abatambuze, era mwaziyizibwa okuyigga eby’okuttale bwe muba mukyali mu mizizo gy’okulagama. Kale mutye Katonda oyo nga gyali gyemuzzibwa.

97. Katonda yafuula Kaaba, ennyumba ey’emizizo, okuba entabiro y’ebyo ebiyimirizaawo abantu, era yafuula n’omwezi okuba ogwomuzizo, n’ensolo eziwebwayo mu mikolo gy’okulamaga n’ebijogoli ebitimbiddwa ensolo ezo, yabifuula byamuzizo. Ekyakozesa ekyo mulyoke mutegeere nti mazima Katonda amanyi byonna ebiri muggulu n’ebiri munsi, era mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi wakyo.

98. Mukimanye nti mazima Katonda ye muyitirivu w’ebibonerezo era mazima Katonda Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

99. Teriiyo kilala omubaka kyavunanyizibwa okujjako okubunyisa obubaka. Era Katonda amanyi bye mwolesa n’ebyo bye mukisa.

100. Ggwe bateegezze nti: ‘Ekyo kafuuwe ekibi okwenkana ekirungi ne bwebunaabawuniikiriza obungi bw’ebintu ebibi. Kale mutye Katoda abange mmwe abageziwavu kibasobozese okuganyulwa.

101. Abange mmwe abakkiriza mwewale okubuuza ebintu ate nga bwe biba bibannyonnyoddwa kibayisa bubi, sso nga bwe mubibuuza mu kiseera nga Qur’an essibwa, olwo biba birina kubannyonnyolwa, ebyayita Katonda yabisonyiwa. Era Katonda ye Musonyiyi Oweekisa.

102. Mazima abantu abaabakulembera baabibuuza oluvannyuma ne bakeesa enkya nga ba biwakanya.

103. Tewali mizizo Katonda gyeyassa kunsolo ezaamannya agalinga Ssalwamatu (Bahiirah), Ndyabutaala (Saibat), Kazaalannyana (waswilat), Muteebagalwa (Hami), wabula abo abajeemu bajweteka ku Katonda oby’obulimba. Era enkuyanja mubo tebategeera.

104. Era bwe baba bakoowoddwa nti: ‘Mujje tugoberere ebyo Katonda bye yassa era tugoberere omubaka, baddamu nti: ‘Ffe bitumala ebyo bye twasanga bazadde baffe baliko. Abaffe nebwebaba bazadde babwe baali tebalina kyebamanyi era nga ssi baluŋŋamu?

105. Abange mmwe abakkiriza mwenyweze ggulugulu, talina kyabakosa oyo aba abuze, bwemuba mmwe muluŋŋamye. Eri Katonda gyemulina okuzzibwa, olwo ababuulire bye mwali mukola.

106. Abange mmwe abakkiriza: obujulizi obuteekwa okubeerawo wakati wammwe, ssinga omu kummwe asemberedde okufa, awo mukiseera waakolera ekiraamo, bwa bantu babiri abalina obwenkanya mummwe, oba abalala babiri abatava mummwe, awo wonna we mubeerera mu lugendo ne mutuukibwako abacwano k’okufa. Mulina okusibaga abajulizi abo bombi awo nga asswala ewedde, olwo bombi ne balayira Katonda. Bwe wabaawo engeri gye mwekengera, nga bakakasa nti: Ekyo kafuuwe ffe okuwanyisa mu kiraamo kino n’ebyomuwendo omutono nebwaliba wa luganda, era twewala okukweka obujulizi bwa Katonda. Mpozzi nga ffe mazima tuyitiridde obwonoonyi’.

107. Ate bwekizuulibwa nga bombi ba kakatiddwako ekyonoono, olwo nga abajulizi abalala babiri bayimirira mubifo bya bali abakulembedde bombi abakakatiddwaako ekyonoono, olwo ne balayira Katonda nti: ‘Obujulizi bwaffe bwe butuufu okusinga obwabali bombi, era tewali nsalo ze tususse, mpozzi mazima nga ffe tuyitiridde obulyazamanyi’.

108. Ekyo kye kyokumwanjo ekikolebwa okusinga bwe bawa obujulizi obwa engera oba nga bekengera ne batayagala bujulizi bwabwe kugobwa mudiŋŋanwa. Kale Katonda taluŋŋamya bantu bonoonyi.

109 Olunaku lumu Katonda wa kukuŋŋanya ababaka ababuuze nti: ‘Biki bye mwayanukulwa?’ Bamuddemu nti: ‘Mpawo kye tumanyi. Mazima ggwe wuyo Kakensa w’okumanya ebyama’.

110 Era jjukira awo Katonda waaligambira nti: ‘Owange ggwe Isa mutabani wa Mariam, jjukira omukisa gwange gwolina era ne maama wo gwalina mu kiseera lwe nnakuwagira ne Mwoyomutukuvu n’oyogeranya n’abantu nga oli mu kibaya n’awo we wasajjakulira. Era jjukira lwe nnakuyigiriza ebiwandiiko n’amagezi amazaale ag’obwannabi ne Tawuleti n’Enjiri. Era jjukira we wabumbira mu bbumba ekibumbe ekyefananyiriza ekinyonyi olw’okusalawo kwange, bwotyo n’okifuuwamu omukka era nekisobola okubuuka olw’okusalawo kwange. Era n’owonya ab’empoma n’ab’olukeke olw’okusalawo kwange. Era jjukira lwe wazuukiza abafu olw’okusalawo kwange. Era jjukira lwe nnatangira abaana ba Isirail obutakutuusaako kibi mukiseera lwe wagenda gyebali n’amazima ag’enkukunala, olwo ekibinja kyabwe ekimu ekyabo abaajeema nekigamba nti: ‘Teri ngeri ndala bino gye bibalibwamu okujjako okubeera eddogo ely’olwatu.

111. Era jukira lwe nnabikkulira abayigirizwa okubikkulira okubalagira nti: ‘Munzikirize nze n’Omubaka wange’ nebaddamu nti: ‘Fenna tukkiriza era tuweeko obujurizi obukakasa nti mazima fenna (tuli basiraamu) twewaddeyo mu mateeka ga Katonda.

112. Jukira Abayigirizwa lwe baabuuza ekibuuzo nti: ‘Owange gwe Isa mutabani wa Mariam, abaffe, naye Mukama Katonda omulezi wo asobola okutussiza ekijjulo nga kiva mu Ggulu? N’abaddamu nti: ‘Mutye Katonda bwe muba abakkiriza’.

113. Nebamutegeeza nti: ‘Kyetwagala kwe kulya kukijjulo ekyo era emitima gyaffe gitebenkere era tutegeere nti mazima byonna bye watutuusaako bikakafu era naffe byonna ebyo tubiweeko obujurizi’.

114. Isa mutabani wa Mariam n’aloma nti: ‘Ai Katonda Allah asinzibwa Mukama Omulezi waffe, nkwegayirira osse gyetuli ekijjulo nga kiva mu ggulu kitufuukire ffe olunaku lw’amajaguza eri abo abanaatukulembera (okukiryako) n’abo abajja oluvannyuma lwaffe, era kitubeerere eky’amagero kyetulabyeko ekiva gyoli Ai Mukama. Era otugabirire Ai Mukama, ggwe asingayo obulungi mu bagabi’

115 Katonda n’ayanukula nti: ‘Mazima nze nsazeewo okukissa gye muli, kyokka oyo yenna awakanya oluvannyuma, nga avudde mukibinja kyammwe, Nze kennyini mba mazima mmubonereza ekibonerezo kyessibonerezangako mulala yenna mu bitonde’.

166 Era jjukira awo Katonda waalibuuliza nti: ‘Owange ggwe Isa mutabani wa Mariam: Yeggwe wuyo eyalagira abantu nti, munfule nze ne maama wange ab’okusinzibwa ababiri, balekeyo okusinza Katonda? Naddamu nti: ‘Ekitiibwa kibe gyoli Ai Mukama! Nze ssisikirizibwangako kwogera byessirinaako kituufu. Bwemba nga nakyogera, ekyo oba wakimanya dda. Mukama omanyi bulungi ebyo ebiri mu mwoyo gwange, sso nga nze ssimanyi biri muggwe. Mazima ggwe Kakensa mu kumanya eby’ekyama!’

117. ‘Teriiyo bigambo bye nnabategeeza okujjako ebyo gwe bye wandagira, ebibategeeza nti: Musinze Katonda asinzibwa Allah Mukama Omulezi wange era Omulezi wammwe! Ate nze nnali mujulizi gyebali abbanga lyennabamalamu, kyokka bwewamala okunsitula n’ondeta gyoli wasigala ggwe mulondozi wabwe. Era Ai Mukama ggwe buli kintu oli mujulizi!’

118. ‘Bwoba osazeewo ku babonereza, kale mazima bebo abaddu bo, ate bwosalawo okusonyiwa, kale mazima gwe wuyo Luwangula asingayo obulungi mu bulamuzi’.

119. Katonda naddamu nti: ‘Luno lwe lunaku, abakakasa amazima lwe kubagasa okukakasa kwabwe. Bafunye Ejjana ekulukutiramu emigga wansi wayo, ba kugibeeramu lubeerera’. Bebo Katonda be yasiima era nabo baamusiima. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu!

120. Bwa Katonda yekka obwakabaka bw’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wabyo. Era ye wuyo nga buli kintu Musobozi wakyo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *