Skip to content
Home » 45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)

45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

45.ALJATHIYA, OKUFUKAMIRAAMAYIMIRIRA’

Yakkira Makka Erina Aya 37.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha Mim.

2. Kuno kwekussa ekitabo ekiva ewa Allah Katonda asinzibwa Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

3. Mazima lirimu eggulu n’ensi eby’amagero ebiyigiriza ebyabo abakkiriza.

4. Ne mubutonde bwammwe (mulimu ebyamagero) n’ebyo by’asaasaanya (buli wantu) ebimu ku biramu ebitambula mulimu ebyamagero ebiyigiriza ebyabo abantu abakakasa.

5. Era enkyukakyuka y’ekiro n’emisana n’ebyo Katonda bye yassa okuva muggulu ebimu ku bigabirirwa n’abyeyambisa okulamusa ensi oluvannyuma lw’okufa kwayo n’enkyukakyuka y’empewo, mulimu ebyamagero ebiyigiriza ebyabo abantu abageziwavu.

6. Ebyo bye byamagero bya Allah Katonda asinzibwa bye tukusomera mumazima. Kale bigambo bya nnaba ki nga ojjeeko Katonda (byabanyumiza) n’amateeka ge ate bye bakkiriza?

7. Okuzikirira kwa kutuusibwa ku buli kalimbira omwonoonyi.

8. Awulira amateeka ga Katonda agamusomerwa, bwamala n’alemera ku kwekuluntaza nga alinga atagawulidde. Kale mutuuseeko oyo amawulire g’okufuna ekibonerezo ekiruma.

9. Ate bwaba ategedde agamu ku mateeka gaffe ekintu kyonna, akifuula kya kujeeja. Beebo ab’okufuna ekibonerezo Luweebuula.

10. Oluvannyuma lw’embera yabwe (gyebalimu kati) eriyo ggeyeena. Ate nga tebibagasa ebyo bye baakola (olubereberye) ku nsonga yonna, newankubadde (okugasibwa) ebyo bye beeteerawo nga baabulidde Katonda, ne babifuula ab’emikwano. Kale (abo) balina ekibonerezo ekiyitirivu.

11. Obwo bwe buluŋŋamu, era abo abaajeemera amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe, balina ebibonerezo ebimu ku bi ssaababonerezo ebikakali.

12. Allah Katonda asinzibwa yoyo eyabagondeza ennyanja kisobozese amaato okugiseeyeeyezaamu olw’okusalawo kwe era nammwe musobole okwenoonyeza ebimu ku birungi bye, bwemutyo mube nga musiima.

13. Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi, byonna nga bisibuka gyali. Mazima ekyo mulimu eky’okulabirako ekiyigiriza nga kyabo abantu abafumitiriza.

14. Lagira abo abakkiriza babe nga basonyiwa abo abatalina kye basuubira (ku byokubaawo) ku mirembe gya Katonda (egyomumaaso), olwo (Katonda) alyoke asasule abantu ebyo bye baali bakola.

15. Oyo yenna aba akoze ebirungi, mwoyo gwe gwaba alongoseza era oyo yenna aba ayonoonye aba (omwoyo gwe) gwadibaze oluvannyuma eri Mukama Katonda Omulezi wammwe gye muzzibwa.

16. Ate mazima twawa abaana ba Isirail ekitabo n’obulamuzi n’obwannabbi era twabagabirira ebirungi era twabasukkulumya ku bantu bonna (abomulembe gwabwe).

17. Era twabatuusaako obwanjulukufu ku buli nsonga, era tebaayawukana okujjako luvannyuma lwa kufuna buyivu nga bwewagguzi obuli mubo. Mazima Katonda Omulezi wo y’alamula wakati wabwe ku lunaku lw’amayimirira mw’ebyo bye babadde balinamu okwawukana.

18. Bwekityo twakussa ku mateeka amanjulukufu ag’eddiini, kale gagoberere sso togoberera bya bwagazi bya bali abatamanyi.

19. Mazima beebo abatalina kye bakuyamba nga kikuwonya Katonda ku nsonga yonna. Era mazima abalyazamanyi abamu mikwano gya bannabwe. Ate Katonda ye mukwano gwabo abatya Katonda.

20. Obwo bwebubonero obwanjulukufu obwa bantu era bwe buluŋŋamu era bwe busaasizi obwabo abantu abakakasa.

21. Abaffe basuubidde abo abatakabanira ebibi, nti tulina okubafuula nga abakkiriza, era abaakola ebirungi, ne watabaawo njawulo ka kibeere mu bulamu bwabwe wadde mu kufa kwabwe? Mbi nnyo engeri eyo gye balamula.

22. Naye Katonda yatonda eggulu n’ensi olw’ensonga entufu. Olwo gulyoke gusasulwe buli mwoyo (empeera ya) ebyo bye gwakola era nga gyonna tegiryazamanyizibwa.

23. Abaffe weetegerezza oyo eyafuula omusinzibwa we okuba obwagazi bwe, kale oyo Katonda yamubuza nga akimanyi bulungi era yassa envumbo mu matu ge n’omutima gwe era yassa ku maaso ge ekifu. Kale wa nnabaki oyo amuluŋŋamya nga Katonda yamala dda (okumubuza)? Abaffe mulemeddwa okwebuulirira?

24. Kale baayogera nti; ‘Teriiyo kirala okujjako obuwangazi bwaffe obwomunsi mwetufiira era mwe tubeerera abalamu, mpozzi teriiyo kituzikiriza okujjako (guno) omulembe’, era tewali ekyo ngeri gye bakimanyiko, tewali kirala kye baliko okujjako okufumintiriza.

25. Era bwe gaba gabasomeddwa amateeka gaffe amannyonnyofu tewabaawo kyebekwasa kirala okujjako okusaba nti; ‘Mukomyewo ba kitaffe (abaafa edda) bwe muba abaamazima’.

26. Baddemu nti: ‘Allah y’abawangaza oluvannyuma y’abatta oluvanyuma abakuŋŋaanya nga abazza ku lunaku lwa mayimirira olutaliimu kubuusabuusa, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.

27. Era bwa Katonda yekka obwa Kabaka (obufuzi) lw’eggulu n’ensi. Naye olunaku wekituukira ekiseera ekivannyuma, olunaku olwo baakufaafaaganirwa aboonoonyi.

28. Olwo ne weerolera buli mulembe nga gufukamidde amayimirira. Nga buli mulembe gukoowoolwa okudda ku kitabo kyagwo: Olwaleero muli baakusasulwa ebyo bye mubadde mukola.

29. Yiino enkuluze yaffe eyogera ebibafaako mu butuufu. Mazima ffe tubadde tuwandika ebyo bye mwali mukola.

30. Kyokka abo abakkiriza era abaakola ebirungi, beebo Mukama Katonda Omulezi wabwe baayingiza mu busaasizi bwe. Okwo kwe kuganyulwa okweyolefu.

31. Naye abo abaajeema (baakubuuzibwa nti): ‘Abaffe, gabadde tegabasomerwa amateeka gaffe? bwemutyo ne mwekuluntaza era nga mubadde abantu aboonoonyi?’

32. Era nga we kirangirirwa nti; ‘Ddala ekisuubizo kya Katonda kya mazima, era ekiseera ekivannyuma tekiriimu kubuusabuusa, nga mmwe muddamu nti; ‘Mpawo kye tutegeera: kiseera nnaba ki ekyo, mpozzi okukirowoozaako obulowooza, naye tewali ffe kye tukakasa.

33. Olwo ne bibanjulirwa ebibi by’ebyo bye baakola era ne bibatuukako ebyo bye baali baŋoola.

34. Ne kirangirirwa nti: ‘Olwaleero tulina okubeerabira nga nammwe bwe mwerabira ensisinkano y’olunaku lwammwe luno. Era obubudamu bwammwe gwe muliro, era temulinaayo oyo abataasa’.

35. Ekyo kiri bwekityo mmwe kubanga mazima mwafuula amateeka ga Katonda (okuba) ag’okuvvoola era bwababuzaabuza obuwangazi bw’ensi. Kale olwaleero tebajja kugujjibwamu (omuliro) era ssi baakubeera mu kwesiima.

36. Kale amatendo amalungi ga Mukama Katonda Omulezi w’eggulu, era Mukama Katonda Omulezi w’ensi, Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

37. Era nnannyini kugulumizibwa muggulu n’ensi, era ye wuuyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *