Skip to content
Home » 60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)

60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

60.ESSUULA: MUMTAHANA, ABAAGEZESEBWA

Yakkira Madiina. Erina Aya 13.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abange mmwe abakkiriza mukomye okufuula abalabe bange era abalabe bammwe ab’omukwano (ogwomunda) be musomolera ebyama olw’omukwano (Gwe mubalinako) sso nga ddala baajeemera ekyo kye mwafuna ekya mazima, ne bagobaganya omubaka nammwe, olw’okuba mukkiriza Allah Mukama Katonda Omulezi wammwe. Bwe muba mufulumye olw’okulwanirira ekkubo lyange n’okwesunga okusiima kwange ate ne mubasomolera ebyama (mu nkukutu) olw’omukwano gwe mubalinako sso nga nze nsinga okumanya bye mukukusizza nebyo byemwolesezza. Kale oyo yenna akikola mummwe olwo ddala aba awugukidde ku kkubo ebbi.

2. Bwe babagwikiriza mu buzibu olwo baba balabe bammwe era banjuluza gyemuli olw’okubalwanyise emikono gyabwe n’ennimi zabwe mu bubi, olwo ne begomba nnyo okuba nti mujeema.

3. Tewali kye zijja kubagasa eŋŋanda zammwe wadde abaana bammwe, ku lunaku lwa mayimirira, lw’asalawo eggoye wakati wammwe. Era Katonda byonna bye mukola ye Mulabi wabyo.

4. Mazima mufunye obuwangwa ekkula ku Ibrahiim n’abo abali naye, awo we baategeereza abantu babwe nti: ‘Mazima ffe tubaabulidde n’ebyo bye musinza nga muleseewo Allah, mwenna tubajeemedde era emaze okweyerula wakati waffe nammwe empalana n’enyiike ne bwebunaaba ddi, okujjako nga mukkiriza Katonda yekka omu. Mpozi tekizingirwamu ekigambo kya Ibrahim kye yategeeza taata we nti: ‘Mazima nja kukusabira okusonyiyibwa, kakibe nti mpawo kyenninako buvunanyizibwa kw’ebyo ebikuwonya ewa Katonda ku kintu kyonna!. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe ggwe wekka gwe twesigamidde era gyoli gye tweyunidde era gyoli bwe buddo.

5. Ai Mukama Katonda Omulezi waffe totussa mu kikemo nga tuli mu maaso ga bali abaajeema naye tusonyiwe Ai Mukama Katonda Omulezi waffe. Mazima yeggwe wuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi’.

6. Mazima mufunye obuwangwa ekkula obugobererwa oyo abadde alina essuubi mu Katonda n’olunaku lw’enkomerero. Era oyo eyeerema, mazima Katonda ye Mugagga Atenderezebwa.

7. Kyaddaaki Katonda ateeka wakati wammwe n’abo bemuwalaŋŋanye nabo omukwano. Katonda ye Musobozi era Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

8. Mpawo Katonda ky’abagaana kwabo abatabalwanyisa mu ddiini era abatabagoba mu maka gammwe wadde okwesowolayo okuwagira eky’okubawaŋŋangusa, okuba nga mubafuula ab’emikwano. Kale oyo abakolako (bali) omukwano olwo nga bebo abalyazamanyi.

9. Wabula abo Katonda baabakugira okubakolako omukwano bebo abalina engeri gye babarwanyisa mu ddiini n’okubagoba mu maka gammwe, era ne besowolayo bukuukubira okweyunga ku bali abakolerera okubawaŋŋangusa. Oyo aba abakwanye olwo nga bebo abonoonyi.

10. Abange mmwe abakkiriza, bwe baba bazze gyemuli abakkiriza abakyala nga basenguse mubagezese. Katonda y’asinga okumanya obukkiriza bwabwe. Kale bwemuba mubategedde nti bakkiriza te mubazzaayo eri abajeemu. Olwo bano baba te bakkirizibwa kwetaba mu bali, era bali baba te bakkirizibwa kwetaba na bano. Kale mubaddize bye baawaayo. Olwo tekiba kibi gyemuli okubawayira bwe muba mu bawadde empeera yabwe (omutwalo ogubawasa) era mukomye okukuuma obufumbo n’abajeemu. Kale musabe okuddizibwa bye mwawaayo nabo basabe okuddizibwa bye baawaayo. Obwo mmwe bwe bulamuzi bwa Katonda bwalamuza wakati wammwe. Kale Katonda ye Mumanyi Omulamuzi Kalimagezi.

11. Kale bwe wabaawo abaabulidde yenna mu bakyala bammwe ne yeyunga ku bajeemu, kyokka ne wabaawo engeri gye mwesasuzza (ne mufuna emiryago) kale muweeyo eri bali abaaviibwako bakyala babwe ekyenkana n’ebyo bye baawaayo. Era mutye Katonda oyo mmwe gwe mukkiriza.

12. owange ggwe Nnabbi, bwe baba bazze gyoli abakkiriza abakyala okuwera mu maaso go nga bwe batakyagattika ku Katonda kintu kyonna wadde okubba wadde okwenda wadde okutta abaana babwe wadde okukakasaawo ezzadde ery’obulimba (Eri babbaabwe) lye bajweteka obujwetesi wakati w’emikono gyabwe n’amagulu gabwe, wadde okukujeemera mu bintu ebimanyiddwa, kale kkiriza okuwera kwabwe era basabire okusonyiwa kwa Katonda. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

13. Abange mmwe abakkiriza temukola mukwano na bantu Katonda be yanyiigira. Mazima baggwamu essuubi ly’okutuuka ku nkomerero nga bwe baggwamu essuubi abajeemu ery’okuzuukiza abali emagombe.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]